Sanyuka olw’Embaga ey’Omwana gw’Endiga!
“Ka tusanyuke, tujaganye . . . kubanga embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse.”—KUB. 19:7.
1, 2. (a) Mbaga y’ani ejja okuleeta essanyu eringi mu ggulu? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
KITWALA obudde bungi okuteekateeka embaga. Naye mu kitundu kino tugenda kwetegereza ebikwata ku mbaga ya Kabaka emaze emyaka nga 2,000 ng’eteekebwateekebwa. Mu kiseera ekitali kya wala, omugole omukazi ajja kwegatta ku mugole omusajja. Wajja kubaawo essanyu lingi nnyo mu lubiri lwa Kabaka era ebitonde eby’omu ggulu bijja kuyimba nga bigamba nti: “Mutendereze Ya, . . . kubanga Yakuwa Katonda waffe Omuyinza w’Ebintu Byonna atandise okufuga nga kabaka. Ka tusanyuke, tujaganye, era tumuwe ekitiibwa kubanga embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse, era ne mukazi we yeeteeseteese.”—Kub. 19:6, 7.
2 “Omwana gw’Endiga,” ayogerwako mu kyawandiikibwa ekyo ye Yesu Kristo. (Yok. 1:29) Naye Omwana gw’Endiga ayambadde atya? Omugole omukazi y’ani? Omugole omukazi ategekeddwa atya? Embaga eyo eneebaawo ddi? Ng’oggyeko abo abanaaba mu ggulu, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nabo banaasanyuka olw’embaga eyo? Tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo nga tweyongera okwekenneenya Zabbuli 45.
‘EBYAMBALO BYE BIWUNYA AKALOOSA’
3, 4. (a) Bayibuli eyogera ki ku byambalo by’Omugole Omusajja, era kiki ekirala ekimuleetera essanyu? (b) “Abambejja” ne “kaddulubaale” abasanyukira awamu n’Omugole Omusajja be baani?
3 Soma Zabbuli 45:8, 9. Omugole Omusajja, Yesu Kristo, ayambadde ebyambalo eby’obugole eby’ekitiibwa era ebiwunya akaloosa. Akaloosa ako kalinga eby’akaloosa ebisingayo obulungi ebyagattibwanga mu mafuta amatukuvu agaakozesebwanga mu Isiraeri.—Kuv. 30:23-25.
4 Ennyimba ebitonde eby’omu ggulu ze biyimbira mu lubiri lw’Omugole Omusajja, nazo zimuleetera essanyu ng’embaga ye bwe yeeyongera okusembera. Asanyukira wamu ne “kaddulubaale,” nga kino kye kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Katonda, omuli “abambejja,” nga bano be bamalayika abatukuvu. Nga kireeta essanyu lingi okuwulira ebitonde eby’omu ggulu nga biyimba nti: “Ka tusanyuke, tujaganye . . . kubanga embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse”!
OMUGOLE OMUKAZI ATEGEKEDDWA BULUNGI
5. “Mukazi w’Omwana gw’Endiga” yaani?
5 Soma Zabbuli 45:10, 11. Omugole Omusajja ye tumutegedde, naye ate omugole omukazi yaani? Kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Yesu Kristo ky’akulembera. (Soma Abeefeso 5:23, 24.) Abakristaayo abo bajja kufugira wamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe. (Luk. 12:32) Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta 144,000 “bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga.” (Kub. 14:1-4) Bafuuka “mukazi w’Omwana gw’Endiga,” era ne babeera naye mu ggulu.—Kub. 21:9; Yok. 14:2, 3.
6. Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa “omuwala wa kabaka,” era lwaki bagambibwa ‘okwerabira ekika kyabwe’?
6 Omugole omukazi era ayitibwa ‘muwala wa kabaka.’ (Zab. 45:13) “Kabaka” oyo yaani? Kabaka oyo ye Yakuwa kubanga Abakristaayo abaafukibwako amafuta bafuuka ‘baana’ be. (Bar. 8:15-17) Okuva bwe kiri nti Abakristaayo abo bagenda kufuuka mugole mu ggulu, balagirwa ‘okwerabira ekika kyabwe, n’ennyumba ya kitaabwe.’ Ebirowoozo byabwe balina ‘kubikuumira ku bintu eby’omu ggulu, so si ku bintu eby’oku nsi.’—Bak. 3:1-4.
