Essuula ey’Omwenda
Ani Anaafuga Ensi?
1-3. Nnyonnyola ekirooto n’okwolesebwa Danyeri bye yafuna mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Berusazza.
OBUNNABBI bwa Danyeri obubuguumiriza kati butuzzaayo mu mwaka ogwasooka ogwa Kabaka Berusazza owa Babulooni. Danyeri amaze ekiseera kiwanvu mu buwaŋŋanguse e Babulooni, naye obugolokofu bwe eri Yakuwa tebuddirirangako. Kati ng’atemera mu myaka 70, nnabbi ono omwesigwa afuna ‘ekirooto n’okwolesebwa ng’ali ku kitanda kye.’ Ng’okwolesebwa okwo kumutiisa nnyo!—Danyeri 7:1, 15.
2 Danyeri agamba: “Laba, empewo ez’omu ggulu ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene. N’ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya, ezitafaanana zokka na zokka.” Ng’ensolo zino za kyewuunyo! Ey’olubereberye mpologoma erina ebiwaawaatiro, ate ey’okubiri eriŋŋanga eddubu. Awo ate, ne wajja engo erina ebiwaawaatiro bina n’emitwe ena! Ensolo ey’okuna ey’amaanyi ennyo erina amannyo amanene ag’ekyuma n’amayembe kkumi. Mu mayembe gaayo ekkumi musibukamu ejjembe “ettono” eririna “amaaso ng’amaaso g’omuntu, n’akamwa akoogera ebikulu.”—Danyeri 7:2-8.
3 Kati ate, Danyeri ayolesebwa eby’omu ggulu. Eyaakamala Ennaku Ennyingi atudde ku ntebe ey’ekitiibwa ng’Omulamuzi mu Kkooti ey’omu ggulu. ‘Enkumi n’enkumi bamuweereza, n’obukumi emirundi kakumi bayimirira mu maaso ge.’ Ng’amaze okusalira ensolo omusango, aziggyako obufuzi era azikiriza ensolo ey’okuna. Obufuzi obw’olubeerera ku ‘bantu bonna, amawanga n’ennimi’ bukwasibwa oyo ‘afaanana ng’omwana w’omuntu.’—Danyeri 7:9-14.
4. (a) Danyeri yakyukira ani okutegeezebwa byonna? (b) Lwaki Danyeri bye yalaba ne bye yawulira ekiro ekyo bikulu gye tuli?
4 “Nange,” bw’atyo Danyeri bw’ayogera, “omwoyo gwange ne gunakuwala wakati mu mubiri gwange, n’ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ne binneeraliikiriza.” N’olw’ensonga eyo, ayagala okutegeezebwa malayika ‘ebikwata ku ebyo byonna.’ Malayika amubuulira “amakulu g’ebyo.” (Danyeri 7:15-28) Danyeri bye yalaba ne bye yawulira ekiro ekyo bikulu nnyo gye tuli, kubanga byayoleka ebyandizze bibaawo mu nsi okutuukira ddala mu biseera byaffe, ‘afaanana ng’omwana w’omuntu’ lw’aweebwa obufuzi ku ‘bantu bonna, amawanga n’ennimi.’ Nga tweyambisa Ekigambo kya Katonda era n’omwoyo gwe, naffe tusobola okutegeera amakulu g’okwolesebwa kuno okw’obunnabbi.a
ENSOLO NNYA ZIVA MU NNYANJA
5. Ennyanja eriko embuyaga ekiikirira ki?
5 Danyeri yagamba: “Ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya.” (Danyeri 7:3) Ennyanja eriko embuyaga yali ekiikirira ki? Nga wayiseewo emyaka, omutume Yokaana yalaba ensolo ey’emitwe omusanvu ng’eva mu ‘nnyanja.’ Ennyanja eyo yali ekiikirira “[a]bantu n’ebibiina n’amawanga n’ennimi,” ekibiina ky’abantu ekinene abeeyawudde ku Katonda. N’olwekyo, ennyanja kabonero akatuukirawo akategeeza enkuyanja y’abantu abeeyawudde ku Katonda.—Okubikkulirwa 13:1, 2; 17:15; Isaaya 57:20.
6. Ensolo ennya zikiikirira ki?
6 Malayika wa Katonda yagamba: “Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi.” (Danyeri 7:17) Malayika yannyonnyola bulungi nti ensolo ennya Danyeri ze yalaba be ‘bakabaka bana.’ Bwe kityo, ensolo zino zikiikirira obufuzi kirimaanyi. Naye bufuzi ki?
7. (a) Abataputa Baibuli abamu boogera ki ku kirooto kya Danyeri eky’okwolesebwa ensolo ennya n’ekirooto kya Kabaka Nebukadduneeza eky’ekifaananyi ekinene? (b) Ebyuma ebina eby’ekifaananyi bikiikirira ki?
7 Abataputa Baibuli batera okukwataganya okwolesebwa kwa Danyeri okw’ensolo ennya n’ekirooto kya Nebukadduneeza eky’ekifaananyi ekinene. Ng’ekyokulabirako, ekitabo The Expositor’s Bible Commentary kigamba: “Essuula 7 [eya Danyeri] ekwatagana n’essuula 2.” Ate, kyo, The Wycliffe Bible Commentary kigamba: “Okutwalira awamu kikkirizibwa nti okuddiriŋŋana kw’obufuzi obuna obwa Bannamawanga . . . okuli wano [mu Danyeri essuula 7] kwe kumu n’okwo okwayogerwako mu [Danyeri] essuula 2.” Obufuzi kirimaanyi obuna obukiikirirwa ebyuma ebina eby’omu kirooto kya Nebukadduneeza bwali Obwakabaka bwa Babulooni (omutwe ogwa zaabu), Bumeedi ne Buperusi (ekifuba n’emikono ebya ffeeza), Buyonaani (olubuto n’ebisambi eby’ekikomo), n’Obwakabaka bw’Abaruumi (amagulu ag’ekyuma).b (Danyeri 2:32, 33) Ka tulabe engeri obwakabaka buno gye bukwataganamu n’ensolo ennya Danyeri ze yalaba.
NKAMBWE NG’EMPOLOGOMA, YA MBIRO NG’EMPUNGU
8. (a) Danyeri yannyonnyola atya ensolo ey’olubereberye? (b) Bwakabaka ki ensolo ey’olubereberye bw’ekiikirira, era yeeyisa etya ng’empologoma?
8 Ng’ensolo Danyeri ze yalaba zaali ziwuniikiriza! Ng’annyonnyola emu ku zo, yagamba: “Ey’olubereberye yaliŋŋanga mpologoma, era ng’erina ebiwaawaatiro by’empungu: ne ntunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n’eyimusibwa okuva ku nsi, n’eyimirizibwa n’ebigere bibiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima gw’omuntu.” (Danyeri 7:4) Ensolo eno yali ekiikirira obufuzi bwe bumu obwali bukiikirirwa omutwe ogwa zaabu mu kifaananyi ekinene, Obufuzi Kirimaanyi Obwa Babulooni (607-539 B.C.E.). Okufaananako “empologoma” enjizzi, Babulooni yawamba amawanga, nga mw’otwalidde n’abantu ba Katonda, mu ngeri ey’obukambwe ennyo. (Yeremiya 4:5-7; 50:17) Nga gy’obeera erina ebiwaawaatiro ng’eby’empungu, “empologoma” eno yakola obulumbaganyi ku sipiidi ya kitalo.—Okukungubaga 4:19; Kaabakuuku 1:6-8.
9. Nkyukakyuka ki ezaatuuka ku nsolo eringa empologoma, era yakwatibwako etya?
9 Nga wayiseewo ekiseera, ebiwaawaatiro by’empologoma eno ey’enjawulo ‘byamaanyibwako.’ Ng’obufuzi bwa Kabaka Berusazza bunaatera okuggwaako, Babulooni yali tekyalina sipiidi yaayo ey’okuwangula awamu n’obuyinza obulinga obw’empologoma ku mawanga. Kati yali tesinga muntu ali ku magulu abiri mbiro. Ng’efunye “omutima gw’omuntu,” yanafuwa, era olw’okuba yali tekyalina ‘mutima gwa mpologoma,’ Babulooni yali tekyali kabaka “mu nsolo ez’omu kibira.” (Geraageranya 2 Samwiri 17:10; Mikka 5:8.) Yawangulwa ensolo endala ennene.
YA MULULU NG’EDDUBU
10. Lunyiriri ki olw’abafuzi “eddubu” lwe likiikirira?
10 “Laba!” bw’atyo Danyeri bwe yagamba, “ensolo endala, ey’okubiri, ng’eriŋŋanga eddubu. Yali eyimuseeko oluuyi olumu, era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo wakati mu mannyo gaayo; era bwe bati bwe baagigamba, ‘Golokoka, olye ennyama nnyingi.’” (Danyeri 7:5, NW) Kabaka akiikirirwa “eddubu” ye kabaka y’omu eyakiikirirwa ekifuba n’emikono ebya ffeeza eby’omu kifaananyi ekinene, nga luno lwe lunyiriri lw’abafuzi ba Bumeedi ne Buperusi (539-331 B.C.E.) olwatandikira ku Daliyo Omumeedi ne Kuulo Omukulu ne lukoma ku Daliyo III.
