Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezeekyeri—II
OMWEZI gwa Ddesemba 609 B.C.E. Kabaka wa Babulooni atandise okuzingiza Yerusaalemi omulundi ogusembayo. Obubaka bwa Ezeekyeri eri Abaisiraeri abali mu buwaŋŋanguse bubadde bukyetooloolera ku kuzikirizibwa kw’ekibuga Yerusaalemi kye baali baagala ennyo. Naye kati, Ezeekyeri ayogera ku kinaatuuka ku mawanga g’abakaafiiri agandisanyuse ng’abantu ba Katonda babonerezeddwa. Yerusaalemi bwe kigwa nga wayise emyezi 18, Ezeekyeri akyusa nate n’ayogera ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima.
Ezeekyeri 25:1–48:35 mulimu obunnabbi obukwata ku mawanga ageetoolodde Isiraeri ne ku kununulibwa kw’abantu ba Katonda.a Ng’oggyeko Ezeekyeri 29:17-20, omuli obunnabbi obukwata ku Misiri, ebiri mu ssuula zino byasengekebwa nga bwe byajja biddiriŋŋana. Olw’okuba Ezeekyeri kye kimu ku bitabo ebyaluŋŋamizibwa, kirimu obubaka ‘obulamu era obw’amaanyi.’—Abaebbulaniya 4:12.
‘ENSI EYO YA KUFUUKA NG’OLUSUKU ADENI’
Yakuwa agamba Ezeekyeri okulangirira obunnabbi obw’omusango eri Amoni, Mowaabu, Edomu, Firisutiya, Tuulo, ne Sidoni, olw’engeri amawanga ago gye gandituttemu okugwa kwa Yerusaalemi. Misiri ejja kunyagibwa. ‘Falaawo Kabaka wa Misiri n’olufulube lwe’ boogerwako ng’omuvule ogujja okutemebwa ‘n’ekitala kya Kabaka wa Babulooni.’—Ezeekyeri 31:2, 3, 12; 32:11, 12.
Emyezi nga mukaaga nga Yerusaalemi kimaze okuzikirizibwa mu 607 B.C.E., omu ku baawonawo ajja n’abuulira Ezeekyeri nti: “Ekibuga kikubiddwa!” Nnabbi ‘takyali kasiru nate’ eri abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse. (Ezeekyeri 33:21, 22) Alangirira obunnabbi obukwata ku kuddayo ku butaka. Yakuwa ‘ajja kubateerawo omusumba omu, omuddu we Dawudi.’ (Ezeekyeri 34:23) Edomu ejja kulekebwa matongo, naye ensi ya Yuda ya kufuuka “ng’olusuku Adeni.” (Ezeekyeri 36:35) Yakuwa asuubiza nti ajja kukuuma abantu be bwe baliba balumbiddwa “Googi” nga bazzeeyo ku butaka.—Ezeekyeri 38:2.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
29:8-12—Misiri yalekebwa ddi amatongo okumala emyaka 40? Yerusaalemi bwe kyamala okuzikirizibwa mu 607 B.C.E., ensigalira ya Yuda baddukira e Misiri wadde nga Yeremiya yali abalabudde obutagendayo. (Yeremiya 24:1, 8-10; 42:7-22) Kino tekyabayamba kubanga Nebukadduneeza yalumba Misiri era n’agiwamba. Kyandiba nti emyaka 40 Misiri gye yamala ng’eri matongo gyaddirira okuwambibwa okwo. Wadde nga mu byafaayo tewali kiraga nti Misiri yaliko amatongo, tuli bakakafu nti kino kyaliwo kubanga Yakuwa atuukiriza obunnabbi bwe.—Isaaya 55:11.
29:18—Mu ngeri ki ‘buli mutwe gye gwajjako ekiwalaata, na buli kibegaabega gye kyabambuka’? Okuzingiza kw’ekibuga Tuulo kwali kwa maanyi nnyo ne kiba nti emitwe gy’abaserikale ba Nebukadduneeza gyamera ebiwalaata olw’enkufiira okubakulukuunya emitwe n’ebibegabega ne bibabambuka olw’okwettika eby’okuzimbisa ebigo.—Ezeekyeri 26:7-12.
