ESSOMO 42
Bayibuli Eyogera Ki ku Kuba Omufumbo n’Obutaba Mufumbo?
Mu buwangwa obumu, abantu bangi balowooza nti omuntu tasobola kuba musanyufu okuggyako nga mufumbo. Kyokka tekiri nti abafumbo bonna basanyufu. Ate era, tekiri nti buli atali mufumbo si musanyufu. Bayibuli egamba nti okuba omufumbo n’obutaba mufumbo byombi birabo okuva eri Katonda.
1. Egimu ku miganyulo egiri mu butaba mufumbo gye giruwa?
Bayibuli egamba nti: “Oyo ayingira obufumbo aba akoze bulungi, naye oyo asigala nga si mufumbo y’asingako.” (Soma 1 Abakkolinso 7:32, 33, 38.) Mu ngeri ki oyo asigala nga si mufumbo ‘gy’asinga’ omufumbo? Olw’okuba Abakristaayo abatali bafumbo tebaba na buvunaanyizibwa bwa bufumbo, baba n’eddembe erisingako. Ng’ekyokulabirako, abamu bayinza okugaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa mu ngeri ezitali zimu, gamba ng’okugenda okubuulira amawulire amalungi mu nsi endala. N’ekisinga obukulu, baba n’obudde obusingako obw’okweyongera okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.
2. Egimu ku miganyulo egiri mu bufumbo obukkirizibwa mu mateeka gye giruwa?
Okufaananako obutaba mufumbo, obufumbo nabwo bulimu emiganyulo mingi. Bayibuli egamba nti “ababiri basinga omu.” (Omubuulizi 4:9) Ekyo kiri kityo, naddala singa abafumbo Abakristaayo bakolera ku misingi gya Bayibuli mu bufumbo bwabwe. Omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa mu mateeka, beeyama buli omu okwagala munne n’okumuwa ekitiibwa. N’ekivaamu, bawulira nga balina obukuumi mu bufumbo bwabwe okusinga abo ababeera obubeezi awamu nga tebafumbiriganwanga mu mateeka. Ate era obufumbo obukkirizibwa mu mateeka busobozesa abazadde okukuza obulungi abaana baabwe.
3. Yakuwa atwala atya obufumbo?
Yakuwa bwe yatandikawo obufumbo obwasooka, yagamba nti: ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’ (Olubereberye 2:24) Yakuwa ayagala omwami n’omukyala baagalane era buli omu anywerere ku munne. Yakuwa takkiriza bafumbo kugattululwa, okuggyako ng’omu ku bo ayenze. Mu mbeera eyo, atalina musango Yakuwa amuwa eddembe okusalawo obanga anaagattululwa ne munne oba nedda.a (Matayo 19:9) Yakuwa takkiriza musajja kuwasa bakazi basukka mu omu.—1 Timoseewo 3:2.
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri gy’oyinza okuba omusanyufu era n’engeri gy’oyinza okusanyusaamu Yakuwa, k’obe ng’oli mufumbo oba nga toli mufumbo.
4. Kozesa bulungi ekirabo eky’obutaba mufumbo
Omuntu okusigala nga si mufumbo Yesu yakitwala ng’ekirabo. (Matayo 19:11, 12) Soma Matayo 4:23, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Yesu yakozesa atya ekirabo eky’okusigala nga si mufumbo, okuweereza Kitaawe n’okuyamba abalala?
Abakristaayo abatali bafumbo basobola okufuna essanyu mu kukozesa obulungi ekirabo kyabwe ekyo nga Yesu bwe yakola. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Abakristaayo abatali bafumbo bayinza batya okukozesa obulungi ekirabo kyabwe ekyo?
Obadde okimanyi?
Bayibuli tewa myaka muntu gy’alina kusooka kuweza okusobola okuyingira obufumbo. Kyokka ekubiriza omuntu okulindako okuyingira obufumbo okutuusa ng’amaze “okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka,” nga kino kye kiseera omuntu lw’aba ng’ayagala nnyo eby’okwegatta, ne kiba nti kiyinza okumulemesa okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—1 Abakkolinso 7:36.
