“Ani Ategedde Endowooza Ya Yakuwa?”
“‘Ani ategedde endowooza ya Yakuwa alyoke amuyigirize?’ Naye ffe tulina endowooza ya Kristo.”—1 KOL. 2:16.
1, 2. (a) Buzibu ki bangi bwe bafuna? (b) Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe kituuka ku ndowooza yaffe n’eya Yakuwa?
OKISANGA nga kizibu okutegeera endowooza y’omuntu omulala? Oboolyawo waakayingira obufumbo, era ng’owulira nti tolina ngeri yonna gy’oyinza kutegeera bulungi ndowooza ya munno. Mu butuufu, abasajja n’abakazi balowooza era boogera mu ngeri ya njawulo. Waliwo n’ensi ezimu ng’abakazi n’abasajja boogera olulimi lwe lumu mu ngeri ez’enjawulo! Okugatta ku ekyo, abantu abava mu mawanga ag’enjawulo era aboogera ennimi ez’enjawulo batera okweyisa n’okulowooza mu ngeri ez’enjawulo. Kyokka, gy’okoma okumanya abalala, gy’okoma okutegeera engeri gye balowoozaamu.
2 N’olwekyo, tekisaanidde kutwewuunyisa nti endowooza yaffe ya njawulo nnyo ku ya Yakuwa. Okuyitira mu nnabbi we Isaaya, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n’amakubo gammwe si makubo gange.” Ng’akkaatiriza ensonga eno, Yakuwa yawa ekyokulabirako ng’agamba nti: “Kubanga eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.”—Is. 55:8, 9.
3. Bintu ki ebibiri ebinaatuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?
3 Naye kino kitegeeza nti tetusaanidde kufuba kutegeera ndowooza ya Yakuwa? Nedda. Wadde nga tetusobola kutegeerera ddala ndowooza ya Yakuwa, Baibuli etukubiriza okufuba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Engeri emu gye tuyinza okusemberera Yakuwa kwe kufumiitiriza ku bikolwa bye ebyogerwako mu Kigambo kye, Baibuli. (Zab. 28:5) Engeri endala kwe kufuba okutegeera “endowooza ya Kristo,” ‘ekifaananyi kya Katonda atalabika.’ (1 Kol. 2:16; Bak. 1:15) Bwe tufuba okwesomesa n’okufumiitiriza ku bintu ebiri mu Baibuli, kituyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa awamu n’engeri ze.
Omuze gwe Tusaanidde Okwewala
4, 5. (a) Muze ki gwe tusaanidde okwewala? Nnyonnyola. (b) Ndowooza ki enkyamu Abaisiraeri gye baafuna?
4 Bwe tuba tufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa, tusaanidde okwewala omuze ogw’okunenya Katonda nga tusinziira ku mitindo gy’abantu. Omuze ogwo gwogerwako mu Zabbuli 50:21, Yakuwa w’agambira nti: ‘Olowooza nti nnenkanankana naawe.’ N’omwekenneenya wa Baibuli omu omuze ogwo yagwogerako emyaka egisukka mu 175 emabega ng’agamba nti: “Abantu batera okunenya Katonda nga basinziira ku mitindo gyabwe, era balowooza nti alina okugoberera amateeka abantu ge bagoberera.”
5 Tusaanidde okwewala okutunuulira ebikolwa bya Yakuwa nga tusinziira ku mitindo gyaffe. Lwaki? Olw’okuba tetutuukiridde, bwe tuba tusoma Ebyawandiikibwa kyangu okulowooza nti engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga ezimu teyali ntuufu. Abaisiraeri ab’edda baafuna endowooza ng’eyo enkyamu ne batandika okulowooza nti engeri Yakuwa gye yali akolagana nabo teyali nnungi. Weetegereze ekyo Yakuwa kye yabagamba: “Mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Muwulire nno, ai ennyumba ya Isiraeri: Ekkubo lyange si lye lyenkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana?”—Ez. 18:25.
6. Kintu ki Yobu kye yategeera, era ekyokulabirako kye kituyigiriza ki?
6 Ekimu ku bintu ebinaatuyamba okwewala okunenya Yakuwa kwe kutegeera nti endowooza yaffe eriko ekkomo era nti oluusi eyinza okuba enkyamu. Kino Yobu yali yeetaaga okukitegeera. Bwe yali abonaabona, Yobu yafuna endowooza enkyamu era n’atandika okwerowoozaako yekka. Yalemererwa okulaba ebintu mu ngeri entuufu. Naye Yakuwa yamuyamba okulaba ebintu mu ngeri entuufu. Ng’abuuza Yobu ebibuuzo ebisukka mu 70, ebyamulema okuddamu, Yakuwa yalaga nti okutegeera kwa Yobu kwaliko ekkomo. Yobu yalaga obwetoowaze n’akyusa endowooza ye.—Soma Yobu 42:1-6.
