Yakuwa Awa Abo Abamugondera Omukisa era n’Abakuuma
“Buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.”—ENGERO 1:33.
1, 2. Lwaki kikulu okugondera Katonda? Waayo ekyokulabirako.
OBWANA bw’enkoko obunoonya emmere mu muddo, tebumanyi nti waggulu eriyo akakubampanga. Amangu ago, maama waabwo akokolya nnyo ng’abulabula era ayanjuluza ebiwaawaatiro bye. Obwana bwe buddukira gy’ali, era mangu ddala bwonna bwekweka mu biwaawaatiro bye. Awo eby’okulumba obukoko akakubampanga kabivaako.a Kya kuyiga ki ekiri mu kino? Obuwulize buwonya obulamu!
2 Eky’okuyiga ekyo kikulu nnyo naddala eri Abakristaayo leero, kubanga Setaani akola kyonna ky’asobola okusaanyaawo abantu ba Katonda. (Okubikkulirwa 12:9, 12, 17) Ekiruubirirwa kye kwe kwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa, bwe kityo tufiirwe emikisa Gye n’obulamu obutaggwaawo. (1 Peetero 5:8) Kyokka, singa tuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era ne tukolera mangu ku bulagirizi bwe tufuna okuyitira mu Kigambo kye n’entegeka ye, tusobola okubeera abakakafu nti tujja kufuna obuyambi bwe. “Anaakubikkangako n’ebiwaawaatiro bye era wansi w’ebyoya bye w’onoddukiranga,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba.—Zabbuli 91:4.
Eggwanga Ejjeemu Lifuna Ebizibu
3. Biki ebyava mu bujeemu bw’Abaisiraeri?
3 Eggwanga lya Isiraeri bwe lyagonderanga Yakuwa, lyafunanga obukuumi bwe. Kyokka, emirundi mingi abantu baava ku Mutonzi waabwe ne batandika okusinza bakatonda abakoleddwa mu miti n’amayinja—“ebitaliimu ebitayinza kugasa newakubadde okulokola.” (1 Samwiri 12:21) Oluvannyuma lw’ebyasa bingi nga bajeemye mu engeri eyo, eggwanga lyonna lyali lyewaggudde ne kiba nti kyali tekikyasoboka kuliyamba. N’olwekyo, Yesu yagamba: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gyali! [E]mirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w’ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala! Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.”—Matayo 23:37, 38.
4. Kiki ekyakakasa nti Yakuwa yali ayabulidde Yerusaalemi mu 70 C.E.?
4 Obukakafu obulaga nti Yakuwa yali ayabulidde eggwanga lya Isiraeri ejjeemu, bweyoleka mu 70 C.E. Mu mwaka ogwo, amagye g’Abaruumi agaali gawanise waggulu bendera zaago ezaaliko ekifaananyi ky’empungu, gaalumba Yerusaalemi era ne gatta abantu bangi. Mu kiseera ekyo ekibuga kyali kikubyeko abantu abaali bazze okukwata Embaga ey’Okuyitako. Ssaddaaka ennyingi ze baawaayo tezaabaleetera kusiimibwa Yakuwa. Ekyo kitujjukiza ebigambo Samwiri bye yayogera ng’alabula Kabaka Sawulo omujeemu: “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lye? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume.”—1 Samwiri 15:22.
5. Buwulize bwa ngeri ki Yakuwa bw’ayagala, era tumanya tutya nti obuwulize ng’obwo busoboka?
5 Wadde nga Yakuwa ayagala nnyo obuwulize, amanyi nti obusozi bw’abantu bulina we bukoma olw’okuba tebatuukiridde. (Zabbuli 130:3, 4) Ky’ayagala bwe buwulize obuviira ddala mu mutima nga bwesigamiziddwa ku kukkiriza, okwagala, n’okutya okumunyiiza. (Ekyamateeka 10:12, 13; Engero 16:6; Isaaya 43:10; Mikka 6:8; Abaruumi 6:17) ‘Olufu lw’abajulirwa’ abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo, era abaasigala nga bagolokofu wadde nga baali boolekaganye n’ebigezo eby’amaanyi ennyo nga mw’otwalidde n’okufa, baakyoleka nti obuwulize ng’obwo busoboka. (Abaebbulaniya 11:36, 37; 12:1) Abantu abo nga baaleetera omutima gwa Yakuwa okusanyuka! (Engero 27:11) Kyokka, abamu baali beesigwa mu ntandikwa naye ku nkomerero ne balemererwa okubeera abawulize. Omu ku abo, yali Kabaka Yowaasi ow’omu Yuda.
