Gondera Katonda Osobole Okuganyulwa mu Bisuubizo Bye
“[Katonda] yeerayirira yekka kubanga tewaaliwo n’omu amusinga bukulu gwe yandyerayiridde.”—BEB. 6:13.
1. Bwe kituuka ku kutuukiriza ebisuubizo, Yakuwa ayawukana atya ku bantu abatatuukiridde?
YAKUWA ye “Katonda ow’amazima.” (Zab. 31:5) Abantu abatatuukiridde batera okulimba, naye ye “Katonda tayinza kulimba.” (Beb. 6:18; soma Okubala 23:19.) Bulijjo Katonda atuukiriza byonna by’asuubiza. Ng’ekyokulabirako, ku buli ntandikwa ya buli lunaku olw’okutonda, Katonda alina ebintu bye yagamba nti yali agenda kutonda era n’abitonda. Ku nkomerero y’olunaku olw’omukaaga, ‘Katonda yalaba nga buli kye yali akoze kirungi nnyo.’—Lub. 1:6, 7, 30, 31.
2. Olunaku lwa Katonda olw’okuwummula kye ki, era lwaki ‘yalutukuza’?
2 Yakuwa Katonda bwe yamala okulaba ebintu byonna bye yali atonze nga birungi nnyo, yalangirira entandikwa y’olunaku olw’omusanvu. Olunaku olwo si lunaku lwa ssaawa 24, wabula kiseera kiwanvu, era nga mu kiseera ekyo Katonda awummudde emirimu gye egy’okutonda ebintu ku nsi. (Lub. 2:2) Olunaku lwa Katonda olw’okuwummula terunnaggwako. (Beb. 4:9, 10) Bayibuli tetubuulira kiseera kyennyini olunaku olwo we lwatandikira, naye ekiraga nti lwatandika emyaka nga 6,000 emabega, nga mukazi wa Adamu, Kaawa, amaze okutondebwa. Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bunaatera okutandika, era mu kiseera ekyo Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eky’okufuula ensi eno Olusuku lwe, abantu abatuukiridde bagibeeremu emirembe gyonna. (Lub. 1:27, 28; Kub. 20:6) Naawe osobola okuba omu ku abo abanaabaawo mu kiseera ekyo. Bayibuli egamba nti: “Katonda [y]awa omukisa olunaku olw’omusanvu n’alutukuza.” Ekyo kiraga nti, ka kibe ki ekyandibaddewo, olunaku olw’omusanvu lwandigenze okuggwako ng’ekigendererwa kya Katonda kimaze okutuukirira.—Lub. 2:3.
3. (a) Kiki ekyaliwo ng’olunaku lwa Katonda olw’okuwummula lwakatandika? (b) Yakuwa yalaga atya engeri gye yandiggyewo obujeemu?
3 Naye olunaku lwa Katonda olw’okuwummula bwe lwali lwakatandika, waliwo ekintu ekibi ennyo ekyaliwo. Sitaani yagezaako okuleetera abalala okumusinza mu kifo ky’okusinza Katonda. Yalimbalimba Kaawa n’amuleetera okujeemera Katonda. (1 Tim. 2:14) Oluvannyuma, Kaawa yaleetera omwami we naye okujeemera Katonda. (Lub. 3:1-6) Wadde nga Sitaani yagezaako okulabisa Katonda ng’omulimba, Yakuwa yakiraba nti kyali tekimwetaagisa kulayira okusobola okukakasa nti yali ajja kutuukiriza ekigendererwa kye. Mu kifo ky’ekyo, Katonda yalaga engeri gye yandiggyewo obujeemu obwo. Yagamba nti yali ajja kussa “obulabe” wakati wa Sitaani n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lya Sitaani n’ezzadde ly’omukazi. Ezzadde eryasuubizibwa lyali lya kubetenta “omutwe” gwa Sitaani, ne Sitaani yali wa kubetenta “ekisinziiro” ky’ezzadde ly’omukazi.—Lub. 3:15; Kub. 12:9.
OKULAYIRA KIRAGA NTI EKYOGEDDWA KITUUFU
4, 5. Kiki oluusi Ibulayimu kye yakolanga okusobola okukakasa ebyo bye yabanga ayogera?
4 Adamu ne Kaawa bwe baali tebannayonoona, kirabika kyabanga tekyetaagisa kulayira okusobola okukakasa nti ekyabanga kyogerwa kituufu. Ebitonde bya Katonda ebituukiridde, ebimwagala, era ebimukoppa, tebyetaaga kulayira kubanga bulijjo byogera mazima era byesigaŋŋana. Naye Adamu ne Kaawa bwe baayonoona ne bafuuka abatatuukiridde, abantu baatandika okulimba. Okuva olwo, kibaddenga kyetaagisa abantu okulayira okusobola okukakasa nti ebyo bye baba boogera bituufu.
