Emirembe gya Kristo Gisobola Gitya Okufuga Emitima Gyaffe?
“Muleke emirembe gya Kristo gifuge emitima gyammwe, kuba mwayitirwa mu mubiri gumu.”—ABAKKOLOSAAYI 3:15, NW.
1, 2. “Emirembe gya Kristo” gifuga gitya omutima gw’Omukristaayo?
BANGI beekokkola ekigambo okufugibwa, okuva bwe kiyinza okubaleetera okulowooza ku kukakibwa n’okuyisibwa obubi. N’olwekyo, Pawulo okukubiriza Bakristaayo banne mu Kkolosaayi nti, “Muleke emirembe gya Kristo gifuge emitima gyammwe,” kiyinza okuwulikika eri abamu ng’ekitali ky’amagezi. (Abakkolosaayi 3:15) Tetulina ddembe ery’okwesalirawo? Lwaki twandirese ekintu kyonna oba omuntu yenna okufuga emitima gyaffe?
2 Pawulo yali tagamba Bakkolosaayi okuleka abalala okubasalirawo. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa ‘okufuga’ mu Abakkolosaayi 3:15, kifaanaganako n’ekyo ekyakozesebwanga ku mukungu eyagabanga ebirabo mu mizannyo gy’okudduka mu kiseera ekyo. Abo abaagyenyigirangamu baalinanga eddembe ery’ekigero okukola kye baagala nga tebasukkulumye mateeka agafuga omuzannyo. Naye mu nkomerero, omukungu ye yasalangawo ani agoberedde obulungi amateeka, bw’atyo omuntu oyo n’awangula omuzannyo ogwo. Mu ngeri y’emu, tulina eddembe okubaako ne bye tusalawo mu bulamu bwaffe. Naye nga tusalawo, emirembe gya Kristo gye girina okuba “omukungu,” oba ng’omuvvuunuzi Edgar J. Goodspeed bw’akiteeka, “ekifuga” emitima gyaffe.
3. “Emirembe gya Kristo” kye ki?
3 “Emirembe gya Kristo” kye ki? Bwe buteefu mu birowoozo n’obukkakkamu mu nneewulira, bye tufuna nga tufuuse abayigirizwa ba Yesu, era n’okutegeera nti tusiimibwa era twagalibwa Yakuwa Katonda n’Omwana we. Nga Yesu anaatera okuleka abayigirizwa be, yabagamba: “Mbalekera; emirembe gyange . . . Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.” (Yokaana 14:27) Okumala emyaka nga 2000, abo abali mu mubiri gwa Kristo, abaafukibwako amafuta abeesigwa, babadde balina emirembe egyo. Era kaakano, ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ bagirina. (Yokaana 10:16) Emirembe egyo gye gyandifuze emitima gyaffe. Bwe tuba nga twolekaganye n’okugezesebwa okw’amaanyi, gijja kutuyamba obutaterebuka olw’okutya oba okweraliikirira ennyo. Ka tulabe engeri ekyo gye kiri ekituufu nga twolekaganye n’obutali bwenkanya, okweraliikirira, n’okwewulira nga tetukyalina mugaso.
Bwe Twolekagana n’Obutali Bwenkanya
4. (a) Yesu yategeera atya ebikwata ku butali bwenkanya? (b) Abakristaayo beeyisizza batya nga bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya?
4 Kabaka Sulemaani yagamba: ‘Omuntu omu abeera n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’ (Omubuulizi 8:9) Yesu yali amanyi obutuufu bw’ebigambo ebyo. Bwe yali mu ggulu, yalaba ebikolwa eby’obutali bwenkanya abantu bye baakola ku bannaabwe. Bwe yali ku nsi, ye kennyini yayisibwa mu ngeri embi ennyo. Wadde teyali mwonoonyi yavunaanibwa okuvvoola era n’attibwa ng’omumenyi w’amateeka. (Matayo 26:63-66; Makko 15:27) Leero, obutali bwenkanya bukyakutte wansi ne waggulu. Era, Abakristaayo ab’amazima ‘babonyeebonye nnyo olw’okukyayibwa amawanga gonna.’ (Matayo 24:9) Kyokka, wadde nga battibwa mu nkambi z’Abanazi era ne basibibwa ne mu ezo ezaali mu nsi eyali eyitibwa Soviet Union, wadde nga bakubiddwa ebibinja by’abantu era ne bawaayirizibwa, emirembe gya Kristo gibasobozesezza okusigala nga banywevu. Bakoppye Yesu gwe tusomako: “Bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw’ensonga.”—1 Peetero 2:23.
