Essuula ey’Okusatu
Baagezesebwa—Naye Baanywerera ku Yakuwa!
1, 2. Bikulu ki ebyaliwo ng’ekitabo kya Danyeri kigenda okuwandiikibwa?
EKITABO kya Danyeri eky’obunnabbi kitandikira mu kiseera ekyalimu enkyukakyuka ey’amaanyi mu nsi. Bwasuli yali yaakafiirwa ekibuga kyayo ekikulu, Nineeve. Ku luuyi olwa bukiika ddyo bwa Yuda waaliyo Misiri, nga tekyali kirimaanyi. Ate Babulooni yali egenda yeegaziya ng’obufuzi kirimaanyi mu nsi.
2 Mu 625 B.C.E., Falaawo Neko owa Misiri yakola kaweefube ow’enkomerero okuziyiza Abababulooni okugaziwa nga badda e bukiika ddyo. Bwe kityo, yatwala eggye lye e Kalukemiisi, ekiri ku mbalama z’Omugga Fulaati. Olutalo olw’e Kalukemiisi, nga bwe lwayitibwa oluvannyuma, lwali lwa nsalesale era lwa byafaayo. Eggye lya Babulooni, nga likulemberwa Omulangira Nebukadduneeza eyali ow’okusikira nnamulondo, lyafuntula amagye ga Falaawo Neko. (Yeremiya 46:2) Ng’amaze okutuuka ku buwanguzi buno, Nebukadduneeza yatabaala Busuuli ne Palesitayini, era n’akomya obuyinza bwa Misiri mu kitundu ekyo. Okufa kwa kitaawe, Nabopolaasa, kwe kwamuleetera okuyimirizaamu mu kaweefube we.
3. Kiki ekyava mu kaweefube wa Nebukadduneeza eyasooka ow’okutabaala Yerusaalemi?
3 Omwaka ogwaddako, nga Nebukadduneeza amaze okufuulibwa kabaka wa Babulooni, yaddamu nate kaweefube we ow’okutabaala Busuuli ne Palesitayini. Ku luno lwe yatuuka e Yerusaalemi omulundi gwe ogwasooka. Baibuli egamba: “[M]u mirembe gye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’ayambuka, Yekoyakimu n’afuuka omuddu we emyaka esatu: awo n’alyoka akyuka n’amujeemera.”—2 Bassekabaka 24:1.
NEBUKADDUNEEZA MU YERUSAALEMI
4. Ebigambo ‘mu mwaka ogw’okusatu ogw’obwakabaka bwa Yekoyakimu’ mu Danyeri 1:1 bisaanidde kutegeerwa bitya?
4 Ebigambo ebyo “emyaka esatu” tulina okubyetegereza, kubanga ebigambo ebisooka mu Danyeri bigamba: “Mu mwaka ogw’okusatu mu mirembe gya Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’ajja e Yerusaalemi, n’akizingiza.” (Danyeri 1:1) Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu, eyafuga okuva mu 628 okutuuka mu 618 B.C.E., Nebukadduneeza yali tannafuuka “kabaka w’e Babulooni,” naye yali akyali bubeezi mulangira ow’okusikira nnamulondo. Mu 620 B.C.E., Nebukadduneeza yalagira Yekoyakimu okuwanga empooza. Naye oluvannyuma lw’emyaka ng’esatu, Yekoyakimu yajeema. Bwe kityo, mu 618 B.C.E., oba mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu nga kabaka eyali akolera ku biragiro bya Babulooni, Kabaka Nebukadduneeza yakomawo mu Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, okubonereza Yekoyakimu omujeemu.
5. Biki ebyava mu kaweefube wa Nebukadduneeza ow’okubiri ow’okutabaala Yerusaalemi?
5 Ekyava mu kuzingiza kuno kyali nti ‘Yakuwa yawaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe, era n’ebintu ebimu eby’omu nnyumba ya Katonda.’ (Danyeri 1:2) Oboolyawo Yekoyakimu yatemulwa oba yafiira mu lutalo, mu matandika g’okuzingizibwa okwo. (Yeremiya 22:18, 19) Mu 618 B.C.E., Yekoyakini, mutabani we ow’emyaka 18, yamusikira nga kabaka. Naye obufuzi bwa Yekoyakini bwamala emyezi esatu gyokka n’ennaku kkumi, n’awanika mu 617 B.C.E.—Geraageranya 2 Bassekabaka 24:10-15.