11. Okuba nti eddubu ery’akabonero liyimuseeko oluuyi olumu era nga lirina embiriizi ssatu mu kamwa kaalyo bitegeeza ki?
11 Eddubu lino ery’akabonero lyali ‘liyimuseeko oluuyi olumu,’ oboolyawo nga lyetegese okulumba n’okuwangula amawanga ate lisigalewo ng’obufuzi kirimaanyi. Oba kino kiyinza okuba nga kyali kiraga nti olunyiriri lwa bakabaka ba Buperusi lwandisinzizza obuyinza kabaka Omumeedi omu yekka, Daliyo. Embiriizi essatu ezaali mu mannyo gaalyo ziyinza okuba zaali zooleka enjuyi essatu gye lyagenda nga liwangula. Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi obukiikirirwa “eddubu” bwayolekera amambuka ne buwamba Babulooni mu 539 B.C.E. Bwayolekera ebugwanjuba okuyitira mu Asiya Omutono okutuuka mu Tulasi. Mu nkomerero, “eddubu” lyayolekera amaserengeta okuwamba Misiri. Okuva nnamba ssatu emirundi egimu bw’eyoleka okuggumiza, embiriizi essatu era ziyinza okuba nga ziggumiza nti eddubu ery’akabonero lyalina omulugube ogw’okuwangula.
12. Kiki ekyaliwo eddubu ery’akabonero bwe lyagondera ekiragiro nti: “Golokoka, olye ennyama nnyingi”?
12 “Eddubu” lyalumba amawanga nga lyanukula ebigambo: “Golokoka, olye ennyama nnyingi.” Ng’ewangudde Babulooni nga Katonda bwe yakkiriza kibe, Bumeedi ne Buperusi yali esobola okukolera abantu ba Yakuwa ekintu eky’omuganyulo. Era yakikola! (Laba “Omufuzi Omugumiikiriza,” ku lupapula 149.) Okuyitira mu Kuulo Omukulu, Daliyo I (Daliyo Omukulu), ne Alutagizerugizi I, Bumeedi ne Buperusi yasumulula Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni era n’ebayamba okuddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa n’okuddaabiriza bbuggwe wa Yerusaalemi. Mu nkomerero, Bumeedi ne Buperusi yasobola okufuga amasaza agasukka mu 127, era Akaswero (Zaakisisi I), bba wa Kwiini Eseza, yali ‘kabaka okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya.’ (Eseza 1:1) Kyokka, ensolo endala yali enaatera okuvaayo.
YA MBIRO NG’ENGO ERINA EBIWAAWAATIRO!
13. (a) Ensolo ey’okusatu yakiikirira ki? (b) Kiki ekiyinza okwogerwa ku sipiidi y’ensolo ey’okusatu era n’ettwale lyayo?
13 Ensolo ey’okusatu yali “ng’engo, eyalina ebiwaawaatiro ebina eby’ennyonyi ku mabega gaayo: era ensolo yalina n’emitwe ena: n’eweebwa okufuga.” (Danyeri 7:6) Okufaananako olubuto n’ebisambi eby’ekikomo eby’omu kifaananyi Nebukadduneeza kye yaloota, engo eno ey’ebiwaawaatiro ebina era ey’emitwe ena ekiikirira olunyiriri lw’abafuzi b’omu Makedoni oba Buyonaani, okutandikira ku Alekizanda Omukulu. Ne sipiidi eringa ey’engo, Alekizanda yayita mu Asiya Omutono, n’aserengeta mu Misiri, olwo ate n’ayolekera ensalo ya Buyindi ey’ebugwanjuba. (Geraageranya Kaabakuuku 1:8.) Ettwale lye lyali ddene nnyo okusinga erya “eddubu,” kubanga lyazingiramu Makedoni, Buyonaani, n’Obwakabaka bwa Buperusi.—Laba “Kabaka Omuto Awangula Ensi,” ku lupapula 153.
14. “Engo” yafuuka etya ey’emitwe ena?
14 “Engo” yafuuka ya mitwe ena oluvannyuma lw’okufa kwa Alekizanda mu 323 B.C.E. Abagabe be bana baamusikira ku bufuzi mu bitundu bina eby’enjawulo eby’obwakabaka bwe. Serewuko yafuga Mesopotamiya ne Busuuli. Ttolemi yatwala Misiri ne Palesitayini. Liisimaka yafuga Asiya Omutono ne Tutasi, ate Kasanda n’atwala Makedoni ne Buyonaani. (Laba “Obwakabaka Obunene Bwawulwamu,” ku lupapula 162.) Awo, ate ne wayimukawo obufuzi obulala obw’entiisa.
ENSOLO EY’ENTIISA EBA YA NJAWULO
15. (a) Nnyonnyola ensolo ey’okuna. (b) Ensolo ey’okuna yakiikirira ki, era yamenyaamenya etya era n’erya buli ekyali mu maaso gaayo?
15 Danyeri yannyonnyola ensolo ey’okuna okuba “ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo.” Yagattako: “Era yalina amannyo amanene ag’ekyuma: yalya, n’emenyaamenya, n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: era teyafaanana ng’ensolo zonna ezaagisooka: era yalina amayembe kkumi.” (Danyeri 7:7) Ensolo eno ey’entiisa yatandika ng’obufuzi obw’ekinnamagye mu Rooma. Mpola mpola yawangula ebitundu ebina eby’Obwakabaka bwa Buyonaani, era omwaka 30 B.C.E., we gwatuukira, Rooma yali efuuse obufuzi kirimaanyi obwaddako mu bunnabbi bwa Baibuli. Nga bukozesa amaanyi gaabwo okuwangula buli kimu, Obwakabaka bw’Abaruumi bwatwala ekitundu okuviira ddala ku Bizinga bya Bungereza okuzingiramu ekitundu ekisinga obunene ekya Bulaaya, okutuukira ddala ku Nnyanja Meditereniyani era n’emitala wa Babulooni okutuuka ku Kyondo kya Buperusi.
16. Malayika yayogera ki ku nsolo ey’okuna?
16 Ng’ayagala okutegeerera ddala ensolo eno “ey’entiisa era ey’obuyinza,” Danyeri yawuliriza bulungi nga malayika annyonnyola: “N’amayembe [gaayo] ekkumi, mu bwakabaka obwo muliva bakabaka kkumi abaligolokoka: n’omulala alibaddirira aligolokoka: naye talifaanana ng’ab’olubereberye, naye aliggyawo bakabaka basatu.” (Danyeri 7:19, 20, 24) ‘Amayembe ago ekkumi’ oba “bakabaka kkumi” bakiikirira ki?
17. ‘Amayembe ekkumi’ ag’ensolo ey’okuna gakiikirira ki?
17 Rooma bwe yeeyongera okugaggawala era n’okwonooneka mu mpisa olw’enneeyisa ey’obugwenyufu ey’ekibiina ekifuzi, amaanyi gaayo mu by’ekijaasi gaakendeera. Oluvannyuma lw’ekiseera, kyeyolekera ddala nti Rooma yali tekyali ya maanyi. Obwakabaka obwali obw’amaanyi bwakutukakutukamu. Olw’okuba Baibuli etera okukozesa nnamba kkumi okutegeeza obujjuvu, ‘amayembe ago ekkumi’ ag’ensolo ey’okuna gakiikirira obwakabaka bwonna obwajjawo nga Rooma esattulukuse.—Geraageranya Ekyamateeka 4:13; Lukka 15:8; 19:13, 16, 17.
18. Rooma yeeyongera etya okulaga obuyinza bwayo mu Bulaaya okumala ebyasa bingi oluvannyuma lwa empura waayo eyasembayo?
18 Kyokka, Obufuzi Kirimaanyi obw’Abaruumi tebwakoma nga empura waabwo eyasembayo mu Rooma aggiddwawo mu 476 C.E. Okumala ebyasa bingi, Rooma ng’efugibwa ppaapa yeeyongera okwoleka obuyinza bwayo mu Bulaaya mu by’obufuzi, era n’okusingira ddala mu by’eddiini. Yakikola okuyitira mu nkola yaayo ey’obufuzi, abantu abasinga obungi mu Bulaaya mwe baabeerera nga bavunaanyizibwa eri abaami, n’oluvannyuma eri kabaka. Era bakabaka bonna bakkiriza obuyinza bwa ppaapa. Bwe kityo, Obwakabaka bwa Rooma Obutukuvu, nga ppaapa mu Rooma y’ali ku ntikko, bwafuga ensi ebbanga eryo lyonna eggwanvu ery’omu byafaayo eriyitibwa Ebiro eby’Ekizikiza.
