Abantu ba Yakuwa Abazziddwawo Bamutendereza mu Nsi Yonna
“Ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabirire erinnya lya Mukama.”—ZEFFANIYA 3:9.
1. Lwaki obubaka obw’omusango bwatuukirizibwa ku Yuda n’amawanga amalala?
NGA Yakuwa yaluŋŋamya Zeffaniya okwogera obubaka obw’omusango obw’amaanyi ennyo! Ebigambo ebyo eby’omusango byatuukirizibwa ku ggwanga lya Yuda n’ekibuga kyakyo ekikulu, Yerusaalemi, olw’okuba abakulembeze baakyo n’abantu bonna okutwalira awamu baali tebakola Yakuwa by’ayagala. Amawanga ag’omuliraano, gamba nga Bufirisuuti, Mowaabu, ne Amoni, nago gandyolekezeddwa obusungu bwa Katonda. Lwaki? Olw’okuyigganya abantu ba Yakuwa okumala ebyasa n’ebyasa. N’olw’ensonga y’emu eyo, obufuzi kirimaanyi obwa Bwasuli nabwo bwandizikiriziddwa, obutaddayo kubaawo nate.
2. Kirabika baani abaali boogerwako mu Zeffaniya 3:8?
2 Kyokka, mu Yuda eky’edda mwalimu abantu abalungi. Beesunga ekiseera Katonda lwe yandituukirizza omusango gw’asalidde ababi, era kirabika nga be baali boogerwako mu bigambo bino: “Kale munnindirire, bw’ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; kubanga ensi zonna omuliro ogw’obuggya bwange gulizirya.”—Zeffaniya 3:8.
“Olulimi Olulongoofu” eri Baani?
3. Bubaka ki obuwa essuubi Zeffaniya bwe yaluŋŋamizibwa okutuusa ku bantu?
3 Yee, Zeffaniya yatuusa ku bantu obubaka bwa Yakuwa obw’omusango. Naye era nnabbi yaluŋŋamizibwa okubategeeza obubaka obw’ekitalo obuwa essuubi—obwandibadde buzzaamu ennyo amaanyi abo abeeyongera okuba abeesigwa eri Yakuwa. Nga bwe kiri mu Zeffaniya 3:9, Yakuwa Katonda yagamba: “Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.”
4, 5. (a) Kiki ekyandituuse ku batali batuukirivu? (b) Baani abandiganyuddwa mu kino, era lwaki?
4 Wandibaddewo abantu abatandiweereddwa lulimi olulongoofu. Obunnabbi buboogerako nga bugamba: “Ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n’amalala.” (Zeffaniya 3:11) N’olwekyo, ab’amalala abaanyoomanga amateeka ga Katonda era ne bakola ebitali bya butuukirivu bandiggiddwawo. Naye baani abandiganyuddwa mu kino? Zeffaniya 3:12, 13 wagamba: “Ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga erinnya lya Mukama. Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera eby’obulimba so n’olulimi olukuusa terulirabika mu kamwa kaabwe: kubanga balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.”
5 Abeesigwa abaali basigaddewo mu Yuda ey’edda baali ba kuganyulwa. Lwaki? Olw’okuba baali bakoze ekituukagana n’ebigambo bino: “Munoonye Mukama, mmwe mmwena abawombeefu ab’omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.”—Zeffaniya 2:3.