6. Kiki Nebukadduneeza kye yakola ebintu ebitukuvu ebyali mu yeekaalu mu Yerusaalemi?
6 Nebukadduneeza yanyaga ebintu ebitukuvu ebyali mu yeekaalu mu Yerusaalemi “n’abitwala mu nsi Sinaali mu ssabo lya katonda we: n’aleeta ebintu mu ggwanika lya katonda we,” Maruduki, oba Merodaki mu Lwebbulaniya. (Danyeri 1:2; Yeremiya 50:2) Ekiwandiiko ky’Olubabulooni kyazuulibwa, era mu kyo Nebukadduneeza ayogera ku yeekaalu ya Maruduki bw’ati: “Nnaterekamu ffeeza ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo . . . era ne ngifuula eggwanika ly’obwakabaka bwange.” Tujja kusoma nate ku bintu ebyo ebitukuvu mu biseera bya Kabaka Berusazza.—Danyeri 5:1-4.
ABO ABAALI BASINGA ABAVUBUKA ABALALA BONNA MU YERUSAALEMI
7, 8. Okusinziira ku Danyeri 1:3, 4, ne Danyeri 1:6, kiki kye tuyinza okumanya ku bikwata ku buzaale bwa Danyeri ne banne abasatu?
7 Si bintu bya muwendo byokka eby’omu yeekaalu ya Yakuwa bye byatwalibwa e Babulooni. Ebyawandiikibwa bigamba: “Kabaka n’agamba Asupenaazi omukulu w’abalaawe be, ayingize ku baana ba Isiraeri, ab’omu zzadde lya kabaka n’ery’abakungu: abavubuka abataaliko bulema, wabula ab’amaaso amalungi, era abategeevu mu magezi gonna, era abakabakaba mu kutegeera, era abaamanya ebiyigirizibwa, era abasaanira okuyimirira mu nnyumba ya kabaka.”—Danyeri 1:3, 4.
8 Baani abaalondebwa? Tugambibwa: “Ne muba mu abo, ku baana ba Yuda, Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya.” (Danyeri 1:6) Kino kitangaaza ku buzaale bwa Danyeri ne banne. Ng’ekyokulabirako, tusoma nti baali “baana ba Yuda,” ekika kya bakabaka. Ka kibe nti baali mu lunyiriri lwa kabaka oba nedda, tusobola okugamba nti baali bava mu maka ga kitiibwa era amatutumufu. Ng’oggyeko obutabaako bulema bwonna mu birowoozo ne mu mubiri, baalina amagezi, okumanya, n’okutegeera, nga bonna bakyali bato okusobola okuyitibwa ‘abaana,’ oboolyawo nga baali baakayingira emyaka gy’obutiini. Danyeri ne banne bateekwa okuba nga baali ba njawulo nnyo, nga be basinga abavubuka abalala bonna mu Yerusaalemi.
9. Lwaki kirabika nga kikakafu nti Danyeri ne banne abasatu baalina abazadde abatya Katonda?
9 Ebyawandiikibwa tebitutegeeza bikwata ku bazadde b’abavubuka bano. Wadde kiri kityo, kirabika nga baali bantu abatya Katonda abaali batuukirizza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abazadde. Bw’olowooza ku kuddirira okw’amaanyi mu mpisa n’eby’omwoyo okwaliwo mu Yerusaalemi, naddala mu ‘b’omu zzadde lya kabaka n’abakungu,’ kya lwatu nti engeri ennungi Danyeri ne banne abasatu ze baalina tebaazifuna mu butanwa. Awatali kubuusabuusa, abazadde bateekwa okuba nga baalumwa nnyo okulaba abaana baabwe nga batwalibwa mu nsi ey’ewala. Singa baali bayinza okumanya ebyandibaddewo oluvannyuma, nga bandibadde basanyufu nnyo! Nga kikulu nnyo abazadde okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula n’okubuulirira kwa Yakuwa’!—Abeefeso 6:4.
OLUTALO OLUKWATA KU NDOWOOZA
10. Abavubuka abo Abebbulaniya baayigirizibwa ki, era lwa kigendererwa ki?
10 Amangu ddala, olutalo olukwata ku ndowooza y’abavubuka bano abaali mu buwaŋŋanguse lwatandika. Okukakasa nti abavubuka bano Abebbulaniya bateekebwateekebwa okutuukana n’enkola y’Ekibabulooni, Nebukadduneeza yalagira abakungu be “okubayigiriza empandiika n’olulimi lw’Abakaludaaya.” (Danyeri 1:4, NW) Guno tegwali musomo gwa bulijjo. Ekitabo The International Standard Bible Encyclopedia kigamba nti “mwalimu okusoma Olusumeriya, Olukaddiya, Olulamayiki . . . , n’ennimi endala, awamu n’ebitabo ebirala bingi ebyali biwandiikiddwa mu nnimi ezo.” “Ebitabo ebirala” byali bikwata ku byafaayo, okubala, eby’obwengula, n’ebintu ebirala. Kyokka, “n’ebiwandiiko ebirala eby’eddiini, eby’obusamize n’okulaguzisa emmunyeenye . . . , byakozesebwanga.”