7. (a) Kristo abadde ateekateeka atya omugole omukazi? (b) Omugole omukazi atwala atya omwami gw’agenda okufumbirwa?
7 Kristo amaze ebyasa bingi ng’ateekateeka omugole we olw’embaga egenda okuba mu ggulu. Omutume Pawulo yagamba nti Kristo “yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo, asobole okukitukuza ng’akinaaza n’amazzi okuyitira mu kigambo, alyoke akireete gy’ali mu kitiibwa kyakyo, nga tekiriiko bbala oba olufunyiro oba ekintu kyonna ekiringa ebyo, naye kibeere kitukuvu era nga tekiriiko kamogo.” (Bef. 5:25-27) Pawulo yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu Kkolinso nti: “Mbakwatirwa obuggya ng’obwa Katonda, kubanga nze kennyini nnabasuubiza okubafumbiza omwami omu, Kristo, era njagala okubanjula gy’ali nga muli balongoofu ng’omuwala embeerera.” (2 Kol. 11:2) Olw’okuba omugole omukazi muyonjo mu by’omwoyo, Kabaka Yesu Kristo, ayagala nnyo “obulungi” bwe. Era omugole omukazi avunnamira omwami gw’agenda okufumbirwa era amutwala nga “mukama” we.
OMUGOLE ‘ALEETEBWA ERI KABAKA’
8. Lwaki omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti omugole omukazi wa “kitiibwa kyereere”?
8 Soma Zabbuli 45:13, 14a. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti omugole omukazi wa “kitiibwa kyereere.” Mu Okubikkulirwa 21:2 walaga nti omugole omukazi “alungiyiziddwa olwa bba” era ayogerwako ng’ekibuga Yerusaalemi Ekiggya. Ekibuga kino eky’omu ggulu kirina “ekitiibwa kya Katonda” era okwakaayakana kwakyo ‘kulinga okw’ejjinja erisingayo okuba ery’omuwendo, ejjinja eriyitibwa yasepi eritemagana.’ (Kub. 21:10, 11) Obulungi bwa Yerusaalemi Ekiggya bwogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. (Kub. 21:18-21) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omuwandiisi wa Zabbuli bw’aba ayogera ku mugole omukazi, agamba nti wa “kitiibwa kyereere.” Ate era kikulu okukijjukira nti embaga y’Omwana gw’Endiga egenda kubeera mu ggulu!
9. “Kabaka” gwe baleetera omugole yaani, era omugole omukazi ayambadde atya?
9 Omugole omukazi aleetebwa eri Omugole Omusajja, ng’ono ye Kabaka Yesu Kristo. Yesu amaze ekiseera kiwanvu ng’ateekateeka omugole omukazi, ‘ng’amunaaza n’amazzi okuyitira mu kigambo.’ Omugole oyo ‘mutukuvu era taliiko kamogo.’ (Bef. 5:26, 27) Omugole omukazi naye ateekwa okuba ng’ayambadde ebyambalo eby’obugole. Bayibuli egamba nti ebyambalo bye bitonaatoneddwako ‘zzaabu,’ era nti ajja ‘kuleetebwa eri kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’amabala,’ oba ebirukiddwa obulungi. Olw’okuba omugole omukazi agenda kufumbirwa Omwana gw’Endiga, “akkiriziddwa okwambala olugoye oluweweevu, olumasamasa, era oluyonjo, kubanga olugoye oluweweevu lukiikirira ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.”—Kub. 19:8.
‘EMBAGA Y’OMWANA GW’ENDIGA ETUUSE’
10. Embaga y’Omwana gw’Endiga erina kubaawo ddi?
10 Soma Okubikkulirwa 19:7. Embaga y’Omwana gw’Endiga erina kubaawo ddi? Wadde ng’Okubikkulirwa 19:7 walaga nti ‘mukazi we yeetegekedde’ embaga, ennyiriri eziddirira tezoogera ku mbaga, wabula zoogera ku ekyo ekibaawo mu kitundu ekisembayo eky’ekibonyoobonyo ekinene. (Kub. 19:11-21) Ekyo kitegeeza nti embaga ejja kubeerawo nga Kabaka tannamaliriza kuwangula kwe? Nedda. Ebintu ebyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa tebyasengekebwa nga bwe birina kutuukirizibwa. Okusinziira ku Zabbuli 45, Kabaka Yesu Kristo asooka kwesiba kitala kye ‘n’awangula’ abalabe be, oluvannyuma embaga n’eryoka ebaawo.—Zab. 45:3, 4.
