Essuula ey’Ekkumi n’Essatu
Bakabaka Babiri Abalina Akanyoolagano
1, 2. Lwaki twandifuddeyo ku bunnabbi obuli mu Danyeri essuula 11?
BAKABAKA babiri abavuganya balwanira obuyinza obw’oku ntikko. Emyaka bwe gigenda gyekulungula, omu abufuna ate oluvannyuma munne n’abumuggyako. Ebiseera ebimu, omu y’aba omufuzi ow’oku ntikko, munne nga talina buyinza bwonna. Era wabaawo ebiseera lwe watabaawo kanyoolagano. Naye ate okulwanagana ne kubalukawo, akanyoolagano ne kaddamu buto. Mu abo ababadde n’akakuubagano kano mwe muli Kabaka Niketa Serewuko I owa Busuuli, Kabaka Ttolemi Lagusi owa Misiri, Omumbejja wa Busuuli Kirewopatula I, era eyafuuka Kwiini mu Misiri, Empura Agusito ne Tiberiyo aba Rooma, ne Kwiini Zenobiya owa Palumayira. Ng’akakuubagano kano kanaatera okukomekkerera, keenyigiddwamu ne Bugirimaani wansi w’Abanazi, amawanga ag’Ekikominisiti, Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka, Ekinywi ky’Amawanga, era n’ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Naye amawanga ago n’ebibiina ebyo tebimanyi nkomerero y’akanyoolagano ako bw’eriba. Kyokka, emyaka nga 2,500 egiyise, malayika wa Yakuwa yategeeza nnabbi Danyeri obunnabbi buno obubuguumiriza.—Danyeri, essuula 11.
2 Danyeri ateekwa okuba nga yabuguumirira nnyo malayika bwe yamuttottolera ebikwata ku kanyoolagano akandibaddewo wakati wa bakabaka babiri mu biseera ebijja! Naffe tukwatibwako, kubanga akanyoolagano ako akabaddewo wakati wa bakabaka bano ababiri katuukidde ddala mu kiseera kyaffe. Okulaba engeri ekitundu ekisooka eky’obunnabbi buno gye kyatuukirizibwamu kijja kunyweza okukkiriza kwaffe n’obwesige bwe tulina mu kutuukirizibwa kw’ekitundu ekisembayo eky’obunnabbi obwo. Okussaayo omwoyo ku bunnabbi buno kujja kutusobozesa okutegeera obulungi ebiseera bye tulimu. Era kujja kunyweza obumalirivu bwaffe obutabaako ludda lwe tuwagira mu kanyoolagano akaliwo nga tulindirira Katonda okubaako ky’akola ku lwaffe. (Zabbuli 146:3, 5) N’olwekyo, ka tusseeyo omwoyo nga malayika wa Yakuwa ayogera eri Danyeri.
OKWOLEKAGANA N’OBWAKABAKA BWA BUYONAANI
3. Malayika yawagira ani “mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo Omumeedi”?
3 “Nange,” bw’atyo malayika bwe yayogera, “mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo Omumeedi [539/538 B.C.E.] n[n]ayimirira okumunyweza n’okumuwa amaanyi.” (Danyeri 11:1) Daliyo yali takyaliwo, naye malayika yagamba nti mu bufuzi bwe obubaka buno obw’obunnabbi we bwatandikira. Kabaka oyo ye yalagira, Danyeri aggibwe mu mpuku y’empologoma. Era Daliyo ye yalagira abantu be bonna okutyanga Katonda wa Danyeri. (Danyeri 6:21-27) Kyokka, oyo malayika gwe yawagira teyali Daliyo Omumeedi, wabula Mikayiri, omulangira w’abantu ba Danyeri. Malayika wa Katonda yawa obuwagizi buno nga Mikayiri alwanagana ne malayika omubi owa Bumeedi ne Buperusi.
4, 5. Bakabaka ba Buperusi abana abaalagulwa be baluwa?
4 Malayika wa Katonda yeeyongera n’agamba: “Laba, waliyimirira nate bakabaka abasatu mu Buperusi: n’ow’okuna ye alisingira ddala nnyo bonna obugagga: era bw’alifuuka ow’amaanyi olw’obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n’obwakabaka obw’e Buyonaani.” (Danyeri 11:2) Baani abaali abafuzi bano aba Buperusi?
5 Bakabaka abasatu abaasooka baali Kuulo Omukulu, Kambisesi II, ne Daliyo I. Okuva Baridiya (oboolyawo ng’ono ye musajja Gawumata eyeefuula okuba ky’ataali) bwe yafugira emyezi musanvu gyokka, obunnabbi tebwazingiramu bufuzi bwe obwo obwamala ekiseera ekitono. Mu 490 B.C.E., kabaka ow’okusatu, Daliyo I, yagezaako okulumba Buyonaani omulundi ogw’okubiri. Kyokka, Abaperusi baawangulwa bubi nnyo era ne baddukira mu Asiya Omutono. Wadde Daliyo yalina enteekateeka okuddamu okulumba Buyonaani, teyasobola kukikola okutuukira ddala bwe yafa oluvannyuma lw’emyaka etaano. Ekyo kyali kisigalidde mutabani we eyamusikira, Zaakisisi I, kabaka “ow’okuna.” Oyo ye Kabaka Akaswero eyawasa Eseza.—Eseza 1:1; 2:15-17.
6, 7. (a) Kabaka ow’okuna ‘yakubiriza atya bonna okulwana n’obwakabaka bwa Buyonaani’? (b) Biki ebyaliwo Zaakisisi bwe yatabaala Buyonaani?
6 Zaakisisi I ‘yakubiriza bonna okulwana n’obwakabaka bw’e Buyonaani,’ kwe kugamba, amawanga gonna agaali mu bwakabaka bwa Buyonaani.” Ekitabo The Medes and Persians—Conquerors and Diplomats, kigamba nti ,“ng’akubirizibwa abo abaali bamuwaanawaana, Zaakisisi yakola olulumba ssinziggu okuyitira ku lukalu ne ku nnyanja.” Munnabyafaayo Omuyonaani ayitibwa Kerodotasi, ow’omu kyasa eky’okutaano B.C.E., awandiika nti “olulumba luno lwali lwa maanyi nnyo.” Munnabyafaayo oyo yagamba nti eggye ery’oku nnyanja lyalimu “abasajja 517,610. Abaserikale abatambuza ebigere baali 1,700,000; ate ab’oku mbalaasi baali 80,000; okwo ate n’ogattako Abawalabbu abaali beebagadde eŋŋamira, Abalibiya abaali mu magaali amalwanyi, be nteebereza nga baali 20,000. N’olwekyo, omuwendo gwonna ogw’eggye ery’oku lukalu n’ery’oku nnyanja baali abasajja 2,317,610.”
