‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
“Bajjula omwoyo omutukuvu ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.”—BIK. 4:31.
1, 2. Lwaki tusaanidde okufuba okukola obulungi omulimu gw’okubuulira?
NG’EBULA ennaku ssatu attibwe, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” Bwe yali tannalinnya mu ggulu, Yesu eyali azuukiziddwa yalagira abagoberezi be ‘okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga bababatiza mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu, nga babayigiriza okukwata ebintu byonna bye yabalagira.’ Yabasuubiza nti yali wa kuba wamu nabo “ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.”—Mat. 24:14; 26:1, 2; 28:19, 20.
2 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, twenyigira mu mulimu ogwatandika okukolebwa mu kyasa ekyasooka. Omulimu oguwonya obulamu ogw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa gwe mulimu ogusingayo okuba omukulu. N’olwekyo, kikulu nnyo okukola omulimu guno obulungi. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri omwoyo omutukuvu gye gutuyamba okwogera n’obuvumu nga tuli mu buweereza. Ate mu bitundu ebibiri ebiddako tujja kulaba engeri omwoyo gwa Yakuwa gye gutuyamba okuyigiriza obulungi n’okubuulira awatali kuddirira.
Twetaaga Okuba Abavumu
3. Lwaki kyetaagisa obuvumu okusobola okukola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka?
3 Omulimu gw’okulangirira Obwakabaka bwa Katonda, nkizo ya maanyi nnyo. Kyokka, omulimu guno oluusi teguba mwangu. Wadde ng’abantu abamu bakkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka, bangi beeyisa ng’abo abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Yesu yagamba nti: ‘Tebaafaayo okutuusa amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.’ (Mat. 24:38, 39) Ate waliwo n’abo abatusekerera oba abatuziyiza. (2 Peet. 3:3) Abo abatuziyiza bayinza okuba ab’obuyinza, bayizi bannaffe, bakozi bannaffe, oba ab’eŋŋanda zaffe. Ate oluusi obuzibu buyinza okuva ku bunafu bwaffe gamba ng’okuba n’ensonyi oba okutya nti abantu tebajja kutuwuliriza. Ebintu ng’ebyo biyinza okutulemesa okwogera ekigambo kya Katonda “n’obuvumu.” (Bef. 6:19, 20) N’olwekyo, kyetaagisa obuvumu okusobola okwogera ekigambo kya Katonda awatali kuddirira. Kiki ekinaatuyamba okuba abavumu?
4. (a) Obuvumu kye ki? (b) Omutume Pawulo yafuna atya obuvumu okubuulira abantu b’omu Ssessaloniika?
4 Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obuvumu” kirina amakulu “ag’okwogera kaati, oba butereevu.” Ekigambo ekyo era kitegeeza ‘okukola ekintu n’obumalirivu awatali kutya.’ Okuba omuvumu tekitegeeza kwogeza bukambwe oba kwogeza bboggo. (Bak. 4:6) Wadde nga kitwetaagisa okuba abavumu, tulina okufuba okuba mu mirembe n’abantu bonna. (Beb. 12:14) Bwe tuba tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, twetaaga okuba abavumu naye nga twegendereza obutanyiiza bantu be tubuulira. Okusobola okufuna obuvumu buno, waliwo engeri endala ze tulina okufuba okukulaakulanya. Kyokka ng’obuvumu obwo tetusobola kubufuna mu maanyi gaffe. Omutume Pawulo ne banne baasobola batya ‘okufuna obuvumu’ okubuulira abantu b’omu Ssessaloniika oluvannyuma ‘lw’okubonaabona n’okuyisibwa obubi ennyo nga bali mu Firipi’? Pawulo yawandiika nti: “Twafuna obuvumu okuva eri Katonda waffe.” (Soma 1 Abassessaloniika 2:2.) Mu ngeri y’emu, naffe Yakuwa Katonda asobola okutuyamba okuggwamu okutya n’okuba abavumu.