5. Bwe tulowooza nti wabaddewo obutali bwenkanya mu kibiina, kiki kye twandisoose okukola?
5 Wadde tekitera kubaawo, olumu tuyinza okulowooza nti omuntu ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya mu kibiina Ekikristaayo. Mu mbeera ng’eyo, tuyinza okuwulira ng’omutume Pawulo eyagamba: “Ani eyeesittazibwa, nange bwe ssaaka?” (2 Abakkolinso 11:29) Kiki kye tuyinza okukola? Tusaanidde okwebuuza, ‘Ddala obwo butali bwenkanya?’ Emirundi mingi tuba tetumanyi nsonga zonna ezizingirwamu. Tuyinza okwogera bino na biri oluvannyuma lw’okuwuliriza omuntu agamba nti amanyi ebyabaddewo. Olw’ensonga eyo, Baibuli kyeva egamba: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna.” (Engero 14:15) N’olwekyo, tuteekwa okwegendereza.
6. Twandikoze ki singa tulowooza nti wabaddewo obutali bwenkanya mu kibiina?
6 Kyokka, kiba kitya singa ffe kennyini tulowooza nti tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Omuntu alina emirembe gya Kristo mu mutima gwe yandyeyisizza atya? Tuyinza okwogera n’oyo gwe tulowooza nti atusobezza. Oluvannyuma lw’ekyo, mu kifo ky’okubuulirako buli muntu gwe tusanze, lwaki ensonga tetuzirekera Yakuwa mu kusaba era ne tumwesiga nti ajja kusobozesa obwenkanya okubaawo? (Zabbuli 9:10; Engero 3:5) Kyandiba nti oluvannyuma lw’okukola bwe tutyo, tujja kuba bamativu okugonjoola ensonga ffekka era ‘tuzisirikire.’ (Zabbuli 4:4) Mu ngeri nnyingi, okubuulirira kwa Pawulo kutuukirawo: ‘Muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.’—Abakkolosaayi 3:13.
7. Kiki bulijjo kye tulina okujjukira nga tukolagana ne baganda baffe?
7 Kyokka, mu buli kye tukola, tusaanidde tujjukire nti wadde nga tetusobola kukyusa kibaddewo, ensonga tusobola okugikolako mu ngeri ey’amagezi. Singa ensonga tetugikolako mu ngeri ey’amagezi, ekyo kiyinza okutukolako akabi ak’amaanyi n’okusinga obutali bwenkanya bwennyini. (Engero 18:14) Tuyinza n’okwesittazibwa ne tulekera awo okukolagana n’ekibiina okutuusa ng’ensonga zikoleddwako nga bwe twagala. Kyokka, omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti abo abaagala amateeka ga Yakuwa “tebaliiko kibeesittaza.” (Zabbuli 119:165) Amazima gali nti ffenna tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, jjo oba luli. Toganyanga mbeera ng’eyo okwekiika mu buweereza bwo eri Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, leka emirembe gya Kristo gifuge omutima gwo.
Bwe Tuba n’Ebitweraliikiriza
8. Bintu ki ebimu ebisibukako okweraliikirira, era okweraliikirira kuyinza kuvaamu ki?
8 Okweraliikirira kitundu kya bulamu mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1) Kyo kituufu nti Yesu yagamba: “Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.” (Lukka 12:22) Naye, okweraliikirira kwonna tekukwata ku kufuna bintu. Lutti “yeeraliikirira nnyo” olw’empisa ez’obugwenyufu mu Sodomu. (2 Peetero 2:7) Pawulo ‘yeeraliikirira olw’ekkanisa zonna.’ (2 Abakkolinso 11:28) Yesu yali mu bulumi bwa maanyi nnyo ekiro ekyasembayo nga tannafa ne kiba nti ‘entuuyo ze z’aba ng’amatondo g’omusaayi nga gatonnya wansi.’ (Lukka 22:44) Kya lwatu, okweraliikirira kwonna tekulaga nti omuntu alina okukkiriza okunafu. Kyokka, okweraliikirira ka kubeere nga kuvudde ku ki, bwe kubeera okw’amaanyi era ne kulwawo, kuyinza okutumalako emirembe. Okweraliikirira kumazeemu bangi amaanyi, ne kubaleetera okuwulira nga tebakyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweereza Yakuwa. Baibuli egamba: “Ennaku bwe ziba mu mutima gw’omuntu zigukutamya.” (Engero 12:25) N’olwekyo, kiki kye tuyinza okukola bwe tuba nga tweraliikirira nnyo?
9. Bintu ki ebimu ebiyinza okukolebwa okukendeeza ku kweraliikirira, naye biki ebisibukako okweraliikirira ebitayinza kuggibwawo?
