Abavubuka Musobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
“Ommanyisa ekkubo ery’obulamu.”—ZAB. 16:11.
1, 2. Ekyokulabirako kya Tony kiraga kitya nti omuntu asobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe?
OMUVUBUKA omu ayitibwa Tony yali ayagala kuva mu ssomero nga tamazeeko siniya. Tony yali talina kitaawe era nga tayagala kusoma. Ebiseera bye ebisinga ku wiikendi yabimaliranga mu bibanda bya firimu oba mu mikwano gye. Yali teyeenyigira mu bikolwa bya bukambwe era yali takozesa biragalalagala. Naye teyalina kigendererwa mu bulamu era yali abuusabuusa obanga Katonda gy’ali. Mu kiseera ekyo yasisinkana omwami n’omukyala Abajulirwa ba Yakuwa n’ababuulira ku bye yali yeebuuza. Baamuwa brocuwa bbiri, The Origin of Life—Five Questions Worth Asking ne Was Life Created?
2 Ow’oluganda oyo ne mwannyinaffe bwe baddayo okukyalira Tony, baasanga akyusizza endowooza ye. Yali asomye nnyo obutabo bwe baamulekera ne kiba nti empapula zaabwo zaali zeefunyizza. Yabagamba nti: “Katonda ateekwa okuba nga gy’ali.” Yakkiriza okuyiga Bayibuli era mpolampola endowooza gye yalina ku bulamu yakyuka. Tony eyali omu ku bayizi abasingayo okukola obubi ku ssomero yafuuka omu ku bayizi abasingayo okukola obulungi. N’omukulu w’essomero eyali akitegeddeko nti kati Tony yali asoma n’Abajulirwa ba Yakuwa yeewuunya. Yagamba Tony nti: “Okoze enkyukakyuka ya maanyi mu ndowooza yo ne misomo gyo. Ekyo kivudde ku kuba nti osoma n’Abajulirwa ba Yakuwa?” Tony yamuddamu nti yee, era n’amuwa obujulirwa. Tony yamaliriza bulungi emisomo gye egya siniya era kati aweereza nga payoniya owa bulijjo era muweereza mu kibiina. Ate era kati musanyufu nti alina Kitaawe omulungi ennyo, Yakuwa.—Zab. 68:5.
GONDERA YAKUWA OTUUKE KU BUWANGUZI
3. Magezi ki Yakuwa g’awa abavubuka?
3 Ekyokulabirako kya Tony kiraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku mmwe bavubuka. Ayagala mubeere basanyufu era nga mulina ekigendererwa mu bulamu. Eyo ye nsonga lwaki abagamba nti: “Jjukiranga Omutonzi wo ow’Ekitalo ng’okyali muvubuka.” (Mub. 12:1) Ekyo si kyangu kukola mu nsi ya leero, naye kisoboka. Katonda asobola okubayamba okutuuka ku buwanguzi, si mu myaka gyammwe egy’obuvubuka gyokka, naye obulamu bwammwe bwonna. Okusobola okutegeera obulungi ensonga eno, ka tulabe ekyayamba Abayisirayiri okuwamba Ensi Ensuubize n’ekyayamba Dawudi okuwangula Goliyaasi.
4, 5. Kiki kye tuyigira ku Bayisirayiri okuwangula Abakanani ne Dawudi okuwangula Goliyaasi? (Laba ebifaananyi ku lupapula 24.)
4 Abayisirayiri bwe baali banaatera okutuuka mu Nsi Ensuubize, Katonda teyabagamba kwongera kukuguka mu kulwana oba okutendekebwa okulwana entalo. (Ma. 28:1, 2) Mu kifo ky’ekyo, yabagamba nti baalina okugondera amateeka ge n’okumwesiga. (Yos. 1:7-9) Mu ndaba ey’obuntu amagezi ago gaalinga agatakola! Naye amagezi ago ge gaali gasingayo obulungi, kubanga Yakuwa yasobozesa Abayisirayiri okuwangula Abakanani. (Yos. 24:11-13) Okusobola okugondera Yakuwa kyetaagisa okuba n’okukkiriza, era okuba n’okukkiriza bulijjo kituusa omuntu ku buwanguzi. Ago mazima agatakyuka. Bwe kityo bwe kyali edda era bwe kiri ne leero.
5 Goliyaasi yali mulwanyi muzira ng’aweza fuuti mwenda n’ekitundu obuwanvu era ng’alina eby’okulwanyisa eby’omutawaana. (1 Sam. 17:4-7) Naye ye Dawudi yalina ebintu bibiri: envuumuulo n’okukkiriza. Eri abo abataalina kukkiriza, Dawudi yalabika ng’omusirusiru. Naye baali bakyamu! Goliyaasi ye yali omusirusiru.—1 Sam. 17:48-51.
6. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
6 Mu kitundu ekyayita twalaba ebintu bina ebituyamba okuba abasanyufu n’okutuuka ku buwanguzi mu bulamu. Ebintu ebyo bye bino: okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo, okuba n’emikwano egyagala Katonda, okweteerawo ebiruubirirwa ebirungi, n’okusiima eddembe Katonda ly’atuwadde ffe abaweereza be. Ka tweyongere okwekenneenya ebintu ebyo nga tufumiitiriza ku gimu ku misingi egiri mu Zabbuli 16.
FAAYO KU BWETAAVU BWO OBW’EBY’OMWOYO
7. (a) Omuntu ow’eby’omwoyo aba atya? (b) ‘Omugabo’ gwa Dawudi gwali ki, era ekyo kyamukwatako kitya?
7 Omuntu ow’eby’omwoyo aba n’okukkiriza okunywevu era atunuulira ebintu nga Katonda bw’abitunuulira. Atunuulira Katonda okumuwa obulagirizi era aba mumalirivu okumugondera. (1 Kol. 2:12, 13) Dawudi yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Yagamba nti: “Yakuwa gwe mugabo gwange, era kye kikopo kyange.” (Zab. 16:5) ‘Omugabo’ ogwo gwali guzingiramu enkolagana ennungi Dawudi gye yalina ne Katonda, ekiddukiro kye. (Zab. 16:1) Kiki ekyavaamu? Dawudi yagamba nti: “Nzenna ndi musanyufu.” Tewali kyaleetera Dawudi ssanyu ng’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.—Soma Zabbuli 16:9, 11.
8. Ebimu ku bintu ebisobozesa omuntu okuba omusanyufu bye biruwa?
8 Abo abeemalira ku kunoonya eby’amasanyu n’eby’obugagga tebasobola kufuna ssanyu ng’eryo Dawudi lye yafuna. (1 Tim. 6:9, 10) Ow’oluganda omu ow’omu Canada yagamba nti: “Essanyu erya nnamaddala teriva mu ebyo bye tufuna mu bulamu wabula liva mu kubaako bye tuwa Yakuwa Katonda, Omugabi wa buli kirabo ekirungi.” (Yak. 1:17) Mazima ddala, okuba n’okukkiriza okunywevu mu Yakuwa n’okumuweereza kijja kukusobozesa okuba n’ekigendererwa mu bulamu n’okuba omusanyufu. Oyinza otya okuba n’okukkiriza okunywevu? Weetaaga okuwaayo ebiseera okusoma Ekigambo kya Katonda, okwetegereza obutonde, n’okulowooza ku ngeri ze, nga mu zo mwe muli n’okwagala kw’alina gy’oli.—Bar. 1:20; 5:8.
9. Oyinza otya okukkiriza Ekigambo kya Katonda okukuluŋŋamya nga Dawudi bwe yakola?
9 Okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli oluusi kweyolekera mu kuwabula kw’atuwa. Dawudi yasiima nnyo okuwabulwa ng’okwo. Yagamba nti: “Nnaatenderezanga Yakuwa ambuuliridde. Ne bwe buba kiro, ebirowoozo byange bimpabula.” (Zab. 16:7) Dawudi yafumiitirizanga ku ndowooza ya Yakuwa n’atuukanya endowooza ye n’eya Yakuwa era n’agikolerako. Naawe bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okwagala Katonda era ojja kweyongera okwagala okumugondera. Ate era ekyo kijja kukuyamba okwongera okukula mu by’omwoyo. Mwannyinaffe ayitibwa Christin yagamba nti, “Bwe nnoonyereza era ne nfumiitiriza ku bye nsoma, kindeetera okuwulira nti ebintu ebyo Yakuwa yabiwandiikira nze!”
10. Okusinziira ku Isaaya 26:3, okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa kituganyula kitya?
10 Okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa kikuyamba okufuna okumanya n’amagezi n’osobola okutunuulira ensi n’ebiseera byayo eby’omu maaso nga Katonda bw’abitunuulira. Lwaki Katonda akuwa okumanya okwo n’amagezi? Ayagala okulembeze ebintu ebikulu mu bulamu bwo, osalewo mu ngeri ey’amagezi, era oleme kweraliikirira biseera bya mu maaso. (Soma Isaaya 26:3.) Ow’oluganda ayitibwa Joshua abeera mu Amerika, agamba nti, “Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kiyamba omuntu okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu.” Ekyo kituufu era kireeta essanyu!
