Yakuwa Ye Muyambi Waffe
‘Obuyambi bwange buva eri Yakuwa, Eyakola eggulu n’ensi.’—ZABBULI 121:2.
1, 2. (a) Lwaki kiyinza okugambibwa nti ffenna ebiseera ebimu twetaaga obuyambi? (b) Yakuwa Muyambi wa ngeri ki?
ANI ku ffe ateetaaga buyambi? Amazima gali nti ffenna ebiseera ebimu twetaaga obuyambi okusobola okwaŋŋanga ekizibu eky’amaanyi, okugumiikiriza nga tufiiriddwa ebintu, oba okugumira ekigezo eky’amaanyi. Abantu bwe baba nga beetaaga obuyambi, batera okugenda eri mukwano gwabwe afaayo. Bwe babuulirako mukwano gwabwe ng’oyo ekizibu, kibayamba okukigumiikiriza. Naye, obuyambi omuntu bw’awa munne bubaako ekkomo. Ng’oggyeko ekyo, abamu bayinza obutasobola kuyamba bannaabwe mu kiseera we baba beetaagira obuyambi.
2 Kyokka, waliwo Omuyambi alina obusobozi obutaliiko kkomo. Ate era atukakasa nti tasobola kutwabulira. Y’Oyo omuwandiisi wa zabbuli gwe yayogerako bw’ati: ‘Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.’ (Zabbuli 121:2) Lwaki omuwandiisi wa zabbuli yali mukakafu nti Yakuwa yandimuyambye? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twekenneenye Zabbuli 121. Bwe tunaamala okugyekenneenya kijja kutusobozesa okutegeera ensonga lwaki naffe tusobola okwesiga Yakuwa ng’Omuyambi waffe.
Omuyambi Atalemererwa
3. Omuwandiisi wa zabbuli ayinza okuba nga yatunuulira nsozi ki, era lwaki?
3 Okusookera ddala, omuwandiisi wa zabbuli alaga nti olw’okuba Yakuwa ye yatonda ebintu byonna, tusaanidde okumwesiga. Yagamba: ‘Nnaayimusa amaaso gange eri ensozi: obuyambi bwange buliva wa? Obuyambi bwange buva eri Yakuwa Eyakola eggulu n’ensi.’ (Zabbuli 121:1, 2) Omuwandiisi wa zabbuli teyatunuulira buli lusozi. Ebigambo bino we byawandiikirwa, yeekaalu ya Yakuwa yali mu Yerusaalemi. Ekibuga ekyo ekyali kisangibwa mu nsozi za Yuda, kye kyali ekifo eky’akabonero Yakuwa kye yabeerangamu. (Zabbuli 135:21) Omuwandiisi wa zabbuli ayinza okuba nga yatunuulira ensozi z’e Yerusaalemi yeekaalu ya Yakuwa kwe yazimbibwa nga mukakafu nti Yakuwa ajja kumuwa obuyambi. Lwaki omuwandiisi wa zabbuli yali mukakafu nti Yakuwa yandimuyambye? Kubanga ‘ye Yakola eggulu n’ensi.’ Mu butuufu, omuwandiisi wa zabbuli yali agamba, ‘Tewali kiyinza kulemesa Omutonzi ow’amaanyi ennyo okunnyamba!’—Isaaya 40:26.
4. Omuwandiisi wa zabbuli yakiraga atya nti Yakuwa afaayo ku byetaago by’abantu be, era lwaki ekyo kituzzaamu amaanyi?
4 Omuwandiisi wa zabbuli addako okunnyonnyola nti Yakuwa afaayo ku byetaago by’abaweereza be buli kiseera. Yagamba: “Taliganya kigere kyo okusagaasagana: akukuuma taabongootenga. Laba, akuuma Isiraeri taabongootenga so teyeebakenga.” (Zabbuli 121:3, 4) Katonda tasobola kukkiriza abo abamwesiga “okusagaasagana” oba okugwa ne batasobola kuddamu kuyimuka. (Engero 24:16) Lwaki? Lwa kuba Yakuwa alinga omusumba ali obulindaala ng’akuuma endiga ze. Ekyo tekituzzaamu nnyo amaanyi? Yakuwa tayinza n’akamu kulekayo kuyamba bantu be. Abalabirira emisana n’ekiro.