11. Kristo bw’anaaba amaliriza okuwangula kwe, ebintu binaatambula bitya?
11 N’olwekyo, okusinziira ku Byawandiikibwa, ebintu bijja kutambula bwe biti: Ekisooka, okuzikirizibwa kwa “malaaya omukulu,” Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. (Kub. 17:1, 5, 16, 17; 19:1, 2) Ekinaddirira, Kristo ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani yonna ku Kalumagedoni, nga luno lwe ‘lutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.’ (Kub. 16:14-16; 19:19-21) N’ekinaasembayo, Kabaka ajja kumaliriza okuwangula kwe ng’asuula Sitaani ne badayimooni mu bunnya, babe nga tebaliiko kabi konna ke basobola kukola ku muntu yenna. Bajja kuba ng’abafudde.—Kub. 20:1-3.
12, 13. (a) Embaga y’Omwana gw’Endiga eneebaawo ddi? (b) Baani mu ggulu abanaasanyuka olw’embaga ey’Omwana gw’Endiga?
12 Mu kiseera ky’okubeerawo kwa Kristo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bafa nga beesigwa eri Yakuwa bazuukirirawo ne bagenda mu ggulu. Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba naye nga olutalo Kalumagedoni terunnatandika, Yesu ajja kukuŋŋaanya abaafukibwako amafuta bonna abanaaba bakyali ku nsi bagende mu ggulu. (1 Bas. 4:16, 17) N’olwekyo, olutalo Kalumagedoni bwe lunaaba terunnatandika, ab’ekibiina ‘ky’omugole’ bonna bajja kuba mu ggulu. Oluvannyuma lw’olutalo olwo, embaga y’Omwana gw’Endiga ejja kubaawo. Ng’embaga eyo ejja kuba ya ssanyu nnyo! Okubikkulirwa 19:9 wagamba nti: “Balina essanyu abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” Mu butuufu, ab’ekibiina ky’omugole 144,000 bajja kuba basanyufu nnyo. Era Kabaka ajja kuba musanyufu nnyo okulaba ng’abo bonna abanaafugira awamu naye bamwegasseeko mu ggulu. (Luk. 22:18, 28-30) Kyokka, Omugole Omusajja n’omugole omukazi si be bokka abajja okusanyuka olw’embaga eyo.
13 Nga bwe twalabye ku ntandikwa, ebitonde eby’omu ggulu biyimba nga bigamba nti: “Ka tusanyuke, tujaganye, era [tuwe Yakuwa] ekitiibwa kubanga embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse, era ne mukazi we yeeteeseteese.” (Kub. 19:6, 7) Kati ate abaweereza ba Yakuwa ku nsi, nabo banaasanyuka olw’embaga eyo?
“BANAALEETEBWA N’OKUSANYUKA”
14. “Banne” b’omugole omukazi aboogerwako mu Zabbuli 45 be baani?
14 Soma Zabbuli 45:12, 14b, 15. Nnabbi Zekkaliya yalaga nti mu nnaku ez’oluvannyuma abantu okuva mu mawanga gonna bandyegasse ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta okuweereza Yakuwa. Yawandiika nti: ‘Mu nnaku ezo abantu kkumi, okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ (Zek. 8:23) Mu Zabbuli 45:12, ‘abantu abo ekkumi’ bayitibwa ‘omuwala w’e Ttuulo’ era bayitibwa “abagagga ab’omu bantu.” Bawa ensigalira y’abaafukibwako amafuta ebirabo nga baagala okusiimibwa mu maaso gaabwe era n’okuyambibwa mu by’omwoyo. Okuva mu 1935, waliwo abantu bukadde na bukadde abakkirizza abaafukibwako amafuta ‘okubakyusa eri obutuukirivu.’ (Dan. 12:3) Abantu abo abeesigwa bakolera wamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta era beekutudde ku njigiriza zonna ez’obulimba. Eyo ye nsonga lwaki mu Zabbuli 45:14 bayitibwa “bawala banne [“banne embeerera,” NW ].” Banne b’omugole omukazi abo beewaddeyo eri Yakuwa era bakiraze nti baagala okufugibwa Kristo, Omugole Omusajja.
