Lindirira Yakuwa ng’Olina Essuubi era Beera Muvumu
“Lindirira Mukama: ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; weewaawo lindirira Mukama.”—ZABBULI 27:14.
1. Essuubi kkulu kwenkana wa, era ekigambo ekyo kikozesebwa kitya mu Byawandiikibwa?
ESSUUBI erya nnamaddala liringa ekitangaala. Lituyamba obutateeka nnyo birowoozo byaffe ku bizibu era n’okwaŋŋanga ebiseera eby’omu maaso nga tuli bavumu era nga tulina essanyu. Yakuwa yekka y’ayinza okutuwa essuubi ekkakafu era alituwa okuyitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. (2 Timoseewo 3:16) Mu butuufu, ebigambo “essuubi,” ‘n’okusuubira’ birabika emirundi mingi mu Baibuli era nga bitegeeza okwesunga oba okusuubira okufuna ekintu ekirungi.a Essuubi ng’eryo lisingawo ku kusuubira obusuubizi ekintu nga tolina ky’osinziirako oba okulowooza obulowooza nti ky’osuubira kijja kutuukirira.
2. Essuubi lyayamba litya Yesu?
2 Bwe yali ayolekaganye n’okugezesebwa era n’ebizibu, ebyo Yesu si bye yamalirako ebirowoozo bye, wabula yasuubirira mu Yakuwa. Baibuli egamba: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba [“omuti ogw’okubonyaabonyezebwako,” NW] ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.” (Abaebbulaniya 12:2) Olw’okuba ebirowoozo bye yali abitadde ku kulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa n’okutukuza erinnya lye, ne bwe yayolekagana n’embeera enzibu ennyo, Yesu yasigala muwulize eri Katonda.
3. Essuubi liyamba litya abaweereza ba Katonda?
3 Kabaka Dawudi ayogera ku kakwate akali wakati w’essuubi n’obuvumu ng’agamba nti: “Lindirira [suubirira] Mukama: ddamu amaanyi [beera muvumu], ogume omwoyo gwo; weewaawo lindirira [suubirira] Mukama.” (Zabbuli 27:14) Bwe tuba twagala omutima gwaffe okuba ogw’amaanyi, tetulina kuleka ssuubi lyaffe kuggwaawo wabula tulina okulikuumiranga mu birowoozo byaffe n’okulitwala nga lya muwendo. Bwe tunaakola ekyo kijja kutuyamba okukoppa Yesu mu kwoleka obuvumu n’obunyiikivu mu mulimu gwe yawa abayigirizwa be okukola. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Mazima ddala, essubi lyogerwako wamu n’okukkiriza n’okwagala ng’engeri enkulu ennyo, abaweereza ba Katonda gye balina okwoleka.—1 Abakkolinso 13:13.
‘Osukkirira mu Kusuubira’?
4. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ beesunga kufuna ki?
4 Abantu ba Katonda balina ebintu ebirungi bye basuubira mu biseera eby’omu maaso. Abakristaayo abaafukibwako amafuta beesunga okuweerereza awamu ne Kristo mu ggulu, ate bo ‘ab’endiga endala,’ basuubira ‘okuweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda ab’oku nsi.’ (Yokaana 10:16; Abaruumi 8:19-21; Abafiripi 3:20) ‘Eddembe ery’ekitiibwa’ lizingiramu okununulibwa mu kibi n’ebintu ebibi ebisibuka ku kibi. Mazima ddala, Yakuwa—Omugabi wa “Buli kirabo ekirungi, na buli kitone kituukirivu”—ajja kuwa abantu be abeesigwa ekirabo ekisingirayo ddala obulungi.—Yakobo 1:17; Isaaya 25:8.