5. Yakuwa yayamba atya Peetero, Yokaana, n’abayigirizwa abalala okufuna obuvumu?
5 Bwe baali baziyizibwa “abafuzi [b’abantu], abakadde n’abawandiisi,” omutume Peetero ne Yokaana baagamba nti: “Bwe kiba nga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe mu kifo ky’okuwulira Katonda, mwesalirewo. Naye ffe tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” Mu kifo ky’okwegayirira Katonda akomye okuyigganyizibwa, abatume ne bakkiriza bannaabwe baasaba nga bagamba nti: “Yakuwa, laba okutiisatiisa kwabwe, era osobozese abaddu bo okwogera ekigambo kyo n’obuvumu.” (Bik. 4:5, 19, 20, 29) Yakuwa yaddamu atya okusaba kwabwe? (Soma Ebikolwa 4:31.) Yakuwa yabayamba okufuna obuvumu ng’abawa omwoyo gwe omutukuvu, era naffe asobola okugutuwa. Kati olwo tuyinza tutya okufuna omwoyo gwa Katonda era gutuwa gutya obulagirizi mu buweereza bwaffe?
Ekinaatuyamba Okuba Abavumu
6, 7. Engeri emu mwe tuyitira okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu y’eruwa? Waayo ebyokulabirako.
6 Engeri emu mwe tuyitira okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu kwe kumusaba agutuwe. Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Obanga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!” (Luk. 11:13) Mazima ddala, tusaanidde okusaba Katonda bulijjo atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Bwe tuba nga tutya okwenyigira mu ngeri ezimu ez’obuweereza gamba ng’okubuulira ku nguudo, okubuulira embagirawo, oba okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi, tusobola okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe gutuyambe okufuna obuvumu.—1 Bas. 5:17.
7 Ekyo kyennyini omukyala Omukristaayo ayitibwa Rosa kye yakola.a Lumu ng’ali ku mulimu, musomesa munne yasoma ku kutulugunyizibwa kw’abaana okwali mu ssomero eddala. Mukozi munne oyo yawulira bubi nnyo olw’ebyo bye yali asomye era yagamba nti, “Ensi eno eraga wa?” Rosa yali tasobola kuleka kakisa kano kumuyitako nga tawadde bujulirwa. Yakola ki okusobola okufuna obuvumu? Rosa agamba nti: “Nnasaba Yakuwa ampe omwoyo gwe gunnyambe.” Bw’atyo yasobola okuwa obujulirwa era n’akola enteekateeka bongere okwogera ku nsonga eyo. Ate lowooza ku kawala ak’emyaka etaano akayitibwa Milane, akabeera mu kibuga New York. Milane agamba nti: “Bwe mba sinnagenda ku ssomero nze ne maama tusooka kusaba Yakuwa.” Kiki kye basaba? Milane afune obuvumu okwogera ebikwata ku Katonda we! Maama we agamba nti: “Kino kiyambye Milane okunnyonnyola ensonga lwaki takuza mazaalibwa na nnaku nkulu.” Ebyokulabirako bino tebiraga nti okusaba kusobola okutuyamba okufuna obuvumu?
8. Kiki ekyayamba nnabbi Yeremiya okufuna obuvumu?
8 Ate lowooza ku ekyo ekyayamba nnabbi Yeremiya okufuna obuvumu. Yakuwa bwe yamulonda okuweereza nga nnabbi eri amawanga, Yeremiya yagamba nti: “Siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.” (Yer. 1:4-6) Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yeremiya yakola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu bangi ne batuuka n’okumuyita nnabbi ayogera ku bubi obwereere. (Yer. 38:4) Okumala emyaka egisukka mu 65, yalangirira emisango gya Yakuwa n’obuvumu. Olw’okuba yali amanyiddwa nnyo mu Isiraeri olw’okubuulira n’obuvumu, oluvannyuma lw’emyaka nga 600 Yesu bwe yayogera n’obuvumu abamu baalowooza nti Yeremiya yali azuukidde. (Mat. 16:13, 14) Kiki ekyayamba nnabbi Yeremiya okuggwamu okutya? Yagamba nti: “Mu mutima gwange [ekigambo kya Katonda kyali] ng’omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera awo.” (Yer. 20:9) Yee, olw’amaanyi g’ekigambo kya Yakuwa Yeremiya yasobola okwogera n’obuvumu.
9. Lwaki ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba nga bwe kyayamba Yeremiya?
9 Mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya, omutume Pawulo yawandiika nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi, era kyogi okusinga ekitala ekiriko obwogi ku njuyi zaakyo zombi, era kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Beb. 4:12) Obubaka obuva eri Katonda, oba ekigambo kye, busobola okutuyamba nga bwe bwayamba Yeremiya. Kijjukire nti wadde ng’abantu be baakozesebwa okuwandiika Baibuli, amagezi agagirimu si ga bantu, kubanga yaluŋŋamizibwa Katonda. Mu 2 Peetero 1:21, tusoma nti: “Tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.” Bwe tufuba okwesomesa Baibuli, ebirowoozo byaffe bijjula obubaka obwaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. (Soma 1 Abakkolinso 2:10.) Obubaka obwo busobola okubeera “ng’omuliro ogubuubuuka” munda mu ffe, ne kiba nti tetusobola kubusirikira.
10, 11. (a) Bwe tuba ab’okufuna obuvumu, tusaanidde kwesomesa tutya Baibuli? (b) Oteeseteese kukola ki okusobola okulongoosa mu ngeri gye weesomesaamu?
10 Okusobola okuganyulwa mu ebyo bye tusoma mu Baibuli, tulina okwesomesa mu ngeri esobozesa bye tusoma okututuuka ku mitima. Ng’ekyokulabirako, mu kwolesebwa kwe yaweebwa, nnabbi Ezeekyeri yasabibwa okulya omuzingo gw’ekitabo ogwalimu obubaka obw’amaanyi obwali obw’okulangirirwa eri abantu abaali tebaagala kubuwulira. Ezeekyeri yalina okutegeera obulungi obubaka obwo, bwalina okumutuuka munda n’awulira nga bumukwatiddeko ddala. Okukola ekyo kyandimuyambye okufuna essanyu ng’alangirira obubaka obwo—nga bumuwoomera ng’omubisi gw’enjuki.—Soma Ezeekyeri 2:8–3:4, 7-9.
11 Nga bwe kyali mu kiseera kya Ezeekyeri, ne leero bangi tebaagala kuwulira bubaka bwa Baibuli. Bwe kityo naffe bwe tuba ab’okwogera ekigambo kya Katonda awatali kuddirira, twetaaga okusoma n’okutegeera obulungi obubaka obuli mu Byawandiikibwa. Tulina okwesomesa Baibuli obutayosa. Tusaanidde okuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Ebigambo by’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.” (Zab. 19:14) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, amazima ga Baibuli gasobola okutuuka ku mitima gyaffe. N’olwekyo, tusaanidde okulongoosa mu ngeri gye twesomesaamu.b
12. Lwaki enkuŋŋaana z’ekibiina zituyamba okufuna obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu?
12 Engeri endala mwe tufunira omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu kwe ‘kulowooza ku bannaffe, okubakubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaana wamu.’ (Beb. 10:24, 25) Bwe tufuba okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa, okuwuliriza obulungi, n’okussa mu nkola bye tuyiga kijja kutuyamba okufuna obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa atuwa obulagirizi mu kibiina ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.—Soma Okubikkulirwa 3:6.
Emiganyulo Egiri mu Kuba Abavumu
13. Kiki ekyayamba Abakristaayo mu kyasa ekyasooka okutuukiriza omulimu gwabwe ogw’okubuulira?
13 Omwoyo omutukuvu ge maanyi agasingayo mu butonde bwonna, era gusobola okuyamba abantu okukola Yakuwa by’ayagala. Gwayamba Abakristaayo mu kyasa ekyasooka okutuukiriza omulimu gwabwe ogw’okubuulira. Baasobola okubuulira amawulire amalungi “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.” (Bak. 1:23) Olw’okuba abasinga obungi ku bo baali ‘tebaayigirizibwa nnyo era nga baali bantu ba bulijjo,’ kyeyoleka bulungi nti waliwo amaanyi agatali ga bulijjo agaabasobozesa okukola omulimu ogwo.—Bik. 4:13.
