ESSUULA 26
Katonda ‘Omwetegefu Okusonyiwa’
1-3. (a) Kiki ekyali kizitooweredde Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli, era omutima gwe omunakuwavu gwabudaabudibwa gutya? (b) Bwe twonoona, tuyinza kusitula mugugu ki, naye Yakuwa atukakasa ki?
DAWUDI, omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika bw’ati: “Obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng’omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye. Nnyongobera, mmenyesemenyese.” (Zabbuli 38:4, 8) Dawudi yali amanyi bulungi obuzito bw’okulumirizibwa omuntu ow’omunda. Naye omutima gwe gwabudaabudibwa. Yakitegeera nti wadde nga Yakuwa akyawa ekibi, takyawa mwonoonyi kasita yeenenya mu bwesimbu era n’aleka ekkubo ebbi. Nga mukakafu nti Yakuwa mwetegefu okusaasira abo abeenenya, Dawudi yagamba: ‘Ai Yakuwa oli mwetegefu okusonyiwa.’—Zabbuli 86:5, NW.
2 Bwe twonoona, naffe tuyinza okulumirizibwa omuntu waffe ow’omunda. Enneewulira eyo ya muganyulo. Eyinza okutukubiriza okubaako ne kye tukolawo okutereeza ensobi zaffe. Kyokka, waliwo akabi k’okutendewererwa olw’okulumirizibwa ekibi kye tukoze. Omutima gwaffe ogutulumiriza guyinza okututegeeza nti Yakuwa tajja kutusonyiwa, ne bwe twenenya. Singa ‘tumirwa’ okulumirizibwa ekibi kye tukoze, Setaani ayinza okutuleetera okulekulira, nga tulowooza nti Yakuwa atutwala ng’abatalina mugaso, abatasaanira kumuweereza.—2 Abakkolinso 2:5-11.
3 Bw’atyo Yakuwa bw’atutunuulira? N’akatono! Okusonyiwa y’emu ku ngeri okwagala kwa Yakuwa okw’ekitalo gye kweyolekamu. Okuyitira mu Kigambo kye, atukakasa nti bwe twenenya mu bwesimbu, aba mwetegefu okutusonyiwa. (Engero 28:13) Okusobola okweggyamu endowooza nti Yakuwa tayinza kutusonyiwa, ka twekkaanye lwaki asonyiwa era n’engeri gy’asonyiwamu.
Ensonga Lwaki Yakuwa ‘Mwetegefu Okusonyiwa’
4. Kiki Yakuwa ky’ajjukira ku ngeri gye twakolebwamu, era kino kikwata kitya ku ngeri gy’akolagana naffe?
4 Yakuwa amanyi ekkomo lyaffe. Zabbuli 103:14, wagamba: “Amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” Teyeerabira nti tuli bitonde ebyakolebwa mu nfuufu era ebirina obunafu olw’okuba tetutuukiridde. Ebigambo “amanyi omubiri gwaffe,” bitujjukiza nti Baibuli egeraageranya Yakuwa ku mubumbi ate ffe ku bintu by’abumba.a (Yeremiya 18:2-6) Omubumbi Omukulu akolagana naffe okusinziira ku bunafu bwaffe bwe buli era ne ku ngeri gye tugobereramu oba gye twesambamu obulagirizi bwe.
5. Ekitabo ky’Abaruumi kyogera kitya ku maanyi g’ekibi?
5 Yakuwa amanyi bulungi amaanyi g’ekibi. Ekigambo kye kyogera ku kibi ng’ekintu eky’amaanyi ekinywezezza omuntu. Ekibi kya maanyi kwenkana wa? Mu kitabo ky’Abaruumi, omutume Pawulo annyonnyola bw’ati: ‘Tufugibwa ekibi,’ ng’abaserikale bwe bafugibwa omuduumizi waabwe (Abaruumi 3:9); ekibi ‘kifuze’ abantu nga kabaka (Abaruumi 5:21); ‘kituula,’ mu ffe (Abaruumi 7:17, 20); ‘amateeka gaakyo’ gakolera mu ffe, nga kigezaako okufuga obulamu bwaffe. (Abaruumi 7:23, 25) Ng’ekibi kirina amaanyi mangi nnyo ku mubiri gwaffe omunafu!—Abaruumi 7:21, 24.
