Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Danyeri
EKITABO ekiyitibwa Holman Illustrated Bible Dictionary kigamba nti: “Ekitabo kya Danyeri kye kimu ku bitabo by’omu Baibuli ebisinga okunyuma. Ekitabo kirimu amazima ag’olubeerera.” Ekitabo kya Danyeri kitandika n’ebyo ebyaliwo mu 618 B.C.E. nga Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni azze e Yerusaalemi okuzingiza ekibuga era n’atwala abamu “ku baana ba Isiraeri” mu buwambe e Babulooni. (Danyeri 1:1-3) Mu bo mwe muli Danyeri, alabika ng’ali mu myaka gye egy’obutiini. Ekitabo kiggwako nga Danyeri akyali mu Babulooni. Nga kati Danyeri aweza kumpi emyaka nga 100, Katonda amusuubiza nti: “Oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.”—Danyeri 12:13.
Ebiri mu kitundu ekisooka eky’ekitabo kya Danyeri omuwandiisi abisengeka nga bwe byajja bibaawo, nga talaga nti naye mwali, naye mu kitundu ekisembayo yeeyogerako butereevu. Ekitabo kino kyawandiikibwa Danyeri, era kirimu obunnabbi obukwata ku ngeri ensi zikirimaanyi gye zajjanga mu buyinza n’engeri gye zaagwanga, ekiseera ky’okujja kwa Masiya, n’ebintu ebirina okubaawo mu kiseera kyaffe.a Nnabbi ono akaddiye ayogera ku bibaddewo mu bulamu bwe era atubuulira ebintu by’ayiseemu ebituyamba okweyongera okutya Katonda n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Obubaka obuli mu kitabo kya Danyeri bulamu era bwa maanyi.—Abaebbulaniya 4:12.
TUYIGA KI MU EBYO EBYASENGEKEBWA NGA BWE BYAJJA BIBAAWO?
Omwaka gwa 617 B.C.E. Danyeri ne banne basatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, bali mu lubiri lw’e Babulooni. Emyaka esatu gye bamala nga batendekebwa okuweereza mu lubiri lw’e Babulooni, abavubuka bano bakuuma obwesigwa bwabwe eri Katonda. Nga wayise emyaka nga munaana, Kabaka Nebukadduneeza afuna ekirooto ky’atategeera. Danyeri amubuulira ekirooto ekyo awamu n’amakulu gaakyo. Kabaka akkiriza nti Yakuwa ye “Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka era ye mubikkuzi w’ebyama.” (Danyeri 2:47) Kyokka, mu bbanga ttono, Nebukadduneeza alabika nga yeerabidde bye yayiga mu kirooto. Banne ba Danyeri abasatu bwe bagaana okusinza ekifaananyi ekinene, kabaka alagira ne basuulibwa mu nkoomi y’omuliro. Katonda ow’amazima abanunula bonsatule era Nebukadduneeza awalirizibwa okukkiriza nti, “tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”—Danyeri 3:29.
Nebukadduneeza afuna ekirooto ekirala eky’amakulu. Alaba omuti omunene, gutemebwa era ne gusibibwako ekikomo ekigugaana okuloka. Danyeri abuulira kabaka ekirooto ekyo era n’amunnyonnyola amakulu gaakyo. Ekirooto mu kusooka kituukirizibwa nga Nebukadduneeza agwa eddalu era oluvannyuma n’awona. Nga wayise emyaka egiwerako, Kabaka Berusazza akolera abakungu be embaga ennene era alaga obunyoomi ng’akozesa ebintu ebyaggibwa mu yeekaalu ya Yakuwa. Mu kiro ekyo kyennyini, Berusazza attibwa era Daliyo Omumeedi afuuka kabaka. (Danyeri 5:30, 31) Mu nnaku za Daliyo, nga Danyeri asussa mu myaka 90, abakungu bamukolera olukwe olw’okumutta. Naye Yakuwa ‘amuwonya eri amaanyi g’empologoma.’—Danyeri 6:27.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:11-15—Okwewala ennyama ne balya ebintu ebirala kye kyayamba abavubuka bano ab’omu Yuda okulabika obulungi? Si bwe kiri. Tewali bya kulya biyinza kunyiriza muntu kutuuka awo mu nnaku kkumi zokka. Yakuwa ye yawa abavubuka bano Abebbulaniya omukisa ne basobola okulabika obulungi bwe batyo olw’okuba baamwesiga.—Engero 10:22.
