Abavubuka, Mujjukire Omutonzi Wammwe Kati
‘Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.’—MUB. 12:1.
1. Yakuwa alaga atya nti abavubuka abamusinza abalinamu obwesige?
YAKUWA atwala abavubuka ng’ekintu eky’omuwendo ennyo era abalaba ng’omusulo oguweweeza. Yalagula nti ku lunaku “olw’obuyinza” bw’Omwana we, abavubuka ‘bandyewaddeyo’ okuweereza Kristo ‘n’omwoyo ogutawalirizibwa.’ (Zab. 110:3) Obunnabbi obwo bwali bwa kutuukirizibwa mu kiseera ng’abantu abasinga tebagondera Katonda, nga beefaako bokka, baagala nnyo ssente, era nga bajeemu. Naye Yakuwa yali akimanyi nti abavubuka abamusinza bandibadde ba njawulo. Ng’abassaamu nnyo obwesige mmwe abavubuka!
2. Okujjukira Yakuwa kitegeeza ki?
2 Teeberezaamu essanyu Katonda ly’awulira bw’alaba abavubuka nga bamujjukira nti ye Mutonzi waabwe. (Mub. 12:1) Kya lwatu, okujjukira Yakuwa tekikoma ku kumulowoozaako bulowooza. Kitegeeza nti omuntu alina okuba ng’akola ebimusanyusa era ng’atambulira ku mateeka ge n’emisingi gye mu bulamu obwa bulijjo. Era kitegeeza okwesiga Yakuwa, nga tumanyi nti atwagaliza ekisingayo obulungi. (Zab. 37:3; Is. 48:17, 18) Bw’otyo bw’owulira eri Omutonzi wo?
“Weesigenga Mukama n’Omutima Gwo Gwonna”
3, 4. Yesu yalaga atya nti yeesiga Yakuwa, era lwaki kikulu nnyo okwesiga Yakuwa leero?
3 Omuntu eyasinga okwesiga Yakuwa yali Yesu Kristo. Yateeka mu nkola ebigambo ebiri mu Engero 3:5, 6 ebigamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” Amangu ddala nga Yesu yakabatizibwa, Setaani yagezaako okumukema akkirize okuweebwa ekitiibwa n’obuyinza mu nsi eno. (Luk. 4:3-13) Yesu teyabuzaabuzibwa. Yali akimanyi nti “obugagga n’ekitiibwa n’obulamu” ebya nnamaddala biva mu ‘kwetoowaza na kutya Mukama.’—Nge. 22:4.
4 Omululu n’okwefaako bibunye nnyo mu bantu leero. Mu mbeera ng’eyo, kiba kya magezi okugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Ate jjukira nti Setaani mumalirivu okusendasenda abaweereza ba Yakuwa bave ku kkubo efunda kkubo eribatwala mu bulamu. Ayagala buli omu atambulire mu kkubo eggazi erigenda mu kuzikirira. Tomuganya kukubuzaabuza! Beera mumalirivu okujjukira Omutonzi wo. Mwesige n’omutima gwo gwonna, era nyweza ‘obulamu obwa nnamaddala’ obugenda okujja amangu ddala.—1 Tim. 6:19.
Abavubuka, Mube n’Amagezi!
5. Olowooza kiki ekinaatuuka ku nsi eno mu biseera eby’omu maaso?
5 Abavubuka abajjukira Omutonzi waabwe baba bategeevu okusinga abalala ab’emyaka gyabwe. (Soma Zabbuli 119:99, 100.) Olw’okuba balina endowooza ya Katonda, bakimanyi bulungi nti ensi eno embi eneetera okuggwawo. Wadde ng’ekiseera mwe abavubuka kye mwakamala mu nsi kitono, muteekwa okuba nga mukirabye nti buli lukya abantu beeyongera kuba mu kutya na kweraliikirira. Oyinza okuba ng’owulidde ku kwonoonebwa kw’obutonde, okusaanyizibwawo kw’ebibira, ensi okweyongera okubuguma, n’ebirala ebiringa ebyo. Ebizibu bino byeraliikiriza nnyo abantu, naye Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abategeera obulungi nti ebyo byonna kitundu kya kabonero akalaga nti ensi ya Setaani eneetera okuggwawo.—Kub. 11:18.
