Okwesiga Yakuwa Kituyamba Okuba Abavumu
“Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.”—ZAB. 4:3.
1, 2. (a) Mbeera ki enzibu Dawudi gye yayolekagana nayo? (b) Zabbuli ki ze tugenda okwekenneenya?
KABAKA DAWUDI amaze emyaka egiwerako ng’afuga Isiraeri, naye kati alina embeera enzibu gy’ayolekagana nayo. Mutabani we ayagala okweddiza entebe ye amaze okwerangirira nga kabaka, era kino kireetedde Dawudi okudduka okuva mu Yerusaalemi. Mukwano gwe ow’oku lusegere gw’abadde yeesiga amuliddemu olukwe, era nga kati Dawudi atambulira ku Lusozi lw’Emizayituuni ng’ali mu bigere era ng’akaaba ng’ali wamu n’abamu ku basajja be abeesigwa. Ate era, Simeeyi, ow’omu nnyumba ya Kabaka Sawulo, akasuukirira Dawudi amayinja n’enfuufu ng’eno bw’amukolimira.—2 Sam. 15:30, 31; 16:5-14.
2 Embeera eno enzibu eneereetera Dawudi okukka emagombe nga munakuwavu? Nedda, kubanga yeesiga Yakuwa. Kino kyeyolekera bulungi mu Zabbuli ey’okusatu, Dawudi gye yawandiika ekwata ku ngeri gye yaddukamu Abusaalomu. Era yawandiika ne Zabbuli ey’okuna. Zabbuli zino zombi ziraga nti Dawudi yali mukakafu nti Katonda awulira okusaba era akuddamu. (Zab. 3:4; 4:3) Zabbuli zino ziraga bulungi nti Yakuwa abeera wamu n’abaweereza be abeesigwa ekiseera kyonna, abawanirira, era abayamba okuwulira nga balina emirembe n’obukuumi. (Zab. 3:5; 4:8) Kati ka twetegereze engeri zabbuli zino gye zituyamba okwongera okwesiga Katonda.
‘Abagolokoka Okutulumba Bwe Baba Abangi’
3. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 3:1, 2, mbeera ki Dawudi gye yali ayolekagana nayo?
3 Omubaka ajja eri Dawudi n’amugamba nti: “Emyoyo gy’abasajja ba Isiraeri gigoberedde Abusaalomu.” (2 Sam. 15:13) Nga yeebuuza engeri Abusaalomu gy’asobodde okumatizaamu abantu abangi bwe batyo okudda ku ludda lwe, Dawudi agamba nti: “Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abagolokoka okunnumba bangi. Bangi aboogera ku mmeeme yange, nti Talina kuyambwa mu Katonda.” (Zab. 3:1, 2) Abaisiraeri bangi balowooza nti Yakuwa tajja kusobola kununula Dawudi okuva mu mukono gwa Abusaalomu n’abawagizi be.
4, 5. (a) Dawudi yali mukakafu ku ki? (b) Ebigambo “ayimiriza omutwe gwange” birina makulu ki?
4 Naye Dawudi asigala muvumu olw’okuba yeesiga Katonda. Agamba nti: “Ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.” (Zab. 3:3) Dawudi taliimu kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa ajja kumukuuma ng’engabo bw’ekuuma omusirikale. Yee, kabaka ono akaddiye adduka, ng’abisse ku mutwe gwe era ng’agukotese mu buswavu obw’ekitalo. Naye Oyo Ali Waggulu Ennyo ajja kuggya Dawudi mu mbeera gy’alimu amugulumize. Yakuwa ajja kumuyimusa, amuyambe okuddamu okuyimiriza omutwe ggwe. Dawudi akoowoola Katonda nga mukakafu nti ajja kumuwulira. Naawe weesiga Yakuwa nga Dawudi?
