-
Tendereza Kristo—Kabaka Ow’Ekitiibwa!Omunaala gw’Omukuumi—2014 | Febwali 15
-
-
KABAKA YEEBAGALA EMBALAASI “OLW’AMAZIMA”
11. Kristo yeebagala atya embalaasi “olw’amazima”?
11 Soma Zabbuli 45:4. Kabaka Yesu Kristo talwana lutalo lwa kwagala kwefunira matwale oba okufuula abantu abaddu. Alina ensonga ennungi lwaki alwana olutalo. Bayibuli egamba nti yeebagala “olw’amazima n’obuwombeefu n’obutuukirivu.” Amazima agasingirayo ddala obukulu Yesu g’alwanirira geego agakwata ku ky’okuba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Sitaani bwe yajeemera Yakuwa, yali ng’agamba nti Yakuwa si y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Okuva olwo wabaddewo bamalayika n’abantu bangi abasazeewo okujeemera Yakuwa. Kati ekiseera kituuse Kabaka, Katonda gwe yalonda, okulwana olutalo akirage nti Yakuwa yekka y’agwanidde okufuga obutonde bwonna.
12. Kabaka yeebagala atya embalaasi ‘olw’obuwombeefu’?
12 Kabaka era yeebagala embalaasi ‘olw’obuwombeefu.’ Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obuwombeefu ne mu kugondera Kitaawe. (Is. 50:4, 5; Yok. 5:19) Abo bonna abaagala okufugibwa Kabaka oyo balina okumukoppa nga baba bawombeefu era nga bakiraga nti bagondera Yakuwa ng’Omufuzi waabwe mu byonna bye bakola. Abo bokka abakola bwe batyo be bajja okuyingira mu nsi ya Katonda empya.—Zek. 14:16, 17.
13. Kristo yeebagala atya embalaasi ‘olw’obutuukirivu’?
13 Kristo era yeebagala embalaasi ‘olw’obutuukirivu.’ Obutuukirivu Kristo bw’alwanirira bwe ‘butuukirivu bwa Katonda,’ kwe kugamba, emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu. (Bar. 3:21; Ma. 32:4) Ng’ayogera ku Kabaka Yesu Kristo, nnabbi Isaaya yagamba nti: “Kabaka alifuga n’obutuukirivu.” (Is. 32:1) Obufuzi bwa Kristo bujja kuleeta ‘eggulu eriggya n’ensi empya obutuukirivu mwe bulibeera.’ (2 Peet. 3:13) Abantu bonna abanaaba mu nsi empya bajja kuba balina okukolera ku mitindo gya Yakuwa.—Is. 11:1-5.
KABAKA AKOLA EBINTU “EBY’ENTIISA”
14. Omukono gwa Kristo ogwa ddyo gunaakola gutya ebintu “eby’entiisa”? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
14 Omuwandiisi wa Zabbuli alaga nti Kabaka yeebagadde embalaasi nga yeesibye ekitala. (Zab. 45:3) Asikayo ekitala ekyo n’omukono gwe ogwa ddyo n’atandika okukikozesa. Ng’ayogera ku Kabaka Yesu Kristo, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Omukono gwo ogwa ddyo [gulikola ebintu] eby’entiisa.” (Zab. 45:4) Yesu bw’aneebagala embalaasi okuzikiriza ensi ya Sitaani ku Kalumagedoni, ajja kukola ebintu “eby’entiisa” ku balabe be. Kyokka tetumanyi ngeri Yesu gy’anaazikirizaamu nteekateeka ya Sitaani. Naye kye tumanyi kiri nti ekyo kyonna Yesu ky’anaakola kijja kutiisa nnyo abo bonna abagaanye okukolera ku kulabula Katonda kw’abawa era abagaanye okukkiriza Yesu Kristo okuba Kabaka waabwe. (Soma Zabbuli 2:11, 12.) Ng’ayogera ku bintu ebyandibaddewo ku nkomerero, Yesu yagamba nti: “Abantu balizirika olw’okutya n’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi etuuliddwamu, kubanga amaanyi ag’omu ggulu galinyeenyezebwa. Awo baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu bire n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.”—Luk. 21:26, 27.
15, 16. Baani abanaabeera mu “ggye” erinaagoberera Kristo ng’alwana olutalo?
15 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti kabaka bw’anaaba ajja okuzikiriza abalabe ba Katonda, ajja kujja “n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.” Kigamba nti: “Ne ndaba eggulu nga libikkuddwa, era laba! embalaasi enjeru. Era oyo eyali agyebaggaddeko ayitibwa Mwesigwa era wa Mazima, era asala emisango mu butuukirivu era alwana olutalo mu butuukirivu. Era eggye ery’omu ggulu lyali limugoberera nga lyebagadde embalaasi enjeru era nga lyambadde engoye enjeru, eziweweera, era ennyonjo. Mu kamwa ke mwali muvaamu ekitala ekiwanvu era ekyogi, alyoke akitemese amawanga era aligalunda n’omuggo ogw’ekyuma. Era alinnyirira essogolero ly’omwenge gw’obusungu obungi obwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.”—Kub. 19:11, 14, 15.
16 Baani abanaabeera mu “ggye” ery’omu ggulu erinaagoberera Kristo ng’alwana olutalo? Yesu bwe yeesiba ekitala kye okugoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu, yali ne “bamalayika be.” (Kub. 12:7-9) N’olwekyo kyeyoleka lwatu nti ku Kalumagedoni, eggye lya Kristo lijja kubaamu bamalayika abatukuvu. Naye waliwo abalala abanaabeera mu ggye eryo? Yesu yagamba baganda be abaafukibwako amafuta nti: “Oyo awangula n’anywerera ku bikolwa byange okutuukira ddala ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga, nga nange bwe nnabufuna okuva eri Kitange, era alirunda abantu n’omuggo ogw’ekyuma baatikeyatike ng’ebibya eby’ebbumba.” (Kub. 2:26, 27) N’olwekyo, eggye lya Kristo eryo lijja kubaamu ne baganda be abaafukibwako amafuta, mu kiseera ekyo abajja okuba nga bamaze okufuna empeera yaabwe mu ggulu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kubeera wamu ne Kristo ng’akola ebintu “eby’entiisa” bw’anaaba azikiriza amawanga n’omuggo ogw’ekyuma.
-
-
Tendereza Kristo—Kabaka Ow’Ekitiibwa!Omunaala gw’Omukuumi—2014 | Febwali 15
-
-
19. Kristo anaamaliriza atya ‘okuwangula’ kwe?
19 Oluvannyuma lw’okuzikiriza ensi ya Sitaani, Kabaka ow’ekitiibwa Yesu Kristo ajja kumaliriza ‘okuwangula’ kwe. (Zab. 45:4) Ajja kumaliriza okuwangula kwe ng’asuula Sitaani ne badayimooni mu bunnya. Sitaani ne badayimooni bajja kubeera eyo okumala ekiseera kyonna eky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Kub. 20:2, 3) Mu kiseera ekyo, Omulyolyomi ne bamalayika be bajja kuba ng’abafudde, nga tebakyalina kabi konna ke basobola kukola ku bantu, era abantu bonna bajja kuba basobola bulungi okugondera Kabaka waabwe omuwanguzi era ow’ekitiibwa. Naye ensi yonna bw’eneeba tennafuulibwa lusuku lwa Katonda, waliwo ekintu ekirala ekijja okuleetera abantu okusanyukira awamu ne Kabaka waabwe awamu n’abo abanaafugira awamu naye. Ekintu ekyo kijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.
-