Emiganyulo Egiva mu Mawulire Amalungi
“Yakuwa anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi. Antumye okugumya abamenyese emitima, . . . okubudaabuda bonna abakungubaga.”—ISAAYA 61:1, 2, NW.
1, 2. (a) Yesu yalaga nti ye yali ani, era mu ngeri ki? (b) Amawulire amalungi Yesu ge yalangirira gaalimu miganyulo ki?
LUMU ku lunaku lwa Ssabbiiti, mu ntandikwa y’obuweereza bwe, Yesu yali mu kkuŋŋaaniro mu Nazaleesi. Okusinziira ku Byawandiikibwa, “ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula ekitabo, n’alaba ekitundu awaawandiikibwa nti, Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira . . . ebigambo ebirungi [“amawulire amalungi,” NW].” Yesu yeeyongera okusoma obunnabbi obwo. Oluvannyuma yatuula wansi n’agamba: “Leero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe.”—Lukka 4:16-21.
2 Mu ngeri eno, Yesu yalaga nti ye yali omubuulizi w’amawulire amalungi era abudaabuda abalala eyalagulwa. (Matayo 4:23) Mazima ddala, Yesu bye yabuuliranga gaali mawulire malungi! Yategeeza abaali bamuwuliriza: “Nze kitangaala ky’ensi. Oyo angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n’ekitangaala eky’obulamu.” (Yokaana 8:12, NW) Era yagamba: “Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:31, 32) Yee, Yesu yayogera “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 6:68, 69) Mazima ddala, ekitangaala, obulamu, n’eddembe, bintu ebituganyula ebirina okutwalibwa nga bya muwendo!
3. Abayigirizwa ba Yesu baabuulira mawulire ki amalungi?
3 Oluvannyuma lwa Pentekooti 33 C.E., abayigirizwa baayongera mu maaso omulimu gwa Yesu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Baabulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka’ eri Abaisiraeri n’abantu b’amawanga. (Matayo 24:14, NW; Ebikolwa 15:7; Abaruumi 1:16) Abo abaagakkiriza baamanya Yakuwa Katonda. Baanunulwa okuva mu ddiini ez’obulimba ne bafuuka ekitundu ky’eggwanga eppya ery’eby’omwoyo, “Isiraeri wa Katonda.” Abo abalirimu balina essuubi ery’okufuga mu ggulu ne Mukama waabwe Yesu Kristo, emirembe gyonna. (Abaggalatiya 5:1; 6:16; Abaefeso 3:5-7; Abakkolosaayi 1:4, 5; Okubikkulirwa 22:5) Mazima ddala, egyo gyali miganyulo gya maanyi!
Okubuulira Amawulire Amalungi Leero
4. Mu ngeri ki omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gye gutuukirizibwamu leero?
4 Leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, nga bawagirwa ‘ekibiina ekinene’ ekya “endiga endala,” beeyongera okutuukiriza omulimu gw’obunnabbi ogwaweebwa Yesu mu kusooka. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) N’ekivuddemu, amawulire amalungi gabuulirwa ku kigero ekitabangawo. Mu nsi 235, Abajulirwa ba Yakuwa ‘babuulira amawulire amalungi eri abawombeefu basobole okugumya abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’okuggula amaaso g’abasibe; okulanga omwaka gwa Mukama ogw’okukkiririzibwamu, n’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwalaniramu eggwanga; okubudaabuda bonna abakungubaga.’ (Isaaya 61:1, 2) Bwe kityo, omulimu gw’Ekikristaayo ogw’okubuulira amawulire amalungi gweyongera okuganyula abantu bangi era n’okubudaabuda ‘ababonaabona.’—2 Abakkolinso 1:3, 4.
