Sigala ng’Otunula nga Yeremiya Bwe Yakola
“Nze [Yakuwa] nsigala nga ntunula okusobola okutuukiriza ekigambo kyange.”—YER. 1:12, NW.
1, 2. Lwaki eky’okuba nti Yakuwa ‘asigala ng’atunula’ kikwataganyizibwa n’omuti gw’omulozi?
OMULOZI gwe gumu ku miti egisooka okumulisa ku nsozi za Lebanooni ne Isiraeri. Omuti guno gumulisa ng’omwezi gwa Jjanwali gunaatera okuggwaako oba awo ng’omwezi gwa Febwali gwakatandika. Erinnya lyagwo mu Lwebbulaniya bwe livvuunulwa obutereevu litegeeza “omukeeze.”
2 Yakuwa bwe yali alonda Yeremiya okuba nnabbi we, yakozesa ekyokulabirako ky’omuti gw’omulozi okubaako ekintu ekikulu ky’amuyigiriza. Mu kwolesebwa kwe yaweebwa ku ntandikwa y’obuweereza bwe, nnabbi oyo yalagibwa ettabi ly’omuti gw’omulozi. Ekyo kyalina makulu ki? Yakuwa yagamba nti: “Nsigala nga ntunula okusobola okutuukiriza ekigambo kyange.” (Yer. 1:11, 12, NW) Ng’omuti gw’omulozi bwe ‘gwakeeranga’ okumulisa, ne Yakuwa bw’atyo mu ngeri ey’akabonero ‘yagolokokanga ku makya’ n’atuma bannabbi be okulabula abantu be ku ebyo ebyali bigenda okubatuukako olw’obujeemu bwabwe. (Yer. 7:25) Era teyawummulanga—‘yasigalanga ng’atunula’—okutuusiza ddala ng’ekigambo kye eky’obunnabbi kituukiridde. Mu 607 E.E.T., mu kiseera kyennyini ekigereke, omusango Yakuwa gwe yali asalidde eggwanga lya Yuda eryali ejjeemu gwassibwa mu nkola.
3. Kiki kye tumanyi ku Yakuwa?
3 Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa atunula okulaba nti atuukiriza by’ayagala. Tayinza kulemererwa kutuukiriza kigambo kye. Eky’okuba nti Yakuwa atunula kikukwatako kitya? Okkiriza nti n’okutuusa mu mwaka guno ogwa 2011, Yakuwa ‘akyatunula’ okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye? Bwe tuba tubuusabuusa nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye, kino kye kiseera okuzuukuka okuva mu tulo otw’eby’omwoyo. (Bar. 13:11) Nnabbi wa Yakuwa Yeremiya yasigala ng’atunula mu by’omwoyo. Okwetegereza ebyo ebyayamba Yeremiya okusigala ng’atunula n’ensonga lwaki yasigala ng’atunula ng’akola omulimu Katonda gwe yali amukwasizza, kijja kutuyamba okusigala nga tuli banyiikivu nga tukola omulimu Yakuwa gw’atuwadde.
Obubaka Obwali Bulina Okubuulirwa mu Bwangu
4. Buzibu ki Yeremiya bwe yasanga ng’abuulira obubaka bwe yali aweereddwa, era lwaki yalina okububuulira mu bwangu?
4 Yeremiya ayinza okuba nga yalina emyaka nga 25 mu kiseera Yakuwa we yamulondera okuba omukuumi. (Yer. 1:1, 2) Naye muli yali awulira ng’eyali akyali omwana omuto, ataalina bisaanyizo kwogera eri abakadde b’eggwanga lya Isiraeri, abasajja abaali ab’obuyinza era nga bakulu mu myaka. (Yer. 1:6) Yalina obubaka obw’omusango obwali obukulu ennyo bwe yalina okubuulira, naddala eri bakabona, bannabbi ab’obulimba, n’abakulembeze, nga mw’otwalidde n’abantu abaali bakutte amakubo amabi n’abo abaali bagaanyi okwenenya. (Yer. 6:13; 8:5, 6) Yeekaalu ya Kabaka Sulemaani amatiribona, eyali entabiro ey’okusinza okw’amazima okumala ebyasa nga bina, yali ya kuzikirizibwa. Yerusaalemi ne Yuda byali bya kusigala matongo, era n’abantu baamu batwalibwe mu buwambe. Tewali kubuusabuusa nti obubaka Yeremiya bwe yali aweereddwa bwali bulina okubuulirwa mu bwangu!
5, 6. (a) Yakuwa akozesa atya ab’ekibiina kya Yeremiya leero? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
5 Ne leero, Yakuwa ataddewo Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakola ng’abakuumi okulabula abantu ku musango Katonda gw’asalidde ensi eno. Okumala emyaka mingi, ab’ekibiina kya Yeremiya bano babadde bayamba abantu okutegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu. (Yer. 6:17) Bayibuli ekiraga bulungi nti Yakuwa, Omukuumi w’Ebiseera Omukulu, talwawo kutuukiriza bisuubizo bye. Olunaku lwe lujja kujjira mu kiseera ekituufu ng’abantu tebalusuubira.—Zef. 3:8; Mak. 13:33; 2 Peet. 3:9, 10.
6 Kijjukire nti Yakuwa atunula era nti ajja kuleeta ensi ye empya ey’obutuukirivu mu kiseera ekituufu. Okumanya ekyo kikubiriza ab’ekibiina kya Yeremiya okuyamba bannaabwe ab’endiga endala okukiraba nti obubaka bwe bakwasiddwa bulina okubuulirwa mu bwangu. Ekyo kikukwatako kitya? Yesu yakiraga nti abantu bonna kibeetaagisa okuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Kati ka tulabeyo ebintu bisatu ebyayamba Yeremiya okusigala ng’atunula okusobola okutuukiriza omulimu ogwali gumukwasiddwa era naffe ebinaatuyamba okukola ky’ekimu.
Okwagala kwe Yalina eri Abantu
7. Okwagala kwakubiriza kutya Yeremiya okubuulira wadde ng’embeera yali nzibu.
7 Kiki ekyakubiriza Yeremiya okweyongera okubuulira wadde ng’embeera yali nzibu? Yali ayagala nnyo abantu. Yeremiya yali akimanyi nti ebizibu ebisinga obungi abantu bye baali bafuna byali biva ku basumba ab’obulimba. (Yer. 23:1, 2) Okumanya ekyo kyamukubiriza okwoleka okwagala n’obusaasizi ng’akola omulimu gwe. Yali ayagala abantu bonna bafune obubaka obuva eri Katonda basobole okuwonawo. Yakwatibwako nnyo n’atuuka n’okukaaba olw’obubi obwali bugenda okubatuukako. (Soma Yeremiya 8:21; 9:1.) Ekitabo ky’Okukungubaga kiraga bulungi nti Yeremiya yali alumirirwa era ng’ayagala nnyo erinnya lya Katonda awamu n’abantu. (Kung. 4:6, 9) Bw’olaba abantu nga “babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba,” ekyo tekikukubiriza okwagala okubabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda?—Mat. 9:36.
8. Kiki ekiraga nti okubonaabona tekwaleetera Yeremiya kunyiiga?
8 Abantu Yeremiya be yali ayagala okuyamba bennyini be baamubonyaabonya, naye ekyo tekyamuleetera kuwoolera ggwanga wadde okunyiiga. Yayoleka obugumiikiriza n’ekisa eri abantu bonna, nga mw’otwalidde ne Kabaka Zeddekiya eyali omubi! Wadde nga Zeddekiya yali amukutte ng’ayagala okumutta, Yeremiya teyalekera awo kumwegayirira kugondera ddoboozi lya Yakuwa. (Yer. 38:4, 5, 19, 20) Naffe tulina okwagala okw’amaanyi eri abantu nga Yeremiya?
Yafuna Obuvumu Okuva eri Katonda
9. Kiki ekiraga nti obuvumu Yeremiya bwe yayoleka bwava eri Katonda?
9 Yakuwa bwe yali amutuma, Yeremiya yasooka n’agezaako okugaana nga yeekwasa obusongasonga. Kino kituyamba okutegeera nti mu kusooka Yeremiya teyali muvumu. Yeremiya yasobola okufuna obuvumu ng’aweereza nga nnabbi olw’okuba yali yeesiga Katonda. Mu butuufu, Yakuwa yali wamu ne nnabbi oyo “ng’ow’amaanyi ow’entiisa” mu ngeri nti yayamba Yeremiya okuba omuvumu okusobola okutuukiriza obuweereza bwe. (Yer. 20:11) Olw’okuba Yeremiya yayoleka obuvumu obw’ekitalo, Yesu bwe yali wano ku nsi abantu abamu baali balowooza nti Yeremiya ye yali azuukidde!—Mat. 16:13, 14.
