Yakuwa Ye Mubumbi Waffe
“Ai Yakuwa, . . . ggwe Mubumbi waffe; ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.”—IS. 64:8.
1. Lwaki Yakuwa ye Mubumbi asingirayo ddala obulungi?
MU Noovemba 2010, waliwo omuntu mu kibuga London ekya Bungereza, eyawaayo obukadde bwa ddoola 70 okusobola okugula ekibya ekyabumbibwa mu kyasa 18 mu China. Ekyo kiraga nti ebbumba eritali lya bbeeyi, omuntu asobola okulibumbamu ekintu ekirabika obulungi ennyo era eky’ebbeeyi. Kyokka, tewali mubumbi ayinza kugeraageranyizibwa ku Yakuwa. Ku lunaku olw’omukaaga olw’okutonda, Katonda yakola okuva “mu nfuufu y’ensi [ebbumba]” omuntu atuukiridde, Adamu, era n’amuwa obusobozi obw’okwoleka engeri z’Omutonzi we. (Lub. 2:7) Omuntu oyo eyali atuukiridde eyakolebwa okuva mu nfuufu y’ensi yayitibwa “omwana wa Katonda.”—Luk. 3:38.
2, 3. Tuyinza tutya okukoppa Abayisirayiri abaali beenenyezza?
2 Naye Adamu bwe yajeemera Omutonzi we, yafiirwa enkizo ey’okubeera omwana wa Katonda. Wadde kiri kityo, wabaddewo abaana ne bazzukulu ba Adamu bangi abasazeewo okuwagira obufuzi bwa Katonda. (Beb. 12:1) Mu ngeri eyo, bakiraze nti baagala Katonda okuba Kitaabwe era Omubumbi waabwe, so si Sitaani. (Yok. 8:44) Obwesigwa bwe boolesezza eri Katonda butujjukiza ebigambo Abayisirayiri abaali beenenyezza bye baayogera. Baagamba nti: “Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, era ggwe Mubumbi waffe; Ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.”—Is. 64:8.
3 Ne leero, abo bonna abasinza Yakuwa mu mwoyo n’amazima bafuba okuba abawulize era abeetoowaze. Bagitwala nga nkizo ya maanyi okuyita Yakuwa Kitaabwe n’okumukkiriza ababumbe. Naawe olinga ebbumba eggonvu mu mikono gya Katonda, ne kiba nti asobola okukubumba n’ofuuka ekibya eky’omuwendo mu maaso ge? Bakkiriza banno nabo obatunuulira ng’ebibya Katonda by’akyabumba? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe ebintu bisatu ebikwata ku mulimu gwa Yakuwa ogw’okutubumba: Engeri gy’alondamu abo b’abumba, ensonga lwaki ababumba, n’engeri gy’ababumbamu.
YAKUWA ALONDA ABO B’ABUMBA
4. Yakuwa alonda atya abo b’aleeta gy’ali? Waayo ebyokulabirako.
4 Yakuwa bw’atunuulira abantu, ky’atwala ng’ekikulu si ye ndabika ey’okungulu, wabula ky’ekyo omuntu ky’ali munda. (Soma 1 Samwiri 16:7b.) Kino kyeyoleka bulungi bwe tulowooza ku ebyo ebyaliwo nga Katonda atandikawo ekibiina Ekikristaayo. Yaleeta abantu gy’ali n’eri Omwana we, nga bangi ku bo baali ng’abatasaana mu ndaba ey’obuntu. (Yok. 6:44) Omu ku bantu abo ye Mufalisaayo eyali ayitibwa Sawulo, eyali ‘omuvvoozi, ng’ayigganya abalala, era nga tawa balala kitiibwa.’ (1 Tim. 1:13) Naye Oyo “akebera emitima,” teyatwala Sawulo ng’ebbumba eritalina mugaso. (Nge. 17:3) Mu kifo ky’ekyo, Katonda yatunuulira Sawulo ng’ebbumba erisobola okubumbibwamu ekibya eky’omuwendo. Mu butuufu, Ebyawandiikibwa biraga nti Pawulo yali kibya ekyalondebwa okutwala erinnya lya Katonda eri “ab’amawanga, eri bakabaka, n’eri abaana ba Isirayiri.” (Bik. 9:15) Mu bantu abalala Katonda be yatunuulira ng’ebbumba erisobola okubumbibwamu ebibya ‘eby’ekitiibwa,’ mwalimu abaali abatamiivu, abaali bakola eby’obugwenyufu, n’ababbi. (Bar. 9:21; 1 Kol. 6:9-11) Bwe baategeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda era ne bagakkiririzaamu, bakkiriza Yakuwa okubabumba.
