Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Obadiya, Ekya Yona, n’Ekya Mikka
“OKWOLESEBWA kwa Obadiya.” (Obadiya 1) Bino bye bigambo ebisooka mu kitabo kya Baibuli ekya Obadiya. Okuggyako erinnya lye, nnabbi ono talina kirala kimukwatako ky’atubuulira mu kitabo ekyo kye yawandiika mu 607 B.C.E. Mu kitabo ekyawandiikibwa mu byasa ebissuka mu bibiri emabega, nnabbi Yona ayogera kaati ku ebyo ebyamutuukako ng’aweereza mu ggwanga eddala gye yali atumiddwa. Mikka aweereza nga nnabbi okuva mu 777 B.C.E. okutuuka mu 717 B.C.E., era ebbanga lino ery’emyaka 60 liri wakati w’ekiseera ky’obuweereza bwa Obadiya n’obwa Yona. Okuggyako okugamba nti yali ‘Mumolasuuti,’ era nti ekigambo kya Yakuwa kyamujjira “mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda,” talina birala bimukwatako by’ayogera. (Mikka 1:1) Ebyokulabirako nnabbi ono by’akozesa okuggumiza ensonga eziri mu bubaka bwe biraga nti yali amanyi bulungi obulamu bw’ekyalo.
EDOMU ‘ALIGGIBWAWO EMIREMBE GYONNA’
Ng’ayogera ku Edomu, Obadiya agamba: “Kubanga wagirira amaanyi muganda wo Yakobo, ensonyi zirikukwata era oliggibwawo emirembe gyonna.” Ebikolwa eby’obukambwe Abaedomu bye baakola abaana ba Yakobo, Abaisiraeri, nnabbi ono yali akyabijjukira bulungi. Babulooni bwe yazikiriza Yerusaalemi mu 607 B.C.E., Abaedomu ‘baayimirira ku mabbali’ ne beegatta ku balabe “abayise.”—Obadiya 10, 11.
Obutafaananako ekyo ekinaatuuka ku Edomu, ennyumba ya Yakobo ejja kuzzibwa ku butaka. Obadiya alagula nti: “Ku lusozi Sayuuni kulibaako abawona, era luliba lutukuvu.”—Obadiya 17.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
5-8—Makulu ki agali mu kugeraageranya okuzikirizibwa kwa Edomu ku kujja kw’abanyazi ekiro n’okw’abanozi b’ezabbibu? Singa ababbi be baali bazze mu Edomu, banditutteko ebyo byokka bye baagala. Singa abanozi b’ezabbibu be baali bazze mu ye, bandirese ezabbibu ez’okwerebwa. Naye Edomu bw’eneezikirizibwa, “abantu bonna abaalagaana gy’[a]li,” Ababulooni, bajja kunoonya eby’obugagga bye byonna babinyage.—Yeremiya 49:9, 10.
10—Mu ngeri ki Edomu gye ‘yaggibwawo emirembe gyonna’? Nga bwe kyalagulwa, Edomu, eggwanga eryalina gavumenti n’abantu abaalina ekitundu we babeera ku nsi, yasaanawo. Kabaka Nabonidasi owa Babulooni yawamba Edomu awo nga mu makkati g’ekyasa eky’omukaaga B.C.E. Ekyasa eky’okuna B.C.E., kyagenda okutuuka, ng’awaali eggwanga lya Edomu waliwo abantu abayitibwa Abanabati, kino ne kireetera Abaedomu okusenga mu maserengeta ga Buyudaaya, mu kitundu ky’olukoola Negebu ekiyitibwa Idumaya. Abaruumi bwe baazikiriza Yerusaalemi mu 70 C.E., Abaedomu baasaanirawo ddala.
Bye Tuyigamu:
3, 4. Abaedomu bayinza okuba beewananga nga balowooza nti tewali mulabe yenna ayinza kubalumba olw’okuba baali babeera mu nsozi empanvu ennyo. Naye omusango gwa Yakuwa tegusimatukwa.
8, 9, 15. Amagezi g’abantu n’amaanyi gaabwe tebisobola kuwa bukuumi bwonna ku “lunaku lwa Mukama.”—Yeremiya 49:7, 22.