5. Lwaki kigambibwa nti Yakuwa abeera ku ‘mukono gw’abantu be ogwa ddyo’?
5 Nga mukakafu nti Yakuwa akuuma abantu be, omuwandiisi wa zabbuli yawandiika: “Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo. Enjuba terikwokya emisana, newakubadde omwezi ekiro.” (Zabbuli 121:5, 6) Mu nsi za Buwalabu, ekifo ekirimu ekisiikirize kiyamba nnyo omuntu atambuza ebigere obutookebwa musana oguba gwememula. Yakuwa alinga ekisiikirize eri abantu be, ng’abakuuma mu bizibu ebyandibadde bibookya ng’omusana ogwememula. Ate era weetegereze nti Yakuwa ayogerwako ng’ali ku ‘mukono gwabwe ogwa ddyo.’ Mu ntalo ez’edda, omukono gw’omuserikale ogwa ddyo tegwakuumibwanga ngabo gye yakwatiranga mu mukono gwe ogwa kkono. Mukwano gw’omuserikale oyo yalinga asobola okumuwa obukuumi ng’alwanira ku mukono gwe ogwa ddyo. Okufaananako ow’omukwano ng’oyo, Yakuwa aba kumpi n’abasinza be nga buli kiseera mwetegefu okubayamba.
6, 7. (a) Omuwandiisi wa zabbuli atukakasa atya nti Yakuwa talirekayo kuyamba bantu be? (b) Lwaki tusobola okuba n’endowooza y’omuwandiisi wa zabbuli?
6 Yakuwa alirekera awo okuyamba abantu be? Kikafuuwe ekyo okubaawo. Omuwandiisi wa zabbuli yafundikira ng’agamba: “Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; ono ye anaakuumanga emmeeme yo. Mukama anaakuumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuuka emirembe gyonna.” (Zabbuli 121:7, 8) Mu lunyiriri 5, omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Mukama ye mukuumi wo,” kwe kugamba, akukuuma mu kiseera kino. Kyokka ate mu lunyiriri 7 ne 8, omuwandiisi wa zabbuli yawandiika: “Mukama anaakukuumanga,” kwe kugamba, mu kiseera eky’omu maaso. N’olwekyo, ebigambo ebyo byoleka nti Yakuwa ajja kukuuma abaweereza be ab’amazima ne mu biseera eby’omu maaso. Ka wabe wa we balaga, oba ka bibe bizibu ki bye boolekagana nabyo, Yakuwa ajja kubayambanga.—Engero 12:21.
7 Mazima ddala, omuwandiisi wa Zabbuli 121 yali mukakafu nti Omuyinza w’ebintu byonna akuuma bulungi abaweereza be ng’omusumba afaayo era ng’omukuumi abeera obulindaala. Olw’okuba Yakuwa takyuka, naffe twandibadde n’endowooza y’omuwandiisi wa zabbuli. (Malaki 3:6) Kino kitegeeza nti tetuutuukibwengako kabi mu by’omubiri? Si bwe kiri. Wabula, bwe tumwesiga okutuwa obuyambi, ajja kutukuuma tuleme okutuukibwako akabi mu by’omwoyo. N’olwekyo, kituukirawo okwebuuza nti, ‘Yakuwa atuyamba atya?’ Ka twekenneenye engeri nnya mw’ayitira okutuyamba. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye yayambamu abaweereza be mu biseera Baibuli we yawandiikirwa. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri gy’ayambamu abantu be leero.