11. Nteekateeka ki ezaakolebwa okukakasa nti abavubuka Abebbulaniya batuukana bulungi n’obulamu bw’omu lubiri lw’e Babulooni?
11 Okusobozesa abavubuka bano Abebbulaniya okugoberera mu bujjuvu empisa n’obulamu bw’omu lubiri lw’e Babulooni, “Kabaka n’abalagira [“n’abateerawo,” NW] omugabo ogwa bulijjo ogw’oku mmere ya kabaka, n’ogw’oku mwenge gwe yanywanga, era babaliisize emyaka esatu: bwe giriggwaako balyoke bayimirire mu maaso ga kabaka.” (Danyeri 1:5) Ate era, “omukulu w’abalaawe n’abatuuma amannya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza: ne Kananiya n’amutuuma Saddulaaki: ne Misayeri n’amutuuma Mesaki: ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.” (Danyeri 1:7) Mu biseera bya Baibuli kyalinga kya bulijjo omuntu okuweebwa erinnya eppya okulamba ekintu ekikulu ekibaddewo mu bulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakyusa amannya ga Ibulaamu ne Salaayi n’abatuuma Ibulayimu ne Saala. (Olubereberye 17:5, 15, 16) Omuntu okukyusa erinnya ly’omulala kiba kiraga obuyinza bw’amulinako. Yusufu bwe yafuuka omukungu akola ku by’okugaba emmere mu Misiri, Falaawo yamutuuma Zafenasipaneya.—Olubereberye 41:44, 45; geraageranya 2 Bassekabaka 23:34; 24:17.
12, 13. Lwaki kiyinza okugambibwa nti ekiruubirirwa ky’okukyusa amannya g’abavubuka abo Abebbulaniya kyali kumenya kukkiriza kwabwe?
12 Ku bikwata ku Danyeri ne banne abasatu Abebbulaniya, enkyukakyuka mu mannya gaabwe yali nnene nnyo. Amannya abazadde baabwe ge baali babawadde gaali gakwatagana n’okusinza Yakuwa. “Danyeri” litegeeza “Omulamuzi Wange ye Katonda.” Amakulu ga “Kananiya” gali “Yakuwa Alaze Okusaasira.” “Misayiri” oboolyawo litegeeza “Ani Afaanana Katonda?” “Azaliya” litegeeza “Yakuwa Ayambye.” Awatali kubuusabuusa bazadde baabwe baali basuubira nti batabani baabwe bajja kufuuka abaweereza ba Yakuwa Katonda abeesigwa era abanywevu.
13 Kyokka, amannya amappya agaaweebwa Abebbulaniya bano abana gonna gaalina akakwate ne bakatonda ab’obulimba, nga kiringa ekitegeeza nti Katonda ow’amazima yali awanguddwa bakatonda bano. Nga kaali kakodyo ak’okumenya okukkiriza kw’abavubuka bano!
14. Amannya amappya agaaweebwa Danyeri ne banne abasatu gategeeza ki?
14 Erinnya lya Danyeri lyakyusibwa ne liba Berutesazza, ekitegeeza “Kuuma Obulamu bwa Kabaka.” Kirabika, eno yali ssaala ennyimpimpi eri Beru, oba Maruduki, katonda omukulu owa Babulooni. Ka kibe nti Nebukadduneeza kennyini yenyigira mu kulondera Danyeri erinnya lino oba nedda, kyamusanyusa okukimanya nti lyali “ng’erinnya lya katonda [we] bwe liri.” (Danyeri 4:8) Kananiya yatuumibwa Saddulaaki, abakugu abamu lye batwala okubeera n’amakulu nti “Ekiragiro kya Aku.” Aku lyali linnya lya katonda w’e Sumeri. Misayeri yatuumibwa Mesaki (oboolyawo, Mi·sha·aku), nga kuno kwali kunyoolanyoola amakulu “Ani Afaanana Katonda?” ne gaba “Ani Alinga Aku?” Erinnya ly’Ekibabulooni eryatuumibwa Azaliya lyali Abeduneego, oboolyawo eritegeeza “Omuweereza wa Nego.” Ate “Nego” kirina amakulu ge gamu ne “Nebo,” erinnya lya katonda eryabbulwamu amannya agawerako ag’abafuzi ba Babulooni.
