Yakuwa Atulaga Engeri y’Okubalamu Ennaku Zaffe
“Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, tulyoke tufune omutima omugezigezi.”—ZABBULI 90:12.
1. Lwaki kisaanira okusaba Yakuwa okutulaga engeri ‘y’okubalamu ennaku zaffe’?
YAKUWA KATONDA ye Mutonzi waffe era y’Atuwa Obulamu. (Zabbuli 36:9; Okubikkulirwa 4:11) N’olwekyo, tewali ayinza kumusinga kutulaga ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe n’amagezi. N’olw’ensonga eyo, nga kituukirawo, omuwandiisi wa Zabbuli yasaba Katonda: “Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, tulyoke tufune omutima omugezigezi.” (Zabbuli 90:12) N’olwekyo tugwanidde okwekenneenya Zabbuli 90 mwe tusanga okusaba okwo. Kyokka, okusooka ka tufune ekifaananyi eky’awamu mu bufunze ekikwata ku luyimba luno olwaluŋŋamizibwa Katonda.
2. (a) Ani agambibwa nti ye yawandiika Zabbuli 90, era eyinza kuba nga yawandiikibwa ddi? (b) Zabbuli 90 yandituleetedde kuba na ndowooza ki ku bulamu bwaffe?
2 Obugambo obwanjula Zabbuli 90 bugiyita “okusaba kwa Musa omusajja wa Katonda.” Okuva zabbuli eno bw’eyogera ku bulamu bw’omuntu obumpi, kirabika yawandiikibwa oluvannyuma lw’Abaisiraeri okununulibwa mu buddu e Misiri era ne mu kiseera eky’emyaka 40 nga bali mu ddungu, enkumi n’enkumi z’abantu abataalina kukkiriza bwe battibwa. (Okubala 32:9-13) Mu buli ngeri, Zabbuli 90 eraga nti obulamu bw’abantu abatatuukiridde bumpi. N’olwekyo, twandikozesezza ennaku zaffe ez’omuwendo n’amagezi.
3. Biki ebiri mu Zabbuli 90?
3 Mu Zabbuli 90, olunyiriri 1 okutuuka ku 6, zoogera ku Yakuwa ng’ekifo kyaffe mwe tunaatuula ennaku zonna. Olunyiriri 7 okutuuka 12 ziraga kye twetaaga okusobola okukozesa obulamu bwaffe obumpi mu ngeri gy’asiima. Era nga bwe kiri mu lunyiriri 13 okutuuka 17, twagala nnyo Yakuwa atulage ekisa era atuwe n’emikisa gye. Kya lwatu zabbuli eno teyogera butereevu ku ebyo ebitutuukako ddala mu bulamu ng’abaweereza ba Yakuwa. Wadde kiri kityo, twandikoppye engeri Katonda gy’alagibwamu okwagala okuyitira mu kusaba mu Zabbuli eyo. N’olwekyo, ka twekenneenye Zabbuli 90 nga tweyambisa abaweereza ba Katonda.
Yakuwa—‘Ekifo Kyaffe eky’Okutuulamu’
4-6. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘ekifo kyaffe eky’okutuulamu’?
4 Omuwandiisi wa Zabbuli atandika n’ebigambo bino: “Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky’okutuulamu mu mirembe gyonna. Ensozi nga tezinnazaalibwa, era nga tonnabumba nsi n’ebintu, okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna ggwe Katonda.”—Zabbuli 90:1, 2.
5 Gye tuli, Yakuwa “Katonda ataggwaawo,” ye ‘kifo eky’okutuulamu’—ekiddukiro mu by’omwoyo. (Abaruumi 16:26) Tuwulira nga tulina emirembe kubanga buli kiseera waali okutuyamba ng’oyo “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Olw’okuba ebizibu byaffe tubitikka Kitaffe ow’omu ggulu okuyitira mu Mwana we omwagalwa, ‘emirembe gye, egisinga okutegeerwa kwonna, gikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu Kristo Yesu.’—Abafiripi 4:6, 7; Matayo 6:9; Yokaana 14:6, 14.