9 Mu mbeera ezimu, tuyinza okubaako ne kye tukola okukomya okweraliikirira. Bwe kiba nti okweraliikirira kusibuka ku bulwadde, kyandibadde kya magezi okubaako ky’okolawo, wadde nga kiri eri buli muntu okwesalirawo eky’okukola ku nsonga bwe zityo.a (Matayo 9:12) Bwe kiba nti tuzitoowereddwa olw’obuvunaanyizibwa obungi, obumu tuyinza okubukwasa abalala. (Okuva 18:13-23) Naye ate kiri kitya eri abalala, gamba ng’abazadde abatasobola kuwa balala buvunaanyizibwa bwabwe? Ate kiba kitya eri Omukristaayo abeera ne munne mu bufumbo ng’amuziyiza? Ate kiri kitya eri amaka agalina ebizibu eby’amaanyi mu by’enfuna oba nga babeera mu kitundu omuli olutalo? Kya lwatu, tetusobola kumalirawo ddala byonna ebiviirako okweraliikirira. Wadde kiri kityo, tusobola okukuuma emirembe gya Kristo mu mitima gyaffe. Tutya?
10. Ngeri ki ebbiri Omukristaayo mw’ayinza okuyitira okukendeeza okweraliikirira?
10 Engeri emu kwe kunoonya okubudaabudibwa mu Kigambo kya Katonda. Kabaka Dawudi yawandiika: ‘Ebirowoozo byange ebinneeraliikiriza bwe byafuuka ebingi, okubudaabuda kwo ne kuweweeza emmeeme yange.’ (Zabbuli 94:19, NW) Ebigambo bya Yakuwa ‘ebibudaabuda’ bisangibwa mu Baibuli. Obutayosa kwekenneenya Kitabo ekyo ekyaluŋŋamizibwa kijja kutuyamba okukuuma emirembe gya Kristo mu mitima gyaffe. Baibuli egamba: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.” (Zabbuli 55:22) Mu ngeri y’emu, Pawulo yawandiika: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.” (Abafiripi 4:6, 7) Okusaba obutayosa kijja kutuyamba okukuuma emirembe gyaffe.
11. (a) Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku kusaba? (b) Twanditutte tutya okusaba?
11 Yesu yali kyakulabirako kirungi nnyo mu kino. Olumu, yasaba Kitaawe ow’omu ggulu okumala essaawa nnyingi. (Matayo 14:23; Lukka 6:12) Okusaba kwamuyamba okugumiikiriza mu kugezesebwa okw’amaanyi ennyo. Mu kiro ekyasembayo nga tannafa, yeraliikirira nnyo. Kiki kye yakola? ‘Yanyiikirira ‘ okusaba. (Lukka 22:44, NW) Yee, Omwana wa Katonda atuukiridde yali muntu asaba ennyo. Kati olwo, abagoberezi be abatatuukiridde tebandisinzeewo nnyo okunyiikirira okusaba? Yesu yayigiriza abayigirizwa be “okusabanga bulijjo, obutakoowanga.” (Lukka 18:1) Okusaba kintu kikulu nnyo mu nkolagana yaffe n’Oyo atumanyi obulungi okutusinga. (Zabbuli 103:14) Bwe tunaaba ab’okukuuma emirembe gya Kristo mu mitima gyaffe, tujja ‘kusabanga obutayosa.’—1 Abasessaloniika 5:17.
Okuvvuunuka Obunafu Bwaffe
12. Nsonga ki eziyinza okuviirako abamu okuwulira nti obuweereza bwabwe tebumala?
12 Yakuwa atwala buli muweereza we okuba ow’omuwendo. (Kaggayi 2:7) Kyokka, bangi ekyo bakisanga nga kizibu okukkiriza. Obukadde, obuvunaanyizibwa bw’omu maka okweyongera, oba okulwalalwala biyinza okumalamu abamu amaanyi. Abalala bayinza okuwulira ennyiike olw’okukuzibwa mu mbeera embi. Era, abalala bayinza okulumizibwa olw’ebikolwa byabwe ebibi eby’emabega, nga babuusabuusa obanga Yakuwa ayinza okubasonyiwa. (Zabbuli 51:3) Kiki ekiyinza okukolebwa?
13. Abo abawulira nga kye bakola tekimala bayinza kufuna kubudaabudibwa ki okuva mu Byawandiikibwa?
13 Emirembe gya Kristo gijja kutukakasa nti Yakuwa atwagala. Yesu teyagamba nti omuntu okubalibwa nti wa mugaso kisinziira ku ebyo by’akoze nga bigeraageranyiziddwa n’eby’abalala. N’olwekyo, bwe tufumiitiriza ku ekyo tusobola okuddamu okufuna emirembe mu mitima gyaffe. (Matayo 25:14, 15; Makko 12:41-44) Kye yassaako essira bwe bwesigwa. Yagamba abayigirizwa be: “Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) Yesu kennyini “yanyoomebwa” abantu. Kyokka, teyalina kubuusabuusa kwonna nti Kitaawe yali amwagala. (Isaaya 53:3; Yokaana 10:17) Era yategeeza abayigirizwa be nti nabo baali baagalibwa. (Yokaana 14:21) Okuggumiza ekyo, Yesu yagamba: “Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? [Naye] tewaliba n’emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna. Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29-31) Ng’ebigambo ebyo bitukakasa nti Yakuwa atwagala!