19. Okusinziira ku munnabyafaayo omu, Rooma yayawukana etya ku bwakabaka obwali buvuddewo?
19 Ani ayinza okukiwakanya nti ensolo ey’okuna ‘yali ya njawulo okuva ku bwakabaka obulala bwonna’? (Danyeri 7:7, 19, 23) Ku nsonga eno, munnabyafaayo H. G. Wells yawandiika: “Obwakabaka bwa Rooma buno obuppya . . . bwali bwa njawulo mu ngeri nnyingi okuva ku bwakabaka obulala obunene bwonna obwali bubaddewo mu nsi engunjufu. . . . [Bwa]sembeza Abayonaani bonna mu nsi, era tebwalimu nnyo bantu ab’omu lunyiriri lwa Kaamu ne Seemu ng’obwakabaka obulala obwali buvuddewo . . . Bwalina enkola mpya nnyo mu byafaayo . . . Obwakabaka bw’Abaruumi bweyongera okugaziwa, okugaziwa okutaategekebwa; Abaruumi kumpi beesanga bwesanzi nga balina obufuzi obunene.” Kyokka, ensolo ey’okuna yali ya kweyongera okusingawo.
EJJEMBE ETTONO LIFUNA OBUYINZA
20. Malayika yayogera ki ku jjembe ettono eryameruka mu mutwe gw’ensolo ey’okuna?
20 “N[n]akebera amayembe,” bw’atyo Danyeri bwe yagamba, “era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala.” (Danyeri 7:8) Ku bikwata ku kumeruka kuno, malayika yagamba Danyeri: “N’omulala alibaddirira [bakabaka ekkumi] aligolokoka: naye talifaanana ng’ab’olubereberye, naye aliggyawo [“alifeebya,” NW] bakabaka basatu.” (Danyeri 7:24) Kabaka ono y’ani, yayimukawo ddi, era bakabaka ki abasatu be yafeebya?
21. Bungereza yajja etya okuba ejjembe ettono ery’akabonero ery’ensolo ey’okuna?
21 Lowooza ku bino ebyaliwo. Mu 55 B.C.E., Omugabe Omuruumi Yuliyo Kayisaali yalumba Bungereza naye yalemwa okusimbayo amakanda. Mu 43 C.E., Empura Kulawudiyo yasobola okusimba amakanda mu maserengeta ga Bungereza. Awo ate, mu 122 C.E., Empura Kaduliyani yatandika okuzimba buggwe okuva ku Mugga Tayini okutuuka ku Kikono ky’Ennyanja eky’e Solowe, ng’alamba ensalo ey’omu mambuka ey’Obwakabaka bw’Abaruumi. Mu ntandikwa y’ekyasa eky’okutaano, eggye ly’Abaruumi lyava ku kizinga ekyo. Munnabyafaayo omu yannyonnyola nti: “Mu kyasa eky’ekkumi n’omukaaga, Bungereza teyali ya maanyi nnyo. Obugagga bwayo bwali tebwenkana na bwa Nazalandi. Yalimu abantu batono nnyo okusinga Bufalansa. Amagye gaayo (nga mw’otwalidde n’ag’oku nnyanja) tegaali ga maanyi nga aga Sipeyini.” Mu kiseera ekyo Bungereza bwali bwakabaka butono, nga lye jjembe ettono ery’akabonero ery’ensolo ey’okuna. Naye ebintu byali bigenda kukyuka.
22. (a) Mayembe ki amalala asatu ag’ensolo ey’okuna agaawangulwa ejjembe “ettono”? (b) Olwo Bungereza yafuuka ki?
22 Mu 1588, Firipo II owa Sipeyini yasindika Eggye lya Sipeyini ery’oku mazzi okulumba Bungereza. Eggye lino eryalimu amaato 130, nga geetisse abasajja abasukka mu 24,000, lyatuuka mu mazzi g’ennyanja eyawula Bungereza ku Bufalansa, kyokka ne lisesebbulwa eggye lya Bungereza ery’oku mazzi era ne liyisibwa bubi nnyo embuyaga ennene ez’oku nnyanja Atalantika. Ekyaliwo kino “kyalaga nti eggye lya Bungereza ery’oku mazzi lyali lisinga erya Sipeyini amaanyi,” bw’atyo munnabyafaayo omu bwe yayogera. Mu kyasa ekya 17, obwakabaka bwa Nazalandi bwe bwali busingayo okuba n’amaato ag’eby’obusuubuzi mu nsi yonna. Kyokka nga yeeyongedde okufuna amatwale amalala emitala w’amayanja, Bungereza yasukkuluma ku bwakabaka obwo. Mu kyasa ekya 18, Abangereza n’Abafalansa baalwanaganira mu Amereka ow’Ebukiika Ddyo ne mu Buyindi, ne kivaamu okukola Endagaano y’e Paris mu 1763. Endagaano eno, omuwandiisi William B. Willcox yagyogerako nti “yayoleka ekifo kya Bungereza ekippya ng’eggwanga lya Bulaaya kirimaanyi emitala wa Bulaaya.” Eryanyi lya Bungereza lyakakasibwa bwe yawangula Napoliyani owa Bufalansa mu 1815 C.E. “Bakabaka abasatu” Bungereza be ‘yafeebya’ baali Sipeyini, Nazalandi, ne Bufalansa. (Danyeri 7:24, NW) Ekyavaamu, Bungereza yafuuka eggwanga kirimaanyi mu nsi mu by’obufuzi bw’amatwale ne mu by’obusuubuzi. Yee, ejjembe “ettono” lyakula ne lifuuka obufuzi kirimaanyi!
23. Mu ngeri ki ejjembe ettono ery’akabonero gye ‘lyalya ensi yonna’?
23 Malayika yagamba Danyeri nti ensolo ey’okuna, oba obwakabaka obw’okuna, ‘bwandiridde ensi yonna.’ (Danyeri 7:23) Ekyo kyatuukirira ku bikwata ku ssaza ly’obwakabaka bw’Abaruumi eryali limanyiddwa nga Bulitaniya. Oluvannyuma lyafuuka Obwakabaka bwa Bungereza era ne ‘lirya ensi yonna.’ Mu kiseera ekimu, obwakabaka buno bwali bufuga kimu kya kuna eky’ensi yonna era nga bulimu kimu kya kuna eky’omuwendo gw’abantu abaali mu nsi yonna.
24. Munnabyafaayo omu yayogera ki ku bwawufu bw’Obwakabaka bwa Bungereza?
24 Ng’Obwakabaka bw’Abaruumi bwe bwali obw’enjawulo ku bufuzi kirimaanyi obwasookawo, kabaka akiikirirwa “ejjembe” ettono naye yandibadde ‘tafaanana ng’ab’olubereberye.’ (Danyeri 7:24) Ku bikwata ku Bwakabaka bwa Bungereza, munnabyafaayo H. G. Wells yagamba: “Obufuzi obubufaanana bwali tebubangawo. Okusooka byonna, bwalina ‘gavumenti ekulemberwa kabaka’ efuga Obwakabaka bwa Bungereza Bwonna Awamu . . . Teri kibiina oba muntu yenna eyasobola okutegeerera ddala Obwakabaka bwa Bungereza nga bwe bwali bwonna. Bwali bwawufu nnyo ku bufuzi bwonna obwali buyitiddwa obwakabaka emabega.”
25. (a) Mu kiseera kino, ejjembe ettono ery’akabonero kye ki? (b) Mu ngeri ki ejjembe “ettono” gye lirina “amaaso ng’amaaso g’omuntu” ne ‘akamwa akoogera ebikulu’?
25 Ejjembe eryo “ettono” lyali lizingiramu ekirala ng’oggyeko Obwakabaka bwa Bungereza. Mu 1783, Bungereza yawa obwetwaze amatwale gaayo 13 ag’omu Amereka. Oluvannyuma Amereka yafuuka ya mukago ne Bungereza, era Ssematalo II okugenda okuggwa nga Amereka lye ggwanga erisingayo okuba ery’amaanyi mu nsi yonna. Ekyalina enkolagana ey’amaanyi ne Bungereza. Obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amereka lye ‘jjembe eririna amaaso.’ Mazima ddala, obufuzi buno kirimaanyi butunula era bukujjukujju nnyo! ‘Bwogera ebikulu,’ nga buwaliriza ensi ezisinga obungi okugoberera enkola yaabwo era nga bwe bulinga omwogezi waazo, oba “nnabbi ow’obulimba.”—Danyeri 7:8, 11, 20; Okubikkulirwa 16:13; 19:20.
EJJEMBE ETTONO LIZIYIZA KATONDA N’ABATUKUVU BE
26. Malayika yalagula ki ku njogera n’ebikolwa by’ejjembe ery’akabonero eri Yakuwa n’abaweereza be?
26 Danyeri yeeyongera okunnyonnyola bye yayolesebwa, ng’agamba: “Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu, ne libasinga.” (Danyeri 7:21) Ku bikwata ku ‘jjembe’ lino oba kabaka ono, malayika wa Katonda yalagula: “Era alyogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwaanyisa ebiseera n’amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ebiseera lwe biriggwaa[k]o.” (Danyeri 7:25) Ekitundu kino eky’obunnabbi kyatuukirizibwa ddi era mu ngeri ki?
