Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitundu Ekyokubiri eky’Ekitabo kya Zabbuli
NG’ABAWEEREZA ba Yakuwa, tusuubira okugezesebwa. Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Bonna abaagala okukwatanga empisa ez’okutya Katonda mu Kristo Yesu banaayigganyizibwanga.’ (2 Timoseewo 3:12) Kiki ekinaatuyamba okugumira ebigezo n’okuyigganyizibwa bye twolekagana nabyo, tusobole okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda?
Ekitundu kino eky’okubiri mu bitundu ebitaano eby’ekitabo kya zabbuli, kisobola okutuyamba. Zabbuli 42 okutuuka ku 72 zitulaga nti bwe tuba twagala okugumira ebigezo, tuteekwa okwesigira ddala Yakuwa era n’okumulindirira atununule. Ekyo nga kya kuyiga kya maanyi gye tuli! Okufaananako ebitabo ebirala byonna ebiri mu Kigambo kya Katonda, obubaka obuli mu Kitundu eky’Okubiri eky’Ekitabo kya Zabbuli, mazima ddala ‘bulamu era bwa maanyi’ ne mu kiseera kyaffe.—Abaebbulaniya 4:12.
YAKUWA “KYE KIDDUKIRO N’AMAANYI GAFFE”
Omuleevi ali mu buwaŋŋanguse. Nga munakuwavu olw’okuba tasobola kugenda kusinza Yakuwa mu yeekaalu, yeekubagiza ng’agamba nti: “Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda.” (Zabbuli 42:5, 11; 43:5) Olunyiriri olwo olugenda luddiŋŋanwa lukwataganya ebitundu bisatu ebya Zabbuli 42 ne 43 ezikola ekikwate ekimu. Zabbuli 44 erimu okwegayirira ku lwa Yuda—eggwanga eryali mu buyinike, oboolyawo olw’okutiisibwatiisibwa okulumbibwa Abaasuuli mu nnaku za Kabaka Keezeekiya.
Zabbuli 45, luyimba olukwata ku mbaga ya kabaka, era bunnabbi obukwata ku Masiya Kabaka. Zabbuli essatu eziddirira zoogera ku Yakuwa nga “[e]kiddukiro n’amaanyi gaffe,” “kabaka omukulu afuga ensi zonna,” era ‘kigo.’ (Zabbuli 46:1; 47:2; 48:3) Nga Zabbuli 49 ekiraga bulungi nnyo nti tewali muntu “ayinza okununula muganda we n’akatono”! (Zabbuli 49:7) Kigambibwa nti zabbuli omunaana ezisooka mu kitundu eky’okubiri abaana ba Koola be baaziwandiika. Ate ey’omwenda, nga ye Zabbuli 50, yawandiikibwa Asafu.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
44:19—“[E]kifo eky’ebibe” kyali ki? Oboolyawo omuwandiisi wa zabbuli yali ayogera ku ddwaniro, ebibe gye byaliiranga abo abaabanga battiddwa mu lutalo.
45:13, 14a—‘Omuwala wa kabaka alireetebwa eri kabaka’ y’ani? Ye muwala wa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” Yakuwa Katonda. (Okubikkulirwa 15:3) Akiikirira ekibiina ekigulumiziddwa eky’Abakristaayo 144,000, Yakuwa b’afuula abaana be ng’abafukako amafuta. (Abaruumi 8:16) “Omuwala” wa Yakuwa ono, ‘ategekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba,’ ajja kuleetebwa eri bba—Kabaka Masiya.—Okubikkulirwa 21:2.
45:14b, 15—‘Abawala embeerera’ bakiikirira ani? Be ‘b’ekibiina ekinene’ abali mu kusinza okw’amazima, abeegatta ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta era ababawagira. Okuva bwe ‘bayita mu kibonyoobonyo ekinene’ nga balamu, bajja kubeera ku nsi nga Kabaka Masiya amaliriza embaga ye mu ggulu. (Okubikkulirwa 7:9, 13, 14) Mu kiseera ekyo, bajja kuba mu ‘kusanyuka na kujaguza.’
