-
“Nja Kubawa Omutima Oguli Obumu”Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
-
-
36, 37. Bisuubizo ki ebijja okutuukirizibwa mu lusuku lwa Katonda?
36 Oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni, Yesu n’ensi yennyini kwe tuli ajja kugizza buggya. Mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, ajja kuwa abantu obulagirizi basobole okulongoosa ensi ebeerere ddala nga Yakuwa bwe yali ayagala ebeere, ng’efaananira ddala ng’olusuku Edeni! (Luk. 23:43) Mu kiseera ekyo, abantu bonna bajja kuba bumu era nga balabirira bulungi ensi. Tewajja kubaawo kintu kyonna kibatiisa oba kibatuusaako kabi. Lowooza ku kiseera ekisuubizo kino lwe kirituukirira: “Nja kukola nazo endagaano ey’emirembe, era ensi nja kugimalamu ensolo enkambwe, endiga zange zisobolenga okubeera mu ddungu nga tewali kye zitya era zeebake mu bibira.”—Ezk. 34:25.
37 Kirowoozeeko! Mu nsi empya, ojja kuba osobola okugenda mu kitundu kyonna eky’ensi nga tolina kintu kyonna ky’otya. Tewali nsolo ejja kukutuusaako bulabe. Tewajja kubaawo kintu kyonna kikumalako mirembe. Ojja kuba osobola okutambula wekka mu kibira ekinene, ng’onyumirwa okulaba obulungi bwakyo, era ng’osobola okwebakayo era n’ozuukuka nga totuusiddwako kabi konna!
-