27. (a) “Abatukuvu” abayigganyizibwa ejjembe “ettono” be baani? (b) Ejjembe ettono lyagezaako litya “okuwaanyisa ebiseera n’amateeka”?
27 “Abatukuvu” abaayigganyizibwa ejjembe “ettono,” Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amereka, be bagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta abali ku nsi. (Abaruumi 1:7; 1 Peetero 2:9) Okumala emyaka egiwera nga Ssematalo I tannatuuka, ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta baalabula mu lujjudde nti omwaka 1914 gwe gwandifundikidde “ebiseera by’ab’amawanga ebigereke.” (Lukka 21:24, NW) Olutalo bwe lwabalukawo mu mwaka ogwo, kyalabika lwatu nti ejjembe “ettono” lyali lisudde muguluka okulabula kuno, kubanga lyeyongera okuyigganya “abatukuvu” abaafukibwako amafuta. Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amereka bwabaziyiza nga batuukiriza ekiragiro kya Yakuwa (oba, ‘etteeka lye’) nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka galina okubuulirwa mu nsi yonna abajulirwa be. (Matayo 24:14, NW) Bwe kityo ejjembe lino “ettono” lyagezaako “okuwaanyisa ebiseera n’amateeka.”
28. “Ekiseera, n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera” byenkana wa obuwanvu?
28 Malayika wa Yakuwa yayogera ku biseera eby’obunnabbi ebirimu “ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ebiseera.” Byenkana wa obuwanvu? Okutwalira awamu, abataputa Baibuli bakkiriziganya nti ebigambo ebyo bitegeeza ebiseera bisatu n’ekitundu, ng’ogasse wamu ekiseera kimu, n’ebiseera bibiri, n’ekitundu ky’ekiseera. Okuva “ebiseera omusanvu” nga Nebukadduneeza agudde eddalu bwe gyali emyaka musanvu, ebiseera ebisatu n’ekitundu giba emyaka esatu n’ekitundu.c (Danyeri 4:16, 25) Enkyusa ya An American Translation egamba: “Baliweebwayo gy’ali okumala omwaka gumu, emyaka ebiri, n’ekitundu ky’omwaka.” Enkyusa ya James Moffatt egamba: “Okumala emyaka esatu n’ekitundu.” Ebbanga lye limu lyogerwako mu Okubikkulirwa 11:2-7, awagamba nti abajulirwa ba Katonda bandyambadde ebibukutu okumala emyezi 42, oba ennaku 1,260, era oluvannyuma ne battibwa. Ebiseera bino byatandika ddi era ne bikoma ddi?
29. Ddi era mu ngeri ki emyaka esatu n’ekitundu egy’obunnabbi lwe gyatandika?
29 Eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Ssematalo I kyali kiseera kya kugezesebwa. Ku nkomerero ya 1914, baali basuubira okuyigganyizibwa. Mu butuufu, ekyawandiikibwa ekyalondebwa okuba eky’omwaka 1915 kyali kibuuzo Yesu kye yabuuza abayigirizwa be nti, “Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Kyali kyesigamiziddwa ku Matayo 20:22. N’olwekyo, okutandikira mu Ddesemba 1914, ekibinja ekyo ekitono eky’abajulirwa baabuulira nga bambadde “ebibukutu.”
30. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baayigganyizibwa batya Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka mu Ssematalo I?
30 Ng’olutalo lweyongera okunyiinyiitira, Abakristaayo abaafukibwako amafuta beeyongera okuziyizibwa ennyo. Abamu baasibibwa mu makomera. Ab’oluganda kinnoomu, gamba nga Frank Platt mu Bungereza ne Robert Clegg mu Canada, baatulugunyizibwa ab’obuyinza abakambwe. Nga Febwali 12, 1918, Ettwale lya Bungereza ery’e Canada lyawera omuzingo ogw’omusanvu ogwa Studies in the Scriptures ogwali gwakafulumizibwa, oguyitibwa The Finished Mystery, awamu ne butulakiti obuyitibwa The Bible Students Monthly. Omwezi ogwaddako, Ekitongole ky’Obulamuzi mu Amereka kyalangirira nti kyali kimenya mateeka okubunyisa omuzingo ogwo ogw’omusanvu. Biki ebyavaamu? Ennyumba zaayazibwa, ebitabo ne bitwalibwa, era abasinza ba Yakuwa abamu ne bakwatibwa!
31. Ddi era mu ngeri ki “ekiseera, n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera” lwe byakoma?
31 Okutulugunyizibwa kw’abo Katonda be yafukako amafuta kwatuuka ku ntikko nga Jjuuni 21, 1918, prezidenti, J. F. Rutherford, n’abalala ab’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu Watch Tower Bible and Tract Society bwe baasalirwa ekibonerezo eky’okusibibwa mu kkomera ekiseera ekiwanvu nga basibiddwako emisango egy’obulimba. Nga ligezaako “okuwaanyisa ebiseera n’amateeka,” ejjembe lino “ettono” lyali ng’erimaze okuttira ddala omulimu gw’okubuulira. (Okubikkulirwa 11:7) Bwe kityo ebiseera ebyalagulwa ebirimu “ekiseera, n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera” byaggwaako mu Jjuuni 1918.
32. Lwaki wandigambye nti “abatukuvu” tebaasaanyizibwawo jjembe “ettono”?
32 Naye “abatukuvu” tebaasaanyizibwawo mu kuyigganyizibwa kuno okwava eri ejjembe “ettono.” Nga bwe kyalagulwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa, oluvannyuma lw’akabanga katono nga tebakola mulimu gwabwe, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baalamuka era ne baddamu okukakkalabya omulimu gwabwe. (Okubikkulirwa 11:11-13) Nga Maaki 26, 1919, prezidenti wa Watch Tower Bible and Tract Society ne banne baasumululwa mu kkomera, era oluvannyuma baggibwako emisango gyonna egy’obulimba egyali gibasibiddwako. Amangu ddala, ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta beetegekera okukola emirimu egisingawo. Naye kiki ekyali kirindiridde ejjembe “ettono”?
EYAAKAMALA ENNAKU ENNYINGI ALAMULA
33. (a) Eyaakamala Ennaku Ennyingi y’ani? (b) ‘Ebitabo ebyabikkulwa’ mu Kkooti y’omu ggulu bye biruwa?
33 Oluvannyuma lw’okwogera ku nsolo ennya, Danyeri aggya amaaso ge ku nsolo ey’okuna n’atunuulira ebiri mu ggulu. Alaba Eyaakamala Ennaku Ennyingi ng’atuula ku ntebe ye ey’ekitiibwa ng’Omulamuzi. Eyaakamala Ennaku Ennyingi ye Yakuwa Katonda kennyini. (Zabbuli 90:2) Nga Kkooti ey’omu ggulu etudde, Danyeri alaba ‘ebitabo nga bibikkulwa.’ (Danyeri 7:9, 10) Okuva Yakuwa bw’abaddewo emirembe gyonna, amanyi byonna ebibaddewo mu byafaayo by’omuntu nga gy’obeera biwandiikiddwa mu kitabo. Yeetegerezza ensolo zonna ennya ez’akabonero era asobola okuzisalira omusango okusinziira ku by’alabye ye kennyini.
34, 35. Kiki ekijja okutuuka ku jjembe “ettono” n’obufuzi bw’ensolo endala?
34 Danyeri yeeyongera okugamba: “Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.” (Danyeri 7:11, 12) Malayika agamba Danyeri: “Kkooti n’etuula, era obufuzi bwe ne bumuggibwako, alyoke amalibwewo era azikirizibwe ddala.”—Danyeri 7:26, NW.
35 Okusinziira ku nsala y’Omulamuzi Omukulu, Yakuwa Katonda, ejjembe eryamuvvoola era ne liyigganya “abatukuvu” be lijja kutuukibwako kye kimu ekyatuuka ku Bwakabaka bw’Abaruumi obwayigganya Abakristaayo abaasooka. Obufuzi bwalyo tebujja kweyongera mu maaso. Era n’obwa “bakabaka” abalala abalinga amayembe abaasibuka mu Bwakabaka bw’Abaruumi. Ate, bwo, obufuzi obwasibuka mu nsolo endala ez’obufuzi ezaasookawo? Nga bwe kyalagulwa, obulamu bwazo bwayongerwako “ebbanga n’ekiseera.” Ebitundu bye zaali zifuga byeyongedde okubeeramu abantu n’okutuusa mu biseera byaffe. Ng’ekyokulabirako, eggwanga lya Iraq liri mu kitundu awaalinga Babulooni eky’edda. Buperusi (Iran) ne Buyonaani bikyaliwo. Ensigalira z’obufuzi buno kirimaanyi ziri mu kibiina ky’Amawanga Amagatte. Obwakabaka buno nabwo bujja kusaanyizibwawo ku kuzikirizibwa kw’obufuzi kirimaanyi obusembayo. Gavumenti z’abantu zonna zijja kuzikirizibwa ku “lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Naye, olwo, ani anaafuga ensi?
