Ebintu Bye Tulina Okudduka
“Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?”—MAT. 3:7.
1. Byakulabirako ki mu Baibuli ebirimu okudduka?
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo “okudduka”? Abamu bayinza okujjukira omuvubuka Yusufu ng’adduka muka Potifali eyali ayagala okwebaka naye. (Lub. 39:7-12) Abalala bayinza okulowooza ku Bakristaayo abadduka mu Yerusaalemi mu 66 C.E. nga Yesu bwe yali abagambye nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, . . . ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n’ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu.”—Luk. 21:20, 21.
2, 3. (a) Makulu ki agaali mu bigambo Yokaana Omubatiza bye yagamba abakulembeze b’eddiini? (b) Yesu yaggumiza atya Yokaana kye yali ayogedde?
2 Mu byokulabirako ebyogeddwako waggulu waaliwo okudduka emisinde gyennyini. Leero, Abakristaayo ab’amazima okwetooloola ensi kibeetaagisa okudduka mu ngeri ey’akabonero. Ekyo Yokaana Omubatiza kye yali ategeeza bwe yakozesa ekigambo “okudduka.” Mu abo abajja eri Yokaana mwalimu abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali beetwala okuba abatuukirivu, nga balowooza nti tebeetaaga kwenenya. Baali bayisa amaaso mu bantu aba bulijjo abaali babatizibwa okulaga nti baali beenenyezza. Awatali kutya kwonna, Yokaana yayatuukiriza bannanfuusi abo nti: “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya.”—Mat. 3:7, 8.
3 Yokaana yali tayogera ku kudduka kuno okwa bulijjo. Yali ayogera ku lunaku olw’omusango era olw’obusungu olwali lugenda okujja; yali alabula abakulembeze b’eddiini abo nti okusobola okuwonawo, baalina okubala ebibala ebiraga okwenenya. Oluvannyuma ne Yesu yavumirira abakulembeze b’eddiini abo awatali kutya—omutima gwabwe omutemu gwalaga nti Setaani ye yali kitaabwe omutuufu. (Yok. 8:44) Ng’aggumiza Yokaana kye yali ayogedde emabegako, Yesu yabayita ‘abaana b’embalasaasa’ era n’ababuuza nti: “Mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena?” (Mat. 23:33) Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku “Ggeyeena”?
4. Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku “Ggeyeena”?
4 Ggeyeena kyali kiwonvu ekyali ebweru wa bbugwe wa Yerusaalemi ekyayokerwangamu ebisasiro n’ebisolo ebifudde. Yesu yakozesa ekigambo Ggeyeena ng’akabonero akakiikirira okufa okw’emirembe n’emirembe. (Laba olupapula 27.) Bwe yayogera ku musango gwa Ggeyeena yali alaga nti abakulembeze b’eddiini abo baali bagwanira okuzikirizibwa emirembe n’emirembe.—Mat. 5:22, 29.
5. Yokaana ne Yesu bye baalabulako byatuukirira bitya?
5 Abakulembeze b’Abayudaaya beeyongera okukola ebibi bwe baayigganya Yesu n’abagoberezi be. Kya ddaaki olunaku lw’obusungu bwa Katonda lwatuuka nga Yokaana ne Yesu bwe baali balabudde. Olw’okuba ‘obusungu obwali bugenda okujja’ ku mulundi ogwo bwali bwa kukoma mu Yerusaalemi ne Buyudaaya mwokka, kyali kisoboka okudduka okuva mu kifo ekyo. Obusungu obwo bwajja amagye g’Abaruumi bwe gaazikiriza Yerusaalemi wamu ne yeekaalu mu 70 C.E. “Ekibonyoobonyo” ekyo kyali kinene okusinga ekirala kyonna ekyali kibaddewo mu Yerusaalemi. Abantu bangi battibwa ate abalala ne batwalibwa mu buwambe. Kino kyali kisonga ku kuzikiriza okulala okusingira ddala awo okulindiridde abantu bangi abeeyita Abakristaayo awamu n’ab’amadiini amalala.—Mat. 24:21.
Okudduka Obusungu mu Biseera Ebijja
6. Kiki ekyaggyawo mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka?
6 Abamu ku Bakristaayo abaasooka baafuuka bakyewaggula era baafuna abagoberezi. (Bik. 20:29, 30) Abatume ba Yesu bwe baali tebannafa, ‘baaziyizanga’ obwa kyewaggula ng’obwo. Naye bwe baafa, waatandikibwawo amadiini mangi ag’Obukristaayo obw’obulimba. Leero, Kristendomu erimu ebikumi n’ebikumi by’amadiini agalina enjigiriza ezikontana. Baibuli yalagula ku kujja kw’abakulembeze ba Kristendomu, era bonna awamu yabayita “omujeemu” era “omwana w’okuzikirira . . . Mukama waffe Yesu gw’alitta . . . amuzikirize n’okulabisibwa kw’okubeerawo kwe.”—2 Bas. 2:3, 6-8, NW.
7. Lwaki kigwanira abakulembeze ba Kristendomu okuyitibwa “omujeemu”?
7 Abakulembeze ba Kristendomu bayitibwa “omujeemu” kubanga babuzaabuzizza abantu bangi nnyo nga bawagira enjigiriza, okukuza ennaku, n’empisa, ebikontana ne Baibuli. Okufaananako abakulembeze b’eddiini bali Yesu be yavumirira, bannaddiini b’omu kiseera kino abatwalirwa mu ‘mwana w’okuzikirira’ boolekedde okuzikirizibwa awatali ssuubi lya kuzuukizibwa. (2 Bas. 1:6-9) Ate kiki ekinaatuuka ku abo ababuzaabuziddwa abakulembeze mu Kristendomu n’ab’amadiini amalala ag’obulimba? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twetegeereze ebyaliwo nga Yerusaalemi kyakazikirizibwa mu 607 B.C.E.
“Mudduke Muve mu Babulooni”
8, 9. (a) Bubaka ki Yeremiya bwe yatwalira Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni? (b) Kudduka kwa ngeri ki okwaliwo ng’Abameedi n’Abaperusi bawambye Babulooni?
8 Nnabbi Yeremiya yalagula okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi okwaliwo mu 607 B.C.E. Yagamba nti abantu ba Katonda banditwaliddwa mu buwambe, naye nti bandikomyewo ku butaka nga wayise “emyaka nsanvu.” (Yer. 29:4, 10) Yeremiya yawa Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni obubaka obwali obukulu; baalina okwewalira ddala okusinza okw’obulimba okwali mu Babulooni. Ekyo kyandibayambye okuba abeetegefu okuddayo e Yerusaalemi okuzzaawo okusinza okulongoofu ng’ekiseera kituuse. Ekiseera ekyo kyatuuka mu bbanga ttono ng’Abameedi n’Abaperusi bamaze okuwamba Babulooni mu 539 B.C.E. Kabaka Kuulo II owa Buperusi yayisa ekiragiro nti Abayudaaya baddeyo e Yerusaalemi baddemu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa.—Ezer. 1:1-4.
9 Enkumi n’enkumi z’Abayudaaya baakozesa akakisa kano ne baddayo. (Ezer. 2:64-67) Mu kukola batyo, baatuukiriza ekiragiro ekiri mu bunnabbi bwa Yeremiya ekyali kibeetaagisa okudduka bagende mu kifo ekirala. (Soma Yeremiya 51:6, 45, 50.) Abayudaaya abamu baali tebasobola kutindigga lugendo kuddayo Yerusaalemi ne mu Buyudaaya. Abo abaasigala e Babulooni, gamba nga nnabbi Danyeri eyali akaddiye, baali basobola okufuna emikisa gya Katonda bwe bandiwagidde mu bujjuvu okusinza okulongoofu okwali e Yerusaalemi era ne beewala okusinza kw’Abababulooni okw’obulimba.
10. “Babulooni Ekinene” kikoze bintu ki ‘eby’omuzizo’?
10 Leero, abantu buwumbi na buwumbi bali mu madiini ag’obulimba agaasibuka mu Babulooni eky’edda. (Lub. 11:6-9) Eddiini ezo zonna awamu ziyitibwa “Babulooni Ekinene, nnyina w’abenzi era ow’emizizo gy’ensi.” (Kub. 17:5) Eddiini ez’obulimba zibadde ziwagira abafuzi b’ensi eno okuva edda n’edda. Ebimu ku bintu ‘eby’emuzizo’ ebikolebwa eddiini ezo kwe kuwagira entalo ennyingi eziviiriddeko obukadde n’obukadde bw’abantu ‘okuttibwa ku nsi.’ (Kub. 18:24) Ebikolwa ebirala ‘eby’omuzizo’ mwe muli okusobya ku baana abato n’ebikolwa ebirala eby’obugwenyufu ebikolebwa bannaddiini naye nga ababakulembera tebabivumirira. Tekyewuunyisa nti Yakuwa Katonda anaatera okuzikiriza eddiini ezo ez’obulimba.—Kub. 18:8.
