ESSUULA 44
Yesu Akkakkanya Omuyaga ku Nnyanja
MATAYO 8:18, 23-27 MAKKO 4:35–41 LUKKA 8:22-25
YESU AKKAKKANYA OMUYAGA KU NNYANJA Y’E GGALIRAAYA
Yesu amaze olunaku lwonna ng’ayigiriza. Obudde bwe buwungeera, nga bali mu bitundu by’e Kaperunawumu, Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Tusomoke tugende emitala.”—Makko 4:35.
Ku luuyi olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya ye wali ekitundu ky’Abagerasene. Ekitundu ekyo era kimanyiddwa nga Dekapoli. Wadde ng’Abayudaaya bangi babeera mu bibuga by’e Dekapoli, abantu abasinga obungi abali mu bibuga ebyo batambulira ku buwangwa bw’Abayonaani.
Yesu bw’aba ava e Kaperunawumu, abantu bakitegeerako. Mu kiseera ekyo, waliwo amaato amalala agatandika okusaabala ku nnyanja. (Makko 4:36) Mu butuufu, emitala w’ennyanja gy’agenda si wala nnyo. Ennyanja y’e Ggaliraaya si nnene nnyo. Ennyanja eyo erina obuwanvu bwa mayiro nga 13 ate obugazi bwa mayiro nga 7. Naye amazzi g’ennyanja eyo mawanvu.
Wadde nga Yesu muntu atuukiridde, ateekwa okuba ng’akooye oluvannyuma lw’okumala olunaku lwonna ng’abuulira. Bwe kityo, eryato bwe lisimbula, agalamira emabega mu lyato, n’ateeka omutwe gwe ku mutto, ne yeebaka.
Bangi ku batume ba Yesu balina obumanyirivu mu kusaabalira ku nnyanja naye olugendo luno terugenda kubabeerera lwangu. Ennyanja y’e Ggaliraaya yeetooloddwa ensozi era amazzi g’ennyanja eyo gatera okuba nga gabuguma. Ebiseera ebimu, empewo ennyogoga etera okukunta ng’eva ku nsozi n’ekka ku nnyanja n’esisinkana amazzi ago agabuguma, ne kivaako omuyaga ogw’amaanyi. Ekyo kyennyini kye kibaawo. Amayengo gatandika okukuba eryato, “eryato lyabwe ne litandika okujjula amazzi era ne baba nga bali mu kabi.” (Lukka 8:23) Wadde kiri kityo, Yesu akyebase!
Nga bakozesa obumanyirivu bwe balina, abatume bakola kyonna ekisoboka okutereeza eryato. Naye ku luno ebintu bigaana. Bwe balaba ng’obulamu bwabwe buli mu kabi, bazuukusa Yesu ne bamugamba nti: “Mukama waffe, tunaatera okusaanawo, tuwonye!” (Matayo 8:25) Abayigirizwa batidde nti bagenda kubbira mu nnyanja!
Yesu bw’azuukuka, agamba abatume be nti: “Lwaki mutidde mmwe abalina okukkiriza okutono?” (Matayo 8:26) Oluvannyuma Yesu aboggolera omuyaga n’ennyanja ng’agamba nti: “Sirika! Teeka!” (Makko 4:39) Omuyaga gusirika era ennyanja n’eteeka. (Bwe baba boogera ku ekyo ekyaliwo, Makko ne Lukka bagamba nti Yesu asooka kukkakkanya muyaga n’alyoka ayogera ku kukkiriza okutono abayigirizwa kwe balina.)
Lowooza ku ngeri ekyo gye kikwata ku bayigirizwa! Balabye ennyanja ebadde efuukuuse olw’omuyaga ng’eteese. Bonna bafuna entiisa ey’amaanyi era ne boogeera bokka na bokka nti: “Ono ddala y’ani, omuyaga n’ennyanja nabyo bimuwulira?” Bonna batuuka bulungi ku lukalu. (Makko 4:41–5:1) Oboolyawo amaato gali amalala gasobodde okuddayo ku lubalama lw’ennyanja olw’ebugwanjuba.
Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Omwana wa Katonda alina obuyinza ku maanyi g’obutonde! Obwakabaka bwe bwe bunaatandika okufuga ensi mu bujjuvu, abantu tebajja kuddamu kukosebwa butyabaga!