2:1—Nebukadduneeza yaloota ddi ekirooto ekikwata ku ekifaananyi ekinene? Ebyawandiikibwa bigamba nti kino kyaliwo mu “mu mwaka ogw’okubiri mu mirembe gya Nebukadduneeza.” Nebukadduneeza yafuuka kabaka wa Babulooni mu 624 B.C.E. N’olwekyo omwaka gwe ogw’okubiri ng’afuga gwanditandise mu 623 B.C.E.—ng’ekyabula emyaka egiwerako alumbe Yuda. Mu kiseera ekyo Danyeri si we yataputira ekirooto kubanga yali tannatwalibwa Babulooni. Kirabika “omwaka ogw’oku biri” gubalibwa okuva mu 607 B.C.E., Kabaka wa Babulooni bwe yazikiriza Yerusaalemi era n’afuuka omufuzi w’ensi yonna.
2:32, 39—Mu ngeri ki obwakabaka obwa ffeeza gye bwali obwa wansi ku bw’omutwe ogwa zzaabu, n’obwakabaka obw’ekikomo gye bwali obwa wansi ku bwa ffeeza? Obwakabaka bw’Abameedi n’Abaperusi, obwali bukiikirirwa ekitundu ky’ekibumbe ekya ffeeza, bwali bwa wansi ku bwa Babulooni, omutwe ogwa zzaabu, olw’okuba si bwe bwawamba Yuda. Obwakabaka kirimaanyi obwaddako yali Buyonaani, obwali bukiikirirwa ekikomo. Buyonaani yali ya wansi ku bwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi, ng’ekikomo bwe kiri ekya wansi ku ffeeza. Wadde ng’obwakabaka bwa Buyonaani bwali buneneko, tebwafuna nkizo ya kuta bantu ba Katonda okuva mu buwaŋŋanguse nga bwe kyali ku bwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi.
4:8, 9, NW—Danyeri yafuuka musawo omusamize? Nedda. Ebigambo “omukulu w’abasawo abasamize” biraga bulazi nti Danyeri ye yali “omwami omukulu ow’abagezigezi bonna ab’e Babulooni.”—Danyeri 2:48.
4:10, 11, 20-22—Omuti omunene ogw’omu kirooto kya Nebukadduneeza gwali gukiikirira ki? Omuti okusooka gwakiikirira Nebukadduneeza ng’omufuzi w’ensi kirimaanyi. Kyokka, olw’okuba obufuzi bwali butuukira ddala “ku nkomerero y’ensi zonna,” omuti gulina okuba nga gukiikirira ekintu ekisingirako ddala awo obukulu. Danyeri 4:17 wakwataganya ekirooto kino n’obufuzi bwa “Oyo Ali waggulu ennyo” afuga abantu. Bwe kityo, omuti gwali gukiikirira n’obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna, naddala bwe kituuka ku kufuga ensi. N’olwekyo, ekirooto kituukirizibwa emirundi ebiri—ku bufuzi bwa Nebukadduneeza ne ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna.
4:16, 23, 25, 32, 33—“Ebiseera omusanvu” byali byenkana wa? Enkyukakyuka zonna ezaaliwo mu bulamu bwa Kabaka Nebukadduneeza ziraga nti “ebiseera omusanvu” byalina okuba nga biwanvu okusinga ennaku omusanvu eza bulijjo. Ku Nebukadduneeza ebiseera bino byalimu emyaka musanvu nga buli gumu gulimu ennaku 360, oba ennaku 2,520. Mu kutuukirizibwa okusingawo obukulu, “ebiseera omusanvu” bibeera emyaka 2,520. (Ezeekyeri 4:6, 7) Emyaka gino gibalibwa okuva mu 607 B.C.E., nga Yerusaalemi kizikiriziddwa okutuuka mu 1914 C.E. nga Yesu atuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu.—Lukka 21:24.
6:6-10—Okuva bwe kiri nti tewaliwo kifo kya nkalakkalira omuntu w’alina kusabira Yakuwa, tekyandibadde kya magezi Danyeri okusaba mu nkukutu okumala ebbanga lya nnaku 30? Kyali kimanyiddwa buli omu nti Danyeri asaba emirundi esatu buli lunaku. Eno ye nsonga lwaki abaali mu lukwe baasala amagezi wateekebwewo etteeka erigaana omuntu yenna okusaba. Singa Danyeri yakyusa mu ngeri gye yasabangamu bulijjo abalala bandikitutte nti yekkiriranyizza era nti tasinzizza Yakuwa yekka.