6 Tukuumibwa mu by’omwoyo kubanga, mu ngeri ey’akabonero, Yakuwa kye ‘kifo kyaffe eky’okutuulamu.’ Era atuteerawo ‘ebisenge’—nga kirabika birina akakwate n’ebibiina by’abantu be—ng’ebifo by’omwoyo eby’okwekwekamu, abasumba abaagazi mwe batuyambira okweyongera okufuna obukuumi. (Isaaya 26:20; 32:1, 2; Ebikolwa 20:28, 29) Ate era, abamu ku ffe tuli mu maka agaweerezza Katonda okumala ekiseera kiwanvu era nga gamusanze okuba ‘ekifo eky’okutuulamu mu buli mulembe.’
7. Mu ngeri ki ensozi gye ‘zaazalibwa’ era ensi n’ebumbibwa?
7 Yakuwa yaliwo ng’ensozi ‘tezinnazaalibwa’ oba ng’ensi tennabumbibwa. Okusinziira ku ndaba y’omuntu, okubumba ensi eno ne byonna ebigiriko kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Era mu kugamba nti ensozi ‘zaazaalibwa’ era nti ensi yabumbibwa, omuwandiisi wa Zabbuli aba asiima omulimu ogw’amaanyi ogwakolebwa Yakuwa bwe yatonda ebintu bino. Naffe tetwandisiimye omulimu ogwo ogwakolebwa Omutonzi?
Yakuwa Mwetegefu Okutuyamba Bulijjo
8. Kitegeeza ki bwe kigambibwa nti Yakuwa ye Katonda “okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna”?
8 Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.” Ekigambo ekivvuunulwa “[e] mirembe gyonna” kiyinza okutegeeza ebintu ebiyinza okukoma naye ng’ekiseera we binaakomera tekimanyiddwa. (Okuva 31:16, 17; Abaebbulaniya 9:15) Kyokka, mu Zabbuli 90:2 ne mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebirala, tekirina makulu ago wabula kitegeeza “emirembe gyonna.” (Omubuulizi 1:4) Tetuyinza kutegeera ngeri gye kiyinzika okuba nti Katonda abaddewo emirembe gyonna. Kyokka, Yakuwa talina ntandikwa era tagenda kukoma kubeerawo. (Kaabakuuku 1:12) Ajja kuba mulamu ennaku zonna era nga mwetegefu okutuyamba.
9. Emyaka olukumi egy’okubeerawo kw’omuntu, omuwandiisi wa Zabbuli agigeraageranya na ki?
9 Omuwandiisi wa Zabbuli yaluŋŋamizibwa okulaga nti emyaka olukumi egy’okubeerawo kw’omuntu, kiseera kitono nnyo mu maaso g’Omutonzi abeerawo emirembe gyonna. Ng’ayogera ku Katonda yawandiika: “Osindika abantu mu kuzikirira; era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b’abantu. Kubanga emyaka olukumi mu maaso go giri ng’olwajjo olwayita, era ng’ekisisimuka ky’ekiro.”—Zabbuli 90:3, 4.
10. Katonda ‘asindika atya abantu mu kuzikirira’?
10 Omuntu asobola okufa, era Katonda ‘amusindika mu kuzikirira.’ Kwe kugamba, omuntu adda mu ‘nfuufu,’ oba mu ttaka. Mu ngeri endala, Yakuwa agamba: ‘Muddeeyo mu nfuufu mwe mwaggibwa.’ (Olubereberye 2:7; 3:19) Kino kikwata ku bonna ka babe ba maanyi oba abanafu, bagagga oba abaavu,kubanga omuntu atatuukiridde ‘tayinza kununula muganda we n’akatono, newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe alyoke awangaalenga ennaku zonna.’ (Zabbuli 49:6-9) Naye nga tuli basanyufu nnyo kubanga ‘Katonda yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo’!—Yokaana 3:16; Abaruumi 6:23.
11. Lwaki tuyinza okugamba nti ffe kye tutwala ng’ekiseera ekiwanvu kiba kimpi nnyo mu maaso ga Katonda?
11 Okusinziira ku Yakuwa, ne Mesuseera eyaweza emyaka 969 teyamalako lunaku. (Olubereberye 5:27) Eri Katonda, emyaka olukumi giringa olwa jjo olwayita—ekiseera kya ssaawa 24 zokka. Era, omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti eri Katonda, emyaka lukumi giringa essaawa nnya omukuumi z’amala ng’akuuma mu lusiisira ekiro. (Ekyabalamuzi 7:19) N’olwekyo, ffe kye tutwala ng’ekiseera ekiwanvu kiba kimpi nnyo mu maaso ga Yakuwa, Katonda ow’emirembe n’emirembe.
