ESSUULA 7
Amaanyi ag’Obukuumi—‘Katonda Kye Kiddukiro Kyaffe’
1, 2. Abaisiraeri baali mu kabi ki bwe baatuuka mu kitundu ekiyitibwa Sinaayi mu 1513 B.C.E., naye Yakuwa yabazzaamu atya amaanyi?
ABAISIRAERI baali mu kabi bwe baatuuka mu kitundu ekiyitibwa Sinaayi mu 1513 B.C.E. Baali bagenda kutindigga olugendo okuyita mu ‘ddungu eddene era ery’entiisa, omwali emisota n’enjaba eby’obusagwa.’ (Ekyamateeka 8:15) Era baali mu kabi ak’okulumbibwa amawanga ag’obulabe. Yakuwa ye yali atuusizza abantu be mu mbeera eno. Nga Katonda waabwe, yandisobodde okubakuuma?
2 Ebigambo Yakuwa bye yayogera byali bizzaamu nnyo amaanyi: “Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n’ebiwaawaatiro by’empungu era bwe nnabaleeta gye ndi.” (Okuva 19:4) Yakuwa yajjukiza abantu be nti yali abanunudde okuva e Misiri, mu ngeri ey’akabonero, ne baba ng’empungu beesitudde n’ebatwala mu kifo awatali kabi. Kyokka, waliwo n’ensonga endala lwaki ebigambo “ebiwaawaatiro by’empungu” byoleka bulungi obukuumi bwa Katonda.
3. Lwaki “ebiwaawaatiro by’empungu” byoleka bulungi obukuumi bwa Katonda?
3 Empungu tekozesa biwaawaatiro byayo ebinene era eby’amaanyi mu kubuuka kwokka. Akasana bwe kaba keememula, empungu eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo—ebiweza ffuuti musanvu—okubikka abaana baayo baleme okwokebwa akasana. Mu biseera ebinnyogovu ebikka abaana baayo n’ebiwaawaatiro. Ng’empungu bw’ekuuma abaana baayo, ne Yakuwa bw’atyo bwe yakuuma eggwanga lya Isiraeri. Nga bali mu ddungu, abantu be bandyeyongedde okufuna obukuumi bwe, bwe bandisigadde nga beesigwa gy’ali. (Ekyamateeka 32:9-11; Zabbuli 36:7) Mu kiseera kino, naffe tuyinza okusuubira Katonda okutukuuma?
Ekisuubizo ky’Okukuumibwa Katonda
4, 5. Lwaki tuyinza okuteeka obwesige mu kisuubizo kya Katonda eky’okutukuuma?
4 Mazima ddala, Yakuwa asobola okukuuma abaweereza be. Ye “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna”—ekitiibwa ekiraga nti alina amaanyi mangi nnyo. (Olubereberye 17:1) Okufaananako amayengo g’ennyanja agatayinza kuziyizibwa kutuuka ku lubalama, amaanyi ga Yakuwa tegayinza kulemesebwa. Okuva bw’asobola okukola kyonna ky’ayagala, tuyinza okwebuuza, ‘Yakuwa ayagala okukozesa amaanyi ge okukuuma abantu be?
5 Eky’okuddamu kiri nti, yee! Mu Baibuli, Yakuwa atukakasa nti ajja kukuuma abantu be. “Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, omubeezi ddala atabula mu kulaba nnaku,” bw’etyo Zabbuli 46:1 bw’egamba. Okuva Katonda ‘bw’atayinza kulimba,’ tuyinza okuteeka obwesige mu kisuubizo kye eky’okutukuuma. (Tito 1:2) Ka twetegereze ebyokulabirako Yakuwa by’akozesa okulaga engeri gy’atuwaamu obukuumi.
6, 7. (a) Omusumba w’omu biseera bya Baibuli yakuumanga atya endiga ze? (b) Baibuli eraga etya engeri Yakuwa gy’ayagala ennyo okukuuma n’okulabirira endiga ze?