7 Ng’aluubirira buwanguzi bwokka, Zaakisisi I yasitula eggye lye eddene n’alumba Buyonaani mu 480 B.C.E. Abaperusi baazikiriza Asene, wadde nga Abayonaani baagezaako okubaziyiza e Teremopulayi. Kyokka, Abaperusi baawangulwa e Salamisi. Obuwanguzi obulala obw’Abayonaani bwaliwo e Pulateya, mu 479 B.C.E. Ku bakabaka omusanvu abaddirira Zaakisisi ku nnamulondo y’Obwakabaka bwa Buperusi mu myaka 143 egyaddirira, tewali n’omu yalumba Buyonaani. Naye waayimukawo kabaka ow’amaanyi mu Buyonaani.
OBWAKABAKA OBUNENE BWAWULWAMU EBITUNDU BINA
8. ‘Kabaka ki ow’amaanyi eyayimirira, era yasobola atya ‘okufuga n’obuyinza bungi’?
8 “Ne kabaka ow’amaanyi aliyimirira, alifuga n’obuyinza bungi, era alikola [nga] bw’alyagala,” bw’atyo malayika bwe yagamba. (Danyeri 11:3) Ku myaka abiri egy’obukulu, Alekizanda ‘yayimirira’ nga kabaka wa Makedoni mu 336 B.C.E. Yafuuka “kabaka ow’amaanyi,” eyamanyibwa nga Alekizanda Omukulu. Ng’ayagala okutuukiriza ekigendererwa kya kitaawe, Firipo II, yawamba amasaza ga Buperusi agaali mu nsi z’Abawalabu. Oluvannyuma lw’okusomoka omugga Fulaati n’omugga Tiguli, abasajja be 47,000 baabunya emiwabo amagye agaalimu abasajja 250,000 aga Daliyo Ow’Okusatu e Gawugamela. Daliyo yadduka era n’atemulwa, olulyo olufuzi olwaliwo mu Buperusi ne luggwaawo. Buyonaani yafuuka obufuzi kirimaanyi, era Alekizanda ‘yafuga n’obuyinza bungi era n’akola nga bw’ayagala.’
9, 10. Obunnabbi bwatuukirira butya nti obwakabaka bwa Alekizanda tebwali bwa kudda eri zzadde lye?
9 Alekizanda yali wa kufuga ensi yonna okumala akaseera katono, kubanga malayika wa Katonda yagattako: “Era bw’aliyimirira, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu eri empewo ennya ez’omu ggulu: naye tebuligabirwa zzadde lye, so tebuliba ng’okufuga kwe kwe yafuga: kubanga obwakabaka bwe bulisimbulwa, bulisimbulirwa abalala awali abo.” (Danyeri 11:4) Ng’akununkiriza emyaka 33 egy’obukulu, Alekizanda yakwatibwa obulwadde obw’amangu obwamuttira e Babulooni mu 323 B.C.E.
10 Obwakabaka bwa Alekizanda obunene tebwadda mu mikono gya “zzadde lye.” Muganda we Aridewusi Firipo Ow’Okusatu yafugira emyaka egitaawera musanvu n’attibwa Olimpiyasi, nnyina wa Alekizanda, mu 317 B.C.E. Mutabani wa Alekizanda, Alekizanda Ow’Okuna, yafuga okutuusa mu 311 B.C.E., bwe yattibwa Kasanda, omu ku baali abagabe ba kitaawe. Kerakozi, mutabani wa Alekizanda omweboolereze, yagezaako okufugira mu linnya lya kitaawe naye n’attibwa mu 309 B.C.E. Bwe lutyo olunyiriri lwa Alekizanda bwe lwakoma, era ‘obwakabaka bwe’ ne buva ku b’omu nju ye.
11. Obwakabaka bwa Alekizanda ‘bwayawulibwamu butya eri empewo ennya’?
11 Nga Alekizanda afudde, obwakabaka bwe “bwayawulibwamu eri empewo ennya.” Abagabe be abangi baalwanira amatwale. Omugabe Antigonasi I eyalina eriiso erimu yagezaako okweddiza obwakabaka bwa Alekizanda bwonna. Naye yattibwa mu lutalo olwali e Yipususi eky’omu Firigiya. Omwaka 301 B.C.E., we gwatuukira, abagabe ba Alekizanda bana baali beetwalidde ebitundu mu ttwale eddene mukama waabwe lye yali awambye. Kasanda yeddiza Makedoni ne Buyonaani. Liisimaka n’atwala Asiya Omutono ne Tulasi. Niketa Serewuko I n’atwala Mesopotamiya ne Busuuli. Ate Ttolemi Lagusi n’afuga Misiri ne Palesitayini. Ddala ddala nga bwe kyalagulwa mu bunnabbi, obwakabaka bwa Alekizanda obunene bwayawulibwamu ne buba obwakabaka buna obw’Abayonaani.
WAYIMUKAWO BAKABAKA BABIRI ABAVUGANYA
12, 13. (a) Obwakabaka bw’Abayonaani obwali obuna bwafuuka butya obubiri? (b) Serewuko yatandikawo bufuzi ki mu Busuuli?
12 Oluvannyuma lw’okubeera mu buyinza emyaka mitono, Kasanda yafa, era mu 285 B.C.E., Liisimaka yatwala ekitundu eky’omu Bulaaya eky’Obwakabaka bwa Buyonaani. Mu 281 B.C.E., Niketa Serewuko I yatta Liisimaka mu lutalo, bw’atyo n’atwala ekitundu ekisinga obunene eky’amatwale ag’omu Asiya. Gonatasi Antigonasi II, muzzukulu w’omu ku bagabe ba Alekizanda, yatuula ku nnamulondo ya Makedoni mu 276 B.C.E. Oluvannyuma lw’ekiseera, Makedoni yatandika okwesigama ku Rooma era yafuuka ettwale lya Rooma mu 146 B.C.E.
