ESSUULA 10
Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
“Omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.”—OMUBUULIZI 4:12.
1, 2. (a) Kiki abo ababa baakafumbiriganwa kye baba basuubira? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu ssuula eno?
LOWOOZA ku musajja n’omukazi ababa baakagattibwa. Baba beesunga ebirungi bingi mu biseera byabwe eby’omu maaso. Baba basuubira nti obufumbo bwabwe bujja kuwangaala era nti bujja kubaamu essanyu.
2 Kyokka obufumbo bungi obutandika obulungi tebusigala nga bulimu essanyu. Obufumbo okusobola okuwangaala n’okusigala nga bulimu essanyu, omwami n’omukyala balina okukolera ku bulagirizi bwa Katonda. Kati ka tulabe engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bino: Miganyulo ki egiri mu bufumbo? Bw’oba oyagala okuyingira obufumbo, oyinza otya okulonda obulungi oyo gw’onoofumbiriganwa naye? Oyinza otya okuba omwami oba omukyala omulungi? Kiki ekisobozesa obufumbo okuwangaala?—Soma Engero 3:5, 6.
NNYINGIRE OBUFUMBO?
3. Omuntu okusobola okuba omusanyufu alina kuba mufumbo? Nnyonnyola.
3 Abantu abamu balowooza nti omuntu tasobola kuba musanyufu okuggyako nga mufumbo. Naye ekyo si kituufu. Yesu yagamba nti omuntu okusigala nga si mufumbo kirabo. (Matayo 19:11, 12) N’omutume Pawulo yakiraga nti waliwo emiganyulo omuntu gy’afuna mu kusigala nga si mufumbo. (1 Abakkolinso 7:32-38) Kiri eri ggwe okwesalirawo okuyingira obufumbo oba obutabuyingira. Tokkiriza mikwano gyo, ba ŋŋanda zo, oba bantu balala kukupikiriza kuyingira bufumbo.
4. Egimu ku miganyulo egiri mu bufumbo obulungi gye giruwa?
4 Bayibuli egamba nti n’obufumbo kirabo okuva eri Katonda era waliwo emiganyulo omuntu gy’asobola okufuna mu bufumbo. Bwe yamala okutonda Adamu, omusajja eyasooka, Yakuwa yagamba nti: “Si kirungi omusajja okweyongera okubeeranga yekka. Ŋŋenda kumukolera omuyambi; omuntu amusaanira.” (Olubereberye 2:18) Yakuwa yatonda Kaawa n’amuwa Adamu okuba mukyala we, era abo be bafumbo abaasooka. Omwami n’omukyala bwe bazaala abaana, basaanidde okukolera awamu okukuza abaana baabwe. Naye okuzaala si ye nsonga yokka eyandireetedde omuntu okuyingira obufumbo.—Zabbuli 127:3; Abeefeso 6:1-4.
5, 6. Obufumbo buyinza butya okuba ‘ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu’?
5 Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Ababiri basinga omu, kubanga bafuna empeera ennungi olw’ebyo bye bafuba okukola. Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka. Naye omuntu bw’aba yekka n’agwa, ani ayinza okumuyamba okusituka? . . . N’omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.”—Omubuulizi 4:9-12.
6 Obufumbo obulungi bw’ebwo obulimu omwami n’omukyala nga buli omu afuba okuyamba munne, ng’afuba okumubudaabuda, era nga bombi bakuumagana. Omwami n’omukyala bwe baba baagalana obufumbo bwabwe buba bunywevu. Naye bombi bwe baba basinza Yakuwa buba bunywevu nnyo n’okusingawo. Mu ngeri eyo obufumbo bwabwe buba ‘ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu.’ Omuguwa ogw’emiyondo esatu guba mugumu nnyo okusinga ogw’emiyondo ebiri. Obufumbo bwe bubaamu Yakuwa buba bunywevu nnyo.
7, 8. Pawulo yawa magezi ki ku bufumbo?
7 Omusajja n’omukazi abafumbo be bokka abakkirizibwa okwegatta, era ekyo kisobola okubaleetera essanyu. (Engero 5:18) Naye singa omuntu ayingira obufumbo olw’okwagala obwagazi okwegatta, ayinza okusalawo mu ngeri etali ya magezi ng’alonda omuntu ow’okufumbiriganwa naye. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti omuntu asaanidde okuyingira obufumbo ng’amaze okuyita “mu kiseera ekya kabuvubuka,” ekiseera omuntu w’abeerera ng’ayagala nnyo okwegatta. (1 Abakkolinso 7:36) Kiba kya magezi omuntu okulindako okuyingira obufumbo okutuusa ng’ayise mu kiseera ekyo. Ekyo kisobola okumuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ng’alonda ow’okufumbiriganwa naye.—1 Abakkolinso 7:9; Yakobo 1:15.