Obuyambi bwa Bamalayika
8. Lwaki tekyewuunyisa nti bamalayika baagaliza nnyo abaweereza ba Katonda ab’oku nsi okuba obulungi?
8 Yakuwa alina obukadde n’obukadde bwa bamalayika. (Danyeri 7:9, 10) Abaana be bano ab’omwoyo bamuweereza n’obwesigwa. (Zabbuli 103:20) Bakimanyi bulungi nti Yakuwa ayagala nnyo abantu abamusinza era nti ayagala okubayamba. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bamalayika baagaliza abaweereza ba Katonda ab’oku nsi okuba obulungi. (Lukka 15:10) N’olw’ensonga eyo, bamalayika bateekwa okuba nga basanyuka nnyo Yakuwa okubakozesa okuyamba abantu. Mu ngeri ki Yakuwa gye yakozesaamu bamalayika okuyamba abaweereza be ab’oku nsi mu biseera eby’edda?
9. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Katonda gye yasobozesa bamalayika okuyamba abantu be abeesigwa.
9 Katonda yasobozesa bamalayika okukuuma n’okununula abantu be abeesigwa. Bamalayika babiri baayamba Lutti ne bawala be okuwonawo mu kuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola. (Olubereberye 19:1, 15-17) Malayika omu yekka yatta abaserikale Abaasuli 185,000 abaali baagala okuwamba Yerusaalemi. (2 Bassekabaka 19:35) Danyeri bwe yasuulibwa mu bunnya bw’empologoma, Yakuwa ‘yatuma malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma.’ (Danyeri 6:21, 22) Malayika yasumulula omutume Peetero okuva mu kkomera. (Ebikolwa 12:6-11) Baibuli eyogera ku byokulabirako ebirala bingi ebiraga obukuumi bwa bamalayika era ng’ebyo bikakasa ekyo Zabbuli 34:7 kye lugamba: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.”
10. Yakuwa yakozesa atya malayika okuzzaamu nnabbi Danyeri amaanyi?
10 Emirundi egimu, Yakuwa yakozesanga bamalayika okuzzaamu amaanyi abantu be abeesigwa. Ekyokulabirako ekirungi ennyo ekikwata ku nsonga eyo kisangibwa mu Danyeri essuula 10. Mu kiseera ekyo, kirabika Danyeri yali anaatera okuweza emyaka 100. Nnabbi oyo yali aweddemu nnyo amaanyi, nga kino kirabika kyava ku mbeera embi Yerusaalemi gye kyalimu era ne yeekaalu okulwawo okuddamu okuzimbibwa. Ate era yatya nnyo oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa okw’entiisa. (Danyeri 10:2, 3, 8) Katonda yatuma malayika okumuzzaamu amaanyi. Malayika yajjukiza Danyeri emirundi egisukka mu gumu nti, Katonda ‘yali amwagala nnyo.’ Kiki ekyavaamu? Nnabbi ono eyali akaddiye yagamba malayika nti: ‘Onzizizzaamu amaanyi.’—Danyeri 10:11, 19.
11. Waayo ekyokulabirako kimu ekiraga engeri bamalayika gye baakozesebwamu okuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?
11 Ate era Yakuwa yakozesa bamalayika okuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Malayika yalagira Firipo okubuulira Omuwesiyopya omulaawe ebikwata ku Kristo, era oluvannyuma omusajja oyo yabatizibwa. (Ebikolwa 8:26, 27, 36, 38) Nga wayiseewo akabanga katono, Katonda yayagala amawulire amalungi gabuulirwe eri Ab’Amawanga abataali bakomole. Mu kwolesebwa, malayika yalabikira Koluneeriyo Munnaggwanga eyali atya Katonda, n’amugamba atumye omutume Peetero. Ababaka Koluneeriyo be yasindika bwe baasanga Peetero, baamugamba: “Koluneeriyo . . . [yagambibwa] malayika omutuukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.” Peetero yagenda ewa Koluneeriyo, era bw’atyo Koluneeriyo n’abeera Munnaggwanga ataali mukomole eyasooka okufuuka Omukristaayo. (Ebikolwa 10:22, 44-48) Teebereza engeri gye wandiwuliddemu ng’okitegedde nti malayika akuyambye okuzuula omuntu ayagala amazima!