5, 6. Bwe tukkiriza Yakuwa okutubumba kinaatuleetera kutunuulira tutya (a) abantu be tusanga nga tubuulira? (b) bakkiriza bannaffe?
5 Ebyo bye tulabye bituyigiriza ki? Bwe tukimanya nti Yakuwa alaba ebyo ebiri mu mutima gw’omuntu era nti b’aleeta gy’ali y’aba abalonze, kituleetera okwewala okusalira bakkiriza bannaffe omusango awamu n’abo be tusanga nga tubuulira. Lowooza ku musajja ayitibwa Michael. Agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa bwe bajjanga ewange, saabafangako, era nneefuulanga ng’atabalaba. Mu butuufu, nnabayisanga bubi! Kyokka nga wayiseewo ekiseera, waliwo ab’omu maka agamu be nneegomba olw’empisa zaabwe ennungi. Kyanneewuunyisa nnyo bwe nnakizuula nti baali Bajulirwa ba Yakuwa! Enneeyisa yaabwe ennungi yandeetera okukyusa endowooza yange. Nnakiraba nti obutamanya n’okuwuliriza eŋŋambo bye byali bindeetedde okukyawa Abajulirwa ba Yakuwa.” Okusobola okumanya ekituufu ekikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, Michael yakkiriza okuyiga nabo Bayibuli. Ekiseera kyatuuka n’abatizibwa era n’ayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
6 Bwe tukkiriza Yakuwa okutubumba kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza bannaffe. Bakkiriza banno obatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira, kwe kugamba, ng’ebibya ebikyabumbibwa so si ebiwedde okubumbibwa? Yakuwa amanyi ekyo ekiri mu mutima gw’omuntu n’ekyo omuntu oyo ky’asobola okubeera oluvannyuma lw’ekiseera ng’agenze amubumba. Yakuwa alina endowooza ennuŋŋamu ku bantu era essira talissa ku nsobi zaabwe ez’akaseera obuseera. (Zab. 130:3) Tusobola okukoppa Yakuwa nga naffe tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza bannaffe. Mu butuufu, tusobola okukolera awamu n’Omubumbi waffe, nga tuyamba bakkiriza bannaffe okwongera okukula mu by’omwoyo. (1 Bas. 5:14, 15) Abakadde basaanidde okuwoma omutwe mu nsonga eyo.—Bef. 4:8, 11-13.
LWAKI YAKUWA ATUBUMBA?
7. Lwaki okukangavvula Yakuwa kw’atuwa okutwala nga kukulu?
7 Oyinza okuba nga wali owuliddeko omuntu ng’agamba nti: ‘Okukangavvula bazadde bange kwe bampa saakutwala ng’ekintu ekikulu okutuusa lwe nnazaala abaana abange ku bwange.’ Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okutandika okusiima okukangavvula Yakuwa kw’atuwa, era ne tukiraba nti akutuwa olw’okuba atwagala. (Soma Abebbulaniya 12:5, 6, 11.) Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, ayoleka obugumiikiriza ng’atubumba. Ayagala tubeere ba magezi, tubeere basanyufu, era tumwagale. (Nge. 23:15) Yakuwa tekimusanyusa kulaba nga tubonaabona; era tayagala tufe nga tuli baana “b’ayolekeza obusungu.”—Bef. 2:2, 3.
8, 9. Yakuwa atuyigiriza atya leero, era aneeyongera atya okutuyigiriza mu biseera eby’omu maaso?
8 Bwe twali tetunnamanya bikwata ku Yakuwa, twalina engeri ezitasanyusa Katonda, oboolyawo ng’ezimu ziri ng’ez’ensolo enkambwe! Naye Yakuwa bw’azze ng’atubumba, tufuuse ng’endiga. (Is. 11:6-8; Bak. 3:9, 10) Tuli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, ng’eno y’embeera ey’enjawulo Yakuwa gy’ataddewo mu kibiina kye etusobozesa okwongera okubumbibwa. Tuwulira nga tulina obukuumi mu nsi eno ejjudde abantu ababi. Ate era, mu lusuku luno olw’eby’omwoyo, abamu ku ffe abaakulira mu maka omutaali kwagala oba agaalimu enjawukana, tulagiddwa okwagala okwa nnamaddala. (Yok. 13:35) Era naffe tuyize okulaga abalala okwagala. N’ekisinga byonna, tuyize ebikwata ku Yakuwa era tuli basanyufu nnyo okuba nti atwagala.—Yak. 4:8.