12-14. Ebyatuuka ku Baedomu biraga ekyo ekinaatuuka ku abo abasanyuka ng’abaweereza ba Katonda babonaabona. Yakuwa atwala okuyigganyizibwa kw’abantu be nga nsonga enkulu.
17-20. Obunnabbi bw’okuzza abaana ba Yakobo ku butaka bwatandika okutuukirizibwa ensigalira bwe baddayo e Yerusaalemi okuva mu buwambe e Babulooni mu 537 B.C.E. Ekigambo kya Yakuwa bulijjo kituukirira. Tusobola okuba abakakafu nti ebisuubizo bye byonna bijja kutuukirira.
“NINEEVE KIRIZIKIRIRA”
Mu kifo ky’okugondera ekiragiro kya Katonda ‘n’agenda e Nineeve ekibuga ekinene okulangirira’ obubaka obw’omusango, Yona adduka n’akwata ekkubo eddala. Yakuwa akozesa “empewo ennyingi ku nnyanja” awamu ‘n’ekyennyanja ekinene,’ okumuziyiza era addamu okumutuma mu kibuga kya Bwasuli ekikulu.—Yona 1:2, 4, 17; 3:1, 2.
Yona ayingira mu Nineeve n’alangirira butereevu nti: “Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira.” (Yona 3:4) Obubaka bwe buleetawo enkyukakyuka gy’abadde tasuubira era kino Yona kimuleetera ‘okunyiikaala.’ Yakuwa akozesa “ekiryo” okuyigiriza Yona obusaasizi.—Yona 4:1, 6.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
3:3—Ddala Nineeve kyali kinene ne kiba nti kyali kya ‘lugendo lwa nnaku ssatu’? Yee. Mu biseera eby’edda, Nineeve kirabika kyali kizingiramu ebifo ebirala okuva e Kolusabaadi mu bukiika kkono okutuuka e Nimuludi mu bukiika ddyo. Ebifo bino byonna okubyetooloola byali biweza mayiro 60. Kirabika erinnya Nineeve lyali litwaliramu n’ebitundu ebiriraanyeewo ebiri ebweru wa bbugwe.
3:4—Yona yali alina okuyiga olulimi Olusuuli okusobola okubuulira abantu b’omu Nineeve? Yona ayinza okuba nga yali amanyi olulimi Olusuuli, oba nga yasobola okulwogera mu ngeri y’ekyamagero. Kisoboka n’okuba nti bubaka bwe buno obwali obumpi ennyo yabulangirira mu Lwebbulaniya nga waliwo avvuunula. Bwe kiba nti bye yayogeranga bavvuunulanga bivvuunule, birina okuba nga byasikiriza bangi okuwuliriza.
Bye Tuyigamu:
1:1-3. Singa omuntu asalawo mu bugenderevu okukola ebintu ebirala okusobola okwewala okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa, kiba kiraga nti alina endowooza enkyamu. Omuntu bw’akola atyo, aba ng’adduse ku mulimu Katonda gw’atuwadde.
1:1, 2; 3:10. Yakuwa talaga busaasizi bwe bantu ba nsi emu, ggwanga oba abantu ab’ekika ekimu. “Mukama mulungi eri bonna; n’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.”—Zabbuli 145:9.
1:17; 2:10. Yona okumala ennaku ssatu mu kyennyanja ekinene kyali kisonga ku kufa n’okuzuukizibwa kwa Yesu.—Matayo 12:39, 40; 16:21.
1:17; 2:10; 4:6. Yakuwa yanunula Yona okuva mu nnyanja eyali esiikuuse. Katonda era “[y]ategeka ekiryo n’akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye.” Abasinza ba Yakuwa leero bakakafu nti Katonda waabwe ajja kubalaga ekisa, abakuume era abanunule.—Zabbuli 13:5; 40:11.
2:1, 2, 9, 10. Yakuwa awulira okusaba kw’abaweereza be.—Zabbuli 120:1; 130:1, 2.
3:8, 10. Katonda ow’amazima “yejjusa,” oba yakyusa ekirowoozo kye, ‘n’atakola’ kintu kya kabi nga bwe yali ayogedde. Lwaki? Kubanga abantu b’omu Nineeve baali ‘bakyuse okuva mu kkubo lyabwe ebbi.’ Ne leero, omwonoonyi bwe yeenenya mu bwesimbu Katonda amusonyiwa.