6, 7. (a) Yakuwa atunuulira atya abo abamenyese emitima era abaagala okusonyiyibwa? (b) Lwaki tetwandyeyinudde nti Katonda ajja kutusaasira?
6 Bwe kityo, Yakuwa akimanyi nti tetuyinza kumugondera mu ngeri etuukiridde, ne bwe tuba nga twagala tutya. Atukakasa nti singa tumusaba okutusaasira n’omutima ogumenyese, ajja kutusonyiwa. Zabbuli 51:17, wagamba: “Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.” Yakuwa tayinza kugaana oba kwesamba mutima “ogumenyese era oguboneredde” olw’okulumirizibwa ekibi.
7 Kyokka, kino kitegeeza nti tuyinza okwekwasa obunafu bwaffe okwonoona nga tweyinula nti Katonda ajja kutusaasira? N’akatono! Yakuwa takola bintu olw’okukwatibwa obukwatibwa ekinyegenyege. Obusaasizi bwe buliko ekkomo. Tayinza kusonyiwa abo aboonoona entakera mu bugenderevu, ne bateenenya. (Abebbulaniya 10:26) Kyokka, bw’alaba omutima ogumenyese, aba mwetegefu okusonyiwa. Kati ka twekenneenye ebigambo ebimu ebikozesebwa mu Baibuli okwogera ku ngeri eno ey’ekitalo eyoleka okwagala kwa Yakuwa.
Yakuwa Asonyiwa Kwenkana Wa?
8. Kiki Yakuwa ky’akola ng’atusonyiye ebibi byaffe, era ekyo kituwa bugumu ki?
8 Dawudi eyali yeenenyezza yagamba: ‘Ne nkwatulira ekibi kyange, n’obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka n’onsonyiwa obutali butuukirivu obw’ekibi kyange.’ (Zabbuli 32:5) Ekigambo “n’onsonyiwa” kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza ‘okusitula’ oba ‘okutwala.’ Engeri gye kikozesebwamu wano kitegeeza okuggyawo “ekibi, okwonoona.” N’olwekyo, Yakuwa yasitula ebibi bya Dawudi n’abitwala. Awatali kubuusabuusa kino kyakendeeza ku kulumirizibwa mu mutima Dawudi kwe yalina. (Zabbuli 32:3) Naffe tuyinza okuteeka obwesige mu Katonda asitula ebibi by’abo abamusaba okubasonyiwa nga basinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu.—Matayo 20:28.
9. Yakuwa ebibi byaffe abiteeka wala kwenkana wa okuva we tuli?
9 Dawudi yakozesa ebigambo ebirala okunnyonnyola engeri Yakuwa gy’asonyiwamu: ‘Nga ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe.’ (Zabbuli 103:12) Ebuvanjuba weesudde ebugwanjuba bbanga ki? Mu ngeri emu, ebuvanjuba kye kifo ekisingayo okuba ewala okuva ebugwanjuba; byombi tebiyinza kusisinkana. Omwekenneenya omu agamba nti ebigambo ebyo bitegeeza “ewala ennyo nga bwe kisoboka; ewala ennyo nga bwe tuyinza okuteebereza.” Ebigambo bya Dawudi ebyaluŋŋamizibwa bitutegeeza nti Yakuwa bw’atusonyiwa, ebibi byaffe abiteeka wala nnyo ddala.
10. Yakuwa bw’asonyiwa ebibi byaffe, lwaki tetwandirowoozezza nti tuba tusigazza ebbala ly’ebibi ebyo?
10 Wali ogezezzaako okuggya ebbala mu lugoye? Oboolyawo wadde nga wafuba nnyo, ebbala lyasigalamu. Weetegereze Yakuwa bw’ayogera ku ngeri gy’asonyiwamu: ‘Ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira; ne bwe bitwakaala ng’ebendera, binaaba ng’ebyoya by’endiga.’ (Isaaya 1:18) Langi “entwakaavu” yali emu ku ezo ezaateekebwanga mu ngoye.b (Nakkumu 2:3) Ffe ku bwaffe tetuyinza kuggyawo bbala lya kibi. Ebibi ebigeraageranyizibwa ku langi emmyufu oba entwakaavu, Yakuwa ayinza okubifuula ebyeru ng’omuzira. Yakuwa bw’asonyiwa ebibi byaffe, tetwetaaga kulowooza nti tusigazza ebbala ly’ebibi ebyo.