13 Kati waali wasigaddewo obwakabaka bubiri bwokka ku bwakabaka obuna obw’Abayonaani, obwa Niketa Serewuko I n’obwa Ttolemi Lagusi. Serewuko yatandikawo olunyiriri lw’abafuzi ab’olulyo lwe mu Busuuli. Ebimu ku bibuga bye yazimba mwe mwali Antiyokiya, ekyafuuka ekibuga ekikulu ekya Busuuli, n’ekibuga Serusiya, amaato we gaagoberanga. Mu biseera eby’oluvannyumako, omutume Pawulo yayigiririzaako mu Antiyokiya, era ng’eyo abagoberezi ba Yesu gye baasooka okuyitibwa Abakristaayo. (Ebikolwa 11:25, 26; 13:1-4) Serewuko yattibwa mu 281 B.C.E., naye abafuzi ab’omu lunyiriri lwe baafuga okutuusa mu 64 B.C.E. Mu mwaka ogwo Omugabe Omuruumi Ginayasi Pompe n’afuula Busuuli essaza ly’Abaruumi.
14. Obufuzi bw’olunyiriri lwa Ttolemi bwatandika ddi mu Misiri?
14 Obwakabaka bw’Abayonaani obwasingayo okuwangaala ku obwo obuna bwe bwa Ttolemi Lagusi, oba Ttolemi I, eyafuuka kabaka mu 305 B.C.E. Olunyiriri lw’abafuzi mu lulyo lwa Ttolemi lwafuga Misiri okutuusa bwe lwawangulwa Rooma mu 30 B.C.E.
15. Bakabaka ki ababiri ab’amaanyi abaasibuka mu bwakabaka bw’Abayonaani obuna, era kakuubagano ki akaatandikawo wakati waabwe?
15 Bwe kityo, okuva mu bwakabaka buna obw’Abayonaani, waayimukawo bakabaka babiri ab’amaanyi—Niketa Serewuko I eyafuga Busuuli ne Ttolemi I eyafuga Misiri. Akakuubagano akamala ekiseera ekiwanvu wakati wa “kabaka w’obukiika obwa kkono” ne “kabaka w’obukiika obwa ddyo” akoogerwako mu Danyeri essuula 11 kaatandika ne bakabaka bano ababiri. Malayika wa Yakuwa teyawa mannya ga bakabaka bano ababiri, kubanga amannya era n’amawanga gaabwe gandibadde gakyuka ebyasa by’emyaka bwe byandizze nga biyitawo. Awatali kuwa kalonda ateetaagisa, malayika yamenya bafuzi era n’ebintu ebyo byokka ebikwata ku kakuubagano gano.
AKANYOOLAGANO KATANDIKA
16. (a) Bakabaka abo ababiri baali ku bukiika kkono ne bukiika ddyo bwa baani? (b) Baani abaasooka okubeera “kabaka w’obukiika obwa kkono” ne “kabaka w’obukiika obwa ddyo”?
16 Wuliriza! Ng’ayogera ku ntandikwa y’akakuubagano kano, malayika wa Yakuwa agamba: “Kabaka w’obukiika obwa ddyo aliba n’amaanyi, era omu ku bakulu be [aba Alekizanda]: n’oyo [kabaka w’obukiika obwa kkono] aliba n’amaanyi okumusinga, alifuga: okufuga kwe kuliba okufuga okunene.” (Danyeri 11:5) Ebigambo “kabaka w’obukiika obwa kkono” ne “kabaka w’obukiika obwa ddyo” bitegeeza bakabaka abaali ku luuyi olw’e bukiika kkono n’ebukiika ddyo olw’abantu ba Danyeri, mu kiseera ekyo abaali bamaze okusumululwa okuva e Babulooni nga bazzeeyo mu Yuda. “Kabaka w’obukiika obwa ddyo” eyasooka yali Ttolemi I ow’e Misiri. Kabaka Niketa Serewuko I owa Busuuli, omu ku bagabe ba Alekizanda, yawangula Ttolemi I n’aba ‘n’ettwale ddene.’ Yafuuka “kabaka w’obukiika obwa kkono.”
17. Eggwanga lya Yuda lyali lifugibwa ani ku ntandikwa y’akakuubagano wansi wa kabaka w’obukiika kkono ne kabaka w’obukiika ddyo?
17 Ku ntandikwa y’akakuubagano kano, eggwanga lya Yuda lyali lifugibwa kabaka w’obukiika ddyo. Okuva awo nga mu 320 B.C.E., Ttolemi I yakubiriza Abayudaaya okusenga mu Misiri. Abayudaaya baayala mu Alekizandiriya, era Ttolemi I yassaayo etterekero ly’ebitabo eryamanyika ennyo. Okutuukira ddala mu 198 B.C.E., Abayudaaya abaali mu Yuda baali wansi w’obufuzi bwa Misiri eyali ekulemberwa ab’olunyiriri lwa Ttolemi, kabaka w’obukiika obwa ddyo.
18, 19. Nga wayiseewo ekiseera, bakabaka ababiri abaali bavuganya ‘baakola batya endagaano’?
18 Ng’ayogera ku bakabaka abo ababiri, malayika yalagula: “Emyaka bwe girimala okuyitawo balyegatta wamu: n’omuwala wa kabaka w’obukiika obwa ddyo alijja eri kabaka w’obukiika obwa kkono okulagaana: naye omuwala taliba na maanyi ga mukono gwe: so n’oyo taliyimirira, newakubadde omukono gwe: naye omuwala aliweebwayo, n’abo abaamuleeta, n’oyo eyamuzaala, n’oyo eyamuwa amaanyi mu biro ebyo.” (Danyeri 11:6) Bino byatuukirira bitya?
