ESSUULA 3
‘Nnalaba Okwolesebwa Kwa Katonda’
OMULAMWA: Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku ggaali ery’omu ggulu
1-3. (a) Biki Ezeekyeri bye yalaba ne bye yawulira? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki Yakuwa kye yakozesa okusobozesa Ezeekyeri okufuna okwolesebwa, era okwolesebwa okwo kwamukwatako kutya?
EZEEKYERI alina ky’alengera ewala. Azibirizaamu katono amaaso ate oluvannyuma n’agakanulira ddala. Ekyo ky’alaba kimwewuunyisa nnyo. Alengera embuyaga ey’amaanyi ng’eva emitala. Naye embuyaga eyo si ya bulijjo. Ebuyaga eyo evudde ebukiikakkono ekunta nnyo era efuuwa enviiri ze n’engoye ze, era alengera ekire ekinene ennyo. Mu kire ekyo alabamu omuliro ogumyansa, era omuliro ogwo gumulabikira ng’ekyuma eky’omuwendo ekisaanuusiddwa.a Ekire bwe kigenda kimusemberera, Ezeekyeri awulira okuwuuma okw’amaanyi era okugenda kweyongera. Awulira omusinde ogulinga ogw’eggye eddene.—Ezk. 1:4, 24.
2 Mu kiseera kino Ezeekyeri alina emyaka nga 30, era atandise okwolesebwa ebintu by’atagenda kwerabira. Awulira “omukono gwa Yakuwa” nga gumuliko, kwe kugamba, amaanyi g’omwoyo omutukuvu. Ebintu omwoyo ogwo bye gugenda okumuleetera okulaba n’okuwulira biwuniikiriza nnyo okusinga ebyo ebibeera mu firimu ezikolebwa abantu ennaku zino. Okwolesebwa Ezeekyeri kw’afuna kumuleetera okuvunnama wansi, kubanga by’alaba bimusukkirirako.—Ezk. 1:3, 28.
3 Kyokka Yakuwa tayagala bwagazi kuwuniikiriza Ezeekyeri. Okufaananako okwolesebwa okulala kwonna okuli mu kitabo kya Ezeekyeri, okwolesebwa okusooka Ezeekyeri kw’afuna nakwo kulimu eby’okuyiga bingi eri Ezeekyeri n’eri abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abaliwo leero. Kati ka twetegereze ebintu Ezeekyeri by’alaba ne by’awulira.
Embeera
4, 5. Mbeera ki eyaliwo Ezeekyeri we yafunira okwolesebwa?
4 Soma Ezeekyeri 1:1-3. Kati ka tusooke tulowooze ku mbeera eyaliwo mu kiseera ekyo. Omwaka gwali gwa 613 E.E.T. Nga bwe twalaba mu ssuula eyayita, Ezeekyeri yali mu Babulooni, ng’ali wamu ne banne abalala bwe baali mu buwaŋŋanguse, nga babeera kumpi n’omugga Kebali. Kirabika omugga ogwo abantu be baagukola nga guva ku mugga Fulaati ate ne guddamu ne gugwegattako mu kitundu ekirala.
5 Ezeekyeri ne banne abo baali baggiddwa Yerusaalemi ekyali mayiro nga 500 okuva awo we baali.b Yeekaalu, taata wa Ezeekyeri gye yali yaweerereza nga kabona, kati yali ekolerwamu ebintu ebibi ennyo era nga basinzizaamu n’ebifaananyi. Entebe y’obwakabaka mu Yerusaalemi, Dawudi ne Sulemaani kwe baali bafugidde mu kitiibwa kati yali eweereddemu ddala ekitiibwa. Kabaka Yekoyakini ataali mwesigwa eri Yakuwa yali wamu n’Abayudaaya mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Ate Kabaka Zeddeekiya, eyamuddira mu bigere, yali afugira wansi wa kabaka wa Babulooni, era yali mubi.—2 Bassek. 24:8-12, 17, 19.
6, 7. Lwaki ekiseera Ezeekyeri kye yalimu kiyinza okuba nga kye kyasingayo okuba ekizibu mu bulamu bwe?