11. Mu ngeri ki Yakuwa gy’asuulamu ebibi byaffe emabega we?
11 Mu luyimba olwoleka okusiima Keezeekiya lwe yayiiya oluvannyuma lw’okuwonyezebwa obulwadde obwali bugenda okumutta, yagamba Yakuwa: ‘Osudde ebibi byange byonna ennyuma w’amabega go.’ (Isaaya 38:17) Wano Yakuwa ayogerwako ng’atwala ebibi by’omwonoonyi eyeenenyezza n’abisuula emabega We gy’atabirabira wadde okubyekenneenya. Okusinziira ku kitabo ekimu, ebigambo ebyo biyinza okuba n’amakulu gano: “[Ebibi byange] obiggiddewo ddala.” Ekyo tekizzaamu nnyo maanyi?
12. Nnabbi Mikka akiraga atya nti Yakuwa bw’asonyiwa, aggirawo ddala ebibi byaffe?
12 Mu kisuubizo ky’okukomezebwawo ku butaka, nnabbi Mikka yali mukakafu nti Yakuwa yandisonyiye abantu be abeenenyezza: ‘Ani Katonda nga ggwe ayita ku kwonoona okw’abasigalawo ab’obutaka bwe? Era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw’ennyanja.’ (Mikka 7:18, 19) Teeberezaamu ebigambo ebyo kye byategeeza eri abantu abaaliwo mu biseera bya Baibuli. Kyali kisoboka okufuna ekintu kyonna ekyali kisuuliddwa mu “buziba bw’ennyanja”? Bwe kityo, ebigambo bya Mikka biraga nti Yakuwa bw’asonyiwa, aggirawo ddala ebibi byaffe.
13. Ebigambo bya Yesu nti “otusonyiwe amabanja gaffe” bitegeeza ki?
13 Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’ababanja n’ababanjibwa okulaga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu. Yesu yatukubiriza okusaba: ‘Otusonyiwe amabanja gaffe.’ (Matayo 6:12) Mu ngeri eyo, Yesu yageraageranya ebibi ku mabanja. (Lukka 11:4) Bwe twonoona, tuba ‘tubanjibwa’ Yakuwa. Ekitabo ekimu kyogera kiti ku makulu agamu ag’ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okusonyiwa’: “Okusazaamu ebbanja nga tolisaba gw’olibanja.” Mu ngeri emu, Yakuwa bw’asonyiwa, asazaamu ebbanja eryandibadde litubanjibwa. N’olwekyo, aboonoonyi abeenenyezza bayinza okuddamu amaanyi. Yakuwa tagenda kukusaba kusasula bbanja ly’asazizzaamu!—Zabbuli 32:1, 2.
14. Ebigambo “ebibi byammwe bisangulibwe” bikuwa kifaananyi ki?
14 Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu eyogerwako mu Ebikolwa by’Abatume 3:19: ‘Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe.’ Ekigambo ekisembayo mu kyawandiikibwa ekyo kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza ‘okusazaamu oba okuzikiriza.’ Okusinziira ku beekenneenya abamu, kirina amakulu ag’okusangula ebiwandiikiddwa. Ekyo kyasoboka kitya? Bwino eyakozesebwanga mu biseera eby’edda yabangamu langi enzirugavu, amasanda n’amazzi. Mangu ddala oluvannyuma lw’okukozesa bwino oyo, omuntu yalinga asobola okukozesa ekigoye ekibisi n’asangula by’awandiise. Ekyo kifaananyi kirungi ekiraga obusaasizi bwa Yakuwa. Bw’asonyiwa ebibi byaffe, abanga atutte ekigoye ekibisi n’abisangula.
Yakuwa ayagala tutegeere nti ‘mwetegefu okusonyiwa’
15. Kiki Yakuwa ky’ayagala tumumanyeko?
15 Bwe tulowooza ku byokulabirako bino ebitali bimu, tekyeraga bulungi nti Yakuwa ayagala tumanye nti mwetegefu okusonyiwa ebibi byaffe kasita twenenya mu bwesimbu? Tekitwetaagisa kutya nti ajja kutuvunaana ebibi ebyo mu biseera eby’omu maaso. Kino kiragibwa ekintu ekirala Baibuli ky’ebikkula ku busaasizi bwa Yakuwa obw’ekitalo: Bw’asonyiwa, yeerabira.
“Ekibi Kyabwe Sirikijjukira Nate”
16, 17. Baibuli bw’egamba nti Yakuwa yeerabira ebibi byaffe, eba etegeeza ki, era lwaki oddamu bw’otyo?
16 Yakuwa yasuubiza bw’ati abo abaali mu ndagaano empya: “Ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” (Yeremiya 31:34) Kino kitegeeza nti Yakuwa bw’asonyiwa aba takyasobola kujjukira bibi? Nedda. Baibuli eyogera ku bibi by’abantu bangi Yakuwa be yasonyiwa, nga mw’otwalidde ne Dawudi. (2 Samwiri 11:1-17; 12:13) Kya lwatu Yakuwa amanyi ebibi bye baakola. Ebibi byabwe, okwenenya kwabwe era n’engeri Katonda gye yabasonyiwamu, biteekeddwa mu buwandiike tusobole okubiganyulwamu. (Abaruumi 15:4) Kati olwo, Baibuli etegeeza ki bw’egamba nti Yakuwa ‘tajjukira’ bibi by’abo b’asonyiwa?
17 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okujjukira’ tekitegeeza kujjukira bya mabega kyokka. Ekitabo Theological Wordbook of the Old Testament kigamba nti kizingiramu “okubaako ne ky’okolawo ekisaanira.” N’olwekyo, ‘okujjukira’ ekibi kizingiramu okubonereza aboonoonyi. (Koseya 9:9) Naye, Katonda bw’agamba nti “ekibi kyabwe sirikijjukira nate,” aba atukakasa nti bw’asonyiwa omwonoonyi eyeenenyezza, aba tajja kumubonereza mu kiseera eky’omu maaso olw’ebibi ebyo. (Ezeekyeri 18:21, 22) Bwe kityo, Yakuwa yeerabira mu ngeri nti tajjukira bibi byaffe asobole okuddamu okutuvunaana oba okutubonereza olw’ebibi ebyo. Tekizzaamu maanyi okumanya nti Katonda waffe asonyiwa era ne yeerabira?
Kiri Kitya ku Biva mu Kwonoona?
18. Lwaki omwonoonyi bw’asonyiyibwa ebibi tekitegeeza nti tajja kutuukibwako bizibu biyinza kuva mu kkubo lye ekkyamu?
18 Yakuwa okuba nti mwetegefu okusonyiwa kitegeeza nti omwonoonyi eyeenenyezza tatuukibwako bibi biva mu kkubo lye kkyamu? N’akatono. Tetuyinza kwonoona ne tulowooza nti tetujja kutuukibwako kabi konna. Pawulo yawandiika: “Omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.” (Abaggalatiya 6:7) Tuyinza okutuukibwako ebintu ebibi ebiva mu bikolwa byaffe. Kino tekitegeeza nti oluvannyuma lwa Yakuwa okutusonyiwa ate atuleetako akabi. Omukristaayo bw’agwa mu mitawaana, teyandirowoozezza nti, ‘Oboolyawo Yakuwa ambonereza olw’ebibi byange eby’emabega.’ (Yakobo 1:13) Ku luuyi olulala, Yakuwa taziyiza bizibu byonna ebiyinza okuva mu bikolwa byaffe ebikyamu. Okugattululwa mu bufumbo, embuto ezitaagalibwa, endwadde ez’obukaba, okuweebuuka—bino byonna bye bintu ebibi ebiyinza okuva mu kwonoona. Jjukira nti n’oluvannyuma lw’okusonyiwa Dawudi ebibi bye yakola Basuseba ne Uliya, Yakuwa teyaziyiza bizibu ebyatuuka ku Dawudi olw’ebikolwa bye.—2 Samwiri 12:9-12.
19-21. (a) Amateeka agali mu Eby’Abaleevi 6:1-7, gaaganyula gatya eyazzibwako omusango n’oyo eyaguzza? (b) Bwe tulumya abalala olw’ekibi kyaffe, Yakuwa asanyuka bwe tukola ki?
