OBADDE OKIMANYI?
Alowe ayogerwako mu Bayibuli kye ki?
Alowe byali bya kaloosa ebyakozesebwanga mu biseera eby’edda. (Yokaana 19:39) Eby’akaloosa ebyo kirabika byaggibwanga mu kika ky’omuti oguyitibwa Agarwood. Omuti ogwo bwe gutandika okuvunda guvaamu amafuta agawunya akawoowo. Omuti ogwo gwaseebwanga ne guggibwamu ensaano ewunya akawoowo eyitibwa “alowe” n’etundibwa.
Bayibuli egeraageranya weema z’Abaisiraeri ku “miti gya alowe Yakuwa gye yasimba.” (Okubala 24:5, 6, NW) Ekyo kituukirawo bulungi ku kikula ky’omuti oguyitibwa Agarwood oguyinza okuweza obuwanvu bwa ffuuti nga 100. Wadde nga mu kiseera kino omuti ogwo teguliiyo mu Isiraeri, ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti: “Omuti ogwo n’emiti emirala egitamanyiddwa [mu kitundu ekyo] gyasimbibwanga mu kiwonvu kya Yoludaani ekyali ekigimu ennyo mu kiseera ekyo.”
Biweebwayo bya ngeri ki ebyakkirizibwanga mu yeekaalu e Yerusaalemi?
Katonda yalagira Abaisiraeri okutwalanga mu yeekaalu ebiweebwayo ebisingayo obulungi. Ekiweebwayo ekyabangako obulemu, Katonda teyakikkirizanga. (Okuva 23:19; Eby’Abaleevi 22:21-24) Okusinziira ku muwandiisi w’ebitabo Omuyudaaya ayitibwa Philo eyaliwo mu kyasa ekyasooka embala eno, bakabona beekebejjanga ekisolo “okuva ku mutwe okutuuka ku bigere” okukakasa nti kiramu bulungi era nti “tekiriiko bulemu bwonna.”
Omuwandiisi omulala ayitibwa E. P. Sanders agamba nti “abantu abakkirizibwanga okutunda ebisolo oba ebinyonyi eby’okuwaayo mu yeekaalu baatundanga ebyo byokka bakabona bye baabanga bamaze okwekebejja. Oyo eyabanga atunze ekisolo yawanga oyo eyabanga akiguze akayinja akalaga nti ekyo ky’amuguzizza tekiriiko bulemu bwonna.”
Mu 2011, abayiikuula eby’omu ttaka baazuula akamu ku buyinja obwo okumpi n’awaali yeekaalu. Kaakamala emyaka nga 2,000. Ebigambo ebibiri eby’Olulamayiki ebikaliko byavvuunulwa nti “Kitukuvu eri Katonda.” Kigambibwa nti abakungu b’omu yeekaalu baateekanga obuyinja obwo ku bintu oba ku nsolo ezaaweebwangayo nga ssaddaaka.