6 Okuva bwe kiri nti Ezeekyeri yali ayagala nnyo Yakuwa, ekiseera ekyo kiyinza okuba nga kye kyasingayo okuba ekizibu mu bulamu bwe. Abamu ku banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse bayinza okuba nga baali beebuuza nti: ‘Yakuwa yatweralibirira ddala? Obufuzi bwa Babulooni buno obubi obulimu abantu abasinza bakatonda ab’obulimba bunaasaanyizaawo ddala okusinza okulongoofu era ne buggyawo obufuzi bwa Yakuwa ku nsi?’
7 Ng’olina ebintu ebyo mu birowoozo, lwaki teweekenneenya ebikwata ku nsonga ezo ng’osoma ku kwolesebwa okusooka Ezeekyeri kwe yafuna? (Ezk. 1:4-28) Ng’osoma ku kwolesebwa okwo, weeteeke mu bigere bya Ezeekyeri obe ng’alaba ebyo bye yalaba era obe ng’awulira ebyo bye yawulira.
Eggaali ery’Enjawulo Ennyo
8. Kiki Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa, era kikiikirira ki?
8 Okutwalira awamu, kiki Ezeekyeri kye yalaba? Yalaba eggaali eddene eriwuniikiriza. Eggaali eryo lyaliko nnamuziga ennene ennyo era okumpi na buli emu ku nnamuziga ezo waaliwo ekiramu ekyakula mu ngeri eyeewuunyisa. Ebiramu ebyo baali bakerubi. (Ezk. 10:1) Waggulu w’ebiramu ebyo waaliwo ekintu ekigazi nga kiringa bbalaafu era waggulu w’ekintu ekyo waaliyo entebe ya Katonda ey’ekitiibwa nga Yakuwa agituddeko! Naye eggaali eryo likiikirira ki? Eggaali eryo liteekwa okuba nga likiikirira ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Lwaki tugamba tutyo? Ka tulabeyo ensonga ssatu.
9. Ebyo ebyogerwa ku ggaali biraga bitya obuyinza Yakuwa bw’alina ku bitonde bye eby’omu ggulu?
9 Obuyinza Yakuwa bw’alina ku bitonde bye eby’omu ggulu. Weetegereze nti mu kwolesebwa kuno entebe ya Yakuwa eri waggulu wa bakerubi. Mu bitundu ebirala mu Bayibuli, Yakuwa era ayogerwako ng’atudde waggulu oba wakati wa bakerubi. (Soma 2 Bassekabaka 19:15; Kuv. 25:22; Zab. 80:1) Kyokka ekyo tekitegeeza nti Yakuwa atuulira ddala waggulu wa bakerubi. Yakuwa teyeetaaga kusitulibwa bitonde ebyo eby’omwoyo eby’amaanyi, ng’era bw’ateetaaga kutambulira ku ggaali. Naye bakerubi bawagira obufuzi bwe era asobola okubatuma awantu wonna mu butonde bwe okukola by’ayagala. Okufaananako bamalayika ba Katonda abalala bonna abatukuvu, bakerubi baweereza Yakuwa oba bakola ng’ababaka be. (Zab. 104:4) Mu ngeri eyo, Yakuwa alinga atudde waggulu waabwe, ng’abalagira eky’okukola ng’omufuzi waabwe, nga balinga eggaali limu eddene ennyo.
10. Kiki ekiraga nti eggaali ery’omu ggulu teririimu bakerubi bana bokka?
10 Eggaali eryo terikiikirira bakerubi bokka. Bakerubi Ezeekyeri be yalaba mu kwolesebwa bali bana. Mu Bayibuli omuwendo ogwo gutera okukozesebwa okukiikirira obujjuvu bw’ekintu, kwe kugamba, okulaga nti tewali kisigaddeyo. N’olwekyo okuba nti Ezeekyeri alaba bakerubi bana kiraga nti ebitonde bya Yakuwa byonna eby’omwoyo ebyesigwa bikiikiriddwa. Ate era weetegereze nti bakerubi bokka si be bajjudde amaaso wabula ne nnamuziga nazo zijjudde amaaso. Kino kiraga nti bakerubi bana bokka si be boogerwako, wabula ebitonde byonna eby’omwoyo ebiri mu ggulu, era nti byonna biri bulindaala. Ate era eggaali Ezeekyeri ly’alaba ddene nnyo ne kiba nti bakerubi abo balabika ng’abatono ennyo bw’obageraageranya nalyo. (Ezk. 1:18, 22; 10:12) Mu ngeri y’emu, ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kinene nnyo; tekiriimu bakerubi bana bokka.