OBUFUZI OBW’OLUBEERERA BULI KUMPI!
36, 37. (a) “Eyafaanana ng’omwana w’omuntu” y’ani, ate ddi, era lwaki yalabika mu Kkooti ey’omu ggulu? (b) Kiki ekyateekebwawo mu 1914 C.E.?
36 Danyeri yagamba: “Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.” (Danyeri 7:13) Ng’ali ku nsi, Yesu Kristo yeeyitanga “Omwana w’omuntu,” nga kiraga nti alina oluganda n’abantu. (Matayo 16:13; 25:31) Ng’ayogera eri kkooti enkulu ey’Abayudaaya, Yesu yagamba: “Muliraba Omwana w’omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’amaanyi, ng’ajjira ku bire eby’eggulu.” (Matayo 26:64) Bwe kityo, mu kwolesebwa kwa Danyeri, oyo ajja, atalabika eri amaaso g’abantu, era asembezebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda yali Yesu Kristo eyazuukizibwa n’agulumizibwa. Kino kyaliwo ddi?
37 Katonda akoze endagaano y’Obwakabaka ne Yesu Kristo, nga bwe yakola ne Kabaka Dawudi. (2 Samwiri 7:11-16; Lukka 22:28-30) “Ebiseera by’ab’amawanga ebigereke” bwe byaggwaako mu 1914 C.E., Yesu Kristo, ng’omusika wa Dawudi, yaweebwa obufuzi bw’Obwakabaka. Ebigambo bya Danyeri eby’obunnabbi bisoma: “N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” (Danyeri 7:14) Bwe kityo Obwakabaka bwa Masiya bwateekebwawo mu ggulu mu 1914. Kyokka, waliwo n’abalala abaweebwa obufuzi.
38, 39. Baani abajja okuweebwa obufuzi bw’ensi emirembe gyonna?
38 Malayika yagamba: “Abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka.” (Danyeri 7:18, 22, 27) Yesu Kristo ye mutukuvu omukulu. (Ebikolwa 3:14; 4:27, 30) “Abatukuvu” abalala abaweebwa okufuga be Bakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta 144,000, abasika b’Obwakabaka awamu ne Kristo. (Abaruumi 1:7; 8:17; 2 Abassesaloniika 1:5; 1 Peetero 2:9) Bazuukizibwa ng’emyoyo egitafa egy’okufuga ne Kristo ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 2:10; 14:1; 20:6) N’olwekyo, Kristo Yesu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abazuukiziddwa bajja kufuga ensi.
39 Ku bikwata ku bufuzi bw’Omwana w’omuntu ne “abatukuvu” abalala abazuukiziddwa, malayika wa Katonda yagamba: “Obwakabaka n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, abantu ab’abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n’amatwale gonna galimuweereza [era] galimuwulira.” (Danyeri 7:27) Ng’abantu balifuna emikisa mingi wansi w’Obwakabaka obwo!
40. Tusobola tutya okuganyulwa mu kussaayo omwoyo ku kirooto kya Danyeri ne bye yayolesebwa?
40 Danyeri teyamanya kutuukirizibwa kwonna okw’ekitalo okw’okwolesebwa okwamuweebwa Katonda. Yagamba: “Ekigambo ekyo we kikoma wano. Nange Danyeri, ebirowoozo byange byanneeraliikiriza nnyo, n’amaaso gange ne gawaanyisibwa gye ndi: naye ne nzisa ekigambo ekyo mu mutima gwange.” (Danyeri 7:28) Naye ffe, tuli mu kiseera mwe tusobola okutegeerera okutuukirizibwa kw’ebyo Danyeri bye yalaba. Okussaayo omwoyo ku bunnabbi buno kujja kunyweza okukkiriza kwaffe era n’obwesige bwaffe nti Kabaka Masiya, Yakuwa gw’alonze ajja kufuga ensi.
[Obugambo obuli wansi]
a Nga twekenneenya okwolesebwa okusangibwa mu Danyeri 7:1-14 lunyiriri ku lunyiriri, tujja kukukwataganya n’ennyiriri ezikutangaazaako eziri mu Danyeri 7:15-28 okusobola okukutegeera obulungi n’okwewala okuddiŋŋana.
b Laba Essuula 4 ey’ekitabo kino.
c Laba Essuula 6 ey’ekitabo kino.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Buli emu ku nsolo ‘ennya eziva mu nnyanja’ ekiikirira ki?
• Ejjembe “ettono” kye ki?
• “Abatukuvu” baayigganyizibwa batya ejjembe ettono ery’akabonero mu Ssematalo I?
• Kiki ekijja okutuuka ku jjembe ettono ery’akabonero n’obufuzi bw’ensolo endala?
• Oganyulwa otya mu kussaayo omwoyo ku kirooto kya Danyeri n’okwolesebwa okukwata ku ‘nsolo ennya ennene’?
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 149-152]
OMUFUZI OMUGUMIIKIRIZA
OMUWANDIISI Omuyonaani ow’omu kyasa eky’okutaano B.C.E., yamujjukira ng’omufuzi omulungi era omugumiikiriza. Mu Baibuli ayitibwa oyo Katonda gwe “yafukako amafuta” era ‘ekinyonyi eky’amaddu’ ekiva “ebuvanjuba.” (Isaaya 45:1; 46:11) Omufuzi ayogerwako bw’atyo ye Kuulo Omukulu, owa Buperusi.
Kuulo yatandika okututumuka awo nga mu 560/559 B.C.E., bwe yasikira kitaawe Kambisesi I ku nnamulondo ya Ansani, ekibuga oba essaza mu Buperusi eky’edda. Mu kiseera ekyo Ansani kyali wansi w’obufuzi bwa Asitajesi Kabaka wa Bumeedi. Bwe yeewaggula ku bufuzi bwa Bumeedi, Kuulo yatuuka mangu ku buwanguzi kubanga eggye lya Asitajesi lyadda ku ludda lwe. Era Kuulo yafuna obuwagizi bw’Abameedi. Oluvannyuma lw’ekyo, Abameedi n’Abaperusi baalwaniranga wamu wansi w’obukulembeze bwe. Mu ngeri eyo obufuzi bwa Bumeedi ne Buperusi bwatandikawo era bwagaziwa ne buba nga buva ku Nnyanja Agiyani okutuuka ku Mugga Indusi.—Laba mmaapu.
Ng’ali n’amagye amagatte aga Bumeedi ne Buperusi, Kuulo yasooka kuwamba ekifo ekyabangamu ennyo okulwanagana mu bugwanjuba bwa Bumeedi, Kabaka Kulosasi owa Lidiya gye yali agaziya obufuzi bwe mu ttwale lya Bumeedi. Ng’ayolekera ensalo ey’ebuvanjuba ey’Obwakabaka bwa Lidiya mu Asiya Omutono, Kuulo yawangula Kulosasi era n’awamba ekibuga kye ekikulu, Saadi. Oluvannyuma lw’ekyo, Kuulo yawangula ebibuga by’Abayonaani era n’afuula Asiya Omutono yenna okuba ettwale ly’Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi. Mu ngeri eyo yatandika okuvuganya ne Babulooni ne kabaka waayo, Nabonidasi.
Oluvannyuma Kuulo yateekateeka okwaŋŋanga Babulooni ey’amaanyi. Okuva ku kiseera ekyo n’okweyongerayo, yatandika okutuukiriza obunnabbi bwa Baibuli. Ng’ayitira mu nnabbi Isaaya, ebyasa nga bibiri emabega, Yakuwa yali ayogedde nti Kuulo ye mufuzi eyandiwangudde Babulooni n’aggya Abayudaaya mu busibe. Olw’obuvunaanyizibwa obwo obwamuweebwa, Ebyawandiikibwa kyebiva byogera ku Kuulo ng’oyo Yakuwa gwe “yafukako amafuta.”—Isaaya 44:26-28.
Kuulo bwe yalumba Babulooni mu 539 B.C.E., yayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi. Nga kyetooloddwa bbugwe ow’amaanyi era n’amazzi amawanvu ag’omugga Fulaati, ekibuga kyalabika ng’ekitayinza kuwangulwa. Omugga Fulaati we gwali guyita mu Babulooni, ekisenge ekiwanvu ennyo ekyalina enzigi ennene ez’ekikomo kyali kizimbiddwa ku mbalama zaagwo. Kuulo yandisobodde atya okuwamba Babulooni?
Emyaka egisukka mu kikumi emabegako, Yakuwa yali alagudde nti ‘amazzi gaakyo galibaako ekizibu’ era nti “galikalira.” (Yeremiya 50:38, NW) Ng’obunnabbi obwo bwe bwalaga, Kuulo yawugula amazzi g’Omugga Fulaati mayiro ntonotono mu mambuka ga Babulooni. Awo eggye lye ne liyita mu ttosi ku ntobo y’omugga, ne lyambuka okutuuka ku kisenge, era ne liyingira ekibuga awatali buzibu bwonna kubanga enzigi ez’ekikomo zaali teziggaddwa. Okufaananako ‘ekinyonyi eky’amaddu’ ekizinduukiriza omuyiggo gwakyo, omufuzi ono “okuva ebuvanjuba,” yawangula Babulooni mu kiro kimu kyokka!
