-
‘Laba Ebintu Ebibi Ennyo eby’Omuzizo Bye Bakola’Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
-
-
Eky’Okubiri: Abakadde 70 nga Booterereza Bakatonda ab’Obulimba Obubaani
11. Bintu ki ebibi Ezeekyeri bye yalaba ng’ayingidde mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda okumpi n’ekyoto?
11 Soma Ezeekyeri 8:7-12. Ezeekyeri bwe yakuba ekituli mu kisenge n’ayingira mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda okumpi n’ekyoto, yalaba ebifaananyi by’ebintu “ebyewalula ebya buli ngeri n’eby’ensolo ez’omuzizo, era n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza,” ebyali byoleddwa ku kisenge.c Ebifaananyi ebyo byali bikiikirira bakatonda ab’obulimba. Naye ate Ezeekyeri kye yaddako okulaba kyamukuba wala: “Abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri” baali bayimiridde “mu kizikiza” nga booterereza bakatonda ab’obulimba obubaani. Mu Mateeka, okwotereza obubaani obw’akaloosa kyali kikiikirira essaala ezikkirizibwa ez’abaweereza ba Katonda abeesigwa. (Zab. 141:2) Naye obubaani abakadde 70 bwe baali booterereza bakatonda ab’obulimba tebwali butukuvu, era Yakuwa bwali bumuwunyira bubi. Essaala z’abakadde abo zaali ng’evvumbe eriwunya obubi. (Nge. 15:8) Abakadde abo baali beerimbalimba nga bagamba nti: “Yakuwa tatulaba.” Naye Yakuwa yali abalaba era yalaga Ezeekyeri ebyo byonna bye baali bakolera mu yeekaalu ye!
12. Lwaki tulina okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde “mu kizikiza,” era okusingira ddala baani abasaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno?
12 Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku bakadde 70 Ezeekyeri be yalaba nga booterereza bakatonda ab’obulimba obubaani? Katonda okusobola okuwulira essaala zaffe n’okukkiriza okusinza kwaffe, tulina okusigala nga tuli beesigwa gy’ali ka tube nga tuli ‘mu nzikiza.’ (Nge. 15:29) Tusaanidde okukijjukiranga nti Yakuwa aba atulaba ekiseera kyonna. Yakuwa bw’aba nga wa ddala gye tuli, tetujja kukola mu kyama kintu kyonna kye tumanyi nti kimunyiiza. (Beb. 4:13) Okusingira ddala abakadde mu kibiina basaanidde okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi nga batambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Bayibuli. (1 Peet. 5:2, 3) Ab’oluganda mu kibiina baba basuubira nti omukadde ayimirira mu maaso gaabwe okubayigiriza n’okubakulembera mu kusinza, akolera ku misingi gya Bayibuli ne bw’aba ‘mu nzikiza,’ kwe kugamba, ne bwe kiba nti abalala tebamulaba.—Zab. 101:2, 3.