BAAMALIRIRA OKUNYWERERA KU YAKUWA
15, 16. Kabi ki akaali koolekedde Danyeri ne banne, era beeyisa batya?
15 Amannya g’Ekibabulooni, enteekateeka ey’okuyigirizibwa, n’eby’okulya ebitali bya bulijjo—bino byonna kwali kugezaako okuleetera Danyeri n’abavubuka abasatu Abebbulaniya okugoberera obulamu bw’Ekibabulooni n’okubaggya ku Katonda waabwe, Yakuwa, era n’eddiini gye baali bakuliddemu. Nga boolekaganye n’okupikirizibwa kuno kwonna era n’okukemebwa, abavubuka bano bandikoze batya?
16 Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bigamba: “Danyeri n’ateesa [“n’amalirira,” NW] mu mutima gwe obuteeyonoon[a] n’emmere ya kabaka, newakubadde n’omwenge gwe yanywanga.” (Danyeri 1:8a) Wadde Danyeri yekka y’ayogerwako, okusinziira ku byaddirira kya lwatu nga ne banne abasatu baasalawo kye kimu. Ebigambo ebyo nti “n’amalirira mu mutima gwe” biraga ng’okuyigirizibwa Danyeri kwe yafuna okuva eri bazadde be n’abalala ab’ewaabwe kwatuuka ku mutima gwe. Okutendekebwa ng’okwo, awatali kubuusabuusa, kwayamba n’Abebbulaniya bali abalala abasatu mu kusalawo. Kino kiraga omugaso gw’okuyigiriza abaana baffe, ne bwe baba balabika nga bakyali bato nnyo okutegeera.—Engero 22:6; 2 Timoseewo 3:14, 15.
17. Lwaki Danyeri ne banne baagaana bya kulya bya kabaka byokka so si nteekateeka endala?
17 Lwaki abavubuka bano Abebbulaniya baagaana okulya emmere eyo n’omwenge naye ne batagaana nteekateeka ziri endala? Engeri Danyeri gye yakitunuuliramu eraga bulungi ensonga: ‘Aleme kweyonoona.’ Okuyiga ‘empandiika n’olulimi lw’Abakaludaaya’ era n’okuweebwa erinnya ly’Ekibabulooni, wadde nga tebandibyagadde, ku bwabyo byali tebyonoona muntu. Lowooza ku kyokulabirako kya Musa, emyaka nga 1,000 emabegako. Wadde ‘yayigirizibwa mu magezi gonna ag’e Misiri,’ yanywerera ku Yakuwa. Engeri bazadde be gye baamukuzaamu yamuwa omusingi omunywevu. Bwe kityo, “olw’okukkiriza Musa, bwe yakula, n’agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo; ng’asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n’abantu ba Katonda okukira okubanga n’okwesiima okw’ekibi okuggwaawo amangu.”—Ebikolwa 7:22; Abebbulaniya 11:24, 25.
18. Mu ngeri ki emmere ya kabaka gye yandyonoonyeemu abavubuka abo Abebbulaniya?
18 Mu ngeri ki emmere ya kabaka wa Babulooni gye yandyonoonyemu abavubuka abo? Okusooka, mu mmere eyo muyinza okuba nga mwalimu eby’okulya ebyali bitakkirizibwa mu Mateeka ga Musa. Ng’ekyokulabirako, Abababulooni baalyanga ensolo ezitali nnongoofu, ezaagaanibwa Abaisiraeri wansi w’Amateeka. (Eby’Abaleevi 11:1-31; 20:24-26; Ekyamateeka 14:3-20) Eky’okubiri, Abababulooni tebaggyanga musaayi mu bisolo ebisaliddwa nga tebannalya nnyama yaabyo. Okulya ennyama etaggiddwamu musaayi kyali kikontana butereevu n’etteeka lya Yakuwa ku musaayi. (Olubereberye 9:1, 3, 4; Eby’Abaleevi 17:10-12; Ekyamateeka 12:23-25) Eky’okusatu, abasinza ba bakatonda ab’obulimba baateranga okusooka okuteeka emmere yaabwe mu maaso g’ebifaananyi nga tebannagirya. Abaweereza ba Yakuwa baali tebayinza kwenyigira mu bikolwa ebyo! (Geraageranya 1 Abakkolinso 10:20-22.) Eky’enkomerero, okulya ennyo eby’okulya ebirimu amasavu amangi n’okwekamirira omwenge buli lunaku tekiba kirungi eri obulamu bw’omuntu yenna, naddala eri abato.