19 Obunnabbi buno tebwazingiramu Antiyokasi I, eyali mutabani wa Niketa Serewuko I era nga ye yamuddira mu bigere, kubanga teyalwana lutalo lwa maanyi ne kabaka w’obukiika ddyo. Naye oyo eyamuddira mu bigere, Antiyokasi II, yalwana ekiseera kiwanvu ne Ttolemi II, mutabani wa Ttolemi I. Antiyokasi II ye yali kabaka ow’obukiika kkono ate Ttolemi II ye yali kabaka ow’obukiika ddyo. Antiyokasi II yawasa Lawodiisi, era baazaala omwana omulenzi gwe baatuuma erinnya Serewuko II, ate ye Ttolemi II yazaala omwana omuwala ayitibwa Bereniisi. Mu 250 B.C.E., bakabaka bano ababiri ‘baakola endagaano.’ Olw’endagaano eno, Antiyokasi II yagoba mukyala we Lawodiisi n’awasa Bereniisi, “omuwala wa kabaka w’obukiika ddyo.” Omwana omulenzi, Bereniisi, gwe yamuzaalira ye yafuuka omusika ku nnamulondo ya Busuuli mu kifo ky’abaana be yazaala mu Lawodiisi.
20. (a) Mu ngeri ki “omukono” gwa Bereniisi gye gwalekera awo okuyimirira? (b) Bereniisi, ‘abo abaamuleeta,’ ne ‘oyo eyamuwa amaanyi’ baaweebwayo batya? (c) Ani eyaddako okuba kabaka wa Busuuli oluvannyuma lwa Antiyokasi II okufiirwa “omukono” gwe, oba amaanyi?
20 “Omukono” gwa Bereniisi, oba amaanyi agaamuwanirira gaava eri kitaawe, Ttolemi II. Kitaawe bwe yafa mu 246 B.C.E., Bereniisi teyasigaza ‘maanyi mu mukono gwe’ ng’ali n’omwami we. Antiyokasi II yamugoba, n’addamu okuwasa Lawodiisi, era n’afuula mutabani waabwe omusika. Lawodiisi yakola olukwe, Bereniisi ne mutabani we ne batemulwa. Kirabika ng’abaweereza abaaleeta Bereniisi mu Busuuli okuva e Misiri—“abo abaamuleeta”—nabo baatemulwa. Lawodiisi yawa Antiyokasi II obutwa era n’olw’ensonga eyo “omukono gwe” ‘tegwayimirira.’ Bwe kityo nno, kitaawe wa Bereniisi—“eyamuzaala”—ne bba Omusuuli—abaali bamufudde owa “amaanyi” okumala ekiseera—baafa. Awo Serewuko II, mutabani wa Lawodiisi, n’asigalawo nga kabaka wa Busuuli. Kabaka eyandizzeewo mu lunyiriri lwa Ttolemi yandikozeewo ki ku ebyo byonna ebyaliwo?
KABAKA AWOOLERA EGGWANGA OLW’OKUTTIBWA KWA MWANNYINA
21. (a) Ani yali ‘omwana w’omu bikolo bya’ Bereniisi, era ‘yayimirira’ atya? (b) Ttolemi Ow’Okusatu ‘yalumba atya ekigo kya kabaka w’obukiika kkono’ era n’amuwangula?
21 “Mu mwana ow’omu bikolo bye muliva omu aliyimirira mu kifo kye,” bw’atyo malayika bwe yagamba, “[era] alijja eri eggye, era aliyingira mu kifo kya kabaka ow’obukiika obwa kkono, alibalumba, era aliwangula.” (Danyeri 11:7) ‘Omwana’ w’abazadde ba Bereniisi, oba ‘ow’omu bikolo bye,’ yali mwannyina. Kitaawe bwe yafa, mwannyina Bereniisi ‘yayimirira’ nga kabaka w’obukiika obwa ddyo, Falaawo Ttolemi Ow’Okusatu owa Misiri. Awatali kulwa kwonna, yamalirira okuwoolera eggwanga olw’okuttibwa kwa mwannyina. Ng’agenda okutabaala Kabaka Serewuko II owa Busuuli, Lawodiisi gwe yakozesa okutemula Bereniisi ne mutabani we, yalumba “ekifo [“ekigo,” NW] kya kabaka w’obukiika kkono.” Ttolemi Ow’Okusatu yawamba ekigo ky’e Antiyokiya era n’atta Lawodiisi. Yayolekera ebuvanjuba ng’ayita mu ttwale lya kabaka w’ebukiika kkono, n’anyaga ebintu mu Babulooni ne yeeyongerayo e Buyindi.
22. Biki Ttolemi Ow’Okusatu bye yazzaayo e Misiri, era lwaki ‘yamala emyaka nga tatabaala kabaka w’obukiika obwa kkono’?
22 Kiki ekyaddirira? Malayika wa Katonda atubuulira: “Era ne bakatonda baabwe, n’ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n’ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n’ebya zaabu, alibinyaga alibitwala mu Misiri: era alimala emyaka egimu ng’aleka kabaka w’obukiika obwa kkono.” (Danyeri 11:8) Emyaka egisukka mu 200 emabegako, Kabaka Kambisesi II owa Buperusi yawangula Misiri n’atwala bakatonda ba Misiri, “ebifaananyi byabwe ebisaanuuse.” Ttolemi Ow’Okusatu bwe yawamba Susa, ekyaliko ekibuga ekikulu ekya Buperusi, yaggyayo bakatonda bano n’abazzaayo e Misiri. Era yatwala ebintu bingi bye yawamba “ebya ffeeza n’ebya zaabu.” Olw’okwagala okusirisa akeegugungo akaali kabaluseewo mu ggwanga lye, Ttolemi Ow’Okusatu ‘yaleka kabaka w’obukiika obwa kkono,’ n’atayongera kumutabaala.
KABAKA WA BUSUULI YEESASUZA
23. Lwaki kabaka w’obukiika kkono ‘yaddayo mu nsi ye’ oluvannyuma lw’okutabaala amatwale ga kabaka w’obukiika ddyo?
23 Kabaka w’obukiika kkono yakola ki? Danyeri yagambibwa: “Alijja mu matwale ga kabaka w’obukiika obwa ddyo, naye aliddayo mu nsi ye.” (Danyeri 11:9) Kabaka w’obukiika kkono, Kabaka Serewuko II owa Bwasuuli, yakola olulumba. Yatabaala ‘amatwale ga kabaka’ Omumisiri ow’obukiika ddyo kyokka yawangulwa. Ng’asigazzaawo abantu batono mu ggye lye, Serewuko II ‘yaddayo mu nsi ye,’ n’abeera mu Antiyokiya, ekibuga ekikulu ekya Busuuli, awo nga mu 242 B.C.E. Bwe yafa, mutabani we Serewuko Ow’Okusatu yamusikira.
