Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Lukka
ENJIRI ya Matayo etwalibwa okuba nga yawandiikirwa Bayudaaya, ate nga yo eya Makko yawandiikirwa abo abatali Bayudaaya. Kyokka Enjiri ya Lukka yawandiikirwa bantu ba mawanga gonna. Enjiri ya Lukka, eyawandiikibwa awo nga 56-58 C.E., y’esinga okwogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe.
N’obwegendereza obw’ekisawo, Lukka alondoola “byonna okuva ku lubereberye” era awandiika ebintu ebyaliwo mu bbanga ery’emyaka 35—okuva mu 3 B.C.E. okutuuka mu 33 C.E. (Luk. 1:3) Ebitundu nga 60 ku buli kikumi ku ebyo ebiri mu Njiri ya Lukka tebisangibwa mu Njiri ziri endala.
OBUWEEREZA BWE WE BWASOOKERA
Bw’amala okutubuulira ebikwata ku kuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza n’okwa Yesu, Lukka agamba nti Yokaana yatandika obuweereza bwe mu mwaka ogwa 15 ogw’obufuzi bwa Tiberiyo Kayisaali, ku ntandikwa y’omwaka 29 C.E. (Luk. 3:1, 2) Yesu abatizibwa Yokaana ng’omwaka ogwo gunaatera okuggwako. (Luk. 3:21, 22) Omwaka gwa 30 C.E. gutuuka nga ‘Yesu akomyewo e Ggaliraaya era atandika okuyigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe.’—Luk. 4:14, 15.
Yesu atandika olugendo lwe olusooka olw’okubuulira mu Ggaliraaya. Agamba ebibiina by’abantu nti: “Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala.” (Luk. 4:43) Agenda ne Simooni omuvubi wamu n’abalala. Agamba nti: “Okusooka kaakano onoovubanga abantu.” (Luk. 5:1-11; Mat. 4:18, 19) Yesu yali n’abatume 12 ng’agenda okubuulira e Ggaliraaya ku lugendo lwe olw’okubiri. (Luk. 8:1) Ku lugendo olw’okusatu, atuma abayigirizwa be 12 “okubuulira obwakabaka bwa Katonda n’okuwonya abalwadde.”—Luk. 9:1, 2.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:35—Malyamu okusobola okufuna olubuto, eggi lye lyakozesebwa? Omwana wa Malyamu okusobola okuba muzzukulu wa bajjajjaabe Ibulayimu, Yuda, ne Dawudi nga Katonda bwe yali yasuubiza, eggi lya Malyamu lyalina okukozesebwa ng’afuna olubuto. (Lub. 22:15, 18; 49:10; 2 Sam. 7:8, 16) Kyokka, omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwayamba mu kuteeka obulamu bw’Omwana wa Katonda obutuukiridde mu lubuto lwa Malyamu. (Mat. 1:18) Kirabika kino kyamalawo obutali butuukirivu bwonna obwali mu ggi lya Malyamu, ne kiba nti okuva ku ntandikwa ng’omwana oyo akyali mu lubuto yakuumibwa obutatuukibwako kabi konna.
1:62—Zekkaliya yaziba omumwa n’amatu? Nedda. Yaziba mumwa gwokka. Baamubuuza erinnya ly’ayagala batuume omwana nga “bakozesa obubonero,” naye tebaakikola lwa kuba Zekkaliya yali azibye amatu. Kirabika yawulira erinnya mukazi we lye yali agambye batuume omwana waabwe. Osanga abalala baabuuza Zekkaliya ku nsonga eno nga bakozesa obubonero. Eky’okuba nti omumwa gwe gwokka gwe gwazibuka kiraga nti Zekkaliya teyali kiggala.—Luk. 1:13, 18-20, 60-64, NW.
2:1, 2—Okwogera ku “kuwandiikibwa okwasooka” kituyamba kitya okumanya ekiseera Yesu we yazaalirwa? Mu bufuzi bwa Kayisaali Agusito, okwewandiisa tekwali kwa mulundi gumu—okwasooka kwaliwo mu 2 B.C.E. era kwatuukiriza ebiri mu Danyeri 11:20, ate okwaddako kwaliwo mu 6 oba 7 C.E. (Bik. 5:37) Kuleniyo ye yali gavana wa Busuuli mu kiseera ky’okwewandiisa okwo kwombi, nga kirabika nti yafuga emirundi ebiri nga gavana. Lukka okuba nti ayogera ku kwewandiisa okwasooka kiraga nti Yesu yazaalibwa mu 2 B.C.E.
2:35—“Ekitala” kyali kya kufumita kitya emmeeme ya Malyamu? Kino kisonga ku nnaku Malyamu gye yandiwulidde olw’abantu abasinga obungi obutakkiriza Yesu nga Masiya, n’olw’okumulaba ng’attirwa mu bulumi obw’ekitalo.—Yok. 19:25.
9:27, 28—Lwaki Lukka agamba nti okufuusibwa kwa Yesu kwaliwo “ennaku munaana” nga Yesu amaze okugamba abayigirizwa be nti abamu ku bo ‘tebalirega ku kufa’ okutuusa lwe bandimulabye ng’ajja mu Bwakabaka bwe, ng’ate Matayo ne Makko bo bagamba nti kino kyaliwo ‘nga wayise ennaku mukaaga’? (Mat. 17:1; Mak. 9:2) Kirabika nti Lukka ayongeramu ennaku endala ebiri—olunaku Yesu lwe yayogererako ebigambo ebyo, n’olwo lwe byatuukirizibwa.
9:49, 50—Lwaki Yesu teyagaana musajja kugoba dayimooni, wadde ng’omusajja oyo yali tayita naye? Yesu teyagaana musajja oyo kubanga ekibiina Ekikristaayo kyali tekinnaba kutandikibwawo. N’olwekyo kyali tekyetaagisa musajja oyo kuyita na Yesu okusobola okumukkiririzaamu n’okugoba dayimooni.—Mak 9:38-40.
Bye Tuyigamu:
1:32, 33; 2:19, 51. Malyamu yakuumira mu mutima gwe ebintu ebyayogerwa n’ebyaliwo nga bituukiriza obunnabbi. Yesu bye yalagula ku ‘mafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno’ tubitwala ng’ekikulu, nga tubigeraageranya n’ebyo bye tulaba leero?—Mat. 24:3, NW.
2:37. Ekyokulabirako kya Anna kituyigiriza nti tulina okusinzanga Yakuwa, ‘okunyiikirira okusaba,’ n’obutalekangayo “kukuŋŋaananga wamu” ne baganda baffe.—Bar. 12:12; Beb. 10:24, 25.
2:41-50. Yusufu yakulembeza eby’omwoyo mu bulamu bwe era yalabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Bw’atyo yateekawo ekyokulabirako ekirungi eri emitwe gy’amaka.
4:4. Tulina okufumiitiriza ku bintu by’omwoyo buli lunaku.
6:40. Omusomesa w’Ekigambo kya Katonda ateekwa okuteerawo abayizi be ekyokulabirako ekirungi. Ateekwa okussa mu nkola by’ayigiriza abalala.
8:15, NW. ‘Okunyweza ekigambo n’okubala ebibala n’okugumiikiriza’ kitwetaagisa okutegeera n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda. Twetaaga okusaba n’okufumiitiriza bwe tuba tusoma Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola.
OBUWEEREZA BWA YESU OBWADDAKO
Yesu atuma abalala 70 okugenda mu bibuga ne mu bifo ebiri mu Buyudaaya gy’agenda okubuulira. (Luk. 10:1) Atambula “mu bibuga ne mu mbuga ng’ayigiriza.”—Luk. 13:22.