19. Abavubuka abo Abebbulaniya bandyekwasizza ki, naye kiki ekyabayamba okutuuka ku kusalawo okutuufu?
19 Wadde ng’oyinza okumanya eky’okukola, kiba kyetaagisa obuvumu okukikola bw’oba ng’onyigirizibwa oba ng’okemebwa. Danyeri ne banne abasatu bandisobodde okulowooza nti okuva bwe baali ewala ennyo, bazadde baabwe ne mikwano gyabwe tebanditegedde kye bakoze. Era bandisobodde okwekwasa nti kino kyali kiragiro kya kabaka era nga tewaali kirala kya kukola. Ng’oggyeko ekyo, awatali kubuusabuusa abavubuka abalala bakkiriza enteekateeka ezo era ne bagitwala ng’enkizo so si obuzibu okuzenyigiramu. Naye endowooza enkyamu ng’ezo ziyinza okusuula omuntu mu mutego ogw’okwenyigira mu bibi eby’ekyama, ogukwasizza abavubuka bangi. Abavubuka abo Abebbulaniya baali bamanyi nti ‘amaaso ga Yakuwa gaba mu buli kifo’ era nti “Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.” (Engero 15:3; Omubuulizi 12:14) Ka ffenna tuyigire ku nneeyisa y’abavubuka bano abeesigwa.
OBUVUMU N’OBUMALIRIVU BYAVAAMU EMIGANYULO
20, 21. Danyeri yakola ki, era kiki ekyavaamu?
20 Ng’amaze okumalirira mu mutima gwe okuziyiza ebintu ebyonoona, Danyeri yakolera ku kye yali asazeewo. “N’asabanga omukungu omukulu ow’omu lubiri aleme okweyonoona.” (Danyeri 1:8b, NW) “N’asabanga”—ebigambo ebyo bikulu. Emirundi egisinga obungi, okufuba n’obumalirivu byetaagisa bwe tuba ab’okutuuka ku buwanguzi mu kuziyiza ebikemo oba okuvvuunuka obunafu obumu.—Abaggalatiya 6:9.
21 Obumalirivu bwa Danyeri bwavaamu emiganyulo. “Katonda ow’amazima n’aleetera Danyeri okulagibwa ekisa eky’obwagazi era n’obusaasizi mu maaso g’omukungu omukulu ow’omu lubiri.” (Danyeri 1:9, NW) Si lwa kuba nti Danyeri ne banne baali bantu abaagalika era abagezi ennyo ebintu kyebyava bibangedera obulungi. Wabula, lwa mikisa gya Yakuwa. Awatali kubuusabuusa, Danyeri yajjukira olugero lw’Ekyebbulaniya: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Mazima ddala, okugoberera okubuulirira okwo kwavaamu emiganyulo.
22. Omukungu ow’omu lubiri yagamba ki?
22 Okusooka, omukungu omukulu ow’omu lubiri yalina enkenyera: “Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga: kubanga kiki ekiriba kimulabya amaaso gammwe nga tegafaanana bulungi ng’abavubuka abenkana nammwe obukulu? Bwe gutyo omutwe gwange gwandirabye akabi eri kabaka.” (Danyeri 1:10) Mazima ddala, ezo zaali nsonga za maanyi ezandimuleetedde okweraliikirira n’okutya. Kyali tekiyinzika okujeemera Kabaka Nebukadduneeza, era omukungu ono yakimanya nti “omutwe” gwe gwandibadde mu kabi singa yandijeemedde ebiragiro bya kabaka. Danyeri yandikoze atya?
23. Okusinziira ku ngeri gye yeeyisaamu, Danyeri yayoleka atya okutegeera n’amagezi?
23 Wano okutegeera n’amagezi we byayambira. Omuvubuka Danyeri oboolyawo yajjukira olugero luno: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi: naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.” (Engero 15:1) Mu kifo ky’okugugubira ku kye yali ayagala era oboolyawo ekyandimuviiriddeko okuttibwa, Danyeri ensonga yagikomya awo. Mu kiseera ekituufu, yatuukirira “omusigire,” oboolyawo eyali ayinza okubaako ky’akolawo olw’okuba yali tavunaanyizibwa butereevu eri kabaka.—Danyeri 1:11.
OKUGEZESEBWA OKW’ENNAKU KKUMI KUSABIBWA
24. Danyeri yasaba bagezesebwe batya?
24 Danyeri yasaba omusigire bagezesebwe, ng’agamba nti: “Okemere abaddu bo ennaku kkumi, nkwegayiridde: batuwenga ebijanjaalo [“enva endiirwa,” NW] okulya, n’amazzi okunywa. Amaaso gaffe galyoke gakeberwe w’oli, n’amaaso g’abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka: era nga bw’oliraba, okole bw’otyo eri abaddu bo.”—Danyeri 1:12, 13.