5. Tusobola tutya ‘okusukkirira mu kusuubira’?
5 Essuubi Abakristaayo lye balina lisaanidde kuba na kifo ki mu bulamu bwabwe? Mu Abaruumi 15:13, tusoma: ‘Era Katonda ow’okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw’okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g’omwoyo omutukuvu.’ Yee, essuubi teriringa akasubbaawa akaakira mu kizikiza naye liringa akasana ak’oku makya, era lireetera omuntu okuba n’emirembe, essanyu, ekigendererwa era n’obuvumu. Weetegereze nti ‘tusukkirira mu kusuubira’ bwe tukkiriza Ekigambo kya Katonda era ne tufuna omwoyo gwe omutukuvu. Abaruumi 15:4, wagamba: “Byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa kw’ebyawandiikibwa.” N’olwekyo, weebuuze: ‘Nkuuma essuubi lyange nga ttangaavu nga nneesomesa Ekigambo kya Katonda buli lunaku? Ntera okusaba Katonda ampe omwoyo gwe?’—Lukka 11:13.
6. Kiki kye tuteekwa okwewala okusobola okukuuma essuubi lyaffe nga ttangaavu?
6 Yesu eyatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo yanywezebwa Ekigambo kya Katonda. Bwe tumukoppa tetujja ‘kukoowa oba okuddirira.’ (Abaebbulaniya 12:3) Singa essuubi lyaffe likendeera, oba singa tuwugulibwa ebintu ebirala—oboolyawo eby’obugagga oba ebiruubirirwa eby’ensi—tuyinza okunafuwa mu by’omwoyo, ne kituviirako okulemererwa okugoberera emisingi egy’empisa. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo, ‘okukkiriza kwaffe kuyinza okusaanawo.’ (1 Timoseewo 1:19) Ku luuyi olulala, essuubi erya nnamaddala linyweza okukkiriza kwaffe.
Essuubi Lyetaagisa Okusobola Okuba n’Okukkiriza
7. Mu ngeri ki essuubi gye lyetaagisa okusobola okubeera n’okukkiriza?
7 Baibuli egamba nti: ‘Okukkiriza kwe kuba abakakafu kw’ebyo ebisuubirwa, era bwe butabuusabuusa ebyo ebitalabika.’ (Abaebbulaniya 11:1, NW) N’olwekyo, essuubi teririna kutwalibwa ng’ekintu ekya wansi ku kukkiriza; wabula lyetaagisa nnyo okusobola okuba n’okukkiriza. Lowooza ku Ibulayimu. Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, ye ne mukazi we Saala, baali basusse emyaka egy’okuzaala Yakuwa bwe yabasuubiza okubawa omusika. (Olubereberye 17:15-17) Ibulayimu yakola ki? ‘Yakkiririza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w’amawanga amangi.’ (Abaruumi 4:18) Yee, essuubi Katonda lye yawa Ibulayimu lyamusobozesa okuba n’okukkiriza okwa maanyi nti ajja kufuna ezzadde. Ekyavaamu okukkiriza kwanyweza essuubi lye yalina. Eno ye nsonga lwaki Ibulayimu ne Saala baasobola okuleka amaka gaabwe ne babeera mu weema obulamu bwabwe bwonna mu nsi etali yaabwe!
8. Obugumiikiriza bunyweza butya essuubi lyaffe?
8 Ibulayimu yakuuma essuubi lye nga linywevu ng’agondera Yakuwa ne bwe kyabanga ekizibu okukikola. (Olubereberye 22:2, 12) Mu ngeri y’emu, singa tuba bawulize era bagumiikiriza nga tuweereza Yakuwa, tuyinza okuba abakakafu nti tujja kufuna empeera. Pawulo yagamba nti: “Okugumiikiriza kuleeta okusiimibwa,” ate okusiimibwa ne kuleeta okusuubira, “era ng’ebisuubirwa bituukirira.” (Abaruumi 5:4, 5) Era eno ye nsonga lwaki Pawulo yawandiika nti: ‘Twagala nnyo buli muntu ku mwe okulaganga obunyiikivu obwo olw’okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero.’ (Abaebbulaniya 6:11) Endowooza ennungi ng’eyo eyeesigamiziddwa ku mukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa eyinza okutuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna n’obuvumu era n’essanyu.
“Musanyukenga mu Kusuubira”
9. Kiki kye tulina okukola obutayosa okusobola ‘okusanyukiranga mu ssuubi’?
9 Essuubi Katonda ly’atuwa lisingira wala ekintu kyonna kye tuyinza okufuna mu nsi. Zabbuli 37:34, lugamba: “Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye, Naye alikugulumiza okusikira ensi: ababi bwe balizikirizibwa oliraba.” Yee, tulina ensonga ennungi ‘okusanyukira mu kusuubira.’ (Abaruumi 12:12) Kyokka, okusobola okukola ekyo, tuteekwa okulowoozanga ku ssuubi lyaffe. Ofumiitiriza obutayosa ku ssuubi Katonda lye yatuwa? Okuba ekifaananyi ng’oli mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, ng’oli mu bulamu obulungi obutaliimu kweraliikirira era ng’oli n’abantu abakwagala era nga mukolera wamu omulimu ogumatiza? Ofumiitiriza ku bifaananyi ebiraga Olusuku lwa Katonda ku nsi ebiba mu bitabo byaffe? Okufumiitiriza ng’okwo kuyinza okugeraageranyizibwa ku kusiimuula eddirisa n’osobola okulaba obulungi. Singa tulagajjalira okusiimuula endabirwamu ey’eddirisa, ejja kuddugala tube nga tetusobola kulaba bulungi ebiri ebweru. Bwe kityo, ebintu ebirala biyinza okuwugula ebirowoozo byaffe. Tetukkirizanga ekintu ng’ekyo okubaawo!
10. Okwesunga okufuna empeera kyoleka ki ku nkolagana gye tulina ne Yakuwa?
10 Kya lwatu, ensonga enkulu etuleetera okuweereza Yakuwa kwe kuba nti tumwagala. (Makko 12:30) Wadde kiri kityo, twandibadde twesunga okufuna empeera. Mu butuufu, Yakuwa atusuubira okugyesunga! Abaebbulaniya 11:6, lugamba: “Awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” Lwaki Yakuwa ayagala tumutwale nga Omugabi w’empeera? Kubanga bwe tukikola, tuba tulaga nti tumanyi bulungi Kitaffe w’omu ggulu. Mugabi nnyo era ayagala abaana be. Lowooza ku ngeri gye tutandibadde na ssanyu era n’engeri gye twandiweddengamu mangu amaanyi singa tetwalina ‘ssuubi lya biseera bya mu maaso.’—Yeremiya 29:11, NW.
11. Essuubi Katonda lye yawa Musa lyamuyamba litya okusalawo obulungi?
11 Ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’omuntu eyassa ebirowoozo bye ku ssuubi Katonda lye yamuwa ye Musa. Olw’okuba yali ‘mwana wa muwala wa Falaawo,’ yalina obuyinza, ettutumu era yali ayinza okukozesa obugagga bw’e Misiri. Ebintu ebyo bye yandibadde aluubirira oba yandiweerezza Yakuwa? N’obuvumu, Musa yasalawo okuweereza Yakuwa. Lwaki? Kino kyali bwe kityo ‘kubanga yeesunga empeera eyo.’ (Abaebbulaniya 11:24-26) Mazima ddala, Musa yatwala essuubi Yakuwa lye yamuwa nga kkulu nnyo.
12. Lwaki essuubi Abakristaayo lye balina ligeraageranyizibwa ku sseppewo?
12 Omutume Pawulo yageraageranya essuubi ku sseppewo. Sseppewo yaffe ey’akabonero ekuuma endowooza yaffe, ne tusobola okusalawo obulungi, okukulembeza ebisinga obukulu n’okusigala nga tuli beesigwa. (1 Abassesaloniika 5:8) Sseppewo yo ey’akabonero ogyambala buli kiseera? Bwe kiba bwe kityo, okufaananako Musa ne Pawulo, essuubi lyo tojja kulyesigamya ku ‘bugagga obutali bwa lubeerera, wabula ku Katonda, atuwa byonna tulyoke twesanyusenga n’ebyo.’ Kyo kituufu nti kyetaagisa obuvumu okusobola okwerekereza ebintu abantu abasinga obungi bye bettanira, naye bw’ofuba ebivaamu biba birungi! Mazima ddala, lwaki wandifiiriddwa ‘obulamu obwa nnamaddala,’ obujja okufunibwa abo abasuubirira mu Yakuwa era abamwagala?—1 Timoseewo 6:17, 19.
“Sirikuleka n’Akatono”
13. Bukakafu ki Yakuwa bw’awa abaweereza be abeesigwa?
13 Abantu abateeka essuubi lyabwe mu nteekateeka y’ebintu eno balina okulowooza ennyo ku bintu eby’akabi ebiboolekedde mu nsi eno eyeeyongera okubaamu ‘obulumi.’ (Matayo 24:8) Naye abo abasuubirira mu Yakuwa tebagwanidde kutya. Bajja kweyongera ‘okubeera mu mirembe, era nga tebatya kabi konna.’ (Engero 1:33) Olw’okuba essuubi lyabwe tebalitadde ku nteekateeka y’ebintu eno, bagoberera okubuulira kwa Pawulo nti: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini agamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.”—Abaebbulaniya 13:5.
14. Lwaki Abakristaayo tebeetaaga kweraliikirira byetaago byabwe eby’omubiri?
14 Ebigambo “Sirikuleka n’akatono,” ne “sirikwabulira n’akatono”—bikyoleka bulungi nti Katonda ajja kutulabirira. Yesu naye yatukakasa nti Katonda atufaako bwe yagamba nti: “Naye musooke munoonye Obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako. Kale temweraliikiriranga bya jjo: kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo.” (Matayo 6:33, 34) Yakuwa akimanyi nti si kyangu okunyiikirira Obwakabaka ate mu kiseera kye kimu ne twettika obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. N’olwekyo, ka twesigire ddala Yakuwa nga tukimanyi nti asobola era ayagala okukola ku byetaago byaffe.—Matayo 6:25-32; 11:28-30.
15. Abakristaayo basobola batya okuba ‘n’eriiso eriraba awamu’?
15 Tulaga nti twesiga Yakuwa bwe tuba ‘n’eriiso eriraba awamu.’ (Matayo 6:22, 23) Omuntu alina eriiso eriraba awamu aba mwesimbu, aba n’ekiruubirirwa ekirungi, taba wa mululu era teyeegwanyiza ttutumu. Okuba n’eriiso eriraba awamu tekitegeeza kubeera mwavu lunkupe oba okulagajjalira obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo. Wabula, kitegeeza okuba ‘n’endowooza ennuŋŋamu’ nga tukulembeza obuweereza bwa Yakuwa.—2 Timoseewo 1:7.
16. Lwaki kyetaagisa okuba n’okukkiriza n’obuvumu bwe tuba ab’okuba n’eriiso eriraba awamu?
16 Okusobola okuba n’eriiso eriraba awamu kitwetaagisa okuba n’obuvumu era n’okukkiriza. Ng’ekyokulabirako, singa mukama wo akuwaliriza okukola ku kiseera ky’olina okugenderako mu nkuŋŋaana z’ekibiina, onooyoleka obuvumu n’okulembeza eby’omwoyo? Singa omuntu abuusabuusa nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo Bye eby’okulabirira abaweereza Be, Setaani ajja kweyongera okunyigiriza omuntu oyo atuuke n’okulekera awo okugenda mu nkuŋŋaana. Mazima ddala, bwe tutaba na kukkiriza, kiyinza okuviirako Setaani okutufuga ne kiba nti ye kennyini y’atusalirawo bye tulina okukulembeza, so si Yakuwa. Ng’ekyo kyandibadde kya kabi nnyo!—2 Abakkolinso 13:5.
‘Suubirira mu Yakuwa’
17. Abo abeesiga Yakuwa baganyulwa batya ne mu kiseera kino?
17 Ebyawandiikibwa enfunda n’enfunda biraga nti abo abasuubirira mu Yakuwa tebalemererwa. (Engero 3:5, 6; Yeremiya 17:7) Kyo kituufu nti, ebiseera ebimu kibeetaagisa okubeera abamativu n’ebitono bye balina, naye okwo kuba kwefiiriza kutono nnyo bw’okugeraageranya n’emikisa gye bajja okufuna. Naye bwe beefiiriza, baba bakyoleka nti ‘basuubirira mu Yakuwa’ era nga bakakafu nti ku nkomerero ajja kuwa abaweereza be abeesigwa bye baagala. (Zabbuli 37:4, 34) Bwe kityo, ne mu kiseera kino basanyufu. “Essuubi ery’abatuukirivu liraba ssanyu: Naye kuzikirira eri abo abakola ebitali bya butuukirivu.”—Engero 10:28.