5. Kozesa amagezi ng’olonda oyo gw’onoowasa oba gw’onoofumbirwa
Okulonda omuntu gw’onoowasa oba gw’onoofumbirwa, kye kimu ku bintu ebisinga obukulu by’oyinza okusalawo mu bulamu. Soma Matayo 19:4-6, 9, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki Omukristaayo tasaanidde kwanguyiriza kuwasa oba kufumbirwa?
Bayibuli esobola okukuyamba okumanya by’osaanidde okunoonya mu muntu gw’oyagala okuwasa oba okufumbirwa. Ekisinga obukulu, noonya omuntu ayagala Yakuwa.b Soma 1 Abakkolinso 7:39 ne 2 Abakkolinso 6:14. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki omuntu gwe tuwasa oba gwe tufumbirwa alina kuba Mukristaayo munnaffe?
Olowooza Yakuwa awulira atya bwe tuwasa oba bwe tufumbirwa omuntu atamwagala?
6. Obufumbo butwale nga Yakuwa bw’abutwala
Mu Isirayiri ey’edda, abasajja abamu baagobanga bakazi baabwe nga beekwasa obusonga obutaliimu. Soma Malaki 2:13, 14, 16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki Yakuwa akyawa abo abagattululwa nga basinziira ku nsonga endala etali ya bwenzi?
Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Munno mu bufumbo bw’aba nga si muweereza wa Yakuwa, biki by’oyinza okukola obufumbo bwo okusobola okubaamu essanyu?
7. Kolera ku Mitindo gya Katonda Egikwata ku Bufumbo
Kiyinza okwetaagisa okufuba ennyo okusobola okukolera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku bufumbo.c Naye Yakuwa awa omukisa abo abafuba okugikolerako. Laba VIDIYO.
Soma Abebbulaniya 13:4, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Olowooza emitindo gya Yakuwa egikwata ku bufumbo gikugira nnyo? Lwaki ogamba bw’otyo?
Yakuwa ayagala Abakristaayo bawandiise obufumbo bwabwe oba okugattululwa kwabwe. Ekyo ne gavumenti z’amawanga mangi kye zeetaagisa abo abaagala okufumbiriganwa oba okugattululwa. Soma Tito 3:1, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Bw’oba ng’oli mufumbo, oli mukakafu nti obufumbo bwammwe bukkirizibwa mu mateeka?
OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Ddala kyetaagisa okuwandiisa obufumbo mu mateeka? Tetusobola kubeera bubeezi wamu?”
Wandizzeemu otya?
MU BUFUNZE
Okuba omufumbo n’obutaba mufumbo byombi birabo okuva eri Yakuwa. Abafumbo n’abatali bafumbo bonna basobola okuba abasanyufu singa bakola Katonda by’ayagala.
Okwejjukanya
Omuntu ayinza atya okukozesa obulungi ekirabo kye eky’obutaba mufumbo?
Lwaki Bayibuli egamba nti oyo gwe tuwasa oba gwe tufumbirwa alina kuba Mukristaayo munnaffe?
Nsonga ki yokka mu Byawandiikibwa, abafumbo gye bayinza okusinziirako okugattululwa?
LABA EBISINGAWO
Kitegeeza ki okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka”?
“Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2004)
Laba vidiyo bbiri ezinaakuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku kwogerezeganya ne ku bufumbo.
Laba ensonga lwaki ow’oluganda omu agamba nti ebyo Yakuwa by’amukoledde bisingira wala ebyo bye yeefiiriza.
Biki omuntu bye yandirowoozezzaako nga tannasalawo kugattululwa oba kwawukana ne munne mu bufumbo?
“Ssa Ekitiibwa mu Ekyo ‘Katonda ky’Agasse Awamu’” (Omunaala gw’Omukuumi, Ddesemba, 2018)
a Laba Ebyongerezeddwako 4 ebikwata ku bafumbo okwawukana nga tewali ayenze.
b Mu buwangwa obumu, abazadde be banoonyeza omwana waabwe omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Bwe kiba kityo mu buwangwa bwammwe, abazadde abalungi tebajja kukulembeza ssente oba bitiibwa, wabula bajja kunoonyeza omwana waabwe omuntu ayagala Yakuwa.
c Bw’oba ng’obeera n’omuntu naye nga temufumbiriganwanga mu mateeka, ggwe olina okusalawo okumuleka oba okusigala naye.