Kabaka Eyayonoonebwa Emikwano Emibi
6, 7. Yowaasi yali kabaka wa ngeri ki nga Yekoyaada akyali mulamu?
6 Kabaka Yowaasi yawona okuttibwa ng’akyali muwere. Yowaasi bwe yaweza emyaka musanvu egy’obukulu, Kabona Omukulu Yekoyaada, yamuggya gye yali akwekeddwa n’amufuula kabaka. Olw’okuba Yekoyaada eyali atya Katonda yayisa Yowaasi nga mutabani we era n’amuwanga amagezi, omufuzi oyo omuto ‘yakolanga ebyali ebirungi mu maaso ga Yakuwa ennaku zonna eza Yekoyaada kabona.’—2 Ebyomumirembe 22:10–23:1, 11; 24:1, 2.
7 Ebikolwa bya Yowaasi ebirungi byazingiramu okuddaabiriza yeekaalu ya Yakuwa—ekintu ‘Yowaasi kye yali ayagala ennyo.’ Yajjukiza Kabona Omukulu Yekoyaada obwetaavu bw’okusolooza emisolo gya yeekaalu mu Yuda ne mu Yerusaalemi, nga ‘Musa bwe yalagira,’ omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu gusobole okukolebwa. Awatali kubuusabuusa, Yekoyaada yakubiriza kabaka omuto oyo okusoma n’okugondera Amateeka ga Katonda. N’ekyavaamu, omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu n’ebintu ebyamu, gwamalirizibwa mangu.—2 Ebyomumirembe 24:4, 6, 13, 14; Ekyamateeka 17:18.
8. (a) Kiki ekyasinga okunafuya Yowaasi mu by’omwoyo? (b) Obujeemu bwaleetera kabaka kukola ki oluvannyuma?
8 Eky’ennaku, Yowaasi teyasigala nga muwulize eri Yakuwa ekiseera kyonna. Lwaki? Ekigambo kya Katonda kitugamba: “Awo oluvannyuma Yekoyaada ng’afudde abakulu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n’abawulira. Ne balekanga ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi: obusungu ne bujja ku Yuda ne ku Yerusaalemi olw’omusango gwabwe ogwo.” Abakulu b’omu Yuda abaali ababi baaleetera kabaka okulekera awo okuwuliriza bannabbi ba Katonda, ng’omu ku bannabbi abo yali Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada eyanenya Yowaasi n’abantu abalala olw’obujeemu bwabwe. Mu kifo ky’okwenenya, Yowaasi yalagira Zekkaliya akubibwe amayinja era n’afa. Yowaasi nga yali afuuse wa ttima nnyo era omujeemu—era ebyo byonna byaliwo kubanga yakkiriza ebyo emikwano emibi bye baamugamba!—2 Ebyomumirembe 24:17-22; 1 Abakkolinso 15:33.
9. Ebyatuuka ku Yowaasi n’abalangira biraga bitya akabi akava mu bujeemu?
9 Oluvannyuma lw’okwabulira Yakuwa, kiki ekyatuuka ku Yowaasi n’abalangira ababi abaali mikwano gye? Eggye ly’Abasuuli—“ekibiina ky’abasajja ekitono”—lyalumba Yuda ne “bazikiriza abakulu bonna ab’abantu.” Abalumbaganyi abo era baawaliriza kabaka okubawa ebintu bye byonna awamu ne zaabu era ne ffeeza ebya yeekaalu. Wadde nga Yowaasi yawonawo, yali takyalina maanyi era nga n’obulwadde bumukutte. Amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, abamu ku baweereza be beekobaana ne bamutta. (2 Ebyomumirembe 24:23-25; 2 Bassekabaka 12:17, 18) Ebigambo bya Yakuwa eri Isiraeri nga byali bituufu nnyo: “Bw’otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n’amateeka ge . . . , ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako.”—Ekyamateeka 28:15.
Omuwandiisi Awonyezebwa olw’Obuwulize
10, 11. (a) Lwaki kya muganyulo okulowooza ku kubuulirira kwa Yakuwa eri Baluki? (b) Yakuwa yabuulirira atya Baluki?
10 Oluusi owulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba abantu abamu b’osanga ng’oli mu buweereza obw’Ekikristaayo tebasiima mawulire malungi? Ebiseera ebimu owulira ng’okwatidde abagagga obuggya awamu n’engeri gye beeyisaamu mu bulamu? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku Baluki, eyali omuwandiisi wa Yeremiya, era n’engeri Yakuwa gye yamubuuliriramu.