Ng’ebula ennaku ttaano okutuuka ku Kuyitako kwa 33 C.E., Yesu ayingira mu Yerusaalemi nga yeebagadde omwana gw’endogoyi. Ekiseera kituuse ebigambo bye yagamba abayigirizwa be bituukirizibwe: “Kigwanira Omwana w’omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n’okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi, n’okuttibwa, era ku lunaku olw’okusatu okuzuukizibwa.”—Luk. 9:22, 44.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
10:18—Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba abayigirizwa be 70 nti: “Nnalaba Setaani ng’avudde mu ggulu okugwa ng’okumyansa”? Yesu yali tategeeza nti Setaani yali amaze okusuulibwa okuva mu ggulu. Ekyo kyali kya kubaawo mu 1914 nga Kristo yaakafuuka Kabaka mu ggulu. (Kub. 12:1-10) Wadde tetuyinza kuba bakakafu ku kino, bwe yayogera ku kintu ekitannabaawo ng’ekimaze okubaawo, Yesu yali alaga nti mu buli ngeri kyalina okutuukirira.
14:26—Abagoberezi ba Kristo baali ba ‘kukyawa’ batya ab’eŋŋanda zaabwe? Mu Baibuli, ‘okukyawa’ kiyinza okutegeeza obutayagala muntu omu nga bw’oyagala omulala. (Lub. 29:30, 31) Abakristaayo balina ‘okukyawa’ ab’eŋŋanda zaabwe mu ngeri nti balina okwagala Yesu okusinga bo.—Mat. 10:37.
17:34-37—“Ensega” be baani, era “omulambo” we baakuŋŋaanira kye ki? Abo “abatwalibwa,” oba abanunulwa bageraageranyizibwa ku nsega eziraba ewala. “Omulambo” we bakuŋŋaanira ye Kristo mu kiseera ky’okubeerawo kwe okutalabika era ye mmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’abawa.—Mat. 24:28.
22:44—Lwaki Yesu yanyolwa nnyo? Kino ky’ava ku bintu ebiwerako. Yesu yali mweraliikirivu olw’engeri okuttibwa ng’omumenyi w’amateeka gye kwandikutte ku Yakuwa Katonda n’erinnya Lye. Ate era Yesu yali akimanyi bulungi nti ye n’olulyo lw’omuntu okusobola okufuna obulamu obutaggwawo yali alina okusigala nga mwesigwa.
23:44—Omwezi okusiikiriza enjuba kye kyaleetawo ekizikiza ekyamala essaawa essatu? Nedda. Omwezi okusiikiriza enjuba kibaawo ng’omwezi gwakaboneka, so si nga mukulu nga bwe gubeera mu kiseera ky’Okuyitako. N’olwekyo, Katonda ye yakola ekyamagero n’aleetawo ekizikiza ku lunaku Yesu lwe yafa.
Bye Tuyigamu:
11:1-4. Okugeraageranya ebigambo bino n’ebyo ebiri mu ssaala ey’okulabirako eyali yaweebwa mu Kubuulira kw’Oku Lusozi emyezi nga 18 emabegako kitulaga bulungi nti bwe tuba tusaba, tetulina kuddiŋŋana bigambo.—Mat. 6:9-13.
11:5, 13. Wadde nga Yakuwa mwetegefu okuddamu okusaba kwaffe, tulina okunyiikirira okumusaba.—1 Yok. 5:14.
11:27, 28. Essanyu erya nnamaddala liva mu kukola Katonda by’ayagala so si mu kuba na ba ŋŋanda oba mu kuba na bintu bingi.
11:41. Bwe tuba tuwaayo okuyamba abalala, tulina okukikola nga kiviira ddala ku ntobo ya mutima gwaffe.
12:47, 48. Oyo amanyi obuvunaanyizibwa bwe n’abulagajjalira aba n’omusango munene okusinga oyo atabutuukiriza olw’okuba tabumanyi bulungi.
14:28, 29. Kiba kya magezi obutasaasaanya ssente zisinga ezo ze tuyingiza.
22:36-38. Ebitala Yesu bye yagamba abayigirizwa be okuba nabyo tebyali bya kwekuumisa oba kwerwanako. Naye okuba nti baalina ebitala mu kiro ekyo kye yaliirwamu olukwe kyasobozesa Yesu okubayigiriza ekintu ekikulu ennyo: “Abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.”—Mat. 26:52.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Yusufu yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’omutwe gw’amaka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Lukka ye yawandiika ebintu ebisinga obungi ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe