ESSOMO 36
Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
Buli muntu ayagala okuba n’ab’emikwano abeesigwa. Yakuwa naye ayagala mikwano gye babe beesigwa. Naye si kyangu okubeera omwesigwa, olw’okuba abantu abasinga obungi mu nsi si beesigwa. Miganyulo ki egiri mu kuba abeesigwa mu bintu byonna?
1. Ensonga esinga obukulu lwaki tulina okuba abeesigwa y’eruwa?
Bwe tuba abeesigwa, tuba tulaga Yakuwa nti tumwagala era nti tumussaamu ekitiibwa. Kirowoozeeko: Yakuwa amanyi buli kimu kye tulowooza, era alaba buli kimu kye tukola. (Abebbulaniya 4:13) Bwe tusalawo okuba abeesigwa akiraba era kimusanyusa. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.”—Engero 3:32.
2. Tuyinza tutya okukiraga nti tuli beesigwa?
Yakuwa ayagala ‘twogere amazima buli omu eri munne.’ (Zekkaliya 8:16, 17) Ekyo kitegeeza ki? Ka tube nga twogera na ba mu maka gaffe, bakozi bannaffe, bakkiriza bannaffe, oba bakungu ba gavumenti, tetulina kubalimba oba kubabuzaabuza. Abantu abeesigwa tebabba era tebakumpanya muntu yenna. (Soma Engero 24:28 ne Abeefeso 4:28.) Era basasula emisolo gyonna gye balina okusasula. (Abaruumi 13:5-7) Mu mbeera ezo n’endala, “twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”—Abebbulaniya 13:18.
3. Miganyulo ki egiri mu kubeera abeesigwa?
Bwe tuba nga tumanyiddwa nti tuli beesigwa, abalala batwesiga. Bwe tuba abeesigwa kyongera okuleetawo obumu n’emirembe mu kibiina, era tuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Ate era ‘tulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda,’ ekiyinza okuviirako abalala okutandika okumuweereza.—Tito 2:10.
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri Yakuwa gy’akwatibwako bw’obeera omwesigwa, era n’engeri gy’oganyulwamu. Era laba engeri gy’oyinza okuba omwesigwa mu mbeera ezitali zimu mu bulamu.
4. Yakuwa ayagala abaweereza be okuba abeesigwa
Soma Zabbuli 44:21 ne Malaki 3:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki si kya magezi okulowooza nti tusobola okukweka amazima?
Olowooza Yakuwa awulira atya bwe tusalawo okwogera amazima ne bwe kiba nti si kyangu?
5. Beera mwesigwa ekiseera kyonna
Abantu bangi balowooza nti oluusi tekiba kya magezi kubeera mwesigwa. Naye laba ensonga lwaki tusaanidde okubeera abeesigwa mu mbeera zonna. Laba VIDIYO.
Soma Abebbulaniya 13:18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okuba abeesigwa . . .
mu maka.
ku mulimu oba ku ssomero.
mu mbeera endala.
6. Bwe tuba abeesigwa tuganyulwa
Oluusi tuyinza okufuna ebizibu olw’okubeera abeesigwa. Naye mu nkomerero, ebivaamu biba birungi. Soma Zabbuli 34:12-16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okuba omwesigwa kikuganyula kitya mu bulamu?
Omwami n’omukyala bwe baba abeesigwa buli omu eri munne, obufumbo bwabwe buba bunywevu
Abakozi abeesigwa, bakama baabwe baba babeesiga
Abatuuze abeesigwa baba n’erinnya eddungi eri ab’obuyinza
ABAMU BAGAMBA NTI: “Si kikyamu okulimbako akatono.”
Lwaki Yakuwa akyawa obulimba bwonna?
MU BUFUNZE
Yakuwa ayagala mikwano gye babeere beesigwa mu byonna bye boogera ne bye bakola.
Okwejjukanya
Ngeri ki ez’enjawulo ze tuyinza okulagamu nti tuli beesigwa?
Lwaki si kya magezi okulowooza nti tusobola okukweka amazima?
Lwaki oyagala okubeera omwesigwa mu bintu byonna?
LABA EBISINGAWO
Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe okubeera abeesigwa?
Miganyulo ki egiri mu kutuukiriza bye tuba tusuubizza?
Laba ensonga lwaki tulina okusasula emisolo, wadde nga giyinza okuba nga tegikozesebwa bulungi.
“Emisolo—Oteekeddwa Okugisasula?” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2011)
Kiki ekyaleetera omusajja ataali mwesigwa okukyusa obulamu bwe n’atandika okubeera omwesigwa?
“Nnayiga nti Yakuwa Musaasizi era Asonyiwa” (Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 1, 2015)