5. Ku bikwata ku kubuulira amawulire amalungi, Abajulirwa ba Yakuwa baawukana batya ku makanisa ga Kristendomu?
5 Kituufu nti amakanisa ga Kristendomu galina engeri ze gakozesa okubuulira enjiri. Mangi ku makanisa gaayo gatuma abaminsani mu nsi endala okukyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe. Ng’ekyokulabirako, akatabo akayitibwa The Orthodox Christian Mission Center Magazine koogera ku mirimu gy’abaminsani Abasodokisi mu Madagascar, bukiika ddyo bwa Afirika, Tanzania, ne Zimbabwe. Kyokka, mu Kkanisa y’Abasodokisi, nga bwe kiri mu makanisa amalala aga Kristendomu, abantu abasinga obungi mu kkanisa eyo tebeenyigira mu mulimu ogwo. Okwawukana ku ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bonna abeewaddeyo gy’ali bafuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Bakitegeera nti okulangirira amawulire amalungi bujulizi obulaga nti okukkiriza kwabwe kwa nnamaddala. Pawulo yagamba: “Omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.” Okukkiriza okutaleetera muntu kubaako ky’akolawo, kuba kufu.—Abaruumi 10:10; Yakobo 2:17.
Amawulire Amalungi Agaleeta Emiganyulo egy’Olubeerera
6. Mawulire ki amalungi agabuulirwa leero?
6 Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire agasingayo obulungi. Babikkula Baibuli ne balaga abantu nti, Yesu yawaayo obulamu bwe abantu basobole okutuukirira Katonda, okusonyiyibwa ebibi, era n’okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16; 2 Abakkolinso 5:18, 19) Balangirira nti Obwakabaka bwa Katonda buteekeddwawo mu ggulu wansi wa Kabaka eyafukibwako amafuta, Yesu Kristo, era nti mangu ddala bujja kuggyawo obubi ku nsi era buzzeewo Olusuku lwa Katonda. (Okubikkulirwa 11:15; 21:3, 4) Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Isaaya, bategeeza baliraanwa baabwe nti kati ‘gwe mwaka gwa Mukama ogw’okukkiririzibwamu,’ ng’abantu bakyalina omukisa okuwulira amawulire amalungi. Era balabula nti ‘olunaku lwa Katonda olw’okuwalaniramu eggwanga,’ ekiseera lw’alizikiriza aboonoonyi abateenenya, lunaatera okutuuka.—Zabbuli 37:9-11.
7. Kyakulabirako ki ekiraga obumu bw’Abajulirwa ba Yakuwa, era lwaki balina obumu ng’obwo?
7 Mu nsi ejjudde obuyinike, gano ge mawulire gokka amalungi agaleeta emiganyulo egy’olubeerera. Abo abagakkiriza, bafuuka kitundu ky’oluganda olw’Ekikristaayo olw’ensi yonna abali obumu, abatakkiriza njawukana mu mawanga, bika, n’eby’enfuna okubaawula. ‘Bambadde okwagala,’ okugatta awamu. (Abakkolosaayi 3:14; Yokaana 15:12) Okwagala ng’okwo kwalabibwa omwaka ogwayita mu nsi emu ey’omu Afirika. Lumu ku makya, amasasi gaabuutikira ekibuga ekikulu. Waliwo abaali bagezaako okuwamba gavumenti. Abantu ab’amawanga agamu bwe baatandika okuyigganya ab’amalala, amaka agamu ag’Abajulirwa gaavumirirwa olw’okukweka Mujulirwa munnaabwe ow’eggwanga eddala. Ab’omu maka ago baddamu nti: “Tulina Bajulirwa ba Yakuwa bokka mu nnyumba yaffe.” Gye bali, enjawukana mu mawanga tekyali kintu kikulu. Ekyali ekikulu kwe kwagala okw’Ekikristaayo, n’okubudaabuda abali mu bwetaavu. Omuntu atali Mujulirwa eyabalinako oluganda yagamba: “Ab’amadiini amalala bonna baawaayo basinza bannaabwe. Abajulirwa ba Yakuwa bokka be bataakikola.” Lipoota nnyingi okuva mu nsi endala ezitaaguddwataaguddwa entalo ziraga nti Abajulirwa ba Yakuwa mazima ddala bonna ‘baagalana.’—1 Peetero 2:17.