5 Bayibuli eyogera ku mirundi esatu Ibulayimu lwe yalayira. (Lub. 21:22-24; 24:2-4, 9) Ng’ekyokulabirako, bwe yakomawo oluvannyuma lw’okuwangula kabaka w’e Eramu ne bakabaka abalala abaali bawagira kabaka oyo, kabaka w’e Ssaalemi n’ow’e Sodomu baagenda okumusisinkana. Merukizeddeeki kabaka w’e Ssaalemi era “kabona wa Katonda ali waggulu ennyo,” yasabira Ibulayimu omukisa era n’atendereza Katonda olw’okuyamba Ibulayimu okuwangula abalabe be. (Lub. 14:17-20) Kabaka w’e Sodomu bwe yayagala okuwa Ibulayimu ekirabo olw’okuba yali anunudde abantu be, Ibulayimu yayimusa omukono gwe n’alayira ng’agamba nti: “Nnyimusizza omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, n[n]annyini ggulu n’ensi, nga ndayira nti siritwala kagwa newakubadde akakoba k’engatto newakubadde akantu k’olina, oleme okwogera nti Mmugaggawazizza Ibulayimu.”—Lub. 14:21-23.
EKISUUBIZO YAKUWA KYE YAWA IBULAYIMU
6. (a) Kyakulabirako ki ekirungi Ibulayimu kye yatuteerawo? (b) Okuba nti Ibulayimu yagondera Yakuwa, kituganyula kitya?
6 Yakuwa Katonda naye abaddenga alayira okusobola okuyamba abantu abatatuukiridde okukkiririza mu ebyo by’aba asuubizza. Yakuwa alayira ng’akozesa ebigambo nga bino: “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda.” (Ez. 17:16) Bayibuli eyogera ku mirundi egisukka mu 40 Yakuwa Katonda lwe yalayira. Ng’ekyokulabirako, lumu Katonda yalayira ng’aliko ekintu ky’asuubiza Ibulayimu. Yakuwa yasuubiza Ibulayimu ebintu ebitali bimu. Ebisuubizo ebyo byayamba Ibulayimu okutegeera nti Ezzadde eryasuubizibwa lyali lijja kuva mu ye era nti lyali lijja kuyitira mu mutabani we Isaaka. (Lub. 12:1-3, 7; 13:14-17; 15:5, 18; 21:12) Lumu Yakuwa bwe yagezesa Ibulayimu n’amugamba okusaddaaka omwana we gwe yali ayagala ennyo, Ibulayimu yakkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba. Naye bwe yali anaatera okusaddaaka Isaaka, malayika wa Yakuwa yamugaana okumusaddaaka. Oluvannyuma Katonda yalayira n’agamba Ibulayimu nti: “Nneerayi[ri]dde nzekka . . . kubanga okoze bw’otyo, n’otonnyima mwana wo, omwana wo omu: okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n’okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango gw’abalabe baabwe; era mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.”—Lub. 22:1-3, 9-12, 15-18.
7, 8. (a) Lwaki Katonda yalayira bwe yali awa Ibulayimu ekisuubizo? (b) ‘Ab’endiga endala’ banaaganyulwa batya mu kisuubizo Katonda kye yawa Ibulayimu?
7 Lwaki Katonda yalayira bwe yali awa Ibulayimu ekisuubizo? Ekyo yakikola okusobola okuzzaamu amaanyi n’okunyweza okukkiriza kw’abalala abandibadde mu ‘zzadde’ eryasuubizibwa era abandifugidde awamu ne Kristo. (Soma Abebbulaniya 6:13-18; Bag. 3:29) Pawulo yagamba nti: “[Yakuwa] yakola ekirayiro, ne kiba nti okuyitira mu bintu ebibiri ebitakyuka [ekisuubizo kye n’ekirayiro kye] nga mu bino Katonda tayinza kulimba, . . . tusobola okuzzibwamu amaanyi ne tunywereza ddala essuubi erituweereddwa.”
8 Abakristaayo abaafukibwako amafuta si be bokka abaganyulwa mu kisuubizo Katonda kye yawa Ibulayimu. Yakuwa yagamba nti okuyitira mu “zzadde” lya Ibulayimu, ‘abantu ab’omu mawanga gonna ag’omu nsi bandiweereddwa omukisa.’ (Lub. 22:18) Mu abo abandiweereddwa omukisa mwe muli ‘n’ab’endiga endala,’ abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yok. 10:16) Ka kibe nti olina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, olina ‘okunyweza’ essuubi ly’olina nga weeyongera okugondera Katonda mu byonna by’okola.—Soma Abebbulaniya 6:11, 12.
