Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitundu Ekyokusatu n’Ekyokuna eky’Ekitabo kya Zabbuli
MU KUSABA kwe eri Katonda, omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N’obwesigwa bwo mu kuzikirira?” (Zabbuli 88:11) Kya lwatu, eky’okuddamu kiri nti nedda. Bwe tutaba na bulamu tetuyinza kutendereza Yakuwa. Okutendereza Yakuwa kye kitwagazisa okuba abalamu.
Ekitundu Ekyokusatu n’Ekyokuna eky’Ekitabo kya Zabbuli, ekitandikira ku Zabbuli 73 okutuuka ku 106, kituwa ensonga nnyingi ez’okutendereza Omutonzi n’okugulumiza erinnya lye. Okufumiitiriza ku zabbuli zino kitusobozesa okweyongera okusiima “ekigambo kya Katonda” era ne kitukubiriza okwongera okulongoosa mu ngeri gye tumutenderezaamu. (Abaebbulaniya 4:12) Ka tusooke twekenneenye ekitundu Ekyokusatu eky’Ekitabo kya Zabbuli.
“KIRUNGI NZE NSEMBERERE KATONDA”
Zabbuli 11 ezisooka mu kitundu eky’okusatu zaayiyizibwa Asafu oba ab’omu nnyumba ye. Zabbuli esooka mu kitundu ekyo ennyonnyola ekyayamba Asafu obutatwalirizibwa ndowooza nkyamu. Yatuuka ku kusalawo okutuufu. Yagamba nti, “kirungi nze nsemberere Katonda.” (Zabbuli 73:28) Zabbuli 74 eyogera ku kukungubaga okwaliwo nga Yerusaalemi kizikiriziddwa. Zabbuli 75, 76 ne 77 zoogera ku Yakuwa ng’Omulamuzi omutuukirivu, Omununuzi w’abawombeefu, era Awuliriza okusaba. Zabbuli 78 eyogera ku bintu ebyatuuka ku Baisiraeri mu biseera ebyayita okuva mu kiseera kya Musa okutuuka ku kya Dawudi. Zabbuli 79 eyogera ku kukungubaga okwaliwo nga yeekaalu ezikirizibwa. Zabbuli eya 80 erimu okusaba okukwata ku kuzibwayo kw’abantu ba Katonda ewa boobwe. Zabbuli 81 ekubiriza abantu okugondera Yakuwa. Zabbuli 82 ne 83 zirimu okusaba Katonda azikirize abalamuzi ababi n’abalabe be.
Zabbuli y’abaana ba Koola egamba nti “emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw’empya za Mukama.” (Zabbuli 84:2) Zabbuli 85 erimu okusaba Katonda awe omukisa abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse. Zabbuli eno eraga nti emikisa egy’eby’omwoyo gisingira wala egy’omubiri. Mu Zabbuli 86, Dawudi asaba Katonda okumukuuma n’okumuyigiriza. Zabbuli 87, luyimba olukwata ku Sayuuni n’abo abaazaalibwayo. Zabbuli 88 erimu okusaba Yakuwa. Ekisa kya Yakuwa eky’ensusso ekyeyolekera mu ndagaano gye yakola ne Dawudi kyogerwako mu Zabbuli 89, eyayiiyizibwa Esani, oboolyawo eyali omu ku basajja abana abagezi abaaliwo mu kiseera kya Sulemaani.—1 Bassekabaka 4:31.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
73:9—Mu ngeri ki gye kiri nti ababi “omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu n’olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi”? Okuva bwe kiri nti ababi tebassa kitiibwa mu muntu yenna mu ggulu oba ku nsi, tebalonzalonza kuvvoola Katonda n’akamwa kaabwe. Ate era bakozesa olulimi lwabwe okuwaayiriza bantu bannaabwe.
74:13, 14—Ddi Yakuwa lwe ‘yamenya emitwe gy’ensolo z’omu mazzi era n’amenyamenya emitwe gya Lukwata’? “Falaawo kabaka wa Misiri,” ayitibwa “ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo.” (Ezeekyeri 29:3) Lukwata ayinza okuba akiikirira ab’amaanyi ba Falaawo. Okumenyamenya emitwe gyabwe kirabika kitegeeza okuwangula Falaawo n’amagye ge Yakuwa bwe yali anunula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri.
