Lwaki Tusaanidde Okutendereza Yakuwa?
“Mutendereze Ya! . . . Kisanyusa nnyo era kisaana okumutendereza!”—ZAB. 147:1.
1-3. (a) Zabbuli 147 eyinza okuba nga yawandiikibwa ddi? (b) Okwekenneenya Zabbuli 147 kinaatuganyula kitya?
OMUNTU bw’akola obulungi omulimu oguba gumuweereddwa oba bw’ayoleka engeri ennungi aba agwana okutenderezebwa. Bwe kiba nti abantu batenderezebwa, Yakuwa tagwanidde okutenderezebwa n’okusingawo? Tusaanidde okutendereza Yakuwa olw’amaanyi ge agataliiko kkomo ageeyolekera mu bintu bye yatonda, n’olw’okwagala kwe yatulaga ng’awaayo Omwana we okutufiirira.
2 Omuwandiisi wa Zabbuli eya 147 yatendereza Yakuwa. Ate era yakubiriza n’abalala okutendereza Yakuwa.—Soma Zabbuli 147:1, 7, 12.
3 Tetumanyi ani yawandiika zabbuli eyo, naye omuwandiisi waayo ayinza okuba nga yaliwo mu kiseera Yakuwa we yakomezaawo Abayisirayiri okuva mu buwambe e Babulooni. (Zab. 147:2) Omuwandiisi wa zabbuli eyo yatendereza Yakuwa olw’okusobozesa abantu be okuddamu okumusinziza mu nsi yaabwe. Kyokka omuwandiisi wa zabbuli eyo yalaga n’ensonga endala lwaki Yakuwa agwanidde okutenderezebwa. Nsonga ki ezo? Nsonga ki ezandikukubirizza okugamba nti “Aleruuya!”?—Zab. 147:1, obugambo obuli wansi.
YAKUWA AWONYA ABALINA EMITIMA EGIMENYESE
4. Abayudaaya baawulira batya Kabaka Kuulo bwe yabakkiriza okuddayo mu nsi yaabwe, era lwaki baawulira batyo?
4 Lowooza ku ngeri Abayisirayiri abaali mu buwambe e Babulooni gye baali bawuliramu. Abo abaali babawambye baabakudaalira nga babagamba nti: “Mutuyimbire olumu ku nnyimba za Sayuuni.” Naye Abayudaaya baali tebalina gayimba kubanga ekibuga kyabwe Yerusaalemi ekyali kibaleetera essanyu kyali kisaanyiziddwaawo. (Zab. 137:1-3, 6) Emitima gyabwe gyali myennyamivu era baali beetaaga okubudaabudibwa. Naye nga Katonda bwe yali agambye okuyitira mu bannabbi be, Abayudaaya baanunulwa, Kabaka Kuulo owa Buperusi bwe yawamba Babulooni era n’alangirira nti: “Yakuwa . . . annonze okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi . . . Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Yakuwa Katonda we abeere naye, agende.” (2 Byom. 36:23) Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyabudaabuda nnyo Abayisirayiri abaali mu Babulooni!
5. Kiki omuwandiisi wa zabbuli kye yayogera ku Yakuwa?
5 Ng’oggyeeko okubudaabuda Abayisirayiri ng’eggwanga, Yakuwa era yabudaabuda n’Abayisirayiri kinnoomu. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ng’ayogera ku Katonda, omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Awonya abamenyese omutima; asiba ebiwundu byabwe.” (Zab. 147:3) Mu butuufu, Yakuwa afaayo nnyo ku abo abalina ebizibu. Ne leero Yakuwa mwetegefu okutubudaabuda n’okutunyiga ebiwundu bye tuba nabyo ku mutima. (Zab. 34:18; Is. 57:15) Ate era atuwa amagezi n’amaanyi bye twetaaga okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tufuna.—Yak. 1:5.
6. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 147:4 bituyigiriza ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 17.)