6. Kiki ekyaliwo mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Zeffaniya okwasooka?
6 Mu kutuukirizibwa okwasooka okw’obunnabbi bwa Zeffaniya, Katonda yabonereza Yuda ekitaali kyesigwa bwe yakkiriza Babulooni, Obufuzi Kirimaanyi, okutwala abantu baakyo mu buwambe mu 607 B.C.E. Abamu, omwali ne nnabbi Yeremiya baawonyezebwawo, era abalala beeyongera okubeera abeesigwa eri Yakuwa nga bali mu buwambe. Mu 539 B.C.E., Babulooni kyawambibwa Abameedi n’Abaperusi nga bakulemberwa Kabaka Kuulo. Nga wayiseewo emyaka ebiri, Kuulo yayisa etteeka eryakkiriza ensigalira y’Abayudaaya okuddayo mu nsi ya boobwe. Nga wayiseewo ekiseera, yeekaalu ey’omu Yerusaalemi yazzibwawo, era n’obwakabona bwazzibwawo okuyigiriza abantu Amateeka. (Malaki 2:7) Bwe kityo Yakuwa yawa emikisa ensigalira abazzibwayo—kasita baasigala nga beesigwa.
7, 8. Ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu Zeffaniya 3:14-17 byali bikwata ku ani, era lwaki oddamu bw’otyo?
7 Ku bikwata ku abo abandiganyuddwa mu kuzzibwayo okwo, Zeffaniya yalagula: “Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n’omutima gwonna, ai muwala wa Yerusaalemi. Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri. Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti Totya: ai Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira. Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow’amaanyi anaalokola: alikusanyukira n’essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng’ayimba.”—Zeffaniya 3:14-17.
8 Ebigambo ebyo eby’obunnabbi byali bikwata ku nsigalira abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu buwambe e Babulooni ne bakomezebwawo ewa boobwe. Kino kiragibwa bulungi mu Zeffaniya 3:18-20, we tusoma: “Ndikuŋŋaanya abo abanakuwalira okukuŋŋaana okutukuvu, abaali ababo: omugugu ogwali ku kyo kyali kivume gye bali. Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n’erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna. Mu biro ebyo ndibayingiza, ne mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange [“abasibe bammwe,” NW] mmwe nga mulaba, bw’ayogera Mukama.”
9. Yakuwa yeekolera atya erinnya ku bikwata ku Yuda?
9 Lowooza ku kuwuniikirira kw’ab’omu mawanga agabeetoolodde abaali abalabe b’abantu ba Katonda! Abantu ba Yuda baali bawambiddwa Babulooni eky’amaanyi, nga tebalina ssuubi lyonna ery’okuteebwa. Ate era, ng’ensi yaabwe yali efuuse matongo. Olw’amaanyi ga Katonda, baakomezebwawo mu nsi ya boobwe oluvannyuma lw’emyaka 70, ng’ate go amawanga agaali ag’obulabe gaali gagenda kuzikirizibwa. Nga Yakuwa yeekolera erinnya bwe yakomyawo ensigalira y’abeesigwa abo! Yabafuula “erinnya n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna.” Ng’okuzzibwayo okwo kwaleetera Yakuwa ettendo era n’abo abaali bayitibwa erinnya lye!
Okusinza kwa Yakuwa Kugulumiziddwa
10, 11. Okutuukirizibwa okukulu okw’obunnabbi bwa Zeffaniya obw’okukomezebwawo kwaliwo ddi, era kino tukimanya tutya?
10 Okuzzibwawo okulala kwaliwo mu kyasa ekyasooka eky’Embala Eno, Yesu Kristo bwe yakuŋŋaanya ensigalira y’Abaisiraeri mu kusinza okw’amazima. Kino kyali kisonga ku ekyo ekyali eky’okubaawo mu biseera eby’omu maaso, kubanga okutuukirizibwa okukulu okw’okukomezebwawo okwo kwali kwa kubeerawo mu biseera eby’omu maaso. Obunnabbi bwa Mikka bwalagula: “Mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu.”—Mikka 4:1.
11 Kino kyandibaddewo ddi? Ng’obunnabbi bwe bwagamba, “mu nnaku ez’oluvannyuma”—yee, mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1) Kino kyandibaddewo ng’enkomerero y’embeera zino ez’ebintu embi tennabaawo ng’amawanga gakyasinza bakatonda ab’obulimba. Mikka 4:5, (NW) lugamba: “Abantu bonna banaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we.” Naye ate bo abasinza ab’amazima? Obunnabbi bwa Mikka buddamu: “Naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe.”