5 Ebigambo “ayimiriza omutwe gwange,” biraga nti Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa yali ajja kumuyamba. Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Today’s English Version egamba nti: “Naye ggwe, Ai MUKAMA, buli kiseera oli ngabo yange eri akabi; ompanguza era onnyamba okuddamu okuba omuvumu.” Nga kyogera ku bigambo “ayimiriza omutwe gwange,” ekitabo ekimu kigamba nti: “Katonda bw’ayimusa . . . omutwe gw’omuntu,’ amuyamba okuba n’essuubi n’okuba omuvumu.” Eky’okuba nti Dawudi awaliriziddwa okuleka entebe ye ey’obwakabaka, kiteekwa okuba nga kimumazeemu nnyo amaanyi. Kyokka, ‘okuyimiriza omutwe gwe’ kijja kumuyamba okuddamu okuba omuvumu, n’okwongera okwesiga Katonda.
‘Yakuwa Ajja Kunziramu!’
6. Lwaki Dawudi yagamba nti essaala ze zaali ziddibwamu okuva ku lusozi lwa Yakuwa olutukuvu?
6 Ng’obwesige bwe bwonna abutadde mu Yakuwa era nga muvumu, Dawudi yeeyongera n’agamba nti: “N’eddoboozi lyange nkoowoola Mukama, naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu.” (Zab. 3:4) Okusinziira ku kiragiro kya Dawudi, ssanduuko y’endagaano, ekiikirira okubeerawo kwa Katonda, yali etwaliddwa ku Lusozi Sayuuni. (Soma 2 Samwiri 15:23-25.) Bwe kityo, kituukirawo Dawudi bw’agamba nti essaala ze ziddibwamu okuva ku lusozi lwa Yakuwa olutukuvu.
7. Lwaki Dawudi teyaliimu kutya kwonna?
7 Olw’okuba mukakafu nti Katonda ajja kuddamu essaala ze, Dawudi taliimu kutya kwonna. Agamba nti: “Naagalamira ne nneebaka; ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.” (Zab. 3:5) Ne mu kiro, ekiseera abalabe b’omuntu we batera okwagalira ennyo okumulumba, Dawudi ye yeebaka otulo twe nga taliimu kutya kwonna. Mukakafu nti ajja kwebaka mirembe, kubanga ebyo by’ayiseemu mu bulamu bimuleetedde okweyongera okwesiga Katonda, ng’akimanyi nti tasobola kumwabulira. Naffe tusobola okuba nga ye singa tunywerera ku ‘makubo ga Yakuwa’ era ne tufuba obutamuvaako.—Soma 2 Samwiri 22:21, 22.
8. Zabbuli 27:1-4 walaga watya nti Dawudi yali yeesiga Katonda?
8 Obwesige obw’amaanyi Dawudi bw’alina mu Katonda bweyolekera mu zabbuli ye endala erimu ebigambo bino: “Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; anankankanyanga ye ani? . . . Newakubadde ng’eggye lisiisidde okunnwanyisa, omutima gwange teguutyenga. . . . Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n’okubuuzanga mu yeekaalu ye.” (Zab. 27:1-4) Bwe kiba nti naawe okkiriziganya n’ebigambo ebyo era nga n’embeera yo ekusobozesa, ojja kukuŋŋaananga wamu ne bakkiriza banno obutayosa okusinza Yakuwa.—Beb. 10:23-25.
9, 10. Wadde nga Dawudi yayogera ebigambo ebiri mu Zabbuli 3:6, 7, lwaki tuyinza okugamba nti teyalina mwoyo gwa kuwoolera ggwanga?
9 Wadde nga Dawudi ayolekagana n’embeera enzibu olw’okuba Abusaalomu amuliddemu olukwe era nga n’abalala bangi boolese obutali bwesigwa gy’ali, agamba nti: “Siritya bukumi bwa bantu, abanneetooloola okunnumba. Golokoka, Ai Mukama: ondokole, Ai Katonda wange: kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama; wamenya amannyo g’ababi.”—Zab. 3:6, 7.
10 Dawudi talina mwoyo gwa kuwoolera ggwanga. Abalabe be bwe bandibadde ‘ab’okukubibwa ku ttama,’ ekyo Katonda ye yandikikoze. Kabaka Dawudi yali yeekoppololedde ekitabo ky’Amateeka era ng’akimanyi nti mu kitabo ekyo Yakuwa agamba nti: “Okuwalana kwange n’okusasula.” (Ma. 17:14, 15, 18; 32:35) Era akirese mu mikono gya Katonda ‘okumenya amannyo g’ababi.’ Okumenya amannyo g’ababi kitegeeza okubalemesa okubaako akabi konna ke basobola okukola. Yakuwa amanyi bulungi abantu ababi kubanga ye “atunuulira mutima.” (1 Sam. 16:7) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atuyamba okuba n’okukkiriza era atuwa amaanyi ageetaagisa okuziyiza omulabe waffe lukulwe anaatera okusuulibwa mu bunnya abeere ng’empologoma ewuluguma naye nga terina mannyo era nga ky’alindiridde kyokka kwe kuzikirizibwa!—1 Peet. 5:8, 9; Kub. 20:1, 2, 7-10.
