Wa w’Oyinza Okuggya Essuubi Erya Nnamaddala?
ESSAAWA yo erekedde awo okukola era kirabika eyonoonese. Muli weebuuza wa w’onoogitwala okukanikibwa. Waliwo abantu bangi abakuba obulango nti bakanika amasaawa, era bonna bagamba nti bakugu mu kukola omulimu ogwo; kyokka abamu bakubagana empawa. Naye watya singa okizuula nti omu ku baliraanwa bo ye yayiiya ekika ky’essaawa eyo era nti mwetegefu okukuyamba okukanika essaawa yo ku bwereere? Tewali kubuusabuusa nti kati oba omanyi eky’okukola.
Geraageranya essaawa eyo ku ssuubi. Bw’okiraba nti oweddemu essuubi, nga bwe kiri eri abantu bangi mu nsi eno ejjudde ebizibu, wa w’oyinza okufuna obuyambi? Abantu bangi bagamba nti basobola okuyamba abantu okuddamu okuba n’essuubi, naye bye boogera bibuzaabuza era abamu bakubagana empawa. Kati olwo lwaki togenda eri Oyo eyakola omuntu era n’amuteekamu n’obusobozi bw’okuba n’essuubi? Bayibuli egamba nti “tali wala wa buli omu ku ffe,” era nti mwetegefu okutuyamba.—Ebikolwa 17:27; 1 Peetero 5:7.
Amakulu Amagazi ag’Ekigambo Essuubi
Bayibuli eraga nti ekigambo essuubi kirina amakulu magazi okusinga abasawo ne bannassaayansi bwe bagamba. Ebigambo ebyavvuunulwa nga “essuubi” mu Bayibuli bitegeeza okulindirira ekintu ng’okyesunga era n’okusuubira ebirungi. Okutwalira awamu, essuubi lizingiramu ebintu bibiri. Lizingiramu okwagala ekintu ekirungi n’okuba ne ky’osinziirako okukkiriza nti ekintu ekyo ojja kukifuna. Ebyo Bayibuli by’esuubiza si birooto bulooto. Waliwo obukakafu obulaga nti bijja kutuukirira.
Okuba n’essuubi kifaananako okuba n’okukkiriza. Olina okuba n’obukakafu. (Abebbulaniya 11:1) Kyokka Bayibuli eraga nti waliwo enjawulo wakati w’okukkiriza n’essuubi.—1 Abakkolinso 13:13.
Okuwaayo ekyokulabirako: Bw’osaba mukwano gwo okubaako ekintu ky’akuyamba okukukorerako, oba osuubira nti ajja kukuyamba. Oba ne ky’osinziirako okuba n’essuubi nti ajja kukuyamba kubanga omukkiririzaamu. Omumanyi bulungi, ozze omulaba ng’alaga abalala ekisa era mugabi. Okukkiriza n’essuubi by’olina birina akakwate, naye bya njawulo. Oyinza otya okuba n’essuubi ng’eryo mu Katonda?
Ekisinziirwako Okuba n’Essuubi
Katonda ye nsibuko y’essuubi erya nnamaddala. Mu biseera eby’edda, Yakuwa yayitibwa “essuubi lya Isirayiri.” (Yeremiya 14:8) Essuubi lyonna eryesigika abantu be lye baalina lyali liva gy’ali; n’olwekyo ye yali essuubi lyabwe. Mu butuufu, essuubi eryo teryali lya bwereere. Katonda yabawa kye baali basinziirako okuba n’essuubi. Ebbanga eggwanvu lye yamala ng’akolagana nabo yabasuubiza ebintu bingi era n’abituukiriza. Yoswa, omu ku abo abaakulembera Isirayiri yagamba nti: “Mukimanyi bulungi nti tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza ekitatuukiridde.”—Yoswa 23:14.
Wadde nga kati wayise ebyasa bingi, ne mu kiseera kino Katonda amanyiddwa ng’oyo atuukiriza by’asuubiza. Bayibuli eraga ebintu bingi bye yasuubiza era n’abituukiriza. Ebintu by’asuubiza byesigika nnyo ne kiba nti mu bitundu ebimu mu Bayibuli byayogerwako ng’ebyali bimaze okutuukirira mu kiseera lwe byawandiikibwa.
Eyo ye nsonga lwaki tugamba nti Bayibuli kitabo ekisobozesa abantu okuba n’essuubi. Bw’osoma Bayibuli n’olaba engeri Katonda gye yakolaganamu n’abantu, oba ne ky’osinziirako okweyongera okussa essuubi lyo mu Katonda. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”—Abaruumi 15:4.