EBISUUBIZO EBIRALA EBIKWATAGANA N’EKISUUBIZO KATONDA KYE YAWA IBULAYIMU
9. Bazzukulu ba Ibulayimu bwe baali bakyali mu buddu e Misiri, kiki Yakuwa kye yabasuubiza?
9 Nga wayise ebyasa by’emyaka, Yakuwa yaddamu okulayira nti yali agenda kutuukiriza ekisuubizo kye yawa Ibulayimu. Kino yakikola bwe yali atuma Musa okwogera eri bazzukulu ba Ibulayimu, abaali mu buddu e Misiri. (Kuv. 6:6-8) Oluvannyuma bwe yali ayogera ku ekyo ekyaliwo ku olwo, Katonda yagamba nti: “Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri . . . N[n]ayimusa omukono gwange eri bo okubaggya mu nsi y’e Misiri, okubayingiza mu nsi gye nnali mbakettedde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”—Ez. 20:5, 6.
10. Bwe yamala okununula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri, kiki Katonda kye yabasuubiza?
10 Bwe yamala okununula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri, Yakuwa alina ekintu ekirala kye yabasuubiza. Yabagamba nti: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.” (Kuv. 19:5, 6) Ng’Abaisiraeri baali bafunye enkizo ey’amaanyi! Singa Abaisiraeri baasigala nga beesigwa eri Yakuwa, mu Isiraeri Katonda mwe yandironze abantu abandifuuse obwakabaka bwa bakabona obwandireetedde abantu abalala bonna emikisa. Oluvannyuma, Yakuwa yakiraga nti mu kusuubiza Abaisiraeri okufuuka obwakabaka bwa bakabona yali akola kirayiro.—Ez. 16:8.
11. Kiki Abaisiraeri kye baakola nga Katonda asuubizza okubafuula abantu be?
11 Mu kiseera ekyo, Yakuwa teyasaba Baisiraeri kulayira nti baali ba kumugondera, era teyabawaliriza kukkiriza nkizo ey’ekitalo gye yali abawadde, ey’okufuuka abantu be. Naye bo bennyini be baasalawo okulayira nti: “Byonna bye yayogera Mukama tulibikola.” (Kuv. 19:8) Nga wayise ennaku ssatu, Yakuwa Katonda yategeeza Abaisiraeri ebyo bye yali abeetaagisa okukola ng’eggwanga lye eddonde. Yakuwa yasooka n’abawa Amateeka Ekkumi era oluvannyuma n’alagira Musa okubategeeza amateeka amalala ge tusomako mu Okuva 20:22 okutuuka ku Okuva 23:33. Kiki Abaisiraeri kye baakola nga bawulidde amateeka ago? Bayibuli egamba nti: “Abantu bonna ne baddamu n’eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by’ayogedde tulibikola.” (Kuv. 24:3) Oluvannyuma Musa yawandiika amateeka ago mu ‘kitabo eky’endagaano’ era n’agasoma mu ddoboozi ery’omwanguka, abantu bonna basobole okuddamu okugawulira. Bwe baddamu okuwulira amateeka ago, Abaisiraeri baalayira omulundi ogw’okusatu nti: “Byonna Mukama by’ayogedde tulibikola, era tuliwulira.”—Kuv. 24:4, 7, 8.
12. Oluvannyuma lw’okukola endagaano n’abantu be, kiki Yakuwa kye yakola, ate kiki bo Abaisiraeri kye baakola?
12 Yakuwa yatandikirawo okukola ebintu bye yali asuubizza Abaisiraeri mu ndagaano y’Amateeka. Yalonda bakabona abaali ab’okuweereza ku weema entukuvu era abaali bajja okuyamba abantu aboonoonyi okuba n’enkolagana ennungi naye. Kyokka bo Abaisiraeri tebaakola nga bwe baali basuubizza, era ‘baanyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.’ (Zab. 78:41) Ng’ekyokulabirako, Musa bwe yali agenze ku Lusozi Sinaayi Yakuwa abeeko by’amugamba, Abaisiraeri baalemererwa okwoleka obugumiikiriza era baalekera awo okwesiga Yakuwa nga balowooza nti Musa yali abaabulidde. Baasalawo okukola ekifaananyi ky’ennyana ekya zzaabu, ne bagamba nti: “Isiraeri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi y’e Misiri.” (Kuv. 32:1, 4, NW) Oluvannyuma baatandika okuwaayo ssaddaaka eri ekifaananyi ekyo era n’okukivunnamira, kyokka nga bagamba nti baali basinza Yakuwa. Yakuwa bwe yalaba nga batandise okukisinza, yagamba Musa nti: “Bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira.” (Kuv. 32:5, 6, 8) Mu myaka egyaddirira, emirundi mingi Abaisiraeri baasuubiza Katonda ebintu ebitali bimu naye ne batabituukiriza.—Kubal. 30:2.
