Laba! Omuweereza Yakuwa gw’Asanyukira
“Laba omuweereza wange, . . . obulamu bwange gwe busanyukira!”—IS. 42:1.
1. Abantu ba Yakuwa bakubirizibwa kukola ki, naddala ng’ekiseera ky’Ekijjukizo bwe kisembedde, era lwaki?
NG’EKISEERA eky’okujjukira okufa kwa Kristo bwe kisembedde, kirungi abantu ba Katonda ‘okwekaliriza Yesu, Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe,’ ng’omutume Pawulo bwe yakubiriza. Yagattako nti: ‘Mulowoozenga nnyo ku oyo eyagumira ebigambo eby’obunyoomi eby’ababi ebibasingisa omusango, muleme okukoowa mulekukire.’ (Beb. 12:2, 3, NW) Okwetegereza engeri Kristo gye yaweerezaamu n’obwesigwa, n’atuuka n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo kijja kuyamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, ‘n’obutakoowa ne balekulira.’—Geraageranya Abaggalatiya 6:9.
2. Kiki kye tuyiga mu bunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Mwana wa Katonda?
2 Ng’ayitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yalagula ebintu ebiwerako ebikwata ku Mwana we. Obunnabbi obwo butuyamba ‘okwekaliriza Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe’ Kristo Yesu.a Burambika ebikwata ku ngeri ze, okubonaabona kwe, ne ku kugulumizibwa kwe nga Kabaka era Omununuzi. Era butuyamba okweyongera okutegeera ebikwata ku Kijjukizo ekigenda okubaawo ku Lwokuna, nga Apuli 9, oluvannyuma lw’enjuba okugwa.
Omuweereza Amanyibwa
3, 4. (a) Mu kitabo kya Isaaya, ekigambo “omuweereza” kyogera ku baani? (b) Baibuli etuyamba etya okutegeera Omuweereza ayogerwako mu Isaaya essuula 42, 49, 50, 52, ne 53?
3 Ekigambo “omuweereza” kisangibwa emirundi mingi mu kitabo kya Isaaya. Egimu ku gyo kiba kyogera ku nnabbi kennyini. (Is. 20:3; 44:26) Ate emirala kiba kyogera ku ggwanga lyonna erya Isiraeri, oba Yakobo. (Is. 41:8, 9; 44:1, 2, 21) Ate kiri kitya ku bunnabbi obulala obwogera ku Muweereza obuli mu Isaaya essuula 42, 49, 50, 52, ne 53? Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani bitubuulira Omuweereza wa Yakuwa ayogerwako mu ssuula ezo. Okusinziira ku kitabo ky’Ebikolwa, omukungu Omuwesiyopya yali asoma obumu ku bunnabbi buno, omwoyo gumale gulagire Firipo omubuulizi w’enjiri okugenda gy’ali. Omusajja oyo eyali yaakamala okusoma ebiri mu Isaaya 53:7, 8, yabuuza Firipo nti: “Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Bibye yekka oba bya muntu mulala?” Mangu ago Firipo yamunnyonnyola nti Isaaya yali ayogera ku Masiya, Yesu.—Bik. 8:26-35.
4 Yesu bwe yali omuwere, Simyoni, omusajja eyali omutuukirivu, yayogerera mu maanyi g’omwoyo omutukuvu nti “omwana Yesu” yandifuuse “omusana ogw’okumulisa [“ekitangaala eri,” NW] amawanga,” nga bwe kyalagulwa mu Isaaya 42:6 ne 49:6. (Luk. 2:25-32) Ate era, ebintu eby’obujoozi ebyakolebwa ku Yesu mu kiro ekyasembayo byali byalagulwako mu Isaaya 50:6-9. (Mat. 26:67; Luk. 22:63) Oluvannyuma lwa Pentekoote 33 E.E., omutume Peetero yakyogera kaati nti Yesu ye yali “Omuweereza” wa Yakuwa. (Is. 52:13; 53:11; soma Ebikolwa 3:13, 26.) Kiki kye tuyiga mu bunnabbi buno obukwata ku Masiya?
Yakuwa Atendeka Omuweereza We
5. Omuweereza yatendekebwa atya?
5 Obumu ku bunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Muweereza wa Katonda bulaga enkolagana ey’okulusegere eyaliwo wakati wa Yakuwa n’Omwana we omubereberye ng’Omwana oyo tannajja ku nsi. (Soma Isaaya 50:4-9.) Omuweereza oyo kennyini alaga nti Yakuwa yamutendekanga, ng’agamba nti: “Azuukusa okutu kwange okuwulira ng’abo abayigirizibwa.” (Is. 50:4) Mu kiseera ekyo kyonna, Omuweereza wa Yakuwa oyo yawuliriza era n’akwata Kitaawe bye yamuyigiriza, bw’atyo n’afuuka omuyigirizwa omuwulize. Ng’okuyigirizibwa Omutonzi w’obutonde bwonna yali nkizo ya nsusso!
6. Omuweereza yalaga atya nti yayoleka obuwulize obutuukiridde eri Kitaawe?
6 Mu bunnabbi obwo, Omuweereza agamba nti Kitaawe ye “Yakuwa, Mukama Afuga Byonna.” Kino kiraga nti Omuweereza oyo yali akitegedde bulungi nti Yakuwa ye mufuzi w’obutonde bwonna. Yayogera bw’ati ku buwulize bwe eri Kitaawe: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna yaggula okutu kwange, era nange, saamujeemera. Saakyuka ne ntunula ewalala.” (Is. 50:5, NW) ‘Yali awo eri Yakuwa ng’omukozi omukugu’ mu kutondebwa kw’ensi n’okw’omuntu. ‘Omukozi ono omukugu bulijjo yasanyukiranga mu maaso ga Yakuwa, ng’asanyukira ensi ebeerwamu, era ekyasanyusanga ennyo Omwana wa Katonda be baana b’abantu.’—Nge. 8:22-31, NW.
7. Kiki ekiraga nti Omuweereza yali mukakafu nti Kitaawe yandimuyambye ng’agezesebwa?
7 Okutendekebwa kw’Omuweereza oyo n’okwagala kwe eri abantu byamuyamba nnyo mu kugezesebwa okw’amaanyi kwe yayitamu ku nsi. Yali musanyufu okukola Kitaawe by’ayagala, ne bwe yali ng’ayigganyizibwa nnyo. (Zab. 40:8; Mat. 26:42; Yok. 6:38) Mu bigezo byonna bye yayitamu ng’ali ku nsi, Yesu yali mukakafu nti alina obuwagizi bwa Kitaawe. Nga bwe kyalagulwa mu bunnabbi bwa Isaaya, Yesu yali asobola okugamba nti: “Ali kumpi ampeesa obutuukirivu; ani aliyomba nange? . . . Laba Mukama Katonda ye alinnyamba.” (Is. 50:8, 9) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yayamba Omuweereza we oyo omwesigwa mu buweereza bwe bwonna ku nsi, ng’obunnabbi bwa Isaaya obulala bwe bulaga.
Obuweereza bw’Omuweereza ku Nsi
8. Kiki ekiraga nti Yesu ye yali “omulonde” wa Yakuwa ayogerwako mu Isaaya 42:1?
8 Baibuli eyogera ebyaliwo nga Yesu abatizibwa mu 29 E.E.: ‘Omwoyo omutukuvu gwamukkako, eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nti Gwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.’ (Luk. 3:21, 22) Bwe kityo Yakuwa yalaga bulungi “omulonde” we ayogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya. (Soma Isaaya 42:1-7.) Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yatuukiririza ddala obunnabbi buno. Mu Njiri ye, Matayo yajuliza ebigambo ebiri mu Isaaya 42:1-4, era n’alaga nti byali bikwata ku Yesu.—Mat. 12:15-21.
9, 10. (a) Yesu yatuukiriza atya ebiri mu Isaaya 42:3 mu buweereza bwe? (b) Mu ngeri ki Kristo gye ‘yaleetawo obwenkanya’ ng’ali ku nsi, era ddi ‘lw’anassaawo obwenkanya ku nsi’?
9 Abantu aba bulijjo mu Buyudaaya abakulu b’eddiini y’Ekiyudaaya baali babayisaamu amaaso. (Yok. 7:47-49) Baali bayisibwa bubi nnyo era ng’embeera yaabwe eyinza okugeraageranyizibwa ku ‘lumuli olubetentefu’ oba ku ntambi ezinaatera okuzikira. Kyokka ye Yesu yalaga abaavu n’abaali banyigirizibwa obusaasizi. (Mat. 9:35, 36) Abalinga abo yabagamba nti: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” (Mat. 11:28) Ate era, Yesu ‘yaleetawo obwenkanya,’ ng’ayigiriza abantu emitindo gya Yakuwa. (Is. 42:3, NW) Ng’oggyeko ekyo, yalaga nti okukwasisa abantu Amateeka ga Katonda kisaanidde okukolebwa mu ngeri eyoleka obusaasizi n’obuntu bulamu. (Mat. 23:23) Yesu era yalaga obwenkanya ng’abuulira abagagga n’abaavu awatali kusosola.—Mat. 11:5; Luk. 18:18-23.
10 Obunnabbi bwa Isaaya era bulaga nti “omulonde” wa Yakuwa ajja ‘kussaawo obwenkanya mu nsi.’ (Is. 42:4, NW) Kino ajja kukikola mu buyinza bwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya, bw’anaazikiriza obufuzi bwonna obuliwo kati mu kiseera ekitali kya wala, n’assaawo obufuzi obw’obutuukirivu. Ajja kuleetawo ensi empya, “obutuukirivu mwe bulituula.”—2 Peet. 3:13; Dan. 2:44.
“Ekitangaala” ‘n’Endagaano’
11. Mu ngeri ki Yesu gye yali “ekitangaala eri amawanga” mu kyasa ekyasooka, era mu ngeri ki gy’ali ekyo leero?
11 Ng’atuukiriza ebiri mu Isaaya 42:6 (NW), Yesu ddala yafuuka ‘kitangaala eri amawanga.’ Mu buweereza bwe ku nsi, yaleeta ekitangaala eky’eby’omwoyo, naddala eri Abayudaaya. (Mat. 15:24; Bik. 3:26) Naye Yesu yagamba nti: “Nze kitangaala ky’ensi.” (Yok. 8:12, NW) Yafuuka ekitangaala eri Abayudaaya n’ab’amawanga bwe yabayamba mu by’omwoyo, n’awaayo n’obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo ku lw’abantu bonna. (Mat. 20:28) Bwe yamala okuzuukizibwa, yalagira abayigirizwa be okuba abajulirwa be “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8, NW) Mu buweereza bwabwe, Pawulo ne Balunabba baajuliza ebigambo ‘ekitangaala eri amawanga,’ ne balaga nti byali bituukirizibwa mu mulimu ogw’okubuulira gwe baali bakola mu bantu abataali Bayudaaya. (Bik. 13:46-48; geraageranya Isaaya 42:6) Na kati omulimu ogwo gukyakolebwa, nga baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala bafuba okubunyisa ekitangaala eky’eby’omwoyo, basobole okuyamba abantu okukkiririza mu Yesu, “ekitangaala eri amawanga.”
12. Yakuwa yateekawo atya Omuweereza we ‘ng’endagaano eri abantu’?
12 Mu bunnabbi obwo bwe bumu, Yakuwa yagamba Omuweereza we gwe yalonda nti: “N[n]aakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y’abantu.” (Is. 42:6) Setaani yagezaako nnyo okuzikiriza Yesu n’okumulemesa okutuukiriza obuweereza bwe ku nsi, naye Yakuwa yamukuuma okutuusa ekiseera ekyamugerekerwa okufiiramu lwe kyatuuka. (Mat. 2:13; Yok. 7:30) Oluvannyuma Yakuwa yazuukiza Yesu era n’amuteekawo ‘ng’endagaano,’ oba obweyamo, eri abantu ku nsi. Ekyo kyalaga nti Omuweereza wa Katonda oyo omwesigwa yandyeyongedde okuba “ekitangaala eri amawanga,” n’anunula abo abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo.—Soma Isaaya 49:8, 9.b
13. Yesu yanunula atya “abo abatuula mu kizikiza” bwe yali mu buweereza bwe ku nsi, era ekyo akikola atya leero?
13 Ng’atuukiriza ekisuubizo ekyo, Omuweereza Yakuwa gwe yalonda ‘yandizibudde amaaso g’abazibe, yandiggye abasibe mu bunnya,’ era yandinunudde abo “abatuula mu kizikiza.” (Is. 42:7) Kino Yesu yakikola mu buweereza bwe ku nsi bwe yayanika enjigiriza z’amadiini ag’obulimba era n’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Mat. 15:3; Luk. 8:1) Bw’atyo yanunula Abayudaaya abaafuuka abayigirizwa be okuva mu ddiini ez’obulimba. (Yok. 8:31, 32) Mu ngeri y’emu, Yesu ayambye abantu bangi nnyo abatali Bayudaaya okuyiga amazima. Yalagira abagoberezi be bagende ‘bafuule amawanga gonna abayigirizwa,’ era yasuubiza okuba nabo “okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Mat. 28:19, 20) Kristo Yesu y’akulira omulimu guno ogw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna ng’asinziira mu ggulu.
Yakuwa Yagulumiza “Omuweereza” We
14, 15. Lwaki Yakuwa yagulumiza Omuweereza we, era kino yakikola atya?
14 Mu bunnabbi obulala obukwata ku Muweereza we era Masiya, Yakuwa agamba: “Laba, omuweereza wange alikola n’amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumi[zibwa] nnyo.” (Is. 52:13) Yakuwa yagulumiza Omwana we olw’okuba yamugondera ng’omufuzi w’obutonde bwonna, n’olw’okuba yasigala nga mwesigwa mu kugezesebwa okusingayo okuba okw’amaanyi.
15 Omutume Peetero yawandiika bw’ati ku Yesu: “Ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n’abalina obuyinza n’abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.” (1 Peet. 3:22) Omutume Pawulo naye yagamba nti: “Yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw’oku [muti ogw’okubonyaabonya]. Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n’amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.”—Baf. 2:8-11.
16. Mu ngeri ki Yesu gye ‘yagulumizibwa ennyo’ mu 1914, era biki by’akoze okuva olwo?
16 Mu 1914, Yakuwa yayongera ‘okugulumiza ennyo Yesu’ bwe yamutuuza ku ntebe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya. (Zab. 2:6; Dan. 7:13, 14) Okuva olwo, Kristo abadde ‘afugira wakati mu balabe be.’ (Zab. 110:2) Yasooka kugoba Setaani ne dayimooni mu ggulu, n’abasuula ku nsi. (Kub. 12:7-12) Oluvannyuma, ng’akola nga Kuulo Asinga Obukulu, Kristo yanunula baganda be abaafukibwako amafuta ku nsi okuva mu bufuge bwa ‘Babulooni Ekinene.’ (Kub. 18:2; Is. 44:28) Y’akulira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, oguyambye mu kukuŋŋaanya baganda be ‘ab’ekisibo ekitono’ ‘abasigaddeyo,’ wamu n’obukadde ‘bw’ab’endiga endala.’—Kub. 12:17; Yok. 10:16; Luk. 12:32.
17. Biki bye tuyize mu bunnabbi bwa Isaaya obukwata ku ‘muweereza’?
17 Okwekenneenya obunnabbi buno obuli mu kitabo kya Isaaya kituyambye okwongera okusiima Kabaka waffe era Omununuzi waffe, Kristo Yesu. Okuba nti yali mwana muwulize mu buweereza bwe ku nsi kyalaga engeri Kitaawe gye yamutendekamu nga tannajja ku nsi. Kyeyolese bulungi nti ye kye ‘kitangaala eri amawanga’ olw’ebyo bye yakola mu buweereza bwe, n’olw’engeri gy’akuliddemu omulimu gw’okubuulira okutuusa leero. Nga bwe tujja okulaba, obunnabbi obulala obukwata ku Muweereza ono era Masiya bulaga nti yandibonyeebonye era n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe, ekintu kye tulina ‘okulowoozaako’ ennyo ng’Ekijjukizo ky’okufa kwe kigenda kisembera.—Beb. 12:2, 3.
[Obugambo obuli wansi]
a Obunnabbi buno busangibwa mu Isaaya 42:1-7; 49:1-12; 50:4-9; ne 52:13–53:12.
b Ebikwata ku bunnabbi obuli mu Isaaya 49:1-12, laba akatabo Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind II, olupapula 136-145.
Okwejjukanya
• “Omuweereza” ayogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya ye ani, era ekyo tukimanyi tutya?
• Omuweereza oyo yafuna kutendekebwa ki okuva eri Yakuwa?
• Mu ngeri ki Yesu gy’ali “ekitangaala eri amawanga”?
• Omuweereza yagulumizibwa atya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Firipo yakiragira ddala nti Yesu era Masiya ye ‘muweereza’ Isaaya gwe yayogerako
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Ng’Omuweereza wa Yakuwa eyalondebwa, Yesu yalaga abaavu n’abaali banyigirizibwa obusaasizi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Yesu yagulumizibwa Kitaawe era yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya