Yakuwa Akyawa Obukuusa
‘Temukuusakuusa bannammwe.’—MALAKI 2:10.
1. Katonda atwetaagisa ki bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo?
OYAGALA obulamu obutaggwaawo? Bw’oba okkiririza mu kisuubizo ekyo ekiri mu Baibuli, ojja kugamba nti ‘Akabuuza jjako.’ Naye bw’oba ng’oyagala Katonda akuwe obulamu obutaggwaawo mu nsi ye empya, kikwetaagisa okutuukiriza ebyo by’akwetaagisa. (Omubuulizi 12:13; Yokaana 17:3) Buba butali bwenkanya okusuubira abantu abatatuukiridde okukola bwe batyo? Nedda, kubanga Yakuwa ayogera ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Njagala ekisa so si ssaddaaka; n’okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.” (Koseya 6:6) N’olwekyo, abantu abatatuukiridde nabo bayinza okutuukiriza Katonda by’abeetaagisa.
2. Abaisiraeri bangi baakuusakuusa batya Yakuwa?
2 Kyokka, tekiri nti buli muntu ayagala okukola Yakuwa by’ayagala. Koseya alaga nti n’Abaisiraeri bangi tebaayagala kubikola. Ng’eggwanga, baakola endagaano okugonderanga amateeka ga Katonda. (Okuva 24:1-8) Naye, mangu ddala ‘baalemererwa okutuukiriza endagaano eyo nga bamenya amateeka ge. N’olwekyo, Yakuwa yagamba nti Abaisiraeri abo ‘baamukuusa.’ (Koseya 6:7) Era okuva ku olwo, n’abantu abalala bangi bakoze kye kimu. Naye Yakuwa akyawa obukuusa, ka kibe nti ye gwe bakuusa oba abo abamwagala era abamuweereza.
3. Biki ebigenda okwekenneenyezebwa mu kitundu kino?
3 Koseya si ye nnabbi yekka eyannyonnyola endowooza ya Katonda ekwata ku bukuusa, endowooza naffe gye tulina okukoppa bwe tuba ab’okufuna obulamu obw’essanyu. Mu kitundu ekyayita, twatandika okwekkenneenya ebiri mu bunnabbi bwa Malaki, nga tutandikira ku ssuula esooka ey’ekitabo kye. Kati ka tugende ku ssuula ey’okubiri ey’ekitabo ekyo tulabe ebirala ebyogerwa ku ndowooza Katonda gy’alina ku bukuusa. Newakubadde nga Malaki yali ayogera ku mbeera eyaliwo mu bantu ba Katonda nga wayiseewo ebbanga ddene oluvannyuma lw’okukomawo okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni, essuula eyo ey’okubiri naffe etukwatako leero.
Bakabona Abagwana Okunenyezebwa
4. Kulabula ki Yakuwa kwe yawa bakabona?
4 Essuula 2 etandika nga Yakuwa avumirira bakabona Abayudaaya olw’okuva mu makubo ge ag’obutuukirivu. Singa tebassaayo mwoyo ku kubuulira kwe ne balongoosa amakubo gaabwe, baali ba kufuna ebizibu eby’amaanyi. Weetegereze ennyiriri ebbiri ezisooka: “Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw’ayogera Mukama w’eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe.” Singa bakabona baali bayigirizza abantu amateeka ga Katonda era nabo bennyini ne bagakwata, bandiweereddwa omukisa. Naye, olw’obutafaayo ku Katonda ky’ayagala, bandifunye ekikolimo. N’emikisa bakabona gye baawanga gyandifuuse kikolimo.
5, 6. (a) Lwaki bakabona be baali basingira ddala okunenyezebwa? (b) Yakuwa yalaga atya nti teyasiima bakabona?
