Ensi Empya—Onoobeerayo?
“Tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n’okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. Era buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.”—OMUBUULIZI 3:12, 13.
1. Lwaki twandisuubidde birungi mu biseera eby’omu maaso?
ABANTU bangi batwala Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna okuba omukambwe era omukakali. Kyokka, ekyawandiikibwa ekyo waggulu kirimu amazima g’ojja okusanga mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Kikwatagana n’okuba nti ye “Katonda musanyufu” era n’okuba nti yateeka bazadde baffe abaasooka mu lusuku lwe olw’oku nsi. (1 Timoseewo 1:11, NW; Olubereberye 2:7-9) Nga tunoonya okutegeera ebiseera eby’omu maaso Katonda by’asuubiza abantu be, tetwandyewuunyizza kuyiga ku mbeera ezinaatuleetera essanyu ery’olubeerera.
2. Bintu ki ebimu bye weesunga?
2 Mu kitundu ekivuddeko, twekenneenyezza ebifo bisatu ku bina Baibuli w’eragulira ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya.’ (Isaaya 65:17) Ekimu ku bifo omuli obunnabbi obwo obwesigika kiri mu Okubikkulirwa 21:1. Ennyiriri eziddirira zoogera ku kiseera Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna lw’alirongooseza ddala embeera eziriwo ku nsi ne zifuuka nnungi. Alisangula amaziga ag’ennaku. Abantu tebaliddamu kufa olw’obukadde, obulwadde, oba obubenje. Ennaku, okukaaba, n’okulumwa biriba biweddewo. Ng’eryo ssuubi lya kitalo! Naye tuyinza tutya okubeera abakakafu nti lirituukirira, era essuubi eryo liyinza kutukolako ki kati?
Ensonga Ezituleetera Okubeera n’Obwesige
3. Lwaki tuyinza okwesiga ebisuubizo bya Baibuli ebikwata ku biseera eby’omu maaso?
3 Weetegereze engeri Okubikkulirwa 21:5 gye lweyongera mu maaso. Lujuliza Katonda, atudde ku ntebe ye ey’omu ggulu, ng’ayogera nti: “Laba, byonna mbizzizza buggya.” Ekisuubizo kya Katonda ekyo kisingira wala nnyo obulungi ekirangiriro ky’eggwanga kyonna eky’obwetwaze, ekiwandiiko kyonna eky’eddembe ly’obuntu mu kiseera kino, oba ekintu kyonna abantu kye basuubira okukola mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kirangiriro ekyesigikira ddala ekiva eri Oyo Baibuli gw’eyogerako nti ‘tayinza kulimba.’ (Tito 1:2) Kiba kitegeerekeka bw’oba wandyagadde tukome wano ofumiitirize ku ssuubi lino erisanyusa ennyo era weesige Katonda. Naye tetulina kukoma wano. Waliwo ebirala bingi eby’okuyiga ku biseera eby’omu maaso.
4, 5. Bunnabbi ki obwa Baibuli obwekenneenyezeddwa obuyinza okunyweza obwesige bwaffe mu biri mu maaso?
4 Lowooza ku ebyo ekitundu ekivuddeko bye kyogedde ku bisuubizo bya Baibuli ebikwata ku ggulu eriggya n’ensi empya. Isaaya yalagula embeera empya ezifaanana bwe zityo, era obunnabbi bwe bwatuukirizibwa Abayudaaya bwe baddayo mu nsi yaabwe ne bazzaawo okusinza okw’amazima. (Ezera 1:1-3; 2:1, 2; 3:12, 13) Naye, kyekyo kyokka obunnabbi bwa Isaaya kye bwali busongako? N’akatono! Ebintu bye yalagula byali bya kutuukirizibwa nate mu ngeri esingawo mu biseera eby’omu maaso ddala. Lwaki tutuuka ku kusalawo okwo? Olw’ebyo bye tusoma mu 2 Peetero 3:13 ne Okubikkulirwa 21:1-5. Ennyiriri ezo zisonga ku ggulu eriggya n’ensi empya ebijja okuganyula Abakristaayo ku kigero ky’ensi yonna.
5 Nga bwe twalabye emabega, Baibuli ekozesa ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya” emirundi ena. Twekenneenyezzaako esatu ku gino era ne tutuuka ku kusalawo okuzzaamu amaanyi. Butereevu, Baibuli eragula nti Katonda ajja kuggyawo obubi n’ebirala ebireeta okubonaabona era nti ajja kuwa olulyo lw’omuntu omukisa mu nteekateeka empya gye yasuubiza.