Obuwanguzi bwa Kuulo bwasobozesa Abayudaaya mu Babulooni okusumululwa okuva mu buwambe kwe baali balinze okumala ebbanga ddene era emyaka 70 ensi yaabwe gye yali erekeddwa matongo ne gikoma. Nga bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo Kuulo bwe yayisa ekirangiriro ekibakkiriza okuddayo e Yerusaalemi okuddamu okuzimba yeekaalu! Era Kuulo yabaddiza ebintu eby’omuwendo eby’omu yeekaalu Nebukadduneeza bye yali atutte e Babulooni, n’abakkiriza okuggya e Lebanooni embaawo, era n’abawa ensimbi okuva mu nnyumba ya kabaka ez’okukozesa mu kuzimba.—Ezera 1:1-11; 6:3-5.
Okutwalira awamu, Kuulo yali wa kisa era mugumiikiriza mu ngeri gye yakolaganangamu n’abantu be yabanga awangudde. Ensonga emu eyinza okuba nga ye yamuleetera okweyisa bw’atyo ye ddiini ye. Oboolyawo, Kuulo yali agoberera enjigiriza za nnabbi Omuperusi ayitibwa Zorowasita era nga yasinzanga Akura Mazida, katonda eyali atwalibwa okuba omutonzi wa buli kirungi. Mu kitabo kye The Zoroastrian Tradition, Farhang Mehr yawandiika: “Zorowasita yagamba nti Katonda atuukiridde mu mpisa. Yagamba abantu nti Akura Mazida tawoolera ggwanga naye mwenkanya era nga n’olwekyo, tasaanidde kutiibwa wabula okwagalibwa.” Okukkiririza mu katonda ow’empisa era omwenkanya kiyinza okuba kirina kye kyakola ku mpisa za Kuulo era ne kimuleetera okuba omugumiikiriza era omwenkanya.
Kyokka, kabaka ono yali tayinza kugumiikiriza mbeera y’obudde ey’e Babulooni. Ebbugumu eringi eryabangawo mu kyeya yalinga tasobola kuligumira. Bwe kityo, wadde Babulooni yasigala nga kye kibuga ekikulu eky’obwakabaka, era nga kye kitebe ekikulu eky’eddiini n’eby’obuwangwa, okutwalira awamu yabeerangayo mu biseera eby’obutiti byokka. Mu butuufu, oluvannyuma lw’okuwangula Babulooni, Kuulo yaddayo mangu mu Ekibatana, ekibuga kye yabeerangamu mu kyeya, ekyali ku Lusozi Alwandi. Ebiseera eby’obutiti n’obudde obulungi obw’ekyeya ebyali eyo byamusanyusanga nnyo. Kuulo era yazimba olubiri olunene mu kibuga kye ekikulu ekyasooka, Pasagade (okumpi ne Perusepolisi), mayiro 400 mu buvanjuba bw’amaserengeta ga Ekibatana. Amaka ago ge yawummulirangamu.
Bwe kityo, Kuulo ajjukirwa ng’omuwanguzi omuzira era omufuzi eyali omugumiikiriza. Obufuzi bwe obw’emyaka 30 bwakoma bwe yafa mu mwaka 530 B.C.E. bwe yali ng’atabaala. Mutabani we Kambisesi II yamusikira ku ntebe ya Buperusi.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Mu ngeri ki Kuulo Omuperusi gye yali oyo Yakuwa “gwe yafukako amafuta”?
• Kiki eky’omuwendo Kuulo kye yakolera abantu ba Yakuwa?
• Kuulo yayisanga atya abantu be yabanga awangudde?
[Mmaapu]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
OBWAKABAKA BWA BUMEEDI NE BUPERUSI
MAKEDONI
Menfisi
MISIRI
BUWESIYOPIYA
Yerusaalemi
Babulooni
Ekibatana
Susa
Perusepolisi
BUYINDI
[Ekifaananyi]
Entaana ya Kuulo, e Pasagade
[Ekifaananyi]
Ekibumbe ekiri mu lubiri lwa Kuulo e Pasagade
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 153-161]
KABAKA OMUTO AWANGULA ENSI
EMYAKA nga 2,300 egiyise, omugabe ow’enviiri eza langi eya zaabu, ng’atemera mu myaka 20 yayimirira ku lubalama lw’Ennyanja Meditereniyani. Yali atunuulira ekibuga eky’oku kizinga ekyali kyesudde ekitundu kya mayiro okuva we yali. Olw’okugaanibwa okukiyingira, omugabe oyo nga musunguwavu yali amaliridde okukiwamba. Yali ateekateeka kukirumba atya? Ng’akola ekkubo ku mazzi erinaatuuka ku kizinga ekyo era akunge n’eggye lye okukirwanyisa. Omulimu gw’okuzimba ekkubo eryo gwali gutandise.
Naye obubaka obwava eri kabaka omukulu ow’Obwakabaka bwa Buperusi bwayimirizaamu omulimu gw’omugabe ono omuto. Ng’anoonya mirembe, omufuzi wa Buperusi yasuubiza okumuwa ebintu bingi: Ttalanta 10,000 eza zaabu (ezibalirirwamu obuwumbi bwa doola obusukka mu bubiri ku miwendo gya leero), okumuwa omu ku bawala be amuwase, era n’okumukkiriza okufuga ekitundu kyonna eky’ebugwanjuba eky’Obwakabaka bwa Buperusi. Bino byonna omugabe ono yandibifunye bwe yanditadde ab’omu maka ga kabaka be yali awambye.
Omuduumizi ono eyalina okusalawo okukkiriza oba okugaana ebintu ebyo yali Alekizanda III owa Makedoni. Yandikkirizza ebintu ebyo? Munnabyafaayo Ulrich Wilcken agamba: “Kyali kiseera kikulu nnyo mu nsi ey’ekiseera ekyo. ‘Ddala ebyava mu kye yasalawo, byakwata ku biseera eby’edda ennyo okutuukira ddala ku biseera byaffe, Ebuvanjuba n’Ebugwanjuba.’ Nga tetunneekenneenya Alekizanda kye yaddamu, ka tulabe ebyaliwo ng’ekiseera kino ekikulu tekinnatuuka.
OKUFUUKA OMUWANGUZI
Alekizanda yazaalibwa mu Pella, Makedoni, mu mwaka 356 B.C.E. Kitaawe yali Kabaka Firipo II, ate nnyina yali Olimpiyasi. Alekizanda yayigirizibwa nnyina nti bakabaka ba Makedoni baasibuka mu Kakyuliisi, mutabani wa katonda w’Abayonaani ayitibwa Zewu. Okusinziira ku Olimpiyasi, jjajja wa Alekizanda yali Akirusi, omuzira ayogerwako mu kitontome kya Komeri ekiyitibwa Iliad. Nga bazadde be bamutaddemu omwoyo ogwo ogw’okufuna obuwanguzi n’ekitiibwa eky’obwakabaka, omuvubuka Alekizanda teyasikirizibwa bintu birala. Lumu bwe yabuuzibwa obanga yandidduse embiro z’empaka mu Mizannyo gya Olimpikisi, Alekizanda yagamba nti yandikikoze singa yali wa kudduka ne bakabaka. Yaluubirira nnyo okukola ebikolwa eby’amaanyi okusinga ebya kitaawe afune ettutumu.
Ku myaka 13, Alekizanda yayigirizibwa Alisitoto, omufirosoofo Omuyonaani eyamuleetera okwagala obufirosoofo, obusawo, ne sayansi. Engeri enjigiriza za Alisitoto gye zaakyusaamu endowooza ya Alekizanda nsonga eriko enkaayana. “Kirabika nti tewaaliwo bintu bingi bye baali bakkiriziganyaako,” bw’atyo Bertrand Russell, omufirosoofo ow’omu kyasa ekya 20, bwe yagamba. “Endowooza za Alisitoto ku by’obufuzi zaali zeesigamye ku nkola y’obufuzi bw’ebibuga bya Buyonaani eyali esebengerera. Enkola ey’obufuzi bwa gavumenti ezifuga ebibuga ebitono teyandisikirizza mulangira eyali ayagala okuzimba obwakabaka obunene obulina gavumenti emu eya wakati. Alekizanda era ateekwa okuba nga yeekengera endowooza ya Alisitoto ey’okuyisa abatali Bayonaani ng’abaddu, kubanga yali ayagala okuba n’obwakabaka ng’abawanguzi balina enkolagana ennungi n’abawanguddwa.
Kyokka, tewali kubuusabuusa nti Alisitoto yaleetera Alekizanda okwagala ennyo okusoma n’okuyiga. Alekizanda yasoma ebitabo bingi nnyo mu bulamu bwe, era okusinga yayagala nnyo ebiwandiiko bya Komeri. Kigambibwa nti yakwata bukusu ennyiriri zonna 15,693 ez’omu kitontome ekiyitibwa Iliad.