5 Lwaki bakabona be bandibadde basingira ddala okunenyezebwa? Olunyiriri 7 lututangaaza bulungi ku nsonga: “Emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w’eggye.” Emyaka nga lukumi emabega, amateeka ga Katonda agaaweebwa Isiraeri okuyitira mu Musa gaagamba nti bakabona baalina obuvunaanyizibwa ‘okuyigiriza abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulira.’ (Eby’abaleevi 10:11) Eky’ennaku, nga wayiseewo ekiseera, omuwandiisi wa 2 Ebyomumirembe 5:3 yagamba: “Ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow’amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina Mateeka.”
6 Mu kiseera kya Malaki, mu kyasa eky’okutaano B.C.E., bakabona tebaakyusaako. Baalemererwa okuyigiriza abantu Amateeka ga Katonda. N’olwekyo, bakabona abo baali beetaaga okuvunaanibwa. Weetegereze ebigambo eby’amaanyi Katonda by’abagamba. Malaki 2:3 wagamba: “Ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe.” Nga kwali kuvumirira kwa maanyi! Obusa bw’ebisolo ebiweebwayo bwalinga bulina okufulumizibwa ebweru w’olusiisira ne bwokebwa. (Eby’Abaleevi 16:27) Naye Yakuwa bw’abagamba nti mu kifo ky’ekyo obusa bwandisiigiddwa mu maaso gaabwe, kiba kiraga bulungi nti teyasiima n’akamu ssaddaaka zaabwe n’abo abaaziwangayo.
7. Lwaki Yakuwa yanyiigira abayigiriza b’Amateeka?
7 Ebyasa bingi ng’ekiseera kya Malaki tekinnatuuka, Yakuwa yawa Abaleevi obuvunaanyizibwa obw’okulabirira weema ey’okusisinkaniramu. Ate oluvannyuma yabawa n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira yeekaalu n’obuweereza obutukuvu. Be baali abayigiriza mu ggwanga lya Isiraeri. Bwe bandituukirizza obuvunaanyizibwa bwabwe, bo n’eggwanga lyabwe bandibadde balamu era bandibadde n’emirembe. (Okubala 3:5-8) Kyokka, Abaleevi baali tebakyatya Katonda nga bwe kyali mu kusooka. N’olwekyo, Yakuwa yabagamba: ‘Mukyamye mukyuse mu kkubo; musittazizza bangi mu mateeka; mwonoonye endagaano ya Leevi. Temukutte makubo gange.’ (Malaki 2:8, 9) Olw’okulemererwa okuyigiriza amazima, n’okuba nti baateekawo ekyokulabirako ekibi, bakabona baakyamya Abaisiraeri bangi. N’olwekyo, Yakuwa yali mutuufu okubanyiigira.
Okunywerera ku Mitindo gya Katonda
8. Abantu tebalina busobozi bwa kunywerera ku mitindo gya Katonda? Nnyonnyola.
8 Leka tuleme kulowooza nti bakabona abo baali bagwanidde okusaasirwa n’okusonyiyibwa kubanga baali bantu abatatuukiridde abatayinza kutuukiriza mitindo gya Katonda. Amazima gali nti abantu bayinza okutuukiriza amateeka ga Katonda, kubanga Yakuwa tabeetaaza ekyo kye batasobola kukola. Wateekwa okuba nga waaliwo bakabona abamu mu biseera ebyo abaanywerera ku mitindo gya Katonda. Era tewali kubuusabuusa nti Yesu, “kabona asinga obukulu” yaginywererako. (Abaebbulaniya 3:1) Mazima ddala yali asobola okwogerwako bw’ati: “Etteeka ery’amazima lyabanga mu kamwa ke, so n’obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gye: yatambulanga nange mu mirembe n’obugolokofu, n’akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.”—Malaki 2:6.