Bye Tuyigamu:
29:19, 20. Olw’okuba abantu b’omu Tuulo baddukira mu kibuga kyabwe eky’oku kizinga n’eby’obugagga bingi, Kabaka Nebukadduneeza yafuna omunyago mutono mu Tuulo. Wadde nga Nebukadduneeza yali mufuzi mukaafiiri era nga wa malala, Yakuwa yamusasula ng’amuwa Misiri okuba “empeera ey’eggye lye,” olw’omulimu gwe yakola. Tetwandikoppye Katonda ow’amazima nga tusasula emisolo olw’emirimu gavumenti gy’etukolera? Kino tulina okukikola ne bwe kiba nti abo abali mu buyinza bakozesa bubi ssente z’omusolo era nga tebeeyisa bulungi.—Abaruumi 13:4-7.
33:7-9. Ab’ekibiina ky’omukuumi ow’omu kiseera kino—ensigalira y’abaafukibwako amafuta—ne bannaabwe tebalina kulekayo kubuulira mawulire malungi ag’Obwakabaka na kulabula bantu ku ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekinaatera okujja.—Matayo 24:21.
33:10-20, NW. Okulokolebwa kwaffe kwesigamye ku kwewala amakubo amabi n’okukola ebyo Katonda by’atwetaagisa. Mu butuufu, amakubo ga Yakuwa ga “bwenkanya.”
36:20, 21. Abaisiraeri baavumisa erinnya lya Katonda mu mawanga olw’obutakola kyali kibasuubirwamu ‘ng’abantu ba Yakuwa.’ Tetusaanidde kukoma ku kuyitibwa buyitibwa Bajulirwa ba Yakuwa.
36:25, 37, 38, NW. Olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo lwe tweyagaliramu leero lujjuddemu “ekisibo ky’abantu abatukuvu.” N’olwekyo, tusaanidde okufuba okulukuuma nga luyonjo.
38:1-23. Nga kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa ajja kununula abantu be nga Googi ow’e Magoogi abalumbye! Googi lye linnya eryaweebwa “omufuzi w’ensi eno,” Setaani Omulyolyomi ng’amaze okusuulibwa okuva mu ggulu. Ensi y’e Magoogi lye bbanga eryetoolodde ensi, Setaani ne badayimooni gye babeera.—Yokaana 12:31; Okubikkulirwa 12:7-12.
‘TEEKA OMUTIMA GWO KU BYONNA BYE NKULAGA’
Kati emyaka giri 14 bukya Yerusaalemi kizikirizibwa. (Ezeekyeri 40:1) Abayudaaya bakyali mu buwaŋŋanguse okumala emyaka emirala ataano mu mukaaga. (Yeremiya 29:10) Ezeekyeri kati ali kumpi kuweza myaka 50. Mu kwolesebwa, atwalibwa mu nsi ya Isiraeri. Agambibwa nti: “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go, owulire n’amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga.” (Ezeekyeri 40:2-4) Nga Ezeekyeri ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okufuna okwolesebwa okukwata ku yeekaalu empya!
Yeekaalu ey’ekitiibwa Ezeekyeri gy’alaba erina emiryango 6, ebisenge omuliirwa 30, Awatukuvu, Awasinga Obutukuvu, ekyoto eky’embaawo, n’ekyoto ky’ebiweebwayo ebyokebwa. Amazzi “gava” mu yeekaalu ne gakulukuta era ne gafuuka omugga. (Ezeekyeri 47:1) Mu kwolesebwa, Ezeekyeri era alaba ebika nga buli kimu kiweebwa ekitundu ky’ettaka—nga buli kitundu ekigabibwa kiva ebuvanjuba ne kituuka ebugwanjuba, nga waliwo n’ekitundu ekifugirwamu wakati w’ettaka lya Yuda n’erya Benyamini. Mu kitundu kino mwe muli “Awatukuvu wa Yakuwa” ‘n’ekibuga’ ekiyitibwa Yakuwa-Sama.—Ezeekyeri 48:9, 10, 15, 35, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
40:3–47:12—Yeekaalu eri mu kwolesebwa ekiikirira ki? Yeekaalu eno ennene ennyo Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa teyazimbibwa. Yali ekiikirira yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo—enteekateeka ey’okusinza okulongoofu mu kiseera kyaffe. (Ezeekyeri 40:2; Mikka 4:1; Abaebbulaniya 8:2; 9:23, 24) Okwolesebwa kwa yeekaalu kuno kutuukirizibwa mu “nnaku ez’oluvannyuma” ng’obwakabona bulongoosebwa. (2 Timoseewo 3:1; Ezeekyeri 44:10-16; Malaki 3:1-3) Kyokka kujja kutuukirizibwa mu bujjuvu mu Lusuku lwa Katonda. Yeekaalu y’omu kwolesebwa yawa Abayudaaya essuubi nti okusinza okulongoofu kwandiziddwawo era nti buli maka ga Muyudaaya gandifunye obusika mu nsi eyo.