25. Oboolyawo “enva endiirwa” ezaaweebwa Danyeri ne banne abasatu zaali zitwaliramu biki?
25 Ennaku kkumi nga balya ‘nva ndiirwa n’okunywa amazzi’—‘tebandifaananye bubi ku maaso’ ng’obageraageranyizza n’abavubuka abalala? Ebigambo “enva endiirwa” bikyusibwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “ensigo.” Enkyusa ezimu eza Baibuli zikivvuunula nga “bijanjaalo” oba “kawo.” Abeekenneenya abamu balowooza nti ennyiriri ezeetooloddewo ziraga nti emmere eno tebyali binjanjaalo bujanjaalo byokka. Ekitabo ekimu kigamba: “Danyeri ne banne kye baali basaba zaali nva ndiirwa ez’abantu aba bulijjo, mu kifo ky’ebintu ebya ssava n’ennyama eby’oku mmeeza ya kabaka.” Bwe kityo, enva endiirwa zandiba nga zaali zitwaliramu eby’okulya ebirimu ekiriisa omuli ebijanjaalo, ccuukamba, katungulu-ccumu, essunsa, empindi, meroni, n’obutungulu era n’emigaati egikoleddwa mu buwunga obw’enjawulo. Mazima ddala, tewali yandigambye nti eby’okulya ng’ebyo byandibaleetedde obutafaanana bulungi. Kirabika omusigire yakitegeera. “Awo n’abawulira mu bigambo ebyo, n’abakemera ennaku kkumi.” (Danyeri 1:14) Kiki ekyavaamu?
26. Kiki ekyava mu kugezesebwa okw’ennaku ekkumi, era lwaki kyali bwe bityo?
26 “Awo ennaku ekkumi bwe zaggwa, amaaso gaabwe ne gafaanana bulungi, era baali nga bagezze omubiri okusinga abavubuka bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka.” (Danyeri 1:15) Kino tekirina kutwalibwa nga bujulizi obulaga nti eby’okulya omuli enva endiirwa zokka bisinga ebya ssava n’ennyama. Ennaku kkumi kiba kiseera kitono nnyo omuganyulo gw’eby’okulya eby’ekika kyonna okweyoleka, naye tekiba kiseera kitono eri Yakuwa okutuukiririzaamu ekigendererwa kye. Ekigambo kye kigamba nti: “Omukisa gwa Mukama, gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.” (Engero 10:22) Abavubuka abana Abebbulaniya baateeka obwesige bwabwe mu Yakuwa, era teyabaabulira. Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Yesu Kristo yamala ennaku 40 nga talidde mmere. Ku nsonga eno, yajuliza ebigambo ebiri mu Ekyamateeka 8:3, we tusoma nti: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli [kigambo] ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.” Ku nsonga eno, ebyatuuka ku Danyeri ne banne kyakulabirako kya nkukunala.
OKUTEGEERA N’AMAGEZI MU KIFO KY’EBYA SSAVA N’OMWENGE
27, 28. Mu ngeri ki eby’endya Danyeri ne banne bye baalondawo gye byabayamba okwetegekera ebintu ebikulu mu maaso?
27 Ennaku ekkumi zaali za kugezesa bugezesa, naye ebyavaamu byali bimatiza nnyo. “Awo omusigire n’abaggyako emmere yaabwe, n’omwenge gwe bandinyweddenga, n’abawa ebijanjaalo [“enva endiirwa,” NW].” (Danyeri 1:16) Si kizibu okuteebereza engeri abavubuka abalala abaali batendekebwa gye baatunuuliramu Danyeri ne banne. Kiteekwa okuba nga kyabalabikira nga kya busiru nnyo okugaana emmere ya kabaka ne balya enva endiirwa buli lunaku. Naye ebigezo eby’amaanyi ennyo byali bijja, era nga byali bijja kwetaagisa abavubuka bano Abebbulaniya okuba obulindaala. Okusinga byonna, okukkiriza kwabwe n’obwesige mu Yakuwa bye byandibasobozesezza okuyita mu bigezo ebyo eri okukkiriza kwabwe.—Geraageranya Yoswa 1:7.