Bye Tuyigamu:
1:3-8. Obumalirivu bwa Danyeri ne banne okusigala nga beesigwa eri Yakuwa bulaga nti bazadde baabwe babatendeka bulungi nnyo. Abazadde abatya Katonda bwe bakulembeza eby’omwoyo mu bulamu bwabwe era ne bayigiriza abaana baabwe okukola kye kimu, abaana baabwe tebajja kutwalirizibwa kukemebwa n’okupikirizibwa bye boolekagana nabyo nga bali ku ssomero oba awalala wonna.
1:10-12. Danyeri yategeera ensonga lwaki “omukulu w’abalaawe” yali atya kabaka era teyayongera kumwegayirira. Kyokka, Danyeri oluvannyuma yatuukirira “omusigire,” alabika nga yali mwetegefu okukkiriza. Bwe tuba mu mbeera efaananako eyo tusaanidde okukozesa amagezi.
2:29, 30. Okufaananako Danyeri, naffe tusaanidde okukiraga nti Yakuwa y’atuwa okumanya, n’obusozi bye tufuna okuyitira mu nteekateeka ze ez’eby’omwoyo.
3:16-18. Tekyandibadde kyangu eri Abaebbulaniya abasatu okuddamu bwe batyo n’obuvumu singa emabegako baali bekkiriranyizza ku bikwata ku by’okulya. Naffe tusaanidde okufuba okuba “abeesigwa mu byonna.”—1 Timoseewo 3:11.
4:24-27, NW. Okulangirira obubaka bw’Obwakabaka, obuzingiramu emisango gya Katonda, kyetaagisa okuba n’okukkiriza n’obuvumu nga Danyeri bye yalaga ng’abuulira Nebukadduneeza ebyali bigenda okumutuukako ne kye yalina okukola okusobola ‘okweyongera okuba obulungi.’
5:30, 31. ‘Olugero olwagerebwa ku kabaka w’e Babulooni’ lwatuukirira. (Isaaya 14:3, 4, 12-15) Ne Setaani Omulyolyomi, alina amalala ng’ag’abafuzi ba Babulooni, enkomerero bw’ejja okuba.—Danyeri 4:30; 5:2-4, 23.
DANYERI BYE YAYOLESEBWA BITEGEEZA KI?
Danyeri afuna okwolesebwa okw’omu kirooto okusooka mu 553 B.C.E., ng’atemera mu gy’obukulu 70. Danyeri alaba ebisolo bina ebinene ebiraga engeri obufuzi gye bwandigenze buddiriŋŋana okuva mu kiseera kye okutuuka mu kino kye tulimu. Ng’ayolesebwa ebiri mu ggulu, alaba ‘omu afaanana ng’omwana w’omuntu’ ng’aweebwa ‘obwakabaka obutalizikirizibwa.’ (Danyeri 7:13, 14) Nga wayise emyaka ebiri, Danyeri afuna okwolesebwa okukwata ku Bumeedi ne Buperusi, Buyonaani, ne ku “kabaka ow’amaaso amakambwe.”—Danyeri 8:23.
Omwaka kati gwa 539 B.C.E. Babulooni kigudde, era Daliyo Omumeedi afuuse kabaka w’obwakabaka bw’Abakaludaaya. Danyeri asaba Yakuwa abazzeeyo mu nsi yaabwe. Ng’akyasaba, Yakuwa amutumira malayika Gabulyeri ‘okumugeziwaza mu kutegeera’ ebikwata ku kujja kwa Masiya. (Danyeri 9:20-25) Emyaka giyita ne gituuka mu 536/535 B.C.E. Abaisiraeri abatonotono bakomyewo e Yerusaalemi. Naye omulimu gw’okuzimba yeekaalu guziyizibwa. Kino Danyeri kimuleetera okweraliikirira. Asaba Yakuwa, era Yakuwa asindika malayika ow’eddaala erya waggulu eri Danyeri. Bw’amala okuzzaamu Danyeri amaanyi, malayika amubuulira obunnabbi obukwata ku kanyoolagano ak’eby’obufuzi akajja okuba wakati wa kabaka ow’ebukiika kkono n’ow’ebukiika ddyo. Akanyoolagano wakati wa bakabaka bano ababiri katandika mu kiseera ng’obwakabaka bwa Alekizanda Omukulu bugabanyizibwamu abagabe be bana ne katuuka mu kiseera Omulangira Omukulu, Mikayiri, ‘lw’aliyimirira.’—Danyeri 12:1.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
8:9—“Ensi ey’ekitiibwa” ekiikirira ki? “Ensi ey’ekitiibwa” eyogerwako wano ekiikirira embeera y’oku nsi ey’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kiseera ky’Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amereka.