6 Oluvannyuma omuwandiisi wa zabbuli oyo yayogera ku ggulu n’agamba nti Yakuwa “abala emmunyeenye” era nti “zonna aziyita amannya gaazo.” (Zab. 147:4) Omuwandiisi wa zabbuli oyo yali alaba emmunyeenye naye nga tamanyi muwendo gwazo. Leero bannassaayansi bakizudde nti ekibinja ky’emmunyeenye ensi yaffe mw’eri kirimu emmunyeenye buwumbi na buwumbi. Era bagamba nti mu bwengula mulimu obuwumbi n’obuwumbi bw’ebibinja by’emmunyeenye! Abantu tebasobola kumanya muwendo gwa mmunyeenye zonna, naye ye omutonzi amanyi omuwendo gwazo. Mu butuufu, amanyi n’erinnya lya buli mmunyeenye. (1 Kol. 15:41) Bwe kiba nti Katonda amanyi buli mmunyeenye, naawe akumanyi. Aba amanyi w’oli ekiseera kyonna, engeri gye weewuliramu, n’ebyo byennyini by’oba weetaaga!
7, 8. (a) Kiki Yakuwa ky’amanyi ekitukwatako? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa afaayo ku baweereza be.
7 Yakuwa akufaako era ayagala nnyo okukuyamba ng’ofunye ebizibu era alina obusobozi okukuyamba. (Soma Zabbuli 147:5.) Oluusi oyinza okuwulira ng’ebizibu bikuyitiriddeko era ng’owulira nti tokyayinza kubigumira. Yakuwa amanyi bulungi obusobozi bwo we bukoma, kubanga ‘ajjukira nti oli nfuufu.’ (Zab. 103:14) Olw’okuba tetutuukiridde, oluusi tukola ensobi y’emu enfunda n’enfunda. Oluusi twogera ebigambo ne tubyejjusa oba tukwatirwa abalala ensaalwa! Wadde nga Yakuwa talina bunafu nga ffe, atutegeera bulungi!—Is. 40:28.
8 Oyinza okuba nga naawe ojjukira engeri Yakuwa gye yakuyambamu ng’oli mu mbeera enzibu. (Is. 41:10, 13) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe Kyoko, aweereza nga payoniya. Yawulira ng’aweddemu amaanyi oluvannyuma lw’okusindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala. Yakuwa yakiraga atya nti ategeera embeera gye yali ayitamu? Eyo Kyoko gye yagenda, yasangayo abantu bangi abaakiraga nti baali bategeera bulungi embeera gye yali ayitamu. Kyoko yawulira nga Yakuwa eyali amugamba nti: “Nkwagala, si lwa kuba oli payoniya, wabula lwa kuba oli muwala wange era weewaayo gye ndi. Njagala obeere musanyufu ng’ompeereza!” Naawe waliwo ebintu by’oyiseemu mu bulamu ebikulaze nti Yakuwa akutegeera bulungi?
YAKUWA ATUWA BYE TWETAAGA
9, 10. Buyambi ki Yakuwa bw’asooka okutuwa? Waayo ekyokulabirako.
9 Ffenna twetaaga ebintu gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Oboolyawo oluusi oyinza okweraliikirira nga weebuuza obanga onoofuna eky’okulya. Naye kijjukire nti Yakuwa y’asobozesa emmere okubala mu nsi, era aliisa ne bannamuŋŋoona abato abagikaabira! (Soma Zabbuli 147:8, 9.) Bwe kiba nti Yakuwa alabirira bannamuŋŋoona, naawe asobola okukuwa ebyo bye weetaaga.—Zab. 37:25.