75:4, 5, 10—Ekigambo ‘ejjembe’ kitegeeza ki? Amayembe g’ensolo kyakulwanyisa kya maanyi. Bwe kityo, ekigambo ‘ejjembe’ mu ngeri ey’akabonero kitegeeza obuyinza oba amaanyi. Yakuwa y’ayimusa amayembe g’abantu be, ng’abaleetera okugulumizibwa, naye ‘amayembe gonna ag’ababi agazikiriza.’ Tulabulwa ‘obutayimusa waggulu mayembe gaffe,’ mu ngeri nti tetuteekeddwa kuba ba malala. Okuva bwe kiri nti Yakuwa y’agulumiza, obuvunaanyizibwa obutuweebwa mu kibiina tusaanidde okubutwala ng’obuva eri Yakuwa.—Zabbuli 75:7.
76:10—Mu ngeri ki “obusungu bw’abantu” gye butendereza Yakuwa? Katonda bw’aleka abantu okutwolekeza obusungu bwabwe olw’okuba tuli baweereza be, kiyinza okuvaamu ebirungi. Okubonaabona kwonna kwe twolekagana nakwo kuyinza okubaako kye kutuyigiriza mu ngeri emu oba endala. Yakuwa akkiriza okubonaabona okubaawo tusobole okubaako kye tuyiga. (1 Peetero 5:10) ‘Obusungu bw’abantu obusigalawo Katonda abwesiba.’ Watya singa okubonaabona kutuviirako okufa? Kino nakyo kiyinza okutenderezesa Yakuwa kubanga abo abatulaba nga tugumiikiriza nabo bayinza okutandika okumutendereza.
78:24, 25;—Lwaki emmaanu eyitibwa ‘emmere ey’omu ggulu’ era “emmere ey’abakulu [“ya bamalayika,” NW, obugambo obutono obuli wansi]”? Tewali na kimu ku bigambo ebyo kitegeeza nti emmaanu yali mmere ya bamalayika. Yali “mmere ey’omu ggulu” mu ngeri nti ensibuko yaayo yali mu ggulu. (Zabbuli 105:40) Okuva bwe kiri nti bamalayika oba ‘abakulu’ babeera mu ggulu, ebigambo ‘emmere eya bamalayika’ biyinza okuba bitegeeza nti Katonda abeera mu ggulu ye yagigaba. (Zabbuli 11:4) Era Yakuwa ayinza okuba yakozesa bamalayika okuwa Abaisiraeri emmaanu.
82:1, 6—“Bakatonda” ne “[a]baana b’oyo ali Waggulu ennyo” be baani? Ebigambo ebyo bikwata ku balamuzi b’omu Isiraeri. Ekyo kituukirawo, okuva bwe kiri nti baali ba kukola ng’aboogezi ba Katonda era nga bamukiikirira.—Yokaana 10:33-36.
83:2—‘Okuyimusa omutwe’ kitegeeza ki? Ekikolwa ekyo, kitegeeza okuba omwetegefu okukozesa amaanyi oba okubaako ky’okolawo, naddala ng’oziyiza, olwana oba ng’onyigiriza abalala.
Bye Tuyigamu:
73:2-5, 18-20, 25, 28. Tetulina kukwatirwa buggya ababi abali obulungi oba okukoppa amakubo gaabwe amabi. Ababi bali mu kifo eky’obuseerezi. Bajja ‘kusuulibwa bazikirire.’ Ate era, okuva obufuzi bw’abantu abatatuukiridde bwe butayinza kuggyawo bubi, okufuba kwaffe okubumalawo kujja kugwa butaka. Okufaananako Asafu, kiba kya magezi singa twaŋŋanga obubi nga ‘tusemberera Katonda’ era nga tulina enkolagana ennungi Naye.
73:3, 6, 8, 27. Tuteekwa okwewala amalala, okuduula, n’obutaba beesigwa. Ekyo kye tulina okukola wadde ng’ebimu ku ebyo biyinza okulabika ng’eby’omuganyulo.
73:15-17. Bwe tutabulwatabulwa mu ndowooza yaffe, tetulina kukyogera mu lujjudde. Singa ‘tukyogera’ kiyinza okumalamu abalala amaanyi. Tulina okufumiitiriza ku ebyo ebiba bitweraliikiriza, era ne tubigonjoola nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe.—Engero 18:1.