8 Bw’oba olowooza ku kuyingira obufumbo osaanidde okukimanya nti obufumbo bwonna bubaamu ebizibu. Pawulo yagamba nti abo abayingira obufumbo “bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe.” (1 Abakkolinso 7:28) N’obufumbo obulungi bubaamu ebizibu. N’olwekyo, bw’osalawo okuyingira obufumbo, londa n’amagezi oyo gw’onoofumbiriganwa naye.
ANI GWE NSAANIDDE OKUFUMBIRIGANWA NAYE
9, 10. Kiki ekiyinza okubaawo singa Omukristaayo asalawo okufumbiriganwa n’omuntu atasinza Yakuwa?
9 Kikulu okujjukira omusingi gwa Bayibuli guno ng’olonda ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa: “Temwegattanga wamu na batali bakkiriza.” (2 Abakkolinso 6:14) Singa ensolo bbiri ezitenkanankana bunene oba maanyi zisibibwa ku kikoligo kimu okulima, zombi zikaluubirirwa. Mu ngeri y’emu, singa omuweereza wa Yakuwa afumbiriganwa n’omuntu ataweereza Yakuwa, bombi basobola okufuna ebizibu bingi. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.”—1 Abakkolinso 7:39.
10 Abakristaayo abamu balowooza nti okufumbiriganwa n’omuntu atasinza Yakuwa kisinga okusigala obw’omu. Kyokka bwe tutagoberera misingi gya Bayibuli, tuba twereetera bizibu. Okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Wandiwulidde otya singa eky’okusinza Yakuwa munno mu bufumbo takitwala ng’ekikulu? Abakristaayo bangi basazeewo okusigala nga si bafumbo mu kifo ky’okufumbiriganwa n’omuntu atayagala Yakuwa era atamusinza.—Soma Zabbuli 32:8.
11. Oyinza otya okulonda obulungi omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa?
11 Kyokka ekyo tekitegeeza nti buli muntu ali mu kibiina kya Yakuwa asobola okuba omukyala oba omwami omulungi. Bw’oba olowooza ku ky’okuyingira obufumbo, noonya omuntu gw’owulira nti omwagala era gw’olaba nti munaakwatagana. Gumiikiriza okutuusa lw’onoofuna omuntu alina ebiruubirirwa ng’ebibyo era akulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwe. Soma era ofumiitirize ku magezi agakwata ku bufumbo agali mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi.—Soma Zabbuli 119:105.
12. Kiki kye tuyigira ku baweereza ba Yakuwa ab’edda abaalondera abaana baabwe abantu ab’okuwasa oba okufumbirwa?
12 Mu mawanga agamu abazadde batera okulondera abaana baabwe omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Kirowoozebwa nti abazadde basobola bulungi okumanya omuntu omulungi muwala waabwe oba mutabani waabwe gw’asaanidde okufumbiriganwa naye. Enkola eyo yaliwo ne mu baweereza ba Yakuwa ab’edda. Singa bazadde bo basalawo okukulondera ow’okufumbiriganwa naye, Bayibuli esobola okubayamba okumanya bye basaanidde okunoonya mu muntu gwe balonda. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu bwe yali alondera mutabani we Isaaka omukyala, ssente oba ebitiibwa si bye yatwala ng’ekikulu. Kye yatwala ng’ekikulu kwe kuba nti omuwala oyo yali asinza Yakuwa era ng’amwagala.—Olubereberye 24:3, 67; laba Ebyongerezeddwako 25.
NNYINZA NTYA OKWETEEKERATEEKERA OBUFUMBO?
13-15. (a) Omusajja ayinza atya okweteekateeka okuba omwami omulungi? (b) Omukazi ayinza atya okweteekateeka okuba omukyala omulungi?
13 Bw’oba olowooza ku ky’okuyingira obufumbo, kikulu okukakasa obanga ddala otuuse okuwasa oba okufumbirwa. Oyinza okuba ng’olowooza nti otuuse, naye ka tulabeyo ebintu ebiraga nti omuntu atuuse okuyingira obufumbo. Bye tugenda okulaba biyinza okukwewuunyisa.
