ESSOMO 03
Osobola Okwesiga Bayibuli?
Bayibuli erimu ebisuubizo bingi era ewa amagezi ku nsonga nnyingi. Oyinza okuba ng’owulira nti wandyagadde okumanya ebyo Bayibuli by’eyigiriza naye ng’olinamu enkenyera. Osobola okwesiga ebisuubizo n’amagezi ebiri mu kitabo ekikadde bwe kityo? Ebyo ebiri mu Bayibuli bya muganyulo gye tuli leero? Tusobola okwesiga ebyo by’eyogera ku biseera eby’omu maaso? Abantu bukadde na bukadde beesiga Bayibuli. Tukukubiriza okugyekenneenya olabe obanga naawe osobola okugyesiga.
1. Ebiri mu Bayibuli bituufu oba byayiiyizibwa buyiiyizibwa?
Bayibuli egamba nti ebigirimu ‘bituufu era bya mazima.’ (Omubuulizi 12:10) Eyogera ku bintu ebyaliwo ddala, n’abantu abaaliwo ddala. (Soma Lukka 1:3; 3:1, 2.) Bannabyafaayo bangi n’abo abayiikuula ebintu eby’edda bakakasizza nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera ebintu we byabeererawo, abantu, ebifo, n’ebintu ebyaliwo, bituufu ddala.
2. Lwaki tusobola okugamba nti ebyo ebiri mu Bayibuli bikyali bya muganyulo ne leero?
Bayibuli erina ebintu by’eyogera ebyali bitamanyiddwa mu kiseera we yawandiikirwa. Ng’ekyokulabirako, eyogera ku bintu ebikwatagana ne ssaayansi era bingi ku byo byali biwakanyizibwa mu kiseera we yawandiikirwa. Naye mu kiseera kino bannassaayansi bakakasa nti Bayibuli by’eyogera ku bintu ebyo bituufu. Mazima ddala, ebyo ebiri mu Bayibuli “byesigika kaakano era n’emirembe n’emirembe.”—Zabbuli 111:8.
3. Lwaki tusobola okwesiga ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso?
Bayibuli erimu obunnabbia obulaga “ebintu ebitannaba kukolebwa.” (Isaaya 46:10) Waliwo ebintu bingi mu byafaayo Bayibuli bye yayogerako nga tebinnabaawo. Era yayogera ne ku bintu ebitali bimu ebiriwo mu nsi leero. Mu ssomo lino, tugenda kulaba obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli. Engeri gye bwatuukirizibwamu yeewuunyisa nnyo!
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri ssaayansi gy’akwataganamu ne Bayibuli, era laba obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli obwewuunyisa.
4. Ssaayansi akwatagana ne Bayibuli
Mu biseera eby’edda abantu abasinga obungi baali balowooza nti ensi erina kw’etudde. Laba VIDIYO.
Weetegereze ekyo ekyawandiikibwa mu kitabo kya Yobu emyaka nga 3,500 emabega. Soma Yobu 26:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kyewuunyisa okuba nti Bayibuli egamba nti ensi ‘yawanikibwa awatali kigiwanirira’?
Abantu okutuuka okutegeerera ddala obulungi entambula y’amazzi ku nsi kyaliwo emyaka nga 200 emabega. Kyokka weetegereze ekyo Bayibuli kye yayogera emyaka nga 3,500 emabega. Soma Yobu 36:27, 28, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki kyewuunyisa okuba nti ennyiriri ezo zinnyonnyola bulungi entambula y’amazzi?
Ebyawandiikibwa ebyo by’osomye bikuleetera okweyongera okwesiga Bayibuli?
5. Bayibuli erina ebintu ebikulu bye yayogerako nti byali bya kubaawo
Soma Isaaya 44:27–45:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Biki ebikwata ku kuwambibwa kwa Babulooni Bayibuli bye yayogerako ng’ekyabula emyaka 200 kiwambibwe?
Ebyafaayo biraga nti Kabaka Kuulo owa Buperusi n’eggye lye baawamba ekibuga Babulooni mu 539 E.E.T.b Baawugula amazzi g’omugga ogwali gwongera ku bukuumi bw’ekibuga ekyo. Oluvannyuma lw’okuyingira mu kibuga ekyo nga bayita mu miryango egyali girekeddwa nga miggule, baakiwamba nga tekibeetaagisizza na kulwana. Kati wayise emyaka egisukka mu 2,500 bukya Babulooni kizikirizibwa, naye we kyali gakyali matongo. Weetegereze ekyo Bayibuli kye yayogera.
Soma Isaaya 13:19, 20, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ebyo ebyatuuka ku Babulooni biraga bitya nti obunnabbi obwo bwatuukirira?
6. Bayibuli yayogera dda ku bintu bye tulaba leero
Ekiseera kye tulimu Bayibuli ekiyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Timoseewo 3:1) Weetegereze ebyo Bayibuli bye yayogera ku kiseera kino.
Soma Matayo 24:6, 7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Bintu ki Bayibuli bye yagamba nti byandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero?
Soma 2 Timoseewo 3:1-5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Bayibuli yalaga nti abantu bangi bandyeyisizza batya mu nnaku ez’enkomerero?
Ku ebyo Bayibuli bye yayogera biruwa by’olaba mu bantu?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Bayibuli kitabo kya ngero na nfumo.”
Ggwe kiki ekisinga okukukakasa nti Bayibuli yeesigika?
MU BUFUNZE
Ebyafaayo, ssaayansi, n’obunnabbi, byonna biraga nti Bayibuli yeesigika.
Okwejjukanya
Ebiri mu Bayibuli bituufu oba byayiiyizibwa buyiiyizibwa?
Bintu ki Bayibuli bye yayogerako ebikwatagana ne ssaayansi?
Olowooza Bayibuli eyogera ku binaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Lwaki oddamu bw’otyo?
LABA EBISINGAWO
Waliwo ekintu kyonna ekikwatagana ne ssaayansi Bayibuli ky’eyogera ekitali kituufu?
Bintu ki ebiraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero”?
Laba engeri ebyo Bayibuli bye yayogera ku Bwakabaka bwa Buyonaani gye byatuukiriramu.
Laba engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye bwakyusa endowooza omusajja omu gye yalina ku Bayibuli.
“Nnali Sikkiriza nti Katonda Gyali” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 5 2017)
a Obunnabbi buba bubaka obuva eri Katonda obulaga ebintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.
b Ennukuta E.E.T., zitegeeza “Embala Eno nga Tennatandika.” Ate E.E. zitegeeza “Embala Eno.”