11. Kwolesebwa ki okufaananako okwa Ezeekyeri Danyeri kwe yafuna, era kutuyamba kumanya ki?
11 Ne Danyeri yafuna okwolesebwa okukwata ku ebyo ebiri mu ggulu. Nnabbi Danyeri yamala emyaka mingi ng’ali mu buwaŋŋanguse e Babulooni era naye yafuna okwolesebwa okukwata ku ebyo ebiri mu ggulu. Mu ebyo bye yayolesebwa, Danyeri naye yalaba entebe ya Yakuwa ng’eriko nnamuziga. Mu kwolesebwa okwo, kyeyoleka kaati nti ebitonde bya Yakuwa ebiri mu ggulu bingi nnyo. Danyeri yalaba “bamalayika lukumi emirundi lukumi . . . era bamalayika mutwalo emirundi mutwalo” nga bayimiridde mu maaso ga Yakuwa. Buli omu ku bo yali ali mu kifo kye, nga Kkooti y’omu ggulu etudde. (Dan. 7:9, 10, 13-18) N’olwekyo tetuba bakyamu kugamba nti eggaali Ezeekyeri lye yalaba mu kwolesebwa likiikirira ebitonde ebyo byonna eby’omwoyo.
12. Lwaki kya bukuumi gye tuli okusoma ku bintu, gamba ng’okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku ggaali ery’omu ggulu?
12 Yakuwa akimanyi nti kya bukuumi eri ffe abantu okulowoozanga ku bintu eby’omwoyo, kwe kugamba, ku bintu “ebitalabika,” ng’omutume Pawulo bwe yabiyita. Lwaki? Olw’okuba tuli ba mubiri na musaayi, tutera okussa ennyo ebirowoozo byaffe ku “bintu ebirabika,” eby’akaseera obuseera. (Soma 2 Abakkolinso 4:18.) Ekyo Sitaani akimanyi era afuba okutuleetera okuba nga buli kiseera tulowooza ku bintu bya mubiri. Okusobola okutuyamba okuziyiza Sitaani, Yakuwa yawandiisa mu Kigambo kye ebintu ebitali bimu, gamba ng’okwolesebwa Ezekyeri kwe yafuna, okutuyamba okukijjukiranga nti ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kinene nnyo era kya kitiibwa.
“Nnamuziga Ezeetooloola!”
13, 14. (a) Ezeekyeri yayogera ki ku nnamuziga ze yalaba? (b) Lwaki kituukirawo okuba nti eggaali lya Yakuwa liriko nnamuziga?
13 Okusooka Ezeekyeri essira alissa ku bakerubi abana, era mu Ssuula 4 ey’ekitabo kino tujja kulaba biki bye tuyiga ku Yakuwa okuva ku bakerubi abo n’endabika yaabwe. Kyokka okumpi ne bakerubi abo, Ezeekyeri yalaba nnamuziga nnya nga zeesudde amabanga agenkanankana. (Soma Ezeekyeri 1:16-18.) Zaali zirabika “ng’ejjinja lya kirisoliti,” ejjinja eritangaala erya langi eya kyenvu oba eya kacungwa. Nnamuziga ezo zaali zaakayakana.