24. (a) Kiki ekyatuuka ku Serewuko Ow’Okusatu? (b) Kabaka Antiyokasi Ow’Okusatu owa Busuuli ‘yayanjaala atya n’ayita mu’ ttwale lya kabaka w’obukiika ddyo?
24 Kiki ekyalagulwa ku zzadde lya Kabaka Serewuko II owa Busuuli? Malayika yagamba Danyeri: “N’abaana be balirwana, era bal[i]kuŋŋaanya ekibiina ekinene, eggye eringi, eririyitirira, eriryanjaala, ne libayitamu: era balikomawo, balirwana, okutuuka awali ekigo kye.” (Danyeri 11:10) Tewaayitawo myaka egisukka mu esatu, Serewuko Ow’Okusatu n’attibwa era obufuzi bwe ne bukoma. Muganda we, Antiyokasi Ow’Okusatu ye yamusikira ku nnamulondo ya Busuuli. Mutabani wa Serewuko II ono yakunga eggye eddene okulumba Kabaka w’obukiika ddyo, mu kiseera ekyo eyali Ttolemi Ow’Okuna. Kabaka ono omuppya Omusuuli ow’ebukiika kkono yawangula Misiri ne yeddiza ekibuga Serusiya, essaza Koyere ery’omu Busuuli, ebibuga Ttuulo ne Ttoleme, n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo. Yafufuggaza eggye lya Kabaka Ttolemi Ow’Okuna era n’awamba ebibuga bingi ebya Yuda. Mu kasambula w’omwaka 217 B.C.E., Antiyokiya Ow’Okusatu yavaayo e Ttoleme n’ayolekera e bukiika kkono, “okutuuka awali ekigo kye” mu Busuuli. Naye waali wali kumpi okubaawo enkyukakyuka.
WABAAWO ENKYUKAKYUKA
25. Ttolemi Ow’Okuna yalwanira wa ne Antiyokasi Ow’Okusatu, era kiki ‘ekyaweebwayo mu mukono’ gwa kabaka ono Omumisiri owa bukiika ddyo?
25 Okufaananako Danyeri, twesunga okuwulira malayika by’addako okulagula: “Ne kabaka w’obukiika obwa ddyo alisunguwala, alivaayo, alirwana naye, kabaka w’obukiika obwa kkono: era aligaba ekibiina ekinene, n’ekibiina kiriweebwayo mu mukono gwe.” (Danyeri 11:11) Ng’alina abaserikale 75,000, kabaka w’obukiika ddyo, Ttolemi Ow’Okuna, yayolekera obukiika kkono okulwanyisa omulabe. Kabaka Omusuuli owa bukiika kkono, Antiyokasi Ow’Okusatu, yali akunze “ekibiina ekinene” ekyalimu abaserikale 68,000 okumulwanyisa. Naye ‘ekibiina kino kyaweebwayo’ mu mukono gwa kabaka w’ebukiika ddyo mu lutalo olwali mu kibuga Lafiya, si wala nnyo okuva ku nsalo ya Misiri.
26. (a) “Kibiina” ki ekyasaanyizibwawo kabaka w’ebukiika kkono mu lutalo olwali e Lafiya, era ndagaano ki ey’emirembe eyakolerwayo? (b) Mu ngeri ki Ttolemi Ow’Okuna ‘gy’ataakozesa kifo kye eky’amaanyi’? (c) Ani eyaddako okuba kabaka w’ebukiika ddyo?
26 Obunnabbi bweyongera mu maaso: “N’ekibiina kiryegulumiza [“kirisaanyizibwawo,” NW], n’omutima gwe gulyeyimusa: era alimegga obukumi obungi, naye taliwangula [“talikozesa kifo kye eky’amaanyi,” NW].” (Danyeri 11:12) Ttolemi Ow’Okuna, kabaka w’obukiika kkono, ‘yasaanyaawo’ abaserikale Abasuuli abatambuza ebigere 10,000, n’ab’oku mbalaasi 300, era n’atwala abalala 4,000 ng’abasibe. Awo bakabaka abo ne bakola endagaano, Antiyokasi Ow’Okusatu n’asigaza ekibuga ky’e Serusiya eky’omu Busuuli, naye n’afiirwa Bufoyiniiki ne Koyere eky’omu Busuuli. Olw’obuwanguzi buno, omutima gwa kabaka Omumisiri ow’obukiika ddyo ‘gwegulumiza,’ naddala eri Yakuwa. Yuda kyasigala wansi w’obuyinza bwa Ttolemi Ow’Okuna. Kyokka, teyakozesa ‘kifo kye eky’amaanyi’ okweyongera okuwangula kabaka Omusuuli owa bukiika kkono. Mu kifo ky’ekyo, Ttolemi Ow’Okuna yatandika okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu ennyo, era mutabani we ow’emyaka etaano, Ttolemi Ow’Okutaano, n’adda mu kifo kye nga kabaka w’obukiika ddyo, emyaka egiwerako nga Antiyokasi Ow’Okusatu tannafa.
OMUWANGUZI AKOMAWO
27. Kabaka w’ebukiika kkono yakomawo atya ‘ebiseera bwe byaggwaako’ okweddiza ebitundu bye yali awambiddwako Misiri?
27 Olw’obuwanguzi bwe yafuna, Antiyokasi Ow’Okusatu yayitibwa Antiyokasi Omukulu. Ng’amwogerako, malayika yagamba: “Ne kabaka w’obukiika obwa kkono alikomawo, era aligaba ekibiina ekisinga eky’olubereberye: era alijja ebiseera bwe biriggwaako, gye myaka, ng’alina eggye eddene n’ebintu ebingi.” (Danyeri 11:13) “Ebiseera” ebyo gyali emyaka 16 oba n’okusingawo okuva Abamisiri lwe baawangula Abasuuli e Lafiya. Omuvubuka Ttolemi Ow’Okutaano bwe yafuuka kabaka w’ebukiika ddyo, Antiyokasi Ow’Okusatu yajja okumutabaala ng’alina “ekibiina ekisinga eky’olubereberye” asobole okweddiza ebitundu bye yali aggiddwako kabaka Omumisiri ow’ebukiika ddyo. Okusobola okutuukiriza ekyo, Antiyokasi yeegatta ne Kabaka Firipo Ow’Okutaano owa Makedoni.