28 Ebiddako okwogerwa biraga nti Yakuwa yali n’abavubuka bano: “Naye abavubuka abo abana, Katonda n’abawa okumanya n’okutegeera mu kuyiga kwonna n’amagezi: Danyeri n’aba omukabakaba [“n’okutegeera,” NW] mu kwolesebwa kwonna ne mu birooto.” (Danyeri 1:17) Okusobola okwaŋŋanga ebiseera ebizibu ebyali bijja mu maaso, baali beetaaga ekisingawo ku maanyi ag’omu mubiri n’obulamu obulungi. “Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, n’okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo; okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga: okukuwonyanga mu kkubo ery’obubi.” (Engero 2:10-12) Ekyo kyennyini Yakuwa kye yawa abavubuka abo abana abeesigwa okubasobozesa okwaŋŋanga ebyali bijja mu maaso.
29. Lwaki Danyeri yasobola ‘okutegeera okwolesebwa n’ebirooto eby’engeri zonna’?
29 Tutegeezebwa nti Danyeri ‘yalina okutegeera mu kwolesebwa kwonna ne mu birooto.’ Tekiri nti ku lulwe yalina okumanya okutali bwa bulijjo. Weewuunye, wadde Danyeri atwalibwa ng’omu ku bannabbi Abebbulaniya abakulu ennyo, teyaluŋŋamizibwa kulangirira bigambo gamba nga “bw’ati Mukama Afuga Byonna Yakuwa bw’ayogedde” oba “bw’atyo bw’ayogera Mukama w’eggye.” (Isaaya 28:16, NW; Yeremiya 6:9) Kyokka, olw’obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, Danyeri yasobola okutegeera n’okutaputa okwolesebwa n’ebirooto ebyalaga ekigendererwa kya Yakuwa.
MU NKOMERERO, EKIGEZO EKIKULU ENNYO
30, 31. Danyeri ne banne kye baasalawo kyabaviiramu kitya emiganyulo?
30 Emyaka esatu egy’okuyigirizibwa n’okutendekebwa gyaggwaako. Ekigezo ekikulu ennyo ne kituuka, nga kuno kwe kubuuzibwa ebibuuzo kabaka kennyini. “Ennaku bwe zaatuuka kabaka ze yali agambye okubaleeterako, omukungu omukulu ow’omu lubiri naye n’abaleeta mu maaso ga Nebukadduneeza.” (Danyeri 1:18, NW) Ekiseera kyali kituuse abavubuka abo abana okulaga kye bali. Okunywerera ku mateeka ga Yakuwa mu kifo ky’okwekkiriranya eri amakubo ga Babulooni kyandirabise nga kya muganyulo gye bali?
31 “Kabaka n’anyumya nabo: ne mu abo bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya: kyebaava bayimirira mu maaso ga kabaka.” (Danyeri 1:19) Nga kyalaga bulungi nnyo nti kye baasalawo emyaka esatu egyali giyise kyali kituufu nnyo! Tekyali kya busiru n’akamu okugoberera okukkiriza kwabwe n’omuntu waabwe ow’omunda nga balondawo eby’okulya. Olw’okubeera abeesigwa mu kintu ekyalabika ng’ekitono ennyo, Danyeri ne banne baaweebwa enkizo ey’amaanyi. ‘Okuyimirira mu maaso ga kabaka’ ye nkizo eyali eruubirirwa abavubuka bonna abaatendekebwa. Baibuli tetutegeeza obanga abavubuka Abebbulaniya abana bokka be baalondebwa. Mu buli ngeri, ekkubo lyabwe ery’obwesigwa lyabaviiramu “empeera ennene.”—Zabbuli 19:11.
32. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya baafuna enkizo esinga okubeera ku lukiiko lwa kabaka?
32 “Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? [A]liyimirira mu maaso ga bakabaka,” Ebyawandiikibwa bwe bigamba. (Engero 22:29) Bwe kityo, Nebukadduneeza yalonda Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya okuyimirira mu maaso ga kabaka, kwe kugamba, okubeera ku lukiiko lwa kabaka. Mu bino byonna, tulaba omukono gwa Yakuwa nga guteekateeka ebintu ne kiba nti okuyitira mu bavubuka bano—naddala mu Danyeri—ebintu ebikulu ebikwata ku kigendererwa kya Katonda byandimanyisiddwa. Wadde ng’okulondebwa okubeera mu lukiiko lw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza yali nkizo, okukozesebwa mu ngeri ey’ekitalo bw’etyo Kabaka w’Obutonde Bwonna, Yakuwa, yali nkizo ya maanyi nnyo okusingawo.
33, 34. (a) Lwaki kabaka yasiima abavubuka Abebbulaniya? (b) Kya kuyiga ki kye tufuna mu ebyo ebyatuuka ku Bebbulaniya abana?