12. Okusinza okw’amazima kugulumiziddwa kutya mu nnaku zino ez’oluvannyuma?
12 N’olwekyo, mu nnaku zino ez’oluvannyuma, “olusozi olw’ennyumba ya Mukama [lunywezeddwa] ku ntikko y’ensozi.” Okusinza kwa Yakuwa okw’amazima okwa waggulu ennyo kuzziddwawo, kunywezeddwa, era kugulumiziddwa nnyo okusinga eddiini endala zonna. Era, ng’obunnabbi bwa Mikka bwe bwalagula, “amawanga galikulukutiramu.” Abo abagoberera okusinza okw’amazima ‘banaatambuliranga mu linnya lya Yakuwa Katonda waabwe emirembe n’emirembe.’
13, 14. Ensi eno yayingira ddi mu “nnaku ez’oluvannyuma,” era kiki ekibadde kikolebwa okuva ku olwo ku bikwata ku kusinza okw’amazima?
13 Ebibaddewo ebituukirizza obunnabbi bwa Baibuli biwa obukakafu nti ensi eno yayingira ekiseera kyayo ‘eky’oluvannyuma’—ennaku zaayo ez’enkomerero—mu mwaka 1914. (Makko 13:4-10) Ebyafaayo biraga nti Yakuwa yatandika okukuŋŋaanya eri okusinza okw’amazima ensigalira y’abeesigwa abaafukibwako amafuta, abalina essuubi ery’omu ggulu. Kino kyaddirirwa okukuŋŋaanyizibwa ‘kw’ekibiina ekinene okuva mu mawanga gonna n’ebika n’abantu n’ennimi,’—abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna.—Okubikkulirwa 7:9.
14 Okuva ku Ssematalo I n’okutuukira ddala mu kiseera kyaffe, okusinza Yakuwa okwenyigiddwamu abo abayitibwa erinnya lye kweyongedde okukulaakulana ennyo wansi w’obulagirizi bwe. Nga beeyongera okuva ku bantu enkumi obukumi abaaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo I, abasinza ba Yakuwa kati bawera obukadde nga mukaaga, nga bakuŋŋaanyiziddwa mu bibiina nga 91,000 mu nsi 235. Buli mwaka, abalangirizi bano ab’Obwakabaka bawaayo essaawa ezisukka mu kawumbi nga batendereza Katonda mu lujjudde. Kya lwatu nti Abajulirwa ba Yakuwa bano be batuukiriza ebigambo bya Yesu eby’obunnabbi: “N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14, NW.
15. Zeffaniya 2:3 lutuukirizibwa lutya kati?
15 Zeffaniya 3:17 lugamba: “Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow’amaanyi anaalokola.” Okukulaakulana okw’eby’omwoyo abaweereza ba Yakuwa kwe batuuseeko mu nnaku zino ez’enkomerero kubaddewo olw’okuba nti ali ‘wakati waabwe’ nga Katonda waabwe ow’amaanyi. Bwe kityo bwe kiri ne leero nga bwe kyali mu kuzzibwawo kwa Yuda eky’edda mu 537 B.C.E. N’olwekyo, kati tulaba engeri Zeffaniya 2:3 gye lutuukirizibwamu mu ngeri esingawo mu kiseera kyaffe bwe lugamba nti: “Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi.”(Italiki zaffe.) Mu 537 B.C.E., “mwenna” kyali kizingiramu ensigalira y’Abayudaaya abaakomawo okuva mu buwambe e Babulooni. Naye kati kikiikirira abawombeefu ab’omu mawanga gonna mu nsi, abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka obubuulirwa mu nsi yonna era abeekuluumulula eri ‘olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa.’