Obuyambi bw’Omwoyo Omutukuvu
12, 13. (a) Lwaki abatume ba Yesu baali basobola okuba abakakafu nti omwoyo omutukuvu gwali gusobola okubayamba? (b) Mu ngeri ki omwoyo omutukuvu gye gwawa amaanyi Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?
12 Ng’anaatera okuttibwa, Yesu yakakasa abatume be nti tebandirekeddwa ttayo. Kitaawe yandibawadde ‘omubeezi, omwoyo omutukuvu.’ (Yokaana 14:26) Abatume baali basobola okuba abakakafu nti omwoyo omutukuvu gwandibayambye olw’okuba Ebyawandiikibwa birimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Yakuwa gye yakozesaamu omwoyo omutukuvu okuyamba abantu be.
13 Emirundi mingi, omwoyo omutukuvu gwakozesebwa okuwa abantu amaanyi ne basobola okukola Yakuwa by’ayagala. Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Abalamuzi okununula Isiraeri. (Ekyabalamuzi 3:9, 10; 6:34) Omwoyo ogwo gwe gumu gwasobozesa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okweyongera okubuulira n’obuvumu wadde nga baayigganyizibwa mu ngeri ezitali zimu. (Ebikolwa 1:8; 4:31) Olw’okuba baasobola okutuukiriza obuweereza bwabwe, ekyo kyakakasa nti omwoyo omutukuvu gwali gubayamba. Mazima ddala, kintu ki ekyandisobozesezza abantu ‘abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo,’ okubunyisa amawulire g’Obwakabaka mu nsi yonna eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo?—Ebikolwa 4:13; Abakkolosaayi 1:23.
14. Yakuwa akozesezza atya omwoyo gwe omutukuvu okuyamba abantu be okutegeera ebintu mu ngeri esingawo?
14 Yakuwa era yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okusobozesa abantu be okutegeera ebintu mu ngeri esingawo. Olw’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, Yusufu yasobola okulootolola ebirooto bya Falaawo eby’obunnabbi. (Olubereberye 41:16, 38, 39) Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yabikkulira abawombeefu ebigendererwa bye ate n’abikweka ab’amalala. (Matayo 11:25) N’olwekyo, ng’ayogera ku bintu Yakuwa by’abikkulira “abamwagala,” omutume Pawulo yagamba: ‘Ffe Katonda yabitubikkulira okuyitira mu mwoyo gwe.’ (1 Abakkolinso 2:7-10) Omwoyo omutukuvu gwokka gwe gusobozesa omuntu okutegeera Katonda by’ayagala.
Obuyambi bw’Ekigambo kya Katonda
15, 16. Kiki Yoswa kye yagambibwa okukola okusobola okweyisa mu ngeri ey’amagezi?
15 Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa ‘kigasa mu kuyigiriza,’ era kisobozesa abaweereza be ‘okubeera na buli kimu kye beetaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’ (2 Timoseewo 3:16, 17) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abaweereza ba Katonda ab’edda abaayambibwa olw’okusoma ebitabo ebimu ebya Baibuli ebyali bimaze okuwandiikibwa.
16 Ebyawandiikibwa byawa abasinza ba Yakuwa obulagirizi obulungi. Yoswa bwe yali aweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukulembera Abaisiraeri, yagambibwa: “Ekitabo kino eky’amateeka [agaali gawandiikiddwa Musa] tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangako emisana n’ekiro, olyoke osobole okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw’onooterezanga bw’otyo ekkubo lyo era lw’onoosobolanga okweyisa mu ngeri ey’amagezi.” Weetegereze nti Yakuwa teyasuubiza kuwa Yoswa magezi mu ngeri ey’eky’amagero. Wabula, Yoswa bwe yandisomye era n’afumiitiriza ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu ‘kitabo eky’amateeka,’ yandisobodde okweyisa mu ngeri ey’amagezi.—Yoswa 1:8, NW; Zabbuli 1:1-3.