Ssuubi Ki Katonda ly’Atuwa?
Ddi lwe tusinga okuwulira nti twetaaga okuba n’essuubi? Si mu kiseera nga tufiiriddwa omuntu waffe oba nga twolekaganye n’embeera eyinza okutuviirako okufa? Kyokka eri abantu bangi, mu kiseera ekyo nga bafiiriddwa omuntu waabwe lwe basinga okuggweeramu ddala essuubi. Kintu ki ekisinga okutumalamu essuubi ng’okufa? Okufa kuwondera buli omu ku ffe. Tusobola kukwewala kumala kiseera buseera, era bwe kuba kututuuseeko tuba tetulina kye tuyinza kukolawo. Kituukirawo okuba nti okufa Bayibuli ekuyita “omulabe.”—1 Abakkolinso 15:26.
Kati olwo wa we tuyinza okufuna essuubi nga tufiiriddwa omuntu waffe oba nga twolekaganye n’embeera eyinza okutuviirako okufa? Ekyawandiikibwa ekyo ekigamba nti okufa mulabe era kigamba nti omulabe oyo ‘ajja kuggibwawo.’ Yakuwa Katonda asinga okufa amaanyi. Ekyo yakiraga emirundi mingi. Yakiraga atya? Bayibuli eraga emirundi mwenda Katonda lwe yakozesa amaanyi ge okuzuukiza abafu.
Lumu waaliwo ekintu ekyewuunyisa ennyo. Yakuwa Katonda yawa Omwana we Yesu amaanyi n’azuukiza Laazaalo eyali amaze ennaku nnya ng’afudde. Kino Yesu teyakikola mu nkukutu, wabula yakikola mu lujjudde.—Yokaana 11:38-48, 53; 12:9, 10.
Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki abantu abo baazuukizibwa? Tebaddamu ne bakaddiwa era ne bafa?’ Ekyo kituufu. Naye olw’okuzuukira okwo okwaliwo ddala kwe tusomako mu Byawandiikibwa, tetukoma kuba na ssuubi nti abantu baffe bajja kuzuukira, naye era tulina n’ensonga lwaki tukkiriza nti ddala bajja kuzuukira. Mu ngeri endala, tulina essuubi ekkakafu.
Yesu yagamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.” (Yokaana 11:25) Katonda ajja kuwa Yesu obuyinza okuzuukiza abantu ku kigero ky’ensi yonna. Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lya Kristo] ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Abo bonna abeebase e magombe bajja kuzuukizibwa baddemu babeere ku nsi emirembe gyonna.
Nnabbi Isaaya yayogera bw’ati ku kuzuukira okujja okubaawo: “Abafu baliba balamu. Emirambo giriyimuka. Muzuukuke mwogerere waggulu n’essanyu mmwe ababeera mu nfuufu; kubanga omusulo gwammwe gulinga omusulo ogw’oku makya, era ettaka liriwandula abafu abalirimu.”—Isaaya 26:19.
Ekyo tekikuzzaamu nnyo maanyi? Abafu bali mu mikono mituufu. Bali ng’omwana ali mu lubuto lwa nnyina. Bonna Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna abajjukira. (Lukka 20:37, 38) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kubazuukiza baanirizibwe mu nsi ennungi ng’omwana eyaakazaalibwa bw’ayanirizibwa abantu be ababa bamulindiridde! N’olwekyo ne bwe tuba twolekaganye n’okufa, tuba n’essuubi.
Engeri Okuba n’Essuubi Gye Kiyinza Okukuganyulamu
Omutume Pawulo alina bingi by’atubuulira ku miganyulo egiri mu kuba n’essuubi. Yayogera ku ssuubi ng’ekimu ku bitundu ebikulu ku kyambalo eky’eby’omwoyo, ng’eno ye nkofiira. (1 Abassessalonika 5:8) Kiki kye yali ategeeza? Mu biseera eby’edda, abasirikale baayambalanga ku mitwe gyabwe enkofiira ey’ekyuma nga bagenda mu lutalo. Enkofiira ezo zaakuumanga emitwe gyabwe ne gitatuukibwako kabi. Kiki kye tuyigamu? Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe, n’essuubi likuuma ebirowoozo byaffe. Bw’oba n’essuubi ekkakafu mu bisuubizo bya Katonda, kikuyamba obutaggwaamu maanyi ng’oyolekaganye n’ebizibu. Ani atandyagadde kuba na nkofiira ng’eyo?