6 Yakuwa Musumba, era “tuli bantu be, era endiga ez’omu ddundiro lye.” (Zabbuli 23:1; 100:3) Nsolo ntono nnyo ezeetaaga obukuumi obw’amaanyi ng’endiga. Omusumba ow’omu biseera bya Baibuli yalinanga okubeera omuvumu okusobola okukuuma endiga ze okuva ku mpologoma, ebibe, amalubu awamu n’ababbi. (1 Samwiri 17:34, 35; Yokaana 10:12, 13) Naye emirundi egimu okukuuma endiga kyazingirangamu okuzikwata n’obwegendereza. Endiga bwe yazaaliranga ewala okuva ku kisibo, omusumba afaayo yagikuumanga, ate oluvannyuma n’asitula omwana gwayo n’agutwala mu kisibo.
7 Nga yeegeraageranya ku musumba, Yakuwa atukakasa nti ayagala nnyo okutukuuma. (Ezeekyeri 34:11-16) Jjukira engeri Yakuwa gy’ayogerwako mu Isaaya 40:11, olunnyonnyolwa mu Ssuula 2 mu kitabo kino: “Ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye.” Akaana k’endiga katuuka katya okubeera mu “kifuba” ky’omusumba? Kayinza okusemberera omusumba ne keekulukuunya ku kigere kye. Kyokka, omusumba y’alina okukutama, n’asitula akaliga ako n’akateeka mu kifuba kye. Ekyo nga kyoleka bulungi engeri Omusumba waffe ow’Ekitalo bw’ayagala ennyo okutukuuma!
8. (a) Baani Katonda b’akuuma, era kino kiragibwa kitya mu Engero 18:10? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna obukuumi mu linnya lya Katonda?
8 Okusobola okufuna obukuumi bwa Katonda waliwo ekyetaagisa. Abo bokka abalina enkolagana ennungi naye be bayinza okubufuna. Engero 18:10 (NW) lugamba: “Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi. Omutuukirivu addukira omwo n’afuna obukuumi.” Mu biseera bya Baibuli, ebigo byazimbibwanga mu ddungu okuba ebifo eby’obukuumi. Naye, kyabanga eri oyo eyali mu kabi okuddukira mu kigo ng’ekyo okufuna obukuumi. Era bwe kityo bwe kiri ku bikwata ku kufuna obukuumi mu linnya lya Katonda. Tekikoma ku kwogera bwogezi erinnya lya Katonda; erinnya lya Katonda ku bwalyo si lya bya magero. Wabula, tulina okumanya n’okussa obwesige mu nnannyini linnya eryo era ne tutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Nga kikolwa kya kisa nnyo Yakuwa okutukakasa nti singa tumukkiriza, ajja kubeera kigo kyaffe eky’obukuumi!
“Katonda Waffe . . . Ayinza Okutuwonya”
9. Yakuwa akoze ki ekiraga nti takoma ku kutusuubiza busuubiza okutukuuma?
9 Yakuwa tatusuubiza busuubiza bukuumi. Mu biseera bya Baibuli, mu ngeri ey’ekyamagero, yalaga nti asobola okukuuma abantu be. Mu byafaayo bya Isiraeri, “omukono” gwa Yakuwa ogw’amaanyi emirundi mingi gwabakuuma okuva ku balabe baabwe. (Okuva 7:4) Kyokka era, Yakuwa yakozesa n’amaanyi ge okukuuma abantu be kinnoomu.
10, 11. Byakulabirako ki mu Baibuli ebiraga engeri Yakuwa gye yakozesaamu amaanyi ge okukuuma abantu abamu?
10 Abavubuka basatu Abebbulaniya—Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego—bwe baagaana okuvuunamira ekifaananyi kya Kabaka Nebukadduneeza ekya zzaabu, kabaka oyo yasunguwala nnyo n’abatiisatiisa okubasuula mu kikoomi ky’omuliro. “Katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange,” bw’atyo kabaka Nebukadduneeza eyali asinga amaanyi mu nsi mu kiseera ekyo bwe yagamba. (Danyeri 3:15) Abavubuka abasatu baalina obwesige nti Katonda waabwe yali asobola okubakuuma, naye tebaakitwala nti ateekeddwa okukikola. Bwe kityo, baddamu: “Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya.” (Danyeri 3:17) Mazima ddala, wadde ng’ekikoomi ky’omuliro ekyo kyayongerwamu omuliro ogusinga ku gwa bulijjo emirundi musanvu, tekyalemesa Katonda ow’amaanyi n’akamu. Yabakuuma, era kabaka yawalirizibwa okutegeera nti: “Tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”—Danyeri 3:29.