45:16—Mu ngeri ki gye kiri nti mu kifo kya bajjajja ba kabaka wajja kubaawo abaana? Yesu bwe yazaalibwa ku nsi, yalina bajjajja be. Bajjajja be abo bajja kuba baana be bw’anaabazuukiza mu kiseera eky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Abamu ku bo bajja kulondebwa okuba “abalangira mu nsi zonna.”
50:2—Lwaki Yerusaalemi kiyitibwa “obulungi obutuukiridde”? Tekyayitibwa kityo olw’engeri ekibuga gye kyali kifaananamu. Wabula, olw’okuba Yakuwa yakikozesa era n’akiwa ekitiibwa ng’akifuula ekifo eky’okubeeramu yeekaalu ye era ekibuga ekikulu ekya bakabaka be be yafukako amafuta.
Bye Tuyigamu:
42:1-3. Ng’empeewo eri mu ddungu bw’eyagala ennyo okunywa amazzi, n’Omuleevi bw’atyo bwe yali ayagala ennyo okusinza Yakuwa. Ennaku gye yalina olw’obutasobola kusinza Yakuwa mu yeekaalu ye, yali ya maanyi nnyo ne kiba nti ‘amaziga ge gaafuuka emmere ye emisana n’ekiro’—yali tayagala kulya. Naffe tetwandyagadde nnyo okusinza Yakuwa nga tuli wamu ne basinza bannaffe?
42:4, 5, 11; 43:3-5. Singa twawulibwa ku kibiina Ekikristaayo olw’ensonga eziteebereka, tuyinza okuddamu amaanyi bwe tujjukira essanyu lye twabanga nalyo nga tuli wamu ne basinza bannaffe. Wadde nga kino mu kusooka kiyinza okutuviirako okuwuubaala ennyo, naye era kyanditujjukiza nti Katonda kye kiddukiro kyaffe era nti twetaaga okumulindirira atuyambe okuva mu kiwuubaalo ekyo.
46:1-3. Ka kibe kizibu ki kye twolekagana nakyo, tuteekwa okuba abakakafu nti “Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe.”
50:16-19. Omuntu yenna ayogera eby’obulimba era akola ebitasaana tateekeddwa kuba muweereza wa Katonda.
50:20. Mu kifo ky’okulaalaasa ensobi z’abalala, twandizibuusizza amaaso.—Abakkolosaayi 3:13.
“EMMEEME YANGE LINDIRIRANGA KATONDA YEKKA”
Essuula zino eza Zabbuli zitandika n’essaala za Dawudi oluvannyuma lw’okwenda ne Basuseba. Zabbuli 52 okutuuka ku 57 ziraga nti Yakuwa ajja kununula abo bonna abamutegeeza ebizibu byabwe era ne bamulindirira okubalokola. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 58-64, Dawudi yeesiganga Yakuwa bwe yayolekagananga n’ebizibu. Agamba bw’ati: “Emmeeme yange lindiriranga Katonda yekka, kubanga okusuubira kwange mwe kuva.”— Zabbuli 62:5.
Omukwano ogw’oku lusegere n’Omununuzi waffe gwandituleetedde ‘okuyimbira waggulu ekitiibwa eky’erinnya lye.’ (Zabbuli 66:2) Mu Zabbuli eya 65 Yakuwa atenderezebwa olw’okuba mugabi, mu 67 ne 68 ng’omulokozi ate mu 70 ne 71 ng’omununuzi.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
51:12, NW—‘Omwoyo ogw’okwagala okuyamba’ Dawudi gwe yasaba gwali gw’ani? Kino tekitegeeza nti Katonda yali ayagala okuyamba Dawudi era tekitegeeza mwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, wabula kitegeeza omwoyo gwa Dawudi gwennyini—endowooza ye. Asaba Katonda amuyambe okukola ekituufu.
53:1—Mu ngeri ki omuntu agamba nti tewali Katonda gy’ali “omusirusiru”? Tekiri nti omuntu ayogerwako wano ng’omusirusiru taba na magezi. Wabula omuntu oyo taba na mpisa nga bwe kirabikira mu ebyo ebimwogerwako mu Zabbuli 53:1-4.