14 Mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri essira lissibwa nnyo ku nnamuziga z’eggaali. Ekyewuunyisa mu kwolesebwa okwo ye ntebe y’obwakabaka eriko nnamuziga. Entebe z’obwakabaka abantu ze batuulako ziba mu kifo kimu, era ekyo tekyewuunyisa kubanga obuyinza bwabwe bukoma mu bitundu bye bafuga. Naye obufuzi bwa Yakuwa busukkulumye ku bufuzi bw’abantu. Nga Ezeekyeri bwe yakiraba, obuyinza Yakuwa bw’alina ng’Omufuzi ow’oku ntiko tebuliiko kkomo. (Nek. 9:6) Obuyinza bwe butuuka buli wamu.
15. Kiki Ezeekyeri kye yalaba ku ndabika ya nnamuziga n’obunene bwazo?
15 Ezeekyeri yawuniikirira nnyo olw’obunene bwa nnamuziga. Yagamba nti: “Empanka za nnamuziga ennya zaali ngulumivu, era nga ziwuniikiriza.” Kuba akafaananyi ng’olaba Ezeekyeri ng’asulise ku mutwe ng’agezaako okwekkaanya empanka za nnamuziga ezaali engulumivu ennyo nga zituukira ddala mu bire. Ezeekyeri era yagamba nti: “Empanka za nnamuziga ennya . . . zaali zijjudde amaaso enjuyi zonna.” Kyokka ekiyinza okuba nga kye kyasinga okumwewuunyisa ye ngeri nnamuziga ezo gye zaali zifaananamu. Yagamba nti: “Buli nnamuziga yali erabika ng’erimu nnamuziga endala wakati waayo.” Ekyo kyali kitegeeza ki?
16, 17. (a) Mu ngeri ki buli emu ku nnamuziga gye yalimu nnamuziga wakati waayo? (b) Nnamuziga ziraga ki ku ngeri eggaali gye litambulamu?
16 Buli emu ku nnamuziga Ezeekyeri ze yalaba zaali nnamuziga bbiri bbiri, nga nnamuziga emu ekiikiddwa mu ginnaayo. Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki nnamuziga ezo zaali zisobola okutambula nga Ezeekyeri bwe yagamba. Yagamba nti: “Bwe zaatambulanga, zaali zisobola okugenda ku buli luuyi ku njuyi zonna ennya nga tezisoose kukyuka.” Nnamuziga ezo zituyigiriza ki ku ggaali ery’omu ggulu Ezeekyeri lye yalaba?
17 Nnamuziga ennene bwe zityo zitambula ebbanga ddene mu lwetooloola lumu lwokka. Mu butuufu, okwolesebwa kuno kulaga nti eggaali eryo litambulira ku sipiidi ya kimyanso! (Ezk. 1:14) Bayinginiya bandyagadde okukola emipiira egifaananako bwe gityo naye tebasobola. Eggaali eryo lisobola okukyusa oluuyi gye libadde ligenda ne lidda ku luuyi olulala nga terikendeezezza sipiidi oba okusooka okuweta! Kyokka terimala gatambula. Amaaso agajjudde ku mpanka za nnamuziga galaga nti eggaali eryo liraba ebintu byonna ebiryetoolodde ku buli luuyi.
18. Kiki kye tuyigira ku bunene bwa nnamuziga ne ku maaso amangi agaziriko?
18 Kiki Yakuwa kye yali ayagala Ezeekyeri n’abaweereza be abalala bonna abeesigwa bayige ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye? Lowooza ku ebyo bye twakalaba. Nnamuziga okuba nga zaakaayakana era nga nnene nnyo kituyamba okukiraba nti ekitundu ekyo eky’omu ggulu kya kitiibwa era kiwuniikiriza. Okuba nti nnamuziga zijjudde amaaso kiraga nti ekitundu ekyo eky’omu ggulu kiraba buli kintu. Amaaso ga Yakuwa galaba ebintu byonna. (Nge. 15:3; Yer. 23:24) Ate era Yakuwa alina obukadde n’obukadde bwa bamalayika b’asobola okutuma wonna w’aba ayagadde mu butonde, era basobola okulaba kyonna ekigenda mu maaso ne bamutegeeza.—Soma Abebbulaniya 1:13, 14.
19. Okuba nti eggaali lya Yakuwa lidduka ku sipiidi n’okuba nti lisobola okugenda ku buli luuyi kituyigiriza ki ku Yakuwa ne ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye?