14. Tulina bukakafu ki nti Yakuwa atwala buli omu ku ffe nga wa muwendo?
14 Era Yesu yagamba: “Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamuwalula [“bw’atamusika,” NW].” (Yokaana 6:44) Okuva Yakuwa bw’atusise okugoberera Yesu, Ayagala tulokolebwe. Yesu yagamba abayigirizwa be: “Tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato . . . okuzikirira.” (Matayo 18:14) N’olwekyo, bw’oba ng’oweereza n’omutima gwo gwonna, oyinza okwenyumiririza mu bikolwa byo ebirungi. (Abaggalatiya 6:4) Bw’oba ng’olumirizibwa olw’ebikolwa byo ebibi eby’emabega, ba mukakafu nti Yakuwa ‘ajja kusonyiwa’ abo abeenenya mu bwesimbu. (Isaaya 43:25; 55:7) Bwe wabaawo ensonga endala yonna ekumalamu amaanyi, jjukira nti “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.”—Zabbuli 34:18.
15. (a) Setaani agezaako atya okutumalako emirembe? (b) Bwesige ki bwe tuyinza okuba nabwo mu Yakuwa?
15 Setaani kyasinga okwagala kwe kukumalako emirembe. Y’avunaanyizibwa olw’ekibi ffenna kye twasikira. (Abaruumi 7:21-24) Awatali kubuusabuusa yandyagadde owulire nti obunafu bwo buleetera Katonda obutasiima buweereza bwo. Toganyanga Mulyolyomi okukumalamu amaanyi! Tegeera obukodyo bwe, era leka okumanya okwo kukubirize okugumiikiriza. (2 Abakkolinso 2:11; Abaefeso 6:11-13) Jjukira nti “Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna.” (1 Yokaana 3:20) Yakuwa tatunuulira bunafu bwaffe bwokka, naye era alaba n’ebigendererwa byaffe. N’olwekyo, funa okubudaabudibwa okuva mu bigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebigamba nti: “Mukama talisuula bantu be, so talireka busika bwe.”—Zabbuli 94:14.
Tuli Bumu mu ‘Mirembe gya Kristo’
16. Mu ngeri ki gye tutali ffekka nga tufuba okugumiikiriza?
16 Pawulo yawandiika nti tuleke emirembe gya Kristo gifuge emitima gyaffe olw’okuba ‘twayitirwa mu mubiri gumu.’ Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Pawulo be yawandiikira, baayitibwa okuba ekitundu ky’omubiri gwa Kristo, era nga bwe kiri leero eri ensigalira y’abaafukibwako amafuta. Bannaabwe ‘ab’endiga endala’ beegasse wamu nabo okuba “ekisibo kimu” wansi ‘w’omusumba omu,’ Yesu Kristo. (Yokaana 10:16) Bonna awamu, “ekisibo” ekirimu obukadde n’obukadde bw’abantu, baleka emirembe gya Kristo okufuga emitima gyabwe. Okumanya nti tetuli ffekka kituyamba okugumiikiriza. Peetero yawandiika: “Oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng’ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.”—1 Peetero 5:9.
17. Kiki ekyanditukubirizza okuleka emirembe gya Kristo okufuga emitima gyaffe?
17 N’olwekyo, ffenna ka tweyongere okukulaakulanya emirembe, ekibala ekikulu eky’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22, 23) Abo Yakuwa b’anaasanga nga tebalina bbala, nga tebalina kya kunenyezebwa, era nga bali mu mirembe, ajja kubawa obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwe ku nsi, obutuukirivu mwe bunaatuula. (2 Peetero 3:13, 14) Tulina buli nsonga okuleka emirembe gya Kristo okufuga emitima gyaffe.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu mbeera ezimu, okweraliikirira kuyinza okuleetebwa oba okwongerwako obulwadde obw’amaanyi.
Ojjukira?
• Emirembe gya Kristo kye ki?
• Emirembe gya Kristo giyinza gitya okufuga emitima gyaffe nga twolekaganye n’obutali bwenkanya?
• Emirembe gya Kristo gituyamba gitya okwaŋŋanga okweraliikirira?
• Emirembe gya Kristo gitubudaabuda gitya bwe tuwulira nga tetulina mugaso?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Yesu yanywerera ku Yakuwa ng’ali mu maaso g’abamuvunaana
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ng’okuwambaatirwa taata omwagazi, okubudaabudibwa kwa Yakuwa kuyinza okukendeeza ku kweraliikirira kwaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Obugumiikiriza kintu kikulu mu maaso ga Katonda