11 Era Yakuwa yayoleka amaanyi ge ag’obukuumi bwe yakyusa obulamu bw’Omwana we eyazaalibwa omu yekka n’abuteeka mu lubuto lwa Malyamu Omuyudaaya eyali embeerera. Malayika yagamba Malyamu nti “oliba olubuto, olizaala omwana ow’obulenzi.” Malayika yannyonnyola: “Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n’amaanyi g’Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza.” (Lukka 1:31, 35) Kyalabika nti mu kiseera ekyo obulamu bw’Omwana wa Katonda bwali mu kaseera kazibu nnyo. Ekibi kya Malyamu n’obutali butuukirivu bwe tebyandyonoonye bulamu bw’omwana ali mu lubuto lwe? Setaani yandisobodde okutta oba okutuusa ebisago ku Mwana oyo nga tannazaalibwa? Nedda! Yakuwa yakuuma Malyamu ne kiba nti obutali butuukirivu bwe, oba omuntu yenna, wadde lubaale, tebyayinza kuleeta kabi konna ku mwana oyo okuviira ddala ku kiseera lwe yateekebwa mu lubuto lwa Malyamu. Yakuwa yeeyongera okukuuma Yesu mu buvubuka bwe. (Matayo 2:1-15) Okutuusa ng’ekiseera kya Katonda ekigereke kituuse, Omwana we omwagalwa yali tayinza kutuusibwako kabi.
12. Lwaki Yakuwa yakuuma abantu abamu mu ngeri ey’ekyamagero mu biseera by’omu Baibuli?
12 Lwaki Katonda yakuuma abantu abamu mu ngeri ng’eyo ey’ekyamagero? Emirundi mingi, Yakuwa yakuuma abantu kinnoomu asobole okutuukiriza ekintu ekisingawo obukulu: ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, kyali kyetaagisa Yesu okukuumibwa ng’akyali muwere okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, mu nkomerero ekyandiganyudde abantu bonna. Obuwandiike obukwata ku ngeri gye yayolekamu amaanyi ge ago ag’obukuumi, kitundu ky’Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, ‘ebyawandiikibwa okutuyigiriza, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’okubudaabudibwa ebyawandiikibwa.’ (Abaruumi 15:4) Yee, ebyokulabirako bino binyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda waffe oyo Omuyinza w’ebintu byonna. Naye, bukuumi ki bwe tuyinza okusuubira okuva eri Katonda leero?
Ekyo Obukuumi bwa Katonda Kye Butategeeza
13. Yakuwa ateekeddwa okutukolera ebyamagero? Nnyonnyola.
13 Ekisuubizo kya Katonda eky’okutukuuma tekitegeeza nti Yakuwa ateekeddwa okutukolera ebyamagero. Katonda waffe tatusuubiza nti tetujja kuba na bizibu mu bulamu mu nteekateeka eno embi. Abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, nga mw’otwalidde obwavu, entalo, obulwadde n’okufa. Yesu yategeeza abayigirizwa be nti abamu ku bo bandittiddwa olw’okukkiriza kwabwe. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yaggumiza obwetaavu bw’okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. (Matayo 24:9, 13) Singa Yakuwa yali wa kukozesanga amaanyi ge okununula abantu mu ngeri ey’ekyamagero buli kiseera, Setaani yandisinzidde ku ekyo okuvumirira Yakuwa n’okubuusabuusa obanga okwagala kwe tulaga Katonda waffe kwa mazima.—Yobu 1:9, 10.
14. Byakulabirako ki ebiraga nti Yakuwa takuuma baweereza be mu ngeri y’emu?
14 Wadde mu biseera bya Baibuli, Yakuwa teyakozesa maanyi ge okukuuma buli muweereza we aleme kuttibwa. Ng’ekyokulabirako, omutume Yakobo yattibwa Kerode mu 44 C.E.; kyokka, ekiseera kitono oluvannyuma lw’ekyo, Peetero yawonyezebwa ‘okuva mu mukono gwa Kerode.’ (Ebikolwa 12:1-11) Ate Yokaana, muganda wa Yakobo, yawangaala okusinga Peetero ne Yakobo. Kya lwatu tetuyinza kusuubira Katonda kukuuma baweereza be bonna mu ngeri y’emu. Ng’oggyeko ekyo, ‘ebiseera n’ebitasuubirwa’ bitutuukako ffenna. (Omubuulizi 9:11) Kati olwo Yakuwa atukuuma atya leero?
