“Abatuuze ab’Akaseera Obuseera” Bali Bumu
“Abagwira be banaabalimiranga era be banaabalongoserezanga emizabbibu gyammwe. Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Yakuwa.”—IS. 61:5, 6, NW.
1. Abantu abamu batwala batya abagwira, naye lwaki ekyo si kituufu?
NGA bwe twalaba mu kitundu ekyayita, abantu abamu tebaagala bagwira. Babanyooma era babatwala okuba abantu aba wansi. Naye si kituufu kutwala bagwira mu ngeri eyo. Tewali muntu asaanidde kwetwala kuba wa waggulu ku balala. Ekitabo ekiyitibwa The Races of Mankind kigamba nti: “Nga Bayibuli bw’egamba, abantu ab’amawanga ag’enjawulo bonna ba luganda.” Wadde ng’ab’oluganda bayinza okuba nga balina ebintu bye batafaanaganya, basigala ba luganda.
2, 3. Yakuwa atwala atya abagwira?
2 Mu biseera by’edda, Yakuwa Katonda yakola endagaano n’Abaisiraeri n’abafuula abantu be abalonde. Wadde nga baalina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa, Abaisiraeri baalina okuyisa obulungi abagwira n’okubawa ekitiibwa. Ekyo kye kintu naffe kye tusaanidde okukola. Mu buli ggwanga mulimu abagwira, naye Abakristaayo ab’amazima tebalina kusosola bantu ba mawanga amalala. Lwaki? Omutume Peetero yagamba nti: “Mazima ddala ntegedde nti Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.”—Bik. 10:34, 35.
3 Abagwira abaabeeranga mu Isiraeri baaganyulwanga nnyo mu kubeera awamu n’Abaisiraeri. Lwaki? Kubanga nabo Yakuwa yali abafaako. Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda wa Bayudaaya bokka? Era n’ab’amawanga si ye Katonda waabwe? Yee, nabo ye Katonda waabwe.”—Bar. 3:29; Yo. 2:32.
4. Lwaki tuyinza okugamba nti tewali mugwira mu “Isiraeri wa Katonda”?
4 Katonda bwe yamala okukola endagaano n’ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, yalekera awo okutwala Isiraeri ng’eggwanga eryalina enkolagana ey’enjawulo naye. Yatandika okukolagana n’ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu ngeri ey’enjawulo. Eyo ye nsonga lwaki Abakristaayo abo bayitibwa “Isiraeri wa Katonda.” (Bag. 6:16) Nga Pawulo bwe yalaga, mu ggwanga eryo eriggya, “tewali Muyonaani wadde Omuyudaaya, okukomola oba obutakomola, omugwira, Omusukusi, omuddu, n’ow’eddembe, naye Kristo ye byonna mu byonna.” (Bak. 3:11) N’olwekyo, tewali n’omu yandibadde atwalibwa nga mugwira mu kibiina Ekikristaayo.
5, 6. (a) Kiki ekikwata ku Isaaya 61:5, 6 omuntu ky’ayinza okwebuuza? (b) “Bakabona ba Yakuwa” ‘n’abagwira’ aboogerwako mu kitabo kya Isaaya be baani? (c) Mu ngeri ki “bakabona ba Yakuwa” ‘n’abagwira’ gye bakolera awamu?
5 Naye omuntu ayinza okuba nga yeebuuza amakulu g’obunnabbi obuli mu Isaaya essuula 61 obukwata ku ekyo ekyandibaddewo mu kibiina Ekikristaayo. Olunyiriri 6 lwogera ku abo abandiweerezza nga “bakabona ba Yakuwa.” Ate olunyiriri 5 lwogera ku ‘bagwira’ abandikoledde awamu ne “bakabona” abo. Kati olwo lwaki olunyiriri olwo lwogera ku bagwira?