73:21-24. ‘Okulumwa omutima’ olw’okuba ababi balabika ng’abali obulungi kigeraageranyizibwa ku kweyisa ng’ensolo ezitalina magezi. Bwe weeyisa bw’otyo oba toyolese ndowooza nnuŋŋamu. Mu kifo ky’ekyo, twandigoberedde okubuulirira kwa Yakuwa, nga tuli bakakafu nti ajja ‘kutukwata ku mukono gwaffe ogwa ddyo’ era atuwagire. Ate era, Yakuwa ajja kutukkiriza ‘okuyingira mu kitiibwa,’ kwe kugamba, okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye.
77:6. Okusobola okusiima amazima ag’eby’omwoyo okuviira ddala ku mutima era n’okuganoonya, kyetaagisa okuwaayo ebiseera okusoma n’okufumiitiriza. Nga kikulu nnyo okufunayo ebiseera ne tubeera ffekka okusobola okufumiitiriza!
79:9. Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe, naddala bwe kuba kukwata ku kutukuza erinnya lye.
81:13, 16. Okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa n’okutambulira mu makubo ge kireeta emikisa mingi.—Engero 10:22.
82:2, 5. Obutali bwenkanya buleetera “emisingi gyonna egy’ensi” okusagaasagana. Ebikolwa eby’obutali bwenkanya, bitabangula abantu.
84:1-4, 10-12. Abawandiisi ba zabbuli okusiima ekifo eky’okusinzizzaamu Yakuwa era n’obumativu bwe baalina mu buweereza bwabwe bituwa ekyokulabirako ekirungi.
86:5. Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa ‘ayanguwa okusonyiwa’! Aba mwetegefu okusonyiwa singa wabaawo kyonna ky’ayinza okusinziirako okulaga ekisa omwonoonyi aba yeenenyeza.
87:5, 6. Abo abanaafuna obulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi balimanya amanya g’abo abaazuukirira obulamu obw’omu ggulu? Ennyiriri zino ziraga nti ekyo kisoboka.
88:13, 14. Yakuwa bw’alwawo okuddamu okusaba kwaffe ku kizibu kye tuba tumutegeezezza, kiyinza okutegeeza nti aba ayagala tulage nti tumwesigira ddala.
“MUMWEBAZE, MUKUZE ERINNYA LYE”
Lowooza ku nsonga ez’enjawulo ezituleetera okutendereza Yakuwa eziri mu kitundu ekyokuna eky’ekitabo kya zabbuli. Mu Zabbuli 90, Musa ageraageranya okubeerawo kwa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe” n’obulamu bw’omuntu obuggwaawo amangu. (1 Timoseewo 1:17) Okusinziira ku Zabbuli 91:2, Musa ayogera ku Yakuwa nga ‘ekiddukiro kyange era ekigo kyange,’ kwe kugamba, y’Ensibuko y’obukuumi bwe. Zabbuli endala eziddako, zoogera ku ngeri za Katonda ennungi, ebirowoozo bye ebya waggulu ennyo n’emirimu gye egy’ekitalo. Zabbuli satu zitandika n’ebigambo “Mukama afuga.” (Zabbuli 93:1; 97:1; 99:1) Mu kwogera ku Yakuwa nga Omutonzi waffe, omuwandiisi wa zabbuli aba atukubiriza ‘okumwebaza n’okukuza erinnya lye.’—Zabbuli 100:4.
Omufuzi atya Yakuwa yandyeyisizza atya? Zabbuli 101, eyawandiikibwa Kabaka Dawudi ewa eky’okuddamu. Zabbuli eddirira etugamba nti Yakuwa ‘alowoozezza ku kusaba kw’abo abafiiriddwa, so tanyoomye kusaba kwabwe.’ (Zabbuli 102:17) Zabbuli 103, eyogera ku kissa kya Yakuwa eky’ensusso n’obusaasizi bwe. Ng’ayogera ku bintu ebingi Katonda bye yakola ku nsi, omuwandiisi wa zabbuli agamba nti: “Emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi.” (Zabbuli 104:24) Zabbuli ebbiri ezisembayo mu Kitundu ekyokuna zitendereza Yakuwa olw’emirimu gye egy’ekitalo.—Zabbuli 105:2, 5; 106:7, 22.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
91:1, 2—“[E]kifo eky’ekyama eky’Oyo ali Waggulu Ennyo,” kye kiruwa era tuyinza tutya ‘okukituulamu’? Kino kifo eky’akabonero eky’obukuumi mu by’omwoyo—embeera ey’obukuumi n’otatuukibwako kabi mu by’omwoyo. Ekifo kya kyama kubanga tekimanyiddwa eri abo abateesiga Katonda. Yakuwa tumufuula ekifo kyaffe eky’okutuulamu nga gwe tutwala ng’ekiddukiro kyaffe era ekigo kyaffe, nga tumutendereza ng’Omufuzi w’Obutonde bwonna, era nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Muli tuwulira nga tulina obukuumi mu by’omwoyo kubanga tumanyi nti Yakuwa bulijjo mwetegefu okutuyamba.—Zabbuli 90:1.