6. Obunnabbi obw’okuna obwogera ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya’ bulagula ki?
6 Kati ka twekenneenye ekifo ekisigaddeyo awasangibwa ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya,” mu Isaaya 66:22-24 (NW): “Kubanga eggulu eriggya n’ensi empya bye nkola bwe biyimiridde mu maaso gange,’ bw’ayogera Yakuwa, ‘bwe lityo n’ezzadde lyammwe era n’erinnya lyammwe bwe biryeyongera okuyimirira. Era kiribaawo ddala nti okuva ku mwezi omuppya okutuuka ku mwezi omuppya n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti abalina omubiri bonna balijjanga ne bavuunama mu maaso gange,’ bw’ayogera Yakuwa. ‘Era balifuluma ne batunuulira emirambo gy’abantu abaayoonoona mu maaso gange; kubanga envunyu eziribabaako tezirifa era n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa, era balifuuka kyenyinyalwa eri abalina omubiri bonna.’”
7. Lwaki twandisazeewo nti Isaaya 66:22-24 zijja kutuukirizibwa gye bujja?
7 Obunnabbi buno bwatuukirizibwa ku Bayudaaya abaddayo mu nsi ya boobwe, naye wandibaddewo okutuukirizibwa okulala. Ekyo kyandibaddewo mu maaso ddala okuva ku kiseera ebbaluwa ya Peetero ey’okubiri n’ekitabo ky’Okubikkulirwa we byawandiikirwa, kubanga byasonga ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya’ eby’omu kiseera eky’omu maaso. Tuyinza okwesunga okutuukirizibwa okwo okw’ekitalo era okujjuvu mu nteekateeka empya. Lowooza ku zimu ku mbeera ze tuyinza okwesunga okunyumirwa.
8, 9. (a) Mu ngeri ki abantu ba Katonda gye bajja ‘okusigala nga bayimiridde’? (b) Makulu ki agali mu bunnabbi obugamba nti abaweereza ba Yakuwa bajja kusinza “okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi n’okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti”?
8 Okubikkulirwa 21:4 lulaga nti okufa tekulibaawo nate. Ebyawandiikibwa ebiri mu Isaaya 66 bikkiriziganya n’ekyo. Mu lunyiriri 22 tulaba nti Yakuwa amanyi nga eggulu eriggya n’ensi empya tebijja kuba bya kaseera buseera. Ate era, abantu be bajja kugumiikiriza; bajja ‘kweyongera okuyimirira’ mu maaso ge. Ebyo Katonda by’amaze okukolera abantu be abalonde bituleetera okubeera n’obwesige. Abakristaayo ab’amazima boolekaganye n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, era kaweefube ow’amaanyi akoleddwa okubamalawo. (Yokaana 16:2; Ebikolwa 8:1) Kyokka, n’abalabe b’abantu ba Katonda ab’amaanyi ennyo, gamba nga Empura Nero Omuruumi ne Adolf Hitler, tebaasobola kusaanyawo bantu ba Katonda abeesigwa, abayitibwa erinnya lye. Yakuwa akuumye ekibiina ky’abantu be, era tuli bakakafu nti asobola okukikuuma ebbanga lyonna.
9 Mu ngeri y’emu, abo abeesigwa eri Katonda ng’ekitundu ky’ensi empya, ekibiina ky’abasinza ab’amazima abanaabaawo mu nsi empya, bajja kweyongera okuyimirira ng’abantu kinnoomu kubanga bajja kuba benyigira mu kusinza okulongoofu eri Omutonzi w’ebintu byonna. Okusinza okwo tekujja kubeerangawo biseera bimu na bimu oba obutabeera kutegeke. Amateeka ga Katonda, agaaweebwa Isiraeri okuyitira mu Musa, gaabeetaagisanga okwenyigira mu bikolwa ebimu eby’okusinza buli mwezi, ng’omwezi omuppya gubonese, era ne buli wiiki, ku lunaku olwa Ssabbiiti. (Eby’Abaleevi 24:5-9; Okubala 10:10; 28:9, 10; 2 Ebyomumirembe 2:4) N’olwekyo, Isaaya 66:23 lusonga ku kusinza Katonda okweyongera mu maaso obutayosa, buli wiiki era buli mwezi. Obutakkiririza mu Katonda n’obunnanfuusi mu ddiini tebiribeerawo mu biseera ebyo. “Abalina omubiri bonna balijjanga ne bavuunama mu maaso” ga Yakuwa.
10. Lwaki tuyinza okubeera n’obwesige nti ensi empya tejja kuddamu kwonoonebwa babi?
10 Isaaya 66:24 lutukakasa nti emirembe n’obutuukirivu mu nsi empya tebiriddayo kubeera mu kabi konna. Ababi tebajja kubyonoona. Jjukira nga 2 Peetero 3:7 lugamba nti mu maaso awo eriyo ‘olunaku lw’okusalirako omusango n’okuzikirizibwa kw’abantu abatatya Katonda.’ Abo abanaazikirizibwa be bantu abatatya Katonda. Okwawukana ku kitera okubaawo mu ntalo z’abantu, ezifiiramu abantu aba bulijjo abasinga abaserikale obungi, tewali kabi konna kajja kutuuka ku batalina musango. Omulamuzi omukulu atukakasa nti olunaku lwe lujja kubeera lwa kuzikiririzaako abo abatatya Katonda.
11. Kiki Isaaya ky’alaga ekirituuka ku abo bonna abeesamba Katonda n’okusinza kwe?
11 Abatuukirivu abanaawonawo bajja kulaba nti ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kya mazima. Olunyiriri 24 lulagula nti “emirambo gy’abantu abaayoonoona” mu maaso ga Yakuwa gijja kuba bukakafu obulaga ensala ye. Olulimi Isaaya lwe yakozesa luyinza okulabika ng’olwesisiwaza. Kyokka, lukwatagana n’ekintu ekyaliwo mu byafaayo. Wabweru wa bbugwe wa Yerusaalemi eky’edda, waaliyo ekifo awaasuulibwanga ebisasiro, era oluusi emirambo gy’abamenyi b’amateeka abattiddwa abaalabibwanga nga tebagwana kuziikibwa.a Eyo, mu bbanga ttono, envunyu n’omuliro ogubumbujja byasaanyizangawo ddala ebisasiro n’emirambo egyo. Kya lwatu, olulimi olwo Isaaya lwe yakozesa lwalaga obukakafu bw’omusango Yakuwa gwe yali asalidde abamenyi b’amateeka.
Ekyo ky’Asuubiza
12. Biki ebirala Isaaya by’ayogera ku bulamu mu nsi empya?
12 Okubikkulirwa 21:4, lwogera ku bintu ebimu ebitalibaawo mu mbeera empya ezijja. Kyokka, biki ebiribaawo mu kiseera ekyo? Obulamu bulibeera butya? Waliwo ekintu kyonna ekyesigika ekiyinza okutulaga bwe biribeera? Yee. Isaaya essuula 65 mu ngeri ey’obunnabbi eyogera ku mbeera ze tujja okunyumirwa singa tusiimibwa Yakuwa ne tubeerawo ng’atonda “eggulu eriggya n’ensi empya” ebyogerwako wano. Abo abanaaweebwa ekifo eky’enkalakkalira mu nsi empya tebajja kukaddiwa na kufa. Isaaya 65:20 lutukakasa: “Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n’alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa.”
13. Isaaya 65:20 lutukakasa lutya nti abantu ba Katonda bajja kubeera n’obukuumi?
13 Bino bwe byasooka okutuukirizibwa ku bantu ba Isaaya, kyategeeza nti abaana abawere mu nsi baali tebalina kabi konna kaboolekedde. Tewali balabe bonna baali bajja, nga Abababulooni bwe baakola, okutwala abaana abayonka oba okutta abantu abali mu myaka gyabwe egy’obuvubuka. (2 Ebyomumirembe 36:17, 20) Mu nsi empya ejja, abantu tebajja kutuukibwako kabi konna, bajja kuba n’obukuumi, era nga basobola okunyumirwa obulamu. Omuntu bw’alirondawo okujeemera Katonda, talikkirizibwa kweyongera kubeerawo. Katonda alimuggyawo. Kitya singa oyo alyonoona aliba wa myaka kikumi? Alifa nga “omwana” bw’ogeraageranya n’okubeerawo emirembe gyonna.—1 Timoseewo 1:19, 20; 2 Timoseewo 2:16-19.
14, 15. Okusinziira ku Isaaya 65:21, 22, bintu ki ebiganyula by’oyinza okwesunga?
14 Mu kifo ky’okwemalira ku ngeri ayonoona mu bugenderevu gy’aliggibwawo, Isaaya ayogera ku mbeera z’obulamu eziribaawo mu nsi empya. Kuba ekifaananyi ng’oli mu mbeera ezo. Ekiyinza okusooka okujja mu birowoozo byo bye bintu ebikwata ku maka go. Ebyo Isaaya abyogerako mu lunyiriri 21 ne 22: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku ez’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku z’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu gw’engalo zaabwe.”
15 Bw’oba tolina bumanyirivu bwonna mu kuzimba oba nga tolimangako, obunnabbi bwa Isaaya bulaga nti oli wa kuyigirizibwa. Naye, wandibadde mwetegefu okuyiga ng’oyambibwako abantu abalina obusobozi n’obumanyirivu, oboolyawo baliraanwa bo ab’ekisa abaagala okukuyamba? Isaaya teyagamba nti ennyumba yo eriba n’amadirisa manene, osobolenga okufuna akawewo akalungi, oba nti eriba y’amadirisa ga ndabirwamu osobolenga okulaba enkyukakyuka z’obudde. Olizimba nnyumba ey’akasolya akeewunzise akasobozesa amazzi g’enkuba n’omuzira okukulukuta? Oba embeera y’obudde mu kitundu ky’olibeeramu erikwetaagisa kuba na nnyumba ey’akasolya akaseeteevu—ng’ezimu ez’omu Buvanjuba obwa Masekkati—gy’oyinza okutuula waggulu n’ab’omu maka go ne mulya emmere oba ne munyumya?—Ekyamateeka 22:8; Nekkemiya 8:16.
16. Lwaki oyinza okusuubira ensi empya okuleeta okumatira okw’olubeerera?
16 Ekisinga obukulu okumanya kalonda ng’oyo kwe kumanya nti ojja kuba n’aw’okusula awawo ku bubwo. Wajja kuba wawo—si ng’ennaku zino bw’oyinza okukuluusana okuzimba naye ate omulala n’aganyulwamu. Isaaya 65:21 era lugamba nti olisimba n’olya ebibala byamu. Kya lwatu, ebyo biwumbawumbako bulungi embeera nga bw’eriba. Ojja kufuna okumatira kungi nnyo mu bibala by’okufuba kwo. Ojja kusobola okuganyulwa bw’otyo okumala ekiseera kiwanvu—“ng’ennaku z’omuti bwe ziba.” Ekyo mazima ddala kituukana bulungi nnyo n’ennyinnyonnyola nti ‘byonna bizziddwa buggya’!—Zabbuli 92:12-14.
17. Kisuubizo ki abazadde kye banaasanga nga kizzaamu amaanyi?
17 Bw’oba oli muzadde, ebigambo bino bijja kukwata ku mutima gwo: “Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly’abo aba[a]weebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo. Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.” (Isaaya 65:23, 24) Omanyi obulumi ‘bw’okuzaala abaana ab’okulaba ennaku’? Tekitwetaagisa kuwa lukalala lw’ebizibu eby’enjawulo abaana bye bayinza okwolekagana nabyo ebinakuwaza abazadde n’abantu abalala. Nga kikwatagana n’ekyo, fenna tulabye abazadde abeemalidde ennyo ku mirimu gyabwe oba eby’amasanyu ne bawaayo ebiseera bitono okubeera n’abaana baabwe. Okwawukana ku ekyo, Yakuwa atukakasa nti ajja kuwuliranga era akole ku byetaago byaffe, nga tebinnaba na kubaawo.
18. Lwaki wandisuubidde okunyumirwa okubeera n’ebisolo mu nsi empya?
18 Ng’olowooza ku by’oyinza okunyumirwa mu nsi empya, kuba ekifaananyi ku ekyo ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kye kyogera: “Omusege n’omwana gw’endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng’ente: n’enfuufu ye eneebanga emmere ey’omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw’ayogera Mukama.” (Isaaya 65:25) Abantu abasiiga ebifaananyi bagezezzaako okukuba ekifaananyi kino, naye bino si kifaananyi bufaananyi ekiteebereze ekikubiddwa omusiizi w’ebifaananyi. Bino bijja kubeererawo ddala. Wajja kubaawo emirembe mu bantu, era wajja kubaawo n’emirembe wakati waabwe n’ebisolo. Abakugu bangi mu bayoloje era n’abo abaagala ennyo ebisolo bamala emyaka mingi egy’obulamu bwabwe nga bayiga ku bika bitono eby’ebisolo, oboolyawo ekika kimu kyokka. Okwawukana ku ekyo, lowooza ku ebyo by’oliyiga ng’ebisolo tebikyatya bantu. Mu kiseera ekyo ojja kusobola okusemberera ebinyonyi oba obusolo obutonotono obubeera mu kibira oba mu nsiko—obwekkaanye, obuyigeko era onyumirwe okubeera nabwo. (Yobu 12:7-9) Ojja kusobola okukikola nga tolina ky’otya okuva eri abantu oba ebisolo. Yakuwa agamba: ‘Tebalikola kabi konna oba ekintu kyonna ekyonoona mu lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw’ayogera Yakuwa.’ Ng’eriba nkyukakyuka nnene nnyo okuva ku ebyo bye tulaba leero!