40:3–43:17—Okupima yeekaalu kulina makulu ki? Okupima yeekaalu kiraga nti ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuzzaawo okusinza okulongoofu kirina okutuukirira.
43:2-4, 7, 9—“Emirambo gya bakabaka baabwe” egyalina okuggyibwa mu yeekaalu gye giruwa? Kirabika emirambo egyogerwako bye bifaananyi. Abafuzi ba Yerusaalemi n’abantu b’omu kibuga ekyo baali batadde ebifaananyi mu yeekaalu ya Katonda ne bagyonoona—mu kukola batyo baabifuula bakabaka baabwe.
43:13-20—Ekyoto Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa kikiikirira ki? Ekyoto kino eky’akabonero kikiikirira ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku kinunulo kya Yesu Kristo. Olw’ekinunulo kino, abaafukibwako amafuta baweebwa obutuukirivu ‘n’ab’ekibiina ekinene’ babeera n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda. (Okubikkulirwa 7:9-14; Abaruumi 5:1, 2) Oboolyawo eno ye nsonga lwaki “ennyanja” eyali mu yeekaalu ya Sulemaani—ekifo bakabona we baanaabiranga—mu yeekaalu eno eyayolesebwa teriimu.—1 Bassekabaka 7:23-26.
44:10-16—Ekibiina kya bakabona kikiikirira ani? Kikiikirira ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kiseera kyaffe. Baalongoosebwa mu 1918 Yakuwa bwe yatuula “ng’oyo alongoosa effeeza” mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. (Malaki 3:1-5) Abo abaali abalongoofu oba abaali beenenyezza baali basobola okweyongera mu maaso n’obuweereza bwabwe. Oluvannyuma lw’ekyo, baali balina okufuba okwekuuma “obutaba na mabala g’omu nsi,” basobole okuba ekyokulabirako eri “ekibiina ekinene,” abakiikirirwa ebika by’abo abataali ba kika kya bakabona.—Yakobo 1:27; Okubikkulirwa 7:9, 10.
45:1; 47:13–48:29—“Ensi” n’okugigabanyamu bikiikirira ki? Ensi ekiikirira ebyo byonna abantu ba Katonda bye bakola nga bamuweereza. Omuweereza wa Yakuwa w’abeera wonna, aba ali mu nsi eno ezziddwawo kasita aba nga by’akola bituukana n’okusinza okulongoofu. Obunnabbi bw’okugabanyamu ensi eno bujja kutuukirizibwa mu bujjuvu mu nsi empya nga buli muntu omwesigwa afuna aw’okubeera.—Isaaya 65:17, 21.
45:7, 16—Abantu okubaako kye bawaayo eri bakabona n’eri omulangira bitegeeza ki? Mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, kino okusinga kitegeeza obuwagizi obw’eby’omwoyo—okuyamba n’okukolagana obulungi n’abo abatwala obukulembeze mu kibiina.
47:1-5—Amazzi g’omugga oguli mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri gakiikirira ki? Amazzi gakiikirira enteekateeka za Yakuwa ez’eby’omwoyo ez’okutuwa obulamu, nga mwe muli ssaddaaka ya Kristo Yesu n’amazima agakwata ku Katonda agasangibwa mu Baibuli. (Yeremiya 2:13; Yokaana 4:7-26; Abaefeso 5:25-27) Mpolampola omugga gugenda gugaziwa okusobola okuganyula abapya bonna abajja mu kusinza okw’amazima. (Isaaya 60:22) Omugga gujja kujjula amazzi ag’obulamu mu kiseera eky’Emyaka Olukumi, era amazzi gaagwo gajja kuzingiramu okutegeera ebinaaba mu “mizingo” egijja okubikkulibwa.—Okubikkulirwa 20:12; 22:1, 2.
