EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8
Lwaki Osaanidde Okukiraga nti Osiima?
“Mulage nti musiima.”—BAK. 3:15.
OLUYIMBA 46 Tukwebaza Yakuwa
OMULAMWAa
1. Omusamaliya Yesu gwe yawonya yayoleka atya okusiima?
ABASAJJA kkumi baali mu mbeera mbi nnyo. Baalina ebigenge era tebaalina ssuubi lyonna nti bandiwonye. Naye lumu baba bali awo ne balengera Yesu, Omuyigiriza Omukulu. Baali bakiwuliddeko nti Yesu yali asobola okuwonya endwadde eza buli ngeri era baali bakakafu nti nabo yali asobola okubawonya. Baakoowoola Yesu ne bagamba nti: “Yesu, Omuyigiriza, tusaasire!” Abasajja abo ekkumi bonna baawonyezebwa. Awatali kubuusabuusa bonna baasiima ekyo Yesu kye yabakolera. Naye omu ku bo ye yekka eyayoleka okusiima okwo.b Yeebaza Yesu olw’ekyo kye yali amukoledde. Omusamaliya oyo yakwatibwako nnyo ne kimuleetera okutendereza Katonda “mu ddoboozi ery’omwanguka.”—Luk. 17:12-19.
2-3. (a) Lwaki oluusi tuyinza okulemererwa okukyoleka nti tusiima? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Okufaananako Omusamaliya oyo, twagala okukiraga nti tusiima abo abatulaga ekisa. Naye oluusi tusobola okwerabira okukyoleka mu bigambo oba mu bikolwa nti tusiimye abalala olw’ekyo kye batukoledde.
3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okwoleka okusiima mu bigambo ne mu bikolwa. Tujja kubaako bye tuyigira ku bamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaalaga okusiima n’abo abataalaga kusiima. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukiraga nti tusiima.
LWAKI TUSAANIDDE OKUKYOLEKA NTI TUSIIMA?
4-5. Lwaki tusaanidde okukyoleka nti tusiima?
4 Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okusiima. Engeri emu gy’ayolekamu okusiima kwe kuwa empeera abo abakola ebimusanyusa. (2 Sam. 22:21; Zab. 13:6; Mat. 10:40, 41) Ate Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okukoppa Katonda ng’abaana abaagalwa.’ (Bef. 5:1) N’olwekyo ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okwoleka okusiima eri nti twagala okukoppa Yakuwa.
5 Lowooza ku nsonga endala eyanditukubirizza okukyoleka nti tusiima. Okusiima kuyinza okugeraageranyizibwa ku kijjulo ekirungi; ekijjulo ekyo kituwoomera nnyo bwe tukiriira awamu n’abalala. Bwe tukimanya nti abalala basiima ebyo bye tukola, kitusanyusa. Bwe tukyoleka eri abalala nti tubasiima, kibasanyusa. Omuntu gwe tusiima akimanya nti aba teyateganidde bwereere okutuyamba oba okutuwa ekintu kye tubadde twetaaga. N’ekivaamu, omukwano gwaffe n’omuntu oyo gweyongera okunywera.
6. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’ebigambo ebyoleka okusiima ne apo eza zzaabu?
6 Ebigambo bye twogera okulaga nti tusiima bya muwendo nnyo. Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu kiringa apo eza zzaabu eziri mu bbakuli eza ffeeza.” (Nge. 25:11) Apo eya zzaabu eteekeddwa mu bbakuli eya ffeeza eba erabika bulungi nnyo! Ate era apo eyo eba ya muwendo nnyo! Wandiwulidde otya singa bakuwa ekirabo ng’ekyo? Ebigambo bye twogera nga tusiima abalala bisobola okuba eby’omuwendo ng’ekirabo ekyo. Lowooza ne ku kino: Apo eya zzaabu esobola okubaawo okumala ekiseera kiwanvu nnyo. Mu ngeri y’emu, ebigambo by’oyogera ng’osiima omuntu, omuntu oyo asobola okubijjukira obulamu bwe bwonna.
BAAKIRAGA NTI BASIIMA
7. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 27:4, Dawudi n’abawandiisi ba zabbuli abalala baayoleka batya okusiima kwabwe?