10. Mu ngeri ki ensigalira y’abaafukibwako amafuta gye bakola ‘ng’omukulu w’amawanga era ow’amatwale ga bakabaka’?
10 Nga “Kabaka w’amawanga,” Yakuwa yatuma Yeremiya okulangirira obubaka obw’omusango eri amawanga n’obwakabaka. (Yer. 10:6, 7) Mu ngeri ki ensigalira y’abaafukibwako amafuta gye bakola ‘ng’omukulu w’amawanga era ow’amatwale ga bakabaka’? (Yer. 1:10) Okufaananako nnabbi Yeremiya, ab’ekibiina kya Yeremiya baweereddwa omulimu omukulu ennyo okuva eri Omufuzi w’obutonde bwonna. Abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta baweereddwa obuyinza okulangirira obubaka obw’omusango eri amawanga n’obwakabaka mu nsi yonna. Olw’okuba balina obuyinza okuva eri Katonda Ali Waggulu Ennyo awamu n’obubaka obuli mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, ab’ekibiina kya Yeremiya balangirira obubaka obulaga nti amawanga n’obwakabaka ebiriwo leero bijja kuzikirizibwa mu kiseera kya Katonda ekigereke era mu ngeri gy’ayagala. (Yer. 18:7-10; Kub. 11:18) Ab’ekibiina kya Yeremiya bamalirivu obutaddirira mu kukola mulimu Yakuwa Katonda gw’abakwasizza ogw’okulangirira obubaka bwe obw’omusango mu nsi yonna.
11. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okubuulira awatali kuddirira wadde nga twolekagana n’embeera enzibu?
11 Oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’okuziyizibwa, olw’okubuulira abantu abateefiirayo, oba olw’embeera enzibu ze twolekagana nazo. (2 Kol. 1:8) Naye okufaananako Yeremiya, naffe tetusaanidde kuddirira. Tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Ka ffenna tweyongere okwegayirira Katonda, okumwesiga, ‘n’okufuna obuvumu’ nga tuli bakakafu nti ajja kutuyamba. (1 Bas. 2:2) Ng’Abakristaayo ab’amazima, tulina okusigala nga tutunula okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bw’atukwasizza. Tusaanidde okweyongera okubuulira awatali kuddirira obubaka obukwata ku kuzikirizibwa kwa Kristendomu. Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi ekyali ekijeemu kwali kusonga ku kuzikirizibwa kwa Kristendomu. Ab’ekibiina kya Yeremiya bajja kweyongera okulangirira ‘omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkiririzibwamu awamu n’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwalanirwamu eggwanga.’—Is. 61:1, 2; 2 Kol. 6:2.
Essanyu Eriviira Ddala ku Mutima
12. Lwaki tuyinza okugamba nti Yeremiya yeeyongera okuweereza n’essanyu, era kiki ekyamuyamba okusigala nga musanyufu?
12 Yeremiya yafuna essanyu mu mulimu gwe. Yagamba Yakuwa nti: “Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali [gyendi] ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama.” (Yer. 15:16) Yeremiya yagitwalanga ng’enkizo okukiikirira Katonda ow’amazima n’okubuulira ekigambo kye. Naye buli lwe yassanga ebirowoozo bye ku bantu abaali bamusekerera, essanyu lyamuggwangako. Kyokka ebirowoozo bye we yabissanga ku bulungi n’obukulu bw’obubaka bwe yali abuulira, essanyu lye lyakomangawo.—Yer. 20:8, 9.
13. Okusobola okusigala nga tuli basanyufu, lwaki kikulu okwesomesa ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda?
13 Okusobola okusigala nga tuli basanyufu nga tubuulira, naffe tulina okulya “emmere enkalubo,” ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. (Beb. 5:14) Okwesomesa ebintu bya Katonda eby’ebuziba kituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. (Bak. 2:6, 7) Era kituyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebikolwa byaffe. Bwe tuba nga tuzibuwalirwa okufuna ebiseera okwesomesa Bayibuli, tusaanidde okwekenneenya engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe. Ne bwe tumala eddakiika ntono buli lunaku nga twesomesa Bayibuli era nga tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, kijja kutuyamba okusemberera Yakuwa era kijja kutuleetera ‘essanyu mu mutima,’ nga Yeremiya.
14, 15. (a) Yeremiya bwe yanywerera ku mulimu gwe, birungi ki ebyavaamu? (b) Bwe kituuka ku mulimu gw’okubuulira, kiki abantu ba Katonda kye bamanyi?
14 Yeremiya yalangirira obubaka bwa Yakuwa obw’omusango awatali kuddirira, era yali ayagala nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ‘obw’okuzimba n’okusimba.’ (Yer. 1:10) Omulimu gwe ogw’okuzimba n’okusimba gwavaamu ebibala. Abamu ku Bayudaaya n’abantu abalala abataali Baisiraeri baawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa mu 607 E.E.T. Mu bano mwe mwali Abalekabu, Ebedumereki, ne Baluki. (Yer. 35:19; 39:15-18; 43:5-7) Mikwano gya Yeremiya bano abaali abeesigwa era nga batya Katonda bakiikirira abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi abaliwo leero abasazeewo okufuuka mikwano gy’ab’ekibiina kya Yeremiya. Ab’ekibiina kya Yeremiya bafuna essanyu lingi mu kuyamba bannaabwe abo ‘ab’ekibiina ekinene’ mu by’omwoyo. (Kub. 7:9) Mu ngeri y’emu, ab’ekibiina ekinene nabo bafuna essanyu lingi mu kuyamba abantu ab’emitima emirungi okutegeera amazima agali mu Bayibuli.