92:12—Mu ngeri ki omutuukirivu gya “alyera ng’olukindu”? Olukindu lumanyiddwa olw’okubala. Omuntu omutuukirivu alinga olukindu mu ngeri nti mugolokofu mu maaso ga Yakuwa era yeeyongera okubala ‘ebibala ebirungi,’ ebizingiramu emirimu emirungi.—Matayo 7:17-20.
Bye Tuyigamu:
90:7, 8, 13, 14. Ebibi bye tukola byonoona enkolagana yaffe ne Katonda ow’amazima. Era ekibi ekikolebwa mu kyama akiraba. Kyokka, singa twenenya era ne tuleka ekkubo ebbi, Yakuwa addamu okutusiima, era ‘atukkusa n’ekisa kye eky’ensusso.’
90:10, 12. Okuva obulamu bwe buli obumpi, tusaanidde ‘okubala ennaku zaffe.’ Mu ngeri ki? Nga tufuna “omutima omugezigezi,” oba nga tukozesa amagezi ne kiba nti ennaku zaffe ezisigaddeyo tetuzoonoona naye tuzikozesa mu ngeri esanyusa Yakuwa. Kino kitegeeza nti tukulembeza eby’omwoyo era ne tukozesa ebiseera byaffe n’amagezi.—Abeefeso 5:15, 16; Abafiripi 1:10.
90:17. Kisaanira okusaba Yakuwa ‘anyweze emirimu gy’emikono gyaffe’ era awe omukisa okufuba kwaffe mu buweereza.
92:14, 15. Nga banyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda era nga teboosa kukuŋŋaana wamu n’abantu ba Yakuwa, bannamukadde beeyongera ‘okugejja n’okujjula amazzi’—baba ba maanyi mu by’omwoyo—era ba mugaso nnyo eri ekibiina.
94:19, NW. Ka kibeki ‘ekitweraliikiriza,’ okusoma n’okufumiitiriza ku bintu ‘ebibudaabuda’ ebiri mu Baibuli kijja kutuzzaamu amaanyi.
95:7, 8. Okuwuliriza okubuulirira okw’omu Byawandiikibwa, okukussaako omwoyo n’okukugoberera, kijja kutuyamba obutakakanyaza mitima gyaffe.—Abaebbulaniya 3:7, 8.
106:36, 37. Ennyiriri zino zikwataganya okusinza ebifaananyi n’okuwaayo ssaddaaka eri badayimooni. Kino kitegeeza nti omuntu asinza ebifaananyi ayinza okulumbibwa badayimooni. Baibuli etukubiriza: “Mwekuumenga ebifaananyi.”—1 Yokaana 5:21.
“Mumutendereze Mukama”
Zabbuli esatu ezisembayo mu Kitundu Ekyokuna zikomekkereza n’okubuulirira okugamba nti: “Mumutendereze Mukama.” Ne zabbuli esembayo mu Kitundu Ekyokuna etandika n’ebigambo ebyo. (Zabbuli 104:35; 105:45; 106:1, 48) Mu butuufu, ebigambo “Mumutendereze Mukama” biddiŋŋanwa mu Kitundu Ekyokuna eky’Ekitabo kya Zabbuli.
Mazima ddala tulina ensonga nnyingi ezituleetera okutendereza Yakuwa. Zabbuli 73 okutuuka ku 106 zituwadde bingi eby’okulowoozaako, era zituleetedde okusiima Kitaffe ow’omu ggulu. Bwe tulowooza ku ebyo byonna by’atukoledde n’ebyo by’anaatukolera mu biseera eby’omu maaso, tekituleetera ‘okutendereza Yakuwa’ n’amaanyi gaffe gonna?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Okufaananako Asafu tuyinza okwaŋŋanga obubi nga ‘tusemberera Katonda’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Falaawo awangulwa ku Nnyanja Emmyufu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Omanyi lwaki emmaanu eyitibwa ‘emmere y’abakulu’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Kiki ekituyamba ‘obuteeraliikirira’?