47:12—Emiti egiriko ebibala gikiikirira ki? Emiti gino egy’akabonero gikiikirira enteekateeka Katonda z’akoze okuwa abantu obulamu obutuukiridde.
48:15-19, 30-35, NW, obugambo obwa wansi—Ekibuga eky’omu kwolesebwa kwa Ezeekyeri kikiikirira ki? Ekibuga “Yakuwa-Sama” kiri mu kitundu ‘ekitali kitukuvu,’ ekiraga nti kikiikirira ekintu eky’oku nsi. Ekibuga ekyo kirabika kikiikirira enteekateeka y’oku nsi eganyula abo abanaabeera mu ‘nsi empya’ ey’obutuukirivu. (2 Peetero 3:13) Okuba nti kiriko emiryango ku buli ludda kiraga nti kyangu okuyingiramu. Abalabirizi b’abantu ba Katonda balina okuba nga bangu okutuukirira.
Bye Tuyigamu:
40:14, 16, 22, 26. Ebifaananyi eby’emiti gy’ebinazi ebiri ku bisenge awali emiryango gya yeekaalu biraga nti abo bokka abatambulira mu makubo amagolokofu be bakkirizibwa okuyingira. (Zabbuli 92:12) Kino kituyigiriza nti Yakuwa bw’aba ow’okukkiriza okusinza kwaffe tuteekwa okuba ab’empisa ennungi.
44:23. Nga tusiima nnyo ebyo ab’ekibiina kya bakabona mu kiseera kyaffe bye batukolera! ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekisaanira n’etuyamba okwawula ekirongoofu n’ekitali kirongoofu mu maaso ga Yakuwa.—Matayo 24:45.
47:9, 11. Okumanya—ekitundu ekikulu eky’amazzi ag’akabonero—kuwonyezza bangi mu kiseera kyaffe. Buli muntu afuna okumanya kuno afuuka mulamu mu by’omwoyo. (Yokaana 17:3) Ku luuyi olulala, abo bonna abatakkiriza mazzi agawa obulamu bajja ‘kuweebwayo eri omunnyo’—bajja kuzikirizibwa emirembe gyonna. Nga kikulu ‘okufuba okukozesa obulungi ekigambo kya Katonda’!—2 Timoseewo 2:15.
“Nditukuza Erinnya Lyange Ekkulu”
Oluvannyuma lwa kabaka eyasembayo ow’omu lulyo lwa Dawudi okuggibwa ku ntebe, Katonda ow’amazima yaleka ekiseera kiwanvu ne kuyitawo nga ‘nnannyini’ bwakabaka tannajja. Kyokka, Katonda teyeerabira ndagaano gye yakola ne Dawudi. (Ezeekyeri 21:27; 2 Samwiri 7:11-16) Obunnabbi bwa Ezeekyeri bwogera ku ‘muddu wange Dawudi,’ eyandifuuse “omusumba” era “kabaka.” (Ezeekyeri 34:23, 24; 37:22, 24, 25) Ono ye Yesu Kristo ng’afuga mu Bwakabaka. (Okubikkulirwa 11:15) Yakuwa ajja ‘kutukuza erinnya lye ekkulu’ ng’ayitira mu Bwakabaka bwa Masiya.—Ezeekyeri 36:23.
Mangu ddala, abo bonna aboonoona erinnya lya Katonda ettukuvu bajja kuzikirizibwa. Naye abo abatukuza erinnya eryo mu bulamu bwabwe nga basinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. Ka tukozese mu bujjuvu amazzi g’obulamu agakulukuta mu bungi mu kiseera kyaffe era tutwale okusinza okw’amazima ng’ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebikwata ku Ezeekyeri 1:1–24:27, laba “Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezeekyeri—I,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2007.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Omugga gw’obulamu oguli mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri gukiikirira ki?
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Yeekaalu ey’ekitiibwa ey’omu kwolesebwa kwa Ezeekyeri