14. Kiki ekiyinza okutuyamba ‘okwaka n’omwoyo’?
14 Okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu nakyo kisobola okutuyamba okuba abavumu nga tuli mu buweereza. Okusaba Katonda obutayosa atuwe omwoyo gwe, okufuba okwesomesa, okufumiitiriza ku bintu bye tusoma, n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa kituyamba ‘okwaka n’omwoyo.’ (Bar. 12:11) Ng’eyogera ku ‘Muyudaaya omu ayitibwa Apolo, enzaalwa y’omu Alekizandiriya, eyali omwogezi omulungi, eyajja mu Efeso,’ Baibuli egamba nti: ‘Yali ayaka n’omwoyo, ng’abuulira era ng’ayigiriza ebintu ebituufu ebikwata ku Yesu.’ (Bik. 18:24, 25) ‘Okwaka n’omwoyo’ kituyamba okufuna obuvumu okubuulira nnyumba ku nnyumba n’okubuulira embagirawo.—Bar. 12:11.
15. Okuba abavumu kituyamba kitya?
15 Okuba abavumu kituyamba mu mulimu gw’okubuulira. Kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe kubanga tweyongera okutegeera obulungi obukulu bw’omulimu gwaffe n’emiganyulo egigulimu. Kituyamba okwogera n’ebbugumu olw’okuba bwe tukola omulimu gwaffe obulungi, essanyu lyaffe lyeyongera. Era kituyamba okubuulira n’obunyiikivu olw’okuba tukimanyi nti ekiseera ekisigaddeyo kitono.
16. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukizuula nti tetukyali banyiikivu mu buweereza bwaffe?
16 Ate kiri kitya singa tukizuula nti tetukyali banyiikivu mu buweereza bwaffe nga bwe kyali emabega? Kiba kirungi ne twekebera. Pawulo yawandiika nti: “Mwekeberenga okulaba obanga muli mu kukkiriza, mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.” (2 Kol. 13:5) Weebuuze: ‘Ddala nkyayaka n’omwoyo? Nsaba Yakuwa ampe omwoyo gwe? Essaala zange ziraga nti mmwesiga? Mmwebaza olw’enkizo ey’okubuulira gye yatuwa? Enteekateeka yange ey’okwesomesa eri etya? Nfuba okufumiitiriza ku bye nsoma? Nfuba okwenyigira mu nkuŋŋaana z’ekibiina?’ Okufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo kisobola okukuyamba okulaba obunafu bwo we buli, ekyo ne kikuyamba okulaba we weetaaga okulongoosaamu.
Leka Omwoyo gwa Katonda Gukuyambe Okuba Omuvumu
17, 18. (a) Omulimu gw’okubuulira gukolebwa ku kigero ki leero? (b) Kiki ekinaatuyamba ‘okwogera n’obuvumu’ nga tulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda?
17 Yesu eyali azuukiziddwa yagamba abayigirizwa be nti: “Mulifuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gulibakkako, era muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Omulimu ogwatandika mu kiseera ekyo kati gukolebwa ku kigero ekitabangawo. Mu kiseera kino, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde omusanvu bamala essaawa kumpi akawumbi kamu n’ekitundu buli mwaka nga babuulira obubaka bw’Obwakabaka mu nsi ezisukka mu 230. Nga nkizo y’amaanyi okwenyigira mu mulimu guno ogutagenda kuddibwamu nate!
18 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero omwoyo gwa Katonda gutuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Bwe tukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, kijja kutuyamba ‘okwogera n’obuvumu’ nga tuli mu buweereza bwaffe. (Bik. 28:31) N’olwekyo, ka tweyongere okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu nga tulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda!
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Okusobola okuganyulwa mu kwesomesa Baibuli, laba ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, essuula erina omutwe “Nnyiikirira Okusoma” ne “Okweyigiriza Kuganyula,” olupapula 21-32.
Kiki ky’Oyize?
• Lwaki kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okwogera ekigambo kya Katonda?
• Kiki ekyayamba abayigirizwa mu kyasa ekyasooka okwogera n’obuvumu?
• Kiki ekinaatuyamba okuba abavumu?
• Okuba abavumu kituyamba kitya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Abazadde basobola batya okuyamba abaana baabwe okuba abavumu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Okusaba kusobola okukuyamba okufuna obuvumu mu buweereza