28. Mitawaana ki kabaka omuto ow’ebukiika ddyo gye yalina?
28 Kabaka w’ebukiika ddyo yalina emitawaana mu bwakabaka bwe. Malayika yagamba nti “mu biro ebyo walibaawo abangi abaliyimirira okulwana ne kabaka w’obukiika obwa ddyo.” (Danyeri 11:14a) Bangi ‘baayimirira okulwana ne kabaka w’obukiika obwa ddyo.’ Ng’oggyeko okwolekagana n’amagye ga Antiyokasi Ow’Okusatu n’Omukedoni gwe yali asse naye omukago, kabaka ono omuto ow’ebukiika ddyo yayolekagana n’ebizibu mu ggwanga lye ery’e Misiri. Olw’okuba Agasoko eyali amulabirira era eyafuganga mu linnya lye, yayisa bubi nnyo Abamisiri, bangi baajeema. Malayika yagattako: “Era n’abaana b’abo abalina ettima mu bantu bo balyegolokosa okunyweza ebikwolesebbwa [“okutuukiriza ekisuubirwa,” NW]: naye baligwa.” (Danyeri 11:14b) N’abamu ku b’eggwanga lya Danyeri baafuuka ‘baana b’abo abalina ettima,’ oba bakyewaggula. Naye ‘okusuubira’ kwonna Abayudaaya abo kwe baalina ku bikwata ku kukomya obufuzi bwa Bannaggwanga mu nsi yaabwe kwali kwa bwereere, era bandiremereddwa, oba ‘bandigudde.’
29, 30. (a) “Emikono egy’obukiika obwa ddyo” gyawangulwa gitya okuva mu bukiika kkono? (b) Kabaka ow’ebukiika kkono yatuuka atya ‘okuyimirira mu nsi ey’ekitiibwa’?
29 Malayika wa Yakuwa yeeyongera okulagula: “Kabaka w’obukiika obwa kkono alijja, alikuba olusozi [“alizingiza,” NW], alirya ekibuga ekiriko ebigo ebingi: n’emikono egy’obukiika obwa ddyo tegiribasobola, newakubadde abantu be abalonde, so tewaliba maanyi gonna okubasobola. Naye oyo ajja okumulumba alikola nga bw’ayagala ye, so tewaliba ayimirira mu maaso ge: era aliyimirira mu nsi ey’ekitiibwa, ne mu mukono gwe mulibaamu okuzikiriza.”—Danyeri 11:15, 16.
30 Amagye ga Ttolemi Ow’Okutaano, oba “emikono egy’obukiika obwa ddyo,” gaawangulwa nga galumbiddwa okuva e bukiika kkono. Mu Paneyasi (Kayisaliya ekya Firipo), Antiyokasi Ow’Okusatu yasindiikiriza Omugabe Sikopasi owa Misiri n’abasajja be “abalonde” 10,000 mu Sidoni, “ekibuga ekiriko ebigo ebingi.” Antiyokasi Ow’Okusatu ‘yazingiza’ ekibuga ekyo eky’omu Bufoyiniiki n’akiwamba mu 198 B.C.E. Yakola ‘nga bw’ayagala’ kubanga amagye ga kabaka Omumisiri ow’ebukiika ddyo tegaasobola kumuziyiza. Antiyokasi Ow’Okusatu yayolekera Yerusaalemi, ekibuga ekikulu ekya Yuda, ‘ensi ey’ekitiibwa.’ Mu 198 B.C.E., Yerusaalemi ne Yuda byava wansi w’obufuzi bwa kabaka Omumisiri ow’ebukiika ddyo ne bidda wansi wa kabaka Omusuuli ow’ebukiika kkono. Awo Antiyokasi Ow’Okusatu, kabaka ow’ebukiika kkono, yatandika ‘okuyimirira mu nsi ey’ekitiibwa.’ ‘Omukono gwe gwazikiriza’ Abayudaaya n’Abamisiri bonna abaali bamuziyiza. Kabaka ono ow’ebukiika kkono yandimaze bbanga ki ng’akola nga bw’ayagala?
ROOMA EKUGIRA OMUWANGUZI
31, 32. Lwaki kabaka ow’ebukiika kkono yeesanga ng’akoze “endagaano” ey’emirembe ne kabaka ow’ebukiika ddyo?
31 Malayika wa Yakuwa atuwa eky’okuddamu kino: “[Kabaka ow’e bukiika kkono] alikyusa amaaso ge okujja n’amaanyi ag’obwakabaka bwe bwonna, n’ab’amazima nga bali wamu naye [“era alikola endagaano,” NW]: era alikola by’alyagala: era alimuwa omuwala w’abakazi, okumwonoona: naye taliyimirira, so talimuyamba ye.”—Danyeri 11:17.
32 Kabaka ow’ebukiika kkono, Antiyokasi Ow’Okusatu, ‘yakyusa amaaso ge’ okufuga Misiri “n’amaanyi ag’obwakabaka bwe bwonna.” Naye yeesanga ng’akoze ‘endagaano’ ey’emirembe ne Ttolemi Ow’Okutaano, kabaka ow’ebukiika ddyo. Ebiragiro ebyava e Rooma byaleetera Antiyokasi Ow’Okusatu okukyusa enteekateeka ze. Ye ne Kabaka Firipo Ow’Okutaano owa Makedoni bwe beekobaana okulwanyisa kabaka omuto owa Misiri batwale amatwale ge, abakuza ba Ttolemi Ow’Okutaano baasaba Rooma okubawa obukuumi. Ng’ekozesa akakisa ako okugaziya obuyinza bwayo, Rooma yayimukiramu.