9. Baani abayigiriza amazima ga Baibuli mu kiseera kyaffe?
9 Okumala ebbanga erisukka mu kyasa, baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta, abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, baweerezza nga “bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez’omwoyo, ezisiimibwa Katonda.” (1 Peetero 2:5) Bawomye omutwe mu kubunyisa amazima ga Baibuli eri abalala. Oluvannyuma lw’okumanya amazima ge bayigiriza, ddala tokizudde nti etteeka ery’amazima liri mu kamwa k’abantu bano? Bayambye bangi okuva mu ddiini ez’obulimba, era kati okwetooloola ensi obukadde n’obukadde bw’abantu bayize amazima ga Baibuli nga balina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Ate bano nabo balina enkizo ey’okuyigiriza abalala bangi nnyo etteeka ery’amazima.—Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 7:9.
Ensonga Lwaki Tulina Okubeera Abeegendereza
10. Lwaki tulina okubeera abeegendereza?
10 Waliwo ensonga lwaki tulina okubeera abeegendereza. Tuyinza okulemwa okutegeera eby’okuyiga ebiri mu Malaki 2:1-9. Twegendereza ne kiba nti tewalabikawo butali butuukirivu mu kamwa kaffe? Ng’ekyokulabirako, ab’omu maka gaffe bayinza okwesiga bye twogera? Baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina nabo beesiga bye twogera? Kiyinza okubeera ekyangu okufuna omuze ogw’okwogera yogera ebintu ebirabika ng’ebituufu naye nga si bituufu. Oba omuntu ayinza obutayogera kituufu kyennyini oba okukwekerera ebintu ebimu ebikwata ku bizineesi. Ekyo Yakuwa taakirabe? Ate era bwe tunaakola bwe tutyo, anaasiima ssaddaaka z’emimwa gyaffe?
11. Baani abasingira ddala okwetaaga okuba abeegendereza?
11 Leero, abo abalina enkizo ey’okuyigiriza Ekigambo kya Katonda mu kibiina, balina okutwala okulabula okuli mu Malaki 2:7 nga kukulu. Wagamba nti emimwa gyabwe “gyandinywezezza okumanya, era [abantu] bandinoonyezza amateeka” mu kamwa kaabwe. Balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi, kubanga Yakobo 3:1 walaga nti ‘balisalirwa omusango ogusinga obunene.’ Wadde balina okuyigiriza n’ebbugumu n’amaanyi, ebyo bye bayigiriza birina okwesigamizibwa ku Kigambo kya Katonda n’obulagirizi obuyitira mu kibiina kya Yakuwa. Mu ngeri eyo bajja kuba ‘n’ebisaanyizo by’okuyigiriza abalala.’ N’olwekyo, babuulirirwa: “Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayigiriza obulungi ekigambo kya Katonda.”—2 Timoseewo 2:2, 15, NW.
12. Abo abayigiriza balina kwegendereza ki?
12 Bwe tuba tetwegenderezza, tuyinza okugattika endowooza zaffe n’ebyo bye tuyigiriza. Ekyo kiyinza okuba eky’akabi naddala omuntu bw’agezaako okwemalirira ng’ate endowooza ye ekontana n’ekibiina kya Yakuwa bye kiyigiriza. Naye Malaki essuula 2 walaga nti twandisuubidde abayigiriza mu kibiina okunywerera ku magezi agava eri Katonda so si ku ndowooza zaabwe, eziyinza okwesitazza endiga. Yesu yagamba: ‘Alyesitaza ku bano abato abantaddemu okukkiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw’ennyanja.’—Matayo 18:6.
Okuwasa Atali Mukkiriza
13, 14. Emu ku ngeri ez’obukuusa Malaki gye yayogerako, y’eruwa?
13 Okuva ku lunyiriri 10 okweyongerayo, Malaki essuula 2 eyogera butereevu ku bukuusa. Malaki assa essira ku bintu bibiri ebikwatagana era mu kubyogerako akozesa ekigambo ‘okukuusakuusa’ enfunda n’enfunda. Okusookera ddala, weetegereze nti Malaki atandika okubuulirira kwe ng’akozesa ebibuuzo bino: “Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe?” Olunyiriri 11 lugattako nti obukuusa bwa Isiraeri buviirako ‘okwonoona obutukuvu bwa Mukama.’ Kikyamu ki kye baali bakola? Olunyiriri olwo lulaga ekimu ku bintu ebikyamu bye baali bakola: Baali ‘bawasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.’