Amawulire Amalungi Gakyusa Abantu
8, 9. (a) Abo abakkiriza amawulire amalungi bakola nkyukakyuka ki? (b) Byakulabirako ki ebyoleka amaanyi g’amawulire amalungi?
8 Amawulire amalungi gakwata ku ekyo Pawulo kye yayita “obulamu obwa kaakano n’obwo obugenda okujja.” (1 Timoseewo 4:8) Tegawa buwi ssuubi lya kitalo ery’ebiseera eby’omu maaso, naye era galongoosa ‘obulamu bwaffe kaakano.’ Ng’abantu kinnoomu, Abajulirwa ba Yakuwa bakubirizibwa Ekigambo kya Katonda, Baibuli, okutuukanya obulamu bwabwe ne Katonda by’ayagala. (Zabbuli 119:101) Kinnoomu bazzibwa obuggya nga bakulaakulanya engeri ng’obutuukirivu n’obwesigwa.—Abaefeso 4:24.
9 Lowooza ku kyokulabirako kya Franco. Yali muntu wa busungu bungi. Ebintu bwe bitaabanga nga bw’ayagala, yabuubuukanga n’obusungu n’amenya ebintu. Mukyala we yayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era ekyokulabirako kyabwe ekirungi mpolampola kyayamba Franco okulaba nti yalina okukyusaamu. Yayiga nabo Baibuli era mu nkomerero yasobola okwoleka ebibala by’omwoyo omutukuvu, gamba ng’emirembe n’okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23) Yali omu ku bantu 492 abaabatizibwa mu Bubirigi mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2001. Ate lowooza ku Alejandro. Omuvubuka oyo yanywanga enjaga n’atuuka okulya n’okwambalanga engoye by’aggye mu kasasiro. Yatundanga bye yaggyanga mu kasasiro asobole okugula enjaga. Bwe yali alina emyaka 22 egy’obukulu, Abajulirwa ba Yakuwa baamutegeeza ku nteekateeka ey’okumuyigiriza Baibuli era n’akkiriza. Yasomanga Baibuli buli lunaku era n’agendanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Yalongoosa mangu obulamu bwe ne kiba nti mu bbanga eritawera myezi mukaaga, yatandika okubuulira amawulire amalungi. Y’omu ku bantu 10,115 abaabuulira amawulire amalungi mu Panama omwaka ogwayita.
Amawulire Amalungi —Ga Muganyulo Eri Abawombeefu
10. Baani abakkiriza amawulire amalungi, era endowooza yaabwe ekyuka etya?
10 Isaaya yalagula nti amawulire amalungi gandibuuliddwa eri abawombeefu. Abawombeefu abo be baluwa? Beebo aboogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume nga ‘abasiima obulamu obutaggwaawo.’ (Ebikolwa 13:48, NW) Be bantu abawombeefu aba buli kika abakkiriza amazima. Abalinga abo bayiga nti okukola Katonda by’ayagala kivaamu emiganyulo egisingira ewala ekintu kyonna kye tuyinza okufuna mu nsi. (1 Yokaana 2:15-17) Naye, Abajulirwa ba Yakuwa batuuka batya ku mitima gy’abantu mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi?
11. Okusinziira ku Pawulo, amawulire amalungi gandibuuliddwa gatya?
11 Lowooza ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo, eyawandiikira Abakkolinso ebigambo bino: “Ab’oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag’ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda. Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa.” (1 Abakkolinso 2:1, 2) Pawulo teyagezaako kuwuniikiriza abamuwuliriza n’obuyigirize bwe. Yayigiriza ebyo byokka ebyava eri Katonda, ebiri mu Baibuli. Era weetegereze Pawulo bye yabuulira mubuulizi munne Timoseewo: “Buuliranga ekigambo [mu bwangu].” (2 Timoseewo 4:2) Timoseewo yali wa kubuulira “ekigambo,” kwe kugamba, obubaka bwa Katonda. Pawulo era yawandiika bw’ati eri Timoseewo: “Fuba nnyo okusiimibwa Katonda, okubeera omuntu atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.”—2 Timoseewo 2:15, NW.
12. Leero Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera batya ebigambo n’ekyokulabirako kya Pawulo?
12 Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera ekyokulabirako kya Pawulo, awamu n’ebigambo bye yawandiikira Timoseewo. Bamanyi amaanyi g’Ekigambo kya Katonda, era bakikozesa okulaga baliraanwa baabwe ebigambo ebisaanira ebiwa essuubi era ebibudaabuda. (Zabbuli 119:52; 2 Timoseewo 3:16, 17; Abaebbulaniya 4:12) Kyo kituufu nti bakozesa ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, abantu abasiima obubaka bwaffe basobole okumanya ebisingawo ku Baibuli mu biseera byabwe eby’eddembe. Naye bafuba buli kiseera okulaga abantu Ebyawandiikibwa. Bakimanyi nti Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa kijja kutuuka ku mitima gy’abeetoowaze. Era bwe bakikozesa mu ngeri eyo, kinyweza n’okukkiriza kw’Abajulirwa bennyini.
‘Budaabuda Bonna Abakungubaga’
13. Mu mwaka 2001, biki ebyaviirako obwetaavu obw’okubudaabuda abakungubaga?
13 Omwaka 2001 gwalimu obutyabaga bungi, era bwe kityo abantu bangi baali beetaaga okubudaabudibwa. Mu Ssebutemba omwaka ogwayita waliwo akatyabaga ak’amaanyi mu Amereka, bannalukalala bwe baasaanyawo ebizimbe ebiyitibwa World Trade Center (Ekitebe ky’Ensi Yonna eky’Obusuubuzi) mu New York, era ne bakuba ne Pentagon (ekitebe ekikulu eky’amagye) ekiri okumpi n’ekibuga Washington, D.C. Ng’obulumbaganyi obwo bwesisiwaza nnyo ensi eyo! Mu mbeera ng’ezo, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okutuukiriza omulimu gwabwe “[ogw’]okubudaabuda bonna abakungubaga.” Ebyokulabirako ebitonotono ebiddirira byoleka engeri gye bakikolamu.
14, 15. Abajulirwa baakozesa batya ebyawandiikibwa okubudaabuda abakungubaga?
14 Omujulirwa abuulira ekiseera kyonna yatuukirira omukyala omu ku mabbali g’oluguudo n’amubuuza kye yali alowooza ku ekyo bannalukalala kye baali bakoze. Omukyala oyo yatandika okukaaba. Yagamba nti bwamunakuwaza nnyo era nti yandyagadde okuyamba abaakosebwa. Omujulirwa yamutegeeza nti Katonda atufaako nnyo ffenna, era n’amusomera Isaaya 61:1, 2. Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa byali bya makulu eri omukyala oyo, eyagamba nti buli omu yali akungubaga. Yakkiriza okutwala katulakiti era n’asaba Omujulirwa oyo amukyalire mu maka ge.
15 Abajulirwa babiri baali babuulira amawulire amalungi ne basanga omusajja ng’akola emirimu gye. Olw’akatyabaga akaagwa ku Kitebe ky’Ensi Yonna eky’Obusuubuzi, baayagala okumulaga ebigambo ebibudaabuda okuva mu Byawandiikibwa. Bwe yakkiriza, baamusomera 2 Abakkolinso 1:3-7, omuli ebigambo bino: ‘Okubudaabuda kungi mu Kristo.’ Omusajja oyo yasiima nnyo baliraanwa be abo Abajulirwa olw’okuba baali babuulira abantu abalala ebigambo ebibudaabuda era n’agamba: “Katonda k’awe omukisa omulimu omulungi gwe mukola.”
16, 17. Byakulabirako ki ebibiri ebiraga amaanyi ga Baibuli mu kuyamba abantu abanakuwadde oba abayisiddwa obubi obutyabaga?
16 Omujulirwa omu bwe yali azzeeyo okukyalira abantu abaasiima amawulire amalungi, yasanga mutabani ow’omukazi eyasiima obubaka bwaffe n’amunnyonnyola nti yali akyalira baliraanwa be alabe bwe bali oluvannyuma lw’akatyabaga akaali kaakabaawo. Omusajja yeewuunya nnyo olw’okuba Omujulirwa yali awaddeyo ebiseera bye okukyalira abantu alabe bwe bali. Omusajja oyo yagamba nti yali akola kumpi n’Ekitebe ky’Ensi Yonna eky’Obusuubuzi akatyabaga ako we kaabeererawo era n’alaba byonna ebyaliwo. Omujulirwa bwe yabuuzibwa lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo, yasoma ennyiriri okuva mu Baibuli nga mw’otwalidde ne Zabbuli 37:39, olugamba: “Naye obulokozi obw’abatuukirivu buva eri Mukama: oyo kye kigo kyabwe mu biro eby’okulabiramu ennaku.” Omusajja oyo yabuuza ebikwata ku Mujulirwa n’amaka ge, n’amusaba akomewo, era n’asiima nnyo okumukyalira.
17 Omuntu omulala mu nkumi n’enkumi abaali bakungubaga eyabudaabudibwa Abajulirwa ba Yakuwa oluvannyuma lw’obulumbaganyi bwa bannalukalala, yali mukyala Abajulirwa gwe baasanga nga bakyalira baliraanwa baabwe. Yayisibwa bubi nnyo ebyo ebyali bibaddewo era n’awuliriza nga basoma Zabbuli 72:12-14: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima: n’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.” Ng’ebigambo ebyo byali bya makulu gy’ali! Omukyala oyo yasaba Abajulirwa okuddamu okusoma ennyiriri ezo era n’abaaniriza mu nnyumba ye beeyongere okumubuulira. Ku nkomerero y’okukubaganya ebirowoozo, baatandika okumuyigiriza Baibuli.
18. Omujulirwa yayamba atya baliraanwa be bwe yayitibwa okubakulembera mu kusaba?
18 Omujulirwa omu akola mu wooteeri eri mu kifo gye bataasiimanga mawulire malungi ag’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’obulumbaganyi bwa bannalukalala, abantu b’omu kitundu ekyo baatya nnyo. Ku Lw’Okutaano akawungeezi oluvannyuma lw’obulumbaganyi, maneja wa wooteeri yayita buli omu okugenda ebweru bakwate emisubbaawa, basiriikiriremu okumala akaseera okujjukira abaali battiddwa. Olw’okufaayo ku nneewulira zaabwe, Omujulirwa yagenda n’ayimirira awo okumpi ne we baali. Maneja yali akimanyi nti yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, n’olwekyo oluvannyuma lw’akaseera ak’okusiriikiriramu, yamusaba abakiikirire mu kusaba. Omujulirwa yakkiriza. Mu kusaba kwe, yayogera ku kukungubaga okwaliwo naye n’agamba nti abakungubazi bandibadde n’essuubi. Yayogera ku kiseera ebikolwa ebyo eby’ettemu lwe bitalibaawo era n’agamba nti bonna baali basobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda abudaabuda okuyitira mu kumanya okutuufu okuva mu Baibuli. Oluvannyuma lw’okuddamu nti “Amiina,” maneja ng’ali wamu n’abantu abasukka mu 60 abaali ebweru wa wooteeri, yajja eri Omujulirwa n’amwebaza, n’amuwambaatira n’amugamba nti okusaba okwo kwe kwali kusingayo obulungi ku kwe yali awulidde.