19 Ate era eggaali lya Yakuwa liddukira ku sipiidi ya waggulu era lisobola okugenda ku buli luuyi awatali buzibu bwonna. Lowooza ku njawulo ey’amaanyi eriwo wakati w’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa ne gavumenti z’abantu awamu n’ebibiina by’abantu! Gavumenti n’ebibiina by’abantu bitera okukola ebintu mu ngeri etali ya magezi era tebiba byetegefu kutuukana na mbeera ezikyuka, ekyo ne kivaamu ebizibu eby’amaanyi. Naye eggaali lya Yakuwa liraga nti Yakuwa Katonda alivuga si mukakanyavu, era atuukana n’embeera ebaawo. Ng’amakulu g’erinnya lye bwe gali, asobola okufuuka kyonna ekiba kyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. (Kuv. 3:13, 14) Ng’ekyokulabirako, mu bwangu ddala, Yakuwa asobola okufuuka Omulwanyi nnamige alwanirira abantu be. Ate era, mu bwangu, asobola okufuuka Omusaasizi n’asonyiwa ebibi by’omuntu eyeenenyezza mu bwesimbu.—Zab. 30:5; Is. 66:13.
20. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku ggaali lya Yakuwa?
20 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kuyinza okutuleetera okwebuuza, ‘Nange eggaali lya Yakuwa limpuniikiriza?’ Tusaanidde okukijjukira nti eggaali eryo likiikirira ekintu ekiriwo kati. Tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa, Omwana we, ne bamalayika tebalaba bizibu bye twolekagana nabyo. Ate era tetusaanidde kutya nti Katonda tajja kwanguwa kutuyamba oba nti ekibiina kye kijja kulemererwa okutuukana n’embeera z’ensi eno ezikyukakyuka. Tusaanidde okukijjukira nti ekibiina kya Yakuwa kitambula era kigenda mu maaso. Mu butuufu, Ezeekyeri yawulira eddoboozi okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Nnamuziga ezeetooloola!” Kino kiyinza okuba nga kyali kiragiro ekiragira nnamuziga okutambula. (Ezk. 10:13) Mazima ddala kituwuniikiriza nnyo okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’addukanyaamu ekibiina kye! Naye Yakuwa y’asinga okutuwuniikiriza.
Oyo Avuga Eggaali
21, 22. Kiki ekisobozesa ebitundu by’eggaali ery’omu ggulu okusigala mu bifo byabyo?
21 Oluvannyuma Ezeekyeri yaggya amaaso ge ku nnamuziga n’atunula waggulu waazo n’alaba “ekintu ekyali kitangalijja nga bbalaafu awuniikiriza.” (Ezk. 1:22) Ekintu ekyo kyali waggulu w’emitwe gya bakerubi nga kitangalijja. Omuntu amanyi engeri ebidduka gye bikolamu ayinza okwebuuza ebibuuzo bingi ebikwata ku ggaali eryo. Ng’ekyokulabirako, ayinza okwebuuza nti: ‘Kiki ekiwaniridde ekintu ekyo waggulu wa nnamuziga? Nnamuziga zisobola zitya okutambula nga tezirina kiziyunga ku zinnaazo?’ Kijjukire nti eggaali lino terifugibwa mateeka gafuga bintu ebirabwako kubanga lya kabonero, era likiikirira ebintu ebiri mu ggulu. Lowooza ne ku bigambo bino: “Omwoyo ogwali gukolera ku biramu ebina era gwe gwali ne mu nnamuziga.” (Ezk. 1:20, 21) Mwoyo ki ogwali gukolera ku bakerubi abo ne mu nnamuziga?
22 Tewali kubuusabuusa nti gwali mwoyo gwa Yakuwa, amaanyi agasingayo mu butonde bwonna. Amaanyi ago ge gasobozesa ebitundu by’eggaali eryo okusigala mu bifo byabyo, ge galiwa amaanyi, era ge galisobozesa okutambula obulungi. Nga tulina ekyo mu birowoozo, kati ka twetegereze ebyo Ezeekyeri bye yayogera ku Oyo avuga eggaali eryo.