Okusinza okw’Amazima Kukulaakulana
16. Kirabika abalabe baffe bawulira batya bwe balaba okukulaakulana kw’abaweereza ba Yakuwa mu kiseera kyaffe?
16 Oluvannyuma lwa 537 B.C.E., bangi mu mawanga agaali gabeetoolodde beewuunya nnyo okuzzibwayo kw’abaweereza ba Katonda mu kusinza okw’amazima mu nsi ya boobwe. Naye okuzzibwayo okwo kwali kwa kigero kitono. Oyinza okuteeberezaamu abamu—nga mw’otwalidde n’abalabe b’abantu ba Katonda—kye boogera bwe balaba okweyongera n’okukulaakulana okw’ekitalo okw’abaweereza ba Yakuwa mu biseera byaffe? Awatali kubuusabuusa abamu ku balabe bano bawulira ng’Abafalisaayo bwe baalaba abantu nga beekuluumulula eri Yesu. Baawuniikirira ne bagamba: “Laba! Ensi yonna emugoberedde.”—Yokaana 12:19, NW.
17. Omuwandiisi omu yayogera ki ku Bajulirwa ba Yakuwa, era kweyongera ki kwe batuuseeko?
17 Mu kitabo kye These Also Believe, Profesa Charles S. Braden yagamba: ‘Abajulirwa ba Yakuwa babunye ensi yonna n’okubuulira kwabwe. Kiyinza okugambibwa nti tewali kibiina kya ddiini kirala kyonna mu nsi ekiraze obunyiikivu n’obunywevu mu kubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka okusinga Abajulirwa ba Yakuwa. Kirabika ekibiina kino kijja kweyongerera ddala amaanyi.’ Nga yali mutuufu nnyo! Bwe yawandiika ebigambo ebyo emyaka 50 egiyise, waaliwo Abajulirwa nga 300,000 bokka abaali babuulira mu nsi yonna. Kiki kye yandyogedde leero, ng’omuwendo gw’ababuulira amawulire amalungi gukubisaamu ogw’omu kiseera ekyo emirundi nga 20—nga bali obukadde nga mukaaga?
18. Olulimi olulongoofu kye ki, era Katonda aluwadde baani?
18 Okuyitira mu nnabbi we, Katonda yasuubiza: “Ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.” (Zeffaniya 3:9) Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Abajulirwa ba Yakuwa be bakoowoola erinnya lya Yakuwa, be bamuweerereza awamu mu kwagala okutajjulukuka—yee, “n’omwoyo gumu.” Beebo Yakuwa b’awadde olulimi olulongoofu. Olulimi luno olulongoofu lutwaliramu okutegeera obulungi amazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye. Yakuwa yekka y’asobola okuleetawo okutegeera kuno okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. (1 Abakkolinso 2:10) Ani gw’awadde omwoyo gwe? Abo bokka “abamugondera ng’omufuzi.” (Ebikolwa 5:32, NW) Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abeetegefu okugondera Katonda ng’Omufuzi mu buli kintu kyonna. Ye nsonga lwaki baweebwa omwoyo gwa Katonda n’okwogera olulimi olulongoofu, amazima agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye eby’ekitalo. Bakozesa olulimi olulongoofu okutendereza Yakuwa mu nsi yonna ku kigero ekinene era ekyeyongerayongera.
19. Okwogera olulimi olulongoofu kutwaliramu ki?
19 Okwogera olulimi olulongoofu tekikoma ku kukkiriza bukkiriza amazima n’okugayigiriza abalala naye era kitwaliramu n’okutuukaganya empisa z’omuntu n’amateeka ga Katonda awamu n’emisingi gye. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bawomye omutwe mu kunoonya Yakuwa n’okwogera olulimi olulongoofu. Lowooza ku ebyo ebituukiriziddwa! Wadde ng’omuwendo gw’abaafukibwako amafuta gukendedde nga tebakyawera 8,700, abalala kumpi obukadde mukaaga bakoppa okukkiriza kwabwe nga banoonya Yakuwa era nga boogera olulimi olulongoofu. Bano be b’ekibiina ekinene ekyeyongera omuwendo okuva mu mawanga gonna abalina okukkiriza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Benyigira mu buweereza obutukuvu ku lujja olw’oku nsi olwa yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo, era bajja kuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekinaatera okutuuka ku nsi eno ey’obutali butuukirivu.—Okubikkulirwa 7:14, 15.