EBISUUBIZO EBIRALA BIBIRI
13. Kiki Katonda kye yasuubiza Kabaka Dawudi, era tumanya tutya nti ekisuubizo ekyo kyali kikwata ku Zzadde eryasuubizibwa?
13 Kabaka Dawudi bwe yali afuga Isiraeri, Yakuwa alina ebintu ebirala bibiri bye yasuubiza ebyali bijja okuganyula abo bonna abamugondera. Ekisooka, Yakuwa yalayirira Dawudi nti entebe ye ey’obwakabaka yali ya kubaawo emirembe gyonna. (Zab. 89:35, 36; 132:11, 12) Ezzadde eryasuubizibwa lyali lya kuba omu ku bazzukulu ba Dawudi era lyandiyitiddwa “Omwana wa Dawudi.” (Mat. 1:1; 21:9) Dawudi Ezzadde eryasuubizibwa yaliyita “Mukama we” olw’okuba Kristo yali ajja kuba mu kifo kya waggulu okumusinga.—Mat. 22:42-44.
14. Kiki Yakuwa kye yasuubiza ekikwata ku Zzadde eryasuubizibwa, era tuganyulwa tutya mu kisuubizo ekyo?
14 Eky’okubiri, Yakuwa yategeeza Dawudi nti Ezzadde eryasuubizibwa lyandibadde Kabaka era nti lyandiweerezza nga Kabona Asinga Obukulu. Mu Isiraeri omuntu yali tasobola kuba kabaka ate n’aba kabona. Bakabona baavanga mu kika kya Leevi, ate bo bakabaka baavanga mu kika kya Yuda. Naye Dawudi bwe yali ayogera ku Kabaka eyali agenda okujja, yagamba nti: “[Yakuwa] agamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo. Mukama yalayira, so talyejjusa, nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.” (Zab. 110:1, 4) Nga bwe kyalagulwa, Yesu Kristo, Ezzadde eryasuubizibwa, kati afuga nga Kabaka mu ggulu. Ate era aweereza nga Kabona Asinga Obukulu ng’ayamba abantu abawulize okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.—Soma Abebbulaniya 7:21, 25, 26.
ISIRAERI WA KATONDA
15, 16. (a) Isiraeri ki ow’emirundi ebiri ayogerwako mu Bayibuli, era Isiraeri ki alina omukisa gwa Katonda? (b) Kiragiro ki Yesu kye yawa abagoberezi be ku nsonga y’okulayira?
15 Olw’okuba eggwanga lya Isiraeri lyagaana okukkiriza Yesu Kristo, lyafiirwa enkizo Yakuwa gye yali aliwadde ey’okufuuka “obwakabaka bwa bakabona.” Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya nti: “Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Mat. 21:43) Eggwanga eriggya Yesu lye yayogerako lyatandikawo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., omwoyo gwa Katonda bwe gwafukibwa ku bayigirizwa ba Yesu nga 120 abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi. Abayigirizwa abo baafuuka “eggwanga” eriggya, “Isiraeri wa Katonda.” Mu kiseera kitono, abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abantu okuva mu mawanga amalala, beegatta ku Isiraeri wa Katonda.—Bag. 6:16.
16 Obutafaananako ggwanga lya Isiraeri, eggwanga lya Katonda eriggya lyeyongedde okubala ebibala ebirungi nga ligondera Katonda. Ekimu ku biragiro ab’eggwanga eryo kye bagondera ky’ekyo ekikwata ku kulayira. Yesu bwe yali ku nsi, abantu baalayiranga naye ne batatuukiriza ekyo kye baabanga balayidde okukola, era baalayiranga ku bintu ebitali bikulu. (Mat. 23:16-22) Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Temulayiranga n’akatono . . . Naye ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga Nedda; ekisingako awo kiva eri omubi.”—Mat. 5:34, 37.
Bulijjo Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye
17. Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
17 Kati olwo ekyo kitegeeza nti tetulina kulayira? Kitegeeza ki ekigambo kyaffe Yee okuba Yee? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako. Nga bwe tweyongera okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda, ka tube bamalirivu okugondera Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa emirembe n’emirembe, nga bwe yasuubiza era nga bwe yalayira.