33 Mu bbanga ttono Nebukadduneeza yakizuula nti amagezi n’okutegeera Yakuwa bye yali awadde abavubuka bano Abebbulaniya abana byali bya kika kya waggulu nnyo okusinga ebyo abasajja be bonna abagezigezi abaali mu lukiiko lwe bye baalina. “Mu buli kigambo eky’amagezi n’eky’okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi abasawo, n’abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna.” (Danyeri 1:20) Kino kyasoboka kitya? “Abasawo” ne “abafumu” beesigama ku magezi ag’ensi era ag’eby’obusamize ag’e Babulooni, so nga Danyeri ne banne beesigama ku magezi agava waggulu. Bino tebirina kye bifaananya, era tebyenkankana!
34 Naye ebintu tebikyuse nnyo emyaka bwe gizze giyitawo. Mu kyasa ekyasooka C.E., obufirosoofo bw’Abayonaani n’amateeka g’Abaruumi we byacaakira ennyo, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika: “Amagezi ag’omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti Akwasa abagezi enkwe zaabwe: era nate nti Mukama ategeera empaka ez’abagezi nga teziriimu. Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu.” (1 Abakkolinso 3:19-21) Leero, twetaaga okunywerera ku ebyo Yakuwa by’atuyigirizza tuleme kutwalirizibwa bintu ebisikiriza eby’omu nsi eno.—1 Yokaana 2:15-17.
BAALI BEESIGWA OKUTUUKA KU NKOMERERO
35. Biki bye tutegeezebwa ku banne ba Danyeri abasatu?
35 Okukkiriza okw’amaanyi okwa Kananiya, Misayeri, ne Azaliya kulagibwa bulungi mu Danyeri essuula 3, eyogera ku kifaananyi kya Nebukadduneeza ekya zaabu ku lusenyi lwa Dduula era n’ekigezo eky’okusuulibwa mu kikoomi ky’omuliro. Mazima ddala Abebbulaniya bano abatya Katonda baali beesigwa eri Yakuwa okutuusa okufa. Tukimanyi kubanga omutume Pawulo ddala yaboogerako bwe yawandiika ku abo ‘olw’okukkiriza abaazikiza amaanyi g’omuliro.’ (Abaebbulaniya 11:33, 34) Bano byakulabirako bya nkukunala eri abaweereza ba Yakuwa, abakulu n’abato.
36. Danyeri yaweereza mu ngeri ki ey’enkukunala?
36 Ku bikwata ku Danyeri, olunyiriri olusembayo mu ssuula 1 lugamba: “Danyeri n’abeerawo okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kuulo kabaka.” Ebyafaayo biraga nti Kuulo yawangula Babulooni mu kiro kimu, mu 539 B.C.E. Olw’ettuttumu lye n’ekifo kye yalimu, obujulizi bulaga nti Danyeri yeeyongera okuweereza mu lubiri lwa Kuulo. Mu butuufu, Danyeri 10:1 lutugamba nti “mu mwaka ogw’okusatu ogwa Kuulo kabaka w’e Buperusi,” Yakuwa yabikkula ensonga enkulu eri Danyeri. Bwe kiba nti yali mutiini mu kiseera we baamuleetera e Babulooni mu 617 B.C.E., yandibadde n’emyaka nga 100 egy’obukulu mu kiseera we yafunira okwolesebwa okwo okw’enkomerero. Nga yaweereza Yakuwa n’obwesigwa ebbanga ddene era n’afuna emikisa mingi!
37. Biki bye tuyiga okuva mu kwekenneenya Danyeri essuula 1?
37 Essuula esooka ey’ekitabo kya Danyeri tekoma ku kutulaga bulazi ebikwata ku bavubuka abana abaawangula ebigezo ebyaliwo eri okukkiriza kwabwe. Etulaga engeri Yakuwa gy’ayinza okukozesaamu omuntu yenna gw’ayagadde okutuukiriza ekigendererwa kye. Ebirimu bikakasa nti singa Yakuwa aba akkirizza, ekintu ekirabika ng’eky’omutawaana kiyinza okuvaamu emiganyulo. Era bitulaga nti okulaga obwesigwa mu bintu ebitono kuleeta empeera ey’amaanyi.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Kiki ekiyinza okwogerwa ku buzaale bwa Danyeri ne bavubuka banne abasatu?
• Abavubuka Abebbulaniya abana baagezesebwa batya mu Babulooni ne kikakasa nti baakuzibwa bulungi?
• Yakuwa yasasula atya Abebbulaniya abana olw’obuvumu bwabwe?
• Biki abaweereza ba Yakuwa ab’ennaku zino bye bayinza okuyiga okuva ku Danyeri ne banne abasatu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]