Pawulo yakozesa ekyokulabirako ekirala ekikwata ku ssuubi. Yagamba nti: “Essuubi lye tulina liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu.” (Abebbulaniya 6:19) Olw’okuba Pawulo yawona okufiira ku nnyanja emirundi egiwera, yali amanyi bulungi omugaso gw’ennanga. Omuyaga bwe gwakubanga eryato, abalunnyanja baasuulanga ennanga. Ennanga eyo yakkiranga ddala wansi mu nnyanja ne kisobozesa eryato obutatwalibwa muyaga ogwali guyinza okuliviirako okwekuba ku njazi.
Mu ngeri y’emu, essuubi Katonda ly’atuwa bwe liba nga linywevu era nga kkakafu mu mitima gyaffe, lijja kutuyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Yakuwa asuubiza nti ekiseera kijja kutuuka abantu babe nga tebakyabonaabona olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, obulumi, n’okufa. (Laba akasanduuko ku lupapula 10.) Okunywerera ku ssuubi eryo kijja kutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda, mu kifo ky’okwenyigira mu bikolwa ebibi ebingi ennyo mu nsi leero.
Essuubi Yakuwa ly’atuwa naawe likukwatako. Ayagala obeera mu bulamu bwe yali ategekedde abantu okubeeramu ku lubereberye. Ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa.” Kiki kye basaanidde okukola? Ekisooka, buli muntu alina ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Abawandiisi b’akatabo kano bakukubiriza okuyiga amazima gano agawa obulamu, agali mu Kigambo kya Katonda. Essuubi Katonda ly’anaakuwa lisingira wala essuubi lyonna ly’osobola okufuna mu nsi eno.
Bw’oba n’essuubi ng’eryo, tosaanidde kweraliikirira, kubanga Katonda asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyonna ky’oyinza okuba nakyo ekituukagana n’ebyo by’ayagala. (2 Abakkolinso 4:7; Abafiripi 4:13) Eryo si lye ssuubi lye weetaaga? N’olwekyo, bw’oba ng’obadde oweddemu essuubi, toggwaamu maanyi. Waliwo essuubi, era osobola okulifuna!
[Akasanduuko/Ekifaananyi]
Kwe Tusinziira Okuba n’Essuubi
Ebyawandiikibwa bino bisobola okukuyamba okuba n’essuubi:
◼ Katonda atusuubiza ebiseera eby’omu maaso ebirungi.
Ekigambo kye kigamba nti ensi ejja kufuulibwa ekifo ekirabika obulungi, era ng’erimu abantu abasanyufu era abali obumu.—Zabbuli 37:11, 29; Isaaya 25:8; Okubikkulirwa 21:3, 4.
◼ Katonda tayinza kulimba.
Akyayira ddala obulimba. Yakuwa mutukuvu, n’olwekyo tasobola kulimba.—Engero 6:16-19; Isaaya 6:2, 3; Tito 1:2; Abebbulaniya 6:18.
◼ Katonda alina amaanyi mangi nnyo.
Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Tewali kisobola kumulemesa kutuukiriza bisuubizo bye.—Okuva 15:11; Isaaya 40:25, 26.
◼ Katonda ayagala obe mulamu emirembe gyonna.
—Yokaana 3:16; 1 Timoseewo 2:3, 4.
◼ Katonda atulinamu essuubi.
Asalawo okutunuulira ebirungi bye tukola n’engeri zaffe ennungi, mu kifo ky’okutunoonyaamu ensobi. (Zabbuli 103:12-14; 130:3; Abebbulaniya 6:10) Aba asuubira nti tujja kukola ekituufu, era bwe tukikola, kimusanyusa.—Engero 27:11.
◼ Katonda ajja kukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo.
Abaweereza be tebasaanidde kuggwaamu maanyi. Katonda abawa omwoyo gwe omutukuvu okubayamba, nga gano ge maanyi agasingayo.—Abafiripi 4:13.
◼ Okusuubirira mu Katonda si kwa bwereere.
Katonda mwesigwa era yeesigika.—Zabbuli 25:3.
[Ekifaananyi]
Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe, n’essuubi likuuma ebirowoozo byaffe
[Ekifaananyi]
Okufaananako ennanga, essuubi lituyamba obutaggwaamu maanyi
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Courtesy René Seindal/Su concessione del Museo Archeologico Regionale A. Salinas di Palermo