Okuyigirizibwa Alisitoto kwakoma mbagirawo mu 340 B.C.E., omulangira ono ow’emyaka 16 bwe yaddayo e Pella okufuga Makedoni nga kitaawe taliiwo. Era omulangira ono eyali ow’okusikira nnamulondo yafuna mangu ettutumu olw’okulwana entalo. Ekyasanyusa ennyo Firipo, yakomya mangu akeegugungo k’Abamiidi, eggwanga ery’omu Tulasi, n’awamba ekibuga kyabwe ekikulu, era n’atuuma ekifo ekyo Alekizandupolisi, ng’akibbula mu linnya lye.
YEEYONGERA OKUWANGULA
Okuttibwa kwa Firipo mu 336 B.C.E., kwaviirako Alekizanda ow’emyaka 20 okusikira nnamulondo ya Makedoni. Ng’ayingira Asiya okuyitira e Keresiponti (kati ekiyitibwa Dardanelles) mu matandika g’omwezi gw’okutaano mu 334 B.C.E., Alekizanda yatandika kaweefube ow’okuwamba ebitundu ng’alina eggye ttono naye ery’amaanyi ennyo eryalimu abaserikale 30,000 ab’oku bigere n’abalala 5,000 ab’oku mbalaasi. Eggye lye lyawerekerwangako bayinginiya, abapunta, bannasayansi, ne bannabyafaayo.
Ku Mugga Gulanikasi oguli mu mambuka g’ebugwanjuba bwa Asiya Omutono (kati Butuluuki), Alekizanda yawangula olutalo lwe olwasooka ng’alwanyisa Abaperusi. Mu biseera ebyo eby’obutiti yawangula ekitundu eky’ebugwanjuba bwa Asiya Omutono. Mu mwezi ogw’omwenda ogw’omwaka ogwaddako, waaliwo olutalo kasiggu olw’okubiri ng’alwanyisa Abaperusi e Yisusi, mu maserengeta g’ebuvanjuba bwa Asiya Omutono. Ng’alina eggye eririmu abasajja ng’emitwalo ataano, Kabaka omukulu owa Buperusi, Daliyo III yagendayo okusisinkana Alekizanda. Nga yeekakasa ekisukkiridde, Daliyo yatwala ne maama we, mukyala we n’ab’omu maka ge abalala beerolere ku kyali kisuubirwa okuba obuwanguzi obw’amaanyi ennyo. Naye Abaperusi tebaasobola kwaŋŋanga lyanyi ly’Abamakedoni. Amagye ga Alekizanda gaawangula bubi nnyo eggye lya Buperusi, era Daliyo yadduka, n’aleka ab’omu maka ge mu mikono gya Alekizanda.
Mu kifo ky’okuwondera Abaperusi abaali badduka, Alekizanda yayolekera amaserengeta okuyita ku Lubalama lwa Meditereniyani, ng’agenda awamba ebifo emmeeri za Buperusi ez’amaanyi mwe zaasinziiranga. Naye ekibuga eky’oku kizinga kya Ttuulo kyaziyiza obulumbi buno. Ng’amaliridde okukiwamba, Alekizanda yakizingiza okumala emyezi musanvu. Mu kiseera ekyo, Daliyo we yasuubiriza okumuwa ebintu ebyo ebyayogeddwako mu ntandikwa. Byali bisikiriza nnyo ne kiba nga kigambibwa nti, Pameniyo, eyawanga Alekizanda amagezi yagamba: ‘Singa nze Alekizanda, nnandibikkirizza.’ Naye omugabe ono omuto yaddamu: ‘Nange nnandibikkirizza singa nze Pameniyo.’ Ng’agaanye okuteesa, Alekizanda yeeyongera okuzingiza era n’asaanyawo Ttuulo mu Jjulaayi 332 B.C.E.
Ng’atalizza Yerusaalemi, ekyewaayo gy’ali, Alekizanda yeeyongera mu maserengeta, n’awangula Gaza. Olw’okuba yali ekooye obufuzi bwa Buperusi, Misiri yamwaniriza ng’omununuzi. Ng’ali e Menfisi yasaddaaka eri katonda ayitibwa Apisi, mu ngeri eyo n’asanyusa bakabona b’e Misiri. Era yatandikawo ekibuga ky’e Alekizandiriya, oluvannyuma ekyavuganya ne Asene ng’ekitebe ekikulu eky’obuyivu, era nga na guno gujwa kikyayitibwa linnya eryo.
Bwe yava awo, Alekizanda yayolekera amambuka g’ebuvanjuba, n’ayita mu Palesitayini okwolekera Omugga Tiguli. Mu mwaka 331 B.C.E., yenyigira mu lutalo olw’amaanyi olw’okusatu ng’alwana n’Abaperusi, e Gawugamela, okumpi n’amatongo g’e Nineeve. Wano abasajja ba Alekizanda 47,000 baawangula eggye lya Buperusi eryali lyekuŋŋaanyizza obuto nga lirimu abasajja nga 250,000! Daliyo yadduka era oluvannyuma yattibwa abantu be bennyini.
Ng’acamuukiridde olw’obuwanguzi buno, Alekizanda yayolekera amaserengeta n’awamba Babulooni, ekyabanga ekibuga kya Buperusi ekikulu mu biseera eby’obutiti. Era yayingira n’ebibuga ebikulu, Susa ne Perusepolisi, n’awamba eggwanika eddene ery’Abaperusi era n’ayokya olubiri olukulu olwa Zaakisisi. Mu nkomerero, yawamba ekibuga ekikulu eky’e Ekibatana. Oluvannyuma omuwanguzi ono yawangula ekitundu ekyali kisigadde eky’obwakabaka bwa Buperusi, n’atuukira ddala ebuvanjuba ku Mugga Indusi, kati oguli mu Pakisitani.
Ng’asomose Indusi, ku nsalo y’essaza lya Buperusi eriyitibwa Takisiira, Alekizanda yasisinkana omulabe ow’amaanyi, Porusi, kabaka wa Buyindi. Alekizanda yalwana naye olutalo lwe olw’okuna olw’amaanyi era olwasembayo, mu Jjuuni 326 B.C.E. Eggye lya Porusi lyalimu abaserikale 35,000 n’enjovu 200, ezaatiisa ennyo embalaasi z’Abamakedoni. Olutalo lwali lwa maanyi nnyo era mwafiiramu bangi, naye amagye ga Alekizanda gaaluwangula. Porusi yawanika era n’afuuka wa mukago.
Waali wayiseewo emyaka egisukka mu munaana okuva eggye lya Makedoni we lyayingirira mu Asiya, era abaserikale baali bakooye era ng’ebirowoozo biri waabwe. Nga baterebuse olw’olutalo olw’amaanyi ennyo lwe baalwana ne Porusi, baali baagala kuddayo ewaabwe. Wadde ng’okusooka teyakyagala, Alekizanda yakkiriza. Buyonaani yali emaze okufuuka obufuzi kirimaanyi. Ng’ebibinja by’Abayonaani bitandise okubeera mu nsi eziwanguddwa, olulimi Oluyonaani n’empisa zaabwe byabuna obwakabaka obwo bwonna.
OMUSAJJA MUKWATA NGABO
Engeri za Alekizanda zaayamba nnyo okunyweza awamu amagye ga Makedoni mu myaka egyo nga gagenda gawangula. Oluvannyuma lw’entalo, Alekizanda yakyaliranga abafunye ebisago, yakeberanga ebiwundu byabwe, yatenderezanga abaserikale olw’ebikolwa byabwe eby’obuzira, era yabatoneranga ebirabo okusinziira ku bye bakoze. Abo abaafiiranga mu ntalo, Alekizanda yabategekeranga okuziikibwa okw’ekitiibwa ennyo. Abazadde n’abaana b’abasajja abattiddwa tebaawanga musolo oba okwenyigira mu buweereza obw’engeri yonna. Alekizanda yategekeranga abalwanyi be emizannyo oba empaka basobolenga okwesanyusamu oluvannyuma lw’entalo. Omulundi gumu, yawa n’olukusa abasajja abaali baakawasa bagende bawummuleko, n’abasobozesa okuba awamu ne bakyala baabwe mu biseera eby’obutiti, e Makedoni. Ebikolwa ng’ebyo byamuleetera okwagalibwa ennyo abasajja be.
Ku bikwata ku bufumbo bwa Alekizanda eri Omumbejja Rokizana, ow’e Bakutiriya, omuwandiisi ku bulamu bw’Abayonaani ayitibwa Pulutaki yawandiika: “Ddala baali baagalana, ate mu kiseera kye kimu kyalabika nga kijja kumusobozesa okutuukiriza ekigendererwa kye. Kyasanyusa nnyo abantu b’awangudde okumulaba ng’alonda omukyala okuva mu bo. Ate era, kyabaleetera okumwagala ennyo, kubanga wadde yali ayagala nnyo omumbejja oyo, ye ng’omusajja omwegendereza ennyo, yasobola okwefuga n’ateetaba naye okutuusa lwe yasobola okumuwasa mu ngeri ey’ekitiibwa era ekkirizibwa mu mateeka.”