58:3-5—Mu ngeri ki ababi gye balinga omusota? Eby’obulimba bye boogera ku balala biringa obusagwa bw’omusota. Boonoona erinnya ly’abalala ng’obusagwa bw’omusota bwe bwonoona omubiri. Okufaananako “[e]ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo,” n’ababi tebagoberera bulagirizi oba okuwabulwa okubaweebwa.
58:7—Mu ngeri ki ababi gye ‘basaanuka ng’amazzi agakulukuta amangu’? Dawudi ayinza okuba yali alowooza ku mazzi agaali mu biwonvu by’omu Nsi Ensuubize. Wadde nga go amataba gandyanjadde mu biwonvu ng’ebyo, amazzi ago go gakulukuta ne gaggwaawo mangu. Dawudi yali asaba ababi bamalibwewo mangu.
68:13—Mu ngeri ki ‘ebiwawaatiro by’ejjiba gye byali bibikkiddwako effeeza era n’ebyoya byalyo gye byaliko ezaabu emmyufu’? Amayiba agamu agalina langi eya bululu ne kivvuuvu, ebyoya byago bitemagana. Bwe gabeera mu kasana, ebyoya byago bimasamasa ng’ekyuma. Oboolyawo Dawudi yali ageraageranya Abaisiraeri abawanguzi abaakomawo okuva mu lutalo ku mayiba ng’ago—agakuba ebiwawaatiro byago n’amaanyi era agatemagana. Abeekenneenya abamu bwe bagamba, mu kukozesa ebigambo ebyo bayinza okuba baali boogera ku bintu eby’emikono, ebikopo ebiweebwa abawangudde empaka, ebyali binyagiddwa. Mu buli ngeri yonna, Dawudi yali ayogera ku buwanguzi Yakuwa bwe yabasobozesa okutuukako nga balwana n’abalabe baabwe.
68:18—“Ebirabo mu bantu” baali b’ani? Bano baali basajja abaggyibwa mu abo abaawambibwa mu ntalo ezaalwanibwa nga bawamba Ensi Ensuubize. Abasajja ng’abo oluvannyuma baaweebwa omulimu ogw’okuyamba abaleevi.—Ezera 8:20.
68:30—Okusaba ‘okunenya ensolo ey’omu bitoogo’ kitegeeza ki? Mu kukozesa olulimi olw’akabonero ng’ayogera ku balabe ba bantu ba Yakuwa ng’ensolo, Dawudi yasaba Katonda okubanenya oba okubakugira okukola eky’akabi.
69:23—Kitegeeza ki ‘okukankanya ebiwato by’abalabe’? Ebinywa by’omu kiwato bya mugaso mu kukola emirimu egy’amaanyi, gamba ng’okusitula ebizito. Ebiwato okukankana kitegeeza okuggwamu amaanyi. Dawudi yasaba nti abalabe be baleme kuweebwa maanyi.
Bye Tuyigamu:
51:1-4, 17. Okukola ekibi tekyandituleetedde kuva ku Yakuwa Katonda. Bwe twenenya, tuyinza okuba abakakafu nti ajja kutulaga ekisa.
51:5, 7-10. Bwe tukola ekibi, tuyinza okusaba Yakuwa okutusonyiwa olw’okuba akimanyi nti tetutuukiridde. Ate era, twandimusabye okutulongoosa, okutuzza obuggya, era n’okutuyamba okweggyamu engeri embi era n’okutuwa omwoyo omulongoofu.
51:18. Ebibi Dawudi bye yakola byateeka mu kabi eggwanga lyonna. Bwe kityo, yasaba Katonda asaasire Sayuuni. Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, kireeta ekivume ku linnya lya Yakuwa ne ku kibiina. Kiba kitwetaagisa okusaba Katonda amalewo ekivume kye twaleetawo.
52:8. Tuyinza okuba nga “omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda”—bwe tuba okumpi ne Yakuwa era nga tuli banyiikivu mu buweereza bwe—bwe tumugondera era ne tukkiriza okubuulirira kw’atuwa.—Abaebbulaniya 12:5, 6.