9 Mu nsi empya, tujja kufuna mu bujjuvu emikisa egiri mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Ng’oggyeeko okuba nti tujja kuba mu lusuku olw’eby’omwoyo, ensi yonna ejja kuba efuuliddwa olusuku lwa Katonda ng’efugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Mu kiseera ekyo, Yakuwa ajja kweyongera okubumba abantu abanaaba ku nsi, ng’abayigiriza ku kigero kye tutayinza na kuteebereza leero. (Is. 11:9) Ate era, Katonda ajja kutuyamba okufuuka abatuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri, tusobole okutegeera n’okukola by’ayagala mu ngeri etuukiridde. N’olwekyo, ka tweyongere okukkiriza Yakuwa okutubumba nga tukimanyi nti ekyo akikola olw’okuba atwagala.—Nge. 3:11, 12.
ENGERI YAKUWA GY’ATUBUMBAMU
10. Yesu yayoleka atya engeri z’Omubumbi omukulu?
10 Okufaananako omubumbi omukugu, Yakuwa amanya ebbumba lya ngeri ki ly’abumbamu ekintu, era alibumba okusinziira ku kika kyalyo. (Soma Zabbuli 103:10-14.) Yakuwa bw’aba atubumba, atulowoozaako kinnoomu, era alowooza ku bunafu bwaffe, obusobozi bwaffe, n’ekigero kye tuba tutuuseeko mu kukulaakulana mu by’omwoyo. Yesu yayoleka bulungi engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abantu abatatuukiridde. Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola ng’abatume be boolese obunafu obutali bumu, naddala obwo obukwata ku kwagala obukulu. Singa waliwo mu kiseera ekyo n’olaba abatume nga bakaayana, wandibatunuulidde ng’abantu abawombeefu era abasobola okubumbibwa ne bafuuka ebibya eby’omuwendo? Yesu yasigala alina endowooza ennuŋŋamu ku batume be. Yakiraba nti singa ababuulirira mu ngeri ey’ekisa, n’abagumiikiriza, era n’abateerawo ekyokulabirako ekirungi, bandibadde basobola okubumbibwa ne bafuuka ebibya eby’omuwendo. (Mak. 9:33-37; 10:37, 41-45; Luk. 22:24-27) Yesu bwe yamala okuzuukira era omwoyo omutukuvu ne gufukibwa ku batume be, abatume abo essira tebaalissa ku kwefunira bukulu, wabula baalissa ku kukola omulimu ogwabaweebwa.—Bik. 5:42.
11. Dawudi yakyoleka atya nti yali ng’ebbumba eggonvu, era tuyinza tutya okumukoppa?
11 Okusingira ddala Yakuwa abumba abantu be ng’akozesa Ekigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’ekibiina kye. Yakuwa asobola okutubumba ng’akozesa Ekigambo kye singa tukisoma, ne tukifumiitirizaako, era ne tumusaba atuyambe okukolera ku ebyo bye tuba tusomye. Dawudi yagamba nti: “Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange; nkufumiitirizaako mu bisisimuka eby’ekiro.” (Zab. 63:6) Era yagamba nti: “Nnaatenderezanga Yakuwa ambuuliridde. Ne bwe buba kiro, ebirowoozo byange bimpabula.” (Zab. 16:7) Dawudi yakkiriza okubuulirira Katonda kwe yamuwa okutuuka ku mutima gwe n’okukyusa endowooza ye, wadde ng’oluusi okubuulirira okwo tekwabanga kwangu kukolerako. (2 Sam. 12:1-13) Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kwoleka obwetoowaze n’okuba omuwulize! Naawe ofumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kisobole okutuuka ku mutima gwo? Okiraba nga weetaaga okwongera okukifumiitirizaako?—Zab. 1:2, 3.
12, 13. Yakuwa atubumba atya ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu n’ekibiina kye?
12 Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutubumba mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, omwoyo omutukuvu gutuyamba okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo, eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Okwagala y’emu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo. Twagala nnyo Katonda era twagala okumugondera asobole okutubumba. Era tukimanyi nti ebiragiro bye tebizitowa. Omwoyo omutukuvu era gusobola okutuyamba okwewala okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi omubi. (Bef. 2:2) Omutume Pawulo bwe yali akyali muvubuka, yakoppa engeri z’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali ab’amalala. Naye omwoyo omutukuvu gwamuyamba okukola enkyukakyuka. Oluvannyuma yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Baf. 4:13) N’olwekyo, okufaananako Pawulo, naffe bulijjo ka tusabenga Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Yakuwa awulira essaala z’abo abamusaba mu bwesimbu.—Zab. 10:17.
13 Yakuwa akozesa ekibiina kye n’Abakadde okutubumba kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, abakadde bwe bakiraba nti tulina ekizibu eky’eby’omwoyo, bafuba okutuyamba, naye nga tebeesigama ku magezi gaabwe. (Bag. 6:1) Mu kifo ky’ekyo, basaba Katonda abawe amagezi n’okutegeera. Oluvannyuma banoonyereza nga bakozesa Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa okusobola okulaba engeri gye banaatuyambamu. Abakadde bwe bakutuukirira okukuyamba, gamba nga ku bikwata ku ngeri gy’oyambalamu, okkiriza amagezi n’okuwabula kwe bakuwa ng’okitwala nti eyo y’emu ku ngeri Yakuwa gy’akulagamu okwagala? Bw’okola bw’otyo, oba okiraga nti olinga ebbumba eggonvu mu mikono gya Yakuwa, era nti oyagala akubumbe ofuuke ekibya eky’omuwendo.
14. Wadde nga Yakuwa atulinaku obuyinza, akyoleka atya nti atuwa eddembe okwesalirawo?
14 Bwe tumanya engeri Katonda gy’atubumbamu kituyamba okukolagana obulungi ne bakkiriza bannaffe era n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu eri abantu abali mu kitundu mwe tubuulira nga mw’otwalidde n’abayizi baffe aba Bayibuli. Mu biseera by’edda, omubumbi teyasimanga bbumba n’atandikirawo kubumba. Yasookanga kuliteekateeka n’aliggyamu amayinja n’ebintu ebirala ebiteetaagisa. Mu ngeri y’emu, Katonda asooka kuteekateeka abantu abaagala okubumbibwa oluvannyuma n’alyoka ababumba. Tabakaka kukola nkyukakyuka mu bulamu bwabwe, wabula abayamba okumanya emitindo gye egy’obutuukirivu n’abaleka okutereeza obulamu bwabwe kyeyagalire.
15, 16. Abayizi ba Bayibuli bakiraga batya nti baagala Yakuwa ababumbe? Waayo ekyokulabirako.
15 Lowooza ku Tessie, mwannyinaffe abeera mu Australia. Mwannyinaffe eyasoma naye yagamba nti: “Tessie kyamwanguyira okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye yali takulaakulana mu by’omwoyo, wadde okujjako mu nkuŋŋaana! Bwe kityo, oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa n’okukifumiitirizaako, nnasalawo okulekera awo okumusomesa. Naye waliwo ekintu ekyaliwo ekyanneewuunyisa. Ku lunaku lwe nnali ŋŋenze okumusomesa omulundi ogusembayo, Tessie yambuulira ekyamuli ku mutima. Yaŋŋamba nti yali awulira nti yali munnanfuusi olw’okuba yali akyenyigira mu kukuba zzaala. Naye kati yali asazeewo okulekayo omuze ogwo.”
16 Waayita ekiseera kitono Tessie n’atandika okugendanga mu nkuŋŋaana era n’atandika okwoleka engeri z’Ekikristaayo wadde nga waaliwo abaali bamusekerera era nga bamujerega. Mwannyinaffe eyamusomesa yagattako nti: “Tessie yabatizibwa era oluvannyuma n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo, wadde nga yalina abaana abato.” Mu butuufu, abayizi ba Bayibuli bwe batandika okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okusanyusa Katonda, Katonda abasemberera era n’ababumba ne bafuuka ebibya eby’omuwendo.
17. (a) Lwaki oli musanyufu okuba nti Yakuwa ye Mubumbi wo? (b) Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
17 Ne leero, ababumbi abamu babumba ebintu nga bakozesa engalo zaabwe, bwe kityo ne baba kumpi n’ekyo kye baba babumba. Mu ngeri y’emu, Yakuwa naye aba kumpi naffe ng’atubumba. Atuwa amagezi era n’atwetegereza okulaba engeri gye tugakolerako. (Soma Zabbuli 32:8.) Okiraba nti Yakuwa akufaako kinnoomu? Okiraba nti olinga ali mu mikono gye ng’akubumba? Ngeri ki endala ze weetaaga okukulaakulanya osobole okusigala ng’olinga ebbumba eggonvu mu mikono gya Yakuwa? Biki by’osaanidde okwewala oleme kuba ng’ebbumba erikaluba? Era abazadde bayinza batya okukolera awamu ne Yakuwa mu kubumba abaana baabwe? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.