EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | DANYERI 10-12
Yakuwa Yamanya Ebyandituuse ku Bakabaka
Bakabaka bana bandivudde mu bwakabaka bwa Buperusi. Kabaka ow’okuna ‘yandikubirizza buli omu okulwanyisa obwakabaka bwa Buyonaani.’
Kuulo
Kambisesi II
Daliyo I
Zakisiisi I (agambibwa okuba Kabaka Akaswero eyali bba wa Eseza)
Wandizzeewo kabaka ow’amaanyi owa Buyonaani eyandifuze ettwale eddene ennyo.
Alekizanda
Obwakabaka bwa Buyonaani bwandyawuddwamu ebitundu bina ne bifugibwa abaduumizi b’eggye lya Alekizanda bana.
Kasanda
Liisimaka
Serewuko I
Ttolemi I