4:1-4. Tewali muntu ayinza kulemesa Katonda kulaga busaasizi Bwe. Tetusaanidde kwemulugunya olw’engeri Yakuwa gy’alagamu obusaasizi.
4:11. Yakuwa alaze obugumiikiriza ng’aleka obubaka bw’Obwakabaka okulangirirwa mu nsi yonna kubanga—nga bwe kyali eri abantu 120,000 ab’omu Nineeve—akwatirwa ekisa abo “abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n’omukono gwabwe ogwa kkono.” Tetwandikwatiddwa bantu ba mu kitundu kyaffe kisa ne tuba banyiikivu mu kubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa?—2 Peetero 3:9.
‘EKIWALAATA KYABWE KIJJA KUGAZIYIZIBWA’
Mikka ayasanguza ebibi bya Isiraeri ne Yuda, alagula okuzikirizibwa kw’ebibuga byabwe ebikulu, era asuubiza nti waliwo abalikomezebwawo. Samaliya kijja kufuuka “ekifunvu mu ttale.” Olw’okusinza ebifaananyi, Isiraeri ne Yuda bagwanira ‘ebiwalaata,’ oba okuswazibwa. Bwe banaatwalibwa mu buwambe ebiwalaata byabwe bijja kugaziyizibwa ‘ng’eby’empungu’ nga kino kirabika kika kya nsega erina obuviiri butono ennyo ku mutwe. Yakuwa asuubiza nti: “Sirirema kukuŋŋaanya . . . Yakobo.” (Mikka 1:6, 16; 2:12) Olw’abakulembeze abalya enguzi, ne bannabbi abamenyi b’amateeka, Yerusaalemi nakyo “kirifuuka ekifunvu.” Naye Yakuwa ajja ‘kukuŋŋaanya’ abantu be. Mu “Besirekemu Efulasa” mwe muliva oyo “aliba omufuzi mu Isiraeri.”—Mikka 3:12; 4:12; 5:2.
Yakuwa tabadde mwenkanya eri Isiraeri? By’abeetaagisa okukola bizibu nnyo? Nedda. Yakuwa kye yeetaagisa abasinza be kwe ‘kukola eby’ensonga, okwagala ekisa, n’okuba abawombeefu’ nga batambula ne Katonda waabwe. (Mikka 6:8) Naye abantu b’omu kiseera kya Mikka boonoonefu nnyo ne kiba nti “oyo ku abo asinga obulungi afaanana ng’omweramannyo, omugolokofu ku abo asinga obubi olukomera lw’amaggwa,” ebintu ebifumita buli abisemberera. Naye nnabbi abuuza nti: “Ani Katonda nga ggwe [Yakuwa]?” Katonda ajja kulaga abantu be obusaasizi era ‘asuule ebibi byabwe byonna mu buziba bw’ennyanja.’—Mikka 7:4, 18, 19.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:12—Obunnabbi obukwata ku ‘kuleeta aba Isiraeri abasigalawo’ bwatuukirizibwa ddi? Bwasooka kutuukirizibwa mu 537 B.C.E., ensigalira y’Abayudaaya bwe baddayo ku butaka okuva mu buwambe e Babulooni. Mu kiseera kyaffe, obunnabbi buno butuukirizibwa ku “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16) Okuva mu 1919, Abakristaayo abaafukibwako amafuta babadde bakuŋŋaanyizibwa “ng’ekisibo ekiri wakati w’eddundiro.” Olw’okuba kati beegattibwako ‘ekibiina ekinene’ ‘eky’ab’endiga endala,’ naddala okuva mu 1935, waliwo ‘oluyoogaano kubanga bantu bangi.’ (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Bonna wamu batumbula okusinza okw’amazima.
4:1-4—“Mu nnaku ez’oluvannyuma,” Yakuwa ‘asalira atya omusango amawanga amangi, era n’anenya amawanga ag’amaanyi’? Ebigambo “amawanga amangi” ne “amawanga ag’amaanyi” tebitegeeza nsi za njawulo oba amawanga. Wabula bitegeeza abantu kinnoomu okuva mu mawanga gonna abafuuse abasinza ba Yakuwa. Yakuwa abasalira omusango era abanenya mu ngeri gye bakolaganamu naye.