6 “Bakabona ba Yakuwa” be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abanaazuukirira “mu kuzuukira okusooka,” ‘abaliba bakabona ba Katonda era aba Kristo, era abalifugira awamu ne Kristo nga bakabaka okumala emyaka lukumi.’ (Kub. 20:6) Kyokka waliwo n’Abakristaayo bangi abeesigwa abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Abakristaayo bano bakolera wamu n’abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Naye okuva bwe kiri nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebali mu “Isiraeri wa Katonda,” balinga abagwira. Bakolera wamu ne “bakabona ba Yakuwa” ‘ng’abalimi era abalongoosa emizabbibu.’ Bayamba ku baafukibwako amafuta mu kuweesa Katonda ekitiibwa nga babuulira era nga bayigiriza abantu amazima. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’ bonna bayigiriza abantu amazima era ne babayamba okugakolerako.—Yok. 10:16.
‘BATUUZE AB’AKASEERA OBUSEERA’ NGA IBULAYIMU
7. Abakristaayo abaliwo leero bafaananako batya Ibulayimu n’abaweereza ba Katonda abalala abaaliwo mu biseera by’edda?
7 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Abakristaayo ab’amazima bagwira oba batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi ya Sitaani eno embi. Bafaananako abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda, gamba nga Ibulayimu, abaali ‘abagenyi era abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.’ (Beb. 11:13) Ka tube nga tulina ssuubi ki, tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa nga Ibulayimu gye yalina. Yakobo yagamba nti “‘Ibulayimu [y]akkiririza mu Yakuwa n’abalibwa okuba omutuukirivu,’ era n’ayitibwa ‘mukwano gwa Yakuwa.’”—Yak. 2:23.
8. Kiki Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, era Ibulayimu yatwala atya ekisuubizo ekyo?
8 Katonda yagamba nti okuyitira mu Ibulayimu n’ezzadde lye, amawanga gonna ag’oku nsi gandiweereddwa omukisa. Ekisuubizo ekyo tekyali kya kuganyula ggwanga limu lyokka. (Soma Olubereberye 22:15-18.) Wadde ng’ekisuubizo ekyo kyali kya kutuukirira mu kiseera kya mu maaso, Ibulayimu yali mukakafu nti kyali kya kutuukirira. Okumala emyaka kikumi, Ibulayimu n’ab’omu maka ge baatambulanga nga bava mu kifo ekimu okudda mu kirala era Ibulayimu yasigala nga mukwano gwa Katonda.
9, 10. (a) Tuyinza tutya okukoppa Ibulayimu? (b) Kiki kye tuyinza okukubiriza abantu okukola?
9 Wadde nga yali tamanyi kiseera kyandiyiseewo ekisuubizo ekyo kituukirire, Ibulayimu yeeyongera okwagala Yakuwa n’okumuweereza. Ebirowoozo bye yabikuumira ku kisuubizo ekyo, n’atakkiriza kufuuka mutuuze wa nkalakkalira mu ggwanga lyonna. (Beb. 11:14, 15) Tusaanidde okukoppa Ibulayimu, nga twewala okwemalira ku kunoonya ebintu, ku mirimu gyaffe, oba ku kwenoonyeza ettutumu. Lwaki twandibadde tukkalira mu nteekateeka eno ey’ebintu ng’ate enaatera okuzikirizibwa? Ddala kiba kya magezi okwemalira ku bintu by’ensi eno eby’akaseera obuseera? Okufaananako Ibulayimu, naffe tulindirira ebintu ebisingira ewala ebyo ebiri mu nteekateeka eno ey’ebintu. Tuli beetegefu okulindirira n’obugumiikiriza okutuusa ng’ebisuubizo bya Katonda byonna bituukiridde.—Soma Abaruumi 8:25.
10 Yakuwa akyawadde abantu ab’amawanga gonna akakisa okufuna emikisa okuyitira mu zzadde lya Ibulayimu. Era abaafukibwako amafuta, “bakabona ba Yakuwa,” awamu n’ab’endiga endala, “abagwira,” babuulira abantu okwetooloola ensi mu nnimi ezisukka mu 600 nti Katonda abayita okufuna emikisa egyo.
YAGALA ABANTU AB’AMAWANGA GONNA
11. Okusinziira ku bigambo bya Sulemaani, kiki abantu b’amawanga gonna kye bandikoze?
11 Bwe yali awaayo yeekaalu eri Yakuwa mu 1026 E.E.T., Sulemaani yakiraga nti abantu b’amawanga gonna bandyegasse ku Baisiraeri mu kutendereza Yakuwa. Ekyo kyandibayambye okuganyulwa mu kisuubizo Yakuwa kye yawa Ibulayimu. Sulemaani yasaba nti: “Era eby’omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw’anaavanga mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo; (kubanga baliwulira eby’erinnya lyo ekkulu n’engalo zo ez’amaanyi n’omukono gwo ogwagololwa); bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulira ennyumba eno; owuliranga ggwe ng’oyima mu ggulu ekifo ky’obeerangamu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by’akukaabira; amawanga gonna ag’oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng’abantu bo Isiraeri bwe bakutya.”—1 Bassek. 8:41-43.
12. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa balinga abagwira mu mawanga mwe babeera?
12 Omugwira ye muntu aba akyadde mu ggwanga eritali lirye oba abeera mu ggwanga eritali lirye. Abajulirwa ba Yakuwa balinga abagwira. Wadde nga babeera mu mawanga agatali gamu, bawagira Bwakabaka bwa Katonda bwokka ne Kabaka waabwo Kristo. Bwe kityo, tebeenyigira mu bya bufuzi wadde ng’ekyo abantu abamu bayinza okukitwala obubi.
13. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okulekera awo okutwala abantu abalala ‘ng’abagwira’? (b) Okuva ku lubereberye Yakuwa yali ayagala buli muntu atwale atya munne? Nnyonnyola.
13 Waliwo ebintu ebitera okuleetera abagwira okuba ab’enjawulo ku bantu abalala be babeeramu. Luyinza okuba olulimi lwe boogera, engeri gye beeyisaamu, endabika yaabwe, oba ennyambala yaabwe. Naye waliwo ebintu ffenna ng’abantu bye tufaanaganya. N’olwekyo, bwe tussa essira ku bintu bye tufaanaganya n’abantu abalala, tetujja kubatunuulira ng’abagwira. Singa abantu bonna ku nsi baali bafugibwa gavumenti emu, tewandibaddewo muntu n’omu yandibadde atwalibwa nga mugwira. Mu butuufu, okuva ku lubereberye, Yakuwa yali ayagala abantu bonna babe ba mu maka gamu era nga bonna y’abafuga. Naye leero kisoboka abantu ab’amawanga gonna okulekera awo okutwala abalala ng’abagwira?
14, 15. Kiki Abajulirwa ba Yakuwa ng’ekibiina kye basobodde okukola?
14 Abantu bangi mu nsi leero beefaako bokka era amawanga gaabwe bagatwala okuba aga waggulu ku malala. Wadde kiri kityo, waliwo abantu abaagala abantu ab’amawanga gonna awatali kusosola. Kya lwatu nti oluusi kiba kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okukyusa endowooza gye tulina ku bantu abalala. Ted Turner eyatandikawo omukutu gwa ttivi oguyitibwa CNN yagamba nti: “Okukolagana n’abantu ab’amawanga agatali gamu kyanjigiriza ekintu ekikulu ennyo. Nnalekera awo okutwala abantu b’amawanga amalala ‘ng’abagwira’ ne ntandika okubatwala nga batuuze bannange. Okuyita omuntu ‘omugwira’ nnatandika okukitwala ng’ekiba kimufeebya era ne ndagira abakozi ba CNN obutaddamu kukozesa kigambo ekyo ku mpewo oba nga banyumya mu ofiisi.”