12. Abantu Katonda ‘abatwala atya nga mukoka’?
12 Obulamu bw’omuntu bumpi nnyo ddala bw’obugeraageranya n’ekiseera eky’emirembe gyonna Katonda ky’abaddewo. Omuwandiisi wa Zabbuli agamba: “Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng’otulo: enkya bali ng’omuddo ogumera. Enkya guloka, gumera; akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.” (Zabbuli 90:5, 6) Musa yalaba enkumi n’enkumi z’Abaisiraeri nga bafa mu ddungu, nga Katonda ‘abatwala nga mukoka.’ Enkyusa ya New International Version mu kitundu kino ekya Zabbuli egamba bw’eti: “Otwala abantu nga mukoka mu kufa.” Ku luuyi olulala, ekiseera abantu abatatuukiridde kye bawangaala kiri “ng’otulo” otumala ekiseera ekitono.
13. Mu ngeri ki gye tuli ‘ng’omuddo,’ era kino kyandikutte kitya ku ndowooza yaffe?
13 Tulinga ‘omuddo oguloka enkya’ naye akawungeezi we katuukira nga guwotose olw’akasana akangi. Yee, obulamu bwaffe bumala akaseera katono ng’omuddo oguwotoka mu lunaku lumu. N’olwekyo, ka tuleme kwonoona bulamu buno obw’omuwendo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Katonda ku ngeri gye twandikozesezzaamu emyaka gye tusigazizzaayo mu mbeera y’ebintu eno.
Yakuwa Atuyamba ‘Okubala Ennaku Zaffe’
14, 15. Zabbuli 90:7-9 zaatuukirizibwa zitya ku Baisiraeri?
14 Ku bikwata ku Katonda, omuwandiisi wa Zabbuli agattako: “Kubanga obusungu bwo butumalawo, era bw’onyiiga ne tweraliikirira. Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw’amaaso go, ebibi byaffe eby’ekyama mu musana gw’amaaso go. Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; emyaka gyaffe giggwaawo ng’ekirowoozo [ekimala akaseera akatono].”—Zabbuli 90:7-9.
15 Abaisiraeri abataalina kukkiriza ‘baggwaawo mu busungu bwa katonda.’ ‘Beeraliikirira olw’obusungu bwe,’ oba ‘baafuna entiisa olw’obusungu bwe.’ (New International Version) Abamu “baazikirizibwa mu ddungu” olw’emisango Katonda gye yabasalira. (1 Abakkolinso 10:5) Yakuwa ‘yateeka obutali butuukirivu bwabwe mu maaso ge.’ Yabavunaana olw’ebibi bye baakola mu lujjudde, naye era n’ebibi bye baakola mu kyama byali ‘mu maaso ge.’ (Engero 15:3) Olw’obusungu bwa Katonda, emyaka gy’Abaisiraeri abateenenya ‘gyaggwaawo ng’ekirowoozo ekimala akaseera akatono.’ Olw’ensonga eyo, ekiseera ekimpi eky’obulamu bwaffe kiringa ekiseera ky’otwala okussa obussa omukka.
16. Singa wabaawo abakola ebibi mu kyama, basanidde kukola ki?
16 Singa omu ku ffe akola ekibi mu kyama, ayinza okukikweka bantu banne okumala akaseera. Naye ekibi kyaffe ekikwekeddwa kiba ‘kyeyolese mu maaso ga Yakuwa,’ era ebikolwa ng’ebyo byonoona enkolagana yaffe naye. Okusobola okuzzaawo enkolagana ennungi ne Yakuwa, kitwetaagisa okumusaba atusonyiwe, okuleka ebibi byaffe, era n’okukkiriza obuyambi bw’abakadde Abakristaayo. (Engero 28:13; Yakobo 5:14, 15) Nga kyandibadde kirungi nnyo okukola ekyo mu kifo ‘ky’emyaka gyaffe okuggwaawo ng’ekirowoozo ekimala akaseera akatono,’ nga tetulina na ssuubi lya kufuna bulamu butaggwaawo!