Kaabula kata Ezeekyeri abulwe ebigambo okunnyonnyola ebintu bye yalaba
23. Bigambo ki Ezeekyeri by’akozesa ng’agezaako okunnyonnyola endabika ya Yakuwa, era lwaki akozesa ebigambo ebyo?
23 Soma Ezeekyeri 1:26-28. Ezeekyeri bw’aba ayogera ku ebyo bye yalaba mu kwolesebwa, akozesa ebigambo, gamba nga, “afaanana nga,” “kifaanana nga.” Naye mu nnyiriri zino, ebigambo ng’ebyo abikozesa emirundi mingi. Yali ng’abuliddwa ebigambo by’asobola okukozesa okunnyonnyola obulungi ebintu ebitali byangu kunnyonnyola bye yali alaba mu kwolesebwa. Yalaba “ekyali kifaanana ng’ejjinja lya safiro, era kyali kifaanana ng’entebe y’obwakabaka.” Kuba akafaananyi ng’olaba entebe y’obwakabaka eyakolebwa mu jjinja lya safiro eddene ennyo erya langi eya bbulu, era nga ku ntebe eyo kuliko atuddeko! Eyali agituddeko yali “afaanana ng’omuntu.”
24, 25. (a) Musoke eyeetoolodde entebe ya Yakuwa ey’obwakabaka atujjukiza ki? (b) Okwolesebwa ng’okwo kwakwata kutya ku baweereza ba Katonda ab’edda?
24 Oyo eyali atudde ku ntebe eyo yali Yakuwa. Ekitiibwa kye kyali kingi nnyo nga Ezeekyeri tasobola kumulaba bulungi, kubanga Yakuwa yali avaako ekitangaala ekyakaayakana okuva mu kiwato okukka wansi n’okuva mu kiwato okudda waggulu. Ezeekyeri ayinza n’okuba nga yazibirizaamu katono ku maaso era n’agasiikiriza n’engalo ze ng’agezaako okutunuulira ow’ekitiibwa oyo eyali atudde ku ntebe. Ate era Ezeekyeri alina n’ekintu ekirala ekiwuniikiriza kye yalaba. Yagamba nti oyo gwe yalaba “yali yeetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi ekyali kifaanana nga musoke aba ku kire ku lunaku olw’enkuba.” Wali otunuuliddeko musoke n’owulira ng’okwatiddwako nnyo? Musoke atuyamba okukijjukira nti Omutonzi waffe wa kitiibwa nnyo! Ate era atujjukiza endagaano ey’emirembe Yakuwa gye yakola oluvannyuma lw’Amataba. (Lub. 9:11-16) Wadde nga Yakuwa alina amaanyi mangi, Katonda wa mirembe. (Beb. 13:20) Emirembe gijjudde mu mutima gwe era gisaasaanira abo bonna abamuweereza n’obwesigwa.
25 Ezeekyeri yakwatibwako atya oluvannyuma lw’okulaba ekitiibwa kya Yakuwa Katonda? Yagamba nti: “Bwe nnakiraba, ne nvunnama wansi.” Ezeekyeri yawuniikirira nnyo n’atya era n’avunnama wansi. Ne bannabbi abalala beeyisa mu ngeri efaananako bw’etyo oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa okuva eri Yakuwa. Okulaba ekitiibwa kya Yakuwa kyaleetera bannabbi abo okuwuniikirira n’okukiraba nti ba wansi nnyo ku Yakuwa. (Is. 6:1-5; Dan. 10:8, 9; Kub. 1:12-17) Kyokka ebyo Yakuwa bye yalaga abasajja abo byeyongera okubazzaamu amaanyi. Ne Ezeekyeri yazzibwamu nnyo amaanyi. Ffe twandikwatiddwako tutya bwe tusoma ku bintu ng’ebyo ebiri mu Bayibuli?
26. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwamuzzaamu kutya amaanyi?
26 Bwe kiba nti Ezeekyeri yalimu okubuusabuusa kwonna obanga Katonda yali afaayo ku bantu be abaali mu Babulooni, okwolesebwa okwo kwamuzzaamu nnyo amaanyi. Kyeyoleka bulungi nti Katonda yali afaayo ku bantu be yonna gye baali, ka babe nga baali mu Yerusaalemi, mu Babulooni, oba awalala wonna. Yonna gye baali, eggaali lya Yakuwa ery’ekitalo lyali lisobola okubatuukako! Sitaani talina ky’asobola kukola kiyinza kulemesa Katonda addukanya ekibiina ekinene bwe kityo kutuukiriza ky’ayagala. (Soma Zabbuli 118:6.) Ate era Ezeekyeri yakiraba nti eggaali eryo ery’omu ggulu lyali teryesudde bantu. Ekyo kiri kityo kubanga nnamuziga zaalyo zaali zituukira ddala ku nsi! (Ezk. 1:19) N’olwekyo, yakiraba nti Yakuwa yali afaayo ku baweereza be abeesigwa abaali mu buwaŋŋanguse, era yali tasobola kubaabulira.
Engeri Eggaali Eryo Gye Likukwatako
27. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kutuyigiriza ki?
27 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kulina kye kutuyigiriza? Yee! Kijjukire nti buli lukya Sitaani ayongera amaanyi mu bulumbaganyi bw’akola ku kusinza okulongoofu. Ayagala okutuleetera okulowooza nti tuli ffekka; nti Yakuwa n’ekibiina kye batwesudde. Tokkirizanga bulimba obwo! (Zab. 139:7-12) Okufaananako Ezeekyeri, naffe tukwatibwako nnyo bwe tulowooza ku kwolesebwa kwe yafuna. Tuyinza obutavunnama nga ye bwe yakola. Naye bwe tulowooza ku maanyi g’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, ku sipiidi gye kiriko, ku kitiibwa kyakyo, ne ku kuba nti kituukana na buli mbeera, tekituwuniikiriza?
28, 29. Kiki ekiraga nti eggaali lya Yakuwa libadde litambula mu myaka ekikumi egiyise?
28 Ate era tusaanidde okukijjukira nti ekibiina kya Yakuwa kirina n’ekitundu eky’oku nsi. Kyo kituufu nti ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kirimu bantu abatatuukiridde. Naye lowooza ku bintu Yakuwa by’akoze wano ku nsi! Okwetooloola ensi Yakuwa ayambye abantu obuntu okukola ebintu bye batandisobodde kukola mu maanyi gaabwe. (Yok. 14:12) Ekitabo God’s Kingdom Rules! kitulaga engeri ey’ekitalo omulimu gw’okubuulira gye gukoleddwamu mu myaka ekikumi egiyise. Ate era lowooza ku ebyo ekibiina kya Yakuwa bye kituuseeko mu kuyigiriza Abakristaayo ab’amazima, mu kulwanirira amawulire amalungi mu mateeka, ne mu kukozesa tekinologiya ali ku mulembe okukola Katonda by’ayagala!
29 Bwe tulowooza ku ebyo byonna ebikoleddwa mu kuzzaawo okusinza okulongoofu mu nnaku zino ez’enkomerero, kyeyoleka kaati nti eggaali lya Yakuwa libadde litambula. Nga tulina enkizo ya maanyi okuweereza Omufuzi w’Obutonde Bwonna nga tukolera wamu n’ekibiina ekyo!—Zab. 84:10.
30. Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?
30 Waliwo n’ebintu ebirala bye tuyiga mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. Mu ssuula eddako, tujja kwekenneenya ebikwata ku “biramu” ebina oba bakerubi. Ebyo bye tusoma ku biramu ebyo bituyigiriza ki ku Mufuzi waffe ow’ekitiibwa, Yakuwa Katonda?
a Ekyuma ekimasamasa Ezeekyeri ky’ayogerako kikolebwa mu ffeeza ne zzaabu.
b Obwo bwe buwanvu bw’olugendo olwo ng’otambudde butereevu, naye olugendo abo abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse lwe bayinza okuba nga baatambula lukubisaamu olwo emirundi ng’ebiri.