7 Waliwo abaweereza ba Katonda bangi mu biseera eby’edda abaakiraga nti basiima. Omu ku bo ye Dawudi. (Soma Zabbuli 27:4.) Dawudi yali asiima nnyo okusinza okw’amazima era ekyo kyeyolekera mu bintu bye yakola. Yawaayo eby’obugagga bye bingi okuyambako mu mulimu gw’okuzimba yeekaalu. Bazzukulu ba Asafu nabo baayoleka okusiima bwe baawandiika zabbuli ezitali zimu oba ennyimba ez’okutendereza. Mu lumu ku nnyimba ze baawandiika, beebaza Yakuwa Katonda era ne bakiraga nti basiima ‘ebikolwa bye eby’ekitalo.’ (Zab. 75:1) Dawudi ne bazzukulu ba Asafu baali baagala okulaga Yakuwa nti baali basiima emikisa gyonna gye yali abawadde. Oyinza okulowooza ku ngeri gy’oyinza okukoppamu abawandiisi ba zabbuli abo?
8-9. Omutume Pawulo yakyoleka atya nti yali asiima bakkiriza banne, era ekyo kiyinza kuba nga kyavaamu ki?
8 Omutume Pawulo yasiima bakkiriza banne era ekyo yakyoleka mu ngeri gye yaboogerangako. Yeebazanga Katonda ku lwabwe mu ssaala ze yasabanga. Era yakiraga nti abasiima mu bbaluwa ze yabawandiikira. Mu nnyiriri 15 ezisooka mu Abaruumi 16, Pawulo yamenya amannya ga bakkiriza banne 27. Pawulo yayogera ku Pulisika ne Akula n’agamba nti ‘bassa obulamu bwabwe mu kabi’ ku lulwe, era yayogera ku Feyibe n’agamba nti “yayamba bangi,” nga mw’otwalidde ne Pawulo. Yasiima nnyo bakkiriza banne abo abaali baweereza Katonda n’obunyiikivu.—Bar. 16:1-15.
9 Pawulo yali akimanyi nti bakkiriza banne abo baali tebatuukiridde, naye mu bigambo bye yawandiika ng’afundikira ebbaluwa ye eri Abaruumi, yasalawo okussa essira ku ngeri zaabwe ennungi. Lowooza ku ngeri ab’oluganda abo ne bannyinaffe gye baakwatibwako bwe baawulira ng’ebbaluwa eyo esomebwa mu kibiina! Bateekwa okuba nga beeyongera okwagala Pawulo. Otera okukyoleka nti osiima baganda bo mu kibiina kyo olw’ebintu ebirungi bye boogera oba bye bakola?
10. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yakyolekamu nti asiima abagoberezi be?
10 Mu bubaka bwe yaweereza ebibiina ebimu eby’omu Asiya Omutono, Yesu yakyoleka nti yali asiima omulimu abagoberezi be gwe baali bakola. Ng’ekyokulabirako, mu bubaka bwe yaweereza ekibiina ky’e Suwatira, yatandika agamba nti: “Mmanyi ebikolwa byo, okwagala kwo, okukkiriza kwo, obuweereza bwo n’obugumiikiriza bwo, era mmanyi nti ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga eby’olubereberye.” (Kub. 2:19) Yesu teyakoma ku kwogera ku ngeri ab’oluganda abo gye baali bagaziyizzaamu obuweereza bwabwe, naye era yabasiima n’olw’engeri ennungi ze baalina ezaali zibaleetera okukola ebintu ebirungi. Wadde nga Yesu kyali kimwetaagisa okuwabula abamu mu kibiina ky’e Suwatira, yatandika era n’afundikira obubaka bwe ng’abazzaamu amaanyi. (Kub. 2:25-28) Lowooza ku buyinza Yesu bw’alina ng’omutwe gw’ebibiina byonna. Tekimukakatako kutwebaza olw’omulimu gwe tumukolera. Wadde kiri kityo, akiraga nti atusiima. Mu butuufu, Yesu ateerawo abakadde ekyokulabirako ekirungi!
TEBAALAGA KUSIIMA
11. Nga bwe kiragibwa mu Abebbulaniya 12:16, Esawu yali atwala atya ebintu ebitukuvu?
11 Eky’ennaku, abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli tebaalaga kusiima. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Esawu yakuzibwa abazadde abaali baagala Yakuwa era nga bamussaamu ekitiibwa, ye yali tasiima bintu bitukuvu. (Soma Abebbulaniya 12:16.) Yakyoleka atya nti yali tasiima? Esawu yasalawo okutunda omugabo gwe ogw’omwana omubereberye eri muto we Yakobo, asobole okumuwa essowaani y’enva. (Lub. 25:30-34) Oluvannyuma Esawu yejjusa kye yakola. Naye olw’okuba yali talaze nti yali asiima enkizo gye yalina, yali talina w’asinziira kwemulugunya olw’obutafuna mugabo gw’omwana omubereberye.
12-13. Abayisirayiri baakiraga batya nti baali tebasiima, era biki ebyavaamu?