14 Mu ngeri endala, Abaisiraeri abamu abaali mu nsi eyali yeewaddeyo eri Yakuwa, baali bawasizza abakazi abataali basinza ba Yakuwa. Ebyawandiikibwa ebirala bituyamba okulaba lwaki ekyo kyali kikyamu nnyo. Olunyiriri 10 lugamba nti baalina kitaabwe omu. Kino kyali tekitegeeza Yakobo (eyatuumibwa Isiraeri) oba Ibulayimu wadde Adamu. Malaki 1:6 walaga nti Yakuwa ye yali ‘Kitaabwe omu.’ Eggwanga lya Isiraeri lyalina enkolagana ne Yakuwa, nga bali mu ndagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe. Erimu ku mateeka mu ndagaano eyo lyali: “Tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo.”—Ekyamateeka 7:3
15. (a) Abantu abamu bayinza kwekwasa nsonga ki nga baagala okufumbiriganwa n’atali mukkiriza? (b) Yakuwa alaga atya endowooza gy’alina ku kufumbiriganwa?
15 Abamu leero bayinza okugamba nti: ‘Omuntu gwe njagala mulungi nnyo. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo ayinza okukkiriza okusinza okw’amazima.’ Endowooza eyo eyoleka obutuufu bw’okulabula okwaluŋŋamizibwa: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) Endowooza ya Katonda ekwata ku kuwasa atali mukkiriza eragibwa mu Malaki 2:12: “Akola bw’atyo Mukama alimuzikiriza.” N’olwekyo, Abakristaayo bakubirizibwa okufumbiriganwa “mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 7:39) Mu nteekateeka y’Ekikristaayo, omukkiriza ‘tazikirizibwa’ bw’afumbiriganwa n’atali mukkiriza. Wadde kiri bwe kityo, atali mukkiriza bw’asigala nga si mukkiriza, kiki ekinaamutuukako nga Katonda azikiriza embeera zino?—Zabbuli 37:37, 38.
Okuyisa Obubi Munno mu Bufumbo
16, 17. Abasajja abamu beeyisa mu ngeri ki ey’obukuusa?
16 Malaki yeeyongera n’ayogera ku bukuusa obulala: okuyisa obubi munno mu bufumbo naddala ng’ogattululwa naye mu ngeri etali ya bwenkanya. Olunyiriri 14 olw’essuula 2 lugamba: “Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n’eri omukazi ow’omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano.” Olw’okukuusakuusa bakazi baabwe, abasajja Abayudaaya ‘bajjuza ekyoto kya Mukama amaziga.’ (Malaki 2:13) Abasajja abo baagattululanga obufumbo mu ngeri emenya amateeka, nga baleka bakazi baabwe ab’omu buvubuka, oboolyawo okuwasa abakazi abato oba abakaafiiri. Bakabona aboonoonefu ekyo baakikkirizanga! Naye Malaki 2:16 wagamba: “Nkyawa okugoba abakazi, bw’ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri.” Oluvannyuma, Yesu yalaga nti obugwenyufu ye nsonga yokka eyandibadde esinziirwako okugattulula obufumbo ne kiwa omuntu atalina musango ebbeetu ery’okuddamu okuwasa oba okufumbirwa.—Matayo 19:9.
17 Fumiitiriza ku bigambo bya Malaki ebyo, olabe engeri gye bikwata ku mutima era ne bireetera omuntu okuwulira ekisa. Ayogera ku “munno era omukazi gwe wakola naye endagaano.” Buli musajja yenna eyali akwatibwako, yali awasizza omukazi Omuisiraeri era omusinza wa Yakuwa, n’amulonda okubeera omwagalwa we, gwe yandibadde naye ennaku zonna ez’obulamu bwe. Wadde nga baafumbiriganwa bakyali bato, ebbanga bwe lyandiyiseewo ne bakaddiwa tebandisattuludde ndagaano yaabwe ey’obufumbo.