17. Danyeri ne Kabaka Yosiya baayambibwa batya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebyaliwo mu kiseera kyabwe?
17 Ate era, okuyitira mu Byawandiikibwa, Yakuwa yabikkula by’ayagala n’ebigendererwa bye. Ng’ekyokulabirako, Danyeri yategeera okuva mu kitabo kya Yeremiya ebbanga Yerusaalemi lye kyandimaze nga kiri matongo. (Yeremiya 25:11; Danyeri 9:2) Ate era lowooza ku ekyo ekyaliwo mu bufuzi bwa Kabaka Yosiya owa Yuda. Mu kiseera ekyo, eggwanga lyali liwabye okuva ku Yakuwa, era awatali kubuusabuusa bakabaka baali balemereddwa okwekoppololera Amateeka era n’okugagoberera. (Ekyamateeka 17:18-20) Kyokka, yeekaalu bwe yali ng’eddaabirizibwa, “ekitabo eky’amateeka,” oboolyawo ekyo ekyawandiikibwa Musa, kyazuulibwa. Kirabika eno ye yali kopi y’Amateeka eyasookera ddala, nga yali ewandiikiddwa emyaka 800 emabega. Oluvannyuma lw’okuwuliriza ng’Amateeka gasomebwa, Yosiya yalaba ng’eggwanga lyali livudde nnyo ku mateeka ga Yakuwa, era yafuba nnyo okutuukiriza ebyo ebyali mu kitabo ekyo. (2 Bassekabaka 22:8; 23:1-7) Tekyeyoleka bulungi nti Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebyaliwo mu kiseera ekyo byayamba nnyo abantu ba Katonda ab’omu biseera eby’edda?
Obuyambi bwa Bakkiriza Bannaffe
18. Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa y’abeera ensibuko y’obuyambi buli omusinza ow’amazima lw’ayamba musinza munne?
18 Emirundi mingi, Yakuwa atuwa obuyambi okuyitira mu bakkiriza bannaffe. Mazima ddala, buli mulundi omusinza ow’amazima lw’ayamba munne, Yakuwa y’aba amukozesezza okumuyamba. Lwaki tuyinza okugamba bwe tutyo? Lwa nsonga bbiri. Esooka, omwoyo gwa Katonda omutukuvu guba guzingirwamu. Abo abasaba omwoyo omutukuvu gubasobozesa okubala ebibala ng’okwagala n’obulungi. (Abaggalatiya 5:22, 23) N’olwekyo, omu ku baweereza ba Katonda bw’ayamba muweereza munne, buba bukakafu obulaga nti omwoyo gwa Yakuwa gukola. Ensonga ey’okubiri eri nti twakolebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Olubereberye 1:26) Kino kitegeeza nti tusobola okwoleka engeri ze, nga mu zino mwe muli ekisa, n’obusaasizi. N’olwekyo, buli mulundi omuweereza wa Yakuwa lw’ayamba muweereza munne, Ensibuko y’obuyambi obwo ye Yakuwa gw’aba akoppye.
19. Okusinziira ku biri mu Baibuli, Yakuwa yakozesa atya abasinza be okuyamba bannaabwe?
19 Mu biseera Baibuli we yawandiikirwa, Yakuwa yakozesa atya abasinza be okuyamba bannaabwe? Emirundi mingi, Yakuwa yakozesanga omu ku baweereza be okubuulirira omulala, nga Yeremiya bwe yawa Baluki okubuulirira okwawonyawo obulamu bwe. (Yeremiya 45:1-5) Emirundi n’emirundi, abasinza ab’amazima baayambanga bannaabwe nga babawa ebintu ebikalu, ng’Abakristaayo b’omu Makedoni ne Akaya bwe baayamba bannaabwe mu Yerusaalemi abaali mu bwetaavu. Omutume Pawulo yagamba nti omwoyo ng’ogwo ogw’okugaba ‘gwaviirako Katonda okwebazibwa.’—2 Abakkolinso 9:11.