19 Ebibi byaffe biyinza okuleetawo ebizibu ebirala naddala singa abalala bakosebwa olw’ebikolwa byaffe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyogerwako mu Eby’Abaleevi essuula 6. Amateeka ga Musa wano googera ku muntu akola ekibi eky’amaanyi ng’abba, ng’alyazaamaanya oba ng’anyaga Muisiraeri munne. Omwonoonyi yeegaana ekibi kye, n’atuuka n’okulayira nti takikolanga. Mu mbeera eno, abakwatibwako bombi bakubagana empawa. Kyokka, oluvannyuma omwonoonyi alumirizibwa omuntu we ow’omunda era n’ayatula ekibi kye. Okusobola okusonyiyibwa Katonda, alina okukola ebintu ebirala bisatu: okukomyawo ebintu bye yatwala, okusasula omutango gwa kimu kya kutaano eky’ebintu bye yabba, era n’okuwaayo endiga ennume ng’ekiweebwayo eky’ebibi. Ate era, Amateeka gaagamba: “Kabona anaamutangiriraga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga.”—Eby’Abaleevi 6:1-7.
20 Etteeka lino yali nteekateeka ey’obusaasizi eyakolebwa Katonda. Yaganyulanga eyabbibwa ebintu bye bwe byakomezebwawo, era awatali kubuusabuusa yawulira bulungi omwonoonyi bwe yamala n’akkiriza ekibi kye. Mu kiseera kye kimu, amateeka gaaganyulanga nnyo oyo eyakubirizibwanga omuntu we ow’omunda okukkiriza ekibi kye. Mazima ddala, singa teyakkikirizanga, teyandisonyiyiddwa Katonda.
21 Wadde nga tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, Amateeka ago gatuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa, nga mw’otwalidde n’eyo gy’alina ku kusonyiwa. (Abakkolosaayi 2:13, 14) Bwe tulumya abalala olw’ekibi kyaffe, Katonda asanyuka bwe tufuba okutereeza ensonga. (Matayo 5:23, 24) Kino kiyinza okuzingiramu okukkiriza ekibi kyaffe, okukkiriza nti tusobezza, era n’okwetonda. Olwo nno, tuyinza okusaba Yakuwa okutusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu.—Abebbulaniya 10:21, 22.
22. Kiki ekiyinza okujjira awamu n’okusonyiyibwa Yakuwa?
22 Okufaananako omuzadde yenna omwagazi, Yakuwa bw’atusonyiwa era ayinza n’okutukangavvula. (Engero 3:11, 12) Omukristaayo eyeenenyezza, ayinza okufiirwa enkizo ye ey’okuweereza ng’omukadde, omuweereza mu kibiina, oba ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Kiyinza okumunakuwaza okufiirwa enkizo ebadde ey’omuwendo gy’ali. Kyokka, okukangavvulwa ng’okwo tekutegeeza nti Yakuwa tamusonyiye. Tulina okujjukira nti okukangavvulwa Yakuwa bukakafu obulaga nti atwagala. Okukukkiriza n’okukugoberera kiganyula ffe.—Abebbulaniya 12:5-11.
23. Lwaki tetwandirowoozezza nti tetuyinza kusaasirwa Yakuwa, era lwaki twandikoppye engeri gy’asonyiwamu?
23 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Katonda waffe ‘mwetegefu okusonyiwa’! Ka tube nga tukoze nsobi ki, tetulowoozanga nti tetuyinza kusaasirwa Yakuwa. Bwe twenenya mu bwesimbu, ne tubaako ne kye tukolawo okutereeza ensobi, ne tusaba Yakuwa okutusonyiwa ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, tuyinza okuba abakakafu nti ajja kutusonyiwa. (1 Yokaana 1:9) Ka tukoppe engeri gy’asonyiwamu nga tukolagana ne bannaffe. Ate oba, Yakuwa atakola kibi asobola okutusonyiwa, olwo ffe abantu aboonoonyi tetwandifubye nnyo okusonyiwagana?
a Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusibwa “omubiri gwaffe” era kikozesebwa ku bintu omubumbi by’abumba.—Isaaya 29:16.
b Omunoonyereza omu agamba nti langi emmyufu oba entwakaavu eyogerwako wano “yali ekwatira ddala mu lugoye. Enkuba, okwoza, wadde okukozesa olugoye olwo ekiseera ekiwanvu, kyali tekiyinza kugiggyamu.”