ESSUULA 52
Aliisa Nkumi na Nkumi ng’Akozesa Emigaati n’Ebyennyanja Bitono
MATAYO 14:13-21 MAKKO 6:30-44 LUKKA 9:10-17 YOKAANA 6:1-13
YESU ALIISA ABASAJJA 5,000
Abatume 12 bava kubuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya, era babuulira Yesu ‘ebintu byonna bye bakoze ne bye bayigirizza.’ Kya lwatu nti bakooye nnyo. Wadde kiri kityo, tebalina na budde bwa kulya mmere olw’abantu abangi abajja gye bali. Bwe kityo, Yesu abagamba nti: “Mujje mmwe mmwekka tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.”—Makko 6:30, 31.
Balinnya eryato, oboolyawo okumpi ne Kaperunawumu, okugenda mu kifo eteri bantu ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani ng’oyisizza e Besusayida. Kyokka abantu bangi babalaba nga bagenda ate abalala bakimanyaako. Abantu abo badduka nga bayita ku lubalama era eryato libasanga batuuse.
Bw’ava mu lyato, Yesu alaba ekibiina ky’abantu n’abakwatirwa ekisa, kubanga balinga endiga ezitalina musumba. Atandika “okubayigiriza ebintu bingi” ebikwata ku Bwakabaka. (Makko 6:34) Ate era awonya ‘abo abeetaaga okuwonyezebwa.’ (Lukka 9:11) Oluvannyuma lw’ekiseera, abayigirizwa bamugamba nti: “Ekifo kye tulimu kyesudde, era n’obudde buwungedde; siibula abantu bagende mu byalo beegulire emmere.”—Matayo 14:15.
Yesu abaddamu nti: “Tekibeetagisa kugenda: Mmwe mubawe eky’okulya.” (Matayo 14:16) Wadde nga Yesu amanyi ky’agenda okukola, agezesa Firipo ng’amubuuza nti: “Tunaagula wa emigaati abantu bano gye banaalya?” Yesu abuuza Firipo ekibuuzo ekyo kubanga Firipo abeera kumpi ne Besusayida. Kyokka, tekisoboka kugulira bantu bonna migaati. Waliwo abasajja nga 5,000. Ate omuwendo ogwo guyinza okuba nga gukubisaamu emirundi ebiri singa oba otaddeko abakazi n’abaana! Firipo agamba nti: “Emigaati egya ddinaali 200 tegiyinza kubamala, buli muntu ne bw’aba wa kulyako katono.” (Yokaana 6:5-7) Omuntu asasulwa ddinaali emu oluvannyuma lw’okukola okumala olunaku lumu.
Oboolyawo ng’ayagala okulaga nti tekisoboka kuliisa bantu abo bonna, Andereya agamba nti: “Wano waliwo omulenzi alina emigaati egya ssayiri etaano n’obwennyanja bubiri. Naye bino binaagasa ki ku bantu abangi bwe bati?”—Yokaana 6:9.
Ekiseera kya ttoggo, embaga ey’Okuyitako ey’omwaka 32 E.E. eneetera okutuuka, era omuddo gwonna gwa kiragala. Yesu agamba abayigirizwa be batuuze abantu ku muddo mu bibinja bya bantu ataano ataano n’ebirala bya bantu kikumi kikumi. Akwata emigaati etaano n’ebyennyanja ne yeebaza Katonda. Amenyaamenyamu emigaati n’ebyennyanja. Yesu abikwasa abayigirizwa be okubigabira abantu. Ekyewuunyisa kiri nti abantu bonna balya ne bakkuta!
Oluvannyuma, Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, waleme kubaawo kyonoonebwa.” (Yokaana 6:12) Obutundutundu bwe bakuŋŋaanya bujjuza ebisero 12!