15 Abantu ba Katonda bakimanyi bulungi nti bwe baba babuulira amawulire amalungi baba bayamba abantu ate nga mu kiseera ky’ekimu baba basinza Katonda. Ka kibe nti abantu bawuliriza oba nedda, okusinza Yakuwa nga tubuulira kituleetera essanyu lingi.—Zab. 71:23; soma Abaruumi 1:9.
‘Sigala ng’Otunula’ Osobole Okutuukiriza Omulimu Gwo!
16, 17. Okubikkulirwa 17:10 ne Kaabakuuku 2:3 walaga watya obukulu bw’ebiseera bye tulimu?
16 Okwetegereza obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 17:10 kituyamba okutegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Kabaka ow’omusanvu, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika, kati w’ali. Tusoma bwe tuti ku kabaka oyo: “Bw’alijja [obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu] ajja kusigalawo okumala akaseera katono.” ‘Akaseera ako akatono’ kanaatera okuggwaako. Ng’ayogera ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, nnabbi Kaabakuuku agamba nti: “Okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa . . . Kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.”—Kaab. 2:3.
17 Kati weebuuze: ‘Ebintu bye nkola mu bulamu biraga nti mmanyi obukulu bw’ebiseera bye tulimu? Biraga nti nsuubira enkomerero okutuuka ekiseera kyonna? Oba kyandiba nti ebyo bye nkulembeza mu bulamu n’ebyo bye nsalawo okukola biraga nti sisuubira nkomerero kujja mangu oba nti eyinza n’obutajja?’
18, 19. Lwaki kino si kye kiseera okuddirira mu mulimu gw’Obwakabaka?
18 Omulimu gw’ab’ekibiina ky’omukuumi gukyagenda mu maaso. (Soma Yeremiya 1:17-19.) Nga kituleetera essanyu lingi okukimanya nti ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta bayimiridde nga tebasagaasagana, ‘ng’empagi ey’ekyuma’ era ‘ng’ekibuga ekiriko enkomera’! ‘Basibye amazima mu biwato byabwe’ mu ngeri nti bakkirizza Ekigambo kya Katonda okubanyweza okutuusa nga bamaliriza omulimu ogwabaweebwa. (Bef. 6:14) Mu ngeri y’emu, ab’ekibiina ekinene bakola kyonna ekisoboka okuyamba ab’ekibiina kya Yeremiya okutuukiriza omulimu Katonda gwe yabawa.
19 Kino si kye kiseera okuddirira mu mulimu gw’Obwakabaka naye kye kiseera okufumiitiriza ku bigambo ebiri mu Yeremiya 12:5. (Soma.) Ffenna twolekagana n’ebizibu ebitali bimu naye tulina okubigumira. Ebizibu bye twolekagana nabyo mu kiseera kino biyinza okugeraageranyizibwa ku kudduka “n’abatambula n’ebigere.” Naye, tusuubira nti ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ kigenda kyeyongera okusembera, ebizibu bijja kweyongera. (Mat. 24:21) Okwolekagana n’ebizibu ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso kiyinza okugeraageranyizibwa ku kudduka ‘ng’owakana n’embalaasi.’ Kyetaagisa obugumiikiriza obw’amaanyi omuntu okusobola okudduka n’embalaasi. N’olwekyo, kikulu nnyo okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo mu kiseera kino kituyambe okweteekerateekera ebyo bye tujja okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso.
20. Kiki ky’omaliridde okukola?
20 Okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira, ffenna tusaanidde okukoppa Yeremiya! Engeri ennungi, gamba nga okwagala, obuvumu, n’essanyu zaasobozesa Yeremiya okukola omulimu gwe ogw’okubuulira okumala emyaka 67. Omuti gw’omulozi gutujjukiza nti Yakuwa ajja ‘kusigala ng’atunula’ okusobola okutuukiriza ekigambo kye. Naffe tusaanidde okusigala nga tutunula. Yeremiya ‘yasigala ng’atunula,’ naffe tusobola okukola kye kimu.
Ojjukira?
• Okwagala kwayamba kutya Yeremiya ‘okusigala ng’atunula’ ng’akola omulimu ogwali gumukwasiddwa?
• Lwaki twetaaga obuvumu obuva eri Katonda?
• Kiki ekyayamba Yeremiya okusigala nga musanyufu?
• Lwaki weetaaga ‘okusigala ng’otunula’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Oneeyongera okubuulira wadde nga waliwo okuziyizibwa?