33. (a) Ndagaano ki ey’emirembe eyakolebwa wakati wa Antiyokasi Ow’Okusatu ne Ttolemi Ow’Okutaano? (b) Obufumbo bwa Kirewopatula I ne Ttolemi Ow’Okutaano bwalina kigendererwa ki, era lwaki ekigendererwa ekyo kyagwa butaka?
33 Ng’awalirizibwa Rooma, Antiyokasi Ow’Okusatu yakola endagaano ey’emirembe ne kabaka ow’ebukiika ddyo. Mu kifo ky’okuwaayo amatwale ge yali awambye, nga Rooma bwe yali emulagidde, Antiyokasi Ow’Okusatu yasuubiza okugawaayo ng’afumbiza muwala we Kirewopatula I, “omuwala w’abakazi,” eri Ttolemi Ow’Okutaano. Amasaza ago nga mw’otwalidde ne Yuda, “ensi ey’ekitiibwa,” ge gandibadde ng’ebintu omugole omukazi by’agenda nabyo mu bufumbo. Kyokka, muwala we bwe yafumbirwa mu 193 B.C.E., kabaka wa Busuuli teyawaayo masaza gano eri Ttolemi Ow’Okutaano. Obufumbo buno bwalina ekigendererwa kya bya bufuzi, eky’okuteeka Misiri wansi w’obuyinza bwa Busuuli. Naye ekigendererwa ekyo kyagwa butaka kubanga Kirewopatula I ‘teyamuyamba,’ kuba oluvannyuma yasalawo okudda ku ludda lwa bba. Olutalo bwe lwabalukawo wakati wa Antiyokasi Ow’Okusatu n’Abaruumi, Misiri yawagira Rooma.
34, 35. (a) ‘Nsi ki eziriraanye ennyanja’ kabaka ow’ebukiika kkono ze yakyukiza amaaso ge? (b) Rooma yakomya etya “ekivume” ekyava eri kabaka ow’ebukiika kkono? (c) Antiyokasi Ow’Okusatu yafa atya, era ani eyafuuka kabaka ow’ebukiika kkono?
34 Ng’ayogera ku bizibu ebyajjira kabaka ow’ebukiika kkono, malayika yagattako: “Oluvannyuma lw’ebyo [Antiyokasi Ow’Okusatu] alikyusa amaaso ge awali ebizinga [“ensi eziriraanye ennyanja,” NW], aliryako bingi: naye omukulu [Rooma] alikomya ekivume oyo kye yaleeta [ku Rooma]: era naye [Rooma] alimuddizaayo ekivume kye [ekyava eri Antiyokasi Ow’Okusatu]. [Antiyokasi Ow’Okusatu] N’alyoka akyusa amaaso ge awali ebigo eby’omu nsi ye ye: naye alyesittala, aligwa, so talirabika.”—Danyeri 11:18, 19.
35 “Ensi eziriraanye ennyanja” zaali Makedoni, Buyonaani, ne Asiya Omutono. Olutalo lwabalukawo mu Buyonaani mu 192 B.C.E., era Antiyokasi Ow’Okusatu yawalirizibwa okujja e Buyonaani. Rooma yaggulawo olutalo ku kabaka wa Busuuli olw’okuba teyayagala kaweefube kabaka oyo gwe yaliko ow’okuwamba amatwale amalala. Abaruumi baamuwangula e Teremopulayi. Nga waakayita omwaka nga gumu oluvannyuma lw’okumuwangula mu lutalo olwali e Maginesiya mu 190 B.C.E., yalina okulekulira ebitundu byonna bye yali awambye mu Buyonaani, Asiya Omutono, era ne mu bugwanjuba w’Ensozi z’e Tawurosi. Rooma yasaba kabaka Omusuuli ow’ebukiika kkono engassi nnene era n’emussa wansi w’obufuzi bwayo. Antiyokasi Ow’Okusatu bwe yafuumuulwa mu Buyonaani ne Asiya Omutono era n’afiirwa kumpi eggye lye lyonna, ‘yakyusa amaaso ge okuddayo mu bigo by’omu nsi ye,’ Busuuli. Abaruumi baali ‘bamuddizza ekivume kye.’ Antiyokasi Ow’Okusatu yafa ng’agezaako okunyaga yeekaalu y’e Erimayisi, eky’omu Buperusi mu 187 B.C.E. Bw’atyo bwe ‘yagwa’ oba bwe yafa. Yasikirwa mutabani we Serewuko Ow’Okuna, kabaka eyaddako owa bukiika kkono.
AKAKUUBAGANO KEEYONGERA
36. (a) Kabaka w’ebukiika ddyo yagezaako atya okwongera mu maaso akakuubagano, naye kiki ekyamutuukako? (b) Serewuko Ow’Okuna yafa atya, era ani eyamusikira?
36 Nga kabaka w’ebukiika ddyo, Ttolemi Ow’Okutaano yagezaako okuwamba amasaza ge yali ow’okufuna bwe yawasa Kirewopatula, naye yaweebwa obutwa n’afa. Yasikirwa Ttolemi Ow’Omukaaga. Ate Serewuko Ow’Okuna? Ng’anoonya ssente ez’okusasula engassi ennene eyali emubanjibwa Rooma, yatuma omuwanika we Keriyodorasi okunyaga eby’obugagga ebyali birowoozebwa nti biterekeddwa mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Keriyodorasi yatta Serewuko Ow’Okuna ng’ayagala okweddiza nnamulondo. Kyokka, Kabaka Yumenesi ow’e Perugamo ne muganda we Atalusi, baatuuza Antiyokasi Ow’Okuna, muganda wa kabaka eyattibwa, ku nnamulondo eyo.
37. (a) Antiyokasi Ow’Okuna yagezaako atya okweraga nti wa maanyi okusinga Yakuwa Katonda? (b) Kiki ekyaliwo Antiyokasi Ow’Okuna bwe yavvoola yeekaalu y’omu Yerusaalemi?
37 Kabaka omuppya owa bukiika kkono, Antiyokasi Ow’Okuna yayagala okweraga nti wa maanyi okusinga Katonda ng’agezaako okusaanyawo okusinza kwa Yakuwa. Ng’anyoomoola Yakuwa, yawonga yeekaalu ya Yakuwa eri Zewu, oba Jupita. Mu Ddesemba 167 B.C.E., ekyoto eky’ekikaafiiri kyazimbibwa kungulu kw’ekyoto ekinene eky’omu luggya lwa yeekaalu okwayokerwanga buli lunaku ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa. Oluvannyuma lw’ennaku kkumi, ssaddaaka yaweebwayo eri Zewu ku kyoto ekyo eky’ekikaafiiri. Obuvvoozi buno bwaleetera Abayudaaya okwegugunga nga bakulemberwa Makabbiizi. Antiyokasi Ow’Okuna yalwanagana nabo okumala emyaka esatu. Mu 164 B.C.E., ku lunaku ekyoto lwe kyavvoolwa, Yuda Makabbiizi yawaayo buto yeekaalu eri Yakuwa era n’atandikawo Kanuka, embaga ey’okutukuza.—Yokaana 10:22.
38. Obufuzi bw’Abamakabbiizi bwakoma butya?
38 Oboolyawo Abamakabbiizi baakola endagaano ne Rooma mu 161 B.C.E., era ne bateekawo obwakabaka mu 104 B.C.E. Naye akakuubagano akaaliwo wakati waabwe ne kabaka Omusuuli ow’ebukiika kkono keeyongera. Mu nkomerero, Rooma yasabibwa okuyingira mu nsonga ezo. Omugabe Omuruumi Ginayasi Pompe yawamba Yerusaalemi mu 63 B.C.E., oluvannyuma lw’okukizingiza okumala emyezi esatu. Mu 39 B.C.E., Olukiiko Olukulu olw’Abaruumi lwalonda Kerode, Omuwedomu, okuba kabaka wa Buyudaaya. Yawamba Yerusaalemi mu 37 B.C.E., n’akomya obufuzi bw’Abamakabbiizi.
39. Oganyuddwa otya mu kwekenneenya ebiri mu Danyeri 11:1-19?
39 Nga kibuguumiriza okulaba nti byonna ebiri mu kitundu ekisooka eky’obunnabbi obukwata ku bakabaka ababiri abalina akanyoolagano byatuukirizibwa mu bujjuvu! Mazima ddala nga kibuugumiriza nnyo okutunula mu byafaayo eby’emyaka egisukka mu 500 okuva obubaka buno obw’obunnabbi lwe bwaweebwa Danyeri ne tumanya abafuzi ababadde kabaka ow’ebukiika kkono n’ow’ebukiika ddyo! Kyokka, bakabaka bano ababiri bazze bakyukakyuka ng’olutalo wakati waabwe lweyongera mu maaso. Kino kibaddewo n’okuyita mu biseera bya Yesu Kristo okutuukira ddala mu biseera byaffe. Nga tugeraageranya ebibaddewo mu byafaayo ne kalonda eyabikkulwa mu bunnabbi buno, tujja kusobola okutegeera bakabaka bano ababiri abalina akanyoolagano.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Nnyiriri ki ebbiri eza bakabaka ab’amaanyi ezaasibuka mu bwakabaka bw’Abayonaani, era kakuubagano ki akaatandikawo?
• Nga bwe kyalagulwa mu Danyeri 11:6, bakabaka abo ababiri baakola batya ‘endagaano’?
• Akakuubagano keeyongera katya wakati wa Serewuko II ne Ttolemi Ow’Okusatu (Danyeri 11:7-9)?
Antiyokasi Ow’Okusatu ne Ttolemi Ow’Okuna (Danyeri 11:10-12)?
Antiyokasi Ow’Okusatu ne Ttolemi Ow’Okutaano (Danyeri 11:13-16)?
• Obufumbo wakati wa Kirewopatula I ne Ttolemi Ow’Okutaano bwalina kigendererwa ki, era l waki kyagwa butaka (Danyeri 11:17-19)?
• Oganyuddwa otya mu kussaayo omwoyo ku Danyeri 11:1-19?
[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 228]
BAKABAKA B’OMU DANYERI 11:5-19
Kabaka w’Ebukiika Kkono Kabaka w’Ebukiika Ddyo
Danyeri 11:5 Niketa Serewuko I Ttolemi I
Danyeri 11:6 Antiyokasi II Ttolemi II
(mukyala we Lawodiisi) (muwala we Bereniisi)
Danyeri 11:7-9 Serewuko II Ttolemi III
Danyeri 11:10-12 Antiyokasi III Ttolemi Ow’Okuna
Danyeri 11:13-19 Antiyokasi III Ttolemi Ow’Okutaano
(muwala we Kirewopatula I) Eyaddawo:
Abaddawo: Ttolemi
Ow’Omukaaga
Serewuko Ow’Okuna ne
Antiyokasi Ow’Okuna
[Ekifaananyi]
Ssente ey’ekyuma eriko ekifaananyi kya Ttolemi II ne mukyala we
[Ekifaananyi]
Niketa Serewuko I
[Ekifaananyi]
Antiyokasi III
[Ekifaananyi]
Ttolemi Ow’Omukaaga
[Ekifaananyi]
Ttolemi III n’abaamuddira mu bigere baazimba yeekaalu eno ey’e Korusi mu Yidufu, mu Mambuka ga Misiri
[Mmaapu/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 216, 217]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Ebigambo “kabaka w’obukiika obwa kkono” ne “kabaka w’obukiika obwa ddyo” bikwata ku bakabaka abaali ku luuyi olw’ebukiika kkono n’ebukiika ddyo bw’abantu ba Danyeri
MAKEDONI
BUYONAANI
ASIYA OMUTONO
ISIRAERI
LIBIYA
MISIRI
BUWESIYOPYA
BUSUULI
Babulooni
BUWALABU
[Ekifaananyi]
Ttolemi II
[Ekifaananyi]
Antiyokasi Omukulu
[Ekifaananyi]
Ejjinja eririko ebiragiro bya Antiyokasi Omukulu
[Ekifaananyi]
Ssente ey’ekyuma eriko ekifaananyi kya Ttolemi Ow’Okutaano
[Ekifaananyi]
Omulyango gwa Ttolemi III, e Kanaki, Misiri
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 210]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 215]
Niketa Serewuko I
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 218]
Ttolemi I