18. Mu ngeri ki okubuulirira kwa Malaki okukwata ku bukuusa gye kutukwatako leero?
18 Okubuulirira okukwata ku nsonga ezo kutukwatako leero. Kya buswavu nnyo nti leero abamu basambajja obulagirizi bwa Katonda obukwata ku kuwasa mu Mukama waffe. Ate era, kya nnaku nnyo nti abamu bagayaalirira okukuuma obufumbo bwabwe nga bunywevu. Mu kifo ky’ekyo, beekwasa obusongasonga ne bakola ekyo Katonda ky’akyawa nga bagattulula obufumbo mu ngeri ekontana n’Ebyawandiikibwa basobole okuwasa oba okufumbirwa omuntu omulala. Mu kukola ebintu bwe bityo, ‘bakooyezza Yakuwa.’ Mu biseera bya Malaki, abo abataafaayo ku kubuulirira kwa Yakuwa baatuuka n’okugamba nti teyali mwenkanya. Baagamba: “Katonda ow’obwenkanya ali ludda wa?” Nga baalina endowooza embi ennyo! Ka tuleme kugwa mu mutego ogwo.—Malaki 2:17, NW.
19. Abasajja n’abakazi bayinza batya okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu?
19 Kyokka, Malaki alaga nti abasajja abamu baali tebeeyisa mu ngeri ya bukuusa eri bakazi baabwe. Baali balina “omwoyo [gwa Katonda] ogwafikkawo.” (Olunyiriri 15) Eky’essanyu, mu kibiina kya Katonda mujjudde abasajja ‘abassa ekitiibwa mu bakazi baabwe.’ (1 Peetero 3:7) Tebabakuba wadde okubavuma, tebabakaka kwetaba nabo mu ngeri ezitasaanidde, era tebabayisa mu ngeri etali ya kitiibwa nga bazannyirira n’abakazi abalala oba nga balaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Ekibiina kya Yakuwa era kijjudemu abakazi Abakristaayo abeesigwa eri Katonda n’amateeka ge. Abasajja n’abakazi abo bonna bamanyi Katonda ky’akyawa, era ebirowoozo n’ebikolwa byabwe bituukana nakyo. Weeyongere okubeera nga bo, ‘ng’ogondera Katonda’ olyoke ofune omwoyo gwe omutukuvu.—Ebikolwa 5:29.
20. Abantu boolekedde kiseera ki?
20 Mangu ddala, Yakuwa ajja kusalira ensi eno yonna omusango. Buli omu ajja kuba avunaanyizibwa gy’ali olw’ebikolwa bye n’ebyo by’akkiririzaamu. “Buli muntu alivunaanibwa ku lulwe mu maaso ga Katonda.” (Abaruumi 14:12, NW) N’olwekyo, kati ekibuuzo ekiri mu ddiiro kiri nti: Ani anaawonawo ku lunaku lwa Yakuwa? Ogwo gwe gugenda okuba omutwe gw’ekitundu eky’okusatu era ekisembayo.
Osobola Okunnyonnyola?
• Ensonga enkulu lwaki Yakuwa yavumi- rira bakabona mu Isiraeri y’eruwa?
• Lwaki kisoboka okutuukiriza amateeka ga Katonda?
• Lwaki tulina okwegendereza bye tuyigiriza leero?
• Bikolwa ki ebibiri Yakuwa bye yavumirira ennyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Mu nnaku za Malaki, bakabona baanenye- zebwa olw’obutakuuma makubo ga Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Yakuwa yavumirira Abaisiraeri abaagattululwa ne bakazi baabwe olw’obusongasonga obutaliimu ne bawasa abakazi abakaafiiri
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Leero Abakristaayo bassa ekitiibwa mu ndagaano yaabwe ey’obufumbo