‘Obulokozi Buva eri Yakuwa’
11. Lwaki tusaanide okusabira bakkiriza bannaffe?
11 Dawudi akiraba nti Yakuwa ye yekka asobola okumununula okuva mu mbeera enzibu ennyo gy’alimu. Naye teyeerowoozaako yekka. Alowooza ne ku bantu ba Yakuwa bonna okutwalira awamu. Bw’aba akomekkereza Zabbuli ey’okusatu, Dawudi agamba nti: “Obulokozi buli eri Mukama: omukisa gwo gubeere ku bantu bo.” (Zab. 3:8) Kituufu nti Dawudi alina ebizibu eby’amaanyi, naye alowooza ne ku bantu ba Yakuwa bonna okutwalira awamu era mukakafu nti Katonda ajja kubawa omukisa. Naffe tetwandifubye okulowooza ku bakkiriza bannaffe? Ka tubajjukirenga mu ssaala zaffe, nga tusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu basobole okufuna obuvumu okulangirira amawulire amalungi.—Bef. 6:17-20.
12, 13. Kiki ekyatuuka ku Abusaalomu, era kino kyakwata kitya ku Dawudi?
12 Abusaalomu afa mu ngeri ey’obuswavu—era nga kuno kulabula eri abo bonna abatassa kitiibwa mu balala, naddala abo abatassa kitiibwa mu bantu Katonda be yafukako amafuta, gamba nga Dawudi. (Soma Engero 3:31-35.) Wabaawo olutalo, era abasajja ba Abusaalomu bawangulwa. Abusaalomu agezaako okudduka nga yeebagadde ennyumbu naye ettabi ly’omuti likwata mu nviiri ze empanvu. Alengejja mu bbanga—ng’akyali mulamu naye nga talina ngeri yonna ya kwetaasa—okutuusa Yowaabu lw’ajja n’amukuba obusaale busatu mu mutima n’amutta.—2 Sam. 18:6-17.
13 Dawudi asanyuka bw’awulira ebyo ebituuse ku mutabani we? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, atambula ng’adda eno n’eri nga bw’akuba emiranga: “Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! singa nkufiiridde, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!” (2 Sam. 18:24-33) Ebyo Yowaabu by’ayogera bireetera Dawudi okulekera awo okwekubagiza. Ng’ekyo ekituuse ku Abusaalomu kibi nnyo, ebiruubirirwa bye ebikyamu byamuleetera okulwanyisa kitaawe—oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta—ekyo ne kimuviirako okufiirwa obulamu bwe!—2 Sam. 19:1-8; Nge. 12:21; 24:21, 22.
Dawudi Yeeyongera Okukyoleka nti Yeesiga Katonda
14. Nsonga ki eziyinza okuba nga ze zaaleetera Dawudi okuwandiika Zabbuli ey’okuna?
14 Okufaananako Zabbuli ey’okusatu, Zabbuli ey’okuna nayo ssaala ya Dawudi eraga nti yeesiga nnyo Yakuwa. (Zab. 3:4; 4:3) Dawudi ayinza okuba nga yawandiika zabbuli eno nga yeebaza Yakuwa olw’obuweerero bwe yali afunye oluvannyuma lw’olukwe lwa Abusaalomu okugwa obutaka. Oba ayinza okuba nga yagiwandiika ng’alowooza ku Baleevi abayimbi. K’ebe nsonga ki ku ezo eyamuleetera okugiwandiika, okufumiitiriza ku zabbuli eyo kituyamba okwongera okwesiga Yakuwa.
15. Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa nga tuyitira mu Mwana we?