17. Okutwalira awamu abantu bawangaala bbanga ki, era emyaka gyaffe gijjudde ki?
17 Ku bikwata ku kiseera abantu abatatuukiridde kye bawangaala, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Ennaku z’emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, era naye [olw’amaanyi giwera] emyaka ekinaana; naye amalala gaabwe kwe kutegana n’okunakuwala kwereere; kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.” (Zabbuli 90:10) Okutwalira awamu abantu bawangaala emyaka 70. era Kalebu bwe yaweza emyaka 85 yayogera ku maanyi ge agataali ga bulijjo. Wabaddewo abawangadde mu ngeri etali ya bulijjo, gamba nga Alooni (123), Musa (120), ne Yoswa (110). (Okubala 33:39; Ekyamateeka 34:7; Yoswa 14:6, 10, 11; 24:29) Naye omulembe gw’abantu abataalina kukkiriza abaava mu Misiri, abaalina emyaka 20 n’okweyongerayo, baafa nga tebannaweza na myaka 40. (Okubala 14:29-34) Leero, mu nsi nnyingi emyaka abantu gye bawangaala tegisukka egyo omuwandiisi wa Zabbuli gye yawa. Emyaka gyaffe gijjudde, ‘ennaku n’obuyinike.’ Giyita mangu, era ‘ne tubula.’—Yobu 14:1, 2.
18, 19. (a) Kitegeeza ki ‘okubala ennaku zaffe tusobole okufuna omutima omugezigezi’? (b) Bwe tuba n’amagezi tunaakola ki?
18 Omuwandiisi wa Zabbuli addako n’ayimba: “Ani amanyi obuyinza obw’obusungu bwo, n’okunyiiga nga bw’ogwanira okutiibwa? Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, tulyoke tufune omutima omugezigezi.” (Zabbuli 90:11, 12) Tewali n’omu ku ffe amanyi mu bujjuvu bikwata ku busungu bwa Katonda, era kino kyandituleetedde okweyongera okumuwa ekitiibwa. Mu butuufu, ekyo kyanditukubiriza okumubuuza ‘engeri gye twandibazeemu ennaku zaffe tusobole okufuna omutima omugezigezi.’
19 Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ssaala esaba Yakuwa okuyigiriza abantu be okwoleka amagezi mu kukozesa ennaku zaabwe ezisigaddeyo mu ngeri esiimibwa Katonda. Omuntu bw’aba ow’okuwangaala emyaka 70, aba asuubira okumala ennaku nga 25,500. Kyokka, ka tubeere na myaka emeka, ‘tetumanya bulamu bwaffe bwe bunaabeera enkeera kubanga tulinga olufu olulabika akaseera katono, ate ne luggwaawo.’ (Yakobo 4:13-15) Okuva ‘ebiseera n’ebitasuubirwa bwe bitutuukako ffenna,’ tetuyinza kumanya kiseera bwe kyenkana kye tunaamala nga tuli balamu. N’olwekyo, tusabe amagezi aganaatuyamba okwolekagana n’okugezesebwa, okuyisa abalala obulungi, era n’okukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwa Yakuwa kaakati! (Omubuulizi 9:11, NW; Yakobo 1:5-8) Yakuwa atukulembera okuyitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe, n’entegeka ye. (Matayo 24:45-47; 1 Abakkolinso 2:10; 2 Timoseewo 3:16, 17) Bwe tuba n’amagezi tujja ‘kusooka kunoonya Bwakabaka bwa Katonda’ era tujja kukozesa ennaku zaffe mu ngeri ereetera Yakuwa ekitiibwa era esanyusa omutima gwe. (Matayo 6:25-33; Engero 27:11) Kya lwatu nti okumusinza n’omutima gwaffe gwonna tekijja kuggyawo bizibu byaffe byonna, naye kituleetera essanyu ppitirivu.
Emikisa gya Yakuwa Gituleetera Essanyu
20. (a) Katonda ‘yejjusa’ mu ngeri ki? (b) Yakuwa anaatuyisa atya singa tusobya naye ne twenenya mu bwesimbu?