11 Baluki bwe yali awandiika obubaka obw’obunnabbi, Yakuwa yamuteekako ebirowoozo. Lwaki? Kubanga Baluki yatandika okwemulugunya olw’embeera gye yalimu era nga yeegomba ekisingawo ku nkizo ey’enjawulo ey’okuweereza Katonda gye yalina. Yakuwa bwe yalaba enkyukakyuka eyo mu birowoozo bya Baluki, yamubuulirira mu ngeri etegeerekeka obulungi era nga ya kisa, n’amugamba: “Weenoonyeza ebikulu? [T]obinoonya; kubanga, laba, ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw’ayogera Mukama: naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy’onoogendanga.”—Yeremiya 36:4; 45:5.
12. Lwaki twandyewaze okunoonya “ebintu ebikulu” mu nteekateeka y’ebintu eno?
12 Okuva ku ebyo Yakuwa bye yagamba Baluki, olaba nti yali afaayo nnyo ku Baluki, omusajja eyali amuweereza mu bwesigwa era n’obuvumu ng’ali wamu ne Yeremiya? Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa afaayo nnyo ku abo abatwalirizibwa ebyo bye balowooza nti bye bisingayo obulungi mu nteekateeka y’ebintu eno. Ekirungi, okufaananako Baluki, bangi ku abo abeesanga mu mbeera ng’eyo, bakyusizza endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okubuulirirwa ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo. (Lukka 15:4-7) Yee, ka ffenna tukitegeere nti abo “abanoonya ebintu ebikulu” mu nteekateeka y’ebintu eno, tebalina ssuubi mu biseera eby’omu maaso. Abalinga abo, tebalemererwa kufuna ssanyu lya nnamaddala kyokka, naye era, n’ekisingawo n’obubi, mangu ddala bajja kuzikirizibwa n’ensi eno awamu n’okwegomba kwayo kwonna.—Matayo 6:19, 20; 1 Yokaana 2:15-17.
13. Bye tulabye ebikwata ku Baluki bituyigiriza ki ku buwombeefu?
13 Bye tulabye ebikwata ku Baluki era bituyigiriza essomo eddala erikwata ku buwombeefu. Weetegereze nti Yakuwa teyabuulirira Baluki butereevu, naye yakozesa Yeremiya, ate nga Baluki yali amanyi bulungi obutali butuukirivu bwa Yeremiya awamu n’engeri ze endala. (Yeremiya 45:1, 2) Naye Baluki teyalina malala; mu buwombeefu yamanya nti Yakuwa ye yali ensibuko y’okubuulirira okwo. (2 Ebyomumirembe 26:3, 4, 16; Engero 18:12; 19:20) N’olwekyo, singa ‘tukola ekintu ekitali kituufu nga tetumanyi’ era ne tufuna okubuulirirwa okwetaagisa okuva mu Kigambo kya Katonda, ka tukoppe Baluki, twoleke okutegeera okw’eby’omwoyo era n’obuwombeefu.—Abaggalatiya 6:1.
14. Lwaki kirungi okugondera abo abatwala obukulembeze mu ffe?
14 Bwe tubeera abawombeefu, kiyamba n’abo ababa batubuulirira. Abaebbulaniya 13:17 wagamba: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.” Abakadde nga banyiikirira okusaba Yakuwa basobole okufuna obuvumu, amagezi, era n’obukodyo obwetaagisa okutuukiriza omulimu guno omuzibu ogw’okulunda ekisibo! Ka ‘tuwulirenga abali ng’abo.’—1 Abakkolinso 16:18.
15. (a) Yeremiya yalaga atya nti alina obwesige mu Baluki? (b) Baluki yasasulwa atya olw’obuwulize bwe?
15 Kya lwatu nti Baluki yakyusa mu ndowooza ye, kubanga oluvannyuma Yeremiya yamuwa omulimu omuzibu ennyo—okugenda mu yeekaalu asome mu ddoboozi ery’omwanguka obubaka obw’omusango Yeremiya bwe yamusaba okuwandiika. Ekyo Baluki yakigondera? Yee, ‘yakola byonna nnabbi Yeremiya bye yamulagira.’ Mazima ddala, obubaka obwo bwennyini yabusomera n’abalangira b’omu Yerusaalemi, era ng’ekyo kyali kyetaagisa obuvumu bwa maanyi nnyo. (Yeremiya 36:1-6, 8, 14, 15) Abababulooni bwe baawamba ekibuga nga wayiseewo emyaka 18, lowooza ku ssanyu Baluki lye yalina olw’okuwonawo kubanga yali agondedde okulabula kwa Yakuwa era n’alekera awo “okunoonya ebintu ebikulu”!—Yeremiya 39:1, 2, 11, 12; 43:6.
Obuwulize mu Kiseera eky’Okuzingizibwa Bwawonya Obulamu
16. Yakuwa yasaasira atya Abayudaaya mu kiseera Abababulooni kye baazingizaamu Yerusaalemi mu mwaka 607 B.C.E.?
16 Enkomerero ya Yerusaalemi bwe yajja mu 607 B.C.E., Katonda era yasaasira abo abaali abawulize. Okuzingizibwa okwo nga kutuuse ku ntikko, Yakuwa yagamba Abayudaaya: “Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery’obulamu n’ekkubo ery’okufa. Abeera mu kibuga muno alifa n’ekitala n’enjala ne kawumpuli: naye oyo avaamu n’asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n’obulamu bwe buliba munyago gy’ali.” (Yeremiya 21:8, 9) Wadde ng’abantu b’omu Yerusaalemi baali bagwanidde okuzikirizibwa, Yakuwa yasaasira abo abaamugondera, wadde ne mu kiseera ekyo ekyali eky’akazigizigi, ku ssaawa envannyuma.b
17. (a) Mu ngeri ki ebbiri obuwulize bwa Yeremiya gye bwagezesebwa, Yakuwa bwe yamulagira okutegeeza Abayudaaya abaali bazingiziddwa ‘okwewaayo eri Abakaludaaya’? (b) Tusobola tutya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Yeremiya eky’okuba omuvumu era omuwulize?
17 Okugamba Abayudaaya okuwanika, awatali kubuusabuusa kyagezesa obuwulize bwa Yeremiya. Ensonga emu, eri nti yali munyiikivu nnyo ku lw’erinnya lya Katonda. Yali tayagala livvoolebwe abalabe baabwe abandigambye nti ebifaananyi byabwe ebyole ebitalina bulamu bye byali bibatuusizza ku buwanguzi. (Yeremiya 50:2, 11; Okukungubaga 2:16) Okugatta ku ekyo, Yeremiya yali akimanyi nti okugamba abantu okuwanika, yandibadde ateeka obulamu bwe mu kabi ak’amaanyi, kubanga abantu bangi banditutte ebigambo bye ng’okulya mu ggwanga lye olukwe. Wadde kyali bwe kityo, teyatya, era yalangirira omusango gwa Yakuwa. (Yeremiya 38:4, 17, 18) Okufaananako Yeremiya, naffe tulangirira obubaka obutasiimibwa bantu. Obubaka obwo bwe bumu bwaleetera Yesu okunyoomebwa. (Isaaya 53:3; Matayo 24:9) N’olwekyo, ka tuleme ‘kutya bantu,’ naye okufaananako Yeremiya, n’obuvumu, ka tugondere Yakuwa era tumwesigire ddala mu bujjuvu.—Engero 29:25.
Obuwulize nga Twolekaganye n’Obulumbaganyi bwa Googi
18. Obuwulize bw’abaweereza ba Katonda bunaagezesebwa butya mu biseera eby’omu maaso?
18 Mangu ddala enteekateeka ya Setaani yonna ejja kuzikirizibwa mu “kibonyoobonyo ekinene” ekitabangawo. (Matayo 24:21) Awatali kubuusabuusa, ekiseera ekyo nga tekinnatuuka era ne mu kiseera ekyo kyennyini, okukkiriza n’obuwulize bw’abantu ba Katonda bijja kugezesebwa nnyo. Ng’ekyokulabirako, Baibuli etutegeeza nti Setaani ng’ali mu kifo kye nga “Googi ow’omu nsi ya Magoogi,” ajja kulumba abaweereza ba Yakuwa, ng’akunga abalwanyi aboogerwako nga “eggye eddene . . . , ng’ekire okubikka ku nsi.” (Ezeekyeri 38:2, 14-16) Olw’okuba abatono ennyo era nga tebalina kya kulwanyisa kyonna, abantu ba Katonda bajja kunoonya obukuumi mu ‘biwaawaatiro bye,’ by’ajja okwanjuluza okukuuma abamugondera.
19, 20. (a) Lwaki kyali kikulu nnyo Abaisiraeri okubeera abawulize ku Nnyanja Emmyufu? (b) Okufumiitiriza ku ebyo ebyaliwo ku Nnyanja Emmyufu kusobola kutya okutugasa leero?