15 Dawudi yeeyongera okukyoleka nti yeesiga nnyo Katonda era akiraga nti taliimu kubuusabuusa kwonna nti Katonda mwetegefu okuwulira okusaba kwe n’okukuddamu. Agamba nti: “Onziremu bwe nkukaabira, Ai Katonda ow’obutuukirivu bwange; Wansumulula bwe nnali mu nnaku: onsaasire, ompulire okusaba kwange.” (Zab. 4:1) Naffe tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kuwulira okusaba kwaffe singa tufuba okukola ebikolwa eby’obutuukirivu. Okukimanya nti Yakuwa, “Katonda ow’obutuukirivu,” awa omukisa abantu be abagolokofu, kituyamba okuba bakakafu nti ajja kutuwulira singa tumusaba nga tuyitira mu Mwana we era nga tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. (Yok. 3:16, 36) Nga kino kituleetera okuwulira emirembe mu mutima!
16. Kiki ekiyinza okuba nga kyaleetera Dawudi okuwulira ng’aweddemu amaanyi?
16 Ebiseera ebimu tuyinza okwolekagana n’embeera enzibu eziyinza okutuleetera okuwulira nga tuweddemu amaanyi era eziyinza okugezesa obwesige bwaffe. Kino kiyinza okuba nga ne Dawudi ebiseera ebimu kyamutuukako, kubanga agamba nti: “Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okukyusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n’okugoberera eby’obulimba?” (Zab. 4:2) Tewali kubuusabuusa nti “abaana b’abantu” aboogerwako wano, be bantu ababi. Abalabe ba Dawudi baali ‘baagala ebintu ebitaliimu.’ Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa New International Version yo egamba bw’eti: “Mulituusa wa okwagala ebintu ebitaliimu nsa n’okunoonya bakatonda ab’obulimba?” Ne bwe kiba nti ebyo abalala bye bakola bituleetera okuwulira nga tuweddemu amaanyi, ka tweyongere okusaba Katonda omu ow’amazima okuviira ddala ku mutima era n’okumwesigira ddala.
17. Okusinziira ku Zabbuli 4:3, tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa?
17 Dawudi akyoleka nti yeesiga Katonda ng’agamba nti: “Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde [eyeesiga] Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.” (Zab. 4:3) Bwe tuba ab’okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tulina okuba abavumu era tulina okumwesigira ddala. Ng’ekyokulabirako, abo abali mu maka Amakristaayo beetaaga okuba abavumu n’okwesiga Katonda naddala bwe wabaawo omu ku b’eŋŋanda zaabwe aba agobeddwa mu kibiina. Katonda awa omukisa abo abasigala nga beesigwa gyali era abatambulira mu makubo ge. Ate era okuba abeesigwa eri Yakuwa n’okumwesiga, kiyamba abantu be okuba abasanyufu.—Zab. 84:11, 12.
18. Nga tukolera ku magezi agali mu Zabbuli 4:4, tusaanidde kukola ki singa wabaawo omuntu ayogedde oba akoze ekintu ekitunyiizizza?
18 Ate kiri kitya singa omuntu ayogera oba akola ekintu ekitunyiiza? Tusobola okusigala nga tuli basanyufu singa tukola ekyo Dawudi ky’agamba: “Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire.” (Zab. 4:4) Bwe wabaawo omuntu ayogedde oba akoze ekintu ekitunyiizizza, ka tuleme kwonoona nga tuwoolera eggwanga. (Bar. 12:17-19) Tusobola okubuulira Katonda mu kasirise ekiba kitunyiizizza nga tuli ku kitanda kyaffe. Singa tubuulira Katonda ekintu ekyo, kisobola okutuyamba okukyusa endowooza yaffe ne tusonyiwa omuntu oyo. (1 Peet. 4:8) Ekyo kituukana bulungi n’ebigambo by’omutume Pawulo bino, oboolyawo ebyesigamiziddwa ku Zabbuli 4:4: “Musunguwalenga naye temwonoona; enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu, era temuwanga Mulyolyomi mwagaanya.”—Bef. 4:26, 27.