10 Okusingira ddala Yakuwa alabirira abantu be mu by’omwoyo, ne kibayamba okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Baf. 4:6, 7) Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu ow’oluganda Mutsuo ne mukyala we oluvannyuma lwa sunami eyaliwo mu Japan mu 2011. Okusobola okutaasa obulamu bwabwe, baalinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba yaabwe. Naye kyenkana baafiirwa ebintu byabwe byonna. Ekiro kyonna baakimala bali mu nzikiza mu kisenge ekimu ku mwaliiro ogw’okubiri ogw’ennyumba yaabwe eyali eyonoonese, era obudde bwali bunnyogovu nnyo. Bwe bwakya, baagezaako okunoonya ekiyinza okubayamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo. Ekitabo kyokka kye baasobola okufuna yali Yearbook of Jehovah’s Witnesses eya 2006. Mwalimu ekitundu ekyali kyogera ku musisi ow’amaanyi eyayita mu Sumatra mu 2004 n’aviirako sunami akyasinzeeyo okutta abantu abangi mu byafaayo. Bwe baali basoma ekitundu ekyo, Mutsuo ne mukyala we baakaaba. Baakiraba nti ddala Katonda yali abawadde emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyennyini mwe baali bagyetaagira. Yakuwa era yabayamba n’okufuna ebyetaago eby’omubiri. Bakkiriza bannaabwe mu bitundu bya Japan ebirala baabawa emmere n’eby’okwambala. Ate era bazzibwamu nnyo amaanyi ab’oluganda abaasindikibwa ekibiina kya Yakuwa okubakyalira. Mutsuo agamba nti: “Nnawulira nga ddala Yakuwa yali kumpi naffe era ng’atulabirira kinnoomu. Ekyo kyatuzzaamu nnyo amaanyi!” Okusookera ddala Yakuwa awa abantu be obuyambi mu by’omwoyo era oluvannyuma n’abayamba ne mu by’omubiri.
KATONDA ASOBOLA OKUKUYAMBA
11. Kiki ekinaatusobozesa okufuna obuyambi bwa Yakuwa?
11 Bulijjo Yakuwa mwetegefu ‘okuyimusa abawombeefu.’ (Zab. 147:6a) Naye kiki ekinaatusobozesa okufuna obuyambi bwa Yakuwa? Tulina okuba n’enkolagana ennungi naye. Okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa tulina okuba abawombeefu. (Zef. 2:3) Abantu abawombeefu balindirira Yakuwa okutereeza ensonga oba okukomya okubonaabona kwe bayitamu. Yakuwa asiima abantu ng’abo.
12, 13. (a) Katonda bw’aba ow’okutuyamba kiki kye tusaanidde okwewala? (b) Baani Yakuwa b’asanyukira?
12 Ku luuyi olulala, Katonda “ababi abasuula ku ttaka.” (Zab. 147:6b) Ekyo tetwagala kitutuukeko! Yakuwa okusobola okutulaga okwagala kwe okutajjulukuka n’obutatwolekeza busungu bwe, tulina okukyawa ebyo by’akyawa. (Zab. 97:10) Ng’ekyokulabirako, tulina okukyawa ebikolwa eby’obugwenyufu. Ekyo kitegeeza nti tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, nga muno mwe muli n’ebifaananyi eby’obuseegu. (Zab. 119:37; Mat. 5:28) Wadde ng’ekyo kyetaagisa okufuba okw’amaanyi, bwe tukikola Yakuwa atuwa emikisa mingi.
13 Tetusobola kuwangula lutalo olwo mu maanyi gaffe; twetaaga obuyambi bwa Yakuwa. Ddala Yakuwa asobola okutusanyukira singa twesiga maanyi gaffe oba bantu bannaffe? Nedda! Yakuwa “amaanyi g’embalaasi tegamuwuniikiriza, n’amagulu g’omuntu ag’amaanyi tegamwewuunyisa.” (Zab. 147:10) Tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe. Obutafaananako abantu abawi b’amagezi, Yakuwa takoowa kutuwuliriza ne bwe tuba nga tumusabye enfunda n’enfunda. “Yakuwa asanyukira abo abamutya, asanyukira abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka.” (Zab. 147:11) Olw’okuba Yakuwa alina okwagala okutajjulukuka, tuli bakakafu nti ajja kutuyamba okulwanyisa okwegomba okubi kwe tuyinza okuba nakwo.