18, 19. (a) Yakuwa atuwa bukakafu ki obwoleka okwagala? (b) Tuteeka tutya Yakuwa ku ‘mukono gwaffe ogwa ddyo’?
18 Omwana omuto bw’atambula nga kitaawe amukutte ku mukono, awulira ng’alina obukuumi. Naffe bwe kityo bwe kibeera nga tutambula ne Kitaffe ow’omu ggulu. Yakuwa yagamba Isiraeri nti: “Totya kubanga nze ndi wamu naawe . . . weewaawo, naakuyambanga . . . Kubanga nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga.”—Isaaya 41:10, 13.
19 Nga kyoleka okwagala kw’amaanyi—Yakuwa okukwata omuntu ku mukono! Dawudi yagamba: “Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.” (Zabbuli 16:8) Tuteeka tutya Yakuwa ku ‘mukono gwaffe ogwa ddyo’? Tukikola mu ngeri nga bbiri. Esooka, tuleka Ekigambo kye okutuwa obulagirizi mu mbeera zonna ez’obulamu; ate ey’okubiri, nga tuteeka ebirowoozo byaffe ku kirabo eky’ekitalo Yakuwa ky’atusuubiza. Omuwandiisi wa Zabbuli Asafu yagamba: “Ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo. Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.” (Zabbuli 73:23, 24) Nga tulina obukakafu ng’obwo, tusobola okwesunga ebiseera eby’omu maaso awatali kutya.
“Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka”
20, 21. Abo abasuubirira mu Yakuwa basuubira ki mu kiseera eky’omu maaso?
20 Buli lunaku oluyitawo, kiba kikulu nnyo okuteeka Yakuwa ku mukono gwaffe ogwa ddyo. Mu kiseera ekitali wala, okutandika n’okuzikirizibwa kw’eddiini ez’obulimba, ensi ya Setaani ejja kubaamu ekibonyoobonyo ekitabangawo. (Matayo 24:21) Abantu abatalina kukkiriza bajja kufuna entiisa. Kyokka, mu kiseera ekyo ekizibu ennyo, abaweereza ba Yakuwa abavumu bajja kusanyuka olw’essuubi lye balina! Yesu yagamba nti: “Ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.”—Lukka 21:28.
21 N’olwekyo, ka tusanyukire mu ssuubi Katonda lye yatuwa era tuleme kulimbibwa oba okutwalirizibwa ebintu Setaani by’akozesa okutuwugula. Mu kiseera kye kimu, ka tufube nnyo okuba n’okukkiriza, okwagala era n’okutya Katonda. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kufuna obuvumu tusobole okugondera Yakuwa mu mbeera zonna era n’okuziyiza Omulyolyomi. (Yakobo 4:7, 8) Yee, ‘Mube bavumu, mugumenga omwoyo gwammwe, Mmwenna abasuubira mu Mukama.’—Zabbuli 31:24.
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde nga mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ekigambo “essuubi” kitera okukwataganyizibwa n’empeera ey’omu ggulu Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye bajja okufuna, mu kitundu kino, ekigambo essuubi kigenda kukozesebwa mu ngeri eya bulijjo.
Osobola Okuddamu?
• Mu ngeri ki essuubi Yesu lye yalina gye lyamusobozesa okuba n’obuvumu?
• Okukkiriza n’essuubi birina kakwate ki?
• Essuubi awamu n’okukkiriza bisobola bitya okuyamba Abakristaayo okukulembeza ebintu ebisingayo okuba ebikulu mu bulamu?
• Lwaki abo ‘abasuubirira mu Yakuwa’ tebatya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
K’obe muto oba mukulu, okukuba ekifaananyi ng’oli mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi?