-
Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’ObunnabbiOmunaala gw’Omukuumi—2000 | Apuli 1
-
-
5. Mu bigambo byo, wandinnyonnyodde otya okufuusibwa kwa Yesu?
5 Okufuusibwa kwa Yesu bwali bunnabbi. Yesu yagamba: “Omwana w’omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be . . . Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n’akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w’omuntu ng’ajja mu bwakabaka bwe.” (Matayo 16:27, 28) Ddala abamu ku batume baalaba Yesu ng’ajja mu Bwakabaka bwe? Matayo 17:1-7 lugamba: “Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka: n’afuusibwa mu maaso gaabwe.” Ekyaliwo kino nga kyali kikulu nnyo! “Amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng’omusana. Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye.” Era, “ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza” era baawulira eddoboozi lya Katonda kennyini nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire. Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo. Yesu n’ajja n’abakomako n’agamba nti Muyimuke, temutya.”
-
-
Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’ObunnabbiOmunaala gw’Omukuumi—2000 | Apuli 1
-
-
7. Tumanya tutya nti Peetero yali akyajjukira bulungi okufuusibwa kwa Yesu?
7 Okufuusibwa kwa Yesu kwayamba okunyweza okukkiriza kw’abatume abasatu abaali ab’okuba n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina Ekikristaayo. Obwenyi bwa Kristo okumasamasa ennyo, engoye ze okumasamasa ennyo, n’eddoboozi lya Katonda kennyini okugamba nti Yesu yali Mwana We omwagalwa gwe basaanidde okuwuliriza—bino byonna byatuukiriza bulungi nnyo ekigendererwa kyabyo. Naye abatume tebaalina kubuulira muntu yenna bye baayolesebwa okutuusa nga Yesu amaze okuzuukizibwa. Nga wayiseewo emyaka nga 32, Peetero yali akyajjukira bulungi nnyo okwolesebwa kuno. Ng’akwogerako awamu n’amakulu gaakwo, yawandiika: “Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n’amagezi bwe twabategeeza obuyinza n’okujja [“okubeerawo,” NW] kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n’amaaso gaffe obukulu bwe. Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n’ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy’ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo: n’eddoboozi eryo ffe ne tuliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.”—2 Peetero 1:16-18.
-