Baganyula Abantu mu Kitundu
19. Kyakulabirako ki ekiraga nti abamu basiima emitindo gy’empisa egya waggulu egy’Abajulirwa ba Yakuwa?
19 Naddala mu nnaku zino, abantu baganyulwa mu bifo Abajulirwa ba Yakuwa gye babuulira era bangi boogedde ku nsonga eno. Kirowoozeeko, abantu abatumbula emirembe, obwesigwa, n’empisa ennungi bayinza obutaba ba muganyulo? Mu nsi emu mu masekkati ga Asiya, Abajulirwa baasanga ow’amagye eyawummuzibwa ku mulimu era nga yaliko mu kitongole ky’obukkesi. Yagamba nti lumu yaweebwa omulimu ogw’okuketta ebibiina by’amadiini. Bwe yanoonyereza ku Bajulirwa ba Yakuwa, yawuniikirira olw’obwesigwa n’empisa zaabwe ennungi. Yasiima okukkiriza kwabwe okunywevu era n’okuba nti enjigiriza zaabwe zaali zeesigamye ku Byawandiikibwa. Omusajja ono yakkiriza okuyigirizibwa Baibuli.
20. (a) Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’omwaka ogwayita gulaga ki? (b) Kiki ekiraga nti wakyaliwo omulimu munene ogw’okukola, era enkizo yaffe ey’okubuulira amawulire amalungi tugitwala tutya?
20 Okuva ku byokulabirako ebitonotono ebiweereddwa mu kitundu kino, wadde nga waliwo enkumi n’enkumi ebiyinza okuweebwa, kyeyoleka bulungi nti Abajulirwa ba Yakuwa baali banyiikivu nnyo mu mwaka gw’obuweereza 2001.a Baayogera n’obukadde n’obukadde bw’abantu, baabudaabuda bangi abaali bakungubaga, era omulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi gwavaamu ebibala bingi. Abantu 263,431 baalaga nti beewaddeyo eri Katonda nga babatizibwa. Mu nsi yonna, omuwendo gw’ababuulizi b’enjiri gweyongera obutundu 1.7 ku buli kikumi. Era olw’okuba abantu 15,374,986 be baaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Yesu ekibaawo buli mwaka, kiraga nti omulimu ogukyalina okukolebwa munene. (1 Abakkolinso 11:23-26) Ka tweyongere okunoonya abawombeefu abasiima amawulire amalungi. Era ng’omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkirizibwamu tegunnaggwako, ka tweyongere okubudaabuda “abamenyese emitima.” Nga tulina enkizo ya kitalo! Mazima ddala, ffenna tukkiriziganya n’ebigambo bya Isaaya: “N[n]aasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange.” (Isaaya 61:10) Katonda ka yeeyongere okutukozesa ng’atuukiriza obunnabbi buno: “Mukama Afuga Byonna, Yakuwa, alyongera obutuukirivu n’okutendereza mu mawanga gonna.”—Isaaya 61:11, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekipande ekiri ku lupapula 29 okutuuka 32 kiraga lipoota y’omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu mwaka 2001 ogw’obuweereza.
Okyajjukira?
• Abawombeefu baaganyulwa batya mu mawulire amalungi Yesu ge yabuulira?
• Abo abakkiriza amawulire amalungi agaabuulirwa abayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka baaganyulwa batya?
• Abakkiriza amawulire amalungi leero baganyuddwa batya?
• Tutwala tutya enkizo yaffe ey’okubuulira amawulire amalungi?
[Ekipande ekiri ku lupapula 29-32]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2002
(Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2000)
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Bulijjo Abajulirwa ba Yakuwa bajjukira obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okubuulira amawulire amalungi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]
Abo abakkiriza amawulire amalungi bafuuka kitundu ky’oluganda olw’ensi yonna oluli obumu