6. Abavubuka abamu babuzaabuziddwa batya?
6 Kya nnaku nti abavubuka abamu abaweereza Katonda bawuguddwa era ne beerabira nti ensi eno embi esigazza ekiseera kitono ddala. (2 Peet. 3:3, 4) Okuba n’emikwano emibi n’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu bireetedde abalala okukola ebibi eby’amaanyi. (Nge. 13:20) Nga kiba kya nnaku okufiirwa enkolagana yaffe ne Katonda, naddala kati ng’enkomerero eri kumpi okutuuka! Mu kifo ky’okukola ensobi eyo, yigira ku ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri mu 1473 B.C.E. bwe baali mu Nsenyi za Mowaabu nga banaatera okuyingira Ensi Ensuubize. Kiki ekyabatuukako?
Baagwa ku Ssaawa Esembayo
7, 8. (a) Kakodyo ki Setaani ke yakozesa mu Nsenyi za Mowaabu? (b) Kakodyo ki Setaani k’akozesa leero?
7 Kyeyoleka bulungi nti Setaani yali ayagala kulemesa Baisiraeri kufuna busika bwabwe obwali bwabasuubizibwa. Bwe yalemererwa okukozesa nnabbi Balamu okubakolimira, Setaani yakozesa akakodyo akeekusifu; yabaleetera okukola ekintu ekyandibalemesezza okufuna emikisa gya Yakuwa. Abakazi b’e Mowaabu abasikiriza baakozesebwa okubasendasenda, era ku mulundi guno Setaani yasobola okubaako b’akwasa. Abantu baatandika okwetaba n’abawala ba Mowaabu n’okusinza Baalipyoli! Wadde nga baali banaatera okufuna obusika bwabwe obw’omuwendo, Ensi Ensuubize, Abaisiraeri 24,000 baafiirwa obulamu bwabwe. Ng’ekyo kyali kya nnaku nnyo!—Kubal. 25:1-3, 9.
8 Leero, tunaatera okutuuka mu nsi ensuubize esingira ewala eri obulungi—ensi empya. Nga bw’eri enkola ye, Setaani era azzeemu okukozesa obwenzi okukyamya abantu ba Katonda. Emitindo gy’empisa mu nsi gisse nnyo ne kiba nti obukaba butwalibwa ng’ekintu ekya bulijjo, n’okulya ebisiyaga kitunuulirwa ng’ekintu omuntu ky’ayinza okukola bw’aba ayagadde. Omukyala omu Omukristaayo yagamba, “Awaka ne mu Kizimbe ky’Obwakabaka ye yokka abaana bange gye bayigirizibwa nti obukaba n’okulya ebisiyaga bibi mu maaso ga Katonda.”
9. Kiki ekiyinza okubaawo mu myaka gy’obuvubuka, era abavubuka bayinza kukyaŋŋanga batya?
9 Abavubuka abajjukira Omutonzi waabwe bakimanyi nti okwetaba kintu kitukuvu era kikwatagana na bulamu awamu n’okuzaala abaana. N’olwekyo, bakimanyi bulungi nti abantu bokka Katonda b’akkiriza okwetaba be bafumbo. (Beb. 13:4) Kyokka, mu myaka gy’obuvubuka—omuntu w’awulirira ng’ayagala nnyo okwetaba, oluusi ne kimuleetera n’okusalawo obubi—kiyinza okuba ekizibu okusigala ng’oli muyonjo mu mpisa. Oyinza kukola ki singa ebirowoozo ebibi bikujjira? Saba Yakuwa akuyambe ozze ebirowoozo byo ku bintu ebirungi. Yakuwa awuliriza abo abamusaba mu bwesimbu. (Soma Lukka 11:9-13.) Okwogera ku bintu ebizimba nakyo kiyinza okukuyamba okuzza ebirowoozo byo ku bintu ebirungi.
Weeteerewo Ebiruubirirwa Ebirungi!
10. Kiki kye tulina okwewala, era bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?
10 Ensonga emu lwaki abavubuka bangi mu nsi beeyisa nga bwe balaba era beemalira mu kusanyusa mubiri eri nti tebalina “kwolesebwa”—tebalina bulagirizi bwa Katonda wadde essuubi ly’ebiseera eby’omu maaso. (Nge. 29:18) Bafaananako Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Isaaya abaali batatya Katonda nga beemalidde ku “ssanyu na kujaguza . . . kulya nnyama na kunywa mwenge.” (Is. 22:13) Mu kifo ky’okwegomba abantu ng’abo, lwaki tolowooza ku ebyo Yakuwa bye yasuubiza abantu be abeesigwa? Bw’oba oli muweereza wa Katonda omuvubuka, weesunga ensi empya? Ofuba “okubeera n’endowooza ennuŋŋamu . . . nga [bw’olindirira] essuubi ery’ekitalo” Yakuwa ly’akuteereddewo? (Tit. 2:12, 13) By’oddamu bijja kulaga biruubirirwa bya kika ki by’olina.
11. Lwaki abavubuka Abakristaayo abakyali mu ssomero basaanidde okukola n’amaanyi?
11 Ensi eyagala abavubuka beemalire ku biruubirirwa eby’omu nsi. Tewali kubuusabuusa nti mwe abakyali mu ssomero musaanidde okusoma ennyo okusobola okufuna obuyigirize obusookerwako. Kino kijja kukuyamba okufuna omulimu ogusaanira, ojja kuba wa mugaso nnyo mu kibiina era obeere mubuulizi wa Bwakabaka mulungi. Ekyo okukituukako, weetaaga okuba ng’osobola bulungi okunnyonnyola omuntu ekintu ng’oli mukkakkamu, mu ngeri etegeerekeka, emuwa ekitiibwa. Abavubuka abayiga Baibuli ne bafuba okutambulira ku misingi gyayo mu bulamu bwabwe bafuna obuyigirize obusingayo okuba obulungi, ekintu ekijja okubasobozesa okwetegekera ebiseera by’omu maaso eby’emirembe n’emirembe.—Soma Zabbuli 1:1-3.a
12. Kyakulabirako ki amaka Amakristaayo kye gasaanidde okukoppa?
12 Mu Isiraeri, eky’okuyigiriza abaana abazadde baakitwalanga nga kintu kikulu nnyo. Okuyigiriza okwo kwali kukwata ku bintu ebitali bimu mu bulamu, naddala eby’omwoyo. (Ma. 6:6, 7) Mu ngeri eno, abavubuka Abaisiraeri abaawulirizanga bazadde baabwe n’abantu abalala abakulu abatya Katonda tebaakomanga ku kufuna kumanya kyokka, naye era baafunanga amagezi n’okutegeera. (Nge. 1:2-4; 2:1-5, 11-15) Mu ngeri y’emu, amaka Amakristaayo leero gasaanidde okufaayo ku buyigirize.
Wuliriza Abo Abakwagala
13. Magezi ga ngeri ki abavubuka abamu ge baweebwa, era lwaki basaanidde okwegendereza?
13 Abavubuka baweebwa amagezi abantu aba buli kika—nga mw’otwalidde abasomesa, abalowooza nti okutuuka ku buwanguzi kye kintu kyokka ekikulu mu nsi. Saba era ofumiitirize ku magezi agakuweebwa, era weetegereze Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi kye byogera ku nsonga eyo. By’oyize mu Baibuli bikulaga bulungi nti abato n’abatalina bumanyirivu mu bulamu Setaani b’asinga okwolekeza obwanga. Ng’ekyokulabirako, mu lusuku Adeni, Kaawa, ataalina bumanyirivu mu bulamu yawuliriza Setaani gwe yali tamanyi era eyali talina kalungi konna ke yali amukoledde. Ng’ebintu byandibadde bya njawulo singa yali awulirizza Yakuwa eyali amulaze okwagala okwenkanidde awo!—Lub. 3:1-6.
14. Lwaki tusaanidde okuwuliriza Yakuwa ne bazadde baffe abatya Katonda?
14 Naawe Omutonzi wo akwagala, era akwagaliza birungi byereere. Ayagala obeere musanyufu emirembe gyonna! Okufaananako omuzadde ayagala omwana we, ky’ava akugamba, wamu n’abalala abamusinza, nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.” (Is. 30:21) Bazadde bo bwe baba nga baagala nnyo Yakuwa, olina omukisa ogw’enjawulo. Bw’oba weeteerawo ebiruubirirwa, wuliriza amagezi ga bazadde bo. (Nge. 1:8, 9) Bawulirize olw’okuba baagala ofune obulamu obutaggwawo, ekintu eky’omuwendo ennyo okusinga obugagga oba ebitiibwa by’omu nsi eno.—Mat. 16:26.
15, 16. (a) Abo abajjukira Yakuwa baba bakakafu ku ki? (b) Kintu ki ekikulu ekyokulabirako kya Baluki kye kituyigiriza?
15 Abo abajjukira Omutonzi waabwe tebaluubirira bya bugagga kubanga bakimanyi nti Yakuwa tasobola kubalekerera, wadde okubaabulira “n’akatono.” (Soma Abaebbulaniya 13:5.) Olw’okuba ensi eno etwala eky’okuluubirira eby’obugagga ng’ekintu ekikulu ennyo, tulina okwegendereza obutatwalirizibwa mwoyo ogwo. (Bef. 2:2) Ku nsonga eno, lowooza ku muwandiisi wa Yeremiya, Baluki, eyaliwo mu nnaku enzibu ezaasembayo nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa mu 607 B.C.E.