12 Abayisirayiri baalina ensonga nnyingi kwe bandisinzidde okulaga nti basiima. Yakuwa yabanunula mu buddu oluvannyuma lw’okuleeta Ebibonyoobonyo Ekkumi ku nsi ya Misiri. Ate era Katonda yabalwanirira bwe yasaanyaawo eggye lya Misiri mu nnyanja Emmyufu. Abayisirayiri baasiima nnyo Yakuwa ne bayimba oluyimba olw’obuwanguzi olumutendereza. Naye baasigala basiima?
13 Abayisirayiri bwe baafuna ebizibu ebirala, beerabira mangu ebirungi byonna Yakuwa bye yali abakoledde. Baakiraga nti baali tebasiima. (Zab. 106:7) Mu ngeri ki? ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri kyatandika okwemulugunya ku Musa ne Alooni’; mu butuufu baali beemulugunya ku Yakuwa. (Kuv. 16:2, 8) Yakuwa yawulira bubi nnyo olw’obutasiima abantu be bwe baayoleka. Oluvannyuma Yakuwa yagamba nti omulembe ogwo gwonna gwali gugenda kufiira mu ddungu, okuggyako Yoswa ne Kalebu. (Kubal. 14:22-24; 26:65) Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okwewala okukoppa ebyokulabirako ebyo ebibi, tukoppe ebirungi.
KIRAGE NTI OSIIMA
14-15. (a) Omwami n’omukyala buli omu ayinza atya okukiraga nti asiima munne? (b) Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe okulaga okusiima?
14 Mu maka. Ab’omu maka bonna baganyulwa nnyo buli omu ku bo bw’akiraga nti asiima. Omwami n’omukyala gye bakoma okulaga nti buli omu asiima munne, enkolagana yaabwe gy’ekoma okweyongera okunywera. Ate era kibabeerera kyangu okusonyiwagana. Omusajja asiima mukyala we takoma ku kulaba bintu birungi mukyala we by’akola naye era “asituka n’amutendereza.” (Nge. 31:10, 28) Ate era omukyala ow’amagezi ategeeza omwami we ebintu by’amusiimako.
15 Abazadde, muyinza mutya okuyigiriza abaana bammwe okulaga okusiima? Kijjukirenga nti abaana bo bakoppa ebyo by’oyogera ne by’okola. N’olwekyo bateerewo ekyokulabirako ekirungi ng’obeebaza bwe bakukolera ebintu ebirungi. Ate era yigiriza abaana bo okwebaza abalala nga baliko kye babakoledde. Yamba abaana bo okukitegeera nti okusiima kulina okuviira ddala ku mutima era nti ebigambo bye boogera nga basiima abalala birina kinene kye bikola. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu ayitibwa Clary agamba nti: “Maama wange yasigala bw’omu ku myaka 32, ng’alina okukuza abaana basatu yekka. Bwe nnaweza emyaka 32, nnalowooza ku buzibu maama bwe yalimu ku myaka egyo. Bwe kityo, nnamugamba nti mmusiima nnyo olw’ebyo byonna bye yeefiiriza okusobola okutukuza, nze awamu ne bannyinaze ababiri. Gye buvuddeko awo maama yaŋŋamba nti asiima nnyo ebigambo bye nnamugamba, era nti atera okubifumiitirizaako, era nti bimuzzaamu nnyo amaanyi.”
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okulaga okusiima gye kiyinza okuzzaamu abalala amaanyi.
16 Mu kibiina. Bwe tukiraga nti tusiima baganda baffe ne bannyinaffe, kibazzaamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, omukadde ow’emyaka 28 ayitibwa Jorge yafuna obulwadde obw’amaanyi. Yamala omwezi mulamba nga tasobola kugenda mu nkuŋŋaana. Ne bwe yaddamu okugenda mu nkuŋŋaana yali tasobola kukubiriza bitundu. Jorge agamba nti: “Nnawulira nga sirina mugaso olw’obulwadde obwali bunnuma n’olw’okuba nti nnali sikyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwange mu kibiina. Naye lumu oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, ow’oluganda omu yajja n’aŋŋamba nti: ‘Nkwebaza nnyo olw’ekyokulabirako ekirungi ky’oteereddewo amaka gange. Tunyumiddwa nnyo emboozi z’ozze owa mu myaka egiyise. Zituyambye okukula mu by’omwoyo.’ Ebigambo ebyo byankwatako nnyo ne bindeeta n’ebiyengeyenge. Ebyo bye bigambo bye nnali nneetaaga okuwulira mu kiseera ekyo.”