Alekizanda era yassanga ekitiibwa mu bufumbo bw’abalala. Wadde mukyala wa Kabaka Daliyo yali muwambe, yakakasa nti ayisibwa bulungi. Mu ngeri y’emu, bwe yategeera nti abaserikale babiri aba Makedoni baali basobezza ku bakyala b’abantu abamu, yawa ekiragiro battibwe singa kyakakasibwa nti baali bazzizza omusango ogwo.
Okufaananako nnyina, Olimpiyasi, Alekizanda yali munnaddiini nnyo. Yawangayo ssaddaaka nga tannagenda kutabaala era ng’akomyewo, era yeebuuzanga ku balaguzi okumanya amakulu g’obubonero obumu. Yeebuuzaako ne ku muganga w’e Ammoni, mu Libiya. Ng’ali e Babulooni yagoberera obulagirizi bw’Abakaludaaya ku bikwata ku ssaddaaka, naddala ezo eziweebwayo eri Beri (Maruduki), katonda w’Abababulooni.
Wadde nga Alekizanda yali mwegendereza mu by’endya, ekiseera kyatuuka n’ayitiriza okunywa. Yayogerayogeranga nnyo buli lwe yanywanga omwenge nga yeewaana olw’ebyo by’akoze. Ekimu ku bikolwa ebisingayo obubi Alekizanda kye yakola kwe kutemula mukwano gwe ayitibwa Kiritasi, ng’atamidde. Naye Alekizanda yawulira bubi nnyo olw’ekyo n’amala ennaku ssatu nga tava mu kitanda, nga talya wadde okunywa. Mu nkomerero, mikwano gye baamwegayirira addemu okulya.
Ebiseera bwe byagenda biyitawo, okwegomba kwa Alekizanda okufuna ettutumu kwamuleetera okwoleka engeri endala embi. Yatandika okukkirizanga amangu eby’obulimba ebyogeddwa ku balala era n’okuwa ebibonerezo ebikakali ennyo. Ng’ekyokulabirako, ng’alimbiddwa nti Firotasi yali agezaako okumutta, Alekizanda yalagira attibwe awamu ne kitaawe, Palumeniyo, omuwi w’amagezi gwe yali yeesize ennyo emabega.
OKUWANGULWA KWA ALEKIZANDA
Nga yaakakomawo okuva e Babulooni, Alekizanda yakwatibwa omusujja gw’ensiri, era teyassuuka. Nga Jjuuni 13, 323 B.C.E., ng’alina emyaka 32 n’emyezi 8 gyokka, Alekizanda yafa.
Ne kiba ddala ng’omusajja omu omugezigezi ow’e Buyindi bwe yagamba: “Ai Kabaka Alekizanda, buli muntu alina akatundu katono nnyo ak’ensi akenkana ng’ettaka lino kwe tuyimiridde; era naawe bw’otyo, olw’okuba oli muntu ng’abalala bonna, wadde olina bingi nnyo by’okola obutaweera, ng’otabaala ensi yonna ewala ennyo okuva ewammwe, ng’otawaana era ng’obonyaabonya abalala. Naye akaseera kajja kutuuka ofe, era obe n’akatundu katono nnyo ak’ensi akakumala obumazi okuziikibwamu.”
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Alekizanda Omukulu yava mu maka ga ngeri ki, era yakuzibwa atya?
• Nga yaakatuula ku nnamulondo ya Makedoni, kaweefube ki Alekizanda gwe yatandika?
• Nnyonnyola obumu ku buwanguzi bwa Alekizanda.
• Kiki ekiyinza okwogerwa ku ngeri za Alekizanda?
[Mmaapu]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
OBUWANGUZI BWA ALEKIZANDA
MAKEDONI
MISIRI
Babulooni
Omugga Indusi
[Ekifaananyi]
Alekizanda
[Ekifaananyi]
Alisitoto n’omuyizi we Alekizanda
[Ekifaananyi]
[Ekifaananyi]
Omudaali ogugambibwa nti guliko ekifaananyi kya Alekizanda Omukulu
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 162, 163]
OBWAKABAKA OBUNENE BWAWULWAMU
BAIBULI yalagula okusattulukuka n’okwawulwamu kw’obwakabaka bwa Alekizanda Omukulu “naye [nga] tebuligabirwa zzadde lye.” (Danyeri 11:3, 4) Bwe kityo, emyaka 14 oluvannyuma lw’okufa kwa Alekizanda okw’ekibwatukira mu mwaka 323 B.C.E., mutabani we bwoya Alekizanda ow’Okuna ne mutabani we omulala Kerakozi, gwe yazaala ebweru w’obufumbo, baatemulwa.
Omwaka 301 B.C.E. we gwatuukira, abagabe ba Alekizanda bana baali bamaze okwenyweza mu buyinza mu bwakabaka obunene bwe yali assizzaawo. Omugabe Kasanda yeetwalira Makedoni ne Buyonaani. Omugabe Liisimaka n’afuna Asiya Omutono ne Tulasi. Niketa Serewuko I n’atwala Mesopotamiya ne Busuuli. Ate Ttolemi Lagusi, oba Ttolemi I, n’afuga Misiri ne Palesitayini. Mu bwakabaka bwa Alekizanda obwali obunene ennyo mwavaamu obwakabaka buna obw’Abayonaani.
Ku bwakabaka bw’Abayonaani obwo obuna, obufuzi bwa Kasanda bwe bwasingayo okuba obumpi. Waayitawo emyaka mitono oluvannyuma lwa Kasanda okujja mu buyinza, olunyiriri lw’abaana be abalenzi ne luggwaawo, era mu 285 B.C.E., Liisimaka n’atwala ekitundu eky’omu Bulaaya eky’Obwakabaka bwa Buyonaani. Oluvannyuma lw’emyaka ena, Liisimaka yattibwa Niketa Serewuko I mu lutalo, bw’atyo Serewuko n’aba n’ekitundu ekisinga obunene eky’amatwale ag’omu Asiya. Serewuko ye mufuzi eyasooka ku bakabaka ab’omu lunyiriri lwe abaafuga mu Busuuli. Yazimba ekibuga Antiyokiya eky’omu Busuuli era n’akifuula ekibuga kye ekikulu. Serewuko yatemulwa mu mwaka 281 B.C.E., naye olulyo olufuzi lwe yatandikawo lweyongera okuba mu buyinza okutuuka mu mwaka 64 B.C.E., Omugabe Omuruumi Pompe bwe yafuula Busuuli ettwale lya Rooma.
Ku bitundu ebina eby’Obwakabaka bwa Alekizanda, obwakabaka bwa Ttolemi bwe bwasinga okuwangaala. Ttolemi I yatandika okuyitibwa kabaka mu mwaka 305 B.C.E., era n’aba kabaka oba Falaawo Omukedoni eyasooka okufuga Misiri. Bwe yafuula Alekizandiriya ekibuga ekikulu, yatandika amangu ago enkola ey’okukulaakulanya ebibuga. Ekimu ku bizimbe ebinene ennyo bye yazimba lye Tterekero ly’Ebitabo ery’omu Alekizandiriya. Okusobola okulabirira etterekero lino eddene, Ttolemi yaleeta omwekenneenya omumanyifu ayitibwa, Demetiriyo Falewusi okuva e Buyonaani. Kigambibwa nti ekyasa ekisooka eky’embala yaffe we kyatuukira, etterekero lino ery’ebitabo lyalimu emizingo akakadde kamu. Olunyiriri lw’obufuzi bwa Ttolemi lweyongera okufuga mu Misiri okutuusa lwe yawambibwa Rooma mu 30 B.C.E. Olwo nno Rooma n’edda mu kifo kya Buyonaani ng’obufuzi kirimaanyi.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Obwakabaka bwa Alekizanda obunene
bwayawulwamu butya?
• Bakabaka mu lunyiriri lwa Serewuko baafugira mu Busuuli okutuusa ddi?
• Obwakabaka bwa Ttolemi mu Misiri
bwakoma ddi?
[Mmaapu]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
OKUSATTULUKUKA KW’OBWAKABAKA BWA ALEKIZANDA
Kasanda
Liisimaka
Ttolemi I
Serewuko I
[Ebifaananyi]
Ttolemi I
Serewuko I
[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 139]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
OBUFUZI KIRIMAANYI OBW’OMU BUNNABBI BWA DANYERI
Ekifaananyi ekinene (Danyeri 2:31-45)
Ensolo ennya ziva mu nnyanja (Danyeri 7:3-8, 17, 25)
BABULOONI okuva mu 607 B.C.E.
BUMEEDI NE BUPERUSI okuva mu 539 B.C.E.
BUYONAANI okuva mu 331 B.C.E
BURUUMI okuva mu 30 B.C.E.
OBUFUZI KIRIMAANYI OBWA BUNGEREZA N’AMEREKA okuva mu 1763 C.E.
ENSI ERIMU ENJAWUKANA MU BY’OBUFUZI mu kiseera eky’enkomerero
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 128]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 147]