Yakuwa Atukuuma mu by’Omubiri
15, 16. (a) Bujulizi ki obuliwo obulaga nti Yakuwa akuumye abasinza be ng’ekibiina mu by’omubiri? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kukuuma abaweereza be mu kiseera kino ne mu ‘kibonyoobonyo ekinene’?
15 Okusooka, lowooza ku bukuumi mu by’omubiri. Ng’abasinza ba Yakuwa, tuyinza okumusuubira okutukuuma ng’ekibiina. Singa tekyali bwe kityo, Setaani yandibadde yatuzikiriza dda ffenna. Lowooza ku kino: Setaani, ‘omufuzi w’ensi eno,’ ayagala nnyo okusaanyawo okusinza okw’amazima. (Yokaana 12:31; Okubikkulirwa 12:17) Gavumenti ezimu ez’amaanyi ennyo ziweze omulimu gwaffe ogw’okubuulira era zigezezzaako okutusaanyizaawo ddala. Kyokka, abantu ba Yakuwa basigadde nga banywevu era beeyongedde okubuulira awatali kuddirira! Lwaki amawanga ag’amaanyi tegasobodde kuyimiriza mulimu gw’Abakristaayo bano abatono ennyo abalabika ng’abatalina bukuumi bwonna? Olw’okuba Yakuwa atukuuma wansi w’ebiwaawaatiro bye eby’akabonero!—Zabbuli 17:7, 8.
16 Bukuumi ki obunaabaawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja? Tekitwetaagisa kutya misango Katonda gy’asaze. “Yakuwa amanyi okununula abantu abamussaamu ekitiibwa okuva mu kugezesebwa, n’okukuuma ababi okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango, abazikirize.” (Okubikkulirwa 7:14; 2 Peetero 2:9) Ng’ekyo tekinnabaawo, tuyinza okubeera abakakafu ku bintu bibiri. Ekisooka, Yakuwa tagenda kukkiriza baweereza be abeesigwa kumalibwawo ku nsi. Eky’okubiri, ajja kuwa abo bonna abeesigwa gy’ali obulamu obutaggwaawo mu nsi empya; bwe kiba kyetaagisa okuyitira mu kuzuukira. Abo abafa, basigala mu birowoozo bya Katonda.—Yokaana 5:28, 29.
17. Yakuwa atukuuma atya okuyitira mu Kigambo kye?
17 Ne mu kiseera kino, Yakuwa atukuuma okuyitira mu ‘kigambo’ kye ekiramu, ekisobola okukyusa emitima n’obulamu bw’abantu. (Abebbulaniya 4:12) Bwe tugoberera emisingi egikirimu, tuyinza okukuumibwa mu ngeri ezimu ne tutatuukibwako kabi mu mubiri. Isaaya 48:17 lugamba: “Nze Mukama . . . akuyigiriza oku[ku]gasa.” Awatali kubuusabuusa, okugoberera Ekigambo kya Katonda kiyinza okulongoosa obulamu bwaffe ne tuwangaala okusingawo. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba tugoberera okubuulirira kwa Baibuli okw’okwewala obwenzi n’okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri, twewala ebikolwa ebitali biyonjo era eby’akabi ebyonoonye obulamu bw’abantu bangi abatatya Katonda. (Ebikolwa 15:29; 2 Abakkolinso 7:1) Nga tusiima nnyo obukuumi bw’Ekigambo kya Katonda!