Okufuna “Endowooza ya Kristo”
7. Lwaki okwekenneenya ebyo Yesu bye yakola kituyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa?
7 Yesu yakoppa ekyokulabirako kya Kitaawe mu bujjuvu mu byonna bye yayogera ne bye yakola. (Yok. 14:9) N’olwekyo, okwekenneenya ebyo Yesu bye yakola kituyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa. (Bar. 15:5; Baf. 2:5) Kati ka twetegerezeeyo ebyokulabirako bibiri ebiri mu bitabo by’Enjiri.
8, 9. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 6:1-5, kiki ekyaleetera Yesu okubuuza Firipo ekibuuzo, era lwaki yakibuuza?
8 Lowooza ku kino. Embaga y’Okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E. (Embala Eno) enneetera okutuuka. Abatume ba Yesu baakava okubuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya. Okuva bwe kiri nti bakooye nnyo, Yesu abatwala mu kifo ekyesudde ku lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Kyokka, enkumi n’enkumi z’abantu babagoberera. Oluvannyuma lwa Yesu okuwonya abantu bangi era n’okubayigiriza ebintu bingi, wajjawo obuzibu. Abantu bano bonna banaafuna batya eby’okulya mu kifo kino ekyesudde? Bw’alaba obwetaavu obwo, Yesu abuuza Firipo eyali enzaalwa y’omu kitundu ekyo nti: “Tunaagula wa emigaati abantu gye banaalya?”—Yok. 6:1-5.
9 Lwaki Yesu yabuuza Firipo ekibuuzo kino? Kyandiba nti Yesu yali tamanyi kya kukola? Nedda. Kati olwo yalina kigendererwa ki? Omutume Yokaana, eyaliwo ku olwo, agamba nti: “Kino [Yesu] yakyogera kumugezesa, kubanga yali amanyi kye yali anaatera okukola.” (Yok. 6:6) Wano Yesu yali agezesa abayigirizwa be okulaba wa okukkiriza kwabwe we kwali kutuuse. Mu kubabuuza ekibuuzo ekyo, yabaleetera okulowooza ku mbeera eyaliwo, era n’abawa akakisa okwoleka okukkiriza kwabwe. Kyokka baalemererwa okukozesa akakisa ako, ekyalaga nti endowooza yaabwe yaliko ekkomo. (Soma Yokaana 6:7-9.) Oluvannyuma Yesu yakola ekintu kye baali batasuubira. Mu ngeri ey’ekyamagero, yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu abo abaali abayala.—Yok. 6:10-13.
10-12. (a) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Yesu okusooka okugaana okukola ekyo omukazi kye yamusaba? Nnyonnyola. (b) Kiki kye tugenda okwetegereza?
10 Ekyokulabirako ekyo kituyamba okutegeera endowooza ya Yesu ne ku mulundi omulala. Bwe yamala okuliisa ekibiina kino ekinene, Yesu n’abatume be baatambula ne bava mu Isiraeri ne bagenda mu bitundu by’e Ttuulo n’e Sidoni. Nga bali eyo, baasanga omukazi Omuyonaani eyasaba Yesu okuwonya muwala we. Mu kusooka, Yesu teyakkiriza kukola ekyo omukazi kye yali amusaba. Naye bwe yamwegayirira, Yesu yamugamba nti: “Leka abaana bamale okukkuta, kubanga si kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.”—Mak. 7:24-27.
11 Lwaki Yesu yasooka kugaana kuyamba mukazi ono? Kyandiba nti Yesu yali agezesa kukkiriza kwa mukazi ono nga bwe yagezesa okwa Firipo? Wadde nga tekiragibwa mu byawandiikibwa ebyo, engeri Yesu gye yayogeramu n’omukazi ono eteekwa okuba nga teyamumalaamu maanyi. Okugeraageranya abantu b’eggwanga ly’omukazi oyo ku ‘bubwa obuto’ kyafuula ebigambo bye okuba eby’ekisa. Yesu ayinza okugeraageranyizibwa ku muzadde ayagala okuwa omwana we ekintu ky’amusaba naye n’asooka alindako alabe obanga ddala omwana oyo ky’asaba akyagala. Ka kibe ki ekyamuleetera okusooka okugaana okumuyamba, omukazi oyo bwe yayoleka okukkiriza, Yesu yamukolera kye yasaba.—Soma Makko 7:28-30.