KOLA EMIKWANO EGYA NNADDALA
11. Dawudi yalonda atya mikwano gye?
11 Soma Zabbuli 16:3. Dawudi yali amanyi engeri y’okufunamu emikwano emirungi. Yafuna “essanyu lingi” mu kubeera awamu n’abo abaali baagala Yakuwa. Abantu abo yabayita ‘batukuvu,’ kubanga baalina empisa ennongoofu. Omuwandiisi wa Zabbuli omulala naye yalina endowooza ng’eya Dawudi ku kukola emikwano. Yagamba nti: “Ndi mukwano gw’abo bonna abakutya, n’abo abakwata ebiragiro byo.” (Zab. 119:63) Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, naawe osobola okufuna emikwano emirungi mu abo abatya Yakuwa era abamugondera. Kya lwatu nti abo b’ofuula mikwano gyo tebalina kuba abo bokka ab’emyaka gyo.
12. Kiki ekyaleetera Dawudi ne Yonasaani okuba ab’omukwano?
12 Dawudi teyafuna mikwano mu abo bokka ab’emyaka gye. Omanyiiyo omu ku ‘b’ekitiibwa’ eyali mukwano gwe ennyo? Ye Yonasaani. Mu butuufu omukwano gwabwe gwe gumu ku mikwano egyali eminywevu ennyo egyogerwako mu Byawandiikibwa. Naye obadde okimanyi nti Yonasaani yali asinga Dawudi emyaka nga 30? Kiki ekyabaleetera okuba ab’omukwano? Buli omu yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda, baali bawaŋŋana ekitiibwa, era buli omu yalaba obuvumu bwa munne nga balwanyisa abalabe ba Katonda.—1 Sam. 13:3; 14:13; 17:48-50; 18:1.
13. Oyinza otya okwongera ku mikwano gy’olina? Waayo ekyokulabirako.
13 Okufaananako Dawudi ne Yonasaani, naffe bwe tufuna emikwano egyagala Yakuwa era egirina okukkiriza, kituleetera “essanyu lingi.” Mwannyinaffe Kiera, amaze emyaka emingi ng’aweereza Yakuwa agamba nti, “Nkoze emikwano mu n’abantu abatali bamu okwetooloola ensi yonna; abantu abaakulira mu mbeera ez’enjawulo era ab’amawanga ag’enjawulo.” Naawe bw’okola bw’otyo, ojja kukiraba bulungi nti Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe bitugatta wamu.
WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA EBIRUNGI
14. (a) Kiki ekiyinza okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa ebirungi? (b) Abavubuka abamu batwala batya eky’okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?
14 Soma Zabbuli 16:8. Okuweereza Katonda kye kintu Dawudi kye yali akulembeza mu bulamu. Naawe bw’okulembeza Yakuwa mu bulamu bwo era n’omukuumira mu birowoozo nga weeteerawo ebiruubirirwa, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala. Ow’oluganda ayitibwa Steven yagamba nti, “Okweteerawo ekiruubirirwa era ne nkituukako, n’okulaba enkyukakyuka ennungi ze mba nkoze kindeetera essanyu lingi.” Ow’oluganda Omugirimaani kati aweerereza mu nsi endala agamba nti, “Bwe nnaakaddiwa, saagala kuba nga bwe ntunula emabega ndaba nga buli kye nnakola nga nkyali muvubuka kiraga nti nnali nneerowoozaako nzekka.” Ka tusuubire nti naawe olina endowooza ng’eyiye. Bwe kiba kityo, kozesa ebitone by’olina okuwa Katonda ekitiibwa n’okuyamba abalala. (Bag. 6:10) Weeteerewo ebiruubirirwa eby’omwoyo era osabe Yakuwa akuyambe okubituukako. Yakuwa addamu essaala ng’ezo.—1 Yok. 3:22; 5:14, 15.
15. Biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo? (Laba akasanduuko “Ebiruubirirwa by’Oyinza Okweteerawo.”)
15 Biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo? Oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuddamu mu nkuŋŋaana mu bigambo byo, okuweereza nga payoniya, oba okugenda okuweereza ku Beseri. Oyinza okugezaako okuyiga olulimi olulala ng’olina ekiruubirirwa eky’okugenda okuweereza mu kitundu gye boogera olulimi olwo. Barak, omuvubuka ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, agamba nti, “Okuzuukuka buli lunaku nga nkimanyi nti ŋŋenda kukozesa amaanyi gange gonna okuweereza Yakuwa kindeetera essanyu lingi nnyo.”
