Ekigambo kya Katonda Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Okukungubaga
NNABBI Yeremiya alaba okutuukirizibwa kw’obubaka bw’omusango bw’abadde alangirira okumala emyaka 40. Nnabbi ono awulira atya bw’alaba ekibuga kye yali ayagala bw’atyo nga kizikirizibwa? Enkyusa ya Baibuli ey’Oluyonaani eyitibwa Septuagint egamba bw’eti mu nnyanjula yaayo: “Yeremiya yatuula wansi n’akaaba ng’akungubagira Yerusaalemi.” Ekitabo ky’Okukungubaga ekyawandiikibwa mu 607 B.C.E. nga Yeremiya akyajjukira bulungi engeri Yerusaalemi gye kyazingizibwa okumala emyezi 18 n’oluvannyuma ne kyokebwa, kiraga bulungi ennaku Yeremiya gye yawulira. (Yeremiya 52:3-5, 12-14) Tewali kibuga kyonna mu byafaayo kye baali bakungubagidde ng’ekyo nga bakozesa ebigambo ebireeta ennaku ng’ebyo.
Ekitabo ky’Okukungubaga kirimu ebitontome bitaano. Ebina ebisooka birimu kukungubaga ate eky’okutaano kirimu kwegayirira oba kusaba. Ebitontome ebina ebisooka byawandiikibwa mu ngeri nti buli lunyiriri lutandika n’emu ku nnukuta 22 eza walifu y’Olwebbulaniya nga bwe zigenda ziddiriŋŋana. Ekitontome eky’okutaano kya nnyiriri 22, kyokka ennyiriri zaakyo tezisengekeddwa kusinziira ku walifu ya Lwebbulaniya wadde nga nayo ya nnukuta 22.—Okukungubaga 5:1.
‘AMAASO GANGE GAZIBYE OLW’AMAZIGA’
“Ekibuga nga kitudde kyokka ekyajjulanga abantu! Nga kifuuse okuba nga nnamwandu! Ekyabanga omukulu mu mawanga, omumbejja mu masaza, nga kifuuse kya musolo!” Bw’atyo Yeremiya bw’atandika ng’akukungubagira Yerusaalemi. Ng’awa ensonga eyaviirako akabi kano, nnabbi agamba nti: “Mukama amubonyaabonyezza olw’olufulube lw’ebyonoono bye.”—Okukungubaga 1:1, 5.
Nga kiringa nnamwandu afiiriddwa bba n’abaana, ekibuga Yerusaalemi kibuuza: “Waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange?” Ng’akyogera ku balabe baakyo, kisaba Katonda nti: “Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; era obakole bo nga bw’onkoze nze olw’okusobya kwange kwonna: Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n’omutima gwange guyongobedde.”—Okukungubaga 1:12, 22.
Mu nnaku ennyingi ennyo Yeremiya agamba nti: “[Yakuwa] amazeewo ejjembe lyonna erya Isiraeri ng’aliko ekiruyi; azzizzaayo omukono gwe ogwa ddyo mu maaso g’omulabe: era ayokezza Yakobo ng’omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna.” Ng’alaga obulumi bw’awulira, nnabbi ayogera n’ennaku nti: “Amaaso gange gaziba olw’amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde, ekibumba kyange kifukiddwa ku ttaka.” N’abo abayitawo beewuunya nga bagamba nti: “Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti Obulungi obw’Abatuukirira, Essanyu ery’ensi zonna?”—Okukungubaga 2:3, 11, 15.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:15—Yakuwa ‘yasamba atya muwala wa Yuda atamanyi musajja ng’essogolero’? Mu kuzikiriza ekibuga ekyogerwako ng’omuwala atamanyi musajja, Abababulooni baayiwa omusaayi mungi nnyo ne kiba ng’abasogola ezabbibu. Yakuwa kino ye yakiragula era n’akikkiriza okubaawo, n’olwekyo, kiyinza okugambibwa nti yali ‘asambye essogolero.’
2:1—Mu ngeri ki ‘obulungi bwa Isiraeri gye bwasuulibwa ku nsi okuva mu ggulu’? Okuva ‘eggulu bwe lisinga ensi obugulumivu,’ okussa wansi ebintu ebyagulumizibwa oluusi kwogerwako ng’ebiba ‘bisuuliddwa ku nsi okuva mu ggulu.’ “Obulungi bwa Isiraeri”—ekitiibwa n’obuyinza bye kyalina nga kikyasiimibwa Yakuwa—byasuulibwa wansi Yerusaalemi bwe kizikirizibwa ne Yuda bwe yasigala amatongo.—Isaaya 55:9.
2:1, 6—‘Entebe y’ebigere bya’ Yakuwa ‘n’eweema’ ye bye biruwa? Omuwandiisi wa zabbuli yayimba: ‘Ka tuyingire mu weema ze; ka tusinzize awali entebe y’ebigere bye.’ (Zabbuli 132:7) N’olwekyo, ‘entebe y’ebigere bye’ eyogerwako mu Okukungubaga 2:1 etegeeza ennyumba ya Yakuwa ey’okusinzizaamu oba yeekaalu ye. Abababulooni ‘baayokya ennyumba ya Yakuwa’ ng’abookya eweema oba akasiisira ak’omu nnimiro.—Yeremiya 52:12, 13.
2:17—‘Kigambo’ ki kyennyini Yakuwa kye yatuukiriza ku bikwata ku Yerusaalemi? Kirabika kino kyogera ku ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 26:17, awagamba nti: “N[n]aabolekezanga amaaso gange, nammwe munaakubibwanga mu maaso g’abalabe bammwe: ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali agoba.”
Bye Tuyigamu:
1:1-9. Yerusaalemi akulukusa amaziga mangi mu kiro. Emiryango gye gyonna girekeddwawo, ne bakabona be basinda. Bawala be bali mu buyinike, era naye yennyini abalagalwa. Lwaki? Kubanga Yerusaalemi ayonoonye nnyo. Engoye ze zijjudde obukyafu. Ebivudde mu kwonoona kwe si bya ssanyu; maziga, kusinda, nnaku na kubalagalwa.
1:18. Bulijjo Yakuwa bw’abonereza aboonoonyi aba mwenkanya.
2:20. Abaisiraeri baalabulwa nti bwe batandiwulirizza ddoboozi lya Yakuwa, ebikolimo byandibajjidde, omwali n’okulya ‘ennyama y’abaana baabwe ab’obulenzi n’ab’obuwala.’ (Ekyamateeka 28:15, 45, 53) Nga si kya magezi n’akatono okujeemera Katonda!
‘TOKISA KUTU KWO ERI OKUKAABA KWANGE’
Mu Okukungubaga essuula 3, eggwanga lya Isiraeri lyogerwako ‘ng’omuntu.’ Wadde ng’ali mu buzibu, omusajja ono ayimba: “Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya.” Ng’asaba Katonda ow’amazima yeegayirira nti: ‘Wulira eddoboozi lyange; tokisa kutu kwo eri okussa omukka kwange n’eri okukaaba kwange.’ Ng’asaba Yakuwa abeeko ky’akola ku balabe be abamuvuma, agamba nti: “Olibasasula empeera, ai Mukama, ng’omulimu bwe guli ogw’emikono gyabwe.”—Okukungubaga 3:1, 25, 56, 64.
Yeremiya akungubaga olw’ebizibu ebyali bivudde mu kuzingizibwa kwa Yerusaalemi okwamala emyezi 18 ng’agamba nti: “Ekibonerezo ky’obutali butuukirivu bw’omuwala w’abantu bange kisinga obunene ekibonerezo ky’ekibi kya Sodomu, ekyasuulibwa nga mu kaseera obuseera, so tewali eyakissaako omukono okukiyamba.” Yeremiya ayongera n’agamba nti: “Abattiddwa n’ekitala basinga abo abafudde enjala; kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa olw’okubulwa ebibala eby’omu nnimiro.”—Okukungubaga 4:6, 9, NW.
Ekitontome eky’okutaano kiraga abantu b’omu Yerusaalemi nga be balinga aboogera. Bagamba: “Jjukira, ai Mukama, ebitujjidde: Tunula olabe okuvumibwa kwaffe.” Nga boogera ku kubonaabona kwabwe, beegayirira nti: “Ai Mukama, obeerera ennaku zonna; entebe yo ebaawo okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna. Tukyuse gy’oli, ai Mukama, naffe tunaakyusibwa; ennaku zaffe ozizze buggya ng’edda.”—Okukungubaga 5:1, 19, 21.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
3:16—Ebigambo “amenye amannyo gange n’oluyinjayinja” bitegeeza ki? Ekitabo ekimu kigamba nti: “Abayudaaya bwe baali batwalibwa mu buwaŋŋanguse bawalirizibwa okufumbira emigaati mu binnya bye basima mu ttaka, ne kiba nti emigaati gyabwe gyali girumira.” Okulya emigaati ng’egyo kyali kisobola okumenya oba okubongola omuntu amannyo.
4:3, 10—Lwaki Yeremiya ageraageranya “omuwala w’abantu [be]” ku “ba[m]maaya mu ddungu”? Yobu 39:16 lulaga nti mmaaya “akakanyalira abaana be ng’abatali babe.” Ng’ekyokulabirako, mmaaya enkazi bw’emala okwalula, obwana ebulekera mmaaya ensajja okubulabirira yo n’egenda. Ate kiba kitya singa akabi kajja? Zombi enkazi n’ensajja zidduka ne zireka obwana bwazo mu kisu. Enjala yali nnyingi nnyo mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa Abababulooni ne kiba nti abakazi abandibadde bakwatirwa abaana baabwe ekisa, baabayisa nga mmaaya bw’ekola obwana bwayo mu ddungu. Kino kyali kyawukana nnyo ku ngeri emisege gye girabiriramu abaana baagyo.
5:7—Yakuwa abonereza abantu olw’ebibi bya bajjajjaabwe? Nedda, Yakuwa tabonereza bantu butereevu olw’ebibi bya bajjajjaabwe. Baibuli egamba nti: “Buli muntu alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.” (Abaruumi 14:12) Kyokka, ebiva mu kwonoona bisobola okulumya abaana n’abazzukulu. Ng’ekyokulabirako, eky’okuba nti Isiraeri ey’edda yatandika okusinza ebifaananyi, kyazibuwaliza Abaisiraeri abeesigwa ab’ebiseera ebyaddirira okunywerera ku butuukirivu.—Okuva 20:5.
Bye Tuyigamu:
3:8, 43, 44. Mu kiseera ekyo ng’abantu b’omu Yerusaalemi babonaabona, Yakuwa yagaana okuwuliriza okukaaba kwabwe. Lwaki? Kubanga baali bajeemye era ne bagaana okwenenya. Bwe tuba twagala Yakuwa okuddamu okusaba kwaffe, tulina okubeera abawulize gy’ali.—Engero 28:9.
3:21-26, 28-33. Tuyinza tutya okugumira okubonaabona ne bwe kuba nga kwa maanyi? Yeremiya atugamba nti tetulina kwerabira nti Yakuwa wa kisa nnyo era musaasizi. Tusaanidde n’okukijjukira nti okuba abalamu ku bwakyo kitumala obutaggwamu ssuubi, n’obuteemulugunya nga tulindirira obulokozi bwa Yakuwa. Ate era tusaanidde ‘okuteeka akamwa kaffe mu nfuufu,’ kwe kugamba, obutemulugunya bwe tuba tugezesebwa nga tumanyi nti wabaawo ensonga lwaki Katonda akkiriza ekintu kyonna okututuukako.
3:27. Ebizibu ebigezesa okukkiriza kw’omuntu mu buvubuka bwe biyinza okutwaliramu okubonaabona n’okusekererwa. Naye “kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe.” Lwaki? Kubanga omuntu bw’ayiga okugumira ebizibu ng’akyali muto, kimuteekateeka okubyaŋŋanga mu biseera bye eby’omu maaso.
3:39-42. ‘Okwemulugunya’ nga tubonaabona olw’ebibi bye tuba tukoze, si kya magezi. Mu kifo ky’okwemulugunya olw’ebyo ebiba bivudde mu kwonoona kwaffe, ‘ka tukebere, tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama.’ Kiba kya magezi okwenenya era ne tutereeza amakubo gaffe.
Weesige Yakuwa
Ekitabo ky’Okukungubaga kiraga engeri Yakuwa gye yatunuuliramu Yerusaalemi ng’Ababulooni bamaze okukizikiriza, nga ne Yuda asigadde matongo. Ebigambo ebikirimu ebiraga nti be baayonoona bikyoleka bulungi nti ebizibu bye baafuna, okusinziira ku Yakuwa, be baali babyereetedde. Ebitontome ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu kitabo kino era birimu ebigambo ebyoleka essuubi mu Yakuwa n’okwagala okukyuka okudda mu kkubo ettuufu. Wadde ng’ebigambo ebyo tebyoleka ndowooza y’abasinga obungi mu nnaku za Yeremiya, biraga endowooza ya Yeremiya n’ensigalira abeenenya.
Engeri Yakuwa gye yali atunuuliramu embeera ya Yerusaalemi nga bw’eragibwa mu kitabo ky’Okukungubaga erina ebintu ebikulu bibiri by’etuyigiriza. Ekisooka, okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi n’okuleka Yuda nga matongo, bitukubiriza okuba abawulize eri Yakuwa era bitulabula obutasambajja Katonda ky’aba alagidde. (1 Abakkolinso 10:11) Eky’okubiri tukiyigira ku kyokulabirako kya Yeremiya. (Abaruumi 15:4) Ne mu mbeera erabika nga nzibu ennyo, nnabbi ono eyali omunakuwavu ennyo yeesiga Yakuwa okumulokola. Nga kikulu nnyo okuba nti naffe okwesiga Yakuwa n’Ekigambo kye!—Abaebbulaniya 4:12.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Nnabbi Yeremiya yalaba okutuukirizibwa kw’obubaka bw’omusango bwe yalangirira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okukkiriza kw’Abajulirwa bano ab’omu Korea kwagezesebwa olw’ennyimirira yaabwe ku nsonga z’eby’obufuzi