Yakuwa Atukuuma mu by’Omwoyo
18. Yakuwa atuwa atya obukuumi mu by’omwoyo?
18 Ekisingira ddala obukulu, Yakuwa atukuuma mu by’omwoyo. Katonda waffe omwagazi atukuuma ne tutatuukibwako kabi mu by’omwoyo ng’atuwa bye twetaaga okugumira ebigezo era n’okukuuma enkolagana yaffe naye. Mu ngeri eyo, Yakuwa akuuma obulamu bwaffe si kumala myaka mitono kyokka naye emirembe gyonna. Lowooza ku zimu ku nteekateeka za Katonda eziyinza okutukuuma mu by’omwoyo.
19. Omwoyo gwa Yakuwa guyinza gutya okutuyamba okwaŋŋanga ebigezo?
19 Yakuwa ye “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Ebizibu bwe biba bitusukkiriddeko, tuyinza okufuna obuweerero bwe tumweyabiza. (Abafiripi 4:6, 7) Ayinza obutaggyawo bizibu byaffe mu ngeri ey’ekyamagero, naye bwe tumutuukirira mu kusaba, ayinza okutuwa amagezi okubikolako. (Yakobo 1:5, 6) Okusingawo ne ku ekyo, Yakuwa awa omwoyo omutukuvu abo abagumusaba. (Lukka 11:13) Omwoyo ogwo ogw’amaanyi, guyinza okutuyamba okwaŋŋanga ekigezo oba ekizibu kyonna. Guyinza okutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ okukigumiikiriza okutuusa lw’anaggyawo ebizibu byonna mu nsi empya eri okumpi okujja.—2 Abakkolinso 4:7, NW.
20. Amaanyi ga Yakuwa ag’obukuumi gayinza gatya okweyoleka okuyitira mu basinza bannaffe?
20 Emirundi egimu, amaanyi ga Yakuwa ag’obukuumi gayinza okuyitira mu bakkiriza bannaffe. Yakuwa akuŋŋaanyizza abantu be ‘mu luganda’ olw’ensi yonna. (1 Peetero 2:17; Yokaana 6:44) Nga tuli mu luganda olwo olulimu okwagala, tulaba obujulizi obulaga nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gusobola okukyusa abantu. Omwoyo ogwo gutuyamba okubala ebibala byagwo—engeri ez’omuwendo ezisikiriza omuli okwagala, ekisa, n’obulungi. (Abaggalatiya 5:22, 23) Bwe kityo, bwe tuba mu nnaku era mukkiriza munnaffe n’atuwa amagezi agatuyamba oba n’atuzzaamu amaanyi, tuyinza okwebaza Yakuwa olw’okutukuuma.
21. (a) Mmere ki ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’? (b) Oganyuddwa otya mu nteekateeka za Yakuwa ez’okutukuuma mu by’omwoyo?
21 Yakuwa atuwa ekintu ekirala ekituwa obukuumi: emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu. Okusobola okutuyamba okufuna amaanyi okuva mu Kigambo kye, Yakuwa awadde ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ omulimu gw’okutuwa emmere ey’eby’omwoyo. Omuddu oyo omwesigwa akozesa ebitabo, nga mw’otwalidde ne Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, awamu n’enkuŋŋaana ennene n’entono okutuwa ‘emmere gye twetaaga mu kiseera kyayo.’ (Matayo 24:45) Wali owuliddeko ekintu mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo—ekiddiddwamu, mu mboozi, oba mu kusaba—ekyakuzzaamu amaanyi? Wali okwatiddwako ekitundu ekimu ekyafulumira mu butabo bwaffe? Jjukira, Yakuwa y’akola enteekateeka ezo zonna okusobola okutukuuma mu by’omwoyo.
22. Yakuwa bulijjo akozesa atya amaanyi ge, era kituganyula kitya?
22 Mazima ddala Yakuwa ngabo “y’abo bonna abamwesiga.” (Zabbuli 18:30) Tukitegeera nti takozesa maanyi ge okutukuuma okuva ku buli kabi. Kyokka, akozesa amaanyi ge ag’obukuumi okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirizibwa. Byakola byonna biba biganyula bantu be. Singa tufuna enkolagana ennungi naye ne tusigala mu kwagala kwe, Yakuwa ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo. Nga tulina ekyo mu birowoozo byaffe, tuyinza okutunuulira okubonaabona kwonna mu nteekateeka eno nga ‘okw’akaseera obuseera era okutazitowa.’—2 Abakkolinso 4:17.