15. Ab’endiga endala bakoledde batya awamu n’ab’ekibiina ky’omugole abakyali ku nsi?
15 Abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo ku nsi basiima nnyo obunyiikivu bannaabwe ab’endiga endala bwe boolese mu mulimu gw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Ng’oggyeko okuba nti “omwoyo n’omugole bigamba nti: ‘Jjangu!’” n’abo abawulira bagamba nti: “Jjangu!” (Kub. 22:17) ‘Ab’endiga endala’ bwe baawulira ab’ekibiina ky’omugole, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, nga bagamba nti “Jjangu!” nabo baabeegattako ne bagamba abantu mu nsi yonna nti “Jjangu!”—Yok. 10:16.
16. Nkizo ki Yakuwa gy’awadde ab’endiga endala?
16 Abaafukibwako amafuta baagala nnyo bannaabwe ab’endiga endala era basanyufu okukimanya nti Yakuwa, Kitaawe w’Omugole Omusajja, abawadde enkizo okufuna ku ssanyu erinaabaawo ng’Embaga ey’Omwana gw’Endiga egenda mu maaso mu ggulu. Bayibuli eraga nti bannaabwe abo bajja ‘kuleetebwa n’okusanyuka n’okujaguza.’ Kyeyoleka lwatu nti ab’endiga endala, abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, nabo bajja kusanyuka ng’embaga ey’Omwana gw’Endiga egenda mu maaso mu ggulu. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigamba nti ‘ab’ekibiina ekinene bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.’ Baweerereza Yakuwa mu luggya lwa yeekaalu ye ey’eby’omwoyo ku nsi.—Kub. 7:9, 15.
‘AWALI BAKITAAWO WALIBAAWO BAANA BO’
17, 18. Mikisa ki eginajja oluvannyuma lw’embaga ey’Omwana gw’Endiga, era Kristo anaafuuka kitaawe w’abaani mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi?
17 Soma Zabbuli 45:16. Mu nsi empya, ab’endiga endala bajja kwongera okufuna essanyu bwe banaalaba emikisa eginajja oluvannyuma lw’embaga y’Omwana gw’Endiga. Kabaka Yesu Kristo ajja kuzuukiza “bakitaawe” oba bajjajjaabe. Olw’okuba Kristo ajja kubazuukiza, bajjajjaabe abo bajja kufuuka ‘baana’ be. (Yok. 5:25-29; Beb. 11:35) Mu bo ajja kulondamu “abalangira mu nsi zonna.” Tewali kubuusabuusa nti Kristo ajja kulonda n’abamu ku bakadde ab’omu kiseera kyaffe okutwala obukulembeze mu nsi empya.—Is. 32:1.
18 Mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwe, Kristo era ajja kufuuka kitaawe w’abantu abalala. Mu butuufu abantu bonna abanaafuna obulamu obutaggwaawo ku nsi bajja kubufuna olw’okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. (Yok. 3:16) Olwo nno Kristo ajja kufuuka ‘Kitaabwe Ataggwaawo.’—Is. 9:6, 7.
MANYISA “ERINNYA” LYA KABAKA
19, 20. Ebintu ebirungi ebyogerwako mu Zabbuli 45 bikwata bitya ku Bakristaayo bonna ab’amazima leero?
19 Soma Zabbuli 45:1, 17. Ebintu ebyogerwako mu Zabbuli 45 ffenna Abakristaayo bitukwatako. Abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi beesunga nnyo ekiseera lwe baneegatta ku baganda baabwe abali mu ggulu ne ku Mugole waabwe Omusajja. Ab’endiga endala nabo basanyufu okufugibwa Kabaka waabwe ow’ekitiibwa era n’okukolera awamu n’ab’ekibiina ky’omugole omukazi abakyali ku nsi. Oluvannyuma lw’Embaga ey’Omwana gw’Endiga, Kristo n’abo abanaafugira awamu naye bajja kuleetera abo abanaabeera ku nsi emikisa mingi.—Kub. 7:17; 21:1-4.
20 Bwe tulowooza ku bintu ‘ebirungi’ ebikwata ku Kabaka Yesu Kristo ebigenda okutuukirira, kituleetera okumanyisa abalala “erinnya” lye. N’olwekyo, ka ffenna tufube okubeera mu abo abajja okutendereza Kabaka “emirembe n’emirembe.”