12 Ebyokulabirako bino ebibiri bye tulabye mu bitabo by’Enjiri bituyamba okwongera okutegeera “endowooza ya Kristo.” Kati ka tulabe engeri ebyokulabirako ebyo gye biyinza okutuyamba okwongera okutegeera endowooza ya Yakuwa.
Engeri Yakuwa gye Yakolaganamu ne Musa
13. Okutegeera endowooza ya Yesu kituyamba kitya?
13 Okutegeera endowooza ya Yesu kituyamba okutegeera ebintu ebimu ebyogerwako mu Byawandiikibwa ebiyinza okuba ebizibu okutegeera. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo Yakuwa bye yagamba Musa ng’Abaisiraeri bakoze ennyana eya zaabu okugisinza. Katonda yagamba nti: ‘Abantu bano, be bantu abalina ensingo enkakanyavu: kale kaakano ndeka, obusungu bwange bwake nnyo ku bo, era mbazikirize: era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.’—Kuv. 32:9, 10.
14. Musa yakola ki oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo bya Yakuwa?
14 Ennyiriri eziddirira zigamba nti: “Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’ayogera nti Mukama, kiki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y’e Misiri n’amaanyi amangi n’omukono ogw’obuyinza? Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n’okubazikiriza okuva ku maaso g’ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, [kyusaamu] oleke obubi obwo eri abantu bo. Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayiririra wekka n’obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, n’ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna. Mukama [n’akyusaamu] n’aleka obubi bw’abadde ayogedde okubakola abantu be.”—Kuv. 32:11-14.a
15, 16. (a) Ebyo Yakuwa bye yayogera, Musa byamuwa kakisa ki? (b) Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yakyusaamu’?
15 Ddala Musa yali yeetaaga okutereeza endowooza ya Yakuwa? Nedda. Wadde nga Yakuwa yalaga ekyo kye yali ayinza okukola, teyagamba nti ekyo kye yali ayogedde kyali kya nkomeredde. Bwe kityo, Yakuwa yali ayagala kumanya ndowooza ya Musa, nga ne Yesu bwe yali ayagala okumanya endowooza ya Firipo n’ey’omukazi Omuyonaani. Musa yaweebwa akakisa okwoleka endowooza ye.b Yakuwa yali alonze Musa okubeera omutabaganya wakati we ne Isiraeri, era Yakuwa yali ayagala Musa atuukirize obuvunaanyizibwa obwo bwe yali amukwasizza. Musa yandikkirizza obusungu okumuleetera okukola ekikyamu? Yandikozesezza akakisa kano okukubiriza Yakuwa okwerabira Isiraeri afuule ye eggwanga eddene?
16 Ebyo Musa bye yayogera byalaga nti yali akkiriza nti Yakuwa mwenkanya. Era byalaga nti yali teyeerowoozaako yekka naye nti kye yali atwala ng’ekikulu lye linnya lya Yakuwa. Yali tayagala lireetebweko kivume. Bw’atyo Musa yakiraga nti yali ategeera “endowooza ya Yakuwa” ku nsonga eno. (1 Kol. 2:16) Biki ebyavaamu? Olw’okuba ekyo Yakuwa kye yali ayogedde tekyali kya nkomeredde, Ebyawandiikibwa bigamba nti ‘yakyusaamu.’ Mu Lwebbulaniya, ekigambo kino kisobola okutegeeza nti Yakuwa teyaleeta bubi bwe yali ayinza okuleeta ku ggwanga eryo.
Engeri Yakuwa gye Yakolaganamu ne Ibulayimu
17. Yakuwa yalaga atya obugumiikiriza obw’ekika ekya waggulu nga Ibulayimu aliko by’amugamba?
17 Ekyokulabirako ekirala ekiraga engeri Yakuwa gy’awaamu abaweereza be akakisa okwoleka okukkiriza kwabwe n’obwesige bwabwe kye ky’ebyo Ibulayimu bye yayogera ebikwata ku Sodomu. Ebyaliwo biraga nti Yakuwa yayoleka obugumiikiriza obw’ekika ekya waggulu ng’aleka Ibulayimu okumubuuza ebibuuzo munaana mulamba. Ibulayimu yatuuka n’okugamba nti: “Kitalo okole bw’otyo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, n’okwenkana abatuukirivu ne benkana n’ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w’ensi zonna talikola bya butuukirivu?”—Lub. 18:22-33.
18. Engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Ibulayimu etuyigiriza ki?
18 Ekyokulabirako ekyo kituyigiriza ki ku ndowooza ya Yakuwa? Yakuwa yali yeetaaga Ibulayimu amuyambe okusobola okusalawo obulungi? Nedda. Kya lwatu nti Yakuwa yali asobola okumulagirawo ensonga lwaki yali asazeewo bw’atyo. Naye mu kumuleka okubuuza ebibuuzo ebyo, Yakuwa yayamba Ibulayimu okutegeera ekyo kye yali asazeewo okukola era n’okutegeera endowooza ye. Era kino kyayamba Ibulayimu okutegeera nti Yakuwa alina okusaasira kungi era wa bwenkanya. Yee, Yakuwa yakolagana ne Ibulayimu nga mukwano gwe.—Is. 41:8; Yak. 2:23.
Bye Tuyigamu
19. Tuyinza tutya okukoppa Yobu?
19 Biki bye tuyize ku ‘ndowooza ya Yakuwa’? Twetaaga okukkiriza Ekigambo kya Katonda okutuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa. Tusaanidde okwewala okunenya Yakuwa nga tusinziira ku mitindo gyaffe n’endowooza yaffe. Yobu yagamba nti: “[Katonda] si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, ffe okulabagana okuwoza omusango.” (Yob. 9:32) Okufaananako Yobu, bwe tutandika okutegeera endowooza ya Yakuwa, tusobola okukkiriziganya n’ebigambo bino: “Laba, gano ge mabbali gokka ag’amakubo ge: n’akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw’obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?”—Yob. 26:14.
20. Tusaanidde kukola ki singa tubaako ebintu bye tusomye mu Byawandiikibwa naye ne bituzibuwalira okutegeera?
20 Tusaanidde kukola ki singa tubaako ebintu bye tusomye mu Byawandiikibwa naye ne bituzibuwalira okutegeera, naddala ebyo ebikwata ku ndowooza ya Yakuwa? Singa tulemererwa okutegeera ebintu ebyo wadde nga tufubye okubinoonyerezaako, ekyo twandibadde tukitwala ng’engeri emu obwesige bwaffe mu Yakuwa gye bugezesebwa. Kikulu okukijjukira nti ebintu ebimu bye tusomako mu Byawandiikibwa bituwa akakisa okwoleka okukkiriza kwaffe mu Yakuwa. Tusaanidde okukikkiriza nti tetumanyi byonna by’akola. (Mub. 11:5) Ekyo kijja kutuleetera okukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Pawulo bino: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nga tenoonyezeka, n’amakubo ge nga tegazuulika! ‘Ani yali ategedde Yakuwa by’alowooza, oba ani yali amuwadde amagezi?’ Oba, ‘Ani yali asoose okubaako ky’amuwa naye alyoke amuddize?’ Kubanga ebintu byonna biva gy’ali, biriwo ku bubwe era bibye. Aweebwe ekitiibwa emirembe gyonna. Amiina.”—Bar. 11:33-36.
[Obugambo obuli wansi]
a Embeera efaananako ng’eno eyogerwako mu Okubala 14:11-20.
b Okusinziira ku beekenneenya abamu, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ndeka” mu Okuva 32:10, kiyinza okuba nga kiraga nti Musa yali aweereddwa omukisa okuba omutabaganya wakati wa Yakuwa n’eggwanga lya Isiraeri. (Zab. 106:23; Ez. 22:30) Ka kibe kityo oba nedda, kya lwatu nti Musa kiteekwa okuba nga kyamwanguyira okuwa Yakuwa endowooza ye.
Ojjukira?
• Kiki ekinaatuyamba okwewala okunenya Yakuwa nga tusinziira ku mitindo gyaffe?
• Okwetegereza ebyo Yesu bye yakola kituyamba kitya okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?
• Biki bye tuyiga bwe twetegereza engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Musa ne Ibulayimu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Kiki kye tuyiga ku ndowooza ya Yakuwa bwe twetegereza engeri gye yakolaganamu ne Musa ne Ibulayimu?