14. Kiki ekyazzaamu omuwandiisi wa zabbuli amaanyi?
14 Yakuwa atukakasa nti bwe tubeera mu mbeera enzibu ajja kutuyamba. Abayisirayiri bwe baddayo e Yerusaalemi, omuwandiisi wa zabbuli yalowooza ku ngeri Yakuwa gye yali abayambamu era n’agamba nti: “Anyweza ebisiba by’enzigi z’ekibuga kyo; awa abaana bo omukisa. Aleeta emirembe mu kitundu kyo.” (Zab. 147:13, 14) Omuwandiisi wa zabbuli kyamuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda yandinywezezza enzigi z’ekibuga okusobola okukuuma abantu be!
15-17. (a) Oluusi tuwulira tutya nga tufunye ebizibu, era Yakuwa akozesa atya Ekigambo kye okutuyamba? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ekigambo kya Katonda gye ‘kiddukamu embiro.’
15 Oluusi oyinza okufuna ebizibu ne bikuleetera okweraliikirira. Naye Yakuwa asobola okukuwa amagezi okubyaŋŋanga. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti Katonda “aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye kidduka mbiro.” Era oluvannyuma lw’okugamba nti Yakuwa aweereza omuzira, omuwandiisi wa zabbuli yabuuza nti: “Ani ayinza okugumira obunnyogovu bwe?” Yagattako nti Yakuwa ‘atuma ekigambo kye ne gusaanuuka.’ (Zab. 147:15-18) Katonda waffe, oyo asingayo okuba ow’amagezi era ow’amaanyi, era alina obuyinza ku muzira, asobola okukuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna ky’oyinza okwolekagana nakyo.
16 Leero, Yakuwa atuwa obulagirizi ng’akozesa Ekigambo kye Bayibuli. Era “ekigambo kye kidduka mbiro,” kwe kugamba, atuwa obulagirizi mu kiseera kyennyini mwe tuba tubwetaagira. Lowooza ku ngeri gy’oganyulwa mu kusoma Bayibuli, mu kusoma ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” mu kulaba ebyo ebiba ku ttivi yaffe, mu kusoma ebyo ebiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, mu kwogerako n’abakadde, ne mu kukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe. (Mat. 24:45) Okiraba nti ddala Yakuwa ayanguwa okukuwa obulagirizi mu kiseera kyonna w’oba obwetaagira?
17 Simone akirabye nti Katonda akozesezza Ekigambo kye okumuyamba. Simone yali awulira nti talina mugaso era ng’abuusabuusa obanga ddala Katonda asobola okumwagala. Naye buli lwe yawuliranga ng’aweddemu amaanyi, yanyiikiriranga okusaba Yakuwa amuyambe. Era yanyiikira okusoma Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola. Agamba nti: “Nkirabye nti mu buli mbeera gye mpiseemu, Yakuwa abadde ampanirira era abadde ampa obulagirizi.” Ekyo kimuyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu.
18. Nkizo ki ey’ekitalo gy’olina, era kiki ekyandikukubirizza okutendereza Yakuwa?
18 Omuwandiisi wa zabbuli yali akimanyi nti Abayisirayiri baalina enkizo ey’ekitalo. Abantu b’eggwanga lya Isirayiri be bokka abaali baweereddwa “ekigambo” kya Katonda, ‘amateeka ge, n’ennamula ye.’ (Soma Zabbuli 147:19, 20.) Leero, naffe tulina enkizo ey’ekitalo, kubanga ffe ffekka abayitibwa erinnya lya Katonda. Olw’okuba tumanyi Yakuwa era nga tukolera ku Kigambo kye, kitusobozesezza okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli 147, naawe olina ensonga nnyingi kw’osinziira ‘okutendereza Ya!’ n’okukubiriza abalala okumutendereza.