11. Abakristaayo ab’amazima balina kukola ki okutuusa nga Babulooni Ekinene kizikiriziddwa?
11 Kino Abakristaayo ab’amazima bakimanyi era balina okulabula abo abali mu Babulooni Ekinene. Engeri emu kino gye bakikolamu kwe kugaba Baibuli n’ebitabo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ Yesu gwe yalonda okuteekateeka ‘emmere mu kiseera kyayo.’ (Mat. 24:45) Abantu abalaga nti baagala obubaka obuli mu Baibuli bakolerwa enteekateeka ne bayigirizibwa Baibuli. Kisuubirwa nti bajja kukiraba nti balina ‘okudduka bave mu Babulooni’ ng’ekiseera tekinnaggwayo.—Kub. 18:4, NW.
Mudduke Okusinza Ebifaananyi
12. Katonda atunuulira atya okusinza ebifaananyi?
12 Ekintu ekirala eky’omuzizo ekikolebwa mu Babulooni Ekinene kwe kusinza ebifaananyi. Katonda abiyita ‘bya mizizo.’ (Ma. 29:17) Abo bonna abaagala okusanyusa Katonda bateekwa okwewala okusinza ebifaananyi, batuukirize Katonda kye yagamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange: era tewali gwe ndiwa kitiibwa kyange, wadde ettendo lyange okuliwa ebifaananyi ebyole.”—Is. 42:8, NW.
13. Engeri enneekusifu ez’okusinza ebifaananyi ze tulina okudduka ze ziruwa?
13 Ekigambo kya Katonda era kiraga engeri enneekusifu ez’okusinza ebifaananyi. Ng’ekyokulabirako, okwegomba okubi kuyitibwa “kusinza ebifaananyi.” (Bak. 3:5) Okwegomba okwo kwe kwegwanyiza ekintu ekitali kikyo. (Kuv. 20:17) Malayika eyafuuka Setaani Omulyolyomi yeegomba okusinzibwa n’okubeera ng’Omuyinza w’Ebintu Byonna. (Luk. 4:5-7) Kino kyamuleetera okujemeera Katonda n’okusendasenda Kaawa okwegomba ekintu Katonda kye yali amugaanye. Mu ngeri emu, Adamu naye yasinza ebifaananyi bwe yalondawo okusigaza omukwano ne mukazi mu kifo ky’okugondera Kitaawe ow’omu ggulu. Naye abo bonna abaagala okuwonawo ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda balina kusinza ye yekka era ne beewala okwegomba kwonna okw’engeri eyo.
“Muddukenga Obwenzi”
14-16. (a) Lwaki Yusufu yateekawo ekyokulabirako kirungi mu mpisa? (b) Tulina kukola ki bwe tujjirwa okwegomba okubi? (c) Tusobola tutya okudduka obwenzi?
14 Soma 1 Abakkolinso 6:18.a Yusufu yadduka bwe yalaba nga muka Potifali agezaako okumusendasenda. Nga yateerawo Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi, ka babe bafumbo oba nga si bafumbo! Yusufu kye yakola kyalaga bulungi nti okuva emabega yali amanyi endowooza Katonda gy’alina ku bwenzi era nti omuntu we ow’omunda yali mutendeke bulungi. Okusobola okugondera ekiragiro ‘ky’okudduka obwenzi,’ tulina okwewala ebintu ebiyinza okutuleetera okwagala okwegatta n’omuntu atali munnaffe mu bufumbo. Baibuli egamba nti: ‘Mufiise ebitundu byammwe bwe kituuka ku bwenzi, obugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi, n’okuyaayaana kwe kusinza ebifaananyi; olw’ebyo obusungu bwa Katonda bujja.’—Bak. 3:5, 6.
15 Weetegereze nti “obusungu bwa Katonda bujja.” Mu nsi eno, okwegomba okubi kusuula bangi mu bwenzi, mu bukaba ne mu bikolwa ebirala ebibi. N’olwekyo, ng’Abakristaayo tulina okusaba Katonda atuwe omwoyo omutukuvu gutuyambe obutafugibwa kwegomba okwo okubi. Okuggata ku ekyo, okwesomesa Baibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’okubuulira baliraanwa baffe amawulire amalungi bijja kutuyamba ‘okutambuliranga mu mwoyo.’ Olwo ‘tetujja kutuukiriza ebyo omubiri bye gwegomba.’—Bag. 5:16.
16 Awatali kubuusabuusa, bwe tulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu tuba ‘tetukyatambulira mu mwoyo.’ Mu ngeri y’emu, buli Mukristaayo alina okwewala okusoma, okulaba, oba okuwuliriza ebintu ebimuleetera okwagala okwetaba. Era ‘ng’abantu ba Katonda abatukuvu’ tetulina kusaaga oba okunyumirwa okwogera ku bintu eby’obugwenyufu ng’ebyo. (Bef. 5:3, 4) Mu ngeri eyo tulaga Kitaffe ow’okwagala nti twagala okuwona obusungu bwe, tubeere mu nsi ye empya ey’obutuukirivu.
Muddukenga “Okwagala Ssente”
17, 18. Lwaki tulina okudduka “okwagala ssente”?
17 Mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira Timoseewo, Pawulo yayogera ku misingi egyalina okugobererwa abaddu Abakristaayo, ng’oboolyawo abamu ku bo baali basuubira okufuna ekisingawo olw’okuba bakama baabwe baali Bakristaayo. Abalala bayinza okuba nga baagezaako okwefunira bye baagala nga bayitira mu buweereza obutukuvu. Pawulo yalabula abo ‘abalowooza nti okutya Katonda ngeri ya kwefunira bintu.’ Kino kiyinza okuba nga kyava ku ‘kwagala ssente’ ekisusse, era okwagala kuno kuyinza okwonoona omuntu yenna, k’abe mugagga oba mwavu.—1 Tim. 6:1, 2, 5, 9, 10, NW.
18 Waliwo abantu mu Baibuli b’oyinza okulowoozaako abaafiirwa enkolagana yaabwe ne Katonda ‘olw’okwagala ssente’ ekisusse oba olw’okwagala ennyo ebintu ebitali bikulu mu bulamu? (Yos. 7:11, 21; 2 Bassek. 5:20, 25-27) Pawulo yakubiriza Timoseewo nti: “Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.” (1 Tim. 6:11) Abo bonna abaagala okuwonawo ku lunaku lw’obusungu olugenda okujja balina okukolera ku magezi ago.
‘Dduka Okwegomba okw’Omu Buvubuka’
19. Kiki abavubuka bonna kye beetaaga?
19 Soma Engero 22:15. Obusirusiru obuli mu mutima gw’omuvubuka buyinza okumuleetera okukwata ekkubo ekyamu. Kino ayinza okukyewala singa agoberera okubuulirira okuli mu Baibuli. Abavubuka bangi Abakristaayo abalina abazadde abatali bakkiriza bafuba okuyiga n’okutambulira ku misingi gya Baibuli. Abalala baganyulwa mu magezi agabaweebwa ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo abali mu kibiina. Okutambulira ku magezi agesigamiziddwa ku Baibuli, k’abe ani agatuwadde, kuleeta essanyu kati era ne mu biseera eby’omu maaso.—Beb. 12:8-11.
20. Kiki ekinaayamba abavubuka okudduka okwegomba okubi?
20 Soma 2 Timoseewo 2:20-22. Olw’obutaba na bulagirizi butuufu, abavubuka bangi batwaliriziddwa ebintu ebibi ng’obukaba, omwoyo gw’okuvuganya, okwagala ssente, okwettanira eby’amasanyu n’okwegomba okubi. Ekyo kyoleka “okwegomba okw’omu buvubuka” Baibuli kw’etukubiriza okudduka. Okudduka kitegeeza nti omuvubuka Omukristaayo alina okwewala ebintu byonna ebiyinza okumuviiramu akabi. Okufuba okuba n’engeri ennungi ng’eza Katonda nga tuli ‘wamu n’abo abasaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu’ kya mugaso nnyo.
21. Kiki Yesu Kristo kye yasuubiza abagoberezi be abalinga endiga?
21 Ka tube bato oba bakulu, bwe tugaana okuwuliriza abantu abagezaako okutubuzaabuza kiba kiraga nti twagala okuba mu abo abagoberera Yesu abalinga endiga ‘ezidduka eddoboozi ly’abo be zitamanyi.’ (Yok. 10:5) Kyokka, okudduka obuddusi ebintu ebibi tekimala okusobola okuwonawo ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda. Tuteekwa n’okufuba okuba n’engeri ennungi. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku ngeri ng’ezo musanvu. Okwetegereza ensonga ezo kijja kutuganyula kubanga Yesu yasuubiza nti: “Nange [endiga zange] nziwa obulamu obutaggwawo; so teziribula emirembe n’emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.”—Yok. 10:28.
[Obugambo obuli wansi]
a 1 Abakkolinso 6:18 (NW): “Muddukenga obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba bweru wa mubiri gwe, naye oyo ayenda akola ekibi ku mubiri gwe.”
Wandizzeemu Otya?
• Yesu yalabula atya abakulembeze b’eddiini?
• Obukadde n’obukadde bw’abantu boolekaganye na mbeera ki ey’akabi leero?
• Ngeri ki enneekusifu ez’okusinza ebifaananyi ze tulina okudduka?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8, 9]
Ekigambo “okudduka” kikuleetera kulowooza ki?