KIRAGE NTI OSIIMA EDDEMBE KATONDA LY’AKUWADDE
16. Dawudi yali atwala atya emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, era lwaki?
16 Soma Zabbuli 16:2, 4. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, amateeka ga Katonda n’emisingi gye bitusumulula mu buddu nga bituyamba okwagala ebirungi n’okukyawa ebibi. (Am. 5:15) Dawudi yagamba nti Yakuwa ye “Nsibuko y’ebintu ebirungi byonna [oba, ey’obulungi].” Ekigambo ky’Olwebbunaliya ekyavvuunulwa “obulungi” kizingiramu okuba n’empisa ennongoofu. Dawudi yafuba nnyo okukoppa Katonda, ng’afuba okuba n’empisa ennongoofu. Yakyawa ebintu Katonda by’atwala nti bibi. Mu bintu ebyo muzingiramu n’okusinza ebifaananyi, ekikolwa ekifeebya omuntu era ekimulemesa okuwa Yakuwa ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa.—Is. 2:8, 9; Kub. 4:11.
17, 18. (a) Kiki Dawudi kye yayogera ku ebyo ebiva mu kusinza okw’obulimba? (b) Kiki ekireetera abantu leero ‘okweyongerako ennaku’?
17 Mu biseera by’edda, okusinza okw’obulimba kwalimu nnyo ebikolwa eby’obugwenyufu. (Kos. 4:13, 14) Abantu bangi baayagalanga nnyo okusinza okw’obulimba kubanga baali baagala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye ddala ekyo kyabaleetera essanyu erya nnamaddala? Nedda! Dawudi yagamba nti: “Abo abaweereza bakatonda abalala beeyongerako nnaku.” Abantu abo era baasaddaakiranga bakatonda ab’obulimba abaana baabwe. (Is. 57:5) Yakuwa akyawa ebikolwa ng’ebyo eby’ettima! (Yer. 7:31) Singa waliwo mu biseera ebyo nga bazadde bo balina okukkiriza okunywevu era nga bagondera Yakuwa, wandibadde osiima nnyo Yakuwa.
18 Ne leero, amadiini mangi ag’obulimba gakkiriza ebikolwa eby’obugwenyufu nga mu bino mwe muli n’okulya ebisiyaga. Ekyo kiyinza okuleetera abantu abali mu madiini ago okuwulira ng’abalina eddembe, naye ekituufu kiri nti “beeyongerako nnaku.” (1 Kol. 6:18, 19) Ekyo naawe okirabye? N’olwekyo mmwe abavubuka, muwulirize Kitammwe ow’omu ggulu. Mube bakakafu nti bwe mumugondera mmwe muganyulwa. Ate era mukijjukire nti ebizibu ebiva mu kukola ebintu ebibi, biba bya maanyi nnyo okusinga essanyu ery’akaseera obuseera. (Bag. 6:8) Joshua, eyayogeddwako waggulu, yagamba nti, “Tusobola okukozesa eddembe lyaffe nga bwe twagala, naye bwe tulikozesa obubi temuvaamu ssanyu.”
19, 20. Birungi ki abavubuka abalina okukkiriza era abagondera Yakuwa bye bafuna?
19 Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yok. 8:31, 32) Eddembe eryo lizingiramu okusumululwa okuva mu madiini ag’obulimba, mu butamanya, ne mu bulombolombo obukuumira abantu mu buddu. Ate era mu biseera eby’omu maaso twesunga okufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) Ne mu kiseera kino osobola okuloza ku ddembe eryo ‘ng’osigala mu kigambo kya Kristo,’ oba enjigiriza ze. Bwe kityo ojja “kumanya amazima” ng’ogayiga era ng’ogakolerako.
20 Abavubuka, eddembe Katonda ly’abawadde mulitwale nga lya muwendo. Eddembe eryo mulikozese bulungi musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Ow’oluganda omu yagamba nti: “Omuvubuka bw’akozesa eddembe lye mu ngeri ey’amagezi, kimuyamba mu biseera eby’omu maaso ng’alina ebintu ebikulu by’asalawo, gamba ng’omulimu gw’anaakola oba okusalawo okuyingira obufumbo oba okugira ng’alindako.”
21. Osobola otya okusigala mu kkubo erituusa mu ‘bulamu obwa nnamaddala’?
21 Mu nsi ya Sitaani eno, n’obulamu abantu bwe batwala ng’obulungi ennyo bumpi nnyo era tewali muntu asobola kumanya kinaabaawo nkya. (Yak. 4:13, 14) N’olwekyo kya magezi okutambulira mu kkubo erituusa mu ‘bulamu obwa nnamaddala,’ obulamu obutaggwaawo. (1 Tim. 6:19) Kyo kituufu nti Katonda tatuwaliriza kutambulira mu kkubo eryo. Ffe tulina okwesalirawo. Yakuwa mufuule ‘omugabo’ gwo. “Ebintu ebirungi” ebingi by’akuwadde bitwale nga bya muwendo. (Zab. 103:5) Era ba mukakafu nti asobola okukuwa ‘essanyu lingi emirembe n’emirembe.’—Zab. 16:11.