55:4, 5, 12-14, 16-18. Olukwe lw’omwana we Abusaalomu n’olw’omuwi w’amagezi gwe yali yeesiga, Akisoferi byaleetera Dawudi okulumizibwa ennyo mu birowoozo. Kyokka, ekyo tekyaleetera Dawudi kulekera awo kwesiga Yakuwa. Tetwandirekedde awo kwesiga Katonda olw’okulumizibwa mu birowoozo.
55:22. Yakuwa tumutikka tutya emigugu gyaffe? Tukikola nga (1) tumutegeeza ekizibu kyaffe mu kusaba, (2) tunoonya obulagirizi n’obuwagizi okuva mu Kigambo kye n’ekibiina kye, era (3) nga tukola kyonna kye tusobola okuwewula ku kizibu kyaffe.—Engero 3:5, 6; 11:14; 15:22; Abafiripi 4:6, 7.
56:8. Yakuwa tamanyi bumanya mbeera yaffe yokka naye era n’engeri gye tulumizibwamu mu birowoozo.
62:11. Katonda teyeetaaga kwesigama ku maanyi malala gonna. Ye kennyini ye nsibuko y’amaanyi. ‘Ye nnanyini buyinza.’
63:3. ‘Ekisa kya Katonda kiwooma okusinga obulamu’ kubanga bw’atakitulaga, obulamu tebuba na makulu oba n’ekigendererwa. Kiba kirungi singa tukola omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa.
63:6. Ekiseera eky’ekiro—ekiba eky’akasirise era nga tewali biwugula—kiyinza okuba ekirungi okufumiitiririzaako.
64:2-4. Olugambo luyinza okwonoona erinnya eddungi ery’omuntu ataliiko musango. Tetwandiwulirizza wadde okusaasaanya olugambo ng’olwo.
69:4. Ffe okusobola okuba mu mirembe n’abalala, ebiseera ebimu kiba kya magezi ‘okubaddiza kye tutaabaggyako’ nga tubeetondera, wadde nga muli tuwulira nti tetulina kikyamu kye twabakola.
70:1-5. Yakuwa awulira bwe tumwegayirira okutuyamba. (1 Abassessalonika 5:17; Yakobo 1:13; 2 Peetero 2:9) Katonda ayinza okukkiriza ekigezo okweyongera mu maaso, kyokka atuwa amagezi n’amaanyi okusobola okukyaŋŋanga n’okukigumira. Tajja kutuleka kugezesebwa okusinga bwe tuyinza.—1 Abakkolinso 10:13; Abebbulaniya 10:36; Yakobo 1:5-8.
71:5, 17. Dawudi bwe yeesiga Yakuwa mu buvubuka bwe, yafuna obuvumu n’amaanyi—ne bwe yali tannayambalagana ne Goliyaasi Omufirisuuti. (1 Samwiri 17:34-37) Abavubuka basaanidde okwesiga Yakuwa mu byonna bye bakola.
“Ensi Zonna Zijjuzibwenga Ekitiibwa Kye”
Oluyimba olusembayo mu kitundu kya zabbuli kino, Zabbuli 72, lukwata ku bufuzi bwa Sulemaani, obwali busonga ku mbeera ezandibaddewo wansi w’obufuzi bwa Masiya. Ng’embeera ezoogerwako awo nnungi nnyo—emirembe emingi, okunyigiriza balala n’ettemu okuggwaawo, n’emmere ennyingi ku nsi! Tunaabeera bamu ku abo abanaanyumirwa ebintu ebyo awamu n’ebirala ebinaabeera mu Bwakabaka? Tuyinza okubinyumirwa singa okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli tulindirira Yakuwa, nga tumufuula ekiddukiro kyaffe n’amaanyi gaffe.
‘Okusaba kwa Dawudi kukomekkerezebwa’ n’ebigambo bino: “Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, akola eby’amagero yekka: n’erinnya lye ery’ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina.” (Zabbuli 72:18-20) Naffe mu ngeri y’emu tutendereze erinnya lya Yakuwa ery’ekitiibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Omanyi akiikirirwa “omuwala wa kabaka”?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10, 11]
Yerusaalemi kiyitibwa ‘obulungi obutuukiridde.’ Omanyi lwaki?