14 Bayibuli eraga nti omwami n’omukyala balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo mu maka. N’olwekyo, ebyo ebiraga nti omusajja atuuse okuyingira obufumbo byawukana ku ebyo ebiraga nti omukazi atuuse okuyingira obufumbo. Omusajja alowooza ku ky’okuwasa asaanidde okwebuuza obanga ddala atuukiriza ebisaanyizo eby’okuba omutwe gw’amaka. Yakuwa asuubira omusajja okulabirira mukyala we n’abaana be mu by’omubiri n’okufaayo ku nneewulira zaabwe. N’ekisinga obukulu, omusajja alina okukulembera ab’omu maka ge mu bintu ebikwata ku kusinza Yakuwa. Bayibuli egamba nti omusajja atalabirira ba mu maka ge “aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Bw’oba oli musajja ng’olowooza ku kuwasa, lowooza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku musingi gwa Bayibuli guno: “Teekateeka emirimu gyo egy’ebweru, era otereeze bulungi ennimiro yo, oluvannyuma ozimbe ennyumba yo.” N’olwekyo, nga tonnayingira bufumbo, sooka okakase nti osobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yawa abaami.—Engero 24:27.
15 Omukazi alowooza ku ky’okuyingira obufumbo asaanidde okwebuuza obanga ddala asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okuba omukyala, oboolyawo n’obw’okuba maama. Bayibuli eyogera ku bintu ebitali bimu omukyala omulungi by’ayinza okukola okulabirira omwami we n’abaana be. (Engero 31:10-31) Leero, abasajja bangi n’abakazi balowooza ku ebyo byokka bye bayinza okufuna mu bannaabwe mu bufumbo. Naye Yakuwa ayagala tulowooze ne ku ebyo bye tusobola okukolera bannaffe mu bufumbo.
16, 17. Bw’oba olowooza ku ky’okuyingira obufumbo kiki ky’olina okufumiitirizaako?
16 Nga tonnayingira bufumbo, fumiitiriza ku buvunaanyizibwa Yakuwa bwe yawa abaami n’abakyala. Omusajja okuba omutwe gw’amaka tekitegeeza nti alina okukajjala ku b’omu maka ge. Omutwe gw’amaka omulungi akoppa Yesu. Yesu ayagala nnyo ekibiina era akifaako nnyo. (Abeefeso 5:23) Ku luuyi olulala, omukyala alina okulowooza ku kye kitegeeza okuwagira omwami we mu ebyo by’aba asazeewo n’okukolera awamu n’omwami we. (Abaruumi 7:2) Asaanidde okwebuuza obanga anaasobola okugondera omusajja atatuukiridde. Ekyo bw’alaba nga taasobole kukikola, ayinza okugira ng’alindako okuyingira obufumbo.
17 Omwami n’omukyala buli omu asaanidde okukulembeza munne by’ayagala. (Soma Abafiripi 2:4.) Pawulo yagamba nti: “Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini; n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.” (Abeefeso 5:21-33) Omusajja n’omukazi buli omu ayagala okuwulira nti ayagalibwa era nti assibwamu ekitiibwa. Naye okusingira ddala, omwami yeetaaga okuwulira nti mukyala we amussaamu ekitiibwa era n’omukyala yeetaaga okukiraba nti omwami we amwagala nnyo. Ekyo kireetera obufumbo okubaamu essanyu.
18. Lwaki omusajja n’omukazi basaanidde okwegendereza nga boogerezeganya?
18 Okwogerezeganya kusobozesa omusajja n’omukazi okumanyagana. Mu kiseera ekyo, buli omu asaanidde okwetegereza munne akakase obanga banaasobola okubeera awamu ng’omwami n’omukyala obulamu bwabwe bwonna. Era bwe baba boogerezeganya, buli omu ayiga engeri gy’asaanidde okwogeramu ne munne, era afuba okumanya ekiri ku mutima gwa munne. Gye bakoma okumanyagana, n’omukwano wakati waabwe gye gukoma okweyongera. Naye balina okwegendereza engeri gye balagaŋŋanamu omukwano nga tebannafumbiriganwa, baleme okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Okwagala okwa nnamaddala kujja kubasobozesa okwefuga era kujja kubatangira okukola ekintu kyonna ekisobola okwonoona enkolagana eriwo wakati waabwe era n’enkolagana gye balina ne Yakuwa.—1 Abassessalonika 4:6.
KIKI KYE NSAANIDDE OKUKOLA OBUFUMBO BWANGE BUSOBOLE OKUWANGAALA?