8:25—“Omulangira w’abalangira” y’ani? Ekigambo ky’Olwebbulaniya sar, ekivvuunulwa “omulangira,” kitegeeza “omukulu,” oba “omutwe.” Ekitiibwa “Omulangira w’abalangira” kikozesebwa ku Yakuwa Katonda yekka—Omukulu wa bamalayika bonna abalangira, nga mwe muli ne “Mikayiri, omu ku balangira abakulu.”—Danyeri 10:13.
9:21—Lwaki Danyeri ayita malayika Gabulyeri “omusajja”? Amuyita bw’atyo kubanga Gabulyeri yajja mu kifaananyi kya muntu, nga bwe yali ng’alabikira Danyeri mu kwolesebwa okwasooka.—Danyeri 8:15-17.
9:27—Ndagaano ki eyasigala nga ‘nnywevu eri abangi’ okutuuka ku nkomerero ya wiiki y’emyaka ey’ensanvu, oba mu 36 C.E.? Endagaano y’Amateeka yaggibwawo mu 33 C.E., nga Yesu akomereddwa ku muti. Naye Yakuwa bwe yaleka endagaano gye yakola ne Ibulayimu okusigala ng’ekyakola eri Isiraeri ow’omubiri okutuusa mu 36 C.E., yalaga okwagala okw’enjawulo eri Abayudaaya olw’okuba baali bazzukulu ba Ibulayimu. Endagaano ya Ibulayimu ekyakola eri “Isiraeri wa Katonda.”—Abaggalatiya 3:7-9, 14-18, 29; 6:16.
Bye Tuyigamu:
9:1-23; 10:11. Olw’okuba yali muwombeefu, atya Katonda, yeesomesa, era ng’asaba nnyo, Danyeri yayitibwa “omwagalwa ennyo.” Ebyo byonna bya muyamba nnyo okusigala nga mwesigwa eri Katonda okutuusa ku nkomerero y’obulamu bwe. Ka tube bamalirivu okugoberera ekyokulabirako kya Danyeri.
9:17-19. Ne bwe tusaba Katonda okuleeta ensi empya, ‘obutuukirivu mwe bulituula,’ ensonga enkulu teyandibadde kutukuzibwa kwa linnya lya Yakuwa n’okulaga nti y’asaanidde okufuga obutonde bwonna mu kifo ky’okuba nti twagala amalewo ebizibu byaffe?—2 Peetero 3:13.
10:9-11, 18, 19. Nga tukoppa malayika eyajja eri Danyeri, tusaanidde okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuyambagana mu bigambo ne mu bikolwa.
12:3. Mu nnaku ez’oluvannyuma, “abalina amagezi”—Abakristaayo abaafukibwako amafuta—babadde baakaayakana “ng’ettabaaza” era baleese “bangi eri obutuukirivu,” nga mwe muli ‘n’ab’ekibiina ekinene’ ‘eky’endiga endala.’ (Abafiripi 2:15; Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Abaafukibwako amafuta bajja ‘kwakaayakana ng’emunyenye’ mu bujjuvu mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi nga bakolera wamu naye okuyamba abantu abawulize ku nsi okufuna emiganyulo gy’ekinunulo. ‘Ab’endiga endala’ basaanidde okunywerera ku baafukibwako amafuta, nga babayamba mu buli ngeri n’omutima gumu.
Yakuwa ‘Awa Omukisa Abo Abamutya’
Ekitabo kya Danyeri kituyigiriza ki ku Katonda gwe tusinza? Lowooza ku bunnabbi obukirimu—obwo obumaze okutuukirizibwa n’obwo obutannaba. Nga bukiraga bulungi nnyo nti Yakuwa by’ayogera abituukiriza!—Isaaya 55:11.
Ekitundu ky’ebyafaayo ekiri mu kitabo kya Danyeri kituyigiriza ki ku Katonda waffe? Abebbulaniya abana abaagaana okweyisa ng’abantu b’omu lubiri lw’e Babulooni baaweebwa ‘okumanya, okutegeera, n’amagezi.’ (Danyeri 1:17) Katonda ow’amazima yasindika malayika we n’anunula Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego okuva mu kikoomi ky’omuliro. Danyeri yawonyezebwawo okuva mu bunnya bw’empologoma. Yakuwa ‘ayamba era akuuma abo abamwesiga’ era ‘awa emikisa abo abamutya.’—Zabbuli 115:9, 13.
[Obugambo obuli wansi]
a Okunnyonnyola lunyiriri ku lunyiriri okw’ekitabo kya Danyeri, laba akatabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy! akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Lwaki Danyeri yayitibwa “mwagalwa nnyo”?