-
‘Teeka Akabonero ku Byenyi by’Abantu’Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
-
-
5, 6. Kiki kye tuyinza okwogera ku abo abaateekebwako akabonero? (Laba ekifaananyi ku lupapula 172.)
5 Omusajja eyalina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi ye yali agenda kukola ki? Yakuwa yamugamba nti: “Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abantu abasinda era abakaaba olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebikolebwa mu kibuga.” Oboolyawo mu kiseera ekyo Ezeekyeri yajjukira ekyo abazadde Abayisirayiri abeesigwa kye baakola bwe baasiiga omusaayi waggulu w’enzigi ne ku myango eruuyi n’eruuyi era ng’omusaayi ogwo kaali kabonero akalaga nti abaana baabwe ababereberye bandiwonyezeddwawo. (Kuv. 12:7, 22, 23) Kyandiba nti ne mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, abantu omusajja eyalina akacupa ka bwino be yanditaddeko akabonero nabo bandiwonyeewo nga Yerusaalemi kizikirizibwa?
6 Tusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo bwe tumanya ekyali kigenda okusinziirwako okuteeka akabonero ku bantu. Akabonero ako kaalina okuteekebwa ku byenyi by’abo abaali ‘basinda era abakaaba’ olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebyali ‘bikolebwa mu kibuga.’ Ekyo kitulaga ki ku abo abaateekebwako akabonero? Abantu abo baali banyolwa olw’okusinza ebifaananyi okwali mu yeekaalu, ate era baali banyolwa olw’ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu, n’obulyi bw’enguzi ebyali bijjudde mu Yerusaalemi. (Ezk. 22:9-12) Ate era kirabika abantu abo tebaakwekanga nneewulira gye baalina ku bintu ebyo. Ebigambo abantu abo ab’emitima emirungi bye baayogeranga awamu n’ebikolwa byabwe byalinga biraga nti bakyayira ddala ebintu ebibi ebyali bikolebwa era nti baali beemalidde ku kusinza okulongoofu. Olw’okuba Yakuwa musaasizi, yali agenda kuwonyaawo abantu abo.
-
-
‘Teeka Akabonero ku Byenyi by’Abantu’Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
-
-
9, 10. Abamu ku bantu abeesigwa abaawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa be baluwa, era kiki kye tuyinza okuboogerako?
9 Soma 2 Ebyomumirembe 36:17-20. Obunnabbi bwa Ezeekyeri bwatuukirizibwa mu 607 E.E.T., eggye ly’Abababulooni bwe lyazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu. Abababulooni baali ‘ng’ekikopo mu mukono gwa Yakuwa,’ kubanga Yakuwa yabakozesa okubonereza ekibuga Yerusaalemi ekitaali kyesigwa, mu ngeri eyo ekibuga ekyo ne kiba ng’ekinywedde ku busungu bwa Yakuwa. (Yer. 51:7) Buli muntu eyali mu kibuga yazikirizibwa? Nedda. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwalaga nti abantu abamu bandibadde tebazikirizibwa Bababulooni.—Lub. 18:22-33; 2 Peet. 2:9.
10 Waliwo abantu abeesigwa abaawonawo, nga mu bano mwe mwali Abalekabu, Ebedumereki Omwesiyopiya, nnabbi Yeremiya, ne Baluki omuwandiisi we. (Yer. 35:1-19; 39:15-18; 45:1-5) Okusinziira ku kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, tusobola okugamba nti abantu abo baali ‘basinda era nga bakaaba olw’ebintu byonna eby’omuzizo’ ebyali bikolebwa mu Yerusaalemi. (Ezk. 9:4) Okuzikiriza okwo bwe kwali tekunnabaawo, baali bakyolese nti bakyayira ddala ebintu ebibi era nti baali beemalidde ku kusinza okulongoofu ne kiba nti baali bajja kuwonawo.
11. Abasajja omukaaga abaali bakutte eby’okulwanyisa awamu n’omusajja eyalina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi baali bakiikirira baani?
11 Abantu abo abeesigwa baateekebwako akabonero akalabika? Tewaliiwo kyonna kiraga nti Ezeekyeri oba nnabbi omulala omwesigwa yayitaayita mu Yerusaalemi ng’agenda ateeka akabonero ku byenyi by’abantu abeesigwa. N’olwekyo, okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwali kulaga ekintu ekyali kikolebwa ebitonde eby’omwoyo, abantu kye baali batasobola kulaba. Mu kwolesebwa okwo, omusajja eyalina akacupa ka bwino awamu n’abasajja omukaaga abaali bakutte eby’okulwanyisa baali bakiikirira ebitonde bya Yakuwa eby’omwoyo ebyesigwa, bulijjo ebiba ebyetegefu okutuukiriza by’ayagala. (Zab. 103:20, 21) Kya lwatu nti Yakuwa yakozesa bamalayika be okukakasa nti omusango gwe yali asalidde Yerusaalemi gutuukirizibwa. Mu kukakasa nti abantu abeesigwa bawonyezebwawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa, bamalayika abo baali ng’abateeka akabonero ku byenyi by’abantu abo.
-