17. Nga bwe kiragibwa mu Abakkolosaayi 3:15, tuyinza tutya okulaga nti tusiima Yakuwa olw’ebirungi by’atuwa?
17 Eri Katonda waffe omugabi. Yakuwa atuwa emmere nnyingi ey’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, tufuna amagezi amalungi okuyitira mu nkuŋŋaana zaffe, mu magazini zaffe, ne ku mukutu gwaffe. Wali omaze okuwuliriza emboozi, okusoma ekitundu ekimu, oba okulaba ttivi yaffe muli n’ogamba nti, ‘Kino kyennyini kye mbadde nneetaaga’? Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa? (Soma Abakkolosaayi 3:15.) Engeri emu gye tukiragamu kwe kumwebazanga bulijjo mu ssaala zaffe olw’ebirabo ebyo ebirungi.—Yak. 1:17.
18. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka?
18 Ate era tukiraga nti tusiima Yakuwa nga tukuuma ebifo we tumusinziza nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi. Tusaanidde okwenyigiranga mu kuyonja n’okuddaabiriza Ebizimbe byaffe by’Obwakabaka, era n’abo abakola ku byuma by’amaloboozi basaanidde okubikwata obulungi. Bwe tukuuma Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka nga biri mu mbeera nnungi, kibiviirako okuwangaala era biba tebyetaagisa kuddaabiriza kwa maanyi. Mu ngeri eyo tuba tukkekkereza ssente ne kisobozesa okuzimba oba okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka ebirala okwetooloola ensi.
19. Kiki ky’oyigidde ku mulabirizi w’ekitundu omu ne mukyala we?
19 Abo abakola ennyo ku lwaffe. Bwe tukiraga nti tusiima, ebigambo byaffe bisobola okuleetera omuntu okukyusa endowooza gy’alina ku kusoomooza kw’ayolekagana nakwo. Lowooza ku mulabirizi omu eyali akyalira ebibiina awamu ne mukyala we. Lumu mu kiseera ky’obutiti baamala olunaku lulamba nga babuulira era oluvannyuma ne baddayo gye baali basula nga bakooye nnyo. Obudde bwali bunnyogoga nnyo ne kiba nti mukyala we yasula mu kikooti. Enkeera ku makya, mukyala w’omulabirizi oyo yamugamba nti yali takyasobola kweyongerayo mu buweereza obw’okukyalira ebibiina. Nga wayise essaawa ntono, baafuna ebbaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi era ng’ebbaluwa eyo baali bagiwandiikidde mukyala w’omulabirizi. Mu bbaluwa eyo baamwebaza olw’obuweereza bwe n’olw’okuba omugumiikiriza. Baamugamba nti baali bakimanyi bulungi nti si kyangu kusula mu bifo eby’enjawulo buli wiiki. Omwami we agamba nti: “Ebbaluwa eyo yakwata nnyo ku mukyala wange ne kiba nti teyaddamu kwogera ku kya kuva mu buweereza obw’okukyalira ebibiina. Mu butuufu, emirundi mingi bwe nnawuliranga nga njagala okuva mu buweereza obwo, yankubirizanga obutabuvaamu.” Ow’oluganda oyo ne mukyala we baakola omulimu ogw’okukyalira ebibiina okumala emyaka nga 40.
20. Kiki kye tusaanidde okufuba okukola buli lunaku, era lwaki?
20 Ka buli lunaku tukyoleke mu bigambo ne mu bikolwa nti tusiima abalala. Ebigambo oba ebikolwa byaffe ebyoleka okusiima, omuntu ayinza okuba nga bye yeetaaga okusobola okwaŋŋanga ebizibu by’ayolekagana nabyo buli lunaku mu nsi eno ejjudde abantu abatasiima. Ate era bwe tusiima abalala kituyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe nabo. N’ekisinga obukulu, tuba tukoppa Yakuwa, Kitaffe Omugabi era asiima abalala.
OLUYIMBA 20 Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo
a Kiki kye tuyinza okuyigira ku Yakuwa, Yesu, n’Omusamaliya omugenge bwe kituuka ku kulaga nti tusiima? Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyokulabirako ebyo n’ebirala. Tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okukiraga nti tusiima, era tulabe n’engeri gye tuyinza okukikolamu.
b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Okusiima omuntu oba ekintu kitegeeza okutwala omuntu oba ekintu ekyo nga kya muwendo. Okusiima nneewulira eviira ddala ku mutima.
c EKIFAANANYI: Ebbaluwa ya Pawulo ng’esomebwa eri ab’omu kibiina ky’e Rooma; Akula, Pulisikira, Feyibe, n’abalala basanyufu okuwulira ng’amannya gaabwe googerwako.
d EKIFAANANYI: Maama ng’atendeka muwala we okusiima mwannyinaffe akaddiye olw’ekyokulabirako ekirungi kye yataddewo.