20 Nga kyandibadde kirungi nnyo okuba abasanyufu mu bulamu bwaffe bwonna! Ku nsonga eno, Musa agamba: “Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby’abaddu bo. Otukkuse enkya n’okusaasira kwo [oba, “okwagala kwo”]; tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.” (Zabbuli 90:13, 14) Katonda takola nsobi. Wadde kiri kityo, ‘yejjusa’ era ‘n’akyuka’ okuleka obusungu n’atatuukiriza musango gwasaze singa okulabula kwe kuleetawo enkyukakyuka mu ndowooza n’enneeyisa y’aboonoonyi abeenenyezza. (Ekyamateeka 13:17) N’olwekyo, singa tusobya naye ne twenenya mu bwesimbu, Yakuwa ‘atusaasira,’ era bwe kityo tuba n’ensonga ‘okusanyuka.’ (Zabbuli 32:1-5) Era bwe tugoberera ekkubo ery’obutuukirivu, tujja kutegeera nti Katonda atwagala era tujja kusobola ‘okujaguza ennaku zaffe zonna,’ ekiseera eky’obulamu bwaffe bwonna.
21. Mu bigambo ebiri mu Zabbuli 90:15, 16, Musa ayinza okuba yali asaba ki?
21 Omuwandiisi wa Zabbuli asaba mu bwesimbu: “Otusanyuse ng’ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu, era ng’emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi [ennaku]. Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, n’ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.” (Zabbuli 90:15, 16) Musa yandiba nga yali asaba Katonda, Isiraeri efune essanyu mu kiseera kye baabonaaboneramu oba kye baalabiramu ennaku. Yasaba nti ‘omulimu’ gwa Katonda ogw’okuwa Isiraeri omukisa gweyoleke eri abaweereza Be era nti ekitiibwa Kye kirabike ku baana baabwe oba ezzadde lyabwe. Naffe tuyinza okusaba nti abantu abawulize bafune emikisa mu nsi ya Katonda empya.—2 Peetero 3:13.
22. Okusinziira ku Zabbuli 90:17, tuyinza kusaba ki?
22 Zabbuli 90 ekomekkereza n’ebigambo bino: “Era n’obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: era otunywerezenga emirimu gy’emikono gyaffe: weewaawo, emirimu gy’emikono gyaffe oginywezenga.” (Zabbuli 90:17) Ebigambo bino biraga nti tuyinza okusaba Katonda okuwa omukisa okufuba kwaffe mu buweereza bwe. Ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta oba bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ tusanyuka nti ‘obulungi bwa Mukama,’ buba naffe. (Yokaana 10:16) Nga tuli basanyufu nnyo nti Katonda ‘anywezezza emirimu gy’emikono gyaffe’ ng’ababuulizi b’Obwakabaka era ne mu ngeri endala!
Tweyongere Okubala Ennaku Zaffe
23, 24. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kufumiitiriza ku Zabbuli 90?
23 Okufumiitiriza ku Zabbuli 90 kyandituleetedde okweyongera okwesiga Yakuwa, ‘ekifo kyaffe eky’okutuulamu.’ Nga tufumiitiriza ku bigambo ebigirimu ebikwata ku bumpi bw’obulamu, tujja kweyongera okumanya obukulu bw’obulagirizi bwa Katonda mu kubala ennaku zaffe. Era singa tunyiikira okunoonya n’okwoleka amagezi, tuba bakakafu nti tujja kufuna ekisa n’emikisa gya Yakuwa.
24 Yakuwa ajja kweyongera okutulaga engeri y’okubalamu ennaku zaffe. Era singa tukolera ku by’atuyigiriza, tujja kweyongera okubala ennaku zaffe emirembe gyonna. (Yokaana 17:3) Kyokka, bwe tuba twagala okufuna obulamu obutaggwaawo, Yakuwa ateekwa okubeera ekiddukiro kyaffe. (Yuda 20, 21) Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, ensonga eno etangaazibwako mu ngeri ezzaamu amaanyi mu Zabbuli 91.
Wandizzeemu Otya?
• Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘ekifo kyaffe eky’okutuulamu’?
• Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa mwetegefu okutuyamba buli kiseera?
• Yakuwa atuyamba atya ‘okubala ennaku zaffe’?
• Kiki ekitusobozesa ‘okusanyuka mu nnaku zaffe zonna’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Yakuwa yali Katonda ‘ng’ensozi tezinnazaalibwa’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okusinziira ku Yakuwa, Mesuseera ow’emyaka 969 teyamalako lunaku
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]
Yakuwa ‘anywezezza emirimu gy’engalo zaffe’