20, 21. Omutume Pawulo yali mu mbeera ki bwe yazzibwamu amaanyi baganda be abaava mu Rooma?
20 Okusingira ddala, tukwatibwako nnyo bwe tusoma ebyawandiikibwa ebiraga engeri abaweereza ba Yakuwa gye bazziŋŋanangamu amaanyi. Lowooza ku kyokulabirako ekikwata ku mutume Pawulo. Bwe baali bamutwala mu Rooma ng’omusibe, baamuyisa mu luguudo olwali luyitibwa Apiyo. Ekitundu ekyasembayo eky’olugendo olwo tekyali kyangu, olw’okuba abasaabaze baalina okuyita mu ntobazzi.a Ab’oluganda mu kibiina ky’e Rooma baali bakimanyi nti Pawulo ajja. Kiki kye bandikoze? Bandisigadde mu maka gaabwe agaali mu kibuga okutuusa lwe yandituuse ne balyoka bagenda okumubuuzaako?
21 Lukka, omu ku bawandiisi ba Baibuli eyawerekerako Pawulo ku lugendo olwo, atubuulira ebyaliwo: “Ab’oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo [mu Rooma] okutusisinkana mu katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu.” Oyinza okukuba akafaananyi ku ekyo ekyaliwo? Bwe baakitegeera nti Pawulo yali ajja, ab’oluganda baava mu Rooma okujja okumusisinkana. Abamu ku b’oluganda abo baamulindirira mu Katale k’e Apiyo, ekifo ekyawummulirwangamu abatambuze nga kyesudde mayilo 46 okuva e Rooma. Ab’oluganda abalala baali bamulindiridde mu kifo ekyali kiyitibwa Bisulo Ebisatu, era nakyo nga kyawummulirwangamu, nga kyesudde mayiro 36 okuva mu kibuga. Kiki Pawulo kye yakola? Lukka agamba: “Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n’aguma omwoyo.” (Ebikolwa 28:15) Kiteeberezeemu—okulaba obulabi baganda be abo abaali bavudde olugendo, kyamuzzaamu nnyo amaanyi. Ani Pawulo gwe yeebaza olw’obuyambi obwo bwe yafuna? Yeebaza Yakuwa Katonda eyamusobozesa okubufuna.
22. Ekyawandiikibwa kyaffe ey’omwaka 2005 kye kiruwa, era kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
22 Ebyo Katonda bye yakolera abaweereza be ebiwandiikiddwa mu Baibuli, biraga nti ddala ayamba abantu be. Muyambi atageraageranyizibwa na mulala. Nga kituukirawo, ekyawandiikibwa ky’omwaka 2005, Abajulirwa ba Yakuwa kye banaakozesa kijja kuva mu Zabbuli 121:2: ‘Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.’ Naye, Yakuwa atuyamba atya leero? Kino kijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Omuwandiisi w’ebitontome Omuruumi ayitibwa Horace (65—8 B.C.E.), eyayita mu luguudo olwo lwe lumu yagamba nti ekitundu ekyo kyali kibi nnyo. Yayogera ku Katale k’omu Apiyo nga “akaali kakubyeko abagoba b’amaato n’abakozi b’omu mabbaala abaali abaganiriza.” Yayogera ku “nkukunyi n’ebikere” ebyabeerangayo era n’amazzi agaali “amabi ennyo.”
Ojjukira?
Mu ngeri ki Yakuwa gye yawaamu obuyambi—
• okuyitira mu bamalayika?
• okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu?
• okuyitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa?
• okuyitira mu baweereza be?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]
Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2005 kijja kuba: ‘Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.’—Zabbuli 121:2.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Pawulo yeebaza Katonda olw’obuyambi bwe yafuna okuva eri baganda be mu Rooma