19, 20. Lwaki abantu ba Katonda ba njawulo ku bantu abasinga obungi leero?
19 Nga bwe twalabye emabega, abantu tebasobola kulagula binaabeerawo ddala mu biseera eby’omu maaso, wadde nga balina endowooza nnyingi ku myaka olukumi emirala egitandise. Ekyo kireka bangi nga basobeddwa, nga batabusetabuse, oba nga baweddemu amaanyi. Peter Emberley, dayirekita mu univaasite emu ey’omu Canada, yawandiika bw’ati: “Abantu abakulu bangi kati beebuuza ebibuuzo ebikulu ebikwata ku kubeerawo kwabwe. Nze ani? Nduubirira ki? Kiki kye ŋŋenda okulekera omulembe ogujja? Ne mu masekkati g’obulamu bwabwe baba bakyakuluusana okufuna emirembe n’amakulu mu bulamu bwabwe.”
20 Ggwe osobola okutegeera ensonga lwaki kiri bwe kityo eri abantu bangi. Bayinza okwagala okunyumirwa obulamu okuyitira mu bintu ebibasanyusa oba engeri ezitali zimu ez’amasanyu. Kyokka, tebamanyi biri mu biseera eby’omu maaso, n’olwekyo obulamu buyinza okulabika ng’obutalina kigendererwa, nteekateeka nnuŋŋamu, oba amakulu gennyini. Kati geraageranya ekyo n’engeri gy’otunuuliramu obulamu, ng’osinziira ku ebyo bye twekenneenyezza. Omanyi nti mu ggulu eriggya n’ensi empya Yakuwa by’asuubiza, tujja kusobola okutunuulira ebitwetoolodde twogere okuviira ddala mu mitima gyaffe nti, ‘Mazima ddala, Katonda byonna abizzizza buggya!’ Ebyo nga tujja kubinyumirwa!
21. Kufaanagana ki okuliwo wakati wa Isaaya 65:25 ne Isaaya 11:9?
21 Tekuba kwetulinkiriza n’akamu ffe okukuba ekifaananyi nga tuli mu nsi ya Katonda empya. Atukoowoola, era atukubiriza okumusinza mu mazima kati tutuukirize ebisaanyizo by’okufuna obulamu mu kiseera lwe ‘batalikola kabi konna oba ekintu kyonna ekyonoona mu lusozi lwe lwonna olutukuvu.’ (Isaaya 65:25,NW) Naye, obadde okimanyi nti emabegako, Isaaya yakozesa ebigambo ebifaananako, era nti yayogera ku kintu ekirala ekikulu kye twetaaga okusobola okunyumirwa obulamu mu nsi empya? Isaaya 11:9 (NW), lugamba: “Tebalikola kabi konna oba ekintu kyonna ekyonoona mu lusozi lwange olutukuvu lwonna; kubanga ensi erijjula okumanya Yakuwa ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.”
22. Okwekenneenyezebwa kw’obunnabbi bwa Baibuli buna kwandituleetedde kumalirira kukola ki?
22 “Okumanya Yakuwa.” Yee, Katonda bw’alifuula ebintu byonna ebiggya, abalibeera ku nsi baliba n’okumanya okutuufu okumukwatako era ne by’ayagala. Ekyo kijja kutwaliramu ekisingawo ku kuyigira ku butonde bw’ebisolo. Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa kizingirwamu. Ng’ekyokulabirako, fumiitiriza ku bingi bye tuyize okuva ku kwekenneenya obunnabbi buna bwokka obwogera ku “eggulu eriggya n’ensi empya.” (Isaaya 65:17; 66:22; 2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 21:1) Olina ensonga ennungi okusoma Baibuli buli lunaku. Ekyo kye kintu ky’okola obutayosa? Bwe kitaba bwe kityo, nkyukakyuka ki z’oyinza okukola osobole okusoma buli lunaku Katonda ky’agamba? Ojja kukisanga nti ng’oggyeko okwesunga okunyumirwa ensi empya, ojja kweyongera okufuna essanyu kati, nga bwe kyali eri omuwandiisi wa Zabbuli.—Zabbuli 1:1, 2.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 906, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki tuyinza okusalawo nti Isaaya 66:22-24 ziragula biri mu maaso?
• Biki bye weesunga ennyo mu bintu ebyogerwako mu bunnabbi obuli mu Isaaya 66:22-24 ne Isaaya 65:20-25?
• Nsonga ki ezikuleetera okubeera omukakafu ku biseera byo eby’omu maaso?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Isaaya, Peetero, ne Yokaana baalagula ebikwata ku “eggulu eriggya n’ensi empya”