20. Kiki ekirindiridde abeesigwa abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene?
20 Ekibiina ekinene bajja kutuusibwa mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu. (2 Peetero 3:13) Yesu Kristo ne 144,000 abaafukibwako amafuta abazuukizibwa okufuna obulamu obw’omu ggulu okuweereza awamu naye nga bakabaka era bakabona, bajja kukola ekibiina ekippya ekinaafuga ensi. (Abaruumi 8:16, 17; Okubikkulirwa 7:4; 20:6) Abanaawonawo ku kibonyoobonyo ekinene bajja kufuula ensi olusuku lwa Katonda beeyongere okwogera olulimi olulongoofu olubaweereddwa Katonda. Mu ngeri emu, ebigambo bino bibakwatako: “N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi. Mu butuukirivu mw’oliyima okunywezebwa.”—Isaaya 54:13, 14.
Omulimu ogw’Okuyigiriza Ogusingirayo Ddala Obunene mu Byafaayo
21, 22. (a) Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 24:15, baani abajja okwetaaga okuyigirizibwa olulimi olulongoofu? (b) Mulimu ki ogw’okuyigiriza ogutageraageranyizika ogujja okukolebwa ku nsi wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka?
21 Ekibinja ekinene ennyo abajja okuweebwa omukisa okuyiga olulimi olulongoofu mu nsi empya beebo aboogerwako mu Ebikolwa 24:15, awagamba: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” Mu biseera ebiyise, obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu babaddewo era ne bafa nga tebafunye kumanya kutuufu okukwata ku Yakuwa. Mu ngeri entegeke obulungi, ajja kubakomyawo mu bulamu. Era abo abanaazuukizibwa bajja kwetaaga okuyigirizibwa olulimi olulongoofu.
22 Ng’ejja kuba nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu ogwo omunene ogw’okuyigiriza! Gujja kuba omulimu ogw’okuyigiriza ogulisingayo obunene mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. Byonna bijja kukolebwa wansi w’obufuzi obulungi obwa Kristo Yesu mu buyinza obw’Obwakabaka. N’ekinaavaamu, oluvannyuma olulyo lw’omuntu lujja kulaba okutuukirizibwa kwa Isaaya 11:9, olugamba: “Ensi erijjula okumanya [kwa] Mukama ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.”
23. Lwaki wandigambye nti ng’abantu ba Yakuwa tulina enkizo ya maanyi nnyo?
23 Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo mu nnaku zino ez’enkomerero okweteekerateekera ekiseera ekyo eky’ekitalo okumanya kwa Yakuwa lwe kulijjuza ensi! Era nga tulina enkizo ya maanyi nnyo mu kiseera kino okubeera abantu ba Katonda, abo abalaba okutuukirizibwa kw’ebigambo ebiri mu Zeffaniya 3:20! Awo tusangawo obukakafu Yakuwa bw’atuwa: “Ndibafuula erinnya n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi.”
Wandizzeemu Otya?
• Obunnabbi bwa Zeffaniya obw’okuzzibwawo butuukiriziddwa butya?
• Okusinza okw’amazima kukulaakulanye kutya mu nnaku zino ez’oluvannyuma?
• Kuyigiriza ki okunene ennyo okunaabaawo mu nsi empya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Abantu ba Yakuwa baakomawo ewa boobwe okuzzaawo okusinza okulongoofu. Omanyi amakulu ga kino leero?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Nga boogera “olulimi olulongoofu,” Abajulirwa ba Yakuwa bawa abantu obubaka obubudaabuda obuva mu Baibuli