19 Embeera eyo etujjukiza olugendo lw’Abaisiraeri nga bava e Misiri. Oluvannyuma lw’okuleeta ebibonyoobonyo ekkumi ku Misiri, Yakuwa yakulembera abantu be, kyokka nga tabayisa mu kkubo ery’okumpi erituusa mu Nsi Ensuubize, wabula okwolekera Ennyanja Emmyufu, abalabe baabwe gye baali basobola okubazingiza. Okusinziira ku ndaba ey’ekiserikale, ekyo kyali kikolwa kya kabi nnyo. Singa waliyo, wandigondedde Yakuwa okuyitira mu Musa, n’oyolekera Ennyanja Emmyufu ng’olina obwesige obujjuvu, wadde ng’okimanyi nti Ensi Ensuubize eri ku ludda lulala?—Okuva 14:1-4.
20 Bwe tusoma Okuva essuula 14, tulaba engeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be mu ngeri ey’ekitalo ennyo. Ebintu ng’ebyo nga bisobola nnyo okunyweza okukkiriza kwaffe singa tubisoma era ne tubifumiitirizaako! (2 Peetero 2:9) Okukkiriza okunywevu nakwo kutuyamba okugondera Yakuwa, wadde nga by’ayagala biyinza okulabika ng’ebikontana n’ebyo abantu bye balowooza. (Engero 3:5, 6) Kati nno weebuuze, ‘Nfuba nnyo okuzimba okukkiriza kwange nga nyiikirira okusoma Baibuli, okusaba, n’okufumiitiriza, era n’okukuŋŋaana awamu n’abantu ba Katonda obutayosa?’—Abaebbulaniya 10:24, 25; 12:1-3.
Obuwulize Buleeta Essuubi
21. Miganyulo ki abo abagondera Yakuwa gye bajja okufuna mu kiseera kino ne gye bujja?
21 Abo abagifuula empisa yaabwe okugondera Yakuwa mu bulamu bwabwe, ne mu kiseera kino balaba okutuukirizibwa kw’ebigambo ebiri mu Engero 1:33, awagamba: “Buli [anaŋŋonderanga] nze anaabeeranga mirembe, era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.” Ebigambo ebyo ebibudaabuda nga bijja kutuzzaamu nnyo amaanyi mu kiseera eky’obusungu bwa Yakuwa ekijja! Mu butuufu, Yesu yagamba abayigirizwa be: “Ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.” (Lukka 21:28) Mazima ddala, abo bokka abagondera Katonda be bajja okugondera ebigambo ebyo.—Matayo 7:21.
22. (a) Abantu ba Yakuwa basinziira ku ki okubeera n’obwesige? (b) Nsonga ki ezijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
22 Ensonga endala etuleetera okubeera n’obwesige eri nti “Mukama Katonda taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.” (Amosi 3:7) Leero, Yakuwa taluŋŋamya bannabbi nga bwe yakolanga mu biseera ebyayita; wabula, awadde ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi omulimu gw’okuwa ab’omu nnyumba ye emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. (Matayo 24:45-47) N’olwekyo, nga kikulu nnyo ffe okugondera “omuddu” oyo! Ng’ekitundu ekiddako bwe kijja okulaga, obuwulize ng’obwo era bulaga endowooza gye tulina eri Yesu, mukama ‘w’omuddu’ oyo. Oyo “abantu gwe banaawuliranga.”—Olubereberye 49:10.
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde nga bulijjo eyogerwako ng’entiitizi, “enkoko erwana bwezizingirire okukuuma obwana bwayo okuva mu kabi,” bwe kityo ekitabo ekimu bwe kigamba.
b Yeremiya 38:19 walaga nti Abayudaaya abawerako ‘baagwa mu mikono’ gy’Abakaludaaya ne bawona okuttibwa, kyokka tebaasimatuka kutwalibwa mu buwambe. Tekimanyiddwa oba nga beewaayo olw’okugondera ebigambo bya Yeremiya. Wadde kyali kityo, okuwonawo kwabwe kwakakasa ebigambo bya nnabbi.
Ojjukira?
• Kiki ekyavaamu Abaisiraeri bwe beeyongera okubeera abajeemu?
• Emikwano gyakola ki ku Kabaka Yowaasi ng’akyali muto ne mu bukulu?
• Kiki kye tuyinza okuyigira ku Baluki?
• Lwaki abantu abagondera Yakuwa tebalina kutya ng’enteekateeka y’ebintu eno esemberera okuzikirizibwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Kabaka omuto Yowaasi yagondera Yakuwa bwe yali wansi w’obulagirizi bwa Yekoyaada
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Emikwano emibi gyaleetera Yowaasi okutta nnabbi wa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Wandigondedde Yakuwa era n’olaba obununuzi bwe?