15 Abajulirwa ba Yakuwa ng’ekibiina, be bokka abalina endowooza Katonda gy’alina ku bantu. Olw’okuba batunuulira abantu b’amawanga gonna nga Katonda bw’abatunuulira, basobodde okukyusa endowooza gye balina ku bantu b’amawanga amalala. Tebakyawa bantu abava mu mawanga amalala era tebabatwala ng’abantu abatasobola kwesigika. Basanyuka okubeera awamu n’abantu ab’amawanga ag’enjawulo era abalina obusobozi obw’enjawulo. Naawe okirabye nti okutunuulira abantu b’amawanga gonna nga Yakuwa bw’abatunuulira kikuyambye okukolagana obulungi n’abalala?
ENSI OMUTALIBA BAGWIRA
16, 17. Obulamu buliba butya ng’ebyo ebiri mu Okubikkulirwa 16:16 ne Danyeri 2:44 bituukiridde?
16 Mu kiseera ekitali kya wala amawanga gonna gajja kulwana ne Yesu Kristo awamu n’eggye lye ery’omu ggulu mu lutalo ‘oluyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni.’ (Kub. 16:14, 16; 19:11-16) Emyaka egisukka mu 2,500 emabega, nnabbi Danyeri yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku ebyo ebijja okutuuka ku bufuzi bw’abantu obuwakanya ekigendererwa kya Katonda. Yagamba nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Dan. 2:44.
17 Lowooza ku ekyo ekinaabaawo ng’obunnabbi obwo butuukiridde! Leero ffenna tusobola okuyitibwa abagwira okuva bwe kiri nti waliwo ensalo ezaawula amawanga. Naye oluvannyuma lwa Kalumagedoni, ensalo ezo tezijja kubaawo. Kyo kituufu nti abantu bonna bajja kuba tebafaanagana, naye ekyo kijja kuba kiraga bulazi nti ebitonde bya Yakuwa bya ngeri nnyingi. Olw’okuba Yakuwa atusuubizza ebintu ebirungi ennyo bwe bityo, ekyo ffenna kyanditukubirizza okweyongera okumutendereza n’okumuweesa ekitiibwa.
18. Kyakulabirako ki ekiraga nti abantu ba Yakuwa tebatwala bantu b’amawanga amalala nga bagwira?
18 Naye ddala kirisoboka abantu b’amawanga gonna okulekera awo okutwala abalala ng’abagwira? Yee, kijja kusoboka. Ne leero Abajulirwa ba Yakuwa tebatwala bantu ba mawanga malala ng’abagwira. Ng’ekyokulabirako, gye buvuddeko awo ofiisi z’amatabi gaabwe ezimu zaagattibwa wamu. Kino kyakolebwa okusobola okulaba nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka gulabirirwa bulungi. (Mat. 24:14) Bwe baali basalawo okugatta amatabi ago, tebasinziira ku nsalo z’amawanga okuggyako ng’amateeka gaali gakyetaagisa. Yesu Kristo, Kabaka Yakuwa gw’alonze, ayambye Abajulirwa ba Yakuwa obutakkiriza nsalo z’amawanga kubaawula, era mu kiseera ekitali kya wala ajja kuggyawo ensalo ezo zonna bw’anaaba amaliriza “okuwangula kwe”!—Kub. 6:2.
19. Amazima gayambye gatya Abajulirwa ba Yakuwa?
19 Abajulirwa ba Yakuwa babeera mu mawanga ga njawulo era boogera ennimi za njawulo. Kyokka amazima gabagasse wamu era tewali kintu kyonna kisobola kubaawula. (Soma Zeffaniya 3:9.) Bonna okwetooloola ensi balinga amaka agali obumu. Wadde nga bakyali mu nsi eno embi, si ba nsi. Okuba nti leero Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu, bukakafu obulaga nti mu nsi empya tejja kubaayo muntu yenna atwalibwa nga mugwira. Mu nsi empya, buli muntu ajja kuba atwala abantu b’amawanga gonna nga baganda be.
Weesunga ensi omutaliba nsalo za mawanga era omutaliba muntu yenna atwalibwa nga ‘mugwira’?