19. Zabbuli 4:5 eyinza etya okutuyamba bwe kituuka ku ssaddaaka ez’eby’omwoyo ze tuwaayo eri Katonda?
19 Ng’alaga obukulu bw’okwesiga Katonda, Dawudi agamba nti: “Muweeyo [s]saddaaka ez’obutuukirivu, era mwesige Mukama.” (Zab. 4:5) Ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo zaasiimibwanga Katonda bwe baaziwangayo n’ebiruubirirwa ebirungi. (Is. 1:11-17) Ssaddaaka zaffe ez’eby’omwoyo okusobola okusiimibwa Katonda, naffe tulina okuziwaayo nga tulina ebiruubirirwa ebirungi era nga twesigira ddala Katonda.—Soma Engero 3:5, 6; Abebbulaniya 13:15, 16.
20. Ebigambo ‘Omusana gw’amaaso ga Yakuwa’ bitegeeza ki?
20 Dawudi agenda mu maaso n’agamba nti: “Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw’amaaso go ku ffe.” (Zab. 4:6) Ebigambo ‘Omusana gw’amaaso ga Yakuwa’ bitegeeza okusiimibwa Katonda. (Zab. 89:15) Bwe kityo Dawudi bw’asaba Katonda ng’agamba nti: “Oyimuse omusana ogw’amaaso go ku ffe,” aba amugamba nti ‘tusiimibwe mu maaso go.’ Olw’okuba twesiga Yakuwa, tusiimibwa mu maaso ge era tusanyuka okukola by’ayagala.
21. Bwe twenyigira mu bujjuvu mu makungula ag’eby’omwoyo agakolebwa leero, tuba bakakafu ku ki?
21 Nga yeesunga okufuna essanyu eriva eri Katonda erisingira ewala ennyo essanyu abantu lye bafuna mu biseera eby’amakungula, Dawudi ayimbira Yakuwa ng’agamba nti: “Otadde essanyu lyange mu mutima gwange, okusinga ery’omu kyengera ky’emmere n’omwenge gwabwe.” (Zab. 4:7) Tewali kubuusabuusa nti naffe tujja kufuna essanyu singa twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’amakungula ag’eby’omwoyo ogukolebwa leero. (Luk. 10:2) Ng’abaafukibwako amafuta abali mu ‘ggwanga eryaziddwa’ bawomye omutwe mu mulimu ogwo, tuli basanyufu okulaba ng’omuwendo gw’abo ‘abakola omulimu gw’amakungula’ gugenda gweyongerayongera. (Is. 9:3) Ofuba okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu guno ogw’amakungula?
Weeyongere Okwesiga Katonda
22. Okusinziira ku Zabbuli 4:8, Abaisiraeri baaganyulwanga batya bwe baakwatanga Amateeka ga Katonda?
22 Dawudi akomekereza zabbuli eno n’ebigambo bino: “Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.” (Zab. 4:8) Abaisiraeri bwe baakwatanga Amateeka ga Yakuwa, yabawanga emirembe n’obukuumi. Ng’ekyokulabirako, abantu b’omu ‘Yuda ne mu Isiraeri baatuula mu mirembe’ mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani. (1 Bassek. 4:25) Abo abaali beesiga Katonda baabeeranga mu mirembe wadde ng’amawanga agaali gabeetoolodde gaali mabi nnyo. Okufaananako Dawudi, naffe twebaka mirembe nga tetulina kye tutya olw’okuba Katonda atuwa obukuumi.
23. Okwesiga Katonda kinaatuganyula kitya?
23 Ka tweyongere okwoleka obuvumu nga tuweereza Yakuwa. Era ka tweyongere okusaba Katonda nga tulina okukkiriza, bwe kityo tusobole okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.” (Baf. 4:6, 7) Ng’ekyo kijja kutuleetera essanyu lingi! Ebiseera byaffe eby’omu maaso bijja kuba bitangaavu singa tweyongera okwesiga Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Bizibu ki Dawudi bye yafuna olwa Abusaalomu?
• Zabbuli ey’okusatu etuyamba etya okuba abavumu?
• Zabbuli ey’okuna eyinza etya okutuyamba okwongera okwesiga Yakuwa?
• Okwesiga Katonda kinaatuganyula kitya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Ne bwe yali ng’adduse Abusaalomu, Dawudi yasigala yeesiga Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]
Okiraga nti weesiga Yakuwa?