16 Kiyinzika okuba nga Baluki yali ayagala kugaziya ku nfuna ye. Kino Yakuwa yakiraba era n’alabula Baluki aleke kwenoonyeza ‘bikulu.’ Baluki yalaga obwetoowaze n’amagezi bwe yawuliriza Yakuwa, era yawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa. (Yer. 45:2-5) Ku luuyi olulala, abantu b’omu kiseera ekyo abaakulembeza okunoonya “ebikulu” mu kifo ky’okusinza Yakuwa, baafiirwa buli kimu Abakaludaaya (Abababulooni) bwe baawamba Yerusaalemi. Bangi era baafiirwa n’obulamu bwabwe. (2 Byom. 36:15-18) Ekyokulabirako kya Baluki kituyamba okulaba nti enkolagana ennungi ne Katonda kintu kya muwendo nnyo okusinga obugagga n’ettutumu mu nsi eno.
Koppa Ebyokulabirako Ebirungi
17. Lwaki Yesu, Pawulo, ne Timoseewo byakulabirako birungi eri abaweereza ba Yakuwa?
17 Mu Kigambo kya Katonda mulimu ebyokulabirako bingi ebituyamba okunywerera ku kkubo ery’obulamu. Ng’ekyokulabirako, Yesu ye muntu eyasingayo okuba n’ebitone ebingi, naye yeemalira mu kubuulira ‘njiri ya bwakabaka,’ ekintu ekyandiganyudde abantu emirembe gyonna. (Luk. 4:43) Okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu, omutume Pawulo yaleka omulimu omulungi n’akozesa ebiseera bye n’amaanyi ge okubuulira amawulire amalungi. Timoseewo, ‘omwana omwagalwa,’ yakoppa ekyokulabirako kya Pawulo ekirungi. (1 Tim. 1:2) Yesu, Pawulo ne Timoseewo bejjusa okusalawo bwe batyo? N’akatono! Pawulo yagamba nti ebintu by’ensi eno biringa “mpitambi” bw’obigeraageranya n’enkizo ey’okuweereza Katonda.—Baf. 3:8-11.
18. Ow’oluganda omu omuvubuka yakola nkyukakyuka ki ez’amaanyi, era lwaki ekyo takyejjusa?
18 Abavubuka Abakristaayo bangi leero bakoppa okukkiriza kwa Yesu, Pawulo, ne Timoseewo. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu omuvubuka eyalina omulimu ogusasula obulungi yawandiika nti: “Olw’okutambulira ku misingi gya Baibuli, nnatandika okukuzibwa ku mulimu. Wadde nga nnali nfuna ssente nnyingi, nnali mpulira nga ngoba mpewo. Bwe nnategeeza abakulira kampuni nti njagala kuyingira buweereza bwa kiseera kyonna, baasalawo okunnyongeza omusaala nga balowooza nti nja kusigala. Naye nnali mmaze okusalawo. Bangi baalemwa okutegeera ekyandesa omulimu omulungi ne nnyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Eky’okuddamu kiri nti njagala kutuukiriza kwewaayo kwange eri Katonda. Olw’okuba kati ebiseera ebisinga mba mu kuweereza Katonda, mpulira essanyu n’obumativu bye nnali sisobola kuggya mu ssente oba mu bitiibwa.”
19. Abavubuka bakubirizibwa kukola ki?
19 Okwetooloola ensi, waliwo abavubuka bangi abasazeewo okukola kye kimu. N’olwekyo, mwe abavubuka bwe muba mulowooza ku biseera eby’omu maaso, mukuumire olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo. (2 Peet. 3:11, 12) Temwegomba abo abakozesa ensi mu bujjuvu. Mu kifo ky’ekyo, wuliriza abo abakwagala. Okweterekera “ebintu mu ggulu” kye kintu ky’oyinza okukola ekisingayo okuba ekirungi era ekivaamu emiganyulo egy’olubeerera. (Mat. 6:19, 20; soma 1 Yokaana 2:15-17.) Yee, jjukira Omutonzi wo. Bw’onokola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa.
[Obugambo obuli wansi]
a Ku bikwata ku buyigirize obwa waggulu n’emirimu, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2005, olupapula 27-31.
Ojjukira?
• Tusobola tutya okulaga nti twesiga Katonda?
• Buyigirize ki obusingirayo ddala obulungi?
• Biki bye tuyigira ku Baluki?
• Baani abaateekawo ebyokulabirako ebirungi, era lwaki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Okuyigirizibwa Yakuwa kye kisingirayo ddala obulungi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Baluki yawuliriza Yakuwa n’awonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa. Ekyokulabirako kino kikuyigiriza ki?