19, 20. Abakristaayo batwala batya obufumbo?
19 Ebitabo ne firimu bingi bikomekkereza biraga ng’omusajja n’omukazi bagattiddwa era nga basanyufu nnyo. Naye omwami n’omukyala bwe bagattibwa, eyo eba ntandikwa butandikwa. Yakuwa ayagala omwami n’omukyala abafumbiriganiddwa okubeera awamu olubeerera.—Olubereberye 2:24.
20 Leero abantu bangi obufumbo tebabutwala ng’ekintu eky’olubeerera. Banguwa okuyingira obufumbo era banguwa okubuvaamu. Abamu balowooza nti bwe batandika okufuna ebizibu mu bufumbo bwabwe, kiba kiseera okubuddukamu. Naye lowooza ku muguwa ogw’emiyondo esatu Bayibuli gw’eyogerako. Omuguwa ng’ogwo tegukutuka ne bwe guleegebwa gutya. Bwe twesiga Yakuwa, obufumbo bwaffe busobola okuwangaala. Yesu yagamba nti: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”—Matayo 19:6.
21. Kiki ekiyinza okuyamba omwami n’omukyala okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe?
21 Ffenna tulina ebintu bye tukola obulungi naye ate tulina n’obunafu obutali bumu. Kyangu nnyo okutunuulira ensobi z’abalala naddala eza bannaffe mu bufumbo. Naye bwe tukola tutyo tetusobola kuba basanyufu. Ku luuyi olulala, bwe tulowooza ennyo ku ngeri ennungi bannaffe ze balina, obufumbo baffe bubaamu essanyu. Naye ddala ekyo kisoboka? Yee. Yakuwa amanyi nti tetutuukiridde, naye atunuulira engeri ennungi ze tulina. Olowooza obulamu bwandibadde butya singa yali atunoonyamu nsobi? Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ai Ya, singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?” (Zabbuli 130:3) Omwami n’omukyala basaanidde okukoppa Yakuwa nga buli omu anoonya ebirungi mu munne era ng’ayanguwa okusonyiwa.—Soma Abakkolosaayi 3:13.
22, 23. Ibulayimu ne Saala bassaawo batya ekyokulabirako ekirungi eri abafumbo?
22 Emyaka bwe gigenda giyitawo, obufumbo busobola okweyongera okunywera. Obufumbo bwa Ibulayimu ne Saala bwawangaala era bwalimu essanyu. Yakuwa we yagambira Ibulayimu okuva mu nsi y’ewaabwe, Uli, Saala ayinza okuba nga yali asussa mu myaka 60. Kiteekwa okuba nga Saala tekyamubeerera kyangu kuleka maka ge amalungi n’atandika okusula mu weema. Naye Saala yali akolagana bulungi n’omwami we, ng’amutwala nga mukwano gwe, era ng’amussaamu ekitiibwa. Yawagiranga Ibulayimu mu ebyo bye yasalangawo era n’amuyamba okubituukiriza.—Olubereberye 18:12; 1 Peetero 3:6.
23 Naye okuba n’obufumbo obulungi tekitegeeza nti omwami n’omukyala bajja kuba bakkiriziganya ku buli nsonga. Lumu Ibulayimu bw’atakkiriziganya na mukyala we ku nsonga emu, Yakuwa yamugamba nti: “Muwulirize.” Ibulayimu yawuliriza mukyala we era ebyavaamu byali birungi. (Olubereberye 21:9-13) N’olwekyo, bwe wabaawo ensonga ggwe ne munno gye mutakkiriziganyizzaako, toggwaamu maanyi. Ekisinga obukulu kwe kuba nti ne bwe muba nga mufunye obutakkaanya buli omu asigala ayagala munne era ng’amuwa ekitiibwa.
24. Obufumbo bwaffe buyinza butya okuweesa Yakuwa ekitiibwa?
24 Leero mu kibiina mulimu abafumbo bangi abasanyufu. Bw’oba oyagala okuyingira obufumbo kijjukire nti okulonda oyo gw’onoowasa oba gw’onoofumbirwa kye kimu ku bintu ebikulu ennyo by’oba olina okusalawo. Ekyo ky’osalawo kijja kukwata ku bulamu bwo bwonna. N’olwekyo, kolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa. Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okulonda obulungi oyo gw’onoofumbiriganwa naye, okweteekerateekera obulungi obufumbo, n’okuba n’obufumbo obunywevu, obuweesa Yakuwa ekitiibwa.