Bye tuyigamu:
1:6, 9; 3:12; 5:2. Abasuuli baazikiriza Samaliya mu 740 B.C.E.—mu kiseera kya Mikka. (2 Bassekabaka 17:5, 6) Abasuuli bajja ne batuukira ddala e Yerusaalemi mu kiseera ky’obufuzi bwa Keezeekiya. (2 Bassekabaka 18:13) Mu 607 B.C.E., Abababulooni baayokya Yerusaalemi. (2 Ebyomumirembe 36:19) Nga bwe kyalagulwa, Masiya yazaalibwa mu “Besirekemu Efulasa.” (Matayo 2:3-6) Ekigambo kya Yakuwa tekiremererwa.
2:1, 2. Nga kiba kya kabi bwe tugamba nti tuweereza Katonda naye ng’okunoonya eby’obugagga kye tukulembeza so si ‘obwakabaka n’obutuukirivu bwe.’—Matayo 6:33; 1 Timoseewo 6:9, 10.
3:1-3, 5. Yakuwa ayagala abo abatwala obukulembeze mu bantu be okulaga obwenkanya.
3:4. Singa tuba twagala Yakuwa addemu okusaba kwaffe, tulina okwewala okukolanga ebibi oba okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri.
3:8. Tetusobola kutuukiriza mulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi, agazingiramu n’obubaka bw’omusango, okuggyako nga tulina omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu.
5:5. Obunnabbi buno obukwata ku Masiya butukakasa nti abantu ba Katonda bwe balumbibwa abalabe baabwe, “abasumba musanvu [ekiraga ekintu ekijjuvu]” ‘n’abantu ab’ebitiibwa munaana’—abantu ab’amaanyi abangi ddala—bateekebwawo okutwala obukulembeze mu bantu ba Yakuwa.
5:7, 8. Eri abantu bangi, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bafaananako ‘omusulo oguva eri Yakuwa’—omukisa oguva eri Katonda. Kino kiri bwe kityo kubanga Yakuwa akozesa abaafukibwako amafuta okulangirira obubaka bw’Obwakabaka. ‘Ab’endiga endala’ bayamba abantu okufuna enkolagana ne Katonda ng’abawagira abaafukibwako amafuta mu mulimu gw’okubuulira. (Yokaana 10:16) Nga nkizo ya kitalo okwenyigira mu mulimu guno, oguzzaamu ennyo abantu amaanyi!
6:3, 4. Tusaanidde okukoppa Yakuwa Katonda nga tulaga ekisa n’obusaasizi eri n’abo abatali bangu kukolagana nabo, oba abanafu mu by’omwoyo.
7:7. Nga bwe twolekagana n’ebizibu by’ensi eno embi tetusaanidde kuggwamu maanyi. Naye okufaananako Mikka, naffe twetaaga ‘okulindirira Katonda waffe.’
7:18, 19. Nga Yakuwa bwali omwetegefu okutusonyiwa ensobi zaffe, tusaanidde okuba abeetegefu okusonyiwa abo abatusobya.
Weeyongere ‘Okutambulira mu Linnya lya Yakuwa’
Abo abawakanya Katonda n’abantu be ‘baliggibwawo emirembe gyonna.’ (Obadiya 10) Kyokka, Yakuwa tajja kutwolekeza busungu bwe singa tuwuliriza okulabulwa kw’aba atuwadde era ne ‘tukyuka okuva mu kkubo ebbi.’ (Yona 3:10) “Mu nnaku ez’oluvannyuma,” zino zennyini mwe tuli, okusinza okulongoofu kugulumiziddwa waggulu w’amadiini gonna ag’obulimba era kati abantu abawombeefu bakwettanira. (Mikka 4:1; 2 Timoseewo 3:1) N’olwekyo ka tubeere bamalirivu ‘okutambulira mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe.’—Mikka 4:5.
Ng’ekitabo kya Obadiya, ekya Yona, n’ekya Mikka birimu eby’okuyiga eby’omuwendo bingi! Wadde nga byawandiikibwa emyaka kati egisoba mu 2,500, obubaka obubirimu ‘bulamu era bwa maanyi,’ ne leero.—Abaebbulaniya 4:12.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Obadiya yalagula nti: ‘Edomu aliggibwawo emirembe gyonna’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Mikka ‘yalindirira Yakuwa,’ naawe osobola okukola kye kimu